Back to Languages

    Ganda - Chapter 69

    Translation by Fareeq Musa

    Verse 1

    Olunaku olwokwolesa amazima (olunaku lw’enkomerero)

    Verse 2

    Olunaku lwokwolesa amazima kyeki

    Verse 3

    Naye omanyi olunaku olwokwolesa amazima kyeki

    Verse 4

    Abantu ba Thamud n'aba A'adi baalimbisa olunaku olwentiisa

    Verse 5

    Abantu ba Thamud bazikirizibwa nakubwatuka okwamanyi

    Verse 6

    Ate ba A'adi nebazikirizibwa nakibuyaga owamanyi ennyo eyalimu obunyogovu

    Verse 7

    Gweyabamazaamu ebiro musanvu nenaku munaana awatali kuyimiriramu, walaba abantu nga bagudde eri nga balinga enduli zemitende ezikutuddwako amasanso

    Verse 8

    Gwe mu kulaba waliwo eyawona

    Verse 9

    Farawo, n'abamukulembera, naabo abali kubyalo bya Luutu bayonoona

    Verse 10

    Ekyatuusa buli bamu okujeemera omubaka Katonda gwe yabatumira. Katonda kye yava abakwata olukwata oluyitirivu

    Verse 11

    Aba Nuhu amazzi bwegaabooga okubawonya twabasaabaliza mulyato

    Verse 12

    Olwo nno tulyoke tukibafuulire mmwe ekyokwebuulirira era gakitegeere amatu agategeera

    Verse 13

    Naye engombe bwerifuyibwa olufuuwa olusooka

    Verse 14

    Ensi nensozi birisitulwa nebimementulwa omulundi gumu

    Verse 15

    Olwo nno olunaku lw’enkomerero luliba lutuuse

    Verse 16

    Eggulu ligenda kweyasaamu, nga ku lunaku olwo ligenda kuba lyabirivu

    Verse 17

    Nga ba Malayika bali kumabbali galyo, nga waggulu waabwe kulunaku olwo ba Malayika munaana beebalisitula Arishi y'amukama Katonda wo

    Verse 18

    Ku lunaku olwo mugenda kuleetebwa mubalibwe tewali kintu kyonna kyemukola kigenda kwekweka

    Verse 19

    Naye oyo alikwasibwa ekitabo kye mu mukono gwe ogwaddyo agenda kugamba nti abange mujje musome ekitabo kyange

    Verse 20

    Mazima nali nkakasa nti ngenda kubalibwa

    Verse 21

    Oyo nno agenda kubeera mu bulamu obwesiimisa

    Verse 22

    Mu jjana ey'a waggulu

    Verse 23

    Ebibala byayo nga birengejjera kumpi

    Verse 24

    Kale mulye era munywe muyogeyoge olwebyo byemwakulembeza mu nnaku ezaayita

    Verse 25

    Naye oyo alikwasibwa ekitabo kye mu mukono gwe ogwa kkono aligamba nti zinsanze singa siwereddwa kitabo kyange

    Verse 26

    Era nessimanya kubalibwa kwange

    Verse 27

    Waakiri singa bwennafa kyekyamala nessizuukira

    Verse 28

    Ebyobugagga byange tebingasizza

    Verse 29

    Sikyalina byakuwoza

    Verse 30

    Mu kiseera ekyo Katonda agenda kulagira nti mumukwate mumulijje

    Verse 31

    Bwemumala mumukasuke mu muliro

    Verse 32

    Bwemumala mumuyiseemu olujegere oluwanvu bwalwo obwenkana emikono nsanvu

    Verse 33

    Anti yali takkiriza Katonda owekitiibwa

    Verse 34

    Era nga takubiriza kuliisa banaku

    Verse 35

    N'olwekyo olwaleero wano talinawo muntu amulumirwa

    Verse 36

    Nga bwatalina kyakulya okugyako masirasira

    Verse 37

    Ebintu ebitayinza kulibwa okugyako abonoonyi

    Verse 38

    Tewali kingana kulayira ebyo byemulaba

    Verse 39

    Nebyo byemutalaba

    Verse 40

    Mazima Kur'ani bigambo bya Katonda byeyassa ku mubaka (Nabbi Muhammad) ow'ekitiibwa

    Verse 41

    Ssi bigambo bya mutontomi naye Iman yammwe yentono

    Verse 42

    Era sibigambo bya mulaguzi naye mufumitiriza kitono (nemutasobola ku byawula)

    Verse 43

    Byassibwa ku ye okuva eri omulezi w'ebitonde

    Verse 44

    Singa yetantala natwogeza ebigambo byetutaamutuma

    Verse 45

    Twalimukutteko n'amanyi

    Verse 46

    Olwo nno netumukutula omusuwa gw'obulamu

    Verse 47

    Era tewali mumwe ayinza kutulemesa kutuukiriza ekyo kuye

    Verse 48

    Mazima yyo Kur'ani kyakwebuulirira eri abatya Katonda

    Verse 49

    Era mazima ddala tumanyi nti mu mmwe mulimu abalimbisa (Kur'ani)

    Verse 50

    Mazima okugirimbisa (Kur'ani) kugenda kubeera kwejjusa kunene eri abakafiiri

    Verse 51

    Mazima yo Kur'ani ge mazima aga namaddala

    Verse 52

    Kale nno tendereza erinnya lya Mukama Katonda wo owekitiibwa