Back to Languages

    Ganda - Chapter 76

    Translation by Fareeq Musa

    Verse 1

    Omuntu tajjukira nti waayitawo ekiseera kinene nga tayogerwako (nga tannatondebwa)

    Verse 2

    Mazima ffe twatonda omuntu nga ava mu kwetabula kwamazzi (ag'omusajja n'omukazi) naye nga waakugezesebwa mu bulamu bwe. Kyetwava tumuwa okuwulira n'okulaba

    Verse 3

    Mazima ddala twamulaga e kkubo, kiri gyali yeebaza naasinza Katonda omu oba ajeema n'awakanya

    Verse 4

    Mazima ddala abakafiiri twabategekera enjegere n'amakoligo n'omuliro ogutuntumuka

    Verse 5

    Mazima abakozi bobulungi bagenda kunywa ekyokunywa nga kitabuddwa mu kafuura

    Verse 6

    Olwo nno luliba luzzi abaddu b'a Katonda abeeyisa obulungi kwebagendanga okunywa, lugenda kukulukuta nga buli muntu lumutuukako waali

    Verse 7

    (Bagenda kutuuka kwebyo kubanga) kuno ku nsi baatuukiriza nnaziri zaabwe, era nga batya olunaku olwo obuzibu bwalwo obugenda okubuutikira e nsi n'eggulu

    Verse 8

    Era bagabira abanaku ne bamulekwa nabasibe emmere awamu n'okuba nti bo bennyini bagyetaaga

    Verse 9

    Nga bagamba nti mazima tubaliisa lwa Katonda tetubaagalamu mpeera wadde okwebaza

    Verse 10

    (Ekitukozesa bino lwakuba nti) mazima ddala ffe tutya engeri gye tulisisinkanamu Katonda waffe ku lunaku e byenyi (bya bantu) lwe birijjula emitaafu nga byekabye

    Verse 11

    N'olwekyo nno Katonda wakubawonya obuzibu bw'olunaku olwo era abawe okutangalijja kwe byenyi awamu n'essanyu

    Verse 12

    Era wakubasasula olwobugumikiriza, nga abayingiza e jjana omuli ebyambalo bya Siliki (awamu nokuba nti kunsi abasajja baaziyizibwa okumwambala)

    Verse 13

    Balituula mu ntebe ez'omuwendo nga besigamye, tebagenda kutukwako kwokya kwanjuba wadde obutiti

    Verse 14

    Era nga mulimu emiti egiribakolera ebisiikirize, era nga nebibala byamu bigenda kuba byangu byakunoga

    Verse 15

    Baligabulirwa ku sowane eza feeza era bakunywera ku girasi ezitemagana

    Verse 16

    Ziritemegana anti ziriba zaakolebwa mu feeza, ziriba zimala bumazi okubeeramu ekyokunywa ekimalawo obwetaavu bwoyo anywa

    Verse 17

    Era bagenda kuweebwa eby'okunywa ebiri mu girasi nga bitabulwamu entangawuzi

    Verse 18

    Eyo nno egenda kuba nsulo mu jjana eyitibwa "Salsabiila

    Verse 19

    Bagenda kuweerezebwanga abaweereza abolubeerera, nga bwobatunulako bwoti olaba lu'ulu asasanyiziddwa

    Verse 20

    Buli wonotunulanga mu jjana ng'olaba ebyengera ebisuffu n'obwanannyini obutaliiko kkomo

    Verse 21

    Baliba bambadde engoye eza Siliki omuweweevu owakiragala ne Siliki omuzito, era bagenda kuba bawundiddwa nebikomo ebya feeza, era Mukama Katonda waabwe agenda kubawa ebyokunywa ebitukuvu

    Verse 22

    (Baligambwa nti) Mazima ebyo byonna yempeera yammwe, mazima okutegana kwa mmwe kusiimiddwa

    Verse 23

    Mazima ffe twakussaako Kur'ani (gwe Nabbi Muhammad) olussa

    Verse 24

    Kale nno beera mugumikiriza ku kugera kwa Katondawo, togezaako okugondera omwonoonyi oba omuwakanyi yenna

    Verse 25

    Era yogeranga kulinnya lya Mukama Katondawo enkya neggulo

    Verse 26

    Ne mukiro muvunnamire ng'osaala era omutendereze mu ttumbi ebbanga ggwanvu

    Verse 27

    Mazima abatakkiriza basinga kwagala birungi byansi ebyamangu, ne basuulayo gwannaggamba ku bikwata ku lunaku lw'enkomerero oluzito

    Verse 28

    Ffe twabatonda ne tugumya e biyungo byabwe, naye nga bwe tuba twagadde (tuyinza okubazikiriza) ne tuleeta abantu abalala

    Verse 29

    Mazima obubaka bwa Kur'ani buno kya kwebulirira era nga kyakujjukiza, n'olwekyo aba ayagadde asanye y'eteerewo ekkubo erimutuusa eri Katondawe

    Verse 30

    Naye ate temusobola kwagala okugyako nga Katonda ayagadde, mazima Katonda lubeerera amanyi, assa buli kintu mussa lyako

    Verse 31

    Ayingiza oyo gwaba ayagadde mu kusaasirakwe, ate bbo abalyazamanyi yabategekera ebibonerezo ebiruma

    Unexpected Application Error!

    Unexpected token '<', "<!DOCTYPE "... is not valid JSON

    SyntaxError: Unexpected token '<', "<!DOCTYPE "... is not valid JSON