Verse 1 — Surah Al-Baqarah 2:1
Alif-laam-miim
Verse 2 — Surah Al-Baqarah 2:2
Ekitabo ekyo (Kur'ani) tekiriimu kubuusabuusa, (kyassibwa ku Nabbi Muhammad) nga bulungamu eri abatya Katonda
Verse 3 — Surah Al-Baqarah 2:3
Abo abakkiriza ebitalabikako ne bayimirizaawo e sswala, era nga bagaba ku ebyo byetubagabirira
Verse 4 — Surah Al-Baqarah 2:4
Era b’ebo abakkiriza ebyakussibwako n'ebyo ebyassibwa ku babaka abaakusooka, era nga bakakasa olunaku lw'enkomerero
Verse 5 — Surah Al-Baqarah 2:5
Abo be bali ku bulungamu okuva eri omulezi waabwe (Katonda), era abo be b’okulokoka
Verse 6 — Surah Al-Baqarah 2:6
Mazima abo abatakkiriza (ebyo ebyassibwa ku Nabbi Muhammad) kyenkanankana gye bali, obatiisizza oba tobatiisizza ssi ba kukkiriza
Verse 7 — Surah Al-Baqarah 2:7
Katonda yazibikira emitima gyabwe n’okuwulira kwabwe, nga ne ku maaso gaabwe kuliko ekibikka. Era balina e bibonerezo ebinene
Verse 8 — Surah Al-Baqarah 2:8
Era waliwo abantu abamu abagamba nti tukkiriza Katonda n'olunaku lw’enkomerero so nga ssi bakkiriza (bannanfuusi)
Verse 9 — Surah Al-Baqarah 2:9
Bakwenyakwenya Katonda awamu n'abakkiriza so nga beekwenyakwenya bokka naye bambi tebakitegeera
Verse 10 — Surah Al-Baqarah 2:10
Balina obulwadde mu mitima gyabwe. Katonda n'abongera obulwadde, era balina n'ekibonerezo ekiruma olw'ebyo bye baalimbanga
Verse 11 — Surah Al-Baqarah 2:11
Bwe bagambibwa nti temwonoona mu nsi. Bagamba nti, mazima ddala ffe tuli bakozi ba bulungi
Verse 12 — Surah Al-Baqarah 2:12
So ng' ate mazima ddala bo be bonoonyi naye tebakitegeera
Verse 13 — Surah Al-Baqarah 2:13
Era bwebaba bagambiddwa nti mukkirize nga abantu (abalala) bwe bakkiriza. Baddamu nti, tukkirize nga ababuyabuya bwe bakkiriza? abange mazima ddala bo be babuyabuya naye tebamanyi
Verse 14 — Surah Al-Baqarah 2:14
Bwe basisinkana n'abakkiriza bagamba nti tukkirizza, bwe badda eri abakulembeze baabwe bagamba nti mazima ddala ffe tuli wamu nammwe. Mazima bali tubaguyaaguya buguyaaguya
Verse 15 — Surah Al-Baqarah 2:15
Katonda abaguyaaguya era n'abongerayo mu bubuze bwabwe nga babulubuuta
Verse 16 — Surah Al-Baqarah 2:16
Abo b'ebo abaagula obubuze mu bulungamu. Okusuubula kwabwe tekwakola magoba, era tebaali ba kulungama
Verse 17 — Surah Al-Baqarah 2:17
Ekifaananyi kyabwe (abannanfuusi) kiringa eky'omuntu eyakuma omuliro, bwe gwamulisa ebimwetoolodde, Katonda n'aggyawo e kitangaala kyabwe n'abaleka mu nzikiza, nga tebakyalaba
Verse 18 — Surah Al-Baqarah 2:18
Bakiggala, ba kassiru, ba muzibe, tebayinza kudda (ku kkubo ggolokofu)
Verse 19 — Surah Al-Baqarah 2:19
Oba e kifaananyi kyabwe kiringa eky'abantu abali mu nkuba etonnya ng'erimu e kizikiza e kikunidde nga mulimu n'okubwatuka, n'okumyansa, ne kibatuusa okussa ennwe zaabwe mu matu gaabwe olw'okutya okubwatuka nga batya okufa. Katonda yeetoolodde abakaafiiri
Verse 20 — Surah Al-Baqarah 2:20
Okumyansa (okwo) kubula okubaziba amaaso. Buli lwe kubamulisiza ne batambula, ate bwe kuzikira nebayimirira. Singa Katonda yayagala yandibaggyeeko okuwulira kwabwe, n'okulaba kwabwe. Mazima Katonda muyinza ku buli kintu
Verse 21 — Surah Al-Baqarah 2:21
Abange (mmwe) abantu musinze omulezi wa mmwe eyabatonda n'atonda n'abo abaabakulembera mulyoke mumutye mu ngeri eyannamaddala
Verse 22 — Surah Al-Baqarah 2:22
(Katonda) y'oyo eyabakolera e nsi nga kyaliiro n'abakolera e ggulu nga kasolya, era n'assa amazzi (e nkuba) okuva waggulu, n'ameza nago e bibala bibeere eby'okulya bya mmwe. Kale nno Katonda temumuteekangako e bintu e birala, ate nga mumanyi (nti ye yekka y'ateekwa okusinzibwa)
Verse 23 — Surah Al-Baqarah 2:23
Naye bwe muba mubuusabuusa mu bye twassa ku muddu waffe (Nabbi Muhammad), kale muleeteeyo E ssuula emu efaananako nga Kur'ani, muyite abajulizi ba mmwe (bemulowooza nti bayinza okubayamba) nga ssi Katonda, bwe muba nga muli b'amazima
Verse 24 — Surah Al-Baqarah 2:24
Bwe muba nga temukikoze, era nga temugenda kukikola, muteekwa mwerinde omuliro, nga enku zaagwo bantu n'amayinja, ogwategekerwa abawakanya amateeka ga Katonda
Verse 25 — Surah Al-Baqarah 2:25
Ate sanyusa abo abakkiriza ne bakola e mirimu e mirungi nti bajja kufuna e jjana ezikulukutiramu e migga. Buli lwe banaaweebwanga e kibala mu jjana banaagambanga nti ekyo kye twaweebwanga edda (nga tuli ku nsi), binabaweebwanga nga mundabika bifaanana nabiri ebyo ku nsi (naye nga mu buwoomi byanjawulo), era abasajja baliweebwa abakyala abaatukuzibwa, era ba kubeeramu lubeerera
Verse 26 — Surah Al-Baqarah 2:26
Mazima Katonda takwatibwa nsonyi kukuba kifaananyi newakubadde eky’ensiri n'ekintu ekirala ekigisingako. Bo abakkiriza bamanyira ddala nti ago ge mazima agava eri omulezi waabwe (Katonda), kyokka abagaana okukkiriza bagamba nti Katonda yagenderera ki mu kifaananyi kino! N'olwekyo aleka bangi ne babula olw'ekifaananyi kino so nga ate alungamya nakyo bangi. Wabula taleka muntu yenna kubula okugyako abo abamenya ebiragiro bye
Verse 27 — Surah Al-Baqarah 2:27
Abo abamenya e ndagaano ya Katonda oluvanyuma lw'okugikakasa, nebakutula ebyo Katonda bye yalagira okuyunga, era ne boonoona mu nsi, abo nno be b'okufaafaaganirwa
Verse 28 — Surah Al-Baqarah 2:28
Mugaana mutya okukkiriza Katonda nga temwaliwo n'abawa obulamu, oluvanyuma abatta, ate waakubazuukiza era nga gyali gye mugenda okudda
Verse 29 — Surah Al-Baqarah 2:29
Ye (Katonda) y'oyo eyabatondera byonna ebiri mu nsi, bwe yamaliriza n'alyoka azzaako e ggulu, n'alikola nga lya myaliiro musanvu. Katonda mumanyi wa buli kintu kyonna
Verse 30 — Surah Al-Baqarah 2:30
Jjukira Mukama (Katonda) wo bwe yagamba ba malayika nti mazima nja kuteeka mu nsi omusigire, ne bagamba nti, ogenda okugissaamu (omuntu) anaagyonooneramu n'ayiwa n'omusaayi, ng'ate ffe tukutendereza era nga tukugulumiza! Katonda (naddamu) n’abagamba nti nze mmanyi ebyo byemutamanyi
Verse 31 — Surah Al-Baqarah 2:31
(Katonda) N'ayigiriza Adamu amannya g'ebintu byonna oluvanyuma n'abiraga ba Malayika n'abagamba nti; mumbuulire amannya g'ebintu bino bwe mubeera nga mwogera mazima (Nti mwe musaanira okuba abasigire bange ku nsi)
Verse 32 — Surah Al-Baqarah 2:32
Nebagamba nga batendereza nti; oli wanjawulo, ffe tetulina kyetumanyi okugyako ekyo kyoba otuyigirizza. Mazima ggwe muyitirivu w'okumanya omuyitirivu wa magezi
Verse 33 — Surah Al-Baqarah 2:33
Katonda naagamba nti; kale Adamu babuulire amannya gaabyo. Bwe yamaliriza okubattottolera amannya gaabyo, Katonda kwe kubagamba nti, saabagambye nti mazima nze mmanyi ebikusike mu nsi ne mu ggulu, era nga mmanyi bye mwolesa n'ebyo bye mukweka
Verse 34 — Surah Al-Baqarah 2:34
Era jjukira bwe twagamba ba Malayika nti; muvunnamire Adamu. bonna ne bavunnama okugyako Ibliisu, yagaana ne yeekuluntaza n'abeera mu bawakanya Katonda
Verse 35 — Surah Al-Baqarah 2:35
Netugamba nti ggwe Adamu ne mukyalawo mubeere mu Jjanna, mulye mwegazaanye wonna wemwagalira. Naye temusembereranga omuti guno ne mubeera mu balyazamaanyi
Verse 36 — Surah Al-Baqarah 2:36
Sitaani n'abaseereza okuva mu jjana era naabaggya mu (birungi) bye baalimu. Netubagamba nti mukke wansi nga buli omu mulabe eri munne, era ku nsi gye mujja okubeeranga n'okweyagalira e bbanga eggere
Verse 37 — Surah Al-Baqarah 2:37
Oluvanyuma Adamu yayiga ebigambo by'okusaba okuva eri Katonda omulezi we (nga yeenenya), era Katonda nakkiriza okwenenya kwe. Mazima yye (Katonda) yakkiriza okwenenya, omusaasizi owookusaasira okwenjawulo
Verse 38 — Surah Al-Baqarah 2:38
Netugamba nti, kale mwenna mugifulume (e jjana). Buli lwonna obulungamu lwe bun'abajjiranga okuva gyendi, abo abaligoberera okulungamya kwange tebaliba na kutya era tebagenda kunakuwala
Verse 39 — Surah Al-Baqarah 2:39
Naye abo abaligaana okukkiriza ne balimbisa ebigambo byaffe be b'okuba mu muliro obugenderevu
Verse 40 — Surah Al-Baqarah 2:40
Abange abaana ba Israel, mujjukire (mwebaze) ebyengera byange bye nabagabira. Mutuukirize e ndagaano yange (ey'okunzikiriza n'okugondera amateeka gange), nja kutuukiriza e ndagaano yammwe (ey'okubayingiza e jjana). Era nze nzekka gwe muba mutya
Verse 41 — Surah Al-Baqarah 2:41
Era mukkirize ebyo bye nassa (ku Nabbi Muhammad) nga bikakasa ebyo bye mulina (Taurat) era temuba abasaale mu kubiwakanya. Era temutundanga ebigambo byange omuwendo omutono (olw’emigaso gy'ensi), era mutye nze nzekka
Verse 42 — Surah Al-Baqarah 2:42
Temutabulanga amazima n'ebitali bituufu, ne mukisa amazima nga mumanyi
Verse 43 — Surah Al-Baqarah 2:43
Muyimirizeewo e sswala, mutoole zzaka, era mukutame n'abo abakutama
Verse 44 — Surah Al-Baqarah 2:44
Mulagira mutya abantu okukola obulungi ne mwerabira emyoyo gyammwe, so nga ate mmwe musoma e kitabo (Taurat), abange temutegeera
Verse 45 — Surah Al-Baqarah 2:45
Mweyambise obugumiikiriza n'okusaala, wabula yo e sswala ekaluubirira nnyo abantu, okugyako abo abagondera Katonda
Verse 46 — Surah Al-Baqarah 2:46
Abo abakakasa nti bakusisinkana Omulezi waabwe (Katonda), era gyali gye bagenda okudda
Verse 47 — Surah Al-Baqarah 2:47
Abange abaana ba Israel, mujjukire ebyengera byange bye nabagabira ne mbasukkulumya ku bantu abalala bonna (olw'okubaggyamu ba Nnabbi abangi)
Verse 48 — Surah Al-Baqarah 2:48
Era mutye olunaku omuntu lwataligasa muntu mulala mu kintu kyonna, era lwatalikkirizibwa kuwolereza wadde okuwa e nnunuzi. Era abantu abo ssi bakutaasibwa
Verse 49 — Surah Al-Baqarah 2:49
Era mujjukire lwe twabawonya abantu ba Firaawo ababatuusangako e bibonyoobonyo e bikakali, nga basanjaga abaana ba mmwe aboobulenzi ne balekawo aboobuwala. Ekikolwa ekyo kyalimu ekigezo kinene nnyo ekyava eri Mukama wa mmwe (Katonda)
Verse 50 — Surah Al-Baqarah 2:50
Era mujjukire lwe twabakubira e kkubo mu nnyanja ne tubawonya, ate ne tuzikiriza abantu ba Firaawo nga nammwe mulaba
Verse 51 — Surah Al-Baqarah 2:51
Era mujjukire lwe twalagaanyisa Musa ebiro amakumi ana (tulyoke tumuwe e kitabo Taurat) wabula kye mwakola kwe kweteerawo ennyana (ne mugisinza) oluvanyuma lwa Musa okuvaawo, ne mubeera abalyazamaanyi
Verse 52 — Surah Al-Baqarah 2:52
Oluvanyuma lwebyo twabasonyiwa mulyoke mwebaze
Verse 53 — Surah Al-Baqarah 2:53
Era mujjukire lwe twawa Musa e kitabo (Taurat), ekyawula wakati w'obutuufu n'obukyamu mulyoke mulungame
Verse 54 — Surah Al-Baqarah 2:54
Era mujjukire Musa, lwe yagamba abantu be; abange (mmwe) abantu bange, mazima mweryazaamanyizza mwekka olwokusinza e nnyana. Nolw’ekyo mwenenyeze omutonzi wa mmwe. Mukutuukiriza ekyo mwette mwekka. Ekyo kye kirungi gye muli ew'omutonzi wa mmwe. Bwe mwakola ekyo Katonda kwe kubasonyiwa, mazima ddala ye, yakkiriza okwenenya era omusaasizi
Verse 55 — Surah Al-Baqarah 2:55
Era mujjukire lwe mwagamba Musa nti; owange Musa, tetujja kukkiriza byogamba okugyako nga tulabye Katonda yennyini (amangu ago) okubwatuka okwamaanyi ne kubajjira (ne mufa) nga mutangaaliridde
Verse 56 — Surah Al-Baqarah 2:56
Oluvanyuma lw'okufa kwa mmwe netubazuukiza, mulyoke mwebaze
Verse 57 — Surah Al-Baqarah 2:57
Era twabasiikiriza n'ebire, ne tubassiza e mmere eyitibwa Manna n'enva eziyitibwa Saluwa. (Ne tubagamba nti) mulye nga e birungi mu bintu bye twabagabirira. Naye (abajeemu mu bo) tebaalyazaamaanya ffe, wabula beeryazamaanya bokka
Verse 58 — Surah Al-Baqarah 2:58
Era mujjukire lwe twabagamba nti muyingire e kibuga kino, nga muli mu kyo, mulye wonna wemwagala nga mwegazaanya, era muyingire omulyango gwakyo nga muvunnama nga mugamba nti, twetonze, tubasonyiwe ebisobyo bya mmwe. Era tujja kwongeza abakozi b'ebirungi
Verse 59 — Surah Al-Baqarah 2:59
Abaajeema (mu bo) baakyusa e kigambo ekyabalagirwa (ne boogeramu kirala). Netussa ku abo abaajeema e kibonerezo ekyava waggulu olwebyo bye baakolanga ebyobujeemu
Verse 60 — Surah Al-Baqarah 2:60
Era mujjukire e kiseera Musa weyasabira Katonda, awe abantu be amazzi, netumugamba nti kuba omuggo gwo ku jjinja. (Bwe yagukubako) Nemufukumukamu e nsulo kkumi nabbiri . Buli kika (kya bayisirayiri) ne kimanya obunywero bwakyo. (Katonda nabagamba nti) Mulye, munywe mu bigabwa bya Katonda, temwewaggulanga mu nsi ne mubeera aboonoonyi
Verse 61 — Surah Al-Baqarah 2:61
Era mujjukkire lwe mwagamba Musa nti, tetujja kugumiikiriza mmere ya kika kimu kyokka. Tusabire Omuleziwo (Katonda) atumereze e bimera okuva mu ttaka nga; enkoolimbo, kyukamba, katungulukyumu, ddengu n'obutungulu. (Musa) kwe kugamba nti muwanyisa ebyawansi mu kifo ky'ebirungi. Mugende awantu wonna awasobola okulimwa olwo nno munaafuna ebyo bye musabye. Nebakakasibwako obuswavu n'obunaku, era ne bakakatwako obusungu bwa Katonda. Ekyo nno lwakuba baali bawakanya ebigambo bya Katonda, era nga batta ba Nnabbi awatali nsonga ntuufu. Baakola ebyo byonna olw'obujeemu nebaba nga baasukka e nsalo z'amateeka ga Katonda
Verse 62 — Surah Al-Baqarah 2:62
Mazima abo abakkiriza (Nabbi Muhammad) n'abo abaali ku ddiini y'ekiyudaaya, (ku mulembe gwayo), naabo abaali ku ddiini y’ekinaswara (ku mulembe gwayo), ne ba sswabi-ina (Abo abataasinza masanamu nga Nabbi Muhammad tannatumwa), yenna akkiriza Katonda n'olunaku lw'enkomerero era naakola e mirimu e mirungi, abo nno balina e mpeera zaabwe ew'omulezi waabwe era tewaliba kutya ku bo era tebagenda kunakuwala
Verse 63 — Surah Al-Baqarah 2:63
Era mujjukire (mmwe abaana ba Israel) lwe twabakozesa e ndagaano. Netuwanika waggulu wa mmwe olusozi (ne tubagamba nti) mukwate namaanyi ebyo byetubawadde (Taurat). Era mujjukire ebyo ebiri mu yo mulyoke mubeere abatya Katonda
Verse 64 — Surah Al-Baqarah 2:64
Oluvanyuma nemubikuba amabega singa tekyali kisa kya Katonda n'okusaasira kwe mwandibadde mu bafaafaaganiddwa
Verse 65 — Surah Al-Baqarah 2:65
Mazima mwamanya (ekyafaayo) kyabo abamu mu mmwe abaasukka ensalo nebavuba ku lunaku lwomukaaga. Netubagamba nti mufuuke enkobe, mubeere abanyoomebwa
Verse 66 — Surah Al-Baqarah 2:66
Netukifuula ekyokulabula eri abo abaaliwo n'abo abalijja oluvanyuma. Era netukifuula ekyokubuulirira eri abo abatya Katonda
Verse 67 — Surah Al-Baqarah 2:67
Era mujjukire Musa lwe yagamba abantu be nti; mazima Katonda abalagira musale ente. Nebaddamu nti; otufuula kyakujeeja bujeeja. Musa n'addamu nti; Nneekingiriza ne Katonda okubeera mu bantu abatategeera
Verse 68 — Surah Al-Baqarah 2:68
Abayudaaya nebagamba nti; tubuulize Mukamaawo atunnyonnyole ente eyo ya ngeri ki? Musa naagamba nti; mazima Katonda agamba nti; ente eyo eteekwa okuba nga si nkadde, ate nga si nto nnyo, eri wakati w'enkadde n'ento. Era muteekwa okukola ekyo kye mulagiddwa
Verse 69 — Surah Al-Baqarah 2:69
(Abayudaaya) ne bagamba nti; tubuulize Mukamaawo atunnyonnyole (ente eyo) ya langi ki? Naagamba nti; Katonda agamba nti ente eyo ya langi yalusanja ng’ennyikidde bulungi nnyo, nga esanyusa abalabi
Verse 70 — Surah Al-Baqarah 2:70
(Abayudaaya) nebagamba nti; tubuulize Mukamaawo atunnyonnyole nte ki eyo? Mazima ente zonna zezimu gye tuli. Era mazima ffe Katonda bwan'aba ayagadde, tujja kulungama
Verse 71 — Surah Al-Baqarah 2:71
(Musa) naagamba nti; (Katonda) agamba nti; erina kubeera nte etenyoomebwa, nga si nnimi era nga tefukirira nnimiro, nga nnamu bulungi, eteriimu bbala ddala lyonna. Nebagamba nti; kaakati otulaze amazima. Olwo ne balyoka basala ente, naye kaabula kata baleme okukikola
Verse 72 — Surah Al-Baqarah 2:72
Era mujjukire lwe mwatta omuntu, ensonga yokutemulwa kwe nemugikaayaniramu (ani yamusse). So nga ate Katonda yali wakuggyayo ebyo byemwali mukisizza
Verse 73 — Surah Al-Baqarah 2:73
Netugamba nti; mumukubeko ebimu ku bitundu by'ente. Bwatyo Katonda bwalizuukiza abafu, era bulijjo abalaga obubonero bwe, (obulaga obuyinza bwe) mulyoke mutegeere
Verse 74 — Surah Al-Baqarah 2:74
Oluvanyuma lw'ebyo emitima gyammwe gyakakanyala negiba ng'enjazi oba okusingawo mu bukakanyavu; anti enjazi ezimu zifukumukamu emigga, ne mubaamu ezeyasaamu ne zivaamu amazzi, n'ezimu ku zo zikka olwokutya Katonda. Era Katonda tagayaalirira byemukola
Verse 75 — Surah Al-Baqarah 2:75
Abaffe (abakkiriza) mwettanira (Abayudaaya) okuba nga bakkiriza eddiini yammwe, so nga ekiwayi ekimu mu bo bawulira ebigambo bya Katonda ne babikyusa oluvanyuma lw'okubitegeera. Kino nga bakikola mu bugenderevu
Verse 76 — Surah Al-Baqarah 2:76
(Abayudaya) bwebaasisinkananga abakkiriza nga bagamba nti tukkirizza. Kyokka bwebaba bokka na bokka, abamu bagamba bannaabwe nti muyinza mutya okubabuulira ebyo Katonda bye yababikkulira ate nga bajja kubasingisa nabyo omusango ewa mukama wa mmwe (Katonda), abaffe temutegeera
Verse 77 — Surah Al-Baqarah 2:77
Abaffe tebamanyi nti mazima Katonda amanyi ebyo byebakisa n'ebyo bye boolesa
Verse 78 — Surah Al-Baqarah 2:78
Era mu bo (Abayudaaya) mulimu abatasobola kusoma na kuwandiika, nga tebasobola kumanya biri mu kitabo (Taurat). Wabula babeera ku kwagala kwa mitima gyabwe. Era tebalina kyebaliko, okugyako bateebereza buteebereza
Verse 79 — Surah Al-Baqarah 2:79
Okubonaabona okwamaanyi kuli eri abo abawandiika ekitabo n'emikono gyabwe, bwebamala ne bagamba nti kino kivudde eri Katonda, nga kyebagenderera kuwaanyisaamu (byakufuna bya nsi) eby'omuwendo ogwa wansi. Bagenda kutuukwako okubonaabona olw'ebyo emikono gyabwe bye gyawandiika, ng'era bwe bagenda okutuukwako okubonaabona olw'ebyo bye baafunamu
Verse 80 — Surah Al-Baqarah 2:80
Era (Abayudaaya) baagamba nti, omuliro tegugenda kututuukako okugyako nnaku mbale. Bagambe; mwakola endagaano ne Katonda, Katonda alyoke abe nga tagenda ku gyawukanako? Oba mwogera ku Katonda bye mutamanyi
Verse 81 — Surah Al-Baqarah 2:81
Wabula omuntu bw'akola ekibi, ekyonoono kye ne kimumalawo; abantu abo baakuyingira omuliro era nga baakugutuulamu bugenderevu
Verse 82 — Surah Al-Baqarah 2:82
Ate bo abakkiriza ne bakola emirimu emirungi; abo be bookuyingira enyumba ey'emirembe; era bo baakutuulamu bugenderevu
Verse 83 — Surah Al-Baqarah 2:83
Era mujjukire lwe twakozesa abaana ba Israel endagaano nti; temusinzanga ekintu kyonna okugyako Katonda. Bo abazadde ababiri, n'abooluganda olw'okumpi, ne bamulekwa n'abanaku mubayisenga bulungi. Era mwogerenga bulungi n'abantu. Era muteekwa okuyimirizaawo e sswala, mutoole ne zzaka. Wabula (mu kifo ky'okukola ebyo) mwakyuka, okugyako batono mu mmwe ng'ate mu kukola ekyo mwali muva ku ndagaano
Verse 84 — Surah Al-Baqarah 2:84
Era mujjukire lwetwabakozesa endagaano nti temuuyiwenga musaayi gwa mmwe, wadde temwegobaganyenga mu mayumba. Endagaano gye mwakakasa, nga era mmwe mwennyini muli bajulizi
Verse 85 — Surah Al-Baqarah 2:85
Wabula ate mmwe mwennyini muttiηηana era nga mugobaganya abamu ku mmwe mu mayumba gabwe. Muyamba abamu ku bannammwe mu ngeri emenya amateeka, era mu ngeri y'obulumbaganyi. So nga ate abawambe bwebaba babajjidde mubanunula. Awamu n'okuba nga eky'okubagobaganya mu mayumba gabwe kyaziyizibwa. Abaffe ekitabo mukkirizaako kitundu ne muwakanya ekitundu ekirala? Kaakano kiki kyemusuubira okuba empeera y'omu mu mmwe akola ekikolwa ekyo, okugyako okuswazibwa mu bulamu obw'ensi ng'ate ne ku lunaku lw'enkomerero bagenda kuzzibwa eri ebibonerezo ebisinga okuba ebikakali. Katonda tasudde muguluka ebyo bye mukola
Verse 86 — Surah Al-Baqarah 2:86
Abo nno b'ebo obulamu bw'enkomerero ababugulamu obw'ensi, tebagenda kukenderezebwa ku bibonerezo wadde tebagenda kutaasibwa
Verse 87 — Surah Al-Baqarah 2:87
Mazima twawa Musa ekitabo (Tawuraat) netumugoberezaako ababaka olvannyuma lwe. Era netuwa Issa mutabani wa Mariamu obubonero obwolwatu netumuwagira ne mwoyo mutukuvu (Malayika Jiburilu). Abaffe, buli lwonna omubaka wa Katonda lw'abajjira n'ebyo byemutayagala ng'olwo mwekuluntaza! Abamu ku babaka mubalimbisa ate abalala nga mubatta
Verse 88 — Surah Al-Baqarah 2:88
Ne bagamba nti emitima gyaffe mizibikivu. Wabula Katonda yabagoba mu kusaasira kwe olw'obutakkiriza bwabwe. Nekiba nga bakkiriza kitono nnyo
Verse 89 — Surah Al-Baqarah 2:89
Ekitabo (Kur'ani) bwe kyabajjira okuva eri Katonda nga kikakasa bye baalina. Ate nga mu kusooka baali basaba Katonda abataase ku batakkiriza (abe nga abatumira Nabbi gwe baali balindirira). Wabula bwe yabajjira oyo gwe baali bamanyi, baamuwakanya. Ekikolimo kya Katonda kibeere ku batakkiriza
Verse 90 — Surah Al-Baqarah 2:90
Kibi nnyo ekyo kye baagulamu emyoyo gyabwe olw'obutakkiriza Katonda byeyassa nga kiva ku nsaalwa okuba nti Katonda assa obulungi (Obwannabbi) bwe ku oyo gw'aba ayagadde mu baddu be. Ekyo kyabatuusa ku kusunguwalirwa Katonda, nga kweyongera ku kusunguwalirwa okulala. Abatakkiriza balituusibwako ebibonerezo ebibakkakkanya nga bibaswaza
Verse 91 — Surah Al-Baqarah 2:91
Bwe baba bagambiddwa nti mukkirize ebyo Katonda byeyabassiza, bagamba nti tukkiriza ebyo ebyakkira ku ffe. Ate nga (Kur’ani) ge mazima agakakasa ebyo byebalina.Bagambe (gwe Nabbi Muhammad); lwaki mu kusooka mwattanga bannabbi ba Katonda bwe muba nga ddala muli bakkiriza
Verse 92 — Surah Al-Baqarah 2:92
Mazima Musa yabajjira n'obunnyonnnyofu wabula ate bweyavaawo okugenda (okunona amateeka) nemweteerawo ennyana nemugisinza. Mu kikolwa ekyo mwali balyazamaanyi
Verse 93 — Surah Al-Baqarah 2:93
Era mujjukire ekiseera lwe twabakozesa endagaano, nga tuwanise olusozi waggulu wa mmwe. Ne tubagamba nti, bye tubawadde mubikwate n'amaanyi era muwulire. Baayanukula nebagamba nti, tuwulidde ne tujeema. Emitima gyabwe gyabbikira mu kusinza ennyana olw'obutakkiriza bwabwe. Bagambe nti kibi nnyo enzikiriza yammwe ky'ebalagira bwe muba nga ddala muli bakkiriza
Verse 94 — Surah Al-Baqarah 2:94
Bagambe nti; Enyumba ey'enkomerero bw'eba nga yeeyawulidde mmwe mmwekka ewa Katonda so si abantu balala bonna, kale mwegombe okufa bwe muba nga muli bamazima (mu bye mwogera)
Verse 95 — Surah Al-Baqarah 2:95
Tebagenda kukwegombera ddala okusinzira ku ebyo bye baakola. Katonda amanyi nnyo abalyazamaanyi
Verse 96 — Surah Al-Baqarah 2:96
Era ddala ojja kubasanga nga be basinga abantu bonna okululunkanira okuwangaala. Mu kwagala okwo basukkuluma ne ku bagatta ebintu ebirala ku Katonda nga noomu ku bo yeegomba okuwangaala emyaka lukumi, so ng'ate eky'okuwangaala ebbanga eddene tekimuwonya bibonerezo. Katonda alaba byonna bye bakola
Verse 97 — Surah Al-Baqarah 2:97
Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad) nti omuntu awalana Jiburilu, (ateekwa amanye nti) mazima ye Jiburilu yakuleetera Kur'ani nga asinziira ku kiragiro kya Katonda, ng'ekakasa ebitabo ebyagikulembera era nga kyakulungamya na kusanyusa eri abakkiriza
Verse 98 — Surah Al-Baqarah 2:98
Omuntu abeera omulabe wa Katonda ne Ba malayika be, n'ababaka be, (nga mwe muli) Jiburilu ne Miika'ilu, mazima ddala Katonda naye mulabe wa batakkiriza
Verse 99 — Surah Al-Baqarah 2:99
Mazima twassa gy'oli ebigambo ebinnyonnyofu (Kur'ani) era tewali abijeemera okugyako aboonoonyi
Verse 100 — Surah Al-Baqarah 2:100
Abaffe buli lwonna (Abayudaaya) lwe banaakolanga endagaano, abamu ku bo banaagyaawukanangako? Wabula (ekyo) bakikola (kubanga) abasinga obungi mu bo tebakkiriza
Verse 101 — Surah Al-Baqarah 2:101
Era omubaka (Nabbi Muhammad) bwe yabajjira okuva eri Katonda nga akakasa ebyo bye baali balina. Ekiwayi ekimu ku abo abaaweebwa ekitabo (Taurat), baasuula muguluka ekitabo (Kur'ani) nga balinga abatamanyi
Verse 102 — Surah Al-Baqarah 2:102
Nebagoberera ebyo sitaani bye zaayogeranga (eby'eddogo) ku mulembe gw'obufuzi bwa Sulaimani (nga babalowoozesa nti Sulaimani lye yakozesanga), so ng'ate Sulaiman tajeemeranga Katonda (alyoke akozese eddogo) wabula sitaani ze zaajeemera Katonda nga ziyigiriza abantu eddogo n'ebyo ebyassibwa ku ba malayika ababiri e Babilooni, Haaruta ne Maaruta
Verse 103 — Surah Al-Baqarah 2:103
Wabula singa bakkiriza (Nabbi Muhammad) era ne batya Katonda, empeera ze baalifunye okuva eri Katonda zaalibadde nnungi gye bali (okusinga eby'eddogo) singa baali bamanyi
Verse 104 — Surah Al-Baqarah 2:104
Abange mmwe abakkiriza, temukozesanga ekigambo Raa'ina (nga mwogera ne Nabbi Muhammad) wabula mugambenga Undhuruna. Era mubeerenga bawulize. Bo abo abajeemu balina ebibonerezo ebiruma ennyo
Verse 105 — Surah Al-Baqarah 2:105
Abo abajeemu mu bagoberezi b'ebitabo ebyasooka, n'abo abagatta ku Katonda ebintu ebirala, tebaagalira ddala kalungi konna okuba nga kassibwa gye muli okuva eri Omulezi wa mmwe (Katonda). So ng'ate Katonda assa okusaasira kwe n'akwawulira oyo gw'aba ayagadde. Era Katonda ye nannyini byengera ebingi
Verse 106 — Surah Al-Baqarah 2:106
Buli aya yonna gyetusangulawo oba gyetukwerabiza, tuleetamu egisingako oba efaanana nga yo. Abaffe tomanyi nti mazima ddala Katonda muyinza ku buli kintu
Verse 107 — Surah Al-Baqarah 2:107
Abaffe tomanyi nti mazima ddala obufuzi bw'eggulu (omusanvu) n'ensi bwa Katonda, era nga temulinaayo mukuumi yenna wadde omutaasa atali ye
Verse 108 — Surah Al-Baqarah 2:108
Wabula mulabika mwagala kubuuza mubaka wa mmwe nga Musa bwe yabuuzibwa olubereberye. Omuntu awaanyisa obutakkiriza mu bukkiriza aba abuze okuva ku kkubo eggolokofu
Verse 109 — Surah Al-Baqarah 2:109
Bangi mu bantu abaaweebwa ekitabo baagala babakyuse oluvanyuma lwo bukkiriza bwa mmwe babafuule abatakkiriza olw'ensaalwa eri mu mitima gyabwe oluvanyuma lw'amazima okubeeyoleka. Kale (mmwe abasiraamu) musonyiwe era mulekere (abo abaaweebwa ekitabo) okutuusa Katonda lw'anaaleeta ekiragiro kye, mazima Katonda muyinza ku buli kintu
Verse 110 — Surah Al-Baqarah 2:110
Era muyimirizeewo e sswala, mutoole ne zzaka. Na buli kalungi konna kemwekolera mugenda kukasanga ewa Katonda. Mazima Katonda alaba mu bujjuvu ebyo bye mukola
Verse 111 — Surah Al-Baqarah 2:111
Era nebagamba (nga bakubagana empawa) nti teri agenda kuyingira jjana okugyako abali mu ddiini y'abayudaaya oba ey'abannaswara. Okwo nno kwe kusuubira kwabwe. Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad) nti, muleete obujulizi bwa mmwe bwe muba nga mwogera mazima
Verse 112 — Surah Al-Baqarah 2:112
Wabula ekituufu kiri nti omuntu eyeewaayo eri Katonda, era neyeeyisa bulungi, wakufuna empeeraye ew'omutonzi we. Abantu abo tebagenda kufuna kutya wadde okunakuwala
Verse 113 — Surah Al-Baqarah 2:113
Abayudaaya baagamba nti Abannaswara tebalina kyebaliko, n'abannaswara ne bagamba nti abayudaaya tebalina kyebaliko, so nga ate bonna basoma ekitabo. Bwe kityo n'abatamanyi kusoma nabo bwe bagamba, nga ekigambo kya bali. Katonda wa kulamula wakati waabwe ku lunaku lw’enkomerero ku ebyo byebaalinga baawukanamu
Verse 114 — Surah Al-Baqarah 2:114
Ani mulyazaamaanyi okusinga oyo aziyiza okutendereza erinnya lya Katonda mu mizikiti gye, ng'afuba okugyonoona. Tebasaana kugiyingira wabula nga bali mu kutya. Balina obuswavu mu nsi, nga ne ku lunaku lw'enkomerero bagenda kufuna ebibonerezo ebikakali
Verse 115 — Surah Al-Baqarah 2:115
Obuvanjuba n'obugwanjuba bya Katonda, kale yonna gyemuba mwolekedde nga musaala eyo y'eri ekibula kya Katonda, mazima Katonda mugazi mu ngeri zonna era mumanyi nnyo
Verse 116 — Surah Al-Baqarah 2:116
Bagamba nti Katonda alina omwana. Katonda ali wala nnyo n'ekyo. Wabula ebiri mu ggulu ne mu nsi byonna (bitonde bye) era bimugondera
Verse 117 — Surah Al-Baqarah 2:117
Yeyatandikawo eggulu n'ensi. Bw'aba asazeewo ensonga yonna agamba bugambi nti ba ne kiba
Verse 118 — Surah Al-Baqarah 2:118
N'abo abatalina kyebamanyi bagamba nti singa Katonda ayogera naffe butereevu, oba netuwebwa ekyamagero. Ekigambo ekyo n'abo abaabasooka baakyogera olwo nebafaanagana mu ndowooza zaabwe, so nga twannyonnyola obujulizi obw'olwatu obukakasa amazima g'ababaka be tutumye eri abantu abalina amagezi agafumiitiriza
Verse 119 — Surah Al-Baqarah 2:119
Mazima ffe twakutuma n'amazima nga oli musanyusa era omutiisa. Togenda kubuuzibwa ku bantu ba mu muliro
Verse 120 — Surah Al-Baqarah 2:120
Abayudaaya yadde abakulisitaayo tebagenda kukusiima okugyako nga ogoberedde enzikiriza yaabwe, bagambe nti mazima okulungamya kwa Katonda bwe bulungamu obwannamaddala. Singa onoogoberera bo bye baagala oluvanyuma lw'okumanya okukujjidde, togenda kufuna gweweesigamirako wadde omutaasa
Verse 121 — Surah Al-Baqarah 2:121
Abo betwawa ekitabo ne bakisoma mu utuufu bw'okukisoma, bo bakikkiriza, wabula abo abakiwakanya abo nno be 'okufaafaaganirwa
Verse 122 — Surah Al-Baqarah 2:122
Abange mmwe abaana ba Isirayiri, mujjukire ekyengera kyange kyennabawa era mazima ddala nabasukkulumya ku bantu abalala
Verse 123 — Surah Al-Baqarah 2:123
Era mutye n'olunaku omuntu lw'ataligasa muntu munne mu kintu kyonna, n' ennunuzi y'omuntu bw'eterikkirizibwa, wadde tewaliba kuwolereza kumugasa. Era nga tebagenda kutaasibwa
Verse 124 — Surah Al-Baqarah 2:124
Jjukira mu kiseera awo Katonda weyagezesa Ibrahim n'ebiragiro (Ibrahim) n'abituukiriza, (Katonda) n'amugamba nti mazima nkufudde omukulembeze w'abantu. (Ibrahim) naagamba nti; nsaba ne mu zzadde lyange muveemu abakulembeze. (Katonda) n'amugamba nti endagaano yange tetwaliramu balyazamaanyi
Verse 125 — Surah Al-Baqarah 2:125
Era jjukira ekiseera lwetwafuula e nyumba (Kaaba) okuba nga bwe buddo bw'abantu era ekifo eky'emirembe, era netubalagira nti; ekifo kya Ibrahim mu kifuule awasaalirwa. Era twalagira Ibrahim ne Ismail nti mube nga mutukuza e nyumba yange ku lw'abo abagyetooloola n'abagituulamu, n'abo abakutama ne bavunnama
Verse 126 — Surah Al-Baqarah 2:126
Era Jjukira ekiseera Ibrahim bweyagamba nti; ayi mukama omulezi wange (Katonda) ekibuga kino kifuule kya mirembe era ogabirire abantu baamu ebibala, buli anakkirizanga Katonda n'olunaku lw'enkomerero. (Katonda) naagamba nti n'aliba takkiriza (ηŋenda kumugabiriranga) mulindirizeeko akaseera katono oluvanyuma ηŋenda kumuzza eri ebibonerezo by'omuliro. Obwo nno buddo bubi ddala
Verse 127 — Surah Al-Baqarah 2:127
Era jjukira ekiseera Ibrahim ne Ismail bwe baasitula omusingi gw'enyumba (Kaaba) nga bagamba nti; ayi mukama omulezi waffe (Katonda) kkiriza omulimu gwaffe guno mazima ggwe oli muwulizi era mumanyi
Verse 128 — Surah Al-Baqarah 2:128
Ayi mukama omulezi waffe (Katonda), tufuule ffembiriri abeewaayo gyoli era ne mu zzadde lyaffe oggyemu abalyewaayo gy'oli, era otulage engeri gye tuteekwa okukolamu emirimu gyaffe (egya Hijja). Era tusonyiwe, mazima ggwe oli musonyiyi oweekisa
Verse 129 — Surah Al-Baqarah 2:129
Ayi mukama omulezi waffe (Katonda) batumire omubaka ng'ava mu bo ng'abasomera abigambo byo era ng'abayigiriza ekitabo n'ebintu ebyamagezi era abatukuze. Mazima ggwe wakitiibwa asinga okuba ow'amagezi
Verse 130 — Surah Al-Baqarah 2:130
Ani yaalyegombye okuva ku ddiini ya Ibrahim okugyako oyo eyeesiriwaza yekka. Ate nga (Ibrahim) twamuwa ekifo eky'enkizo mu nsi era mazima ddala ye ku lunaku lw'enkomerero wakubeera mu bakozi b'obulungi
Verse 131 — Surah Al-Baqarah 2:131
Era jjukira ekiseera omuleziwe (Katonda) lwe yamugambira nti; weeweeyo (siramuka). (Ibrahim) naagamba nti; neewaddeyo eri Katonda omulezi w'ebitonde
Verse 132 — Surah Al-Baqarah 2:132
Era Ibrahim (ekigambo kyo kwewaayo) yakiraamira abaana be, nga ne Yakuubu bwe yakiraamira ababe nti; baana bange mazima ddala mukama Katonda yabasiimira eddiini, kale nno okufa tekubatuukangako okugyako nga muli basiraamu
Verse 133 — Surah Al-Baqarah 2:133
Abaffe mmwe (abayudaaya) muyinza okugamba nti mwaliwo mu kiseera Yakuubu bwe yali agenda okufa, naagamba abaana be nti; kiki kyemulisinza oluvanyuma lwange? Ne bagamba nti; tugenda kusinza Katonda wo era Katonda wa bakadde bo, Ibrahim, Ismail ne Ishaak. Katonda omu yekka era nga tugenda kwewaayo gyali
Verse 134 — Surah Al-Baqarah 2:134
Omulembe ogwo gwayita, era gw'agenda n'ebyagwo, nga nammwe mukoze ebyammwe. Era temugenda kubuuzibwa kw'ebyo byebaakola
Verse 135 — Surah Al-Baqarah 2:135
Era (abayudaaya n'abakurisitaayo) baagamba nti; mubeere bayudaaya oba bakurisitaayo lwemunaaluηηama. Bagambe (gwe Nabbi Muhammad) nti; nedda tujja kugoberera ddiini ya Ibrahim eragira okusinza Katonda omu yekka, era (Ibrahim) tabangako mubagatta kintu kirala ku Katonda
Verse 136 — Surah Al-Baqarah 2:136
(Mwe abasiraamu) mugambe nti; tukkiriza Katonda, n'ebyassibwa gyetuli, n'ebyassibwa ku Ibrahim, ne Ismail, ne Ishaak, ne Yakuubu n'eri bazzukulu baabwe. N'ebyo ebyaweebwa Musa ne Issa na byonna ebyaweebwa bannabbi abalala nga biva eri mukama Katonda omulezi waabwe era tetubaawulayawulamu era nga naffe twewaddeyo gyali
Verse 137 — Surah Al-Baqarah 2:137
Bwe banakkiririza mu ebyo bye mukkiriza, olwo ban'aba baluηηamye. Naye bwe banaava ku nzikiriza eyo, mazima ddala bo bajja kubeera mu kuwalaaza mpaka. Era nga Katonda ajja kubakukolerako. Era ye (Katonda) awulira, era mumanyi
Verse 138 — Surah Al-Baqarah 2:138
(Obusiraamu) y'eddiini Katonda gyayagala munnyikiremu. Ate ani asinga Katonda okunnyikiza, era naffe oyo gwe tusinza
Verse 139 — Surah Al-Baqarah 2:139
Bagambe (gwe Nabbi Muhammad) nti; mutuwakanya ku bikwata ku Katonda. Ng'ate Katonda ye mulezi waffe era omulezi wa mmwe. Tukola emirimu gyaffe nga nammwe mukola egyammwe so ng'ate ffe tumusinza mu bumu bwe yekka
Verse 140 — Surah Al-Baqarah 2:140
Oba mugamba nti; ddala Ibrahim ne Ismail ne Ishaak ne Yakuubu ne bazzukulu baabwe baali bayudaaya oba bakurisitaayo. Bagambe (gwe Nabbi Muhammad) nti mmwe musinga okumanya, oba Katonda? Ani mubi okusinga akweka obujulizi bwalina obuva eri Katonda? Mukama Katonda bye mukola tabisudde muguluka
Verse 141 — Surah Al-Baqarah 2:141
Omulembe ogwo gwayita, era gwagenda n'ebyagwo, nga nammwe bwe mulina ebyammwe bye mukola era temugenda kubuuzibwa ku ebyo bye baakola. E jjuzu
Verse 142 — Surah Al-Baqarah 2:142
Ababuguyavu mu bantu bajja kugamba nti kiki ekyabaggya ku kibula kyabwe (Baitul-makdis) kyebaaliko, bagambe nti obuvanjuba n'obugwanjuba byonna bya Katonda. Aluŋŋamya gwaba ayagadde eri ekkubo eggolokofu
Verse 143 — Surah Al-Baqarah 2:143
Bwe tutyo twabafuula ekibiina eky'omumakkati, mube nga mwe muwa obujulizi ku bantu, nga ate mmwe omubaka (Nabbi Muhammad) y'abawaako obujulizi. Tetwateekawo ekibula kyewasooka okwolekera okugyako lwa kwagala kulaba abagoberezi b'omubaka abannamaddala obutafaanana n'abo abakyukira ku bisinziiro byabwe. Wabula kino kyali kinene nnyo okugyako ku abo Katonda beyaluŋŋamya. Era Katonda si wabutabala bukkiriza bwa mmwe. Mazima Katonda wakisa era musaasizi ku bantu
Verse 144 — Surah Al-Baqarah 2:144
Tulaba nga okyuka amaaso go nga otunula ku ggulu (gwe Muhammad ng'olinda obubaka ku nsonga y'ekibula). Tujja kukwolekeza ekibula ky'oyagala. Kale yolekeza amaaso go ku luuyi oluliko omuzikiti ogw'emizizo. Na buli wonna wemubeeranga muteekeddwa okwolekeza amaaso gammwe oluuyi lwo. Mu mazima abo abaaweebwa ekitabo bakimanyidde ddala nti bino ge mazima okuva eri Katonda waabwe. Ng'ate byonna byemukola tewali kibuuka Katonda
Verse 145 — Surah Al-Baqarah 2:145
Abo abaaweebwa ekitabo ne bwobaleetera obujulizi obufaanana butya tebagenda kugoberera kibula kyo, nga naawe bw'otali mugoberezi wa kibula kyabwe. So nga n'abamu mu bo tebagoberera kibula ky'abalala. Kale nno singa onoogoberera bo bye baagala oluvanyuma lw'okumanya kw'ofunye, mazima ddala ggwe ojja kuba ogenze mu luse lw'abantu abalyazamaanyi
Verse 146 — Surah Al-Baqarah 2:146
Abo betwawa ekitabo bakimanyi bulungi nga bwe bamanyi abaana baabwe. Wabula ekibinja mu bo bakwekera ddala amazima ng'ate bamanyi
Verse 147 — Surah Al-Baqarah 2:147
Gano ge mazima agava eri Katonda wo. Tobeereranga ddala n'omulundi n'ogumu mu abo ababuusabuusa
Verse 148 — Surah Al-Baqarah 2:148
Buli bantu balina oludda lweboolekera. Kale (mmwe abakkiriza) muvuganye mu kukola ebirungi. Yonna gye muliba mwenna, Katonda agenda kubaleeta. Mazima Katonda muyinza ku buli kintu kyonna
Verse 149 — Surah Al-Baqarah 2:149
Na buli wonna wonoogendanga yolekeza obwanga bwo oluuyi oluliko omuzikiti ogw'emizizo. Era ddala gano ge mazima okuva eri Katonda wo. Ng'ate byonna byemukola tewali kibuuka Katonda
Verse 150 — Surah Al-Baqarah 2:150
Na buli wonna won'abanga ogenze yolekeza ekyenyikyo oluuyi oluliko omuzikiti ogw'emizizo. Na buli wonna wemunaabeeranga mwolekezenga ebyenyi byammwe oluuyi olwo, waleme kubaawo nsonga yonna bantu gyebeekwasa okugyako abo abalyazamaanyi mu bo. Temubatya, nze (Katonda) gwemuba mutya. Olwonno mbajjulize ebyengera byange, nammwe kibabeerere ensonga y'okulungama
Verse 151 — Surah Al-Baqarah 2:151
Kino kiringa bwe twabatumira omubaka ng'ava mu mmwe n'abeera ng'abasomera ebigambo byaffe, era nga abatukuza, era nga abayigiriza ekitabo n'abayigiriza n'okunnyonnyola, n'abayigiriza n'ebintu ebirala bye mwali temumanyi
Verse 152 — Surah Al-Baqarah 2:152
Kale nno munzijukire nga munjogerako. Nja kubajjukira. Era munneebaze, temunjeemeranga
Verse 153 — Surah Al-Baqarah 2:153
Abange mmwe abakkiriza mwekwate ku bugumiikiriza n'esswala ku lw'okubanga mazima Katonda ali wamu na baguminkiriza
Verse 154 — Surah Al-Baqarah 2:154
Era temwogeranga kwabo abattibwa mu kkubo lya Katonda mbu bafu. Go amazima baba balamu naye mmwe mutategeera (bulamu bwabwe)
Verse 155 — Surah Al-Baqarah 2:155
Era ddala tujja kubagezesa, mu bintu nga okutya, enjala, okukendeera kw'ebyenfuna n'okufa kwa bantu, n'okukendeera kwe bibala. Wabula sanyusa abagumiikiriza
Verse 156 — Surah Al-Baqarah 2:156
Abo b'ebo bwe baba nga batuukiddwako obuzibu bwonna bagamba (nti) mazima ffe twava eri Katonda era ddala tuli bakudda gy'ali
Verse 157 — Surah Al-Baqarah 2:157
Abo nno balina okusonyiyibwa n'okusaasirwa okuva eri mukama Katonda waabwe, era abo be baluŋŋamu
Verse 158 — Surah Al-Baqarah 2:158
Mazima akasozi Swaffa n'akasozi Maruwa bubalibwa mu bifo ebisinzibwamu mukama Katonda. Kale nno omuntu aba azze okwetooloola e nyumba ya Katonda (Kaaba) oba ng'azze kukola mikolo gya Umura tasaanye kutya kudduka wakati wobusozi bwombiriri. N'omuntu okukola obulungi mu ngeri ya kyeyagalire, (mumanye nti) Katonda asiima nnyo era mumanyi nnyo
Verse 159 — Surah Al-Baqarah 2:159
Mazima abo abakweka ebyo byetwassa nga obujulizi era nga obulungamu oluvanyuma nga tumaze okubinnyonnyola abantu mu kitabo kyabwe. Abo nno Katonda abakolimira n'abakolimi bonna ne babakolimira
Verse 160 — Surah Al-Baqarah 2:160
Okugyako abo abeenenya ne balongoosa, nebannyonnyola ebyo (bye baakweka). Abonno, nzikiriza okwenenya kwabwe ate nze muyitirivu w'okukkiriza okwenenya era omuyitirivu w'okusaasira
Verse 161 — Surah Al-Baqarah 2:161
Mazima abo abaakaafuwala ne bafiira ku bukaafiiri; Abo baliko ekikolimo okuva ewa Katonda n'okuva eri ba malayika n'abantu bonna
Verse 162 — Surah Al-Baqarah 2:162
(Abantu abo) Baakubeera mu muliro obugenderevu, tebagenda kukendeerezebwa ku bibonerezo ng'era bwebatagenda kulindirizibwa (kubonerezebwa)
Verse 163 — Surah Al-Baqarah 2:163
Mazima Katonda wa mmwe ali omu, tewali kisinzibwa kyonna okugyako ye omusaasizi omuyitirivu wokusaasira aliba n'okusaasira okwenjawulo (ku lunaku lw'enkomerero)
Verse 164 — Surah Al-Baqarah 2:164
Mazima mu kutonda eggulu ery'emiko omusanvu ne nsi, n'okukyukakyuka kw'ekiro n'emisana, n'amaato agatambulira ku nnnyanja nga geetisse ebintu ebigasa abantu, n'amazzi Katonda gassa okuva wa ggulu, n'alamusa nago ensi oluvanyuma lw'okuba nga efudde, nassa mu nsi buli kiramu ekigiriko, n'okutambuza empewo era n'ebire, ebyateekebwa wakati w'eggulu ne nsi. (Ebyo byonna) bubonero obulaga okubaawo kwa Katonda n'obuyinza bwe eri abantu abategeera
Verse 165 — Surah Al-Baqarah 2:165
Naye mu bantu mulimu abaleka Katonda, nebeeteerawo ebintu ebirala nebasinza ebyo, ne babyagala nga bwe baaliyagadde Katonda. So nga bo abakkiriza baagala nnyo Katonda waabwe (omu) (nga okwagala kwabwe kuli ku ye yekka). Singa abagatta ebintu ebirala ku Katonda baali basobola okulaba ebibonerezo lwebirituuka, baalibadde bamanya nti Katonda wa maanyi nnyo era nga bwe baalibadde bamanya nti ddala Katonda muyitirivu wakubonereza
Verse 166 — Surah Al-Baqarah 2:166
Mu kiseera abaagobererwa webalyegaanira abaabagobereranga era ne baliraba ku bibonerezo, n'ensonga ezaabagattanga ne zikutukawo
Verse 167 — Surah Al-Baqarah 2:167
Abaagobereranga bagenda kugamba nti; singa tubadde baakudda ku nsi naffe netubeegaana nga bwe batwegaanyi. Bwatyo Katonda agenda kubalaga okufaafaagana kw'emirimu gyabwe (gyebaakolanga ku nsi) era si bakuva mu muliro
Verse 168 — Surah Al-Baqarah 2:168
Abange mmwe abantu mulye ebiri mu nsi ebyakkirizibwa ebirungi, era temugobereranga amakubo ga sitaani anti ye mulabe wa mmwe wa lwatu
Verse 169 — Surah Al-Baqarah 2:169
Mazima sitaani abalagira kukola bibi, na by'abugwenyufu, n'okwogera ku Katonda ebyo bye mutamanyi
Verse 170 — Surah Al-Baqarah 2:170
Bwebaba nga bagambiddwa nti mugoberere ebyo Katonda bye yassa (ku Nabbi Muhammad) baddamu nga bagamba nti; ffe tugoberera ebyo byetwasanga ne bakadde baffe. Abaffe ne bwebabanga bakadde baabwe baalinga tebategeera kintu kyonna era nga tebaali baluŋŋamu
Verse 171 — Surah Al-Baqarah 2:171
Ekifaananyi ky'abantu abo abatakkiriza n'oyo abakoowoola okujja eri obukkiriza kiringa omulunzi akoowoola ensoloze ne zijja gy'ali naye nga tezitegeera ky'aziyitira wabula okuwulira amaloboozi n'okukoowoolwa. (Abatakkiriza abo) Bakiggala, bakassiru, bamuzibe, tebagenda kutegeera kintu kyonna
Verse 172 — Surah Al-Baqarah 2:172
Abange mmwe abakkiriza mulye ebirungi mu ebyo byetwabawa era mwebaze Katonda bwe muba nga ddala ye, yekka gwemusinza
Verse 173 — Surah Al-Baqarah 2:173
Mazima ddala (Katonda) yabagaana okulya ennyamanfu, n'omusaayi, n'ennyama y'embizzi, na buli kyonna ekisalibwa ku lw'ekintu ekirala ekitali Katonda. Wabula omuntu abeera mu buzibu nga si lwabujeemu, era n'atasukka kyetaago kye, oyo nno talina musango (bw'aba aliddeko). Mazima Katonda musonyiyi, musaasizi
Verse 174 — Surah Al-Baqarah 2:174
Mazima abo abakweka ebyo Katonda bye yassa mu kitabo nebabiwanyisaamu eby'okufuna ebitono, abo nno buli kyebalya guba muliro mumbuto zaabwe era Katonda tagenda kwogera nabo ku lunaku lw’enkomerero era nga bwatagenda ku batukuza. Era bagenda kussibwako ebibonerezo ebiruma
Verse 175 — Surah Al-Baqarah 2:175
Abo nno b'ebo abaawaanyisa obubuze mu bulungamu. N'okubonerezebwa mu kifo ky'okusonyiyibwa. Baliggyawa obuvumu obugumira omuliro
Verse 176 — Surah Al-Baqarah 2:176
Ekyo kiriba bwekityo kubanga Katonda yassa ekitabo nga kiraga amazima. Naye nno abo abatakkaanya ku biri mu kitabo okwawukana kwabwe kuli wala nnyo n'ebyo ebikirimu
Verse 177 — Surah Al-Baqarah 2:177
Obulungi obubalibwa eri Katonda, tebwemalidde mu kwolekera kwa mmwe ebuvanjuba oba ebugwanjuba, wabula obulungi ye muntu okukkiriza Katonda n'olunaku lw’enkomerero, ne ba malayika n'ekitabo (Kur’ani) ne bannabi bonna, n'omuntu okuba nga awaayo ebyobugaggabwe (mu kkubo lya Katonda) awamu n'okuba nga abyagala, nga abiwa abooluganda olwokumpi ne bamulekwa n'abanaku n'abatambuze abalemereddwa mu ŋŋendo zaabwe, n'abasabirizi n'abaagala okwenunula okuva mu buwambe. Era n'ayimirizaawo e sswala, n'atoola ne zzaka mu by'obugaggabwe. N abo abatuukiriza endagaano zaabwe bwebaba nga balagaanyisizza, n'abagumiikiriza mu buzibu, obubenje ne mu biseera bye ntalo. Abo nno be bakkiriza okukkiriza okwannamaddala, era abo bo be batya Katonda
Verse 178 — Surah Al-Baqarah 2:178
Abange mmwe abakkiriza mulaalikiddwako nti ekibonerezo ky'oyo aba atemudde kumutta; omwana waboowo attibwa olw'okutta omwana wabobwe, n'omuddu attibwa olw'okutta muddu munne, n'omukazi attibwa ku lwokutta mukazi munne. Asse, bannannyini mufu bwe baba bamusonyiye ekintu kyonna, ababanja bateekwa okubanja mu ngeri nnungi, n'abasasula basasule mu ngeri y'emu. Okwo kwe kuwewula n'okusaasira, ebyava eri Katonda wa mmwe. (Oluvanyuma lw'okusasula) oyo alumba n'atta eyasonyiyiddwa naye ateekwa okuweebwa ekibonerezo ekiruma nga ky'akuttibwa (awatali kusonyiyibwa oba okuwa engassi)
Verse 179 — Surah Al-Baqarah 2:179
Okuwa abatemu ekibonerezo ky'okufa mwemuli obulamu bwa mmwe, abange mmwe abalina amagezi, mulyoke mutye Katonda
Verse 180 — Surah Al-Baqarah 2:180
Mulaalikiddwako singa (kirabika nti) omu ku mmwe atuuse okufa n'aba nga aleseewo ebintu, ateekwa okulaamira bazaddebe bombi n'aboolugandalwe olw'okumpi nga akikola mu ngeri ennungi. Ekyo kikakafu ku batya Katonda
Verse 181 — Surah Al-Baqarah 2:181
Wabula omuntu akyusa ekiraamo, nga amaze okukiwulira; mazima ddala ekibi ky'okukikyusa kiri kwabo abakikyusa kubanga Katonda muwulizi nnyo, era mumanyi nnyo
Verse 182 — Surah Al-Baqarah 2:182
Naye omuntu bweyeekengera mu mulaami okwekubiira oba okukola ekikyamu, ye nalongoosa wakati waabwe (abalaamirwa) oyo tayina kibi. Mazima Katonda musonyiyi, musaasizi
Verse 183 — Surah Al-Baqarah 2:183
Abange mmwe abakkiriza mulaalikiddwa okusiiba nga bwe kwalaalikibwa kw'abo abaabakulembera mulyoke mutye Katonda
Verse 184 — Surah Al-Baqarah 2:184
Nga musiiba ennaku mbale bubazi, naye oyo an'abanga omulwadde mu mmwe, oba ng'ali ku lugendo, (akkirizibwa obutasiiba) ennaku ezo azisiibe mu nnaku endala. Bo abo abasiiba nga bazitoowererwa (bayinza obutasiiba) nebawa omutango nga baliisa abanaku. Bulijjo omuntu bw'akola ekirungi ekisinga kw'ekyo kyalagiddwa okukola, kye kirungi gyali. Wabula singa musiiba kiba kirungi gyemuli bwe muba nga mumanyi
Verse 185 — Surah Al-Baqarah 2:185
(Ekiseera ekibalaalikiddwako okusiiba gwe) mwezi gwa Ramadhan, Kur'ani mwe yakkira. Nga (Kur'ani) kya kulungamya eri abantu. Era nga mulimu obujulizi obunnyonnyola obulungamu era nga mulimu okulaga enjawulo wakati w'amazima n'obulimba. N'olwekyo omuntu abeerangawo ng'omwezi gwa Ramadhan gutuuse ateekwa okugusiiba. Naye oyo asangibwa nga mulwadde, oba ng'ali ku lugendo ennaku ezo azibale azisiibe mu kiseera ekirala. Bulijjo Katonda abaagaliza bwangu so si kubakaluubiriza. Kale nno mujjuze ennaku (ze mwalya mu Ramadhan) era mutendereze Katonda olw'okubaluŋŋamya, olwo mubeere abeebaza
Verse 186 — Surah Al-Baqarah 2:186
Abaddu bange bwe baba bakumbuuzizzaako bagambe nti mazima ndi kumpi, nnyanukula okusaba kw'omusabi wonna wansabira. Wabula bateekwa bannyanukule (nga bagondera ebiragiro byange) era banzikirize balyoke batuuke ku bulungamu
Verse 187 — Surah Al-Baqarah 2:187
Mukkirizibwa mu kiro ky'okusiiba okukiika eri bakyala ba mmwe, abakyala abo byambalo byammwe nga nammwe bwemuli ebyambalo by'abwe. Katonda amanyi nti mazima ddala mmwe mubadde mwebbirira, Katonda kwekukkiriza okwenenya kwa mmwe era n'abasonyiwa. Kaakati mugende gyebali era mukole ekyo Katonda kye yabakkiriza. Mulye era munywe okutuusizza ddala ewuzi enjeru (nga kye kitangaala) bwenebeeyolekera okuva mu wuzi enzirugavu (nga ye nzikiza) ng'okwo kwe kusala kw'emmambya. Olwo nno musiibe okutuusa obudde okuziba. Temukiikanga gye bali nga mutudde Itikaafu mu mizigiti. Ezo z'ensalosalo za Katonda, temuzisembereranga. Bwatyo nno Katonda bw'annyonnyola amateekage eri abantu balyoke bamutye
Verse 188 — Surah Al-Baqarah 2:188
Temulyanga emmaali yammwe mu bulyazaamaanyi mu nkolagana wakati wa mmwe, ne mutuuka n'okugitwala eri abafuzi musobole okulya ekitundu ku bintu by'abantu mu kibi, ate nga mumanyi
Verse 189 — Surah Al-Baqarah 2:189
Bakubuuza (ggwe Nabbi Muhammad) ku nkyukakyuka y'omwezi, bagambe nti ebyo bya bantu kumanyirako biseera ne Hijja. Obuntubulamu si kuyingira mayumba gammwe nga muyita mmanju, wabula obuntubulamu ye muntu okutya Katonda. Era amayumba mugayite miryango, era mutye Katonda musobole okubeera mu balirokoka
Verse 190 — Surah Al-Baqarah 2:190
Mulwane mu kkubo lya Katonda nga mulwanyisa abo ababa babalwanyisizza. Wabula temusosonkerezanga, mazima Katonda tayagala balumbaganyi
Verse 191 — Surah Al-Baqarah 2:191
Mubattenga wonna wemubanga mu basanze, era mubaggye mu bifo ebyo bye babaggyamu kubanga bulijjo effitina mbi nnyo okusinga okutta. Temubalwanyisizanga mu muzigiti ogw'emizizo okugyako nga babalwanyisizzaamu, bwe baba babalwanyisizza nammwe mubalwanyise; empeera y'abatakkiriza bw'etyo bwebeera
Verse 192 — Surah Al-Baqarah 2:192
Bwe baba beekomyeko mazima Katonda musonyiyi, musaasizi
Verse 193 — Surah Al-Baqarah 2:193
Mubalwanyise waleme kubaawo misanvu gyonna, olwo nno okusinza kwonna kube kwa Katonda yekka. Naye bwe baba beekomyeko olwo nno tewasaanye kubaawo bulabe okugyako ku balyazamaanyi
Verse 194 — Surah Al-Baqarah 2:194
Omwezi ogw'emizizo guba gwa mizizo ku buli luuyi. Omuntu atyoboola ebifo eby'emizizo aweebwa ekibonerezo ekigya mu kikolwa ky'aba akoze. Kale nno omuntu abalumbaganye mu mwolekeze obwanga nga bw'aba azze. Mutye Katonda era mumanye nti mazima ddala Katonda ali wamu n'abamutya
Verse 195 — Surah Al-Baqarah 2:195
Era muweeyo mu kkubo lya Katonda temwesuulanga mmwe mwennyini mu kuzikirira, era mukole ebirungi, kubanga mazima ddala Katonda ayagala abakozi b'ebirungi
Verse 196 — Surah Al-Baqarah 2:196
Mukole Hijja ne Umra mubujjuvu kulwa Katonda naye bwe mulemesebwanga, buli muntu ateekwa okuwaayo ekirabo ky'aba asobola, wabula temumwanga mitwe gyammwe okutuusa ekirabo nga kituuse mu kifo kyakyo. Naye oyo an'abanga omulwadde mu mmwe oba ng'alina ekizibu ekirala ku mutwe gwe oyo ateekeddwa okutoola omutango ng'asiiba oba awaayo saddaaka oba okusala ekisolo. Naye bwe mun'abanga mu mirembe, oyo yenna anaakozesanga omukisa gw'okukulembeza Umra ku Hijja atekeddwa okuwaayo ekirabo ky'aba asobodde, naye oyo an'abanga takirina ateekeddwa okusiiba ennaku ssatu ng'akyali mu Hijja nendala musanvu nga muzzeeyo, eryo nno lyekkumi eryekutte. Ebyo biba bityo ku oyo amakaage nga tegali wali muzigiti gw'emizizo (Makkah). Mutye Katonda, era mumanye nti mazima ddala Katonda alina ebibonerezo ebikakali
Verse 197 — Surah Al-Baqarah 2:197
Hijja erina emyezi egimanyiddwa, kale nno omuntu eyeekakasangako nti mu myezi egyo ajja kukoleramu Hijja, tasaana kukola bya bufumbo, eby'obwonoonyi, wadde okuwakana ng'ali mu mikolo gya Hijja. Buli kirungi kyonna kyemukola Katonda akimanyi. Era muteekeddwa okwesibirira entanda. Nentanda esinga obulungi kwe kutya Katonda. Kale nno muntye mmwe abalina amagezi agasengejja
Verse 198 — Surah Al-Baqarah 2:198
Temulina kibi bwe muba nga munonyezza ku bigabwa bya Katonda wa mmwe, bwe muvanga mu Arafa mutendereze Katonda mu kifo ekyemizizo (Muzidalifah). Era mu mutendereze, anti yabaluŋŋamya newakubadde nga mu kusooka mwali mu babuze
Verse 199 — Surah Al-Baqarah 2:199
Mu kuva awo muyite mu kkubo abantu abalala webayita era mwegayirire Katonda, mazima Katonda musonyiyi, musaasizi
Verse 200 — Surah Al-Baqarah 2:200
Bwe mumaliriza emikolo gyammwe (egya Hijja), mw'ogerenga ku Katonda nga bwe mwogera ku bakadde ba mmwe, sinakindi n'okusingawo. Mu bantu mulimu abasaba nga bagamba; Mukama Katonda waffe tuwe ebirungi by'ensi n'aba nga talina mugabo gwonna gw'asabye mu by'enkomerero
Verse 201 — Surah Al-Baqarah 2:201
Naye ate mubo mulimu abasaba nga bagamba; Mukama Katonda waffe tuwe obulungi ku nsi, ne ku nkomerero otuwe obulungi, otuwonye ebibonerezo by'omuliro
Verse 202 — Surah Al-Baqarah 2:202
Abo nno be balina omugabo mu bye baba bakoze, era Katonda mwangu nnyo mu kubala
Verse 203 — Surah Al-Baqarah 2:203
Mutendereze Katonda mu nnaku embale, omuntu anaayanguwanga n'avaayo mu nnaku bbiri talina nsobi. N'oyo alinda n'amalayo (ennaku ssatu) talina nsobi. Ekyo ky'oyo atya Katonda. Mutye Katonda era mu manye nti mugenda kukuŋŋanyizibwa mudde gy'ali
Verse 204 — Surah Al-Baqarah 2:204
Mu bantu mulimu omuntu nga ebigambo bye bikusanyusa mu bulamu obw'ensi era nga ajuliza Katonda kw'ekyo ekiri mu mutima gwe, so nga ye mulabe asingira ddala (eri obusiraamu n'abasiraamu)
Verse 205 — Surah Al-Baqarah 2:205
Bw'ava awo assa amaanyi mu kusaasanya obwonoonefu mu nsi, era n'azikiriza ebirime n'ebisolo, ngate Katonda tayagala bwonoonefu
Verse 206 — Surah Al-Baqarah 2:206
(Omuntu oyo y'omu) bwebamugamba nti tya Katonda, amawaggalige gamwongera okwonooneka. Omuliro Jahannama kye kifokye. Ekyo nno kifo kibi nnyo
Verse 207 — Surah Al-Baqarah 2:207
Era mu bantu mulimu oyo eyeewaayo nga anoonya okusiima kwa Katonda; (Bulijjo) Katonda musaasizi nnyo eri abaddube
Verse 208 — Surah Al-Baqarah 2:208
Abange mmwe abakkiriza, muyingire mu busiraamu muggweeremu. Temugobereranga makubo ga sitaani, mazima ye mulabe wa mmwe owoolwatu
Verse 209 — Surah Al-Baqarah 2:209
Kemunaaseerera oluvanyuma lw'okujjirwa obunnyonnyofu, mumanye nti Katonda wa buyinza, naye nga buli ky'akola akikola lwa nsonga
Verse 210 — Surah Al-Baqarah 2:210
Tebalina kye balinda, mpozzi nga balinda Katonda kubajjira ngali mu bisiikirize by'ebire ne ba malayika bajje. So nga ate (ebyo webiribeererawo) ebintu by'ensi byonna biriba bimaze okukoma, era eri Katonda y'eri obuddo bw'ebintu byonna
Verse 211 — Surah Al-Baqarah 2:211
Buuza abaana ba Yisirayiri nti, obujulizi obunnyonnyofu bumeka bwennabawa. Naye nno omuntu akyusa ekyengera kya Katonda nga amaze okukifuna, mazima ddala Katonda ebibonerezobye byamaanyi
Verse 212 — Surah Al-Baqarah 2:212
Abatakkiriza banyumirwa nnyo obulamu bw'ensi, era bajeeja abakkiriza; wabula abatya Katonda bagenda kubabeera waggulu ku lunaku lw’enkomerero. Katonda agabira gwaba ayagadde awatali kubalirira
Verse 213 — Surah Al-Baqarah 2:213
Abantu baali bumu (naye olw'ensonga emu oba endala nebaawukana) Katonda kwe kutuma ba nnabbi nga balanga essanyu (eri abo abakkiriza nebakola emirimu emirungi) era nga batiisa (ebibonerezo ebirituuka ku bajeemu). Katonda nabassaako obubaka obujjudde amazima alyoke abe ngalamula abantu mwe byo bye bayawukanamu. Naye tewali bayawukana mu bubaka okugyako abo bennyini abaabuweebwa, era nga mu kujja kw'obubaka obwo baali baafuna obunnyonnyofu. Ekyo kyali bwe kityo olw'obujeemu bwabwe. Katonda kwe kulungamya abo abakkiriza ku lw'ekisakye eri amazima ago, bali gebaayawukanamu. Era bulijjo Katonda aluŋŋamya gwaba ayagadde eri ekkubo eggolokofu
Verse 214 — Surah Al-Baqarah 2:214
Oba musuubira okuyingira e jjana nga temutuukiddwako ebyo ebyatuuka ku baabakulembera! Baatuukibwako ebizibu n'okubonaabona, era nebakankanyizibwa okutuusa omubaka n'abakkiriza abaali awamu naye nebagamba nti Katonda atutaasa ddi? Naye, okutaasa kwa Katonda kuba kumpi
Verse 215 — Surah Al-Baqarah 2:215
Bakubuuza biki bye baba bawaayo. Bagambe nti buli kyonna kyemuwaayo mu birungi kiweebwa abazadde ababiri, abooluganda, bamulekwa, abeetaavu nabatambuze. Era (mukimanye) buli kalungi konna kemukola mazima ddala Katonda akamanyi
Verse 216 — Surah Al-Baqarah 2:216
Mulaalikiddwako okulwana (mu kkubo lya Katonda) awamu nokuba nga temwandikyagadde. Naye, muyinza obutayagala kintu nga ate kye kirungi gy'emuli, nga bwemuyinza okwagala ekintu naye nga kibi gy'emuli; anti Katonda amanyi ate nga mmwe temumanyi
Verse 217 — Surah Al-Baqarah 2:217
Bakubuuza ku nsonga y'okulwanira mu mwezi ogw'emizizo. Bagambe nti okugulwaniramu kibi kinene, wabula okulemesa abantu okukola emirimu gya Katonda n'okumujeemera n'okulemesa abantu okutuuka ku muzikiti ogw'emizizo n'okugobaganya abantu baamu, bye bisinga obubi mu maaso ga Katonda. Kubanga (bulijjo) effitina mbi nnyo okusinga okutta
Verse 218 — Surah Al-Baqarah 2:218
Era bulijjo bajja kubalwanyisanga okutuusa lweban'abajja ku ddiini yammwe, singa bakisobola. Naye oyo gwekanaatanda mu mmwe naava ku ddiiniye n'atuuka okufa nga mukaafiiri; abo nno bayonoonekerwa emirimu gyabwe ku nsi ne ku nkomerero, era abo be bagenda okutuula mu muliro era baakugubeeramu bugenderevu. Mazima ddala abo abakkiriza era abaasenguka ne balafuubana mu kkubo lya Katonda; abo nno be basuubira okusaasira kwa Katonda. Era Katonda musonyiyi, musaasizi
Verse 219 — Surah Al-Baqarah 2:219
Bakubuuza ebikwata ku mwenge ne zzaala, bagambe nti mu by'ombiriri mulimu ekibi kinene, nga bwe mulimu emigaso eri abantu. Naye ekibi kyabyo kye kinene okusinga emigaso egibirimu. Ate era bakubuuza nti baweeyo kigero ki mu mmaali zaabwe, bagambe nti mugabenga ekyo ekiba kifisse ku byetaago byammwe. Bwatyo nno Katonda bwa bannyonnyola amateekage mulyoke mufumitirize
Verse 220 — Surah Al-Baqarah 2:220
(Musobole okutegeera) ebikwata ku bulamu buno obw'okunsi n'obwoluvanyuma. Era bakubuuza ku bikwata ku bamulekwa, bagambe nti okubakolera ebyabwe nga byetongoredde kirungi, naye singa mubigatta n'ebyammwe anti baganda ba mmwe, era Katonda amanyi omwonoonyi n'omukozi w'obulungi. Singa Katonda yayagala yandibakaluubirizza. Mazima Katonda wa maanyi wa magezi
Verse 221 — Surah Al-Baqarah 2:221
Temuwasanga abagatta ku Katonda ebintu ebirala okutuusa lwe bakkiriza. Omuzaana omukkiriza ye mulungi okusinga oyo agatta ku Katonda ebintu ebirala newakubadde nga gwe mwandyagadde. Era temufumbizanga bawala ba mmwe eri abo abagatta ku Katonda ebintu ebirala okutuusa lwe basiramuka. Omuddu omukkiriza ye mulungi okusinga oyo agatta ku Katonda ebintu ebirala newakubadde nga gwe mwandyagadde. (Mumbeera zaabwe zonna) bakoowoola abantu nga babazza eri omuliro, so nga ate Katonda abakoowoola kubazza eri jjana n'ekisonyiwo okusinziira ku kwagala kwe, era annyonnyola abantu ebigambo bye balyoke basobole okwekuba mu kifuba
Verse 222 — Surah Al-Baqarah 2:222
Era bakubuuza ebikwata ku kusuulumba, bagambe nti kyo kyabulabe, kale nno mwesambe abakyala nga bali mu kusuulumba, era temubasemberera okutuusa lwe batukula, olwo nno bwe beetukuza mugende gye bali nga muyita mu kkubo eryo Katonda lye yabalagira. Mazima ddala bulijjo Katonda ayagala abeenenya era nga bw'ayagala abeetukuza
Verse 223 — Surah Al-Baqarah 2:223
Bakyala ba mmwe nnimiro zammwe musobola okugenda mu nnimiro zammwe nga muyita wonna wemuba mwagadde era bulijjo mwetegekere (nga mukola emirimu emirungi) era mutye Katonda mumanye nti mazima ddala mugenda kumusisinkana, era sanyusa abakkiriza
Verse 224 — Surah Al-Baqarah 2:224
Temufuulanga erinnya lya Katonda ekyekwaso eky'obutamenyawo birayiro byammwe, nemutuuka obuteeyisa bulungi n'obutatya Katonda nemutuuka n'obutasobola kulongoosa wakati w'abantu. Bulijjo Katonda awulira era mumanyi nnyo
Verse 225 — Surah Al-Baqarah 2:225
Katonda tabavunaana mu kulayira kwa mmwe okw'olusaago, wabula abavunaana ebyo emitima gyammwe gyebikakasizza, bulijjo Katonda musonyiyi waakisa
Verse 226 — Surah Al-Baqarah 2:226
Abo ababa beetemye engalike nti tebagenda kuddayo kulabagana na bakyala baabwe baweebwa ebbanga lya emyezi ena, bwe baddira bakyala baabwe mu myezi egyo mazima ddala Katonda musonyiyi musaasizi
Verse 227 — Surah Al-Baqarah 2:227
Naye bwe baba baguggubidde ku ky'okuta bakyala baabwe, mazima ddala Katonda awulira, amanyi nnyo
Verse 228 — Surah Al-Baqarah 2:228
Abakyala abaweereddwa talaka bateekeddwa okumala ebbanga lya ntukula ssatu era tebakkirizibwa kukweka ekyo Katonda kyaba atonze mu nnabaana waabwe bwe baba ddala nga bakkiriza Katonda n'olunaku lw’enkomerero. Era (mu kiseera ekyo) ba bbaabwe be balina okubaddira. Ekyo nno bwe baba nga bagenderera kulongoosa. Abakyala abo bateekeddwa okuweebwa nga ekyo nabo kyebateekeddwa okuwaayo mu ngeri ennungi, naye nga abasajja babalinako enkizo. Anti Katonda y'asinga okuba ow'obuyinza era nga bwa singa okuba ow'amagezi
Verse 229 — Surah Al-Baqarah 2:229
Okuta omukyala (nga omwami aweebwa omukisa okumuddira) kibaawo emirundi ebiri. Mu kiseera ekyo omwami ayinza okusalawo okuddira mukyalawe mu mwoyo mulungi, oba okumuta mu ngeri ennungi. Era temukkirizibwa kujja ku bakyala ba mmwe (be mutadde) kintu kyonna kwebyo bye mwabawa okugyako nga beekengedde obutatuukiriza mateeka ga Katonda mu bufumbo. Kati bwekiba nga mutidde (mwe abatabaganya) nti abafumbo bombi tebajja kusobola kutuukiriza mateeka ga Katonda mu bufumbo, tebalina musango gwonna mu kutwala ekyo omukyala kyaba yeenunula nakyo. Ago ge mateeka ga Katonda temugasukkanga. Oyo yenna amenya amateeka ga Katonda; abo nno be balyazamaanyi
Verse 230 — Surah Al-Baqarah 2:230
Naye omusajja bwaba atadde mukyalawe (talaka ey'okusatu) aba takyakkirizibwa kumuddira mu bufumbo oluvanyuma lwa taraka eyo okugyako nga amaze okufumbirwa omusajja omulala. Omusajja oyo omulala bw'aba amutadde tewaba musango okuddingana (N'oli eyasooka okumuta enta essatu) kasita basuubira nti bombi banaatuukiriza amateeka g'obufumbo. Ago nno gemateeka ga Katonda agannyonnyola abantu abategeera
Verse 231 — Surah Al-Baqarah 2:231
Bwe muba mutadde abakyala (etali Talaka esembayo) ebbanga lyebalina okutuula neliggwaako (mwe ababayinako obuyinza) temubalemesanga okuddamu okwewoowa nebabbaabwe kavuna baba bakkaanyizza mu ngeri e nnnungi (mukole ekimu kubibiri) okubaddira mu bufumbo mu ngeri e nnungi oba okwawukana nabo mu ngeri y'ekintukiramu. Temubaddiranga olw'okubalumya nga mumenya amateeka g'obufumbo. Omuntu akola ekyo aba yeereetedde yekka obuzibu. Temufuula amateeka ga Katonda ag'olusaago. Mujjukire ekyengera kya Katonda kye yabawa n'ebyo byeyabassiza mu Kur’ani ne mu njigiriza (ya Nabbi Muhammad) ebyo by'ababuulirira nabyo. Mutye Katonda mumanye nti buli kintu kyonna kyemukola akimanyi
Verse 232 — Surah Al-Baqarah 2:232
Bwe muba nga mutadde abakyala ebbanga lyabwe lyebatuula nga tebannafumbirwa (Idda) ne liggwaako temubagaananga okudda eri ba bbaabwe bwebaba bakkirizigannyiza mu ngeri ennungi. Etteka eryo libuulirwa oyo yenna akkiriza Katonda n'olunaku lw'enkomerero. Ekyo nno kyekisinga okuba ekyensa n'obutukuvu gyemuli. Katonda y'asinga okumanya (ekirimu omugaso gyemuli) naye mmwe temumanyi
Verse 233 — Surah Al-Baqarah 2:233
Abazadde (abakyala) balina okuyonsa abaana baabwe emyaka ebiri egijjudde, eri abo ababa baagadde okuyonsa okujjuvu. Kikakata ku ba taata b'abaana okubalabirira n'okubambaza mu ngeri esaana, omuntu taakakibwenga ky'atasobola. N'omukyala taayisibwenga bubi olw'omwana gw'ayonsa. Wadde kitaawe w'omwana naye tasaanidde kuyisibwa bubi olw'omwanawe. N'oyo aba asikidde taata wa baana ayisibwa mu ngeri y'emu. Bwebaba nga bakkiriziganyizza bombi okuggya omwana ku mabeere nga bayise mu kuteesa olwo tewaba namusango gwonna. Bwe muba mwagadde omukyala omulala okubayonseza omwana temulina musango gwonna kasita muba nga muwaddeyo ebyo byemukkiriziganyizzaako mu ngeri ennungi. Era mutye Katonda, era mumanye nti mazima Katonda alaba byonna bye mukola
Verse 234 — Surah Al-Baqarah 2:234
Ate abo ababa bafudde mu mmwe nebaleka abakyala bateekwa okwekuuma nga tebanaddamu kufumbirwa ebbanga lya myezi ena ne nnaku kumi. Bweriba nga ebbanga eryo liweddeko, temulina musango mwekyo kyebaba bakoze mu by'okwewunda (n'okukkkiriza abaagala okubawoowa) mu ngeri y'ekintukiramu (etemenya mateeka gabusiraamu). Katonda mumanyi nnyo ku byemukola
Verse 235 — Surah Al-Baqarah 2:235
Era temulina musango olw'ekyo kyemuba mukoze nga temwatudde nga mugenderera okwogereza abakyala (abo) oba kyemuba mukwese mu mitima gyammwe. Katonda amanyi nti mujja kwogera nabo (kunsonga y'okubawasa) naye temubalagaanyisanga mukyama mu ngeri yaakukukuta, okugyako nga mubagamba ebigambo ebirungi. Temwetantalanga kukola ndagaano y'abufumbo n'abakyala abo (abali mu Idda) okutuusa ebbanga (lya Idda) nga liweddeko. Era musaana mumanye nti mazima Katonda amanyi ebiri mu myoyo gyammwe. Mumwegendereze awamu n'ekyo mumanye nti muyitirivu waakusonyiwa era waakisa kingi
Verse 236 — Surah Al-Baqarah 2:236
Temulina musango singa muta bakyala ba mmwe nga temunneegatta nabo wadde nga temunnabagerekera mahare. Naye muteekwa okubasibirira. Omugagga asibirira ekigya mu mbeeraye n’omufuna mpola asibirira ekimugyamu. Okusibirira kubeera mu ngeri ya buntu bulamu. Ekyo kikakafu ku bakozi b'obulungi
Verse 237 — Surah Al-Baqarah 2:237
Wabula bwe muba nga mubatadde nga temunnaba kwegatta nabo naye nga mwabagerekera amahare, mubawe kitundu kyago, okugyako nga abakyala abo bagasonyiye oba nga asonyiye oyo alina obuyinza okukakasa endagaano y'obufumbo (omusajja). Naye bwe muba nga musonyiye, ekyo kye kisinga okuba okumpi n'okutya Katonda. Temwerabiranga enkolagana ennungi ebadde wakati wa mmwe. Mazima Katonda alaba ebyo byonna byemukola
Verse 238 — Surah Al-Baqarah 2:238
Munyiikirire nnyo e sswala zonna ettaano, naddala e sswala y'omumakkati; muyimirire mu maaso ga Katonda nga muli bakkakkamu
Verse 239 — Surah Al-Baqarah 2:239
Wabula bwe muba nga mutidde (omulabe) musaale nga mutambula oba nga mwebagadde. Wabula bwekuba nga okutya kuvuddewo mutendereze Katonda (nga musaala) nga bweyabayigiriza ebyo byemwali temumanyi
Verse 240 — Surah Al-Baqarah 2:240
Abo abatuukwako okufa mu mmwe nebaba nga balese abakyala, Katonda alagira nti abakyala abo bateekwa okulabirirwa omwaka mulamba awatali kubagobaganya mu mayumba g'aba bbaabwe. Wabula bwe bagavaamu kyeyagalire olwo nno muba temukyalina buvunaanyizibwa kw'ekyo kyebaba bakoze mu kwekolako nga beenyiriza. Bulijjo Katonda wa maanyi, ate nga agoba nsonga
Verse 241 — Surah Al-Baqarah 2:241
(Mu ngeri y'emu) n'abakyala ababa batalakiddwa bateekeddwa okusibirirwa mu ngeri ennungi. Ekyo kikakafu kwabo abatya Katonda
Verse 242 — Surah Al-Baqarah 2:242
Bwatyo nno Katonda bw'abannyonnyola ebigambo bye mulyooke mutegeere
Verse 243 — Surah Al-Baqarah 2:243
Tolaba abo abadduka mu mayumba gaabwe nga baali nkumi nankumi nga batya okufa, Katonda n'abagamba nti kale mufe, oluvanyuma n'abazuukiza. Mazima Katonda agabirira nnyo abantu, naye abantu abasinga obungi tebeebaza
Verse 244 — Surah Al-Baqarah 2:244
Mulwane mu kkubo lya Katonda era mumanye nti mazima ddala Katonda awulira era muyitirivu wa kumanya
Verse 245 — Surah Al-Baqarah 2:245
Ani oyo awola Katonda okuwola okulungi alyoke abe nga akumubalizaamu emirundi emingi. Era Katonda y'afunza era n'agaziya (enfuna y’omuntu) so nga era gyali gye mulizzibwa
Verse 246 — Surah Al-Baqarah 2:246
Tolaba abakungu mu baana ba Israel abaaliwo oluvanyuma lwa Musa bwe baatuuka okugamba nabbi waabwe nti tuteerewo kabaka (atukulembere) tusobole okulwana mu kkubo lya Katonda. (Nabbi) naabagamba nti ‘kyemugamba nti singa mulalikiddwako okulwana nga muli ne kabaka oyo temuugaane kulwana?’ Nebagamba nti ‘Ate lwaki tetulwana mu kkubo lya Katonda nga twagobaganyizibwa dda ffe n’abaana baffe okuva munsi yaffe? Wabula bwebaalaalikibwako okulwana baakyuka okuva ku bigambo byabwe okugyako batono mubo. Wabula nga bulijjo Katonda amanyi abalyazaamanyi
Verse 247 — Surah Al-Baqarah 2:247
Nabbi waabwe kwekubaanukula nti mazima Katonda alonze Twaluta okuba kabaka wamwe. Bo kwekugamba nti ayinza atya okuba kabaka waffe songa ffe tusaanira obw’akabaka okumusinga, ng'era teyaweebwa bugazi bwa byanfuna. (Nabbi waabwe) n'abagamba nti Mukama Katonda amulonze mu mmwe era n'amwongera obugazi mu kumanya ne mu mubiri. Era Katonda awa obufuzi bwe oyo gwaba ayagadde. Era Katonda mugazi era mumanyi
Verse 248 — Surah Al-Baqarah 2:248
Nabbi waabwe n'abagamba nti mazima akabonero akakakasa obw’akabaka bwe kwekuba nti mujja kujjirwa essanduuke ng'erimu obutebenkevu okuva eri Mukama Katonda wa mmwe. Era nga mulimu ebyasigalawo kw'ebyo abantu ba Musa () n’abantu ba Haruna () bye baaleka (Essanduuko eyo) ejja kuba esituddwa ba malayika. Mazima ekyo nno ddala kirimu obujulizi gyemuli, bwe muba ddala nga muli bakkiriza
Verse 249 — Surah Al-Baqarah 2:249
Twaluta bweyatandika okutambula n’eggye yabagamba nti (okugenda tugenda naye mukimanye) Mazima ddala Katonda ajja kubagezesa nga akozesa omugga. Oyo yenna anaagunywako ajja kuba takyali wamuggye lyange. Naye oyo ataagekatankire oyo nno yewange ddala, mpozzi omuntu asobola okusenayo olusena lumu n’olubatulwe. Bonna baaganywa okugyako batono mubo. Bweyamala okugusomoka wamu n'abakkiriza abaali naye, nebagamba nti olwaleero luno tetuyinza kusobola Jjaluuta n'eggye lye. Bo abaakakasa nti bagenda kusisinkana Katonda kwe kugamba nti bimeka ebibiina ebitono ku lw'obuyinza bwa Katonda ebiwangula ebibiina eby'abantu abangi, era bulijjo Katonda abeera wamu n'abagumiikiriza
Verse 250 — Surah Al-Baqarah 2:250
Bwebaayolekaganya obwanga ne Jaaluuta n'eggye lye nebagamba nti, Ayi Katonda waffe tuwe obugumiikiriza otunyweze, era otutaase ku bantu abakaafiiri
Verse 251 — Surah Al-Baqarah 2:251
Ku lw'obuyinza bwa Katonda baabawangula. Dauda natta Jaaluuta era Katonda naamuwa obufuzi n'amagezi era nga bweyamuwa okumanya ebyo byeyayagala amanye. Singa tekyali nti Katonda aggyawo abantu nga akozesa abamu okugyawo bannaabwe, ensi yandiyonoonese. Naye mazima ddala Katonda ebitondebye abyagaliza bulungi
Verse 252 — Surah Al-Baqarah 2:252
Ebyo nno bigambo bya Katonda bye tukusomera ebyamazima, era mazima ddala ggwe (Nabbi Muhamadi) oli mu luse lw'abatume
Verse 253 — Surah Al-Baqarah 2:253
Abo ababaka twasukkulumya abamu ku bannaabwe, abamu ku bo Katonda yayogera nabo, nabalala naabasukkulumya mu madaala. Isa mutabani wa Mariam twamuwa obujulizi obwenkukunala era netumuwagira ne mwoyo mutukuvu (Jiburilu), Singa Katonda yayagala abaaliwo mu mirembe egyaddako tebandirwanaganye oluvanyuma lwobunnyonnyofu okubajjira naye baayawukana, abamu mu bo bakkiriza naabalala nebajeema, era singa Katonda yayagala tebandirwanaganye, wabula mazima Katonda akola ekyo kyaba ayagadde
Verse 254 — Surah Al-Baqarah 2:254
Abange mwe abakkiriza muweeyo kwebyo byetwabagabira, nga olunaku okutaliba kutunda wadde omukwano oba okuwolereza terunatuuka, naye Abakafiiri bebalyazamanyi (olwobutagondera mateeka g’a Katonda)
Verse 255 — Surah Al-Baqarah 2:255
Katonda yekka, ateekwa okusinzibwa, yooyo omulamu obulamu obwolubeerera nga yeyimirizaawo yekka awatali kwetaaga buyambi bwonna, takwatibwa kusumagira wadde otulo, nannyini wa byonna ebiri mu ggulu ne mu nsi, tewali agenda kwetantala kuwolereza (munne) ewa Katonda okugyako nga amukkirizza, Katonda amanyi ebyo ebiri mumaaso gaabwe n'emabega wabwe ate bo tebasobola kumanya mubujjuvu kintu kyonna mwebyo byamanyi okugyako kyaba ayagadde, entebe ye ngazi okumalayo eggulu ne nsi, so nga ate eggulu ne nsi okubikuuma byombi tekimukaluubirira. Era ye yaasinga okuba owa waggulu, ow'ekitiibwa e kisuffu
Verse 256 — Surah Al-Baqarah 2:256
Tewali kuwaliriza bantu kuyingira mu ddiini anti obulungamu bweyolese okuva ku bubuze, oyo yenna awakanya Sitane nakkiriza Katonda aba yeekutte ku muguwa omugumu ogutakutuka, bulijjo Katonda awulira era amanyi byonna
Verse 257 — Surah Al-Baqarah 2:257
Katonda yemweyimirize wa bakkiriza, abaggya mu bizikiza naabazza eri ekitangaala, bo abakafiiri, ebintu bya Sitane ye mweyimirize waabwe, bibaggya mu kitangaala nebibazza mu nzikiza, abo be bantu b'omu muliro b'akugutuulamu olubeerera
Verse 258 — Surah Al-Baqarah 2:258
Tolaba oyo eyawakana ne Ibrahim ku bwomu bwa Katonda we, olwokuba nno bambi Katonda yamuwa obufuzi ekyamuletera okwekuluntaza, Ibrahim bweyamugamba nti Katonda wange yooyo awa obulamu era natta, ye naddamu nti nze mpa obulamu era nenzita, Ibrahim naagamba nti mazima Katonda enjuba agiggya buvanjuba kale ggwe giggye ebugwanjuba. Awo nno omuwakanyi oyo ebigambo nebimuggwako anti bulijjo Katonda talungamya bantu beeyisa bubi
Verse 259 — Surah Al-Baqarah 2:259
Oba twala ekyokulabirako kyoyo eyayita ku kyalo nga obusolya bwakyo buguddemu naagamba nti ekyalo kino Katonda agenda kukizzaawo atya nga kyafa dda! Katonda naamutta okumala emyaka kikumi oluvanyuma naamuzuukiza naamugamba nti omaze bbanga ki nga ofudde? Naamuddamu nti maze olunaku lumu oba ekitundu kyalwo, naamugamba nti nedda omaze emyaka kikumi, Ggwe tolaba emmere yo n'ebyokunywa byo tebyonoonese!!! Ate tunula ku ndogoyi yo (eweddeko ennyama neeba magumba meerere), nga ekigendererwa tukufuule ekyokulabirako eri abantu. Tunuulira olabe amagumba ge ndogoyi yo nga bwetugayunga olwo nno netugambaza ennyama, bweyamala okulaba nga bwegutyo bweguli naagamba nti kaakano nkitegedde Katonda asobola okukola buli kintu
Verse 260 — Surah Al-Baqarah 2:260
Jjukira ekiseera Ibrahim weyagambira nti, Ayi Katonda wange ndaga engeri gyolizuukizaamu abafu, Katonda naagamba nti tokkirizanga! Ibrahim naagamba nti nakkiriza naye ekyo nkisaba lwakwongera mutima gwange kumatira, Katonda naamugamba nti kwata ebinyonyi bina obitwale obisale, obitemeteme bwomala ku buli lusozi oteekeko ekifi kimu, oluvanyuma obikoowoole bijja kuggya gyoli mubwangu, bulijjo kiteekwa okumanyibwa nti mazima Katonda nantakubwa ku mukono ate mugoba nsonga
Verse 261 — Surah Al-Baqarah 2:261
Abo, abawaayo ebimu ku bintu byabwe mu kubo lya Katonda, bafaananako omuntu asiga empeke emu emera n'eweeka ebirimba musanvu nga buli kirimba kiriko empeke kikumi, bulijjo Katonda ayongeza ebigabwabye eri oyo gwaba ayagadde, anti bulijjo Katonda mugazi mu mbeera ze zonna ate nga muyitirivu wa kumanya
Verse 262 — Surah Al-Baqarah 2:262
Abo abawaayo e mmaali mu kkubo lya Katonda ate kyebawaddeyo nebatakigoberezaako kulaalaasa oba ebinyiiza, abo bagenda kufuna e mpeera yaabwe ewa Katonda waabwe, era tebagenda kuba nakutya kwonna mu maaso ga Katonda era nga tebagenda kunakuwala
Verse 263 — Surah Al-Baqarah 2:263
Ekigambo akyobuntu bulamu n'obutayogerera bubi musabi kirungi okusinga saddaaka egoberezebwako ebigambo ebitasanyusa, bulijjo Katonda ssi mwetaavu (era) ow'ekisa ekingi
Verse 264 — Surah Al-Baqarah 2:264
Abange mmwe abakkiriza temwonoonanga saddaaka zammwe kulwokuziraalasa n’okuzigoberezaako ebigambo ebinyiiza gamba nga omuntu awaayo emmaali ye olwabantu okumulaba naye nga takkiriza Katonda n'olunaku lw’enkomerero, omuntu oyo alinga olwaazi oluliko ettaka namuttikwa w'enkuba naalutonnyako naaluleka nga lukalu, nabwekityo abantu abakola kulwabandabe byonna byebakola bifuumuuka nebaba nga tebabifunamu mpeera mumaaso g’a Katonda bwatyo nno Katonda talungamya bantu bajeemu
Verse 265 — Surah Al-Baqarah 2:265
Kyo ekifaananyi kyabo abawaayo emmaali yaabwe nga banoonya kusiima kwa Katonda n'okusinziira ku kukkiriza kwabwe Katonda okwa namaddala, baba nga ennimiro eri ku ttaka eggimu neetonnyebwamu namutikwa wenkuba ebibala byayo nebyebazaamu emirundi ebiri nebweba tefunye namutikwa wa nkuba waakiri olufuuyirize. Bulijjo Katonda alabira ddala byonna byemukola
Verse 266 — Surah Al-Baqarah 2:266
Abaffe omu ku mmwe yandyagadde okubeera nennimiro eyeemitende nemizabibu nga emigga gikulukutira wansi waayo ngalina mu yo buli kika kyabibala, obukadde nebumutuukako ate nga alina abaana abakyali abato, kibuyaga nga alimu n'omuliro naagikuba neggya neggwawo, bwatyo nno Katonda bwabannyonyola ebigambo ebigasa musobole okwefumiitiriza
Verse 267 — Surah Al-Baqarah 2:267
Abange mmwe abakkiriza muweeyo ku birungi byemuba mukoze ne mwebyo byetubaggira wansi mu ttaka, temulondangamu ebibi mu byo mube nga byemuwaayo, so singa biba biweereddwa mmwe temwandibitutte okugyako nga mwefudde abatalaba (nemumala gabitwala) era musaana mukimanye nti mazima Katonda talina bwetaavu eri kintu kyonna era yaatenderezebwa
Verse 268 — Surah Al-Baqarah 2:268
Obukodo n'okwagala okuwaayo ebitali birungi nga ye saddaaka, Sitane y'ebibassaamu, anti yyo Sitane ebatiisa obwavu neebalagira okukola ebibi so nga Katonda abalagaanyisa kisonyiwo okuva gyali nakubawa birungi, bulijjo Katonda mugazi nnyo mubyagaba mumanyi nnyo
Verse 269 — Surah Al-Baqarah 2:269
Katonda awa okutegeera ensonga, oyo gwaba ayagadde era oyo aba aweereddwa okutegeera ensonga aba aweereddwa ebirungi ebiyitirivu. Tewali bayinza kwegasa nakino okugyako abalina amagezi agakola ennyo
Verse 270 — Surah Al-Baqarah 2:270
(Muteekwa mukimanye nti ) buli kyonna kyemuba muwaddeyo oba naziri yonna gyemuba mwetemye mazima Katonda abimanyi. Abeeyisa obubi nebatatuukiriza kyebateekwa kukola, tebagenda kufuna abataasa ku Katonda
Verse 271 — Surah Al-Baqarah 2:271
Saddaaka bwemuziwa mu lwatu kiba kirungi naye ate bwe muba muzikisizza (nemuziwa abaavu) mukyama kyekisinga obulungi, era ekyo kibasonyiyisa ebibi byammwe, bulijjo Katonda amanyi nnyo byemukola
Verse 272 — Surah Al-Baqarah 2:272
(Ebyo ebyogeddwa waggulu bimala okumatiza omuntu) Ssi ggwe ovunaanyizibwa ku kulungama kwaabwe, wabula Katonda alungamya oyo gwaba ayagadde, buli kirungi kyemuwaayo kigasa mmwe, (nga abakkiriza) buli kyonna kyemuwaayo mugenderera kudda eri Katonda, buli kirungi kyonna kyemuwaayo kigenda kubasasulwa mu bujjuvu era temugenda kulyazaamanyizibwa
Verse 273 — Surah Al-Baqarah 2:273
(Saddaaka ziweebwa) abaavu abo abeewaayo mu kuweereza mu kkubo lya Katonda nga tebasobola kutakabana nga banoonya riziki mu nsi. Olwensa zaabwe, atamanyi alowooza nti bagagga osobola okubamanya olwobubonero bwaabwe, anti tebabeeba Bantu nga basaba, (n’olwekyo abalina baweeyo) anti buli kalungi konna kemuwaayo Katonda akamanyira ddala
Verse 274 — Surah Al-Baqarah 2:274
Abo abawaayo e mmaali yaabwe ekiro n'emisana, mu kyama ne mu lwatu, bagenda kufuna empeera yaabwe ewa Katonda waabwe, tebagenda kutuukibwako kutya era tebagenda kunakuwala
Verse 275 — Surah Al-Baqarah 2:275
Abo abalya Ribba (emaali ey'okuwola okw’okwongeramu) ku lunaku lwokuzuukira tebagenda kuyimuka wabula nga bwayimuka oyo aba akubiddwa Sitane naagwa eddalu, ekyo nno lwakuba bagamba nti okusubula ne Ribba tebirina njawulo (anti byonna kuwaanyisiganya byamaguzi na kufuna magoba) wabula ekituufu kiri nti Katonda yasalawo nti okusuubula kuli Halaali, yo Ribba eri Haramu. Kale nno oyo anaatuukwako okubuulirira okuva eri Katonda naava kunkola eya Ribba ebyo byeyakola mukusooka tebimuvunaanwa, ensonga ze zisigadde wa Katonda we, naye oyo anaddayo kunkolagana eya Ribba, abo nno, be bantu b'omu muliro ba kugubeeramu obugenderevu
Verse 276 — Surah Al-Baqarah 2:276
Katonda agya emikisa mu mmaali ya Ribba kyokka naayaza emmaali etoolwamu Saddaaka, Katonda tayagala mujeemu yenna awalaaza empaka (alemera ku Ribba aba agugubidde ku kibi n'okujeemera Katonda)
Verse 277 — Surah Al-Baqarah 2:277
Mazima abo abakkiriza era nebakola emirimu emirungi nebayimirizaawo e sswala nebatoola zzaka bagenda kufuna empeera yaabwe ewa Katonda waabwe tebagenda kutuukwako kutya era tebagenda kunakuwala
Verse 278 — Surah Al-Baqarah 2:278
Abange mmwe abakkiriza mutye Katonda era musazeemu enkolagana ya Ribba gyemubadde mukyalimu bwe muba nga ddala muli bakkiriza
Verse 279 — Surah Al-Baqarah 2:279
Bwemutaakikole mumanye nti Katonda n'omubakawe babalangiriddeko olutalo naye bwe muba mwenenyezza sente zammwe (Capital) zemwassaamu muzigyeeyo, mukino mube nga temufiiriza wadde okufiirizibwa
Verse 280 — Surah Al-Baqarah 2:280
Abanjibwa bwaba nga ali mu buzibu asaanidde alindirizibwe okutuusa lwanabeera nga ali mu mbeera mwasobolera okusasula, (naye mmwe ababanja) singa muba musonyiye bemubanja kyekirungi gyemuli singa mumanyi
Verse 281 — Surah Al-Baqarah 2:281
Mutye olunaku lwemuliddizibwa ewa Katonda oluvanyuma buli muntu asasulwe ebyo byeyakola era tebagenda kuyisibwa bubi
Verse 282 — Surah Al-Baqarah 2:282
Abange mmwe abakkiriza bwe muba muwolaganye nga ebbanja liriko ekiseera ekigere muwandiikenga, omuwandiisi ateekeddwa okuwandiika endagaano wakati wa mmwe mubwenkanya, omuwandiisi tasaanye kugaana kuwandiika nga Katonda bweyayigiriza, (omuwandiisi) ateekwa awandiike, gwebabanja y'ateekwa okwogera ebiwandiikwa mu ndagaano era mu kukola kino ateekeddwa okutya Katonda mukamaawe, tasaanye kulekayo kintu kyonna kikwata ku bbanja eryo, gwebabanja bwaba wantegeera nnafu oba nga mwana muto oba nga tasobola kuba nti yaayogera ebiwandiikibwa mu ndagaano olwobutasobola obuli ku mubiri gwe, amulabirira y'ateekwa okwogera ebiwandiikibwa mu ndagaano nga akikola mu bwesimbu. (Nga mukola endagaano zino) muteekengawo abajulizi babiri nga basajja mu mmwe, bwebataba basajja babiri, kale abe omusajja omu n'abakyala babiri nga mubalonda mwabo bemulabye nga basaanira okuba abajulizi, era nga singa omukyala omu obujulizi buba bumutabuseeko mu mmwe, munne asobola okumujjukiza, abajulizi tebagaananga okujja bwe baba nga bayitiddwa temwekaanyanga okuwandiika ebbanja kalibe ttono oba ddene, muwandiike nga mulaga ekiseera kyalyo werigwerayo, okuwandiika ebbanja mu ngeri eyo kiragira ddala obwenkanya obuli mu mateeka ga Katonda, era kyekisinga okuyamba obujulizi obutabula mu ngeri yeemu kyekisinga okubayamba obutabaawo kubuusabuusa (nti ebbanja lyali lyenkanawa oba lyakusasula ddi) okugyako nga kubadde kugulana okw'ekiggwerawo kwemukolaganamu mu nkola eyabulijjo mwekyo tumulina musango bwe muba nga temukoze ndagaano, era nebwe muba nga mugulaanye musseewo abajulizi (mukimanye) omuwandiisi wendagaano n'omujulizi tebasaanye kuyisibwa bubi, naye nemumala mukikola kiba kikolwa kya bugyemu okuva mu mmwe, bulijjo muteekeddwa okutya Katonda era Katonda bulijjo abayigiriza ebyo ebirimu emigaso gyammwe anti Katonda amanyi buli kintu
Verse 283 — Surah Al-Baqarah 2:283
Bwe muba nga muli ku lugendo olwo nno omusingo gukwatibwe naye bwe muba nga mwesiganganye nemutawandiika ndagaano oba okukwata omusingo oyo eyateekebwamu obwesige ateekwa okutuukiriza obwesigwa obwo era ateekeddwa okutya mukama omulabirizi we (bwemutwalibwa nga okuba abajulizi) temukwekanga obujulizi, oyo yenna abukweka omutima gwe guba gukoze ekibi bulijjo Katonda amanyi byonna byemukola
Verse 284 — Surah Al-Baqarah 2:284
Ebiri mu ggulu omusanvu ne mu nsi byonna bya Katonda, kamwolese oba mukweke ebiri mu mitima gyammwe Katonda agenda kubibabalira, olwo nno asonyiwe oyo gwaliba ayagadde era abonereze oyo gwaliba ayagadde anti Katonda muyinza wabuli kintu
Verse 285 — Surah Al-Baqarah 2:285
Omubaka yakkiriza naakakasa ebyo ebyassibwa ku ye nga biva ewa mukama omulabiriziwe Katonda we n'abakkiriza bwebatyo nebakakasa, buli omu ku bo yakkiriza Katonda ne ba Malayika be neebitabo bye n'ababakabe era nebagamba nti tetwawula wakati wa babakabe era nebagamba nti tuwulidde netugonda, Ayi Mukama Katonda waffe tukusaba ekisonyiwo era gyoli yeeri obuddo
Verse 286 — Surah Al-Baqarah 2:286
Katonda tawaliriza muntu okugyako obusobozi bwe webukoma, buli mwoyo gugenda kusasulwa ebirungi byegwakola era nga bwegugenda okuvunaanwa olwebibi byegwetikka. Ayi Mukama omulabirizi waffe totuvunaana byetukoze mukwerabira oba mu butanwa, Ayi Mukama omulabirizi waffe totutikka obuzito nga bwewatikka abo abaatukulembera, Ayi Mukama omulabirizi waffe totulagira kukola byetutasobola, tugyeko ebibi otusonyiwe otusaasire, gwe mukuumi waffe tutaase ku bantu Abaakaafuwala