Verse 1 — Surah Al-Anbiya 21:1
Kusemberedde abantu okubalibwa kwa bwe nga bo bali mu butafaayo, era nga bo bakola byennyume
Verse 2 — Surah Al-Anbiya 21:2
Tewali kujjukiza kwonna kubajjira okupya okuva ewa Mukama omulabirizi waabwe okugyako okuba nti bakuwuliriza nga bwe bazannya
Verse 3 — Surah Al-Anbiya 21:3
Emitima gya bwe nga miragajjavu, abo abeeyisa obubi ne boogera mu kyama nga bagamba nti, abaffe ono alina kyali okugyako okuba nti muntu nga mmwe, abaffe mugenda ku ddogo nga nammwe mulabira ddala
Verse 4 — Surah Al-Anbiya 21:4
(Nabbi Muhammad) naagamba nti: Mukama omulabirizi wange amanyi ekigambo ekiri mu ggulu ne mu nsi era yye y'awulira ennyo, amanyi ennyo
Verse 5 — Surah Al-Anbiya 21:5
(Wabula Abakaafiiri) baagamba nti: okwo kulogojjana mu kuloota oba ye yennyini yaabyegunjirawo, si nakindi yye mutontomi, (bwaba ayagala tukkirize byagamba) kale atuleetere akabonero nga abaasooka bwe baatumwa
Verse 6 — Surah Al-Anbiya 21:6
Tewali kitundu kye twazikiriza nga abantu ba mu bakkiriza, abaffe bo be banakkiriza
Verse 7 — Surah Al-Anbiya 21:7
Oluberyeberyelwo tetwatumanga okugyako basajja nga tubawa obubaka kale mubuuze abalina okumanya bwe muba nga temumanyi
Verse 8 — Surah Al-Anbiya 21:8
Era tetwafuula (ba Nabbi) mubiri nga tebalya mmere (nga ba Malayika) era tebaali ba kubeera mu nsi lubeerera
Verse 9 — Surah Al-Anbiya 21:9
Oluvanyuma twabatuukiririza endagaano (gye twabawa) netubawonya awamu n'abo be twayagala era netuzikiriza abaayonoona ekisukkiridde
Verse 10 — Surah Al-Anbiya 21:10
Mazima twabassiza ekitabo (Kur’ane) nga kirimu okwogera ku kitiibwa kya mmwe abaffe temutegeera
Verse 11 — Surah Al-Anbiya 21:11
Ebyalo bimeka bye twazikiriza ebyali byeyisa obubi olwo nno netuleeta abantu abalala (oluvanyuma lwa bwe)
Verse 12 — Surah Al-Anbiya 21:12
Bwe baamala okumanya nti ebibonerezo byaffe bijja olwo nnonebabidduka
Verse 13 — Surah Al-Anbiya 21:13
(Baagambibwa) nti temudduka era mudde eri ebyo bye mubadde mweyagaliramu era mudde mu mayumba gammwe luliba lumu mulibuuzibwa
Verse 14 — Surah Al-Anbiya 21:14
Nebagamba nti: zitusanze mazima ffe twali tweyisa bubi
Verse 15 — Surah Al-Anbiya 21:15
Okuwanjaga kwa bwe okwo kwali bwe kutyo okutuusa lwe twabafuula nga ennimiro ekunguddwa ne ggwawo
Verse 16 — Surah Al-Anbiya 21:16
Tetwatonda eggulu n'ensi n'ebiri wakati wa byombi nga bya muzannyo
Verse 17 — Surah Al-Anbiya 21:17
Singa twayagala kweteerawo muzannyo, twaligukoze mu bano abali eno gye tuli singa twali ba kukikola
Verse 18 — Surah Al-Anbiya 21:18
Wabula tukasuka amazima ku bulimba negabuggyawo, olwo nno bwo nebuvaawo era mugenda kubonerezebwa olw'ebyo bye mwogera
Verse 19 — Surah Al-Anbiya 21:19
Bibye ebyo byonna ebiri mu ggulu ne mu nsi, n'abo abali waali tebeekuluntaza ku kumusinza era tebakaluubirirwa
Verse 20 — Surah Al-Anbiya 21:20
Batendereza (Katonda) emisana n'ekiro tebakoowa
Verse 21 — Surah Al-Anbiya 21:21
Oba beeteerawo ba Katonda nga ba ku nsi nga bo be balizuukiza (abafu)
Verse 22 — Surah Al-Anbiya 21:22
Singa (ensi n'eggulu) byalimu ba katonda abalala atali Katonda omu byombi byaliyonoonese, (ekyo nno kikulage) nti yasukkuluma Katonda Mukama omulabirizi wa Arishi kw'ebyo bye boogera
Verse 23 — Surah Al-Anbiya 21:23
Tabuuzibwa ku byakola ate bo babuuzibwa
Verse 24 — Surah Al-Anbiya 21:24
Abo bateekawo ba katonda ne baleka Katonda omu, gamba nti muleete obujulizi bwa mmwe (ku ekyo). Kuno kwe kubuulirira abali nange era kwe kubuulirira kw'abo abaakulembera wabula abasinga obungi mu bo (Abakaafiiri) tebamanyi mazima olwo nno bo bagakuba amabega
Verse 25 — Surah Al-Anbiya 21:25
Era tetwatuma oluberyeberyelwo Mubaka yenna okugyako nga tumutumira obubaka nti tewali kisinzibwa kyonna (mu butuufu) okugyako nze (Katonda) kale munsinze
Verse 26 — Surah Al-Anbiya 21:26
Era baagamba nti: Katonda ow'ekisa ekingi yeeteerawo omwana, musukkulumu (ku ebyo byonna) wabula (ba malayika bebamugattako) baddu abaweebwa ekitiibwa
Verse 27 — Surah Al-Anbiya 21:27
Tebayinza kumukulembera na kigambo era bbo bakolera ku kiragirokye
Verse 28 — Surah Al-Anbiya 21:28
Amanyi ebyo ebiri mu maaso gaabwe n'ebyo ebiri emabega waabwe, tebagenda kuwolereza okugyako oyo gwaliba asiimye nabo olw'okumutya beegendereza
Verse 29 — Surah Al-Anbiya 21:29
Oyo yenna mubo agamba nti mazima nze ndi Katonda naaleka Katonda omu, oyo tugenda kumusasula omuliro Jahannama. Bwe tutyo bwe tusasula abeeyisa obubi
Verse 30 — Surah Al-Anbiya 21:30
Abo abaakaafuwala tebakiraba nti mazima eggulu omusanvu n'ensi byali kitole netubyabuluzaamu era netuggya mu mazzi buli kintu ekiramu abaffe tebakkiriza
Verse 31 — Surah Al-Anbiya 21:31
Era netussa mu nsi ensozi ebe nga tebayuuza era netussa mu yo amakubo kibayambe okumanya gye balaga
Verse 32 — Surah Al-Anbiya 21:32
Era netufuula eggulu akasolya akakuumibwa, wabula bbo tebafaayo ku bya magero bya byo (ebya byonna ebyogeddwa waggulu)
Verse 33 — Surah Al-Anbiya 21:33
Era (Katonda) yye yooyo eyatonda ekiro n'emisana n'enjuba n'omwezi buli kimu kiri mu bbanga (nga byonna) biwuga
Verse 34 — Surah Al-Anbiya 21:34
Era tetuwanga muntu yenna oluberyeberyelwo buwangaazi obw'olubeerera, bwoba ofudde bo be b'okubeerawo olubeerera
Verse 35 — Surah Al-Anbiya 21:35
Buli muntu wa kukomba ku kufa era tubagezesa n'obubi n'obulungi nga kikemo era gye tuli gye mulizzibwa
Verse 36 — Surah Al-Anbiya 21:36
Abaakaafuwala bwe bakulaba tebakufuula okugyako eky'omuzannyo (ne bagamba) nti ono y'oyo ayogera ku bye musinza nga nabo bawakanya okwogera ku Katonda ow'ekisa ekingi
Verse 37 — Surah Al-Anbiya 21:37
Omuntu yatondebwa nga ayanguyiriza nja ku balaga obubonerero bwange kale temunsaba kubanguyiriza bibonerezo
Verse 38 — Surah Al-Anbiya 21:38
Era abakaafiiri bagamba nti ekiragaanyiso ekyo kiribaawo ddi bwe muba nga mwogera mazima
Verse 39 — Surah Al-Anbiya 21:39
Abo abaakaafuwala singa bamanyi (ekiribaawo) mu kiseera we batalisobolera kuziyiza muliro kutuuka ku byenyi bya bwe wadde e migongo gya bwe, era nga tebagenda kutaasibwa
Verse 40 — Surah Al-Anbiya 21:40
Wabula biribatuukako kibwatukira nebibakanga, tebalisobola kubizzayo era si baakulindirizibwa
Verse 41 — Surah Al-Anbiya 21:41
Mazima ababaka (bangi) baagyejebwa olubereberyelwo, nebituuka ku abo abaabanyoomanga ebyo bye baalinga bajeeja. (Abo abaali babajeeja baatuukibwako ebibonerezo bye baali bajeeja)
Verse 42 — Surah Al-Anbiya 21:42
Bagambe nti ani abakuuma ekiro n'emisana okubawonya ekyandibatuseeko okuva ewa Katonda ow'ekisa ekingi wabula bbo abatakkiriza beesamba okwogera ku Mukama omulabirizi waabwe
Verse 43 — Surah Al-Anbiya 21:43
Abaffe balina ba katonda abalibawonya ku ffe abatali ffe (ba katonda baabwe bennyini) tebagenda kusobola kwetaasa era tebagenda kufuna gwe baliba naye abawonya ku ffe
Verse 44 — Surah Al-Anbiya 21:44
Wabula twabawa bo ne bakitaabwe okweyagala, okutuusa obuwangaazi lwe bwabawanvuwako, abaffe tebalaba nti mazima ffe, tuddira ensi netugikendeeza okuva ku nsalo zaayo abaffe bo be b'okulema
Verse 45 — Surah Al-Anbiya 21:45
Bagambe nti mazima mbatiisa nga nkozesa obubaka, wabula ba kiggala tebawulira kukoowoola bwe baba balabuddwa
Verse 46 — Surah Al-Anbiya 21:46
So nga bwe balituukwako akatundu ku bibonerezo bya Mukama omulabiriziwo bagenda kugambira ddala nti zitusanze mazima ffe tubadde tweyisa bubi
Verse 47 — Surah Al-Anbiya 21:47
Tugenda kussaawo minzane entuufu ezirikozesebwa ku lunaku lw'enkomerero, olwo nno tewali muntu aliryazaamaanyizibwa kintu kyonna, ne bwe kiriba kyenkana obuzito bwe mpeke ya khardali tugenda kukireeta. Kimala bumazi okuba nti ffe tuliba ababazi
Verse 48 — Surah Al-Anbiya 21:48
Twawa Musa ne Haruna amateeka (Taurat) agaawula wakati wa mazima n'obulimba era nga kitangaaala era nga kya kubuulirira eri abatya Katonda
Verse 49 — Surah Al-Anbiya 21:49
Abo abatya Mukama omulabirizi waabwe awamu n'okuba nga tebamulaba era nga nabo beeraliikirira ekiseera ky'enkomerero
Verse 50 — Surah Al-Anbiya 21:50
Eno (k’urane) kubuulirira okw'omukisa kwe twassa, abaffe mugiwakanya
Verse 51 — Surah Al-Anbiya 21:51
Mazima twawa Ibrahim obulungamubwe okuva oluberyeberye era twali tumanyi ebimukwatako
Verse 52 — Surah Al-Anbiya 21:52
Jjukira bwe yagamba kitaawe n'abantu be nti: bifaananyi ki bino, ebyo mmwe bye mulemeddeko
Verse 53 — Surah Al-Anbiya 21:53
Nebagamba nti twasanga bakadde baffe nga byebasinza
Verse 54 — Surah Al-Anbiya 21:54
(Ibrahim) naagamba nti mazima mmwe ne bakadde ba mmwe mwali mu bubuze obw'olwatu
Verse 55 — Surah Al-Anbiya 21:55
Nebagamba nti otuleetedde mazima oba oli mu ba kazannyirizi
Verse 56 — Surah Al-Anbiya 21:56
Naagamba nti wabula Mukama omulabirizi wa mmwe, ye Mukama omulabirizi w'eggulu (omusanvu) n'ensi oyo eyabitonda nange ku ekyo ndi omu ku bajulizi
Verse 57 — Surah Al-Anbiya 21:57
Era ndayira Katonda amasanamu ga mmwe nja kugasalira amagezi singa munaaba mugaleseewo ne mubaako wemulaga
Verse 58 — Surah Al-Anbiya 21:58
(Yagabetenta) naagafuula bubajjo okugyako (essanamu) erigasinga obunene, olwo nno badde gye liri (lye baba babuuza)
Verse 59 — Surah Al-Anbiya 21:59
(Bwe badda) nebagamba nti ani akoze kino ku ba katonda baffe, mazima yye ali mu beeyisa obubi
Verse 60 — Surah Al-Anbiya 21:60
Nebagamba nti twawulidde omuvubuka ayitibwa Ibrahim nga agoogerako
Verse 61 — Surah Al-Anbiya 21:61
Nebagamba nti kale mumuleete mu maaso g'abantu bamuweeko obujulizi
Verse 62 — Surah Al-Anbiya 21:62
(Bwe baamutuusa) nebamugamba nti: Gwe wakoze kino ku ba katonda baffe owange Ibrahim
Verse 63 — Surah Al-Anbiya 21:63
Naabagamba nti: nedda omukulu waabwe ono ye yakikoze, kale mubabuuze bwe baba nga baatula
Verse 64 — Surah Al-Anbiya 21:64
Nebeetunulako nebagamba nti mazima mmwe, mmwe abeeyisa obubi
Verse 65 — Surah Al-Anbiya 21:65
Ate oluvanyuma (lw'ekyo) beekyusa, (mu kifo ky'okwenenya baalemera ku bukaafiiri era nebagamba nti) mazima okimanyi nti amasanamu ago tegoogera
Verse 66 — Surah Al-Anbiya 21:66
(Ibrahim) naagamba nti ate muva ku Katonda nemusinza ebitabagasa kantu konna wadde okubatuusaako akabi
Verse 67 — Surah Al-Anbiya 21:67
Kivve ku mmwe, lwaki musinza ebintu ebirala nemuleka Katonda abaffe temutegeera
Verse 68 — Surah Al-Anbiya 21:68
Nebagamba nti (oba bwatyo bwagamba) mumwokye mutaase ba katonda ba mmwe bwe muba nga mulina kye munaakola
Verse 69 — Surah Al-Anbiya 21:69
Netugamba nti owange muliro beera bunnyogovu era mirembe ku Ibrahim
Verse 70 — Surah Al-Anbiya 21:70
Baayagala okumukolera olukwe naye twabafuula abataalufunamu
Verse 71 — Surah Al-Anbiya 21:71
Netumuwonya netuwonya ne Luutu netubatwala mu nsi gye twawa omukisa ku lw'ebitonde
Verse 72 — Surah Al-Anbiya 21:72
Twamugabira Ishaka ne Yakubu nga nnyongeza, bonna twabafuula balongoofu
Verse 73 — Surah Al-Anbiya 21:73
Era twabafuula abakulembeze nga balungamya olw'ekiragiro kyaffe, era twabatumira nti (bateekwa) okukola obulungi n'okuyimirizaawo e sswala n'okutoola zzaka era baali batusinza
Verse 74 — Surah Al-Anbiya 21:74
Ne Luutu twamuwa okusengejja ensonga n'okumanya era twamuwonya netumuggya mu kitundu ekyali kikola ebyonoono mazima bo baali bantu ba kibi aboonoonyi
Verse 75 — Surah Al-Anbiya 21:75
Era twamuyingiza mu kusaasira kwaffe mazima yye wa mu balongoofu
Verse 76 — Surah Al-Anbiya 21:76
Era (mujjukire) Nuhu bwe yasaba oluberyeberye nga abantu (bamulemeredde) netwanukula okusaba kwe netumuwonya wamu n’abantube mu kabi akanene
Verse 77 — Surah Al-Anbiya 21:77
Netumutaasa ku bantu abo abaalimbisa ebigambo byaffe, mazima bbo baali bantu ba kibi netubazikiriza bonna
Verse 78 — Surah Al-Anbiya 21:78
Era mujjukire Dauda ne Sulaiman mu kiseera bombi bwe baalamula omusango ogukwata ku nnimiro, embuzi z’abantu bwe zaaliiramu, era ku kulamula kwabwe twali bajulizi
Verse 79 — Surah Al-Anbiya 21:79
(Omusango ogwo) twawa Sulaiman okutegeera obulungi, naye buli omu twamuwa okugoba ensonga n’okumanya, era twagondeza Dauda ensozi nga zitendereza, n’ebinyonyi bwe bityo, (buli lwe yatenderezanga nga nabyo bitendereza). Era ebyo twali tusobolera ddala okubikola
Verse 80 — Surah Al-Anbiya 21:80
Era twamuyigiriza okukola ebyambalo bya mmwe (eby'entalo) biryoke bibakuume ku buzibu bwa mmwe, abaffe mmwe mwebaza
Verse 81 — Surah Al-Anbiya 21:81
Era Sulaiman twamugondeza empewo ekungunta nga etambulira ku kiragirokye neEgenda eri ensi eyo gye twawa omukisa. Era twali tumanyi buli kintu
Verse 82 — Surah Al-Anbiya 21:82
Ne mu zi Sitane mwalimu ezibbira mu nnyanja ku lulwe nga zikola n'emirimu emirala egitali ogwo era ffe twazikuumanga
Verse 83 — Surah Al-Anbiya 21:83
Era (jjukira) Ayubu bwe yakoowoola Mukama omulabiriziwe nti mazima nze ntuukiddwako obuzibu, era ggwe musasizi asinga abasaasizi bonna
Verse 84 — Surah Al-Anbiya 21:84
Twamwanukula (okusaba) kwe netumuggyako obuzibu obwali bumutuuseeko netumuwa abantube (abaali bafudde) netumuwa n’abalala awamu nabali, ekyo nga kusaasira okuva gye tuli era nga kya kubuulirira eri abasinza (Katonda)
Verse 85 — Surah Al-Anbiya 21:85
Era (jjukira) Ismail ne Idrisa ne Zulikifuli bonna ba mu bagumiikiriza
Verse 86 — Surah Al-Anbiya 21:86
Era twabayingiza mu kusaasira kwaffe mazima bo ba mu balongoofu
Verse 87 — Surah Al-Anbiya 21:87
Era (jjukira) ekyafaayo kya nannyini kyenyanja (Yunus) bwe yagenda nga musunguwavu naalowooza nti tetugenda kumusobola, ate bwe yamala okubeera mu kizikiza yakoowoola nti tewali kisinzibwa kyonna okugyako ggwe wasukkuluma (Mukama wange) mazima nze mbadde mu beeyisa obubi
Verse 88 — Surah Al-Anbiya 21:88
Awo nno twayanukula okusabakwe ne tumuwonya okweraliikirira, era bwe tutyo bwe tuwonya abakkiriza
Verse 89 — Surah Al-Anbiya 21:89
Era jjukira Zakaria bwe yakoowoola Mukama omulabiriziwe (naagamba nti) ayi Mukama omulabirizi wange tondeka bwannamunigina (ne bwompa ezzadde nsigala ndi mukkiriza) anti ggwe osinga abasigalawo bonna
Verse 90 — Surah Al-Anbiya 21:90
Awo nno twayanukula okusabakwe, era netumuwa Yahaya netusobozesa mukyalawe okuzaala, mazima bbo baalinga bettanira okukola ebirungi era nga batusaba ku lw'okwagala okufuna ebirungi bye tulina ne ku lw'okutya ebibonerezo byaffe era baalinga batugondera
Verse 91 — Surah Al-Anbiya 21:91
Era (jjukira) ekyafaayo ky'omukyala (Mariyamu) oyo eyakuuma obwereerebwe olwo nno netumufuuwamu omwoyo ogwava gye tuli netumufuula yye n’omwanawe nga kya kulabirako eri ebitonde byonna
Verse 92 — Surah Al-Anbiya 21:92
Mazima kino ekibiina kyammwe kiri ekibiina kimu nange nze Mukama omulabirizi wa mmwe kale munsinze
Verse 93 — Surah Al-Anbiya 21:93
(Naye abantu) baayawukana mu kigambo ky'eddiini yaabwe wakati waabwe (wabula) bonna gye tuli gye bagenda okudda
Verse 94 — Surah Al-Anbiya 21:94
Oyo akola omulimu omulungi gwonna nga mukkiriza tayinza butasasulwa olw'okutakabanakwe era mazima tumuwandiikira (emirimugye)
Verse 95 — Surah Al-Anbiya 21:95
Kizira ku kitundu kyonna kye twazikiriza (okudda ku nsi) mazima bo tebayinza kudda
Verse 96 — Surah Al-Anbiya 21:96
Okutuusa nga Yaajuuja ne Majuuja bagguliddwa era nga nabo bagenda kufukumuka nga bava mu buli kkubo
Verse 97 — Surah Al-Anbiya 21:97
Endagaano eya mazima neba nga esembedde olwo nno oligenda okulaba nga amaaso gaabo abaakaafuwala galalambadde (olw'entiisa nebagamba nti) zitusanze ekintu kino tubadde tukigayaaliridde si kyokka wabula tubadde tweyisa bubi
Verse 98 — Surah Al-Anbiya 21:98
Mazima mwe n'ebyo bye musinza nemuva ku Katonda mugenda kubeera nku za Jahannama (omuliro) mwe muli ba kuguyingira
Verse 99 — Surah Al-Anbiya 21:99
Singa ebyo (bye musinza) nga baali ba Katonda ddala tebyandiguyingidde naye bonna ba kugubeeramu bugenderevu
Verse 100 — Surah Al-Anbiya 21:100
Balituukibwako nga bali mu gwo okuyiriitira era tebagenda kuwulira nga bali mu gwo
Verse 101 — Surah Al-Anbiya 21:101
Mazima abo be twamanya edda nti bagenda kubeera balongoofu abo nno bagenda kubeera wala n’omuliro
Verse 102 — Surah Al-Anbiya 21:102
Tebagenda kuwulira lukwakwayo lwa gwo era mazima bo ku ebyo emyoyo gya bwe gye byagala ba kubeera mu byo obugenderevu
Verse 103 — Surah Al-Anbiya 21:103
Ebikangabwa ebisinga okuba ebyamanyi tebigenda kubatiisa, ba Malayika balibaaniriza nga babayozaayoza nti luno lwe lunaku lwa mmwe olwo lwe mwali mulagaanyisibwa
Verse 104 — Surah Al-Anbiya 21:104
Olunaku lwe tulizingako eggulu nga eggwandiikiro bwe rizingako ebiwandiiko. Mu ngeri y'emu nga bwe twatandika ebitonde bwe tugenda okubizikiriza, nga kikakafu ku ffe anti mazima ekyo tusobolera ddala okukikola
Verse 105 — Surah Al-Anbiya 21:105
Mazima twawandiika mu Zaburi oluvanyuma lw'okuwandiika ku Lauhil Mahfuudhwi nti mazima ensi egenda kusikirwa abaddu bange abalongoofu
Verse 106 — Surah Al-Anbiya 21:106
Mazima ebyo, (ebyogeddwako wano) kwe kubuulirira okwannamaddala eri abantu abasinza Katonda
Verse 107 — Surah Al-Anbiya 21:107
Tetwakutuma ggwe (Nabbi Muhammad) okugyako nga oli kya kusaabira eri ebitonde
Verse 108 — Surah Al-Anbiya 21:108
Bagambe (Ggwe Nabbi Muhammad) nti mazima mpeebwa obubaka (nga obubaka bugamba) nti: mazima Katonda wa mmwe ali Katonda omu, abaffe mmwe munaasiramuka
Verse 109 — Surah Al-Anbiya 21:109
Kale nno bwe bamala nebaawukana ku ekyo, (nebatasiramuka) olwo nno ggwe bagambe nti mwenna mbawulizza kyenkanyi (nga tewali gwe ndeseeyo) era siri nze amanyi nti bye mulagaanyisibwa biri kumpi oba biri wala
Verse 110 — Surah Al-Anbiya 21:110
Mazima yye (Katonda) amanyi bye mwolesa nga mwogera era nga bwamanyi n'ebyo bye mukweka
Verse 111 — Surah Al-Anbiya 21:111
Era simanyi obanga (okubalindiriza n'atabakangavvulirawo) nga kikemo gye muli era nga kubaleka kweyagala okutuusa ebbanga eggere
Verse 112 — Surah Al-Anbiya 21:112
(Nabbi Muhammad) naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange salawo mu butuufu (wakati wange n'abo abannimbisa) era Mukama omulabirizi waffe omusaasizi ow'ekisa ekingi gwe tusaba obuyambi ku ebyo bye mwogera