Back to Languages
Ganda - Chapter 70
Translation by Fareeq Musa
Verse 1
Mu ngeri y'okunyomerera" omu ku bakafiiri" yasaba oba ebibonerezo bijja bijje, so nga ate ddala byakujja
Verse 2
Bituuke ku bakafiiri tewali agenda kubigaana kubatuukako
Verse 3
Nga biva eri Katonda nnyini madaala agalinya muggulu
Verse 4
Ba Malayika nga ne Jiburilu mwomutwalidde mwebayita nga bolekera eri Katonda, ekibatwalira olunaku lumu lwokka naye nga ate lwenkanankana e myaka e mitwalo etaano (egy'okunsi)
Verse 5
Kale nno gumikiriza olugumikiriza olulungi
Verse 6
Mazima bbo balaba ebibonerezo nga biri wala
Verse 7
Ate nga ffe tulaba nga biri kumpi
Verse 8
Ku lunaku eggulu lwelirikulukuta nga omuzigo omusanuuse
Verse 9
Ate ensozi neziba nga pamba asunsuddwa
Verse 10
Era tewali wamukwano agenda kubuuza bikwata ku ffa nfe we
Verse 11
Bagenda kuba nga beeraba (naye nga tebayinza kuyambagana). Omwonoonyi olwokwagala okuwona ebibonerezo byolunaku olwo, aliyagala okwenunula nga awaayo abaanabe
Verse 12
Mukyalawe ne mugandawe
Verse 13
N'ekika kye ekimukuuma
Verse 14
Nabantu bonna abali munsi, nga ekyo akikola awone ebibonerezo bya Katonda
Verse 15
Tekigenda kuba nga bwayagala, mazima ayolekedde muliro ogubumbujja
Verse 16
Ogusiriiriza ddala eddiba
Verse 17
Gugenda kukowoola buli eyakubayo amabega nakyuka okuva ku mazima
Verse 18
Era nga yakungaanyanga emmali nagitereka "natagyamu mugabo gugitukuza
Verse 19
Mazima omuntu yatondebwa nga wamulugube
Verse 20
Nga bwatuukibwako akabi ayitirira okutya
Verse 21
Ate bwaba afunye akalungi ayitirira obukodo
Verse 22
Okugyako abo abayimirizaawo e sswala
Verse 23
Abo nga okusaala kwabwe kwalubeerera
Verse 24
Era abo mu by'obugagga byabwe mulimu omugabo ogumanyiddwa
Verse 25
Guweebwa abasabi n'abafuna mpola
Verse 26
Era bebo abakakasa o kubeerawo kw'olunaku lw'enkomerero
Verse 27
Era abo abatya ebibonerezo bya Mukama Katonda waabwe
Verse 28
Kubanga mazima ebibonerezo byamukama Katonda sibyakuwonwa
Verse 29
Era abo abakuuma obwerere bwabwe
Verse 30
Okugyako ku bakyala babwe oba abazaana abali mu mikono gyabwe, anti bo tebanenyezebwa kwabo
Verse 31
Omuntu asukka ku abo, abo nno be babuusi bensalo
Verse 32
Era abantu abalungi abogeddwako waggulu, bebatuukiriza obwesigwa bwabwe nendagaano zaabwe
Verse 33
Era abo abeesimbu mu bujulizi bwabwe
Verse 34
Era abo abasaala e sswala zaabwe mu bujjuvu
Verse 35
Abo nno balibeera mu jjana nga baweebwa ebitiibwa
Verse 36
Lwaki abakafiiri bajja gyoli nga banguwa "so nga ate bakulimbisa
Verse 37
Nga bali ku mukono gwo ogwa ddyo ne ku mukono ogwa kkono mu bibinja
Verse 38
Buli omu kubo asuubira okuyingira e jjana eyebyengera
Verse 39
Nedda sibwekiri, mazima ffe twabakola nga tubajja mwebyo byebamanyi
Verse 40
Ndayira Katonda nannyini buvanjuba nobugwanjuba, mazima ffe tusobolera ddala
Verse 41
Okubawanyisaamu abalungi ababasinga era tetuli ffe baakulemesebwa
Verse 42
Ggwe baveeko babeere mu bukafiiri bwabwe nga bwebazannya okutuusa lwebalisisinkana olunaku lwabwe, olwo lwebalaganyisibwa
Verse 43
Olunaku lwebalifuluma mu ntaana zaabwe nga baduma nga balinga abagenda eri ebendera ebatereddwawo
Verse 44
Amaaso gabwe makakkamu, obuswavu nga bubabuutikidde, olwo lwe lunaku lwe balaganyisibwa