Back to Languages

Ganda - Chapter 55 - Ar-Rahman

Translation by Fareeq Musa — Permalink

Verse 1 — Surah Ar-Rahman 55:1

(Katonda) omusaasizi ennyo

Verse 2 — Surah Ar-Rahman 55:2

Yayigiriza (omuntu) Kur’ani

Verse 3 — Surah Ar-Rahman 55:3

Verse 4 — Surah Ar-Rahman 55:4

Yamuyizigiriza okunnyonnyola

Verse 5 — Surah Ar-Rahman 55:5

Enjuba n’omwezi bitambulira ku nteekateeka (eyabiweebwa)

Verse 6 — Surah Ar-Rahman 55:6

Ebiddo n’emiti (bivunnama nga bisinza Katonda)

Verse 7 — Surah Ar-Rahman 55:7

Era eggulu yalisitula era nassaawo obwenkanya

Verse 8 — Surah Ar-Rahman 55:8

Mube nga temusukka ebipimo (mu kutuukiriza obwenkanya)

Verse 9 — Surah Ar-Rahman 55:9

Era muyirizeewo ebipimo mu bwenkanya era temukendezanga minzane

Verse 10 — Surah Ar-Rahman 55:10

N'ensi yagiteerawo ebitonde

Verse 11 — Surah Ar-Rahman 55:11

Nga erimu ebibalo n’emitende egirina ebirimba

Verse 12 — Surah Ar-Rahman 55:12

N'ebimera ebye mpeke eziri mu bikuta n’ebimera ebya kawoowo

Verse 13 — Surah Ar-Rahman 55:13

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

Verse 14 — Surah Ar-Rahman 55:14

Yatonda omuntu mu bumba eggumu eriringa ejjokye

Verse 15 — Surah Ar-Rahman 55:15

Ate naatonda amajinni mu bitawuliro by’omuliro

Verse 16 — Surah Ar-Rahman 55:16

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

Verse 17 — Surah Ar-Rahman 55:17

Mukama omulabirizi w’o buvanjuba bwombi, era Mukama omulabirizi w'obugwanjuba bwombi

Verse 18 — Surah Ar-Rahman 55:18

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

Verse 19 — Surah Ar-Rahman 55:19

Yagatta enyanja ebbiri (ez’amazzi agenjawulo aganyweka na gatanyweka) zesisinkana

Verse 20 — Surah Ar-Rahman 55:20

Wakati wa zombi waliwo ekyawula, tezigenda kwetabula

Verse 21 — Surah Ar-Rahman 55:21

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

Verse 22 — Surah Ar-Rahman 55:22

Ate nga mu zombi mwe muva Luulu ne Marijaani (amayinja ag’omuwendo)

Verse 23 — Surah Ar-Rahman 55:23

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

Verse 24 — Surah Ar-Rahman 55:24

Era gatambula ku lwo buyinza bwe amaato agakolwa ku lwo kutambulira ku nyanja nga galinga ensozi

Verse 25 — Surah Ar-Rahman 55:25

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

Verse 26 — Surah Ar-Rahman 55:26

Buli kyonna ekigiriko (ensi) kya kuggwawo

Verse 27 — Surah Ar-Rahman 55:27

Olwo nno wasigalewo obwennyini bwa Mukama omulabirizi wo, nannyini kugulumizibwa era nannyini kitiibwa

Verse 28 — Surah Ar-Rahman 55:28

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

Verse 29 — Surah Ar-Rahman 55:29

Bimusaba ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ensi (naye nga) buli lunaku aba ku ngeri ndala (mu kugera kwe)

Verse 30 — Surah Ar-Rahman 55:30

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

Verse 31 — Surah Ar-Rahman 55:31

Tujja kubateerawo ekiseera abange mmwe ebitonde ebizito ebibiri (amajinni n’abantu, ekiseera ekyo mwe tulibalira buli omu)

Verse 32 — Surah Ar-Rahman 55:32

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

Verse 33 — Surah Ar-Rahman 55:33

Abange mmwe ab'oluse lwa majinni n’oluse lwa bantu, bwe muba musobola okuyita mu bitundu bye ggulu omusanvu n'ensi (mube nga mudduka ku Katonda) kale muyitemu (naye) temuyinza kuyitamu okugyako nga mulina obusobozi

Verse 34 — Surah Ar-Rahman 55:34

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

Verse 35 — Surah Ar-Rahman 55:35

Musindikirwa mwe ab'emirundi ebiri (amajinni n’abantu) ebitawuliro byomuliro, n’ekikomo ekisaanuuse (naye temusobola kwetaasa)

Verse 36 — Surah Ar-Rahman 55:36

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

Verse 37 — Surah Ar-Rahman 55:37

Olwo nno eggulu bwe liribajjuka nerirabika nga ekimuli ekimyufu (olwamaanyi g’omuliro) neriba nga omuzigo omusanuuse

Verse 38 — Surah Ar-Rahman 55:38

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

Verse 39 — Surah Ar-Rahman 55:39

Ku lunaku olwo ekibi omuntu (kye yakola) tekigenda kubuuzibwa muntu mulala oba ejinni

Verse 40 — Surah Ar-Rahman 55:40

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

Verse 41 — Surah Ar-Rahman 55:41

Abonoonyi balimanyibwa olwobubonero bwabwe, olwo nno nebakwatibwa ku nviiri z’o mu buwompo n’ebigere (nebamenyebwamu nebakasukwa mu muliro)

Verse 42 — Surah Ar-Rahman 55:42

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

Verse 43 — Surah Ar-Rahman 55:43

Baligamba nti guno gwe muliro Jahannama abonoonyi gwe baali balimbisa

Verse 44 — Surah Ar-Rahman 55:44

Bagenda kwetoloolera wakati waagwo ne wakati w'olwegye oluyitirivu lwokwokya

Verse 45 — Surah Ar-Rahman 55:45

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

Verse 46 — Surah Ar-Rahman 55:46

Era oyo eyatya okuyimirira mu kifo kya Mukama omulabirizi we alina e jjana bbiri

Verse 47 — Surah Ar-Rahman 55:47

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

Verse 48 — Surah Ar-Rahman 55:48

Ezirimu amatabi agalanda

Verse 49 — Surah Ar-Rahman 55:49

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

Verse 50 — Surah Ar-Rahman 55:50

Mu zombi (e jjana) mulimu ensulo bbiri ezikulukuta

Verse 51 — Surah Ar-Rahman 55:51

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

Verse 52 — Surah Ar-Rahman 55:52

Mu zombi mulimu ku buli kika kya kibala emitindo ebiri ebiri

Verse 53 — Surah Ar-Rahman 55:53

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

Verse 54 — Surah Ar-Rahman 55:54

(Abalibeeramu) baliba bagalamidde ku byaliiro, nga munda mwabyo mulimu Liiri omuzito, nga ne nimiro za jjana zombi ebibala byamwo bireebeeta (byangu bya kulaba era byangu bya kunoga)

Verse 55 — Surah Ar-Rahman 55:55

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

Verse 56 — Surah Ar-Rahman 55:56

Mu zo (e jjana) mulimu abakyala abamaaso amakkakkamu (embeerera) nga tebakwatwangako muntu yenna wadde ejinni oluberyeberye lwabwe (abo abaliba babaweereddwa mu jjana)

Verse 57 — Surah Ar-Rahman 55:57

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

Verse 58 — Surah Ar-Rahman 55:58

(Olwo bulungi bwabwe) baliba nga Yaakut ne Marijaan (amayinja ag’omuwendo)

Verse 59 — Surah Ar-Rahman 55:59

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

Verse 60 — Surah Ar-Rahman 55:60

Abaffe empera y’okukola obulungi (eyinza okuba ekintu ekirala kyonna) okugyako okusasulwa obulungi

Verse 61 — Surah Ar-Rahman 55:61

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

Verse 62 — Surah Ar-Rahman 55:62

Nga oggyeko ezo ebbiri baakufuna ate e jjana endala bbiri

Verse 63 — Surah Ar-Rahman 55:63

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

Verse 64 — Surah Ar-Rahman 55:64

Eza kiragala omukwafu

Verse 65 — Surah Ar-Rahman 55:65

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

Verse 66 — Surah Ar-Rahman 55:66

Mu zombi mulimu ensulo bbiri ezifukumuka amazzi

Verse 67 — Surah Ar-Rahman 55:67

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

Verse 68 — Surah Ar-Rahman 55:68

Mu zombi mulimu ebibala n’emitende ne nkoma mawanga

Verse 69 — Surah Ar-Rahman 55:69

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

Verse 70 — Surah Ar-Rahman 55:70

Muzonna awamu zirimu abakyala abalungi be mpisa era abalungi mu ndabika

Verse 71 — Surah Ar-Rahman 55:71

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

Verse 72 — Surah Ar-Rahman 55:72

Ba nalulungi abatafulumafuluma mu weema

Verse 73 — Surah Ar-Rahman 55:73

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

Verse 74 — Surah Ar-Rahman 55:74

Nga tebakwatwangako muntu yenna wadde ejinni oluberyeberye lwabwe, (abo abaliba babaweereddwa mu jjana)

Verse 75 — Surah Ar-Rahman 55:75

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

Verse 76 — Surah Ar-Rahman 55:76

Baliba besigamye ku mitto egiriko ebibikka ebya kiragala ne byaliiro ebirungi ennyo

Verse 77 — Surah Ar-Rahman 55:77

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

Verse 78 — Surah Ar-Rahman 55:78

Sukkulumu erinnya lya Mukama omulabirizi wo nannyini kugulumizibwa n’okuweebwa ekitiibwa