Back to Languages

    Ganda - Chapter 88

    Translation by Fareeq Musa

    Verse 1

    Abaffe wali ofunye okunyumizibwa ku kibuutikira (eky’olunaku lw'enkomerero)

    Verse 2

    Olunaku olwo ebyenyi bigenda kuba nga biswavu

    Verse 3

    Nga bitawaana, nga bikoowu

    Verse 4

    Nga byesonseka omuliro ogwengeredde

    Verse 5

    Bigenda kunywesebwa ku luzzi olweseze

    Verse 6

    (Abantu abo) tebagenda kubeera na kya kulya kyonna okugyako e miti egy’amaggwa

    Verse 7

    Egitaliimu kiriisa wadde okuwonya e njala

    Verse 8

    Ebyenyi e birala bigenda kubeera mu byengera

    Verse 9

    Bigenda kusiima olw’okutakabana kwa byo

    Verse 10

    Nga biri mu jjana ey’awaggulu

    Verse 11

    Togenda kuwulira mu yo bigambo bya butaliimu

    Verse 12

    Mu jjana mulimu e nsulo e zikulukuta

    Verse 13

    Era nga mulimu ebitanda ebisitufu (Ebiwunde)

    Verse 14

    N’ebikopo ebinywerwamu ebitegekeddwa

    Verse 15

    N’emitto egisimbiddwa ennyiriri

    Verse 16

    N’ebyaliiro nga byanjuluziddwa

    Verse 17

    Abaffe tebatunuulira (olutunuulira olw’okuyiga) engamiya ngeri ki bwe yatondebwa

    Verse 18

    N’eggulu nga bwe lyasitulwa

    Verse 19

    N’ensozi engeri gye zaasimbwamu

    Verse 20

    N’ensi engeri gye yaseetezebwamu

    Verse 21

    Kale nno buulirira gwe (Nabbi Muhammad) kubanga oli mubuulirizi

    Verse 22

    Toliiwo kubakaka

    Verse 23

    Naye abo abanaava ku bigambobyo ne bajeema

    Verse 24

    Katonda agenda okubabonereza e bibonerezo e bisinga okuba e bikakali

    Verse 25

    Mazima ddala gyetuli y’eri obuddo bwabwe

    Verse 26

    Oluvanyuma ddala okubalibwa kwabwe kuli ku ffe