Back to Languages

    Ganda - Chapter 15

    Translation by Fareeq Musa

    Verse 1

    Alif Laam Raa, zino ze zimu ku Aya z'ekitabo, era nga ye Kur’ani ennyinyonnyofu

    Verse 2

    Lumu, abo abaakaafuwala balyegomba okuba nti singa baali basiraamu

    Verse 3

    Baleke balye, era beeyagale era essuubi (mu kuwangaala) libalabankanye, kyaddaaki balimanya

    Verse 4

    Tetwazikiriza kitundu kyonna okugyako nga kyalina ekiseera ekimanyiddwa

    Verse 5

    Tewali bantu bakulembera ntuuko yaabwe era tebayinza kusaba kwongerwayo (okusaba kwa bwe ne kuyitamu)

    Verse 6

    Nebagamba (abakaafiiri) nti owange ggwe eyassibwako ekijjukiza (Kur’ani) mazima ddala ggwe oli mulalu

    Verse 7

    Waakiri singa otuleetera ba Malayika bwoba nga oli mu boogera amazima

    Verse 8

    (Katonda naagamba) nti: tetussa ba Malayika okugyako lwa nsonga n'olwekyo (singa twabaweereza ba Malayika) tebandibadde balindirizibwa

    Verse 9

    Mazima ffe, ffe twassa ekijjukiza (Kur’ani) era mazima ffe tujja kugikuuma

    Verse 10

    Mazima nga tonnajja twatumira ebibiina ebyakulembera

    Verse 11

    Era tewali mubaka yenna eyabajjira okugyako baamujeejanga

    Verse 12

    (Nga bwe twayingiza obukaafiiri mu mitima gya bakaafiiri abaakulembera) bwe tutyo bwe tubuyingiza mu mitima gy'aboonoonyi (abo mu bantubo)

    Verse 13

    (Obubaka bwo) tebabukkiriza ate nga ekyatuuka ku baabakulembera kimanyiddwa

    Verse 14

    Era singa twabaggulirawo omulyango mu ggulu nebaba nga balinnyira mu gwo (nga bwe bakka)

    Verse 15

    Baaligambye nti mazima amaaso gaffe gatamiiziddwa si nakindi ffe tuli bantu abaloge

    Verse 16

    Mazima twassa ku ggulu ebifo by'emmunyenye netulinyiriza eri abalabi

    Verse 17

    Era netulikuuma ku buli Sitane eyagobwa mu kusaasira kwa Katonda

    Verse 18

    Wabula oyo Sitane aba awulirizza mu bubba olwo nno ekitawuliro ekyeyolefu nekimufubutula emisinde

    Verse 19

    N’ensi twagigaziya, netugisimbamu enkondo (ensozi), netumeza mu yo buli kintu nga kya kigero

    Verse 20

    Netubateera (mmwe) mu yo ebiyimirizaawo obulamu bwa mmwe, n'ebiyimirizaawo obulamu bw'ebyo bye mutaliisa

    Verse 21

    Tewali kintu kyonna okugyako nga ffe tulina amawanika g'akyo ate tetubissa okugyako nga kigero ekisaliddwawo

    Verse 22

    Era tusindika empewo eyamba ebire okubaamu amazzi, olwo nno netussa enkuba okuva waggulu, netubanywekereza nayo mmwe, so nga si mmwe muba mugaterese

    Verse 23

    Era mazima ffe tuwa obulamu, era netutta era ffe tugenda okusigalawo

    Verse 24

    Era mazima ddala twamanya abalisooka mu mmwe (okufa) era mazima twamanya abalisembayo

    Verse 25

    Era mazima Mukama omulabiriziwo yaali bakunganya (ku lunaku lw'enkomerero) anti mazima yye mugoba nsonga, muyitirivu wa kumanya

    Verse 26

    Mazima twakola omuntu (Adam) mu bbumba ettabule nga liddugavu

    Verse 27

    N'amajjini twagatonda oluberyeberye mu muliro omuyitirivu ogwokya ennyo

    Verse 28

    Jjukira ggwe (Nabbi Muhammad) Mukama omulabiriziwo bwe yagamba ba Malayika nti: mazima nja kutonda omuntu nga muggya mu bbumba ekkaze

    Verse 29

    Olwo nno bwe nnamala okumwenkanyankanya, nenfuuwa mu ye omwoyo oguva gyendi kale nno mugwe wansi nga mumuvunnamira

    Verse 30

    Olwo ba Malayika bonna nebavunnama

    Verse 31

    Okugyako Ibuliisu yagaana okubeera mu bavunnama

    Verse 32

    (Katonda) kwe kugamba nti: owange ggwe Ibuliisu ki ekikugaanye okuvunnama n'abavunnami

    Verse 33

    (Ibuliisu) nti: sandibadde avunnamira omuntu, gwotonze nga omuggya mu bbumba ekkaze eriddugavu

    Verse 34

    (Katonda) kwe kumugamba nti gifulume (e jjana) anti ggwe ogobeddwa okuva mu kusaasira kwa Katonda

    Verse 35

    Era mazima ekikolimo kibeere ku ggwe okutuusiza ddala olunaku lw'okubalibwa

    Verse 36

    (Ibuliisu) naagamba nti: Ayi Mukama Omulabirizi wange, nnindiriza okutuusa ku lunaku lw'okusasulwa

    Verse 37

    (Katonda) naagamba nti kale oli mubalindiriziddwa

    Verse 38

    Okutuusa ku lunaku lw'ekiseera ekimanyiddwa (ebitonde byonna lwe birizikirira)

    Verse 39

    (Ibuliisu) naagamba nti: ayi Mukama omulabirizi wange nga bwombuzizza, mazima nja kubawundira kuno ku nsi (obujeemu n'ebibi bibe nga by'ebirungi mu maaso gaabwe) era nja kubabuliza ddala bonna

    Verse 40

    Okugyako abaddubo mu bo abalondobemu

    Verse 41

    (Katonda) naagamba nti lino kkubo ggolokofu

    Verse 42

    Mazima abaddu bange tobalinaako buyinza, mpozzi abo abakugoberera mu babuze

    Verse 43

    Era mazima omuliro Jahannama gwabalagaanyisibwa bonna

    Verse 44

    Gulina emiryango musanvu, buli mulyango gulina mu bo omuteeko ogwagugerekerwa

    Verse 45

    Mazima abatya Katonda balibeera mu jjana n'ensulo nga zikulukuta

    Verse 46

    (Baligambibwa) nti mugiyingire nga muli mirembe nga temulina kutya kwonna

    Verse 47

    Netujjawo buli kakuku akali mu bifuba bya bwe nebaba ab'oluganda. Olwo nno nga bali ku bitanda nga batunuuliganye (banyumya)

    Verse 48

    Tebagenda kutuukibwako kukoowa era nga bwe batagenda kufulumizibwamu

    Verse 49

    Tegeeza abaddu bange nti nze musonyiyi ennyo omusaasizi

    Verse 50

    Era nti mazima ebibonerezo byange by'ebibonerezo ebiruma ennyo

    Verse 51

    Era bategeeze ebikwata ku bagenyi ba Ibrahim

    Verse 52

    Mu kiseera bwe baayingira we yali nebagamba nti mirembe (Salaamu) naagamba (Ibrahim) mazima ffe tubatidde

    Verse 53

    Nebagamba nti totya, mazima ffe tukuwa amawulire ag'essanyu (ag'okuzaala) omwana omulenzi omumanyi ennyo

    Verse 54

    (Ibrahim) naagamba nti: mumpa amawulire ag'essanyu nga n'obukadde bumaze okunzingiza olwo mawulire ga ssanyu nnabaki

    Verse 55

    Nebagamba nti, tukuwadde amawulire ag'essanyu mu bwesimbu, tobeeranga mu bakutuka n'okusuubira

    Verse 56

    Naagamba nti nga ani akutuka n'okusaasira kwa Mukama omulabiriziwe mpozzi ababuze

    Verse 57

    Naagamba nti kiki ekibaleese abange mmwe abatumiddwa

    Verse 58

    Nebagamba nti: mazima ffe tusindikiddwa eri abantu aboonoonyi

    Verse 59

    Ng'oggyeko abenju ya Luutu mazima ddala ffe bonna tujja kubawonya

    Verse 60

    Okugyako mukyalawe, twakisalawo nti mazima yye waakubeera mu abo abataligenda (naye)

    Verse 61

    Ababaka bwe baatuuka awali abantu ba (Nabbi) Luutu

    Verse 62

    (Luutu) naagamba nti mazima mmwe muli abantu abatamanyidddwa

    Verse 63

    Nebagamba nti: ssi ekyo kyokka wabula tukujjidde n'ekyo kye baali babuusabuusa

    Verse 64

    Era tukuleetedde amazima, era ddala ffe bye twogera bituufu

    Verse 65

    Kale tambula n'abantubo mu kitundu ky'ekiro era (ggwe) baveeko emabega tewaba omu ku mmwe akyuka, era mugende eyo gye mulagiddwa

    Verse 66

    Netumuwa ekiragiro nti abasembayo ku bo baakuggwawo nga busaasaana

    Verse 67

    Abantu bo mu kibuga nebajja (ewa Luutu) nga bafa essanyu (olw'abagenyi abavubuka abaali bakyaddeyo)

    Verse 68

    (Luutu) naagamba nti mazima abo bemulaba bagenyi bange temunsonyiwaza

    Verse 69

    Era mutye Katonda temunswaza

    Verse 70

    Nebagamba nti: abaffe tetwakugaana (okuleeta wano) abantu

    Verse 71

    Naabagamba nti bawala bange baabo bwe muba nga mulina kukikola

    Verse 72

    (Katonda agamba nti) ndayidde obulamu bwo (ggwe Muhammad) mazima bo mu kukola ebyo byonna, baali babuyaanira mu butamiivu bwabwe

    Verse 73

    Okubwatuka (okwamaanyi) nekubatuukako nga enjuba evaayo

    Verse 74

    (Netuvuunika ebyalo byabwe) netuzza waggulu waabyo wansi, netubafukirira amayinja ag'o mu bbumba eryokye

    Verse 75

    Mazima mu ebyo mulimu obubonero eri abo abalondoozi b'obubonero

    Verse 76

    Era mazima ebyalo ebyo (ebyazikirizibwa) biri ku kkubo erikyaliwo (agendayo asobola okubiraba)

    Verse 77

    Mazima mu ebyo mulimu akabonero (akalaga obusobozi bwa Katonda) eri abakkiriza

    Verse 78

    Era mazima n'abantu b'omukibira baali beeyisa bubi

    Verse 79

    Netubazikiriza era mazima abantu ab'emirundi ebiri (aba Luutu ne Swaibu) baali ku kkubo erimanyiddwa (buli ayitawo alabawo)

    Verse 80

    Mazima abantu be Hijiri baalimbisa ababaka (bwe baalimbisa Nabbi Swaleh)

    Verse 81

    Era netubaleetera obubonero bwaffe naye nebabwawukanako

    Verse 82

    Baasimanga ensozi, nebakolamu amayumba mwe baawangaaliranga mu ddembe

    Verse 83

    Okubwatuka nekubakwata nga bukya

    Verse 84

    Ebyo bye baakolanga tebyabayamba

    Verse 85

    Era tetwatonda eggulu omusanvu n'ensi n'ebyo ebiri wakati wa byombi okugyako ku lwakigendererwa, era nti mazima essaawa esembayo ejja kutuuka, kale nno lekera olulekera olulungi

    Verse 86

    Mazima Mukama omulabiriziwo yye ye mutonzi amanyi ennyo

    Verse 87

    Era mazima twakuwa ayaa omusanvu eziddinganwa (Surat Al Fatiha) ne Kur’ani ey'ekitiibwa (yonna)

    Verse 88

    Tokanulanga amaaso go (nga otunuulira nga weegomba) eri ebyo bye twasanyusa nabyo emitindo egimu ku bo, era tebakunakuwazanga era wekkakkanye eri abakkiriza

    Verse 89

    Era bagambe nti mazima nze ndi mutiisa ow'olwatu

    Verse 90

    Nga bwe twassa ku abo abagabanya (mu bubaka bwa Katonda)

    Verse 91

    Abo abafuula Kur’ani ebiwayi

    Verse 92

    Ndayira Mukama omulabiriziwo nti mazima bonna tugenda kubabuuliza ddala

    Verse 93

    Ku ebyo bye baakolanga

    Verse 94

    Kale yogera mu lwatu ekyo ekikulagirwa, era oyawukane ku bagatta ku Katonda ebintu ebirala

    Verse 95

    Mazima ffe twakumalira abajeeja

    Verse 96

    Abo abassa ku Katonda ba katonda abalala, nebwebuliba ddi balimanya

    Verse 97

    Tumanyidde ddala nti mazima ggwe ekifuba kyo kifunda olw'ebyo bye boogera

    Verse 98

    (Ggwe kyoba okola) tendereza ebitendo bya Mukama omulabiriziwo era obeere mu bavunnama

    Verse 99

    Era sinza Mukama omulabiriziwo okutuusa obukakafu (okufa) lwe bulikujjira