Back to Languages
Ganda - Chapter 91
Translation by Fareeq Musa
Verse 1
Ndayira e njuba n’okwaka kwayo
Verse 2
Era ndayira o mwezi bweguba nga gugoberedde e njuba (ng’egudde)
Verse 3
Era ndayira obudde obw’emisana nga bwerudde enjuba
Verse 4
Era ndayira ekiro bwe kiba nga kigibisse
Verse 5
Era ndayira e ggulu n’eyalitonda
Verse 6
Era ndayira e nsi n’oyo eyajaaliira
Verse 7
Era ndayira omuntu n’eyamutonda
Verse 8
N’amuwa okwawula wakati w’ekibi n’ekirungi
Verse 9
Yeesiimye alongoosa omwoyogwe okuguggya mu bibi
Verse 10
Aviiriddemu awo oyo agunnyika mu bibi
Verse 11
Abantu ba Thamuud, olw'obwonoonefu bwabwe baalimbisa (omubaka waabwe)
Verse 12
Asinga obwonoonefu mu bo bwe yeesowolayo (naafumita engamiya)
Verse 13
Omubaka wa Katonda n’abagamba “muleke e ngamiya ya Katonda n’okunywa kwayo”
Verse 14
Kyokka ne bamulimbisa ne bagifumita. Katonda omulabirizi waabwe kwe kubabuutikira olw’obwonoonefu bwabwe awatali n’omu kuwona
Verse 15
Era tatya nkomerero y'ekyo (eky'okubazikiriza)