Back to Languages
Ganda - Chapter 92
Translation by Fareeq Musa
Verse 1
Ndayira ekiro bwe kiba kibisse (e nsi)
Verse 2
Ndayira n'obudde bwemisana bwe buba nga bwetadde
Verse 3
Ndayira oyo eyatonda ekisajja n’ekikazi
Verse 4
Mazima ddala okulafuubana kwa mmwe si kwe kumu
Verse 5
N'olwekyo, omuntu awaayo ekintu kyonna ng’atya Katonda
Verse 6
Nakkiriza e birungi. (ebiva mu kukkiriza Katonda)
Verse 7
Tujja kumwanguyiza e kkubo erimutuusa eri obwangu
Verse 8
Ate oyo akodowala ne yeegaggasa (ng’alowooza nti ebiri ewa Katonda tabyetaaga)
Verse 9
N’alimbisa obubaka obwakkira ku Nabbi Muhammad
Verse 10
Tujja kumwanguyiza okutuuka eri obuzibu
Verse 11
N’obugaggabwe tebugenda kumugasa ng’ayingidde okuzikirira (olw’ebikolwa bye ebibi)
Verse 12
Mazima kuli ku ffe okulungamya
Verse 13
Era mazima ebikwata ku nkomerero ne nsi biri mu buyinza bwaffe
Verse 14
Mbeekesa omuliro ogubumbujja
Verse 15
Taliguyingira okugyako oyo omwonoonefu ennyo
Verse 16
Oyo alimbisa (e bigambo bya Katonda) n'ayawukana (ku kugondera n'okukkiriza Katonda)
Verse 17
So nga oyo asinga okutya Katonda, ajja kugwesambisibwa
Verse 18
Oyo awaayo ku by'alina ng’anoonya okwetukuza eri Katonda (so si bandabe oba okwatiikirira)
Verse 19
Nga tewali n'omu alina kiyinza ku musasulwa
Verse 20
Wabula okunoonya okusiimwa ewa mukamaawe owa waggulu ennyo
Verse 21
Mazima ddala ajja kusiima (ky’anaasasulwa)