Back to Languages
Ganda - Chapter 93
Translation by Fareeq Musa
Verse 1
Ndayira ekiseera ky’a kalasa mayanzi
Verse 2
Era ndayira e kiro bwekiba nga kikutte
Verse 3
Omuleziwo Katonda takwabuliranga (gwe Nabbi Muhammad) era takukyawanga
Verse 4
Era ddala e nkomerero y’ennungi gy’oli okusinga entandikwa
Verse 5
Era ddala Omuleziwo ajja kukuwa naawe osiime
Verse 6
Teyakusanga ng’oli mulekwa n'akulabirira
Verse 7
Era teyakusanga nga tomanyi n’akulungamya
Verse 8
Era teyakusanga nga oli mwavu n’akugaggawaza
Verse 9
Kale nno mulekwa tomukaayuukiranga
Verse 10
N’omuntu asaba tomuboggoleranga
Verse 11
Ate era e kyengera kyonna Omuleziwo Katonda ky’abanga akuwadde kinyumyengako