Back to Languages

    Ganda - Chapter 81

    Translation by Fareeq Musa

    Verse 1

    Enjuba bw'erizingwako

    Verse 2

    Nga n’emunyeenye zikunkumuse

    Verse 3

    Era ensozi bwe zirikungunsibwa (ne zigibbwawo)

    Verse 4

    Nga n’ebisolo ebyo mu maka nga tebikyafiibwako (newakubadde nga biriba mawako)

    Verse 5

    N’ebisolo by’omu nsiko nabyo nga bikungaanyiziddwa

    Verse 6

    Nga n’ennyanja zikuumiddwako omuliro (ne zibumbujja)

    Verse 7

    Nga n’emyoyo gigatiddwa buli egifaanagana nga giri wamu (Emirungi nga giri n’emirungi, e mibi nga giri n’emibi)

    Verse 8

    Era omwana omuwala eyaziikibwa nga mulamu bw'aliba abuuziddwa

    Verse 9

    Kibi ki ekyamussa

    Verse 10

    Ebiwandiiko bwe biribeera nga bisasaanyiziddwa (nga buli kiwandiiko kituuka ku nnannyini kyo, omuli ebyo bye yakola ku nsi)

    Verse 11

    E ggulu bwe liriba liggyiddwawo

    Verse 12

    Nga n’omuliro gukoleezeddwa

    Verse 13

    Nga n’ejjana esembezeddwa

    Verse 14

    Olwo omuntu alimanya ekyo kye yakola (kibe kirungi oba kibi)

    Verse 15

    Ndayira e munyeenye ezibulawo

    Verse 16

    Ezibula emisana ne zirabika ekiro

    Verse 17

    Era ndayira ekiro bwe kiba nga kyolekedde okuggwaawo

    Verse 18

    Era ndayira n’amakya g’obudde nga busaasaana

    Verse 19

    Mazima yyo (Kur'ani) kigambo kya mubaka (Jiburilu) ow'ekitiibwa (ky’aggya eri Katonda n’akireetera Nabbi Muhammad)

    Verse 20

    Oyo (Jiburilu) owaamaanyi era ow'ekitiibwa eri nnannyini Arishi

    Verse 21

    Agonderwa (ba Malayika banne) eyo (mu ggulu) ng'ate mwesigwa

    Verse 22

    Era munnammwe (Nabbi Muhammad) si mulalu

    Verse 23

    Mazima ddala ye (Muhammad) yamulaba (Jiburilu) mu bweyolefu nga ajjudde obwengula

    Verse 24

    Era tali (Nabbi Muhammad) ku bigambo ebyekwese (ebikwata ku bubaka obuva eri Katonda n'ebigambo by'omu ggulu) ayinza obutatuukiriza

    Verse 25

    (Ebigambo bya Kur'ani Muhammad byayogera) si bigambo bya sitaani omukolimire

    Verse 26

    Naye ddala mulaga wa

    Verse 27

    Wabula Yo (Kur'ani) kyakubuulirira eri ebitonde byonna

    Verse 28

    Eri oyo mu mmwe aba ayagadde okulungama

    Verse 29

    Naye ate temujja kwagala okugyako nga Katonda Omulezi w’ebitonde ayagadde