Verse 1 — Surah Al-Kafirun 109:1
Bagambe nti, abange mmwe abatakkiriza (abawakanyi)
Verse 2 — Surah Al-Kafirun 109:2
Ssisinza ebyo bye musinza (amasanamu, lubaale, n'ebirala)
Verse 3 — Surah Al-Kafirun 109:3
Wadde namwe temusinza oyo gwe nsinza (ali omu mu bwa Katonda bwe)
Verse 4 — Surah Al-Kafirun 109:4
Era siri waakusinza ebyo bye musinza
Verse 5 — Surah Al-Kafirun 109:5
Era nammwe temuli baakusinza oyo gwensinza
Verse 6 — Surah Al-Kafirun 109:6
Mulina e nkola yammwe (ey'okusinza ba Katonda abangi, nange nnina enkola yange (ey'okusinza Katonda omu yekka)