Back to Languages

    Ganda - Chapter 111

    Translation by Fareeq Musa

    Verse 1

    Mu Hadith eri mu kitabo kya Bukhari Nabbi yagenda ku Batwhahu naakuba wuuli abantu bangi bajja nga balowooza nti waliyo ebya maguzi, Nabbi bweyatandika okubabuulira ebikwata ku Katonda, Abu Lahbi naakasuka e mikono nga bwagamba nti kino kyotukunganyirizza era kyotuyitidde? Zikirira. Katonda kwe kumwanukula mu ssura eno naagamba nti: (Gizikirire e mikono gya Abu Lahbi (gyawuuba), era ddala yenna yazikirira

    Verse 2

    Eby'obugaggabwe tebimugasizza, wadde n’ebirala bye yafuna, (nga e kitiibwa)

    Verse 3

    Ajja kwesonseka mu muliro ogubumbujja

    Verse 4

    Ne mukyalawe omwetissi w’enku (naye bwatyo)

    Verse 5

    Nga mu nsingoye mulimu omuguwa omulange