Verse 1 — Surah Qaf 50:1
Kaaf, ndayidde Kur’ani eyekitiibwa (mazima ggwe Muhammad oli mubaka wa Katonda era olunaku lw’enkomerero lwa kubaawo)
Verse 2 — Surah Qaf 50:2
Wabula bewunya okuba nti omutiisa (Nabbi Muhammad) yabajjira nga ava mu bo olwo nno abakaafiiri nebagamba nti kino kintu kya kitalo
Verse 3 — Surah Qaf 50:3
(Nebagamba nti) abaffe bwetufa netufuuka ettaka (ate tuli bakuzzibwa!), bwekiba bwekityo okwo kudda okuli ewala ennyo
Verse 4 — Surah Qaf 50:4
(Ekyo kibalemera bwereere okukkiriza anti) mazima tumanyi ekyo ettaka kye libakendezaako (nga lirya emibiri gyabwe) era tulina eggwanika erikuuma (buli kintu)
Verse 5 — Surah Qaf 50:5
Wabula (tebakoma kwekyo era) baalimbisa amazima bwe gabajjira olwo nno bo baali mu mbeera ey’ekigambo ekitali kinywevu, (olumu bagamba bati olulala ne bagamba kirala)
Verse 6 — Surah Qaf 50:6
Abaffe tebatunula ku ggulu waggulu waabwe (ne balaba) nga bwe twalizimba era netulinyiriza nga teririna bituli
Verse 7 — Surah Qaf 50:7
Ne nsi twagiseeteeza era netugissaamu ensozi ennywevu, netumeza mu yo mu buli mutindo oguwa essanyu
Verse 8 — Surah Qaf 50:8
Bibe ekizibula amaaso era ekyokubuulirira buli muddu adda eri Katonda
Verse 9 — Surah Qaf 50:9
Era tussa amazzi okuva waggulu agoomukisa, olwo nno netumeza nago amalimiro n'empeke ebikungulwa
Verse 10 — Surah Qaf 50:10
N’emitende emitumbiivu egirina ebirimba ebyeberese ku binnabyo
Verse 11 — Surah Qaf 50:11
Nga byakulya bya baddu, era tulamusa nago (amazzi) ettaka effu eriba likaze, nabwekutyo okuzuukira bwe kuliba
Verse 12 — Surah Qaf 50:12
Oluberyeberye lwabwe (abantu be Makkah) abantu ba Nuhu baalimbisa, n’abantu ababbika Nabbi wabwe mu luzzi, n’abekika kya Thamud
Verse 13 — Surah Qaf 50:13
Nabekika kya Aadi ne Firaawo ne baganda ba Luutu
Verse 14 — Surah Qaf 50:14
N’abantu be nsi y’ebibira, n’abantu ba Tubbai, bonna baalimbisa ababaka, olwo nno nebikakata (ebibonerezo) byange bye nalagaanyisa
Verse 15 — Surah Qaf 50:15
Abaffe twakoowa olwokutonda okwasooka (tube nga tweganya okubazzaawo)! nedda bo bali mu kutabulwa ku bikwata ku kutonda okupya
Verse 16 — Surah Qaf 50:16
Ng’ate ddala twatonda omuntu era tumanyi ekyo omwoyogwe kye gumulabankanya nakyo naye nga ffe tuli okumpi naye okusinga omusuwa (gwe) ogwobulamu
Verse 17 — Surah Qaf 50:17
Mu kiseera we bamugyirako ebimukwatako (ba Malayika) abakwatibwako ensonga ababiri, nga bakikola ku mukono ogwa ddyo, n’ogwa kkono nga buli omu atudde ku ludda lwe
Verse 18 — Surah Qaf 50:18
Olwo nno (omuntu) tayatula kigambo kyonna okugyako ng’aliko omulondoozi amubeerako buli kiseera
Verse 19 — Surah Qaf 50:19
Olwo nno obukambwe bwokufa nebujja mu mazima (nagambibwa nti) kino bulijjo kyobadde weewala
Verse 20 — Surah Qaf 50:20
Era engombe nefuuyibwa olwo lwe luliba olunaku olwalagaanyisibwa
Verse 21 — Surah Qaf 50:21
Buli muntu alijja nga aliko (Malayika) amugoba n’omujulizi
Verse 22 — Surah Qaf 50:22
(Omukozi weebibi aligambwa nti) mazima wali mu bulagajjavu ku nsonga eno, kakano tukuggyeko ekibikka olwo nno eriiso lyo olwaleero lyogi nnyo
Verse 23 — Surah Qaf 50:23
Munne (Malayika eyamuberangako) aligamba nti, bino bye nnina ebimuwaako obujulizi binywevu nnyo
Verse 24 — Surah Qaf 50:24
(Katonda aliragira Malayika alijja amugoba n'alimuwaako obujulizi nti) mukasuke mu muliro Jahannama buli mukafiiri omuwalaza we mpaka
Verse 25 — Surah Qaf 50:25
Eyekiikanga mu kkubo lyo bulungi, eyabukanga ebikomo (bya mateeka ga Katonda) omubusabuusa
Verse 26 — Surah Qaf 50:26
Oyo eyassa ku Katonda ekisinzibwa ekirala, kale nno mumukasuke mu bibonerezo ebikambwe
Verse 27 — Surah Qaf 50:27
(Sitane) munywanyiwe aligamba nti, ayi Mukama omulabirizi waffe simubuzanga, wabula (ye yennyini) yali mu bubuze obwewala
Verse 28 — Surah Qaf 50:28
(Katonda) aligamba nti temukayanira mu maaso gange nabawa dda okulabula (kwange nga mukyali ku nsi)
Verse 29 — Surah Qaf 50:29
Ekigambo tekikyusibwa gyendi (kasita mala okusalawo) era nze siyinza kuba mulyazamanyi eri abaddu
Verse 30 — Surah Qaf 50:30
(Mutye) olunaku lwe tuligamba omuliro Jahannama nti abaffe ojjudde, negugamba nti abaffe waliyo enyongeza
Verse 31 — Surah Qaf 50:31
E jjana erisembezebwa eri abo abatya Katonda, nga tekyali wala
Verse 32 — Surah Qaf 50:32
Nebagambibwa nti, ekyo kye mwalaganyisibwa nga kya kufunwa oyo yenna eyadda ewa Katonda, n'akuma butiribiri (amateekage)
Verse 33 — Surah Qaf 50:33
(Yye yooyo) eyatya Katonda omusaasizi ennyo awamu nokuba nga tamulabako, era najja (olwaleero ku lunaku lw’enkomerero) n’omutima ogwemalira ku Katonda
Verse 34 — Surah Qaf 50:34
(Baligambibwa nti) mugiyingire (e jjana) mu mirembe, olwo lwe lunaku olulitandika obulamu obwolubeerera
Verse 35 — Surah Qaf 50:35
Balifuna byonna bye baagala nga bali mu yo (e jjana), era tulina ebyo kubongeza
Verse 36 — Surah Qaf 50:36
Era emirembe emeka gye twazikiriza oluberyeberye lwabwe (bano abakuwakanya ggwe Nabbi Muhammad), nga bo baali bamaanyi okubasinga, nebetoloola ensi (nga bakola buli kye bagala), abaffe waliwo obuwonero
Verse 37 — Surah Qaf 50:37
Mazima mwekyo mulimu okubuulirira eri oyo alina omutima oba atega amatu era nga yenna waali (awuliriza)
Verse 38 — Surah Qaf 50:38
Era mazima twatonda eggulu omusanvu ne nsi neebiri wakati wa byombi mu nnaku mukaaga era tetwatukwako kukoowa kwonna
Verse 39 — Surah Qaf 50:39
Kale gumikiriza ebyo bye bagamba, otendereze ebitendo bya Mukama omulabirizi wo nga enjuba tennavaayo, ne nga tennagwa
Verse 40 — Surah Qaf 50:40
Era omutendereze ekiro nabuli luvannyuma lwa kuvunnama (okusaala e sswala ezalaalikibwa)
Verse 41 — Surah Qaf 50:41
Era wuliriza (ng’olinda) olunaku omukowooze lwalikowoola nga asinziira mu kifo kyo kumpi
Verse 42 — Surah Qaf 50:42
Olunaku lwe bali wulira okubwatuka okwa mazima, olwo nno lwe luliba olunaku lwokufuluma (okuzuukira okuva mu ntaana)
Verse 43 — Surah Qaf 50:43
Mazima ffe, ffe tuwa obulamu era netutta, era gye tuli yokka yeeri obuddo
Verse 44 — Surah Qaf 50:44
Ku lunaku ettaka lweriyatika neribavaako (nga bazuukira) nebajja misinde (gye tuli), okwo kwe kukungaanya era kuliba kwangu ku ffe
Verse 45 — Surah Qaf 50:45
Ffe tusinga okumanya bye bagamba, era ggwe toli ku bo asobola kubawaliriza, n’olwekyo buulirira nga okozesa Kur’ani, oyo yenna atya ebitiisa byange