Ganda

    Translation: lug-fareeqmusa

    Author: Fareeq Musa

    Okuggulawo

    Surah 1

    [1] Ku lw’erinnya lya Katonda omusaasizi oweekisa ekingi, omusaasizi oweekisa ekyenjawulo

    [2] Amatendo gonna ga Katonda Omulezi w’ebitonde byonna

    [3] Omusaasizi oweekisa ekingi, omusaasizi oweekisa ekyenjawulo

    [4] Nannyini buyinza yekka ku lunaku lw'okusasula (olunaku lw'enkomerero)

    [5] Gwe wekka gwe tusinza era ggwe wekka gwetusaba okutubeera

    [6] Tulungamye mu kkubo eggolokofu

    [7] Ekkubo ly’abo bewagabira ebyengera, abatali abo bewasunguwalira era abatali abo abaabula

    Ente

    Surah 2

    [1] Alif-laam-miim

    [2] Ekitabo ekyo (Kur'ani) tekiriimu kubuusabuusa, (kyassibwa ku Nabbi Muhammad) nga bulungamu eri abatya Katonda

    [3] Abo abakkiriza ebitalabikako ne bayimirizaawo e sswala, era nga bagaba ku ebyo byetubagabirira

    [4] Era b’ebo abakkiriza ebyakussibwako n'ebyo ebyassibwa ku babaka abaakusooka, era nga bakakasa olunaku lw'enkomerero

    [5] Abo be bali ku bulungamu okuva eri omulezi waabwe (Katonda), era abo be b’okulokoka

    [6] Mazima abo abatakkiriza (ebyo ebyassibwa ku Nabbi Muhammad) kyenkanankana gye bali, obatiisizza oba tobatiisizza ssi ba kukkiriza

    [7] Katonda yazibikira emitima gyabwe n’okuwulira kwabwe, nga ne ku maaso gaabwe kuliko ekibikka. Era balina e bibonerezo ebinene

    [8] Era waliwo abantu abamu abagamba nti tukkiriza Katonda n'olunaku lw’enkomerero so nga ssi bakkiriza (bannanfuusi)

    [9] Bakwenyakwenya Katonda awamu n'abakkiriza so nga beekwenyakwenya bokka naye bambi tebakitegeera

    [10] Balina obulwadde mu mitima gyabwe. Katonda n'abongera obulwadde, era balina n'ekibonerezo ekiruma olw'ebyo bye baalimbanga

    [11] Bwe bagambibwa nti temwonoona mu nsi. Bagamba nti, mazima ddala ffe tuli bakozi ba bulungi

    [12] So ng' ate mazima ddala bo be bonoonyi naye tebakitegeera

    [13] Era bwebaba bagambiddwa nti mukkirize nga abantu (abalala) bwe bakkiriza. Baddamu nti, tukkirize nga ababuyabuya bwe bakkiriza? abange mazima ddala bo be babuyabuya naye tebamanyi

    [14] Bwe basisinkana n'abakkiriza bagamba nti tukkirizza, bwe badda eri abakulembeze baabwe bagamba nti mazima ddala ffe tuli wamu nammwe. Mazima bali tubaguyaaguya buguyaaguya

    [15] Katonda abaguyaaguya era n'abongerayo mu bubuze bwabwe nga babulubuuta

    [16] Abo b'ebo abaagula obubuze mu bulungamu. Okusuubula kwabwe tekwakola magoba, era tebaali ba kulungama

    [17] Ekifaananyi kyabwe (abannanfuusi) kiringa eky'omuntu eyakuma omuliro, bwe gwamulisa ebimwetoolodde, Katonda n'aggyawo e kitangaala kyabwe n'abaleka mu nzikiza, nga tebakyalaba

    [18] Bakiggala, ba kassiru, ba muzibe, tebayinza kudda (ku kkubo ggolokofu)

    [19] Oba e kifaananyi kyabwe kiringa eky'abantu abali mu nkuba etonnya ng'erimu e kizikiza e kikunidde nga mulimu n'okubwatuka, n'okumyansa, ne kibatuusa okussa ennwe zaabwe mu matu gaabwe olw'okutya okubwatuka nga batya okufa. Katonda yeetoolodde abakaafiiri

    [20] Okumyansa (okwo) kubula okubaziba amaaso. Buli lwe kubamulisiza ne batambula, ate bwe kuzikira nebayimirira. Singa Katonda yayagala yandibaggyeeko okuwulira kwabwe, n'okulaba kwabwe. Mazima Katonda muyinza ku buli kintu

    [21] Abange (mmwe) abantu musinze omulezi wa mmwe eyabatonda n'atonda n'abo abaabakulembera mulyoke mumutye mu ngeri eyannamaddala

    [22] (Katonda) y'oyo eyabakolera e nsi nga kyaliiro n'abakolera e ggulu nga kasolya, era n'assa amazzi (e nkuba) okuva waggulu, n'ameza nago e bibala bibeere eby'okulya bya mmwe. Kale nno Katonda temumuteekangako e bintu e birala, ate nga mumanyi (nti ye yekka y'ateekwa okusinzibwa)

    [23] Naye bwe muba mubuusabuusa mu bye twassa ku muddu waffe (Nabbi Muhammad), kale muleeteeyo E ssuula emu efaananako nga Kur'ani, muyite abajulizi ba mmwe (bemulowooza nti bayinza okubayamba) nga ssi Katonda, bwe muba nga muli b'amazima

    [24] Bwe muba nga temukikoze, era nga temugenda kukikola, muteekwa mwerinde omuliro, nga enku zaagwo bantu n'amayinja, ogwategekerwa abawakanya amateeka ga Katonda

    [25] Ate sanyusa abo abakkiriza ne bakola e mirimu e mirungi nti bajja kufuna e jjana ezikulukutiramu e migga. Buli lwe banaaweebwanga e kibala mu jjana banaagambanga nti ekyo kye twaweebwanga edda (nga tuli ku nsi), binabaweebwanga nga mundabika bifaanana nabiri ebyo ku nsi (naye nga mu buwoomi byanjawulo), era abasajja baliweebwa abakyala abaatukuzibwa, era ba kubeeramu lubeerera

    [26] Mazima Katonda takwatibwa nsonyi kukuba kifaananyi newakubadde eky’ensiri n'ekintu ekirala ekigisingako. Bo abakkiriza bamanyira ddala nti ago ge mazima agava eri omulezi waabwe (Katonda), kyokka abagaana okukkiriza bagamba nti Katonda yagenderera ki mu kifaananyi kino! N'olwekyo aleka bangi ne babula olw'ekifaananyi kino so nga ate alungamya nakyo bangi. Wabula taleka muntu yenna kubula okugyako abo abamenya ebiragiro bye

    [27] Abo abamenya e ndagaano ya Katonda oluvanyuma lw'okugikakasa, nebakutula ebyo Katonda bye yalagira okuyunga, era ne boonoona mu nsi, abo nno be b'okufaafaaganirwa

    [28] Mugaana mutya okukkiriza Katonda nga temwaliwo n'abawa obulamu, oluvanyuma abatta, ate waakubazuukiza era nga gyali gye mugenda okudda

    [29] Ye (Katonda) y'oyo eyabatondera byonna ebiri mu nsi, bwe yamaliriza n'alyoka azzaako e ggulu, n'alikola nga lya myaliiro musanvu. Katonda mumanyi wa buli kintu kyonna

    [30] Jjukira Mukama (Katonda) wo bwe yagamba ba malayika nti mazima nja kuteeka mu nsi omusigire, ne bagamba nti, ogenda okugissaamu (omuntu) anaagyonooneramu n'ayiwa n'omusaayi, ng'ate ffe tukutendereza era nga tukugulumiza! Katonda (naddamu) n’abagamba nti nze mmanyi ebyo byemutamanyi

    [31] (Katonda) N'ayigiriza Adamu amannya g'ebintu byonna oluvanyuma n'abiraga ba Malayika n'abagamba nti; mumbuulire amannya g'ebintu bino bwe mubeera nga mwogera mazima (Nti mwe musaanira okuba abasigire bange ku nsi)

    [32] Nebagamba nga batendereza nti; oli wanjawulo, ffe tetulina kyetumanyi okugyako ekyo kyoba otuyigirizza. Mazima ggwe muyitirivu w'okumanya omuyitirivu wa magezi

    [33] Katonda naagamba nti; kale Adamu babuulire amannya gaabyo. Bwe yamaliriza okubattottolera amannya gaabyo, Katonda kwe kubagamba nti, saabagambye nti mazima nze mmanyi ebikusike mu nsi ne mu ggulu, era nga mmanyi bye mwolesa n'ebyo bye mukweka

    [34] Era jjukira bwe twagamba ba Malayika nti; muvunnamire Adamu. bonna ne bavunnama okugyako Ibliisu, yagaana ne yeekuluntaza n'abeera mu bawakanya Katonda

    [35] Netugamba nti ggwe Adamu ne mukyalawo mubeere mu Jjanna, mulye mwegazaanye wonna wemwagalira. Naye temusembereranga omuti guno ne mubeera mu balyazamaanyi

    [36] Sitaani n'abaseereza okuva mu jjana era naabaggya mu (birungi) bye baalimu. Netubagamba nti mukke wansi nga buli omu mulabe eri munne, era ku nsi gye mujja okubeeranga n'okweyagalira e bbanga eggere

    [37] Oluvanyuma Adamu yayiga ebigambo by'okusaba okuva eri Katonda omulezi we (nga yeenenya), era Katonda nakkiriza okwenenya kwe. Mazima yye (Katonda) yakkiriza okwenenya, omusaasizi owookusaasira okwenjawulo

    [38] Netugamba nti, kale mwenna mugifulume (e jjana). Buli lwonna obulungamu lwe bun'abajjiranga okuva gyendi, abo abaligoberera okulungamya kwange tebaliba na kutya era tebagenda kunakuwala

    [39] Naye abo abaligaana okukkiriza ne balimbisa ebigambo byaffe be b'okuba mu muliro obugenderevu

    [40] Abange abaana ba Israel, mujjukire (mwebaze) ebyengera byange bye nabagabira. Mutuukirize e ndagaano yange (ey'okunzikiriza n'okugondera amateeka gange), nja kutuukiriza e ndagaano yammwe (ey'okubayingiza e jjana). Era nze nzekka gwe muba mutya

    [41] Era mukkirize ebyo bye nassa (ku Nabbi Muhammad) nga bikakasa ebyo bye mulina (Taurat) era temuba abasaale mu kubiwakanya. Era temutundanga ebigambo byange omuwendo omutono (olw’emigaso gy'ensi), era mutye nze nzekka

    [42] Temutabulanga amazima n'ebitali bituufu, ne mukisa amazima nga mumanyi

    [43] Muyimirizeewo e sswala, mutoole zzaka, era mukutame n'abo abakutama

    [44] Mulagira mutya abantu okukola obulungi ne mwerabira emyoyo gyammwe, so nga ate mmwe musoma e kitabo (Taurat), abange temutegeera

    [45] Mweyambise obugumiikiriza n'okusaala, wabula yo e sswala ekaluubirira nnyo abantu, okugyako abo abagondera Katonda

    [46] Abo abakakasa nti bakusisinkana Omulezi waabwe (Katonda), era gyali gye bagenda okudda

    [47] Abange abaana ba Israel, mujjukire ebyengera byange bye nabagabira ne mbasukkulumya ku bantu abalala bonna (olw'okubaggyamu ba Nnabbi abangi)

    [48] Era mutye olunaku omuntu lwataligasa muntu mulala mu kintu kyonna, era lwatalikkirizibwa kuwolereza wadde okuwa e nnunuzi. Era abantu abo ssi bakutaasibwa

    [49] Era mujjukire lwe twabawonya abantu ba Firaawo ababatuusangako e bibonyoobonyo e bikakali, nga basanjaga abaana ba mmwe aboobulenzi ne balekawo aboobuwala. Ekikolwa ekyo kyalimu ekigezo kinene nnyo ekyava eri Mukama wa mmwe (Katonda)

    [50] Era mujjukire lwe twabakubira e kkubo mu nnyanja ne tubawonya, ate ne tuzikiriza abantu ba Firaawo nga nammwe mulaba

    [51] Era mujjukire lwe twalagaanyisa Musa ebiro amakumi ana (tulyoke tumuwe e kitabo Taurat) wabula kye mwakola kwe kweteerawo ennyana (ne mugisinza) oluvanyuma lwa Musa okuvaawo, ne mubeera abalyazamaanyi

    [52] Oluvanyuma lwebyo twabasonyiwa mulyoke mwebaze

    [53] Era mujjukire lwe twawa Musa e kitabo (Taurat), ekyawula wakati w'obutuufu n'obukyamu mulyoke mulungame

    [54] Era mujjukire Musa, lwe yagamba abantu be; abange (mmwe) abantu bange, mazima mweryazaamanyizza mwekka olwokusinza e nnyana. Nolw’ekyo mwenenyeze omutonzi wa mmwe. Mukutuukiriza ekyo mwette mwekka. Ekyo kye kirungi gye muli ew'omutonzi wa mmwe. Bwe mwakola ekyo Katonda kwe kubasonyiwa, mazima ddala ye, yakkiriza okwenenya era omusaasizi

    [55] Era mujjukire lwe mwagamba Musa nti; owange Musa, tetujja kukkiriza byogamba okugyako nga tulabye Katonda yennyini (amangu ago) okubwatuka okwamaanyi ne kubajjira (ne mufa) nga mutangaaliridde

    [56] Oluvanyuma lw'okufa kwa mmwe netubazuukiza, mulyoke mwebaze

    [57] Era twabasiikiriza n'ebire, ne tubassiza e mmere eyitibwa Manna n'enva eziyitibwa Saluwa. (Ne tubagamba nti) mulye nga e birungi mu bintu bye twabagabirira. Naye (abajeemu mu bo) tebaalyazaamaanya ffe, wabula beeryazamaanya bokka

    [58] Era mujjukire lwe twabagamba nti muyingire e kibuga kino, nga muli mu kyo, mulye wonna wemwagala nga mwegazaanya, era muyingire omulyango gwakyo nga muvunnama nga mugamba nti, twetonze, tubasonyiwe ebisobyo bya mmwe. Era tujja kwongeza abakozi b'ebirungi

    [59] Abaajeema (mu bo) baakyusa e kigambo ekyabalagirwa (ne boogeramu kirala). Netussa ku abo abaajeema e kibonerezo ekyava waggulu olwebyo bye baakolanga ebyobujeemu

    [60] Era mujjukire e kiseera Musa weyasabira Katonda, awe abantu be amazzi, netumugamba nti kuba omuggo gwo ku jjinja. (Bwe yagukubako) Nemufukumukamu e nsulo kkumi nabbiri . Buli kika (kya bayisirayiri) ne kimanya obunywero bwakyo. (Katonda nabagamba nti) Mulye, munywe mu bigabwa bya Katonda, temwewaggulanga mu nsi ne mubeera aboonoonyi

    [61] Era mujjukkire lwe mwagamba Musa nti, tetujja kugumiikiriza mmere ya kika kimu kyokka. Tusabire Omuleziwo (Katonda) atumereze e bimera okuva mu ttaka nga; enkoolimbo, kyukamba, katungulukyumu, ddengu n'obutungulu. (Musa) kwe kugamba nti muwanyisa ebyawansi mu kifo ky'ebirungi. Mugende awantu wonna awasobola okulimwa olwo nno munaafuna ebyo bye musabye. Nebakakasibwako obuswavu n'obunaku, era ne bakakatwako obusungu bwa Katonda. Ekyo nno lwakuba baali bawakanya ebigambo bya Katonda, era nga batta ba Nnabbi awatali nsonga ntuufu. Baakola ebyo byonna olw'obujeemu nebaba nga baasukka e nsalo z'amateeka ga Katonda

    [62] Mazima abo abakkiriza (Nabbi Muhammad) n'abo abaali ku ddiini y'ekiyudaaya, (ku mulembe gwayo), naabo abaali ku ddiini y’ekinaswara (ku mulembe gwayo), ne ba sswabi-ina (Abo abataasinza masanamu nga Nabbi Muhammad tannatumwa), yenna akkiriza Katonda n'olunaku lw'enkomerero era naakola e mirimu e mirungi, abo nno balina e mpeera zaabwe ew'omulezi waabwe era tewaliba kutya ku bo era tebagenda kunakuwala

    [63] Era mujjukire (mmwe abaana ba Israel) lwe twabakozesa e ndagaano. Netuwanika waggulu wa mmwe olusozi (ne tubagamba nti) mukwate namaanyi ebyo byetubawadde (Taurat). Era mujjukire ebyo ebiri mu yo mulyoke mubeere abatya Katonda

    [64] Oluvanyuma nemubikuba amabega singa tekyali kisa kya Katonda n'okusaasira kwe mwandibadde mu bafaafaaganiddwa

    [65] Mazima mwamanya (ekyafaayo) kyabo abamu mu mmwe abaasukka ensalo nebavuba ku lunaku lwomukaaga. Netubagamba nti mufuuke enkobe, mubeere abanyoomebwa

    [66] Netukifuula ekyokulabula eri abo abaaliwo n'abo abalijja oluvanyuma. Era netukifuula ekyokubuulirira eri abo abatya Katonda

    [67] Era mujjukire Musa lwe yagamba abantu be nti; mazima Katonda abalagira musale ente. Nebaddamu nti; otufuula kyakujeeja bujeeja. Musa n'addamu nti; Nneekingiriza ne Katonda okubeera mu bantu abatategeera

    [68] Abayudaaya nebagamba nti; tubuulize Mukamaawo atunnyonnyole ente eyo ya ngeri ki? Musa naagamba nti; mazima Katonda agamba nti; ente eyo eteekwa okuba nga si nkadde, ate nga si nto nnyo, eri wakati w'enkadde n'ento. Era muteekwa okukola ekyo kye mulagiddwa

    [69] (Abayudaaya) ne bagamba nti; tubuulize Mukamaawo atunnyonnyole (ente eyo) ya langi ki? Naagamba nti; Katonda agamba nti ente eyo ya langi yalusanja ng’ennyikidde bulungi nnyo, nga esanyusa abalabi

    [70] (Abayudaaya) nebagamba nti; tubuulize Mukamaawo atunnyonnyole nte ki eyo? Mazima ente zonna zezimu gye tuli. Era mazima ffe Katonda bwan'aba ayagadde, tujja kulungama

    [71] (Musa) naagamba nti; (Katonda) agamba nti; erina kubeera nte etenyoomebwa, nga si nnimi era nga tefukirira nnimiro, nga nnamu bulungi, eteriimu bbala ddala lyonna. Nebagamba nti; kaakati otulaze amazima. Olwo ne balyoka basala ente, naye kaabula kata baleme okukikola

    [72] Era mujjukire lwe mwatta omuntu, ensonga yokutemulwa kwe nemugikaayaniramu (ani yamusse). So nga ate Katonda yali wakuggyayo ebyo byemwali mukisizza

    [73] Netugamba nti; mumukubeko ebimu ku bitundu by'ente. Bwatyo Katonda bwalizuukiza abafu, era bulijjo abalaga obubonero bwe, (obulaga obuyinza bwe) mulyoke mutegeere

    [74] Oluvanyuma lw'ebyo emitima gyammwe gyakakanyala negiba ng'enjazi oba okusingawo mu bukakanyavu; anti enjazi ezimu zifukumukamu emigga, ne mubaamu ezeyasaamu ne zivaamu amazzi, n'ezimu ku zo zikka olwokutya Katonda. Era Katonda tagayaalirira byemukola

    [75] Abaffe (abakkiriza) mwettanira (Abayudaaya) okuba nga bakkiriza eddiini yammwe, so nga ekiwayi ekimu mu bo bawulira ebigambo bya Katonda ne babikyusa oluvanyuma lw'okubitegeera. Kino nga bakikola mu bugenderevu

    [76] (Abayudaya) bwebaasisinkananga abakkiriza nga bagamba nti tukkirizza. Kyokka bwebaba bokka na bokka, abamu bagamba bannaabwe nti muyinza mutya okubabuulira ebyo Katonda bye yababikkulira ate nga bajja kubasingisa nabyo omusango ewa mukama wa mmwe (Katonda), abaffe temutegeera

    [77] Abaffe tebamanyi nti mazima Katonda amanyi ebyo byebakisa n'ebyo bye boolesa

    [78] Era mu bo (Abayudaaya) mulimu abatasobola kusoma na kuwandiika, nga tebasobola kumanya biri mu kitabo (Taurat). Wabula babeera ku kwagala kwa mitima gyabwe. Era tebalina kyebaliko, okugyako bateebereza buteebereza

    [79] Okubonaabona okwamaanyi kuli eri abo abawandiika ekitabo n'emikono gyabwe, bwebamala ne bagamba nti kino kivudde eri Katonda, nga kyebagenderera kuwaanyisaamu (byakufuna bya nsi) eby'omuwendo ogwa wansi. Bagenda kutuukwako okubonaabona olw'ebyo emikono gyabwe bye gyawandiika, ng'era bwe bagenda okutuukwako okubonaabona olw'ebyo bye baafunamu

    [80] Era (Abayudaaya) baagamba nti, omuliro tegugenda kututuukako okugyako nnaku mbale. Bagambe; mwakola endagaano ne Katonda, Katonda alyoke abe nga tagenda ku gyawukanako? Oba mwogera ku Katonda bye mutamanyi

    [81] Wabula omuntu bw'akola ekibi, ekyonoono kye ne kimumalawo; abantu abo baakuyingira omuliro era nga baakugutuulamu bugenderevu

    [82] Ate bo abakkiriza ne bakola emirimu emirungi; abo be bookuyingira enyumba ey'emirembe; era bo baakutuulamu bugenderevu

    [83] Era mujjukire lwe twakozesa abaana ba Israel endagaano nti; temusinzanga ekintu kyonna okugyako Katonda. Bo abazadde ababiri, n'abooluganda olw'okumpi, ne bamulekwa n'abanaku mubayisenga bulungi. Era mwogerenga bulungi n'abantu. Era muteekwa okuyimirizaawo e sswala, mutoole ne zzaka. Wabula (mu kifo ky'okukola ebyo) mwakyuka, okugyako batono mu mmwe ng'ate mu kukola ekyo mwali muva ku ndagaano

    [84] Era mujjukire lwetwabakozesa endagaano nti temuuyiwenga musaayi gwa mmwe, wadde temwegobaganyenga mu mayumba. Endagaano gye mwakakasa, nga era mmwe mwennyini muli bajulizi

    [85] Wabula ate mmwe mwennyini muttiηηana era nga mugobaganya abamu ku mmwe mu mayumba gabwe. Muyamba abamu ku bannammwe mu ngeri emenya amateeka, era mu ngeri y'obulumbaganyi. So nga ate abawambe bwebaba babajjidde mubanunula. Awamu n'okuba nga eky'okubagobaganya mu mayumba gabwe kyaziyizibwa. Abaffe ekitabo mukkirizaako kitundu ne muwakanya ekitundu ekirala? Kaakano kiki kyemusuubira okuba empeera y'omu mu mmwe akola ekikolwa ekyo, okugyako okuswazibwa mu bulamu obw'ensi ng'ate ne ku lunaku lw'enkomerero bagenda kuzzibwa eri ebibonerezo ebisinga okuba ebikakali. Katonda tasudde muguluka ebyo bye mukola

    [86] Abo nno b'ebo obulamu bw'enkomerero ababugulamu obw'ensi, tebagenda kukenderezebwa ku bibonerezo wadde tebagenda kutaasibwa

    [87] Mazima twawa Musa ekitabo (Tawuraat) netumugoberezaako ababaka olvannyuma lwe. Era netuwa Issa mutabani wa Mariamu obubonero obwolwatu netumuwagira ne mwoyo mutukuvu (Malayika Jiburilu). Abaffe, buli lwonna omubaka wa Katonda lw'abajjira n'ebyo byemutayagala ng'olwo mwekuluntaza! Abamu ku babaka mubalimbisa ate abalala nga mubatta

    [88] Ne bagamba nti emitima gyaffe mizibikivu. Wabula Katonda yabagoba mu kusaasira kwe olw'obutakkiriza bwabwe. Nekiba nga bakkiriza kitono nnyo

    [89] Ekitabo (Kur'ani) bwe kyabajjira okuva eri Katonda nga kikakasa bye baalina. Ate nga mu kusooka baali basaba Katonda abataase ku batakkiriza (abe nga abatumira Nabbi gwe baali balindirira). Wabula bwe yabajjira oyo gwe baali bamanyi, baamuwakanya. Ekikolimo kya Katonda kibeere ku batakkiriza

    [90] Kibi nnyo ekyo kye baagulamu emyoyo gyabwe olw'obutakkiriza Katonda byeyassa nga kiva ku nsaalwa okuba nti Katonda assa obulungi (Obwannabbi) bwe ku oyo gw'aba ayagadde mu baddu be. Ekyo kyabatuusa ku kusunguwalirwa Katonda, nga kweyongera ku kusunguwalirwa okulala. Abatakkiriza balituusibwako ebibonerezo ebibakkakkanya nga bibaswaza

    [91] Bwe baba bagambiddwa nti mukkirize ebyo Katonda byeyabassiza, bagamba nti tukkiriza ebyo ebyakkira ku ffe. Ate nga (Kur’ani) ge mazima agakakasa ebyo byebalina.Bagambe (gwe Nabbi Muhammad); lwaki mu kusooka mwattanga bannabbi ba Katonda bwe muba nga ddala muli bakkiriza

    [92] Mazima Musa yabajjira n'obunnyonnnyofu wabula ate bweyavaawo okugenda (okunona amateeka) nemweteerawo ennyana nemugisinza. Mu kikolwa ekyo mwali balyazamaanyi

    [93] Era mujjukire ekiseera lwe twabakozesa endagaano, nga tuwanise olusozi waggulu wa mmwe. Ne tubagamba nti, bye tubawadde mubikwate n'amaanyi era muwulire. Baayanukula nebagamba nti, tuwulidde ne tujeema. Emitima gyabwe gyabbikira mu kusinza ennyana olw'obutakkiriza bwabwe. Bagambe nti kibi nnyo enzikiriza yammwe ky'ebalagira bwe muba nga ddala muli bakkiriza

    [94] Bagambe nti; Enyumba ey'enkomerero bw'eba nga yeeyawulidde mmwe mmwekka ewa Katonda so si abantu balala bonna, kale mwegombe okufa bwe muba nga muli bamazima (mu bye mwogera)

    [95] Tebagenda kukwegombera ddala okusinzira ku ebyo bye baakola. Katonda amanyi nnyo abalyazamaanyi

    [96] Era ddala ojja kubasanga nga be basinga abantu bonna okululunkanira okuwangaala. Mu kwagala okwo basukkuluma ne ku bagatta ebintu ebirala ku Katonda nga noomu ku bo yeegomba okuwangaala emyaka lukumi, so ng'ate eky'okuwangaala ebbanga eddene tekimuwonya bibonerezo. Katonda alaba byonna bye bakola

    [97] Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad) nti omuntu awalana Jiburilu, (ateekwa amanye nti) mazima ye Jiburilu yakuleetera Kur'ani nga asinziira ku kiragiro kya Katonda, ng'ekakasa ebitabo ebyagikulembera era nga kyakulungamya na kusanyusa eri abakkiriza

    [98] Omuntu abeera omulabe wa Katonda ne Ba malayika be, n'ababaka be, (nga mwe muli) Jiburilu ne Miika'ilu, mazima ddala Katonda naye mulabe wa batakkiriza

    [99] Mazima twassa gy'oli ebigambo ebinnyonnyofu (Kur'ani) era tewali abijeemera okugyako aboonoonyi

    [100] Abaffe buli lwonna (Abayudaaya) lwe banaakolanga endagaano, abamu ku bo banaagyaawukanangako? Wabula (ekyo) bakikola (kubanga) abasinga obungi mu bo tebakkiriza

    [101] Era omubaka (Nabbi Muhammad) bwe yabajjira okuva eri Katonda nga akakasa ebyo bye baali balina. Ekiwayi ekimu ku abo abaaweebwa ekitabo (Taurat), baasuula muguluka ekitabo (Kur'ani) nga balinga abatamanyi

    [102] Nebagoberera ebyo sitaani bye zaayogeranga (eby'eddogo) ku mulembe gw'obufuzi bwa Sulaimani (nga babalowoozesa nti Sulaimani lye yakozesanga), so ng'ate Sulaiman tajeemeranga Katonda (alyoke akozese eddogo) wabula sitaani ze zaajeemera Katonda nga ziyigiriza abantu eddogo n'ebyo ebyassibwa ku ba malayika ababiri e Babilooni, Haaruta ne Maaruta

    [103] Wabula singa bakkiriza (Nabbi Muhammad) era ne batya Katonda, empeera ze baalifunye okuva eri Katonda zaalibadde nnungi gye bali (okusinga eby'eddogo) singa baali bamanyi

    [104] Abange mmwe abakkiriza, temukozesanga ekigambo Raa'ina (nga mwogera ne Nabbi Muhammad) wabula mugambenga Undhuruna. Era mubeerenga bawulize. Bo abo abajeemu balina ebibonerezo ebiruma ennyo

    [105] Abo abajeemu mu bagoberezi b'ebitabo ebyasooka, n'abo abagatta ku Katonda ebintu ebirala, tebaagalira ddala kalungi konna okuba nga kassibwa gye muli okuva eri Omulezi wa mmwe (Katonda). So ng'ate Katonda assa okusaasira kwe n'akwawulira oyo gw'aba ayagadde. Era Katonda ye nannyini byengera ebingi

    [106] Buli aya yonna gyetusangulawo oba gyetukwerabiza, tuleetamu egisingako oba efaanana nga yo. Abaffe tomanyi nti mazima ddala Katonda muyinza ku buli kintu

    [107] Abaffe tomanyi nti mazima ddala obufuzi bw'eggulu (omusanvu) n'ensi bwa Katonda, era nga temulinaayo mukuumi yenna wadde omutaasa atali ye

    [108] Wabula mulabika mwagala kubuuza mubaka wa mmwe nga Musa bwe yabuuzibwa olubereberye. Omuntu awaanyisa obutakkiriza mu bukkiriza aba abuze okuva ku kkubo eggolokofu

    [109] Bangi mu bantu abaaweebwa ekitabo baagala babakyuse oluvanyuma lwo bukkiriza bwa mmwe babafuule abatakkiriza olw'ensaalwa eri mu mitima gyabwe oluvanyuma lw'amazima okubeeyoleka. Kale (mmwe abasiraamu) musonyiwe era mulekere (abo abaaweebwa ekitabo) okutuusa Katonda lw'anaaleeta ekiragiro kye, mazima Katonda muyinza ku buli kintu

    [110] Era muyimirizeewo e sswala, mutoole ne zzaka. Na buli kalungi konna kemwekolera mugenda kukasanga ewa Katonda. Mazima Katonda alaba mu bujjuvu ebyo bye mukola

    [111] Era nebagamba (nga bakubagana empawa) nti teri agenda kuyingira jjana okugyako abali mu ddiini y'abayudaaya oba ey'abannaswara. Okwo nno kwe kusuubira kwabwe. Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad) nti, muleete obujulizi bwa mmwe bwe muba nga mwogera mazima

    [112] Wabula ekituufu kiri nti omuntu eyeewaayo eri Katonda, era neyeeyisa bulungi, wakufuna empeeraye ew'omutonzi we. Abantu abo tebagenda kufuna kutya wadde okunakuwala

    [113] Abayudaaya baagamba nti Abannaswara tebalina kyebaliko, n'abannaswara ne bagamba nti abayudaaya tebalina kyebaliko, so nga ate bonna basoma ekitabo. Bwe kityo n'abatamanyi kusoma nabo bwe bagamba, nga ekigambo kya bali. Katonda wa kulamula wakati waabwe ku lunaku lw’enkomerero ku ebyo byebaalinga baawukanamu

    [114] Ani mulyazaamaanyi okusinga oyo aziyiza okutendereza erinnya lya Katonda mu mizikiti gye, ng'afuba okugyonoona. Tebasaana kugiyingira wabula nga bali mu kutya. Balina obuswavu mu nsi, nga ne ku lunaku lw'enkomerero bagenda kufuna ebibonerezo ebikakali

    [115] Obuvanjuba n'obugwanjuba bya Katonda, kale yonna gyemuba mwolekedde nga musaala eyo y'eri ekibula kya Katonda, mazima Katonda mugazi mu ngeri zonna era mumanyi nnyo

    [116] Bagamba nti Katonda alina omwana. Katonda ali wala nnyo n'ekyo. Wabula ebiri mu ggulu ne mu nsi byonna (bitonde bye) era bimugondera

    [117] Yeyatandikawo eggulu n'ensi. Bw'aba asazeewo ensonga yonna agamba bugambi nti ba ne kiba

    [118] N'abo abatalina kyebamanyi bagamba nti singa Katonda ayogera naffe butereevu, oba netuwebwa ekyamagero. Ekigambo ekyo n'abo abaabasooka baakyogera olwo nebafaanagana mu ndowooza zaabwe, so nga twannyonnyola obujulizi obw'olwatu obukakasa amazima g'ababaka be tutumye eri abantu abalina amagezi agafumiitiriza

    [119] Mazima ffe twakutuma n'amazima nga oli musanyusa era omutiisa. Togenda kubuuzibwa ku bantu ba mu muliro

    [120] Abayudaaya yadde abakulisitaayo tebagenda kukusiima okugyako nga ogoberedde enzikiriza yaabwe, bagambe nti mazima okulungamya kwa Katonda bwe bulungamu obwannamaddala. Singa onoogoberera bo bye baagala oluvanyuma lw'okumanya okukujjidde, togenda kufuna gweweesigamirako wadde omutaasa

    [121] Abo betwawa ekitabo ne bakisoma mu utuufu bw'okukisoma, bo bakikkiriza, wabula abo abakiwakanya abo nno be 'okufaafaaganirwa

    [122] Abange mmwe abaana ba Isirayiri, mujjukire ekyengera kyange kyennabawa era mazima ddala nabasukkulumya ku bantu abalala

    [123] Era mutye n'olunaku omuntu lw'ataligasa muntu munne mu kintu kyonna, n' ennunuzi y'omuntu bw'eterikkirizibwa, wadde tewaliba kuwolereza kumugasa. Era nga tebagenda kutaasibwa

    [124] Jjukira mu kiseera awo Katonda weyagezesa Ibrahim n'ebiragiro (Ibrahim) n'abituukiriza, (Katonda) n'amugamba nti mazima nkufudde omukulembeze w'abantu. (Ibrahim) naagamba nti; nsaba ne mu zzadde lyange muveemu abakulembeze. (Katonda) n'amugamba nti endagaano yange tetwaliramu balyazamaanyi

    [125] Era jjukira ekiseera lwetwafuula e nyumba (Kaaba) okuba nga bwe buddo bw'abantu era ekifo eky'emirembe, era netubalagira nti; ekifo kya Ibrahim mu kifuule awasaalirwa. Era twalagira Ibrahim ne Ismail nti mube nga mutukuza e nyumba yange ku lw'abo abagyetooloola n'abagituulamu, n'abo abakutama ne bavunnama

    [126] Era Jjukira ekiseera Ibrahim bweyagamba nti; ayi mukama omulezi wange (Katonda) ekibuga kino kifuule kya mirembe era ogabirire abantu baamu ebibala, buli anakkirizanga Katonda n'olunaku lw'enkomerero. (Katonda) naagamba nti n'aliba takkiriza (ηŋenda kumugabiriranga) mulindirizeeko akaseera katono oluvanyuma ηŋenda kumuzza eri ebibonerezo by'omuliro. Obwo nno buddo bubi ddala

    [127] Era jjukira ekiseera Ibrahim ne Ismail bwe baasitula omusingi gw'enyumba (Kaaba) nga bagamba nti; ayi mukama omulezi waffe (Katonda) kkiriza omulimu gwaffe guno mazima ggwe oli muwulizi era mumanyi

    [128] Ayi mukama omulezi waffe (Katonda), tufuule ffembiriri abeewaayo gyoli era ne mu zzadde lyaffe oggyemu abalyewaayo gy'oli, era otulage engeri gye tuteekwa okukolamu emirimu gyaffe (egya Hijja). Era tusonyiwe, mazima ggwe oli musonyiyi oweekisa

    [129] Ayi mukama omulezi waffe (Katonda) batumire omubaka ng'ava mu bo ng'abasomera abigambo byo era ng'abayigiriza ekitabo n'ebintu ebyamagezi era abatukuze. Mazima ggwe wakitiibwa asinga okuba ow'amagezi

    [130] Ani yaalyegombye okuva ku ddiini ya Ibrahim okugyako oyo eyeesiriwaza yekka. Ate nga (Ibrahim) twamuwa ekifo eky'enkizo mu nsi era mazima ddala ye ku lunaku lw'enkomerero wakubeera mu bakozi b'obulungi

    [131] Era jjukira ekiseera omuleziwe (Katonda) lwe yamugambira nti; weeweeyo (siramuka). (Ibrahim) naagamba nti; neewaddeyo eri Katonda omulezi w'ebitonde

    [132] Era Ibrahim (ekigambo kyo kwewaayo) yakiraamira abaana be, nga ne Yakuubu bwe yakiraamira ababe nti; baana bange mazima ddala mukama Katonda yabasiimira eddiini, kale nno okufa tekubatuukangako okugyako nga muli basiraamu

    [133] Abaffe mmwe (abayudaaya) muyinza okugamba nti mwaliwo mu kiseera Yakuubu bwe yali agenda okufa, naagamba abaana be nti; kiki kyemulisinza oluvanyuma lwange? Ne bagamba nti; tugenda kusinza Katonda wo era Katonda wa bakadde bo, Ibrahim, Ismail ne Ishaak. Katonda omu yekka era nga tugenda kwewaayo gyali

    [134] Omulembe ogwo gwayita, era gw'agenda n'ebyagwo, nga nammwe mukoze ebyammwe. Era temugenda kubuuzibwa kw'ebyo byebaakola

    [135] Era (abayudaaya n'abakurisitaayo) baagamba nti; mubeere bayudaaya oba bakurisitaayo lwemunaaluηηama. Bagambe (gwe Nabbi Muhammad) nti; nedda tujja kugoberera ddiini ya Ibrahim eragira okusinza Katonda omu yekka, era (Ibrahim) tabangako mubagatta kintu kirala ku Katonda

    [136] (Mwe abasiraamu) mugambe nti; tukkiriza Katonda, n'ebyassibwa gyetuli, n'ebyassibwa ku Ibrahim, ne Ismail, ne Ishaak, ne Yakuubu n'eri bazzukulu baabwe. N'ebyo ebyaweebwa Musa ne Issa na byonna ebyaweebwa bannabbi abalala nga biva eri mukama Katonda omulezi waabwe era tetubaawulayawulamu era nga naffe twewaddeyo gyali

    [137] Bwe banakkiririza mu ebyo bye mukkiriza, olwo ban'aba baluηηamye. Naye bwe banaava ku nzikiriza eyo, mazima ddala bo bajja kubeera mu kuwalaaza mpaka. Era nga Katonda ajja kubakukolerako. Era ye (Katonda) awulira, era mumanyi

    [138] (Obusiraamu) y'eddiini Katonda gyayagala munnyikiremu. Ate ani asinga Katonda okunnyikiza, era naffe oyo gwe tusinza

    [139] Bagambe (gwe Nabbi Muhammad) nti; mutuwakanya ku bikwata ku Katonda. Ng'ate Katonda ye mulezi waffe era omulezi wa mmwe. Tukola emirimu gyaffe nga nammwe mukola egyammwe so ng'ate ffe tumusinza mu bumu bwe yekka

    [140] Oba mugamba nti; ddala Ibrahim ne Ismail ne Ishaak ne Yakuubu ne bazzukulu baabwe baali bayudaaya oba bakurisitaayo. Bagambe (gwe Nabbi Muhammad) nti mmwe musinga okumanya, oba Katonda? Ani mubi okusinga akweka obujulizi bwalina obuva eri Katonda? Mukama Katonda bye mukola tabisudde muguluka

    [141] Omulembe ogwo gwayita, era gwagenda n'ebyagwo, nga nammwe bwe mulina ebyammwe bye mukola era temugenda kubuuzibwa ku ebyo bye baakola. E jjuzu

    [142] Ababuguyavu mu bantu bajja kugamba nti kiki ekyabaggya ku kibula kyabwe (Baitul-makdis) kyebaaliko, bagambe nti obuvanjuba n'obugwanjuba byonna bya Katonda. Aluŋŋamya gwaba ayagadde eri ekkubo eggolokofu

    [143] Bwe tutyo twabafuula ekibiina eky'omumakkati, mube nga mwe muwa obujulizi ku bantu, nga ate mmwe omubaka (Nabbi Muhammad) y'abawaako obujulizi. Tetwateekawo ekibula kyewasooka okwolekera okugyako lwa kwagala kulaba abagoberezi b'omubaka abannamaddala obutafaanana n'abo abakyukira ku bisinziiro byabwe. Wabula kino kyali kinene nnyo okugyako ku abo Katonda beyaluŋŋamya. Era Katonda si wabutabala bukkiriza bwa mmwe. Mazima Katonda wakisa era musaasizi ku bantu

    [144] Tulaba nga okyuka amaaso go nga otunula ku ggulu (gwe Muhammad ng'olinda obubaka ku nsonga y'ekibula). Tujja kukwolekeza ekibula ky'oyagala. Kale yolekeza amaaso go ku luuyi oluliko omuzikiti ogw'emizizo. Na buli wonna wemubeeranga muteekeddwa okwolekeza amaaso gammwe oluuyi lwo. Mu mazima abo abaaweebwa ekitabo bakimanyidde ddala nti bino ge mazima okuva eri Katonda waabwe. Ng'ate byonna byemukola tewali kibuuka Katonda

    [145] Abo abaaweebwa ekitabo ne bwobaleetera obujulizi obufaanana butya tebagenda kugoberera kibula kyo, nga naawe bw'otali mugoberezi wa kibula kyabwe. So nga n'abamu mu bo tebagoberera kibula ky'abalala. Kale nno singa onoogoberera bo bye baagala oluvanyuma lw'okumanya kw'ofunye, mazima ddala ggwe ojja kuba ogenze mu luse lw'abantu abalyazamaanyi

    [146] Abo betwawa ekitabo bakimanyi bulungi nga bwe bamanyi abaana baabwe. Wabula ekibinja mu bo bakwekera ddala amazima ng'ate bamanyi

    [147] Gano ge mazima agava eri Katonda wo. Tobeereranga ddala n'omulundi n'ogumu mu abo ababuusabuusa

    [148] Buli bantu balina oludda lweboolekera. Kale (mmwe abakkiriza) muvuganye mu kukola ebirungi. Yonna gye muliba mwenna, Katonda agenda kubaleeta. Mazima Katonda muyinza ku buli kintu kyonna

    [149] Na buli wonna wonoogendanga yolekeza obwanga bwo oluuyi oluliko omuzikiti ogw'emizizo. Era ddala gano ge mazima okuva eri Katonda wo. Ng'ate byonna byemukola tewali kibuuka Katonda

    [150] Na buli wonna won'abanga ogenze yolekeza ekyenyikyo oluuyi oluliko omuzikiti ogw'emizizo. Na buli wonna wemunaabeeranga mwolekezenga ebyenyi byammwe oluuyi olwo, waleme kubaawo nsonga yonna bantu gyebeekwasa okugyako abo abalyazamaanyi mu bo. Temubatya, nze (Katonda) gwemuba mutya. Olwonno mbajjulize ebyengera byange, nammwe kibabeerere ensonga y'okulungama

    [151] Kino kiringa bwe twabatumira omubaka ng'ava mu mmwe n'abeera ng'abasomera ebigambo byaffe, era nga abatukuza, era nga abayigiriza ekitabo n'abayigiriza n'okunnyonnyola, n'abayigiriza n'ebintu ebirala bye mwali temumanyi

    [152] Kale nno munzijukire nga munjogerako. Nja kubajjukira. Era munneebaze, temunjeemeranga

    [153] Abange mmwe abakkiriza mwekwate ku bugumiikiriza n'esswala ku lw'okubanga mazima Katonda ali wamu na baguminkiriza

    [154] Era temwogeranga kwabo abattibwa mu kkubo lya Katonda mbu bafu. Go amazima baba balamu naye mmwe mutategeera (bulamu bwabwe)

    [155] Era ddala tujja kubagezesa, mu bintu nga okutya, enjala, okukendeera kw'ebyenfuna n'okufa kwa bantu, n'okukendeera kwe bibala. Wabula sanyusa abagumiikiriza

    [156] Abo b'ebo bwe baba nga batuukiddwako obuzibu bwonna bagamba (nti) mazima ffe twava eri Katonda era ddala tuli bakudda gy'ali

    [157] Abo nno balina okusonyiyibwa n'okusaasirwa okuva eri mukama Katonda waabwe, era abo be baluŋŋamu

    [158] Mazima akasozi Swaffa n'akasozi Maruwa bubalibwa mu bifo ebisinzibwamu mukama Katonda. Kale nno omuntu aba azze okwetooloola e nyumba ya Katonda (Kaaba) oba ng'azze kukola mikolo gya Umura tasaanye kutya kudduka wakati wobusozi bwombiriri. N'omuntu okukola obulungi mu ngeri ya kyeyagalire, (mumanye nti) Katonda asiima nnyo era mumanyi nnyo

    [159] Mazima abo abakweka ebyo byetwassa nga obujulizi era nga obulungamu oluvanyuma nga tumaze okubinnyonnyola abantu mu kitabo kyabwe. Abo nno Katonda abakolimira n'abakolimi bonna ne babakolimira

    [160] Okugyako abo abeenenya ne balongoosa, nebannyonnyola ebyo (bye baakweka). Abonno, nzikiriza okwenenya kwabwe ate nze muyitirivu w'okukkiriza okwenenya era omuyitirivu w'okusaasira

    [161] Mazima abo abaakaafuwala ne bafiira ku bukaafiiri; Abo baliko ekikolimo okuva ewa Katonda n'okuva eri ba malayika n'abantu bonna

    [162] (Abantu abo) Baakubeera mu muliro obugenderevu, tebagenda kukendeerezebwa ku bibonerezo ng'era bwebatagenda kulindirizibwa (kubonerezebwa)

    [163] Mazima Katonda wa mmwe ali omu, tewali kisinzibwa kyonna okugyako ye omusaasizi omuyitirivu wokusaasira aliba n'okusaasira okwenjawulo (ku lunaku lw'enkomerero)

    [164] Mazima mu kutonda eggulu ery'emiko omusanvu ne nsi, n'okukyukakyuka kw'ekiro n'emisana, n'amaato agatambulira ku nnnyanja nga geetisse ebintu ebigasa abantu, n'amazzi Katonda gassa okuva wa ggulu, n'alamusa nago ensi oluvanyuma lw'okuba nga efudde, nassa mu nsi buli kiramu ekigiriko, n'okutambuza empewo era n'ebire, ebyateekebwa wakati w'eggulu ne nsi. (Ebyo byonna) bubonero obulaga okubaawo kwa Katonda n'obuyinza bwe eri abantu abategeera

    [165] Naye mu bantu mulimu abaleka Katonda, nebeeteerawo ebintu ebirala nebasinza ebyo, ne babyagala nga bwe baaliyagadde Katonda. So nga bo abakkiriza baagala nnyo Katonda waabwe (omu) (nga okwagala kwabwe kuli ku ye yekka). Singa abagatta ebintu ebirala ku Katonda baali basobola okulaba ebibonerezo lwebirituuka, baalibadde bamanya nti Katonda wa maanyi nnyo era nga bwe baalibadde bamanya nti ddala Katonda muyitirivu wakubonereza

    [166] Mu kiseera abaagobererwa webalyegaanira abaabagobereranga era ne baliraba ku bibonerezo, n'ensonga ezaabagattanga ne zikutukawo

    [167] Abaagobereranga bagenda kugamba nti; singa tubadde baakudda ku nsi naffe netubeegaana nga bwe batwegaanyi. Bwatyo Katonda agenda kubalaga okufaafaagana kw'emirimu gyabwe (gyebaakolanga ku nsi) era si bakuva mu muliro

    [168] Abange mmwe abantu mulye ebiri mu nsi ebyakkirizibwa ebirungi, era temugobereranga amakubo ga sitaani anti ye mulabe wa mmwe wa lwatu

    [169] Mazima sitaani abalagira kukola bibi, na by'abugwenyufu, n'okwogera ku Katonda ebyo bye mutamanyi

    [170] Bwebaba nga bagambiddwa nti mugoberere ebyo Katonda bye yassa (ku Nabbi Muhammad) baddamu nga bagamba nti; ffe tugoberera ebyo byetwasanga ne bakadde baffe. Abaffe ne bwebabanga bakadde baabwe baalinga tebategeera kintu kyonna era nga tebaali baluŋŋamu

    [171] Ekifaananyi ky'abantu abo abatakkiriza n'oyo abakoowoola okujja eri obukkiriza kiringa omulunzi akoowoola ensoloze ne zijja gy'ali naye nga tezitegeera ky'aziyitira wabula okuwulira amaloboozi n'okukoowoolwa. (Abatakkiriza abo) Bakiggala, bakassiru, bamuzibe, tebagenda kutegeera kintu kyonna

    [172] Abange mmwe abakkiriza mulye ebirungi mu ebyo byetwabawa era mwebaze Katonda bwe muba nga ddala ye, yekka gwemusinza

    [173] Mazima ddala (Katonda) yabagaana okulya ennyamanfu, n'omusaayi, n'ennyama y'embizzi, na buli kyonna ekisalibwa ku lw'ekintu ekirala ekitali Katonda. Wabula omuntu abeera mu buzibu nga si lwabujeemu, era n'atasukka kyetaago kye, oyo nno talina musango (bw'aba aliddeko). Mazima Katonda musonyiyi, musaasizi

    [174] Mazima abo abakweka ebyo Katonda bye yassa mu kitabo nebabiwanyisaamu eby'okufuna ebitono, abo nno buli kyebalya guba muliro mumbuto zaabwe era Katonda tagenda kwogera nabo ku lunaku lw’enkomerero era nga bwatagenda ku batukuza. Era bagenda kussibwako ebibonerezo ebiruma

    [175] Abo nno b'ebo abaawaanyisa obubuze mu bulungamu. N'okubonerezebwa mu kifo ky'okusonyiyibwa. Baliggyawa obuvumu obugumira omuliro

    [176] Ekyo kiriba bwekityo kubanga Katonda yassa ekitabo nga kiraga amazima. Naye nno abo abatakkaanya ku biri mu kitabo okwawukana kwabwe kuli wala nnyo n'ebyo ebikirimu

    [177] Obulungi obubalibwa eri Katonda, tebwemalidde mu kwolekera kwa mmwe ebuvanjuba oba ebugwanjuba, wabula obulungi ye muntu okukkiriza Katonda n'olunaku lw’enkomerero, ne ba malayika n'ekitabo (Kur’ani) ne bannabi bonna, n'omuntu okuba nga awaayo ebyobugaggabwe (mu kkubo lya Katonda) awamu n'okuba nga abyagala, nga abiwa abooluganda olwokumpi ne bamulekwa n'abanaku n'abatambuze abalemereddwa mu ŋŋendo zaabwe, n'abasabirizi n'abaagala okwenunula okuva mu buwambe. Era n'ayimirizaawo e sswala, n'atoola ne zzaka mu by'obugaggabwe. N abo abatuukiriza endagaano zaabwe bwebaba nga balagaanyisizza, n'abagumiikiriza mu buzibu, obubenje ne mu biseera bye ntalo. Abo nno be bakkiriza okukkiriza okwannamaddala, era abo bo be batya Katonda

    [178] Abange mmwe abakkiriza mulaalikiddwako nti ekibonerezo ky'oyo aba atemudde kumutta; omwana waboowo attibwa olw'okutta omwana wabobwe, n'omuddu attibwa olw'okutta muddu munne, n'omukazi attibwa ku lwokutta mukazi munne. Asse, bannannyini mufu bwe baba bamusonyiye ekintu kyonna, ababanja bateekwa okubanja mu ngeri nnungi, n'abasasula basasule mu ngeri y'emu. Okwo kwe kuwewula n'okusaasira, ebyava eri Katonda wa mmwe. (Oluvanyuma lw'okusasula) oyo alumba n'atta eyasonyiyiddwa naye ateekwa okuweebwa ekibonerezo ekiruma nga ky'akuttibwa (awatali kusonyiyibwa oba okuwa engassi)

    [179] Okuwa abatemu ekibonerezo ky'okufa mwemuli obulamu bwa mmwe, abange mmwe abalina amagezi, mulyoke mutye Katonda

    [180] Mulaalikiddwako singa (kirabika nti) omu ku mmwe atuuse okufa n'aba nga aleseewo ebintu, ateekwa okulaamira bazaddebe bombi n'aboolugandalwe olw'okumpi nga akikola mu ngeri ennungi. Ekyo kikakafu ku batya Katonda

    [181] Wabula omuntu akyusa ekiraamo, nga amaze okukiwulira; mazima ddala ekibi ky'okukikyusa kiri kwabo abakikyusa kubanga Katonda muwulizi nnyo, era mumanyi nnyo

    [182] Naye omuntu bweyeekengera mu mulaami okwekubiira oba okukola ekikyamu, ye nalongoosa wakati waabwe (abalaamirwa) oyo tayina kibi. Mazima Katonda musonyiyi, musaasizi

    [183] Abange mmwe abakkiriza mulaalikiddwa okusiiba nga bwe kwalaalikibwa kw'abo abaabakulembera mulyoke mutye Katonda

    [184] Nga musiiba ennaku mbale bubazi, naye oyo an'abanga omulwadde mu mmwe, oba ng'ali ku lugendo, (akkirizibwa obutasiiba) ennaku ezo azisiibe mu nnaku endala. Bo abo abasiiba nga bazitoowererwa (bayinza obutasiiba) nebawa omutango nga baliisa abanaku. Bulijjo omuntu bw'akola ekirungi ekisinga kw'ekyo kyalagiddwa okukola, kye kirungi gyali. Wabula singa musiiba kiba kirungi gyemuli bwe muba nga mumanyi

    [185] (Ekiseera ekibalaalikiddwako okusiiba gwe) mwezi gwa Ramadhan, Kur'ani mwe yakkira. Nga (Kur'ani) kya kulungamya eri abantu. Era nga mulimu obujulizi obunnyonnyola obulungamu era nga mulimu okulaga enjawulo wakati w'amazima n'obulimba. N'olwekyo omuntu abeerangawo ng'omwezi gwa Ramadhan gutuuse ateekwa okugusiiba. Naye oyo asangibwa nga mulwadde, oba ng'ali ku lugendo ennaku ezo azibale azisiibe mu kiseera ekirala. Bulijjo Katonda abaagaliza bwangu so si kubakaluubiriza. Kale nno mujjuze ennaku (ze mwalya mu Ramadhan) era mutendereze Katonda olw'okubaluŋŋamya, olwo mubeere abeebaza

    [186] Abaddu bange bwe baba bakumbuuzizzaako bagambe nti mazima ndi kumpi, nnyanukula okusaba kw'omusabi wonna wansabira. Wabula bateekwa bannyanukule (nga bagondera ebiragiro byange) era banzikirize balyoke batuuke ku bulungamu

    [187] Mukkirizibwa mu kiro ky'okusiiba okukiika eri bakyala ba mmwe, abakyala abo byambalo byammwe nga nammwe bwemuli ebyambalo by'abwe. Katonda amanyi nti mazima ddala mmwe mubadde mwebbirira, Katonda kwekukkiriza okwenenya kwa mmwe era n'abasonyiwa. Kaakati mugende gyebali era mukole ekyo Katonda kye yabakkiriza. Mulye era munywe okutuusizza ddala ewuzi enjeru (nga kye kitangaala) bwenebeeyolekera okuva mu wuzi enzirugavu (nga ye nzikiza) ng'okwo kwe kusala kw'emmambya. Olwo nno musiibe okutuusa obudde okuziba. Temukiikanga gye bali nga mutudde Itikaafu mu mizigiti. Ezo z'ensalosalo za Katonda, temuzisembereranga. Bwatyo nno Katonda bw'annyonnyola amateekage eri abantu balyoke bamutye

    [188] Temulyanga emmaali yammwe mu bulyazaamaanyi mu nkolagana wakati wa mmwe, ne mutuuka n'okugitwala eri abafuzi musobole okulya ekitundu ku bintu by'abantu mu kibi, ate nga mumanyi

    [189] Bakubuuza (ggwe Nabbi Muhammad) ku nkyukakyuka y'omwezi, bagambe nti ebyo bya bantu kumanyirako biseera ne Hijja. Obuntubulamu si kuyingira mayumba gammwe nga muyita mmanju, wabula obuntubulamu ye muntu okutya Katonda. Era amayumba mugayite miryango, era mutye Katonda musobole okubeera mu balirokoka

    [190] Mulwane mu kkubo lya Katonda nga mulwanyisa abo ababa babalwanyisizza. Wabula temusosonkerezanga, mazima Katonda tayagala balumbaganyi

    [191] Mubattenga wonna wemubanga mu basanze, era mubaggye mu bifo ebyo bye babaggyamu kubanga bulijjo effitina mbi nnyo okusinga okutta. Temubalwanyisizanga mu muzigiti ogw'emizizo okugyako nga babalwanyisizzaamu, bwe baba babalwanyisizza nammwe mubalwanyise; empeera y'abatakkiriza bw'etyo bwebeera

    [192] Bwe baba beekomyeko mazima Katonda musonyiyi, musaasizi

    [193] Mubalwanyise waleme kubaawo misanvu gyonna, olwo nno okusinza kwonna kube kwa Katonda yekka. Naye bwe baba beekomyeko olwo nno tewasaanye kubaawo bulabe okugyako ku balyazamaanyi

    [194] Omwezi ogw'emizizo guba gwa mizizo ku buli luuyi. Omuntu atyoboola ebifo eby'emizizo aweebwa ekibonerezo ekigya mu kikolwa ky'aba akoze. Kale nno omuntu abalumbaganye mu mwolekeze obwanga nga bw'aba azze. Mutye Katonda era mumanye nti mazima ddala Katonda ali wamu n'abamutya

    [195] Era muweeyo mu kkubo lya Katonda temwesuulanga mmwe mwennyini mu kuzikirira, era mukole ebirungi, kubanga mazima ddala Katonda ayagala abakozi b'ebirungi

    [196] Mukole Hijja ne Umra mubujjuvu kulwa Katonda naye bwe mulemesebwanga, buli muntu ateekwa okuwaayo ekirabo ky'aba asobola, wabula temumwanga mitwe gyammwe okutuusa ekirabo nga kituuse mu kifo kyakyo. Naye oyo an'abanga omulwadde mu mmwe oba ng'alina ekizibu ekirala ku mutwe gwe oyo ateekeddwa okutoola omutango ng'asiiba oba awaayo saddaaka oba okusala ekisolo. Naye bwe mun'abanga mu mirembe, oyo yenna anaakozesanga omukisa gw'okukulembeza Umra ku Hijja atekeddwa okuwaayo ekirabo ky'aba asobodde, naye oyo an'abanga takirina ateekeddwa okusiiba ennaku ssatu ng'akyali mu Hijja nendala musanvu nga muzzeeyo, eryo nno lyekkumi eryekutte. Ebyo biba bityo ku oyo amakaage nga tegali wali muzigiti gw'emizizo (Makkah). Mutye Katonda, era mumanye nti mazima ddala Katonda alina ebibonerezo ebikakali

    [197] Hijja erina emyezi egimanyiddwa, kale nno omuntu eyeekakasangako nti mu myezi egyo ajja kukoleramu Hijja, tasaana kukola bya bufumbo, eby'obwonoonyi, wadde okuwakana ng'ali mu mikolo gya Hijja. Buli kirungi kyonna kyemukola Katonda akimanyi. Era muteekeddwa okwesibirira entanda. Nentanda esinga obulungi kwe kutya Katonda. Kale nno muntye mmwe abalina amagezi agasengejja

    [198] Temulina kibi bwe muba nga munonyezza ku bigabwa bya Katonda wa mmwe, bwe muvanga mu Arafa mutendereze Katonda mu kifo ekyemizizo (Muzidalifah). Era mu mutendereze, anti yabaluŋŋamya newakubadde nga mu kusooka mwali mu babuze

    [199] Mu kuva awo muyite mu kkubo abantu abalala webayita era mwegayirire Katonda, mazima Katonda musonyiyi, musaasizi

    [200] Bwe mumaliriza emikolo gyammwe (egya Hijja), mw'ogerenga ku Katonda nga bwe mwogera ku bakadde ba mmwe, sinakindi n'okusingawo. Mu bantu mulimu abasaba nga bagamba; Mukama Katonda waffe tuwe ebirungi by'ensi n'aba nga talina mugabo gwonna gw'asabye mu by'enkomerero

    [201] Naye ate mubo mulimu abasaba nga bagamba; Mukama Katonda waffe tuwe obulungi ku nsi, ne ku nkomerero otuwe obulungi, otuwonye ebibonerezo by'omuliro

    [202] Abo nno be balina omugabo mu bye baba bakoze, era Katonda mwangu nnyo mu kubala

    [203] Mutendereze Katonda mu nnaku embale, omuntu anaayanguwanga n'avaayo mu nnaku bbiri talina nsobi. N'oyo alinda n'amalayo (ennaku ssatu) talina nsobi. Ekyo ky'oyo atya Katonda. Mutye Katonda era mu manye nti mugenda kukuŋŋanyizibwa mudde gy'ali

    [204] Mu bantu mulimu omuntu nga ebigambo bye bikusanyusa mu bulamu obw'ensi era nga ajuliza Katonda kw'ekyo ekiri mu mutima gwe, so nga ye mulabe asingira ddala (eri obusiraamu n'abasiraamu)

    [205] Bw'ava awo assa amaanyi mu kusaasanya obwonoonefu mu nsi, era n'azikiriza ebirime n'ebisolo, ngate Katonda tayagala bwonoonefu

    [206] (Omuntu oyo y'omu) bwebamugamba nti tya Katonda, amawaggalige gamwongera okwonooneka. Omuliro Jahannama kye kifokye. Ekyo nno kifo kibi nnyo

    [207] Era mu bantu mulimu oyo eyeewaayo nga anoonya okusiima kwa Katonda; (Bulijjo) Katonda musaasizi nnyo eri abaddube

    [208] Abange mmwe abakkiriza, muyingire mu busiraamu muggweeremu. Temugobereranga makubo ga sitaani, mazima ye mulabe wa mmwe owoolwatu

    [209] Kemunaaseerera oluvanyuma lw'okujjirwa obunnyonnyofu, mumanye nti Katonda wa buyinza, naye nga buli ky'akola akikola lwa nsonga

    [210] Tebalina kye balinda, mpozzi nga balinda Katonda kubajjira ngali mu bisiikirize by'ebire ne ba malayika bajje. So nga ate (ebyo webiribeererawo) ebintu by'ensi byonna biriba bimaze okukoma, era eri Katonda y'eri obuddo bw'ebintu byonna

    [211] Buuza abaana ba Yisirayiri nti, obujulizi obunnyonnyofu bumeka bwennabawa. Naye nno omuntu akyusa ekyengera kya Katonda nga amaze okukifuna, mazima ddala Katonda ebibonerezobye byamaanyi

    [212] Abatakkiriza banyumirwa nnyo obulamu bw'ensi, era bajeeja abakkiriza; wabula abatya Katonda bagenda kubabeera waggulu ku lunaku lw’enkomerero. Katonda agabira gwaba ayagadde awatali kubalirira

    [213] Abantu baali bumu (naye olw'ensonga emu oba endala nebaawukana) Katonda kwe kutuma ba nnabbi nga balanga essanyu (eri abo abakkiriza nebakola emirimu emirungi) era nga batiisa (ebibonerezo ebirituuka ku bajeemu). Katonda nabassaako obubaka obujjudde amazima alyoke abe ngalamula abantu mwe byo bye bayawukanamu. Naye tewali bayawukana mu bubaka okugyako abo bennyini abaabuweebwa, era nga mu kujja kw'obubaka obwo baali baafuna obunnyonnyofu. Ekyo kyali bwe kityo olw'obujeemu bwabwe. Katonda kwe kulungamya abo abakkiriza ku lw'ekisakye eri amazima ago, bali gebaayawukanamu. Era bulijjo Katonda aluŋŋamya gwaba ayagadde eri ekkubo eggolokofu

    [214] Oba musuubira okuyingira e jjana nga temutuukiddwako ebyo ebyatuuka ku baabakulembera! Baatuukibwako ebizibu n'okubonaabona, era nebakankanyizibwa okutuusa omubaka n'abakkiriza abaali awamu naye nebagamba nti Katonda atutaasa ddi? Naye, okutaasa kwa Katonda kuba kumpi

    [215] Bakubuuza biki bye baba bawaayo. Bagambe nti buli kyonna kyemuwaayo mu birungi kiweebwa abazadde ababiri, abooluganda, bamulekwa, abeetaavu nabatambuze. Era (mukimanye) buli kalungi konna kemukola mazima ddala Katonda akamanyi

    [216] Mulaalikiddwako okulwana (mu kkubo lya Katonda) awamu nokuba nga temwandikyagadde. Naye, muyinza obutayagala kintu nga ate kye kirungi gy'emuli, nga bwemuyinza okwagala ekintu naye nga kibi gy'emuli; anti Katonda amanyi ate nga mmwe temumanyi

    [217] Bakubuuza ku nsonga y'okulwanira mu mwezi ogw'emizizo. Bagambe nti okugulwaniramu kibi kinene, wabula okulemesa abantu okukola emirimu gya Katonda n'okumujeemera n'okulemesa abantu okutuuka ku muzikiti ogw'emizizo n'okugobaganya abantu baamu, bye bisinga obubi mu maaso ga Katonda. Kubanga (bulijjo) effitina mbi nnyo okusinga okutta

    [218] Era bulijjo bajja kubalwanyisanga okutuusa lweban'abajja ku ddiini yammwe, singa bakisobola. Naye oyo gwekanaatanda mu mmwe naava ku ddiiniye n'atuuka okufa nga mukaafiiri; abo nno bayonoonekerwa emirimu gyabwe ku nsi ne ku nkomerero, era abo be bagenda okutuula mu muliro era baakugubeeramu bugenderevu. Mazima ddala abo abakkiriza era abaasenguka ne balafuubana mu kkubo lya Katonda; abo nno be basuubira okusaasira kwa Katonda. Era Katonda musonyiyi, musaasizi

    [219] Bakubuuza ebikwata ku mwenge ne zzaala, bagambe nti mu by'ombiriri mulimu ekibi kinene, nga bwe mulimu emigaso eri abantu. Naye ekibi kyabyo kye kinene okusinga emigaso egibirimu. Ate era bakubuuza nti baweeyo kigero ki mu mmaali zaabwe, bagambe nti mugabenga ekyo ekiba kifisse ku byetaago byammwe. Bwatyo nno Katonda bwa bannyonnyola amateekage mulyoke mufumitirize

    [220] (Musobole okutegeera) ebikwata ku bulamu buno obw'okunsi n'obwoluvanyuma. Era bakubuuza ku bikwata ku bamulekwa, bagambe nti okubakolera ebyabwe nga byetongoredde kirungi, naye singa mubigatta n'ebyammwe anti baganda ba mmwe, era Katonda amanyi omwonoonyi n'omukozi w'obulungi. Singa Katonda yayagala yandibakaluubirizza. Mazima Katonda wa maanyi wa magezi

    [221] Temuwasanga abagatta ku Katonda ebintu ebirala okutuusa lwe bakkiriza. Omuzaana omukkiriza ye mulungi okusinga oyo agatta ku Katonda ebintu ebirala newakubadde nga gwe mwandyagadde. Era temufumbizanga bawala ba mmwe eri abo abagatta ku Katonda ebintu ebirala okutuusa lwe basiramuka. Omuddu omukkiriza ye mulungi okusinga oyo agatta ku Katonda ebintu ebirala newakubadde nga gwe mwandyagadde. (Mumbeera zaabwe zonna) bakoowoola abantu nga babazza eri omuliro, so nga ate Katonda abakoowoola kubazza eri jjana n'ekisonyiwo okusinziira ku kwagala kwe, era annyonnyola abantu ebigambo bye balyoke basobole okwekuba mu kifuba

    [222] Era bakubuuza ebikwata ku kusuulumba, bagambe nti kyo kyabulabe, kale nno mwesambe abakyala nga bali mu kusuulumba, era temubasemberera okutuusa lwe batukula, olwo nno bwe beetukuza mugende gye bali nga muyita mu kkubo eryo Katonda lye yabalagira. Mazima ddala bulijjo Katonda ayagala abeenenya era nga bw'ayagala abeetukuza

    [223] Bakyala ba mmwe nnimiro zammwe musobola okugenda mu nnimiro zammwe nga muyita wonna wemuba mwagadde era bulijjo mwetegekere (nga mukola emirimu emirungi) era mutye Katonda mumanye nti mazima ddala mugenda kumusisinkana, era sanyusa abakkiriza

    [224] Temufuulanga erinnya lya Katonda ekyekwaso eky'obutamenyawo birayiro byammwe, nemutuuka obuteeyisa bulungi n'obutatya Katonda nemutuuka n'obutasobola kulongoosa wakati w'abantu. Bulijjo Katonda awulira era mumanyi nnyo

    [225] Katonda tabavunaana mu kulayira kwa mmwe okw'olusaago, wabula abavunaana ebyo emitima gyammwe gyebikakasizza, bulijjo Katonda musonyiyi waakisa

    [226] Abo ababa beetemye engalike nti tebagenda kuddayo kulabagana na bakyala baabwe baweebwa ebbanga lya emyezi ena, bwe baddira bakyala baabwe mu myezi egyo mazima ddala Katonda musonyiyi musaasizi

    [227] Naye bwe baba baguggubidde ku ky'okuta bakyala baabwe, mazima ddala Katonda awulira, amanyi nnyo

    [228] Abakyala abaweereddwa talaka bateekeddwa okumala ebbanga lya ntukula ssatu era tebakkirizibwa kukweka ekyo Katonda kyaba atonze mu nnabaana waabwe bwe baba ddala nga bakkiriza Katonda n'olunaku lw’enkomerero. Era (mu kiseera ekyo) ba bbaabwe be balina okubaddira. Ekyo nno bwe baba nga bagenderera kulongoosa. Abakyala abo bateekeddwa okuweebwa nga ekyo nabo kyebateekeddwa okuwaayo mu ngeri ennungi, naye nga abasajja babalinako enkizo. Anti Katonda y'asinga okuba ow'obuyinza era nga bwa singa okuba ow'amagezi

    [229] Okuta omukyala (nga omwami aweebwa omukisa okumuddira) kibaawo emirundi ebiri. Mu kiseera ekyo omwami ayinza okusalawo okuddira mukyalawe mu mwoyo mulungi, oba okumuta mu ngeri ennungi. Era temukkirizibwa kujja ku bakyala ba mmwe (be mutadde) kintu kyonna kwebyo bye mwabawa okugyako nga beekengedde obutatuukiriza mateeka ga Katonda mu bufumbo. Kati bwekiba nga mutidde (mwe abatabaganya) nti abafumbo bombi tebajja kusobola kutuukiriza mateeka ga Katonda mu bufumbo, tebalina musango gwonna mu kutwala ekyo omukyala kyaba yeenunula nakyo. Ago ge mateeka ga Katonda temugasukkanga. Oyo yenna amenya amateeka ga Katonda; abo nno be balyazamaanyi

    [230] Naye omusajja bwaba atadde mukyalawe (talaka ey'okusatu) aba takyakkirizibwa kumuddira mu bufumbo oluvanyuma lwa taraka eyo okugyako nga amaze okufumbirwa omusajja omulala. Omusajja oyo omulala bw'aba amutadde tewaba musango okuddingana (N'oli eyasooka okumuta enta essatu) kasita basuubira nti bombi banaatuukiriza amateeka g'obufumbo. Ago nno gemateeka ga Katonda agannyonnyola abantu abategeera

    [231] Bwe muba mutadde abakyala (etali Talaka esembayo) ebbanga lyebalina okutuula neliggwaako (mwe ababayinako obuyinza) temubalemesanga okuddamu okwewoowa nebabbaabwe kavuna baba bakkaanyizza mu ngeri e nnnungi (mukole ekimu kubibiri) okubaddira mu bufumbo mu ngeri e nnungi oba okwawukana nabo mu ngeri y'ekintukiramu. Temubaddiranga olw'okubalumya nga mumenya amateeka g'obufumbo. Omuntu akola ekyo aba yeereetedde yekka obuzibu. Temufuula amateeka ga Katonda ag'olusaago. Mujjukire ekyengera kya Katonda kye yabawa n'ebyo byeyabassiza mu Kur’ani ne mu njigiriza (ya Nabbi Muhammad) ebyo by'ababuulirira nabyo. Mutye Katonda mumanye nti buli kintu kyonna kyemukola akimanyi

    [232] Bwe muba nga mutadde abakyala ebbanga lyabwe lyebatuula nga tebannafumbirwa (Idda) ne liggwaako temubagaananga okudda eri ba bbaabwe bwebaba bakkirizigannyiza mu ngeri ennungi. Etteka eryo libuulirwa oyo yenna akkiriza Katonda n'olunaku lw'enkomerero. Ekyo nno kyekisinga okuba ekyensa n'obutukuvu gyemuli. Katonda y'asinga okumanya (ekirimu omugaso gyemuli) naye mmwe temumanyi

    [233] Abazadde (abakyala) balina okuyonsa abaana baabwe emyaka ebiri egijjudde, eri abo ababa baagadde okuyonsa okujjuvu. Kikakata ku ba taata b'abaana okubalabirira n'okubambaza mu ngeri esaana, omuntu taakakibwenga ky'atasobola. N'omukyala taayisibwenga bubi olw'omwana gw'ayonsa. Wadde kitaawe w'omwana naye tasaanidde kuyisibwa bubi olw'omwanawe. N'oyo aba asikidde taata wa baana ayisibwa mu ngeri y'emu. Bwebaba nga bakkiriziganyizza bombi okuggya omwana ku mabeere nga bayise mu kuteesa olwo tewaba namusango gwonna. Bwe muba mwagadde omukyala omulala okubayonseza omwana temulina musango gwonna kasita muba nga muwaddeyo ebyo byemukkiriziganyizzaako mu ngeri ennungi. Era mutye Katonda, era mumanye nti mazima Katonda alaba byonna bye mukola

    [234] Ate abo ababa bafudde mu mmwe nebaleka abakyala bateekwa okwekuuma nga tebanaddamu kufumbirwa ebbanga lya myezi ena ne nnaku kumi. Bweriba nga ebbanga eryo liweddeko, temulina musango mwekyo kyebaba bakoze mu by'okwewunda (n'okukkkiriza abaagala okubawoowa) mu ngeri y'ekintukiramu (etemenya mateeka gabusiraamu). Katonda mumanyi nnyo ku byemukola

    [235] Era temulina musango olw'ekyo kyemuba mukoze nga temwatudde nga mugenderera okwogereza abakyala (abo) oba kyemuba mukwese mu mitima gyammwe. Katonda amanyi nti mujja kwogera nabo (kunsonga y'okubawasa) naye temubalagaanyisanga mukyama mu ngeri yaakukukuta, okugyako nga mubagamba ebigambo ebirungi. Temwetantalanga kukola ndagaano y'abufumbo n'abakyala abo (abali mu Idda) okutuusa ebbanga (lya Idda) nga liweddeko. Era musaana mumanye nti mazima Katonda amanyi ebiri mu myoyo gyammwe. Mumwegendereze awamu n'ekyo mumanye nti muyitirivu waakusonyiwa era waakisa kingi

    [236] Temulina musango singa muta bakyala ba mmwe nga temunneegatta nabo wadde nga temunnabagerekera mahare. Naye muteekwa okubasibirira. Omugagga asibirira ekigya mu mbeeraye n’omufuna mpola asibirira ekimugyamu. Okusibirira kubeera mu ngeri ya buntu bulamu. Ekyo kikakafu ku bakozi b'obulungi

    [237] Wabula bwe muba nga mubatadde nga temunnaba kwegatta nabo naye nga mwabagerekera amahare, mubawe kitundu kyago, okugyako nga abakyala abo bagasonyiye oba nga asonyiye oyo alina obuyinza okukakasa endagaano y'obufumbo (omusajja). Naye bwe muba nga musonyiye, ekyo kye kisinga okuba okumpi n'okutya Katonda. Temwerabiranga enkolagana ennungi ebadde wakati wa mmwe. Mazima Katonda alaba ebyo byonna byemukola

    [238] Munyiikirire nnyo e sswala zonna ettaano, naddala e sswala y'omumakkati; muyimirire mu maaso ga Katonda nga muli bakkakkamu

    [239] Wabula bwe muba nga mutidde (omulabe) musaale nga mutambula oba nga mwebagadde. Wabula bwekuba nga okutya kuvuddewo mutendereze Katonda (nga musaala) nga bweyabayigiriza ebyo byemwali temumanyi

    [240] Abo abatuukwako okufa mu mmwe nebaba nga balese abakyala, Katonda alagira nti abakyala abo bateekwa okulabirirwa omwaka mulamba awatali kubagobaganya mu mayumba g'aba bbaabwe. Wabula bwe bagavaamu kyeyagalire olwo nno muba temukyalina buvunaanyizibwa kw'ekyo kyebaba bakoze mu kwekolako nga beenyiriza. Bulijjo Katonda wa maanyi, ate nga agoba nsonga

    [241] (Mu ngeri y'emu) n'abakyala ababa batalakiddwa bateekeddwa okusibirirwa mu ngeri ennungi. Ekyo kikakafu kwabo abatya Katonda

    [242] Bwatyo nno Katonda bw'abannyonnyola ebigambo bye mulyooke mutegeere

    [243] Tolaba abo abadduka mu mayumba gaabwe nga baali nkumi nankumi nga batya okufa, Katonda n'abagamba nti kale mufe, oluvanyuma n'abazuukiza. Mazima Katonda agabirira nnyo abantu, naye abantu abasinga obungi tebeebaza

    [244] Mulwane mu kkubo lya Katonda era mumanye nti mazima ddala Katonda awulira era muyitirivu wa kumanya

    [245] Ani oyo awola Katonda okuwola okulungi alyoke abe nga akumubalizaamu emirundi emingi. Era Katonda y'afunza era n'agaziya (enfuna y’omuntu) so nga era gyali gye mulizzibwa

    [246] Tolaba abakungu mu baana ba Israel abaaliwo oluvanyuma lwa Musa bwe baatuuka okugamba nabbi waabwe nti tuteerewo kabaka (atukulembere) tusobole okulwana mu kkubo lya Katonda. (Nabbi) naabagamba nti ‘kyemugamba nti singa mulalikiddwako okulwana nga muli ne kabaka oyo temuugaane kulwana?’ Nebagamba nti ‘Ate lwaki tetulwana mu kkubo lya Katonda nga twagobaganyizibwa dda ffe n’abaana baffe okuva munsi yaffe? Wabula bwebaalaalikibwako okulwana baakyuka okuva ku bigambo byabwe okugyako batono mubo. Wabula nga bulijjo Katonda amanyi abalyazaamanyi

    [247] Nabbi waabwe kwekubaanukula nti mazima Katonda alonze Twaluta okuba kabaka wamwe. Bo kwekugamba nti ayinza atya okuba kabaka waffe songa ffe tusaanira obw’akabaka okumusinga, ng'era teyaweebwa bugazi bwa byanfuna. (Nabbi waabwe) n'abagamba nti Mukama Katonda amulonze mu mmwe era n'amwongera obugazi mu kumanya ne mu mubiri. Era Katonda awa obufuzi bwe oyo gwaba ayagadde. Era Katonda mugazi era mumanyi

    [248] Nabbi waabwe n'abagamba nti mazima akabonero akakakasa obw’akabaka bwe kwekuba nti mujja kujjirwa essanduuke ng'erimu obutebenkevu okuva eri Mukama Katonda wa mmwe. Era nga mulimu ebyasigalawo kw'ebyo abantu ba Musa () n’abantu ba Haruna () bye baaleka (Essanduuko eyo) ejja kuba esituddwa ba malayika. Mazima ekyo nno ddala kirimu obujulizi gyemuli, bwe muba ddala nga muli bakkiriza

    [249] Twaluta bweyatandika okutambula n’eggye yabagamba nti (okugenda tugenda naye mukimanye) Mazima ddala Katonda ajja kubagezesa nga akozesa omugga. Oyo yenna anaagunywako ajja kuba takyali wamuggye lyange. Naye oyo ataagekatankire oyo nno yewange ddala, mpozzi omuntu asobola okusenayo olusena lumu n’olubatulwe. Bonna baaganywa okugyako batono mubo. Bweyamala okugusomoka wamu n'abakkiriza abaali naye, nebagamba nti olwaleero luno tetuyinza kusobola Jjaluuta n'eggye lye. Bo abaakakasa nti bagenda kusisinkana Katonda kwe kugamba nti bimeka ebibiina ebitono ku lw'obuyinza bwa Katonda ebiwangula ebibiina eby'abantu abangi, era bulijjo Katonda abeera wamu n'abagumiikiriza

    [250] Bwebaayolekaganya obwanga ne Jaaluuta n'eggye lye nebagamba nti, Ayi Katonda waffe tuwe obugumiikiriza otunyweze, era otutaase ku bantu abakaafiiri

    [251] Ku lw'obuyinza bwa Katonda baabawangula. Dauda natta Jaaluuta era Katonda naamuwa obufuzi n'amagezi era nga bweyamuwa okumanya ebyo byeyayagala amanye. Singa tekyali nti Katonda aggyawo abantu nga akozesa abamu okugyawo bannaabwe, ensi yandiyonoonese. Naye mazima ddala Katonda ebitondebye abyagaliza bulungi

    [252] Ebyo nno bigambo bya Katonda bye tukusomera ebyamazima, era mazima ddala ggwe (Nabbi Muhamadi) oli mu luse lw'abatume

    [253] Abo ababaka twasukkulumya abamu ku bannaabwe, abamu ku bo Katonda yayogera nabo, nabalala naabasukkulumya mu madaala. Isa mutabani wa Mariam twamuwa obujulizi obwenkukunala era netumuwagira ne mwoyo mutukuvu (Jiburilu), Singa Katonda yayagala abaaliwo mu mirembe egyaddako tebandirwanaganye oluvanyuma lwobunnyonnyofu okubajjira naye baayawukana, abamu mu bo bakkiriza naabalala nebajeema, era singa Katonda yayagala tebandirwanaganye, wabula mazima Katonda akola ekyo kyaba ayagadde

    [254] Abange mwe abakkiriza muweeyo kwebyo byetwabagabira, nga olunaku okutaliba kutunda wadde omukwano oba okuwolereza terunatuuka, naye Abakafiiri bebalyazamanyi (olwobutagondera mateeka g’a Katonda)

    [255] Katonda yekka, ateekwa okusinzibwa, yooyo omulamu obulamu obwolubeerera nga yeyimirizaawo yekka awatali kwetaaga buyambi bwonna, takwatibwa kusumagira wadde otulo, nannyini wa byonna ebiri mu ggulu ne mu nsi, tewali agenda kwetantala kuwolereza (munne) ewa Katonda okugyako nga amukkirizza, Katonda amanyi ebyo ebiri mumaaso gaabwe n'emabega wabwe ate bo tebasobola kumanya mubujjuvu kintu kyonna mwebyo byamanyi okugyako kyaba ayagadde, entebe ye ngazi okumalayo eggulu ne nsi, so nga ate eggulu ne nsi okubikuuma byombi tekimukaluubirira. Era ye yaasinga okuba owa waggulu, ow'ekitiibwa e kisuffu

    [256] Tewali kuwaliriza bantu kuyingira mu ddiini anti obulungamu bweyolese okuva ku bubuze, oyo yenna awakanya Sitane nakkiriza Katonda aba yeekutte ku muguwa omugumu ogutakutuka, bulijjo Katonda awulira era amanyi byonna

    [257] Katonda yemweyimirize wa bakkiriza, abaggya mu bizikiza naabazza eri ekitangaala, bo abakafiiri, ebintu bya Sitane ye mweyimirize waabwe, bibaggya mu kitangaala nebibazza mu nzikiza, abo be bantu b'omu muliro b'akugutuulamu olubeerera

    [258] Tolaba oyo eyawakana ne Ibrahim ku bwomu bwa Katonda we, olwokuba nno bambi Katonda yamuwa obufuzi ekyamuletera okwekuluntaza, Ibrahim bweyamugamba nti Katonda wange yooyo awa obulamu era natta, ye naddamu nti nze mpa obulamu era nenzita, Ibrahim naagamba nti mazima Katonda enjuba agiggya buvanjuba kale ggwe giggye ebugwanjuba. Awo nno omuwakanyi oyo ebigambo nebimuggwako anti bulijjo Katonda talungamya bantu beeyisa bubi

    [259] Oba twala ekyokulabirako kyoyo eyayita ku kyalo nga obusolya bwakyo buguddemu naagamba nti ekyalo kino Katonda agenda kukizzaawo atya nga kyafa dda! Katonda naamutta okumala emyaka kikumi oluvanyuma naamuzuukiza naamugamba nti omaze bbanga ki nga ofudde? Naamuddamu nti maze olunaku lumu oba ekitundu kyalwo, naamugamba nti nedda omaze emyaka kikumi, Ggwe tolaba emmere yo n'ebyokunywa byo tebyonoonese!!! Ate tunula ku ndogoyi yo (eweddeko ennyama neeba magumba meerere), nga ekigendererwa tukufuule ekyokulabirako eri abantu. Tunuulira olabe amagumba ge ndogoyi yo nga bwetugayunga olwo nno netugambaza ennyama, bweyamala okulaba nga bwegutyo bweguli naagamba nti kaakano nkitegedde Katonda asobola okukola buli kintu

    [260] Jjukira ekiseera Ibrahim weyagambira nti, Ayi Katonda wange ndaga engeri gyolizuukizaamu abafu, Katonda naagamba nti tokkirizanga! Ibrahim naagamba nti nakkiriza naye ekyo nkisaba lwakwongera mutima gwange kumatira, Katonda naamugamba nti kwata ebinyonyi bina obitwale obisale, obitemeteme bwomala ku buli lusozi oteekeko ekifi kimu, oluvanyuma obikoowoole bijja kuggya gyoli mubwangu, bulijjo kiteekwa okumanyibwa nti mazima Katonda nantakubwa ku mukono ate mugoba nsonga

    [261] Abo, abawaayo ebimu ku bintu byabwe mu kubo lya Katonda, bafaananako omuntu asiga empeke emu emera n'eweeka ebirimba musanvu nga buli kirimba kiriko empeke kikumi, bulijjo Katonda ayongeza ebigabwabye eri oyo gwaba ayagadde, anti bulijjo Katonda mugazi mu mbeera ze zonna ate nga muyitirivu wa kumanya

    [262] Abo abawaayo e mmaali mu kkubo lya Katonda ate kyebawaddeyo nebatakigoberezaako kulaalaasa oba ebinyiiza, abo bagenda kufuna e mpeera yaabwe ewa Katonda waabwe, era tebagenda kuba nakutya kwonna mu maaso ga Katonda era nga tebagenda kunakuwala

    [263] Ekigambo akyobuntu bulamu n'obutayogerera bubi musabi kirungi okusinga saddaaka egoberezebwako ebigambo ebitasanyusa, bulijjo Katonda ssi mwetaavu (era) ow'ekisa ekingi

    [264] Abange mmwe abakkiriza temwonoonanga saddaaka zammwe kulwokuziraalasa n’okuzigoberezaako ebigambo ebinyiiza gamba nga omuntu awaayo emmaali ye olwabantu okumulaba naye nga takkiriza Katonda n'olunaku lw’enkomerero, omuntu oyo alinga olwaazi oluliko ettaka namuttikwa w'enkuba naalutonnyako naaluleka nga lukalu, nabwekityo abantu abakola kulwabandabe byonna byebakola bifuumuuka nebaba nga tebabifunamu mpeera mumaaso g’a Katonda bwatyo nno Katonda talungamya bantu bajeemu

    [265] Kyo ekifaananyi kyabo abawaayo emmaali yaabwe nga banoonya kusiima kwa Katonda n'okusinziira ku kukkiriza kwabwe Katonda okwa namaddala, baba nga ennimiro eri ku ttaka eggimu neetonnyebwamu namutikwa wenkuba ebibala byayo nebyebazaamu emirundi ebiri nebweba tefunye namutikwa wa nkuba waakiri olufuuyirize. Bulijjo Katonda alabira ddala byonna byemukola

    [266] Abaffe omu ku mmwe yandyagadde okubeera nennimiro eyeemitende nemizabibu nga emigga gikulukutira wansi waayo ngalina mu yo buli kika kyabibala, obukadde nebumutuukako ate nga alina abaana abakyali abato, kibuyaga nga alimu n'omuliro naagikuba neggya neggwawo, bwatyo nno Katonda bwabannyonyola ebigambo ebigasa musobole okwefumiitiriza

    [267] Abange mmwe abakkiriza muweeyo ku birungi byemuba mukoze ne mwebyo byetubaggira wansi mu ttaka, temulondangamu ebibi mu byo mube nga byemuwaayo, so singa biba biweereddwa mmwe temwandibitutte okugyako nga mwefudde abatalaba (nemumala gabitwala) era musaana mukimanye nti mazima Katonda talina bwetaavu eri kintu kyonna era yaatenderezebwa

    [268] Obukodo n'okwagala okuwaayo ebitali birungi nga ye saddaaka, Sitane y'ebibassaamu, anti yyo Sitane ebatiisa obwavu neebalagira okukola ebibi so nga Katonda abalagaanyisa kisonyiwo okuva gyali nakubawa birungi, bulijjo Katonda mugazi nnyo mubyagaba mumanyi nnyo

    [269] Katonda awa okutegeera ensonga, oyo gwaba ayagadde era oyo aba aweereddwa okutegeera ensonga aba aweereddwa ebirungi ebiyitirivu. Tewali bayinza kwegasa nakino okugyako abalina amagezi agakola ennyo

    [270] (Muteekwa mukimanye nti ) buli kyonna kyemuba muwaddeyo oba naziri yonna gyemuba mwetemye mazima Katonda abimanyi. Abeeyisa obubi nebatatuukiriza kyebateekwa kukola, tebagenda kufuna abataasa ku Katonda

    [271] Saddaaka bwemuziwa mu lwatu kiba kirungi naye ate bwe muba muzikisizza (nemuziwa abaavu) mukyama kyekisinga obulungi, era ekyo kibasonyiyisa ebibi byammwe, bulijjo Katonda amanyi nnyo byemukola

    [272] (Ebyo ebyogeddwa waggulu bimala okumatiza omuntu) Ssi ggwe ovunaanyizibwa ku kulungama kwaabwe, wabula Katonda alungamya oyo gwaba ayagadde, buli kirungi kyemuwaayo kigasa mmwe, (nga abakkiriza) buli kyonna kyemuwaayo mugenderera kudda eri Katonda, buli kirungi kyonna kyemuwaayo kigenda kubasasulwa mu bujjuvu era temugenda kulyazaamanyizibwa

    [273] (Saddaaka ziweebwa) abaavu abo abeewaayo mu kuweereza mu kkubo lya Katonda nga tebasobola kutakabana nga banoonya riziki mu nsi. Olwensa zaabwe, atamanyi alowooza nti bagagga osobola okubamanya olwobubonero bwaabwe, anti tebabeeba Bantu nga basaba, (n’olwekyo abalina baweeyo) anti buli kalungi konna kemuwaayo Katonda akamanyira ddala

    [274] Abo abawaayo e mmaali yaabwe ekiro n'emisana, mu kyama ne mu lwatu, bagenda kufuna empeera yaabwe ewa Katonda waabwe, tebagenda kutuukibwako kutya era tebagenda kunakuwala

    [275] Abo abalya Ribba (emaali ey'okuwola okw’okwongeramu) ku lunaku lwokuzuukira tebagenda kuyimuka wabula nga bwayimuka oyo aba akubiddwa Sitane naagwa eddalu, ekyo nno lwakuba bagamba nti okusubula ne Ribba tebirina njawulo (anti byonna kuwaanyisiganya byamaguzi na kufuna magoba) wabula ekituufu kiri nti Katonda yasalawo nti okusuubula kuli Halaali, yo Ribba eri Haramu. Kale nno oyo anaatuukwako okubuulirira okuva eri Katonda naava kunkola eya Ribba ebyo byeyakola mukusooka tebimuvunaanwa, ensonga ze zisigadde wa Katonda we, naye oyo anaddayo kunkolagana eya Ribba, abo nno, be bantu b'omu muliro ba kugubeeramu obugenderevu

    [276] Katonda agya emikisa mu mmaali ya Ribba kyokka naayaza emmaali etoolwamu Saddaaka, Katonda tayagala mujeemu yenna awalaaza empaka (alemera ku Ribba aba agugubidde ku kibi n'okujeemera Katonda)

    [277] Mazima abo abakkiriza era nebakola emirimu emirungi nebayimirizaawo e sswala nebatoola zzaka bagenda kufuna empeera yaabwe ewa Katonda waabwe tebagenda kutuukwako kutya era tebagenda kunakuwala

    [278] Abange mmwe abakkiriza mutye Katonda era musazeemu enkolagana ya Ribba gyemubadde mukyalimu bwe muba nga ddala muli bakkiriza

    [279] Bwemutaakikole mumanye nti Katonda n'omubakawe babalangiriddeko olutalo naye bwe muba mwenenyezza sente zammwe (Capital) zemwassaamu muzigyeeyo, mukino mube nga temufiiriza wadde okufiirizibwa

    [280] Abanjibwa bwaba nga ali mu buzibu asaanidde alindirizibwe okutuusa lwanabeera nga ali mu mbeera mwasobolera okusasula, (naye mmwe ababanja) singa muba musonyiye bemubanja kyekirungi gyemuli singa mumanyi

    [281] Mutye olunaku lwemuliddizibwa ewa Katonda oluvanyuma buli muntu asasulwe ebyo byeyakola era tebagenda kuyisibwa bubi

    [282] Abange mmwe abakkiriza bwe muba muwolaganye nga ebbanja liriko ekiseera ekigere muwandiikenga, omuwandiisi ateekeddwa okuwandiika endagaano wakati wa mmwe mubwenkanya, omuwandiisi tasaanye kugaana kuwandiika nga Katonda bweyayigiriza, (omuwandiisi) ateekwa awandiike, gwebabanja y'ateekwa okwogera ebiwandiikwa mu ndagaano era mu kukola kino ateekeddwa okutya Katonda mukamaawe, tasaanye kulekayo kintu kyonna kikwata ku bbanja eryo, gwebabanja bwaba wantegeera nnafu oba nga mwana muto oba nga tasobola kuba nti yaayogera ebiwandiikibwa mu ndagaano olwobutasobola obuli ku mubiri gwe, amulabirira y'ateekwa okwogera ebiwandiikibwa mu ndagaano nga akikola mu bwesimbu. (Nga mukola endagaano zino) muteekengawo abajulizi babiri nga basajja mu mmwe, bwebataba basajja babiri, kale abe omusajja omu n'abakyala babiri nga mubalonda mwabo bemulabye nga basaanira okuba abajulizi, era nga singa omukyala omu obujulizi buba bumutabuseeko mu mmwe, munne asobola okumujjukiza, abajulizi tebagaananga okujja bwe baba nga bayitiddwa temwekaanyanga okuwandiika ebbanja kalibe ttono oba ddene, muwandiike nga mulaga ekiseera kyalyo werigwerayo, okuwandiika ebbanja mu ngeri eyo kiragira ddala obwenkanya obuli mu mateeka ga Katonda, era kyekisinga okuyamba obujulizi obutabula mu ngeri yeemu kyekisinga okubayamba obutabaawo kubuusabuusa (nti ebbanja lyali lyenkanawa oba lyakusasula ddi) okugyako nga kubadde kugulana okw'ekiggwerawo kwemukolaganamu mu nkola eyabulijjo mwekyo tumulina musango bwe muba nga temukoze ndagaano, era nebwe muba nga mugulaanye musseewo abajulizi (mukimanye) omuwandiisi wendagaano n'omujulizi tebasaanye kuyisibwa bubi, naye nemumala mukikola kiba kikolwa kya bugyemu okuva mu mmwe, bulijjo muteekeddwa okutya Katonda era Katonda bulijjo abayigiriza ebyo ebirimu emigaso gyammwe anti Katonda amanyi buli kintu

    [283] Bwe muba nga muli ku lugendo olwo nno omusingo gukwatibwe naye bwe muba nga mwesiganganye nemutawandiika ndagaano oba okukwata omusingo oyo eyateekebwamu obwesige ateekwa okutuukiriza obwesigwa obwo era ateekeddwa okutya mukama omulabirizi we (bwemutwalibwa nga okuba abajulizi) temukwekanga obujulizi, oyo yenna abukweka omutima gwe guba gukoze ekibi bulijjo Katonda amanyi byonna byemukola

    [284] Ebiri mu ggulu omusanvu ne mu nsi byonna bya Katonda, kamwolese oba mukweke ebiri mu mitima gyammwe Katonda agenda kubibabalira, olwo nno asonyiwe oyo gwaliba ayagadde era abonereze oyo gwaliba ayagadde anti Katonda muyinza wabuli kintu

    [285] Omubaka yakkiriza naakakasa ebyo ebyassibwa ku ye nga biva ewa mukama omulabiriziwe Katonda we n'abakkiriza bwebatyo nebakakasa, buli omu ku bo yakkiriza Katonda ne ba Malayika be neebitabo bye n'ababakabe era nebagamba nti tetwawula wakati wa babakabe era nebagamba nti tuwulidde netugonda, Ayi Mukama Katonda waffe tukusaba ekisonyiwo era gyoli yeeri obuddo

    [286] Katonda tawaliriza muntu okugyako obusobozi bwe webukoma, buli mwoyo gugenda kusasulwa ebirungi byegwakola era nga bwegugenda okuvunaanwa olwebibi byegwetikka. Ayi Mukama omulabirizi waffe totuvunaana byetukoze mukwerabira oba mu butanwa, Ayi Mukama omulabirizi waffe totutikka obuzito nga bwewatikka abo abaatukulembera, Ayi Mukama omulabirizi waffe totulagira kukola byetutasobola, tugyeko ebibi otusonyiwe otusaasire, gwe mukuumi waffe tutaase ku bantu Abaakaafuwala

    Ezzadde lya Imran

    Surah 3

    [1] Alif Laamu Mimu

    [2] Katonda yooyo tewali kisinzibwa mu butuufu okugyako yye, omulamu, (atendebwa n'obulamu obujjuvu obwolubeerera) eyeeyimirizaawo yekka era ayimirizaawo buli kintu kyonna

    [3] Yassa gyoli ggwe (Nabbi Muhammad) ekitabo (Kur’ani) nga kijulira amazima geebyo e byakikulembera era ye yassa Taurat ne enjili

    [4] Oluberyeberye lwa Kur’ani nga kyakulungamya eri abantu, era yassa ebyawula wakati wa mazima n'obulimba, mazima abo abawakanya ebigambo bya Katonda byeyassa balina ebibonerezo ebiyitirivu, Katonda ye nnantakubwa ku mukono, nannyini kwesasuza

    [5] Katonda tewali kintu kyonna kimwekweka mu nsi ne mu ggulu

    [6] Katonda yooyo abatondera ku bifaananyi byammwe mu nnabaana nga bwaba ayagadde. tewali kisinzibwa kyonna mu mazima, okugyako yye. nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga

    [7] Yye, yooyo eyassa ku ggwe (Muhammad) ekitabo (Kur’ani) mulimu mu kyo ebitundu nga aya zaamu nyinyonnyofu ebyo ngagwemusingi gwekitabo (Kur’ani). Era mulimu ebitundu ebirala nga Aya zaamu ziwa amakulu agafaanagana (nga okuzitegeera kwesigamye ku bitundu bya Aya ezo'musingi gwa Kur’ani) Naye abalina obubuze mu mitima gyabwe (olwebigendererwa byabwe ebibi bo) balondamu Aya eziwa amakulu agafaanagana nga tebeesigamye ku Aya zinannyini musingi gwa Kur’ani, nga ekigendererwa kyabwe kubuza bantu n'olwokwagala okuziggya ku makulu gaazo amatuufu, so nga tewali amanyi makulu gaazo amatuufu okugyako Katonda, nga abakenkufu mu kumanya bagamba nti tukkiriza Kur’ani, byonna ebigirimu byava wa Mukama omulabirizi waffe era nga tewali ategeera bigirimu okugyako ba nannyini magezi amasukkulumu

    [8] (Era bagamba nti) Ayi Mukama omulabirizi waffe toggya mitima gyaffe ku bulungamu oluvanyuma lwokuba nti wabutuwa, anti mazima, ggwe mugabi wa byonna

    [9] Ayi Mukama omulabirizi waffe tukkiriza era nga tukakasa nti ggwe ojja kukunganya abantu ku lunaku olutaliiko kubuusabuusa, anti mazima Katonda tayawukana kundagaano gye yalagaanyisa

    [10] Mazima abo abaakaafuwala emmaali yaabwe n’abaana baabwe tebigenda kubagasa naakamu oba okubataasa ku bibonerezo bya Katonda era abo bennyini zeeziriba enku z'omuliro (ku lunaku olwo)

    [11] Embeera yaabwe mukulimbisa ebigambo bya Katonda efaanana ey’abantu ba farawo n'abaakulembera, Abantu ba Firawo abaalimbisa ebigambo bya Katonda, Katonda naababonererezaawo olwebyonoono byabwe, anti Katonda muyitirivu wa kubonereza

    [12] Ggwe Nabbi, gamba abo abaakaafuwala nti mujja kuwangulwa era mukunganyizibwe mu muliro Jahannama, nabwo bwe buddo obubi ennyo

    [13] Mwalina ekyokulabirako ekyenkukunala ku bibinja ebibiri ebyasisinkana (ku lutalo lwe Badri) ekibinja ekimu (ekya Nabbi () ne banne) nga balwana kutaasa ddiini ya Katonda, nga n'ekibinja ekirala kya baakaafiiri. Abakafiiri baalaba abakkiriza mu muwendo nga babakubisaamu emirundi ebiri, anti Katonda awagira n'okutaasa kwe oyo gwaba ayagadde, mazima mu ekyo mulimu ekyokuyiga eri ba nannyini kulaba okutuufu

    [14] Abantu baateekebwamu okwagala ennyo ebyegombebwa nga Abakyala n'abaana ne ntuumu za zzaabu ne ffeeza ne mbalaasi e zinyirira n'ebisolo ebyawaka n'amasamba ebyo byonna bya kweyagala bya bulamu bwansi, so nga ewa Katonda yeeri obuddo obusinga obulungi

    [15] Bagambe nti mbategeeze ekirungi okusinga ebyo. Abatya Katonda bategekerwa ewa Katonda waabwe e jjana nga emigga gikulukutira mu yo, ba kugibeeramu obugenderevu era baweebwe nabakyala abatukuvu era baakufuna okusiima kwa Katonda, bulijjo Katonda alaba abaddu be

    [16] (Abaddu aboogerwako) beebo abagamba nti; Ayi Mukama omulabirizi waffe mazima ffe tukkirizza n'olwekyo tukusaba otusonyiwe ebibi byaffe otwesambise ebibonerezo by’omuliro

    [17] (Era beebo) abagumiikiriza ne babeera abakkiriza abaamazima era abagonvu era abasaddaaka era nga beegayirira Katonda amatumbi budde

    [18] Katonda yakakasa nti ddala tewali kisinzibwa (mu butuufu) okugyako yye neba malayika ne bannyini kumanya nabo bakakasa ekyo, era nga bulijjo Katonda aliwo kutuukiriza bwenkanya, tewali kisinzibwa okugyako yye nantakubwa ku mukono mugobansonga

    [19] Mazima obusiraamu ye ddiini entuufu ewa Katonda era abaaweebwa e kitabo (Taurat ne njili) tebayawukana okugyako luvannyuma lwakufuna okumanyisibwa okuva eri Katonda kulwokwekolera ensalwa bokka nabokka n'omuntu yenna olwokwekolera eyewaggula ku bigambo bya Katonda mazima Katonda takaluubirirwa kubala

    [20] Bwebaba bakuwakanyizza, ggwe gamba nti neewaddeyo nzenna ewa Katonda nabuli, yenna angoberera ekyo kyakola, era ogambe abo abaaweebwa ekitabo naabo abatalina kitabo (ba mushirikiina) nti nammwe mwewaddeyo bwe beelangirira nti basiramuse olwonno baba balungamye, bwebatakola batyo, anti ggwe kyoteekwa okukola kubatusaako bubaka era bulijjo Katonda alaba abaddu be (nebyebakola)

    [21] Mazima abeewaggula kubigambo bya Katonda era ne batta ba Nabbi mubukyamu era ne batta abo abalagira abantu okukola obwenkanya, basanyuse (mu kubakiina) nti bagenda kufuna ebibonerezo ebiruma

    [22] Abo beebo emirimu gyabwe gyafaafaagana ku nsi ne ku nkomerero era tebagenda kufuna wa kubataasa

    [23] Tolaba abo abaaweebwa omukisa nebafuna ekitabo nga bayitibwa okudda eri ekitabo kya Katonda abalamule, ate ekitundu ku bo, nebatakikola. Mukukola ekyo nebaba nga bavudde ku mazima gebamanyi

    [24] Ekyo nno lwakuba nti bagamba nti omuliro tegugenda kutwokya okugyako nnaku mbale bubazi, ebigambo byebeyiyiza nebibagayaaza mu ddiini yaabwe

    [25] Guliba gutya bwetulibakunganya ku lunaku olutaliimu kubuusabuusa! buli muntu n’asasulwa kyeyakola era tebagenda kuyisibwa bubi

    [26] (Nabbi Muhammad) gamba nti; Ayi mukama Katonda, omufuzi w'obufuzi bwonna, owa obufuzi oyo gw’oba oyagadde era n’obugya kw’oyo gw’oba oyagadde, ositula oyo gw’oba oyagadde n’okakkanya oyo gwoba oyagadde. Obulungi bwonna buli mu mukono gwo anti ggwe muyinza ku buli kintu

    [27] Oyingiza ekiro mu musana, nga bwoyingiza omusana mu kiro. Era ogya ekiramu mu kifu, nga bwogya ekifu mu kiramu era owa riziki oyo yenna gwoba oyagadde awatali kubalirira

    [28] Abakkiriza tebafuulanga Abakafiiri ab'emikwano nebalekawo abakkiriza. Omuntu akola bwatyo talina kintu kyonna ewa Katonda, okugyako nga mubeekengedde nti bayinza okubatusaako akabi (olwo nno musobola okukolagana ku ngulu) Katonda abalabula mmwe abakkiriza mumwegendereze, anti ewa Katonda yeeri obuddo

    [29] Gamba ggwe (Nabbi Muhammad () nti nebwemukweka oba obutakweka ebiri mu bifuba byammwe, Katonda abimanya era amanyi ebiri mu ggulu n’ebiri mu nsi. Bulijjo Katonda mumanyi wa buli kintu

    [30] (Lowooza) ku lunaku buli muntu lwalisanga buli kyonna kyeyakola mu birungi nga kiteekeddwa awo, era nabuli kibi kyonna kyeyakola nga kiteekeddwa awo, nga yeegomba nti singa wakati we n’ekibi ekyo waliwo ebbanga ddene, Katonda abalabula mmwe abakkiriza okumwegendereza, era Katonda musaasizi eri abamusinza

    [31] Gamba abantu (ggwe Muhammad () nti bwe muba mwagala Katonda, kale nno mungoberere Katonda ajja kubaagala era abasonyiwe ebyonoono byammwe, bulijjo Katonda musonyoyi musaasizi

    [32] Gamba nti mugondere Katonda n'omubaka wabula bwemutakikola mazima Katonda tayagala bakaafiiri

    [33] Mazima Katonda yawa Adam ne Nuhu n’abo mu nyumba ya Ibrahim n’abo mu nyumba ya Imran enkizo ku bantu abalala

    [34] Nga bazukkulu, abamu bava mu bannabwe, bulijjo Katonda awulira mumanyi nnyo

    [35] Jjukira mukyala wa Imran bweyagamba nti Ayi Mukama omulabirizi wange mazima nze nneeyamye ku lulwo ekiri mu lubuto lwange kibe ekiwebwayo gyoli era nkusaba okkirize ekiwebwayo kyange, anti mazima ddala ggwe ggwe awulira omumanyi ennyo

    [36] (Maama wa Mariam) bweyazaala omwana oyo yagamba nti ayi mukama omulabirizi wange muzadde nga muwala, wabula Katonda ye yali asinga okutegeera kyeyali azadde, omusajja talinga mukazi era mazima nze mutuumye erinnya Mariam era mazima nze mukwasa ggwe ne zzadde lye omwesambise obubi bwa Sitane eyagobwa mu kusaasira kwo

    [37] Mukama omulabirizi we yamwanukula olwanukula olwa namaddala era naamukuza enkuza ennungi era naamukwasa Zakaria abe omukuza, buli Zakaria lweyayingiranga mu kifo Mariam weyatuulanga olwokusinza ng’amusanga alina ebyokulya. Naagamba nti owange Mariam bino obifuna kuva wa, naamuddamu nti byo biva wa Katonda, mazima Katonda agabirira oyo gwayagadde awatali kubalirira

    [38] Awo nno Zakaria yasaba Mukama omulabirizi we nga agamba nti Ayi mukama omulabirizi wange ngabira okuva gyoli ezzadde eddungi anti mazima ggwe owulira edduwa y’omusabi

    [39] Malayika naamukowoola bweyali ng’ayimiridde mu ssinzizo ngasaba n’amugamba nti mazima Katonda akuwa amawulire amalungi (ag'omwana) Yahaya, anajja ng’akakasa amazima g’ekigambo okuva eri Katonda era nga wa kitiibwa owensa era Nabbi ali mu luse lwa balongoofu

    [40] Zakaria naagamba nti; Mukama wange nnaafuna ntya omwana nga nkaddiye bwenti, era nga ne mukyala wange mugumba! (Malayika) naagamba nti bwatyo Katonda akola kyaba ayagadde

    [41] Naagamba nti Ayi Mukama omulabirizi wange mpa akabonero. (Malayika) naagamba akabonero ko kwekuba nti tojja kwogera n’abantu okumala ennaku ssatu okugyako ng’okozesa kulaza. Era jjukira Katonda wo era otendereze akawungeezi nenkya

    [42] Era jjukira Malayika bweyagamba Mariam nti mazima Katonda akulonze naakutukuza naakwawula ku Bakyala abalala bonna

    [43] Owange Mariam weeweyo eri Mukama omulabirizi wo ovunname era okutame ku maviivi nga abalala bwebakutama

    [44] Ebyo by’ebimu ku bigambo ebyekusifu byetukutegeeza (Ggwe Muhammad) mu bubaka era tewali nabo web’akasukira e kalamu zaabwe ku mazzi ngabanoonya okumanya nti ani ku bo anaakuza Mariam, era tewali nabo bwe baali bakaayagana (ku nsonga eyo)

    [45] Era jjukira ekiseera Malayika bweyagamba Mariam nti; mazima Katonda akuwa amawulire agessanyu ag’ekigambo ekiva gyali (ekyokuzaala omwana) ngerinya lye ye Masiihi Isa mutabani wa Mariam aliba ow'ekitiibwa ku nsi ne ku nkomerero era nga w’amwabo abasembezebwa ewa Katonda

    [46] Era agenda kwogera n'abantu nga ali mu kibaya ne mukusajjakula era wa mu luse lwabalongofu

    [47] (Mariam) naagamba nti Mukama wange naafuna ntya omwana nga tewali muntu yali ankutteko (Malayika) naagamba nti bwekityo (bwekijja akuba) Katonda atonda nga bwaba ayagadde bwasalawo ekintu mazima akigamba bugambi nti ba ne kiba

    [48] Era (Katonda) ajja kumuyigiriza amateeka n’okugoba ensonga ne Taurat ne njili

    [49] Era agenda kubeera mubaka eri abaana ba Israel (ng’abagamba nti) mazima nze mbajjidde n’akabonero okuva eri Mukama Katonda wa mmwe nja kubakolera ekintu ekifaanana nga ekinyonyi okuva mu ttaka, nja kukifuuwamu omukka kibeere ekinyonyi ku lwobuyinza bwa Katonda, era njakuwonya abempoma n’abebigenge, nzuukize naabafu (byonna) kulwobuyinza bwa Katonda, era nja kubategeeza bwemulina okulya nebyemuteekwa okutereka mu mayumba gammwe, mazima ddala mw’ebyo (ebimenyeddwa) mulimu akabonero gyemuli bwe muba nga muli bakkiriza

    [50] Era mbajjidde nga nkakasa amazima g’ebyo ebyakulembera ebyajjira mu Taurat. Era mbakkirize ebimu kw’ebyo ebyali byabagaanibwa, era mbajjidde n’akabonero okuva eri mukama Katonda wa mmwe nolw’ekyo mutye Katonda era mungondere

    [51] Mazima Katonda ye Mukama wange era Mukama wa mmwe kale mumusinze. Okukola ekyo lyekkubo eggolokofu

    [52] Naye Isa bweyamala okulaba obukaafiiri bwabwe naagamba nti; baani abanannyamba ku mulimu gwa Katonda, Abayigirizwa nebagamba nti ffe bataasa ba Katonda, tukkiriza Katonda. Naawe julira nti mazima ffe twewaddeyo ewa Katonda

    [53] Ayi Mukama Katonda waffe tukkiriza ebyo byewassa era netugoberera omubaka, kale tuwandiike mu bajulizi

    [54] (Abayudaaya) baasala enkwe ne Katonda n’asalawo okulemesa enkwe zaabwe anti bulijjo Katonda mulungi okusinga abo abasala enkwe

    [55] Jjukira ekiseera Katonda bweyagamba nti; Owange ggwe Isa nze ngenda kukutuukiririza ekyo kyenakuwandiikako, era ngenda kusitula nkuleete gyendi era nkutukuze kwabo abaakaafuwala, abo abakugoberera ngenda kubassa waggulu waabo abakafuwala okutuusa ku lunaku lw’enkomerero oluvanyuma gyendi mwenna gyemugenda okudda, olwo ndyoke mbalamule mwebyo byemwayawukanangamu

    [56] Bbo Abaakaafuwala ngenda kubabonereza n’ebibonerezo ebikakali ku nsi ne ku nkomerero, era tebagenda kufuna baakubataasa

    [57] Naye bbo, abo Abakkiriza nebakola emirimu emirungi (Katonda) agenda kubajjuliza empeera zaabwe, anti bulijjo Katonda tayagala bakozi ba bibi

    [58] Ebyo tubikusomera Ggwe (Nabbi Muhammad) nga byamububonero n’okubuulirira okwamagezi

    [59] Mazima entondebwa ya Isa ewa Katonda efaanana nentondebwa ya Adam, yamutonda nga amugya mu ttaka oluvanyuma naamugamba nti beera n’aba omuntu

    [60] Ago nno geemazima agava eri Mukama Katondawo, kale tobeeranga mu babuusabuusa

    [61] Singa omuntu yenna akuwakanya kukino, oluvanyuma lwa mazima agakujjidde ggwe gamba nti mujje tuyite abaana baffe n'abaana ba mmwe, bakyala baffe ne bakyala ba mmwe, naffe fennyini nammwe olwo nno tusabe ekikolimo kya Katonda kituuke ku balimba

    [62] Mazima bino (ebyogeddwa) g’emazima (ku bikwata ku nsonga y’okuzaalibwa kwa Isa), tewali kisinzibwa kyonna (mu mazima) okugyako Katonda omu Allah, era bulijjo Katonda ye nnantakubwa ku mukono mugoba nsonga

    [63] Bwebava ku mazima gano mazima Katonda amanyi byonna ebifa ku bonoonyi

    [64] (Ggwe Nabbi Muhammad) gamba nti abange mmwe abaaweebwa ekitabo mujje twegatte ku kigambo ekigatta wakati waffe nammwe, nakyo kwekuba nga tetusinza okugyako Katonda, era tuleme ku mugattako kintu kyonna, era tube nga tetufuula abamu muffe ebyokusinza netuleka Katonda. Ekyo bwebakivaako, mmwe mubagambe nti (mmwe) mujulire nti mazima ffe tuli basiramu tukkiririza mu bwomu bwa Katonda

    [65] Abange mmwe abaaweebwa ekitabo lwaki muwakana ku bikwata ku Ibrahim so nga Taurat ne njili tebyajja okugyako oluvanyumalwe. Abaffe temutegeera

    [66] (Mwewunyisa) okuba nga mwe mwennyini mwawakana ku kyemulinako okumanya, ate kati lwaki muwakana ku kintu kyemutalinaako kumanya! so nga Katonda amanyi ate mmwe nga temumanyi

    [67] Ibrahim tabeerangako mu yudaaya wadde omukulisitayo wabula yali mukkiriza owa nnamaddala eyewaayo ewa Katonda, era tabeerangako mu bagatta ku Katonda bintu birala

    [68] Mazima omuntu asinga okuba okumpi ne Ibrahim, beebo abaamugoberera, noono Nabbi n’abo Abakkiriza, bulijjo Katonda abeera munne wabakkiriza

    [69] Ekitundu ku bantu abaaweebwa ekitabo bandyagadde okubabuza, (mu kukola ekyo) tebabuza okugyako myoyo gyabwe naye tebategeera

    [70] Abange mmwe abaaweebwa ekitabo lwaki muwakanya ebigambo bya Katonda ate nga ddala nammwe mukakasa nti g’emazima

    [71] Abange mmwe abaaweebwa ekitabo lwaki amazima mugatabikamu obulimba! nemukweka amazima nga nammwe mumanyidde ddala (ekituufu)

    [72] Ekitundu ku bantu abaaweebwa ekitabo baagamba nti mukkirize ebyassibwa kwabo abakkiriza kumakya ate mubiwakanye olweggulo oba olyawo ekyo kinaayambako nebakyusa

    [73] Era temukkirizanga okugyako oyo ali ku ddiini yammwe, Ggwe Nabbi Muhammad () gamba nti: mazima obulungamu obwannamaddala bulungamu bwa Katonda, abaffe ekibakozesa ekyo lwakuba nti temwagala muntu mulala yenna kuweebwa ekiringa kyemwaweebwa (obwa Nabbi)! oba lwakutya nti bayinza okuvuganya nammwe ku lwekyo mumaaso ga Katonda (Ggwe Nabbi Muhammad () gamba nti mazima ebirungi biri mu mikono gya Katonda, abiwa oyo gwaba ayagadde, anti bulijjo Katonda mugazi nnyo era mumanyi mu buli kintu

    [74] Ayawula gwaba ayagadde mu mmwe naamuwa okusaasira kwe era Katonda ye nannyini birungi ebingi

    [75] Mu bantu abaaweebwa ekitabo mulimu, omuntu singa oba omwesize ku mmaali ennyingi nga atuukiriza obuvunaanyizibwa, ate mu bo mulimu omuntu singa oba omwesize ku dinar emu (busente obutono) nga tatuukiriza buvunaanyizibwa, okugyako nga omwewubyeko, ekyo nno lwakuba bo bagamba nti tetufuna musango nga tulyazaamanyizza abatali basomi (abatali abaweebwa ebitabo) ne baba nga boogera ku Katonda obulimba nga nabo bamanyi ekituufu

    [76] Wabula (omuntu asaanira okweyita omwagalwa wa Katonda yandibadde) oyo atuukiriza byeyalagaanyisa era naatya Katonda. Mazima ddala bulijjo Katonda ayagala abamutya

    [77] Mazima ddala abo abatunda endagaano ya Katonda nebirayiro byaabwe ku muwendo omutono, tebalina mugabo ku lunaku lw’enkomerero, era Katonda tagenda kwogera nabo era tagenda kubatunulako ku lunaku lw’enkomerero era nga bwatagenda kubatukuza era bagenda kutuukwaako ebibonerezo ebiruma

    [78] Era mazima mu bo mulimu ekibinja abakyusakyusa ekitabo ne nnimi zaabwe, era mazima mulimu ekibinja kyabantu abakozesa ennimi zaabwe nebakyusa ebiri mu kitabo babalowoozese nti bya mu kitabo, so nga sibyamu. Era nebagamba nti byo byava wa Katonda so nga tebivanga wa Katonda, nebaba nga boogedde ku Katonda ebyobulimba naye nga nabo bamanyi amazima

    [79] Tekigwanira muntu yenna okuba nga Katonda amuwa ekitabo n’okumanya ensonga, n'obwa Nabbi, ate naagamba Abantu nti mubeere baddu bange (munsinze) muve ku Katonda. (kyeyandibagambye kyandibadde nti:) Naye mubeere abasinza Katonda okusinziira ku kuba nti mmwe mubadde muyigiriza abantu abalala ekitabo, era n'olwokuba nti mubadde mukisoma (n'olwekyo mumanyi ekituufu ekyokukola)

    [80] Era tabalagira kufuula ba Malayika ne ba Nabbi ba Katonda, (okiraba nti kijja) nti okuba nti abalagira ebyobukafiiri oluvanyuma lwokuba Abasiramu

    [81] Jjukira Katonda bweyakozesa ba Nabbi endagaano nti, lwonna lwembawanga ekitabo n’okumanya ensonga, oluvanyuma omubaka (Nabbi Muhammad () naabajjira nga ava gyendi) ng’akakasa ebyo byemulina, nti ddala mugenda kumukkiriza, era mugenda kumutaasa. Katonda naagamba nti mukkirizza, era mututte endagaano eno nti ekakase nebagamba (ba Nabbi) nti tukkirizza. Katonda naagamba nti mujulire era nange ndi wamu nammwe mu bajulizi

    [82] Oyo yenna aliyawukana kwekyo abo nno be bonoonyi

    [83] Abaffe abo (abonoonyi) baagala etali ddiini ya Katonda (Busiramu?) ate nga kululwe byewaayo (nebisiramuka) byonna ebiri mu ggulu omusanvu ne nsi mu kugonda ne mu kukakibwa, era nga gyali gyebiggya okuzzibwa

    [84] Ggwe Nabbi Muhammad () gamba nti tukkiriza Katonda netukkiriza n'ebyo ebyassibwa gyetuli n'ebyo ebyassibwa ku Ibrahim ne Ismail, ne Ishak ne Yakub ne ku bazzukulube, n'ebyo ebyaweebwa Musa ne Isa n'ebyo byonna ebyassibwa ku ba Nabbi okuva ewa Katonda waabwe, tetulina Nabbi yenna gwetutakkiriza naffe twewaddeyo (mu Busiramu) eri Katonda waffe

    [85] Oyo yenna ayagala okweteerawo eddiini etali busiramu tegenda kukkirizibwa okuva gyali, era nga yye ku lunaku lw’enkomerero agenda kubeera mubafaafaganirwa

    [86] Katonda ayinza atya okulungamya abo abawakanya (obubaka bwa Nabbi Muhammad () oluvanyuma lwokukkiriza kwabwe nebawa n'obujulizi nti omubaka (Muhammad ()) w’amazima era nga n'obujulizi obukakasa obwa Nabbi bwe bwa baggyira, mazima Katonda talungamya bantu beeyisa bubi

    [87] Abo nno okusasulwa kwabwe kuli nti mazima Katonda yabassaako ekikolimo n'ekya ba Malayika n’ekya bantu bonna

    [88] (Abeeyisa obubi abo) Baakubeera mu muliro olubeerera tebagenda kukendezebwa ku bibonerezo ate tebagenda kulindirizibwa

    [89] Okugyako abo abeenenya oluvanyuma lwokukafuwala kwabwe era nebalongoosa, anti bulijjo Katonda musonyiyi nnyo era musaasizi

    [90] Mazima abo abaakafuwala oluvanyuma lwokukkiriza kwabwe, oluvanyuma nebeeyongera okukaafuwala, okwenenya kwabwe tekugenda kukkirizibwa, era abo be babuze abannamaddala

    [91] Mazima abo abaakafuwala nebafiira ku bukaafiiri tewali n'omu ku bo agenda kukkirizibwa kwenunula nebwaliba aleese zaabu ajjuza ensi, abo nno balina ebibonerezo ebiruma ennyo ate tebagenda kufuna mutaasa yenna

    [92] Temuyinza kutuuka ku ddaala lyokuyitibwa abakozi b’obulungi okugyako nga muwaddeyo kwebyo byemwagala, buli Kintu kyonna kyemuwayo mazima ddala Katonda akimanyi

    [93] Ebyokulya byonna byali Halali eri abaana ba Israil okugyako ebyo Israil (Yakubu) byeyeeziyiza nga Taurat tennaba kussibwa, bagambe nti muleete Taurat mugisome bwe muba nga mwogera mazima

    [94] Oyo yenna anaatemerera Katonda ebigambo ebyobulimba oluvanyuma lwekyo, abo nno be beeyisa obubi

    [95] Gamba nti Katonda yayogera mazima, kale mugoberere eddiini ya Ibrahim, nga takkiriza kusinza kintu kirala wadde okuba mwabo abagatta ku Katonda ekintu ekirala

    [96] Mazima ddala e nyumba eyasooka okuterwawo abantu (olwokusinza Katonda) yeeyo eri e Mekka y’amikisa era nga kya kulungamya eri abantu bonna

    [97] Mulimu mu yo obubonero obwenkukunala, nga ekifo kya Ibrahim. Oyo yenna agiyingira abeera mirembe, era Katonda alaalise ku bantu okulambula e nyumba eyo kwoyo aba asobodde ebyetaagisa okutuuka gyeri, naye omuntu awakanya (obukakafu bwa Hijja) mazima ddala Katonda talina kyeyeeguya ku bantu

    [98] Gamba (ggwe Nabbi Muhammad) nti abange mmwe abaaweebwa ekitabo lwaki muwakanya ebigambo bya Katonda! era bulijjo byemukola Katonda abiraba

    [99] Gamba (ggwe Nabbi Muhammad) nti abange mmwe abaaweebwa ekitabo lwaki muziyiza abantu okukwata ekkubo lya Katonda! nemuba nga akkiriza ekikolwakye mukitwala kuba nti kyabubuze, so nga mmwe mwennyini mumanyi ekituufu, Katonda tayinza kuba nga tafaayo kubyemukola

    [100] Abange Mmwe Abakkiriza bwemunaagondera ekibinja mwabo abaaweebwa ekitabo bajja kubazza mu bukafiiri oluvanyuma lwokuba nga mubadde bakkiriza

    [101] Muyinza mutya okukaafuwala nga ate musomerwa ebigambo bya Katonda era nga omubaka we ali mu mmwe, oyo yenna eyeekwata ku Katonda aba alungamiziddwa mu kkubo eggolokofu

    [102] Abange mmwe Abakkiriza mutye Katonda mubutuufu bwokumutya era temufanga okugyako nga muli Basiramu

    [103] Mwekwate ku muguwa gwa Katonda mwenna, temwawukananga era mujjukire ekyengera kya Katonda kyeyabawa bwemwali nga muwalaggana n'atabaganya wakati w'emitima gyammwe olwekyengerakye, nemukeesa nga muli baaluganda, mwali mutuuse ku mugo gwekinnya kyomuliro n'agubatasaako, bwatyo nno Katonda bwabannyonyola ebigambo bye mube nga mulungama

    [104] Wateekeddwa okuba mu mmwe ekibiina (Nga abakirimu) bakubiriza Abantu okudda eri obulungi era nga bakubiriza Abantu okuyisa obulungi era nga babaziyiza okweyisa obubi era abo be b'okwesiima (ku lunaku lw’enkomerero nebawona ebibonerezo bya Katonda)

    [105] Temubeera nga abo abeetemamu nebaawukana oluvanyuma lw'obunnyonnyofu okubajjira, n’abo nno balina ebibonerezo ebyamaanyi

    [106] Ku lunaku ebyenyi lwebiritemagana ebirala nebisiiwuuka bo abo abalisiwuuka ebyenyi byabwe (baligambibwa nti ekibatuusizza kwekyo lwakuba nti) mwakafuwala oluvanyuma lwokuba nti mwali bakkiriza, n'olwekyo mukombe ku bukaawu bwebibonerezo olwebyo byemwawakanyanga

    [107] Bo abo ebiritemagana ebyenyi byabwe baakubeera mu kusaasira kwa Katonda (jjana) bo baakubeeramu obugenderevu

    [108] Ebyo bigambo bya Katonda tubikusomera mu butuufu bwabyo, Katonda tayagaliza bitonde kulyazamanyizibwa

    [109] Era bya Katonda ebiri mu ggulu omusanvu n'ebiri mu nsi era eri Katonda ebintu byonna gyebizzibwa

    [110] Mmwe kibiina ekisinga obulungi ekyaweebwa Abantu, mukubiriza okukola empisa nemuziyiza okukola ebibi, era nga mukkiriza Katonda. singa ab'aweebwa ekitabo bakkiriza kyandibadde kirungi gyebali, (naye) abamu ku bo bakkiriza nga n’abasinga obungi bagyemu

    [111] Tebayinza kubatuusaako buzibu, okugyako ebinyiizo ebitonotono, naye bwebaba balwanaganye nammwe babakuba amabega ne badduka ate era nga tebataasibwa

    [112] B'ateekebwako okunyomebwa wonna webaba bali okugyako nga balina obukuumi bwa Katonda n'obwa basiramu (nebaweebwa omukisa gwokuwangalira mu nsi ya Basiramu nga bali wansi wa mateeka g’obusiraamu,) nebateekebwako obusungu bwa Katonda, nebassibwako okuswazibwa ekyo nno lwakuba nti baali bawakanya ebigambo bya Katonda nebatta ne ba Nabbi mu ngeri etali ntuufu, ekyonno (baakikola nga) olw'obujeemu bwabwe era nga baali babuuka ensalo za mateeka (ga Katonda)

    [113] Bonna tebali kimu, Mu Bantu ab'aweebwa ekitabo mulimu ekibinja ekirambulukufu, abasoma ebigambo bya Katonda, mu biseera by'ekiro era nga bavunnama

    [114] Bakkiriza Katonda n’olunaku lw’enkomerero nebakubiriza Abantu okweyisa obulungi, nebabakomako kukweyisa obubi era nga banguwa mu kukola ebirungi era abo ba mu luse lwa balongoofu

    [115] Buli kirungi kyonna kyebakola tekiribalyazamanyizibwa. Katonda amanyidde ddala ebifa ku bamutya

    [116] Mazima abo abaakafuwala emmaali yaabwe nabaana baabwe tebigenda kubayamba ewa Katonda naakamu, era abo be bantu b’omumuliro bo b'akugubeeramu obugenderevu

    [117] Byebawaayo mu bulamu buno obwensi bifaanagana nga kibuyaga alimu muzira eyakuba ebirime bya bantu abeeyisa obubi naabizikiriza, Katonda si ye yabayisa obubi naye bo bennyini be beeyisa obubi

    [118] Abange mmwe abakkiriza, abatali ba mu mmwe temubafuulanga ab'emikwano ab'omunda, tebayinza kulekayo kubaagaliza kabi, bulijjo babaagaliza ekyo ekibazitoowereza. Obukyayi bulabika ku mimwa gyabwe (ku nnimi zaabwe) so nga byebakweka mu bifuba byabwe byebisinga obunene, mazima tubannyonnyodde ebigambo bwe muba nga mukozesa amagezi gammwe (bibamala okutegeera ekituufu)

    [119] (Buno bwe bujulizi obulaga ensobi gyemukola) Anti mmwe mubaagala sso nga bo tebabaagala, era mmwe mukkiriza ebitabo byonna! Bwe babasisinkana bagamba nti tukkiriza naye ate bwebava wemuli babalumira ennwe olw'obusungu, gamba (ggwe Muhammad) nti mufe n’obusungu bwa mmwe. mazima Katonda amanyidde ddala ebiri mu bifuba

    [120] Bwemutuukwako ekirungi kibanakuwaza, naye bwemugwibwako akabi (olwonno) nebasanyuka nakyo, naye singa mugumiikiriza nemutya Katonda enkwe zaabwe tezigenda kubatuusaako kabi konna, anti mazima Katonda byonna byebakola abyetoolodde

    [121] Era jjukira (Ggwe Muhammad) bwewakeera n’oleka ab'omumaka go n’ogenda otegekere abakkiriza ebifo mwebanaalwanira, bulijjo Katonda awulira era amanyi byonna

    [122] Jjukira ebibiina ebibiri mu mmwe lwebyayagala okufotookerera, Katonda yeeyali omukuumi wa byombi, bulijjo abakkiriza bateekwa kwesiga Katonda

    [123] Mazima Katonda yabataasa e Badr so nga ate mwali banafu, kale mutye Katonda mulyoke mube abeebaza

    [124] Jjukira bwewagamba abakkiriza nti tekibamala Katonda wa mmwe okubadduukirira naabassiza ba Malayika enkumi ssatu

    [125] So nno, bwemunagumiikiriza nemutya Katonda, ne babajjira mu bwangu obwo, ajja kubadduukirira ne ba Malayika enkumi ttaano abalambe nga basibye ebiremba

    [126] Ekyo Katonda teyakibawa wabula lwakubasanyusa, era emitima gyammwe gibe nga ginyweera nakyo, naye nga bulijjo okutaasa tekuva okugyako ewa Katonda nantakubwa ku mukono mugoba nsonga

    [127] (Ekyo Katonda yakikola) abe nga ajjawo ekitundu ekimu ekya baakafiiri oba abanakuwaze (Bawangulwe) baddeyo nga baswavu

    [128] Tekiri mu busobozi bo (ggwe Muhammad), Katonda okubasonyiwa oba okubabonereza, anti mazima bo beeyisa bubi

    [129] Byonna ebiri mu ggulu omusanvu ne mu nsi bya Katonda. Asonyiwa gwaba ayagadde naabonereza gwaba ayagadde, bulijjo Katonda musonyiyi musaasizi

    [130] Abange Abakkiriza temulyanga Riba ekisobola okubatuusa okubazaamu emirundi n’emirundi, bulijjo mutye Katonda kibawe okulokoka ku lunaku lw’enkomerero

    [131] Era mutye omuliro ogwo ogwateekerwateekerwa Abakafiiri

    [132] Era mugondere Katonda n'omubaka olwo nno musaasirwe

    [133] Era mwanguwe nga munoonya okusonyiwa kwa Katonda wa mmwe, ne jjana eyo obugazi bwayo obwenkana eggulu omusanvu ne nsi, eyateekerwateekerwa abatya Katonda

    [134] Abo be bawaayo mu kkubo lya Katonda, mu biseera ebyessanyu ne by'obuzibu, era ababikka ku busungu, abasonyiwa abantu. bulijjo Katonda ayagala abakozi be birungi

    [135] Era abo bwebaba bakoze ebyobuwemu oba nebaba nga beeyisizza bubi (mu ngeri endala) bajjukira Katonda nebasaba okusonyiyibwa ebyonoono byabwe ate ani yandisonyiye ebyonoono okugyako Katonda! era nebatalemera kw’ebyo byebaakola ate nga nabo bamanyi ekituufu

    [136] Abo empeera yaabwe kisonyiwo okuva ewa Mukama Katonda waabwe ne jjana ezikulukutiramu emigga, nga bagenda kuzibeeramu bugenderevu, nga eriba mpera nnungi eri abo abakola emirimu emirongoofu

    [137] Bwebityo ebintu bwebibadde bitambula oluberyeberye lwa mmwe, kale mutambule mu nsi mutunule, mujja kulaba engeri enkomerero yaabalimbisa bweba

    [138] (Kur'an eno) kwe kunnyonnyola okuweereddwa eri Abantu era bulungamu era kwe kubuulirira eri abatya Katonda

    [139] Temuterebukanga era temunakuwalanga, ng’ate mmwe muli ku ngulu kavuna muba nga muli bakkiriza abannamaddala

    [140] Bwe muba mutuukiddwako obuvune (mu lutalo lwe Uhud) nabali baatuukwako obuvune ng’obwo (mu lutalo lwe Badr) nabwekityo bulijjo ennaku tuzikyusakyusa wakati wa bantu (olumu lw’ono, olundi lwa mulala) olwo nno Katonda ayawule abakkiriza, mu ngeri yeemu ajje mu mmwe abafiira mu kulwanirira eddiini era bulijjo Katonda tayagala beeyisa bubi

    [141] Era Katonda alyoke asengejje ayawulemu abo Abakkiriza, era azikirize Abakafiiri

    [142] Oba mulowooza nti muyinza okuyingira e jjana nga Katonda tannaba kwawula abo abaalwana mu kkubo lye mu mmwe, era naayawula na bagumiikiriza

    [143] Mwalinga mwegomba okufa nga temunnaba kusisinkana (Mu lutalo lwe Uhud) naye mubutuufu kwabatuukako nga mulabira ddala

    [144] Muhammad tali okugyako okuba nti Mubaka era nga Ababaka bonna abaamukulembera, kaakano bwaba afudde oba nattibwa olwo nga mukyukira ku bisinziiro byammwe (nemuva mu Busiraamu). Oyo yenna anaakyukira ku bisinziirobye talina kabi konna kaatuusa ku Katonda, era Katonda ajja kusasula abo abeebaza

    [145] Era tewali muntu yenna afa okugyako nga Katonda yakkirizza, ekyo nga kiwandiike ekyagererwa ekiseera kyakyo, oyo yenna ayagala empera z’ensi tuzimuwa mu yo, n’oyo ayagala empeera z’enkomerero tulizimuwa ku nkomerero, era tujja kusasula abeebaza

    [146] Ba Nabbi bangi, ebibinja bya bagoberezi baabwe bingi byabanga nabo mu kulwana, tebaaterebukanga olw'ebizibu ebyabatuukangako mu kulwana mu kkubo lya Katonda tebanafuwa wadde okwewaayo eri omulabe bulijjo Katonda ayagala abagumiikiriza

    [147] Ekigambo kyabwe tekyali, okugyako okugamba nti Ayi Mukama omulabirizi waffe tusonyiwe ebyonoono byaffe, era otusonyiwe bwetuba tususse ekkomo mu nsonga zeddiini yaffe, era otunyweze mu kuyimirira kwaffe ku nsonga, era otutaase mu kibiina ku Bakafiiri

    [148] Katonda n’abawa empeera z’okunsi, era nempeera ezisinga okuba ennungi ku lunaku lw’enkomerero, era bulijjo Katonda ayagala abakozi b’obulungi

    [149] Abange mmwe Abakkiriza bwemunaagondera abo Abaakafuwala bajja kubazzaayo ekyennyumannyuma mukyuke okuva mu bukkiriza, mubeere abafaafaganiddwa

    [150] Wabula Katonda yemukuumi wa mmwe era bulijjo yaasinga abataasa bonna

    [151] Tujja kussa okutya ku mitima gy’abo abaakafuwala kulw’okugatta kwabwe ku Katonda ebintu ebirala ebyo byatassaako bujulizi. Era omuliro bwebuddo bwabwe, era bulijjo obuddo bw’abeeyisa obubi buba bubi

    [152] Mazima Katonda yatuukiriza gyemuli endagaanoye bwemwatuuka okubatirimbula olwokukkirizakwe, mpozzi bwemwatiitiira ne mukaayagana nga temukyakkaanya ku nsonga, ne mujeema (nemuva ku kasozi) bwemwalaba nti kyemwagala (ekyokuwangula omulabe) kyali kituukirira, mu mmwe mwalimu abaagala ebyokufuna bye nsi, nga bwemwalimu abagala enkomerero, oluvanyuma Katonda yaakyusa obwali obuwanguzi bwa mmwe ku bo (nebaba nga beebawangula) alyoke abe nga abagezesa ate mazima yabasonyiwa mmwe, bulijjo Katonda abakkiriza abagonnomolako ebirungi

    [153] Jjukira ekiseera wemwayambukira olusozi, olwonno nga temukyatunula ku muntu yenna. Nga omubaka mumulese mabega abakowoola, awo nno Katonda kwekubasasula okweraliikirira okwomuddinganwa mube nga temunakuwala olwebyo byemutaafuna, oba olwobuzibu obubatuseeko Katonda amanyidde ddala byonna byemukola

    [154] Ate oluvanyuma lwokwelariikirira Katonda yassa kummwe akalembereza kokwebakamu okwakwata abamu ku mmwe, ate abalala batiirira nnyo obulamu bwabwe nga balowooleza Katonda ebitali bituufu endowooza ya Jahiliyyah, nga bagamba nti tukyalina obusobozi mu nsonga eno? Gamba nti ebintu byonna biri mu mikono gya Katonda, (Abantu abo) bakweka mu mitima gyaabwe byebatakulaga era nga bagamba nti singa tubadde tulina okusalawo ku nsonga eno, tetwandittiddwa wano, Bagambe nti nebwemwandibadde mu mayumba gammwe ab'awandiikwako okufa bandigudde mu bifo ebyabawandiikibwako okufiiramu, olwonno Katonda alyoke agezese ebiri mu bifuba byammwe, era asengejje ebiri mu mitima gyammwe, bulijjo Katonda amanyi ebiri mu bifuba

    [155] Mazima abo abeekyusa mu mmwe olunaku enjuyi ebbiri lwezaasisinkana, mazima Sitane yeeyabaseereza olwebimu kw’ebyo byebaakola era mazima Katonda yabasonyiwa anti mazima ddala Katonda musonyiyi w’akisa

    [156] Abange mmwe abakkiriza temubeera ng’abo abaakafuwala nebagamba bannaabwe bwebaabanga batambudde mu nsi, oba nga bagenze ku lutalo nti singa baasigala wano naffe tebandifudde wadde okuttibwa, (baafuna endowooza eyo) Katonda alyoke akifuule ekyokwejjusa mu mitima gyabwe naye nga bulijjo Katonda y’awa obulamu era yatta era buli kyonna kyemukola Katonda akiraba

    [157] Singa muttibwa nga muli mukuweereza mu kkubo lya Katonda, oba nemufa (enfa eyaabulijjo, mu ngeri zombi) okusonyiwa okuva eri Katonda n’okusaasira by’ebirungi okusinga ebyo byebakunganya

    [158] (Kyekimu) okuba nti mufudde oba muttiddwa ewa Katonda yekka gyemulikunganyiizibwa

    [159] Kulwokusaasira kwa Katonda wabagondera (Gwe Muhammad) naye singa wali waboggo omuzito w'omutima bandikudduseeko, kale basonyiwe, obeegayiririre (ewa Katonda) obebuuzengako mu nsonga zonna wabula bwobanga omaliridde (n’osalawo ekyokukola) olwo nno weekwase Katonda, mazima Katonda ayagala abamwekwasa

    [160] Katonda bwabataasa teri ayinza kubawangula naye singa aba abavuddemu ani oyo ayinza okubataasa atali yye, bulijjo Abakkiriza bateekwa okwessa mu mikono gya Katonda mu nsonga zonna

    [161] Tekisoboka ku Nabbi yenna okuba nga akumpanya eminyago naye omuntu yenna bwakumpanya ku minyago, agenda kujja ku lunaku lw’enkomerero n’ebyo byeyakumpanya oluvanyuma omuntu agenda kusasulwa mu bujjuvu ekyo kyeyakola, nabo tebaliyisibwa bubi

    [162] Abaffe, oyo agoberera okusiima kwa Katonda ayinza okufaanana nooyo avuddeyo n’okusunguwalirwa Katonda! nga n’obuddo bwe muliro Jahannama ate nga buddo bubi ddala

    [163] Abantu abo balina ebifo byanjawulo ewa Katonda, anti era bulijjo Katonda alabira ddala byebakola

    [164] Mazima Katonda yawa Abakkiriza ekyengera bweyabatumamu omubaka nga ava mu bo, nga abasomera ebigambo by’a Katonda, era nga abatukuza era nga abayigiriza ekitabo (Kur’ani) n’ebigambo ebyamagezi (Hadith) newaakubadde nga mu kusooka baali mu bubuze obweyolefu

    [165] Lwaki bwemwatuukwako omuswiba (mu Uhudi) nga ate bo mwabatusaako omuswiba ogwenkana ogwo emirundi ebiri (mu Badr) mwagamba nti ate lwaki kizze bwekityo, bagambe (gwe Nabbi Muhammad ()) ekyo kivudde ku mmwe mwennyini mazima Katonda bulijjo muyinza wa buli kintu

    [166] N’ekyo ekyabatuukako olunaku ebibinja ebibiri lwebyasisinkana kyaliwo ku lwa kukkiriza kwa Katonda, era abe nga ayawula abakkiriza ab'amazima

    [167] Mu ngeri yeemu ayawule abo abanafunsi era abaagambibwa nti mujje mulwane mukuweereza mu kkubo lya Katonda, oba waakiri mujje twetaase tusindiikirize omulabe nebaddamu nti, singa tubadde tukakasa nti waliyo okulwana twaligenze nammwe, ku lunaku olwo nga bali kumpi nnyo n’obukafiiri okusinga okubeera n’obukkiriza, boogera nemimwa gyaabwe ebitava mu mitima gyabwe, ate nga bulijjo Katonda amanyi nnyo byebakweka

    [168] Abo (Abananfusi) abagamba bannaabwe (ab’agenda ku lutalo) bo nebasigala nga b'etuulidde eka nti singa baatuwuliriza tebandittiddwa. Bagambe (Gwe Muhammad) nti kale mwewonye okufa bwe muba nga muli b'amazima mu byemwogera

    [169] Tolowoozanga nti abo abattirwa ku kuweereza mu kkubo lya Katonda nti bafu, nedda wabula balamu, era nga bagabirirwa ewa Mukama Katonda waabwe

    [170] Nga bajaganya olw’ebyo Katonda byabawa mubigabwabye, era nga basanyuka olwa bannaabwe bebaleka ku nsi nti tebatuukiddwako kutya, era nga bwebatagenda kunakuwala

    [171] Nga basanyuka olwebyengera, n’obulungi obungi ebivudde ewa Katonda, era mazima ddala Katonda bulijjo talina bwatayinza kusasula mpeera z’abakkiriza

    [172] Abo abaayanukula (okukowoola kwa)Katonda n'omubaka (nebakkiriza okuddayo okulwana) oluvanyuma lwokutuukibwako obulumi bwolutalo, abeeyisa obulungi mu bo nebatya Katonda bagenda kufuna empeera nnyingi

    [173] Abo abantu (Abagatta Katonda ne bintu ebirala) bebaagamba nti mazima (Abantu bemwalwanye nabo) babeekobaanidde baagala kubaddamu nvuunula bibya musaanye mubeegendereze (ekintu ekyandibaleetedde okutya) naye ate kyabongera bukkiriza, era nebagamba nti Katonda atumala era yemukuumi asinga obulungi

    [174] (Omulabe yabadduka awatali kulwana kwonna) ate nebadda ewaboobwe nga bafunye ebyengera okuva ewa Katonda n'obulungi obungi awatali kutuukwako kabi konna, (mukukola ebyo byonna) baali bayayaanira kusiima kwa Katonda, anti bulijjo Katonda alina obulungi bungi

    [175] (Eyali ababuzaabuza obutagenda kulwana) mazima ddala oyo ye Sitane bulijjo abatiisa mikwano gye, kale nno temubatya wabula mutye nze bwe muba muli bakkiriza abannamaddala

    [176] Era tebakunakuwaza abo abanguwa okuyingira obukafiiri, mazima bo tebayinza kutuusa ku Katonda kabi konna, Katonda ayagala babe nga tebaba namugabo gwonna ku lunaku lw’enkomerero era balina ebibonerezo ebyamaanyi

    [177] Mazima abo abawaanyisa obukafiiri mu bukkiriza tebagenda kutuusa kabi ku Katonda mu kintu kyonna, era balina ebibonerezo ebiruma

    [178] Era abo abakaafuwala tebalowooza nti mazima ffe okubalindiriza kirungi gyebali, mazima tubalindiriza b’eyongere okukola ebibi, era bagenda kussibwako ebibonerezo ebinyomesa

    [179] Katonda teyali w'akuleka bakkiriza kw’ekyo kyemuliko okugyako ngamaze okwawula ababi mu balungi, era Katonda teyali waakubalaga ebyo ebitalabika, naye mazima ddala Katonda alonda mu babaka be oyo gwaba ayagadde, kale mukkirize Katonda nababakabe, ate singa mukkiriza nemutya (Katonda) mujja kufuna empeera enzito

    [180] Abo abaakodowalira ebyo Katonda byeyababawa mu bigabwabye, tebalowoozanga nti ekyo kirungi gyebali, wabula kyo kibi gyebali ku lunaku lw’enkomerero bagenda kwambazibwa mu bulago ebyo byebaakodowaliranga, bya Katonda ebiri mu ggulu omusanvu ne mu nsi era bulijjo Katonda amanyi mu bujjuvu byonna byemukola

    [181] Mazima Katonda awulidde ekigambo kyabo abagamba nti mazima Katonda mwavu era nga ffe bagagga. Tujja kuwandiika ebyo byeboogera nga bwetujja okuwandiika okutta kwabwe ba Nabbi awatali nsonga, era tugambe nti mukombe ku bibonerezo by’omuliro

    [182] (Ekyo kigenda kubatuukako) olwebyo emikono gyamwe byegyakola, era mazima ddala Katonda tayisa bubi baddube

    [183] Era beebo abagamba nti mazima Katonda yatulagaanyisa okuba nga tetukkiriza mubaka yenna okugyako nga atuleetedde Saddaaka omuliro negugyokya, bagambe (Ggwe Nabbi Muhammad ()) ababaka bangi abaabajjira oluberyeberye lwange nga baleese neebyo byemugamba, lwaki ate mwabatta bwe muba nga muli b'amazima mukino kyemugamba

    [184] (Ggwe Muhammad tobafaako) bwebakulimbisa ababaka bangi abaakulembera abaalimbisibwa, baaleeta obujulizi obwenkukunala n'ebiwandiiko n'ebitabo ebijjudde ekitangaala

    [185] Buli muntu yenna wa kukomba ku kufa, era mazima ddala mugenda kusasulwa mu bujjuvu empeera zammwe ku lunaku lw’enkomerero oyo yenna aliwonyezebwa omuliro naayingizibwa e jjana aliba yeesiimye, obulamu bwensi tebuliimu kantu konna okugyako okweyagala okwokugayaaza

    [186] Mujja kugezesebwa nnyo mu mmaali zammwe nemubulamu bwa mmwe, era mujja kutuukibwako ebitasanyusa bingi okuva mwabo ab'aweebwa ekitabo oluberyeberye, n'okuva mwabo abagatta ku Katonda ebintu ebirala, naye singa mugumiikiriza nemutya Katonda mazima ekyo kyekimu ku bintu ebikulu

    [187] Era jjukira ekiseera Katonda bweyakozesa endagaano abo ab'aweebwa ekitabo nti mugenda kukinnyonnyola abantu era temugenda kukikweka wabula (endagaano) baagisuula emabega waabwe nebagiwaanyisaamu eby’okufuna ebitono, bibi nnyo byebaagula

    [188] Tosuubiriranga abo abasanyuka olwebyo byebawaddeyo era nga baagala okutenderezebwa olwebyo byebaba tebakoze, tolowoolezanga ddala nti bagenda kuwona ebibonerezo, era bagenda kussibwako ebibonerezo ebiruma

    [189] Obufuzi bwe ggulu ne nsi bwa Katonda, era Katonda muyinza ku buli kintu kyonna

    [190] Mazima mu kutonda eggulu omusanvu ne nsi nokwawukana kwekiro ne misana ddala bubonero eri abo abalina amagezi amalamu

    [191] Abo abatendereza Katonda nga bayimiridde oba nga batudde, oba nga bagalamidde, nebafumiitiriza mu ngeri eggulu omusanvu ne nsi gyebyatondebwamu, ne bagamba nti Ayi Mukama Katonda waffe ebintu bino tewabitonda mu bukyamu, wasukkuluma ku bintu byonna, n’olwekyo tukusaba otukingirize ebibonerezo byomuliro

    [192] Ayi mukama Katonda waffe, mazima ggwe omuntu gwoliyingiza omuliro oliba omukkakkanyizza. Abeeyisa obubi tebagenda kufuna mutaasa yenna

    [193] Ayi Mukama Katonda waffe tuwulidde omukoowooze ayita Abantu okujja eri obukkiriza nga agamba nti mukkirize Mukama Katonda wa mmwe, naffe netukkiriza, Ayi Mukama Katonda waffe tukusaba otusonyiwe ebibi byaffe, otusanguleko ebyonoono byaffe, otuuse okututta nga tuli mu luse lwa baddubo abalongoofu

    [194] Ayi Mukama omulabirizi waffe tukusaba otuwe byewatulagaanyisa nga biyita ku babaka bo, totufuulanga abanyomebwa ku lunaku lw’enkomerero, mazima ddala ggwe toyawukana ku ndagaano

    [195] Mukama omulabirizi waabwe kwekubaanukula nti, siyinza butasasula mulimu omu ku mmwe gwaba akoze kaabe musajja oba mukazi, mwenna muli kyekimu (anti muli basiraamu). Abonno abaasenguka nebagobaganyizibwa mu mayumba gaabwe, nebabonyabonyezebwa ku lwange, ne balwanagana n'omulabe kulwange, ne balwanagana n’omulabe ne battibwa nja kubajjirako ddala ebibi byaabwe era nja kubayingiriza ddala e jjana ezikulukutiramu emigga, eyonno nga mpeera okuva ewa Katonda, era bulijjo ewa Katonda yeeri empeera ennungi

    [196] Abakafiiri okwegiriisiza mu nsi tekikuyigulanga ttama

    [197] Ebyo byebalimu byakweyagala kutono, oluvanyuma obuddo bwaabwe muliro Jahannama, era obwo buddo bubi

    [198] Naye mazima abo abatya mukama Katonda waabwe baakufuna e jjana ezikulukutiramu emigga, baakuzibeeramu obugenderevu nga bibanja ebyolubeerera ebiribaweebwa Katonda. Ebiri ewa Katonda byebirungi eri abaddu abalongoofu

    [199] Mazima ddala mu Bantu ab'aweebwa ekitabo mulimu abantu abakkiriza Katonda nebakkiriza ebyassibwa gyemuli, n’ebyassibwa gyebali, bagondera Katonda ebigambo bya Katonda tebabitundamu muwendo mutono, abo balina okufuna empeera yaabwe ewa Mukama omulabirizi waabwe, mazima Katonda tagenda kukaluubirirwa kubala

    [200] Abange mmwe abakkiriza mugumiikirize (wabula mukimanye nti n’omulabe gwe mulwana naye agumiikiriza) n’olwekyo muvuganye naye mu kugumiikiriza (mulabe nga mumuwangula nemwekyo kibasobozese okuwangula olutalo) era munyweere nga muli mu lutalo era mutye Katonda mulyoke mubeere abalyesiima ku lunaku lw’enkomerero

    Abakazi

    Surah 4

    [1] Abange mmwe abantu mutye Mukama Katonda wa mmwe oyo eyabatonda nga abaggya mu muntu omu, (Adam) ate n’atonda nga agya mu ye mukyalawe (Haawa) ate mu bombi nagyamu abasajja n’abakyala bangi, era mutye Katonda oyo gwemukozesa erinnya lye nga musaba, era mutye enganda (muzikuume temuzikutula), mazima Katonda buli kiseera abataddeko eriiso egyogi

    [2] (Bwe mukitegeera nti abataddeko eriiso gyogi kale) ne bamulekwa mubawe emmaali yaabwe, ennungi temugiwaanyisangamu embi, era emmaali yaabwe temugiryanga nga mugigatta mu yammwe, mazima ddala okukola ekyo kibi kinene

    [3] Bwemutyanga obutakola bwenkanya eri bamulekwa (Abawala bemwasigaza okulabirira temubawasa) olwonno muwase abakyala abalala abo ababa babasanyusizza owa babiri, owa basatu, n’owabana, wabula bwemutyanga obutakola bwenkanya, kale omu, oba oyo omuzaana yenna gwemuba mulina mu mikono gyammwe, ekyo kyekirungi okuwona obuzibu bwokwekubiira

    [4] Kikakafu muwe Abakyala Amahare gaabwe, naye bwebaba nga bbo babasonyiye ekintu kyonna ku Mahare mu mwoyo omulungi, ekyo mukirye nga mweyagala, nga muli mirembe

    [5] Abo abatasobola kwemalirira ku kukozesa mmaali, temubawanga emmaali yammwe, eyo Katonda gyeyabateerawo nga yeetambuza obulamu bwa mmwe, era mubawenga ku yo gyebeetaaga ku byokulya era mubambazenga, era mwogerenga nabo ebigambo ebirungi

    [6] Mugezese ba mulekwa (mpola mpola) bwebatuuka mu kiseera ekyokuwasa (oba okufumbirwa) bwe mubalabamu obusobozi (bwo kulabirira ebyabwe) olwonno mubawe emmaali yaabwe. (Mu kiseera wemubeerera nga mugibakuumira) temugiryanga mu ngeri ey’okudiibuuda, era n’okugirya eggweewo mangu nga tebannakula. Oyo anaabanga omugagga asaana yesseemu ensa (agyesonyiwe) oyo anaabanga omwavu alyengako mu ngeri y’akintu kiramu. Bwe mutuusanga okubawa emmaali yaabwe muleetengawo abajulizi, kimala okubeera nti Katonda ye mubazi

    [7] Abaana ab’obulenzi balina omugabo gwebafuna mwebyo bakadde baabwe bombi byebalese, n’aboluganda byebaba balese, n'abaana ab'obuwala balina omugabo mwebyo bakadde baabwe bombi n'aboluganda byebaba balese, kabibe bitono oba bingi, (buli omu afuna) omugabo omugereke

    [8] Ab’oluganda ab'okumpi ne bamulekwa n’abanaku bwebabaawo nga emmaali y’omufu egabwa mubagabirenga ko, era mubagambe ebigambo ebirungi

    [9] (Abakuza) bateekwa okutya nti singa baba balese emabega waabwe abaana abato, nga baalibeeraliikirizza, bateekwa okutya Katonda, era boogere ebigambo ebituufu

    [10] Mazima abo abalya emmaali y’abamulekwa mu ngeri enkyamu, mazima mu mbuto zaabwe balya muliro mwereere, era bagenda kuyingira omuliro oguyitibwa Saer

    [11] Katonda abakalaatira ku baana ba mmwe, nga omwana omulenzi afuna emigabo gya bawala babiri, bwebaba nga baana bawala nebasukka ku babiri basikira bibiri bya kusatu (2/3 )by’emmaali omufu gyaba alese, bwaba muwala omu afuna kimu kya kubiri (1/2) olwonno bazadde b’omufu, buli omu kubo naafuna kimu kya mukaaga (1/6) ku mmaali gyaba alese bwaba nga aleseewo omwana ow’obulenzi, bwaba nga talina mwana w’abulenzi, abazadde b’ombiriri nebamusikira maamawe aba atwala kimu kya kusatu (1/3), bwaba aleseewo bagandabe olwo maamawe afuna kimu kya mukaaga (1/6), ebyo byonna bikolebwa oluvanyuma lwokutuukiriza ekiraamo kye yalaama oba ebbanja, bazadde ba mmwe n’abaana ba mmwe temumanyi ani kubonna asinga okuba ow’omugaso gyemuli, eno y’engaba ya Katonda (gye muteekeddwa okugoberera) anti bulijjo mazima ddala Katonda amanyi nnyo ate nga buli kintu akikola kusinziira ku nsonga

    [12] (Mmwe Abasajja) mufuna kimu kya kubiri (1/2) mwebyo bakyala ba mmwe byebaba balese bwebaba nga bafudde tebalese mwana (oba abazzukulu,) bwebaba balese omwana, olwo nno mufuna kimu kyakuna (1/4) mwebyo byebaba balese, (nga bino bikolebwa (oluvanyuma lwe kiraamo kyebaba balaamye oba ebbanja. Nabo abakyala bafuna kimu kya kuna (1/4) kwebyo byemuba mulese bwe mubanga temulina mwana gwemulese. Bwe muba mulina omwana olwonno bafuna kimu kya munaana (1/8) kwebyo byemuba mulese, (Bino bikolebwa) oluvanyuma lwokutuukiriza ekiraamo kyemuba mulaamye oba ebbanja, omusajja bwaba asikirwa nga talese baana wadde bazadde, naye nga alina mugandawe oba mwannyina (gwalese) buli omu ku bombi afuna kimu kya mukaaga (1/6) bwebaba nga basukkawo olwo bonna beegattira mu kimu kyakusatu (1/3), (kino kikolebwa) oluvanyuma lwokutuukiriza ekiraamo ekiba kirekeddwa oba ebbanja, ekitaliimu kunyigiriza (eri abaserikale) bino byonna nga kiraamo gyemuli okuva eri Katonda wa mmwe, era bulijjo Katonda amanyi nnyo waakisa

    [13] Ago mateeka ga Katonda, omuntu yenna agondera Katonda n’omubakawe alimuyingiza e jjana ezikulukutiramu emigga, baakuzibeeramu obugenderevu, era okwo kwekwesiima okusukkulumu

    [14] N’oyo ajeemera Katonda n'omubakawe, naamenya amateekage agenda ku muyingiza omuliro, nga waakugubeeramu obugenderevu, era wa kutuusibwako ebibonerezo ebinyoomesa

    [15] Naabo abakyala ba mmwe ababa bakoze eby’obwenzi mubateekeko abajulizi bana nga bava mu mmwe, bwebabawaako obujulizi olwonno abakyala abo mubasibire mu mayumba okutuusa okufa lwekulibatuukako, oba Katonda naabateerawo enkola endala

    [16] Naabo bombi mu mmwe ababa bakikoze mubabonerezenga, naye bwebeenenya nebeeyisa obulungi mubaleke, mazima Katonda akkiriza okwenenya musaasizi

    [17] Mazima okwenenya okukkirizibwa ewa Katonda kwekwabantu abo abakola ebibi mu butamanya oluvanyuma nebeenenya mangu ddala abonno Katonda akkiriza okwenenya kwabwe, anti bulijjo Katonda amanyi nnyo era agoba nsonga

    [18] Okwenenya tekukkirizibwa nga kuva mwabo abakola ebibi okutuusa omu ku bo okufa lwekumusemberera naagamba nti kaakati neenenyezza, wadde abo abafa nga bakafiiri, abo (bonna) twabategekera ebibonerezo ebiruma

    [19] Abange mmwe abakkiriza temukkirizibwa kusikira bakyala lwampaka, era temubanyigirizanga mube nga mutwala ebimu kwebyo byemwabawa, mpozzi nga bakoze obwenzi obweyolefu, (bwekiba ekyo) mukolagane nabo mu ngeri ennungi, bwe muba temukyabaagala, muyinza okutamwa ekintu ate Katonda naakissaamu ebirungi bingi

    [20] Singa mwagadde okuwaanyisa omukyala mu kifo kyomukyala omulala, omu ku bo nebwe muba nga mwamuwa endulundu ye mmaali, temubaggyangako kintu kyonna ku yo, musobole okugitwala mu ngeri yobulimba era nga kivve ekyeyolefu

    [21] Ate mugitwala mutya nga buli omu ku mmwe yamala dda okutuuka eri munne! (Abakyala abo) nebaggya ku mmwe endagaano ennyweevu

    [22] Temuwasanga abakyala ba kitammwe bebaawasa, okugyako ebyo byemwakola emabega (nga temunnamanya tteeka lino) mazima ekikolwa ekyo kya buwemu, ekisunguwaza Katonda, era nga nkola mbi

    [23] Temukkirizibwa (kiri haramu) okuwasa ba maama ba mmwe, ne bawala ba mmwe ne bannyina mmwe, neba senga mmwe, ne baganda ba bamaama ba mmwe, ne bawala ba baganda ba mmwe, ne bawala ba bannyinammwe, ne ba maama ba mmwe abo abaabayonsa, nebannyinammwe bemwayonka ku bbeere erimu, ne bamaama ba bakyala ba mmwe n’abaana abajja ne bannyabwe abo ababa bakulidde mu maka gammwe, nga bazaalibwa bakyala ba mmwe abo bemwalabagana nabo, bwe muba temwalabaganako nabo, temulina mutawaana (era temukkirizibwa) baka batabani ba mmwe abo abava ku migongo gyammwe, era temukkirizibwa kugatta wakati wa bakyala ab’oluganda okugyako ebyo byemwakola edda emabega, anti bulijjo Katonda musonyiyi musaasizi

    [24] Era temukkirizibwa kuwasa bakyala bafumbo mpozzi abo bemuba mufunye mu mikono gyammwe mu ngeri yo bufuge, bino byonna Katonda abibataddeko nga kiragiro ekiva gyali. Mukkirizibwa okuwasa abatali abo, nga mukozesa emmaali yammwe. Mubafune mu bufumbo obutukuvu so ssi mu bwenzi, abo bwe mubanga musanyuse nabo, mubawe Amahare gaabwe, nga Katonda bweyakiraalika. Temulina kibi kwekyo kyemuba mukkaanyizzaako oluvanyuma lw’okugereka Amahare. Mazima ddala Katonda bulijjo mumanyi nnyo ate agoba nsonga

    [25] Nooyo aba talina mu mmwe busobozi okuba nga awasa abaana baboobwe abakkiriza, awase mwabo emikono gyammwe begyaafuna nga eminyago mu bawala ba mmwe abakkiriza, Katonda amanyidde ddala obukkiriza bwa mmwe, mwenna abamu bava mu bannaabwe. Wabula mubawase kasita bakama baabwe bakkiriza era mubawe Amahare gaabwe mu buntu bulamu, bateekeddwa okuba abensa nga si bamalaaya wadde ab'eteerawo baganzi baabwe, bwebaba bafumbiddwa ate nebayingira mu bwenzi, mubasseeko kitundu kya kibonerezo, ekiweebwa abakyala abaana ba'boobwe. Ekyo nno (ekyokubawasa) kyoyo aba atidde mu mmwe okugwa mu kibi kyobwenzi, naye singa muba musobodde okugumiikiriza ekyo kyekisinga obulungi gyemuli, era bulijjo Katonda musonyiyi, musaasizi

    [26] Katonda ayagala okubannyonnyola era abalungamye ku nkola y’abo abaabakulembera, era akkirize okwenenya kwa mmwe. Bulijjo Katonda mumanyi nnyo ate agoba nsonga

    [27] Era Katonda ayagala akkirize okwenenya kwa mmwe, ate bo abagoberera okwagala kwabwe baagala Katonda mumuviireko ddala

    [28] Bulijjo Katonda ayagala kubanguyiza, anti omuntu yatondebwa nga munafu

    [29] Abange mmwe abakkiriza, temulyanga emmaali yammwe wakati wa mmwe mu bukyamu, okugyako nga kubadde kusuubulagana nga kusinziira ku kutegeeragana wakati wa mmwe, temwetemulanga. Mazima Katonda bulijjo waakisa ku mmwe

    [30] Omuntu akola ekintu ekyo mu bulumbaganyi n’obulyazamanyi, tugenda kumuyingiza omuliro, era ekyo ku Katonda kigenda kuba kyangu

    [31] Bwemwewala ebibi ebinene ebibagaanwa, tujja kubasangulako ebibi ebitonotono era tubayingize ennyingiza ey’ekitiibwa

    [32] Temuluvuwaliranga ebyo Katonda byeyasukkulumya nabyo abamu mu mmwe ku balala, Abasajja balina omugabo kw’ekyo kyebaba bakoze, nga n’abakyala bwebalina omugabo kwekyo kyebaba bakoze, era bulijjo musabe Katonda abawe ku birungibye, mazima Katonda mumanyi wa buli kintu

    [33] Nabuli omu twamuteerawo abasikira ebyo abazadde ababiri n’aboluganda byebaba balese, n’abo bebyakakatako ebirayiro byammwe (ab'omukago), kale mubawe omugabo gwabwe, mazima ddala Katonda mujulizi ku buli kintu

    [34] Abasajja be balabirira Abakyala olwenkizo Katonda gyeyawa abamu ku bannaabwe, ne ku lwemmaali Abasajja gyebasasaanya, kale nno abakyala abalongoofu baba bawulize ku lwa Katonda, b'ekuumira ba bbaabwe.Kwekyo Katonda kyeyabakuumisa. bo abo bemutya okuba nga bajeema mubabuulirire era mubasenguke mu buliri, era mubakubemu. Bwebaba babagondedde temulina kyemubavunaana, mazima Katonda waawaggulu nnyo wa kitiibwa

    [35] Bwe muba nga mutidde enjawukana wakati wa bafumbo ababiri, muweerezeeyo omutabaganya okuva ku ludda lwo mwami n’omutabaganya omulala okuva ku ludda lwomukyala, bwebaba nga bombi bagenderera kulongoosa, Katonda ajja kukwanaganya wakati waabwe bombi. Mazima Katonda bulijjo amanyi nnyo ategeera buli kyonna ekikwata ku baddube

    [36] Era musinze Katonda awatali ku mugattako kintu kyonna, n’abazadde ababiri mubayise bulungi, bwekityo n’aboluganda, ne bamulekwa n’abanaku ne muliraanwa ow’okumpi, nemuliraanwa ow'ewala, ne munno ow'okumpi n'omutambuze ali mu bwetaavu, n’abo emikono gyammwe begyafuna ng’eminyago, mazima Katonda tayagala muntu yeekuluntaza omwewulize

    [37] Abo beebo abakodowala nebalagira na bantu abalala okuba abakodo, nebakweka Katonda byeyabawa mu birungibye. Era Abakafiiri twabategekera ebibonerezo ebinyomesa

    [38] (Era ebyo byebibonerezo) byabo abawaayo emmaali yaabwe ku lwa bantu okubalaba, nga tebakkiriza Katonda wadde olunaku lw’enkomerero. Omuntu yenna Sitane gwabera nga ye munne, aba afunye owomukwano omubi

    [39] Kiki ekyandibatuseeko singa bakkiriza Katonda n’olunaku lw’enkomerero, ne bagaba kwebyo Katonda bye yabawa. Anti bulijjo Katonda amanyi ebibakwatako

    [40] Mazima Katonda talyazamaanya wadde akantu akatono ennyo, bwekiba kirungi akibazaamu anti bulijjo awa okuva gyali empeera ensukkulumu

    [41] Guliba gutya bwetuligya mu buli kibiina omujulizi, ggwe netukuleeta ng’omujulizi kwabo

    [42] Olunaku olwo abo Abakaafuwala nebajeemera omubaka balyegomba singa ettaka libamira, era tebalisobola kukweka Katonda kigambo kyonna

    [43] Abange mmwe Abakkiriza temusembereranga e sswala nga mutamidde,(okutuusa lwegubaggwako) ne muba nga mutegeera byemwogera (era temusembereranga e sswala) nga mulina Janaba okugyako ayita obuyisi mu muzigiti okutuusa nga munaabye, bwe muba abalwadde, oba nga muli ku safari, oba omu ku mmwe ng’avudde mu kumala ekyetaago (ekyobutonde) oba nga mukutte ku bakyala, ne mutafuna mazzi, olwonno mwetukuze nga mukozesa ettaka eddungi, musiige ebyenyi byammwe n’emikono gyammwe, mazima Katonda bulijjo alekera era asonyiwa

    [44] Tolaba abo abaaweebwa omugabo mu kitabo, baasalawo okutwala obubuze era nebaagala nammwe mubulwe ekkubo

    [45] Bulijjo Katonda amanyi nnyo ebikwata ku balabe ba mmwe, Katonda amala okuba nga ye mukuumi, era Katonda amala okuba nga ye mutaasa

    [46] Mu Bayudaaya, mulimu abakyusa ebigambo nebabikozesa mu bukyamu, nebaba nga bagamba nti tuwulidde era tujeemye. Wulira naye Katonda aleme kukuwuliza, era siriwala. Nga bakyusakyusa ebigambo nennimi zaabwe, era nga bagezaako okussa ebituli mu ddiini. Singa bagamba nti tuwulidde era tugonze wulira era tulabirire, kyandibadde kirungi nnyo gyebali era nga kituufu, wabula Katonda yabakolimira olwobukafiiri bwabwe, tebakkiriza okugyako katono nnyo

    [47] Abange mmwe abaaweebwa ekitabo mukkirize ebyo byetwassa nga bikakasa ebyo byemulina, nga tetunnaba kukyusa byenyi netubizza emabega, oba netubakolimira nga bwetwakolimira abantu b’olunaku lwomukaaga. Ekigambo kya Katonda bulijjo kiteekwa okutuukirira

    [48] Mazima Katonda tasonyiwa kumugattako kintu kirala asonyiwa ebirala ebitali ekyo kwoyo gwaba ayagadde, oyo yenna agatta ku Katonda ekinti ekirala, mazima aba agunjizzaawo ekibi kinene nnyo

    [49] Tolaba abo abeetukuza! ekituufu kiri nti Katonda atukuza oyo gwaba ayagadde, era tebagenda kulyazaamanyizibwa wadde omuwula gwentende ogumu

    [50] Laba engeri gyebatemerera Katonda obulimba, ekyo kimala bumazi okuba nti kibi ekyolwatu

    [51] Tolaba abo abaaweebwa omugabo mu kitabo, bakkiririza mu buli kisinzibwa ekitali Katonda era nebakkiririza mu Sitane, era nga bagamba abakafiiri nti, abo ekkubo lyabwe ly’elisinga erya bakkiriza okuba ettuufu

    [52] Abo nno beebo Katonda beyakolimira, ate nga oyo yenna Katonda gweyakolimira, toyinza kumufunira mutaasa yenna

    [53] Abaffe, balina omugabo gwonna mu bufuzi! bwekiba bwekityo tebandiwadde muntu yenna kantu konna nebwekandibadde kenkana akatuli k’omulamwa gwe ntende

    [54] Oba bakwatibwa ensalwa olwebyo Katonda byeyawa abantu (Nabbi Muhammad n’abamukkiriza) so nga ate twawa aboolulyo lwa Nabbi Ibrahim ekitabo n’ebigambo ebyamagezi era netubawa obufuzi obugazi

    [55] (Ne mwabo abaaweebwa omugabo mu kitabo) mulimu abakkiriza obubaka bwa Nabbi Muhammad, ate mulimu abaziyiza abantu okubukkiriza, kimala okuba nga Jahannama gwemuliro ogugenda okubookya

    [56] Mazima abo abaawakanya ebigambo byaffe, ddala tujja kubayingiza omuliro, buli lwegalisiriira amaliba g’emibiri gyabwe, nga tubassaako amaliba amalala, balyoke bakombe ku bibonerezo. Mazima Katonda bulijjo nantakubwa ku mukono mugoba nsonga

    [57] Ate bbo Abakkiriza nebakola emirimu emirungi, tujja kubayingiza mu jjana ezikulukutiramu emigga, nga baakubeeramu lubeerera, balina mu zo Abakyala abatukuvu era tugenda kubakkiriza batuule mu bisiikirize ebisaakaativu

    [58] Mazima Katonda abalagira okutuukiriza obuvunaanyizibwa eri abo bemuteekwa okubukolera, era bwemutuula mu nsonga wakati w’abantu mubalamule mu bwenkanya, mazima Katonda kisuffu kyabakalaatira, mazima Katonda bulijjo awulira ate ng’alaba

    [59] Abange mmwe Abakkiriza mugondere Katonda mugondere n’omubaka n’abakulembeze mu mmwe, bwe mufuna obutakkaanya ku nsonga yonna mugizze eri Katonda n’omubaka, bwe muba mukkiriza Katonda n'olunaku lw’enkomerero ekyo kyekirungi era kyekivaamu ebibala ebirungi

    [60] Tolaba abo abagamba nti bakkiriza ebyassibwa gyoli, n’ebyassibwa oluberyeberyelwo, baagala okuba nga beramuza ebintu ebikyamu ebitali mu mateeka g’a Katonda, so nga baalagirwa okubiwakanya, era bulijjo Sitane ayagala ababuze olubula olusuffu

    [61] Bwebaba bagambiddwa nti mujje eri ebyo Katonda byeyassa, era mujje eri omubaka, olaba abananfusi nga bakwemululako olwemulula

    [62] Butya nga batuukiddwako omuswiba olwebyo byebaakola, olwonno nebakujjira nga balayira Katonda nti, ekigendererwa kyaffe tekyabadde kirala kyonna okugyako okulongoosa n'okutereeza

    [63] Abo nno beebo, Katonda baamanyi ebiri mu mitima gyaabwe, n'olwekyo baawukaneko era obabuulirire, era obagambe ekigambo ekiggumivu ekinaabatuuka ku mitima

    [64] Tewali Mubaka gwe twatuma okugyako nga ateekwa kugonderwa kulwobuyinza bwa Katonda, kale singa bo lwebaba beeyisizza obubi bajja gyoli, nebeegayirira Katonda n’omubaka naabasabira ekisonyiwo ewa Katonda, baalisanze Katonda nga akkiriza okwenenya era nga wa kisa

    [65] Ndayidde Mukama Katonda wo tebayinza kubeera bakkiriza abannamaddala okugyako nga ggwe gwebasalawo okubalamula mu buli kintu kyebaba bakaayaganyeeko, ate nebatasigaza mu mitima gyabwe kakuku ku ngeri gyoba osazeewo era nebakkiriza olukkiriza olulambulukufu

    [66] Singa mazima ddala ffe twalaalika ku bo nti mwette, oba muve mu mayumba gammwe tebandikikoze okugyako batono ku bo, singa baakola ebyo ebibabuulirwa kyandibadde kirungi gyebali, era kyekyalisinze okubanywereza ku bukkiriza

    [67] Olwo nno twandibawadde okuva gyetuli empeera ensukkulumu

    [68] Era twalibalungamizza mu kkubo eggolokofu

    [69] Abantu abagondera Katonda n’omubaka, abo nno beebokubeera awamu naabo Katonda beyawa ebyengera mu ba Nabbi n’abakkiriza abaamazima, n'abafiira mu ntalo zeddiini n'abalongoofu. Abo balungi nnyo okuba nga be bantu boobeera nabo

    [70] Obulungi obwo bwonna buva wa Katonda, kimala bumazi okuba nti Katonda amanyi byonna

    [71] Abange mmwe Abakkiriza mubagalire ebyokulwanyisa byammwe, mutambulire mu bibinja, oba mutambulire wamu mwenna

    [72] Mazima mujja kubeera mu mmwe abantu abanafuya bannaabwe, nga singa mutuukwako obuzibu mu lutalo bagamba nti Katonda yannyambye okuba nti saabadde nabo mu lutalo

    [73] Naye ate singa muba mugonnomoddwako ebirungi okuva ewa Katonda, ajja kugamba nga walinga awatabangawo nkolagana wakati wa mmwe naye nti nga ndabye nze, singa nabadde nabo nenganyulwa oluganyulwa olunene

    [74] Bateekeddwa okulwana mu kkubo lya Katonda abo abalekawo obulamu obwensi nebatwala obwenkomerero, oyo yenna alwanirira eddiini ya Katonda naamala attibwa, oba naawangula, tugenda kumuwa empeera ensukkulumu

    [75] Ngeriki bwemutalwana mu kutaasa ddiini ya Katonda, n'okutaasa abanyigirizibwa mu basajja n'abakyala n'abaana, nebatuuka okugamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe tuggye mu nsi eno, abantu baamu abanyigiriza bannaabwe, otuteerewo okuva gyoli omukuumi era otuteerewo okuva gyoli omutaasa

    [76] Abo abakkiriza, balwana nga bali mu kuweereza mu kkubo lya Katonda, bo abakafiiri balwana mu kuweereza mu kubo lyobubuze n'obwonoonefu, kale mulwanyise banne ba Sitane, anti bulijjo enkwe za Sitane nafu ddala

    [77] Tolaba abo abaagambwa nti mulekere awo okulwana, era muyimirizeewo e sswala, era mutoole e Zakka, naye ate bwe baalagirwa okulwana, wagenda okulaba ng’abamu mu bo batya abantu, nga balinga abatya Katonda. Si nakindi n’okusingawo, nebagamba nti ayi Mukama Katonda waffe lwaki otulaaliseeko okulwana, singa otulindirizzaako okumala akaseera katono, gamba Ggwe (Nabbi Muhammad) nti ebyokweyagala kwensi byabutaliimu, era enkomerero yenungi eri atya Katonda, era nga temugenda kulyazamanyizibwa wadde omuwula gwe ntende

    [78] Wonna wemuba muli okufa kugenda kubatuukako, newaakubadde nga muli mu mizimbo eminywevu (bankers), abantu abamu bwebatuukwako ekirungi bagamba nti ekyo kivudde wa Katonda, so nga bwebatuukwako ekibi bagamba nti kino kivudde ku ggwe, Gamba (Ggwe Muhammad) byonna biva wa Katonda, abantu abo bali kumpi babe nga tebategeera kintu kyonna

    [79] Buli kirungi ekikutuukako kiva wa Katonda, ate buli kibi ekikutuukako kiva ku ggwe kennyini, era twakutuma eri abantu nga oli Mubaka, bulijjo kimala okuba nga Katonda yemujulizi

    [80] Omuntu agondera omubaka mazima aba agondedde Katonda, n’omuntu akola ekyennyume kyekyo tetukutumanga (Ggwe Muhammad) kubera kalondoozi ku bo

    [81] (Bwebabeera wooli) bagamba nti bawulize gyoli, naye bwebava wooli ekitundu ku bo nebasula nga basala entotto okwawukana ku byebayogedde, era Katonda awandiika entotto zonna zebasula bakola, baveeko wekwate ku Katonda, bulijjo kimala okuba nga Katonda ye mukuumi

    [82] Abaffe, tebekkenneenya Kur’ani, singa teyava wa Katonda bandigisanzeemu okukontana kungi

    [83] Bwebajjirwa e kigambo e kyemirembe oba e kyentiisa bakiraalaasa, so singa bakizza eri omubaka oba abo abakwatibwako ensonga mu bo, bandikitegedde abo abalina obusobozi bwokusengejja amakulu gaayo, singa tebyali birungi Katonda byabawa n’okusaasira kwe mwandigoberedde Sitane mpozzi abatono mu mmwe

    [84] Kale nno lwaana ng’oweereza mu kkubo lya Katonda, towalirizibwa (kutwala muntu yenna ku lutalo) okugyako mwoyo gwo. Bo abakkiriza bakubirize (okulwana) olwo nno Katonda abe nga akomya akabi kaabo ab'akaafuwala, bulijjo Katonda y’asinga amaanyi era y’asinga okubonereza

    [85] Omuntu akolerera munne afune e kirungi naye afunako omugabo, n’omuntu akolerera munne atuukweko e kibi atukwako e kibi kyekyo. Bulijjo Katonda yennyini buyinza ku buli kintu

    [86] Bwe muba nga mulamusiddwa n'ekiramuso kyonna mwanukule nga n'ekiramuso ekisingako ku kiri obulungi, oba mwanukuze nakiri kyennyini kyebabalamusizza nakyo, bulijjo Katonda asobolera ddala okubala buli kintu

    [87] Katonda ateekeddwa okusinzibwa ali omu tewali kintu kyonna kisaana kusinzibwa okugyako yye, mazima ddala agenda kubakunganya ku lunaku lw’enkomerero awatali kubuusabuusa, ate bulijjo ani ayogera amazima okusinga Katonda

    [88] Lwaki Abannanfusi mubalinako e ndaba ya mirundi ebiri, so nga Katonda olwebyo byebakola yabavuunika (nebadda mu bukafiiri) kaakati mmwe mwagala kulungamya oyo Katonda gweyabuza oyo yenna Katonda gwabuza tosobola kumufunira kkubo

    [89] Beegomba nnyo okuba nga mukaafuwala nga bwe baakaafuwala, olwo nno mufaanagane, temuggya mu bo ab'emikwano beppo nga basenguse nebadda ku kkubo lya Katonda, naye bwe batakikola mubakwate, mubatte wonna wemubagwikiriza, temuggya mu bo wa mukwano yenna wadde omutaasa

    [90] Okugyako abo ababa baddukidde eri abantu bemulina nabo endagaano (e yobutatabaalagana), oba abo abajja gyemuli nga tebandi yagadde kubalwanyisa mmwe, oba okulwanyisa abantu baabwe, singa Katonda yayagala (abantu abo) yandi babateeredde nebabalwanyisa. Bweba nga tebabalumbaganye nebatabalwanyisa, era nebalangirira emirembe ku mmwe, nammwe Katonda mu buli ngeri yonna tabakkiriza kubalwanyisa

    [91] Ate mujja kusanga abalala nga bo baagala babe mirembe nammwe, mu kiseera kyekimu babe mirembe n'abantu baabwe, buli wonna webaddizibwa eri obukafiiri babubbinkiramu. Bwebaba tebabavuddeeko era nebalangirira e mirembe ku mmwe, nebaziyiza e mikono gyabwe, (abo) mubakwate era mubatte wonna wemubagwikiriza, era kwabo twabawa mmwe olukusa olujjuvu okubakolako

    [92] Tekigwanira mukkiriza yenna kutta mukkiriza, okugyako mubutanwa. Oyo yenna atta omukkiriza mubutanwa ateekwa okuta omuddu omukkiriza, nga ateekwa n'okusasula olufuubanja eri abantu b'omufu okugyako nga bamusonyiye, singa abadde wa mu bantu bemulina nabo obulabe nga ate ye mukkiriza, olwo omussi ateekwa okuta omuddu omukkiriza, naye singa abadde wa mu bantu bemulina nabo endagaano yobutatabaalagana olufubanja luteekwa okuweebwa eri abantu okwo nga ogasseeko okuta omuddu omukkiriza, omuntu aba tasobodde kufuna lufubanja lwawaayo ateekwa okusiiba emyezi ebiri nga gigoberegana, ebyo bikolebwa kulwokusaba Katonda ekisonyiwo. Bulijjo Katonda mumanyi nnyo mugoba nsonga

    [93] Omuntu atta omukkiriza mu bugenderevu empeera ye muliro Jahannama, w'akugubeeramu bugenderevu, era Katonda yamusunguwalira, naamukolimira, era naamutegekera ebibonerezo ebiyitirivu

    [94] Abange mmwe abakkiriza bwe muba nga mutambudde mu kuweereza mu kkubo lya Katonda, mwetegerezenga, omuntu bwabatooleranga ssalaamu temumugamba nti toli mukkiriza, nemululunkanira ebyokufuna byensi (bwegiba minyago) ewa Katonda weewali eminyago emingi, ebyo byemwagala okukola so nno bwemwakolanga mu kusoka, Katonda nabagonnomolako e kyengera (kyo bukkiriza) n'olwekyo muteekwa okwetegereza, anti mazima Katonda bulijjo amanyi nnyo byemukola

    [95] Abatagenda ku lutalo mu bakkiriza nga tebalina kisonyiyisa tebayinza kwenkana naabo abalafuubana nebaweereza mu kkubo lya Katonda nga bawaayo emmaali yaabwe n’obulamu bwabwe, Katonda yasukkulumya eddaala abalafuubana mu kkubolye nga bakozesa emmaali yaabwe n’obulamu bwabwe ku batagenda mu lutalo. Nabuli bamu Katonda yabalagaanyisa okubasasula e birungi. Naye Katonda yasukkulumya abalafuubana mu kkubolye ku batagenze mu lutalo, nga agenda kubasasula empeera ensuffu

    [96] Ebyo byonna nga kuliba kusitulwa madaala nakusonyiwa nakusaasira ebiriva eri Katonda, bulijjo Katonda musonyiyi nnyo wa kisa

    [97] Mazima abo ba Malayika be batuusaako okufa nga bakyeyisa bubi, ba Malayika babagamba nti mubadde mweyisa mutya, bo nebaddamu nti tubadde tunyigirizibwa mu nsi (ba Malayika) nebagamba nti abaffe ensi ya Katonda teyali ngazi nemusengukako, abo nno obuddo bwabwe muliro Jahannama era nga buddo bubi ddala

    [98] Okugyako abo abanyigirizibwa mu basajja n'a bakyala n'abaana abatalina busobozi, era nga balina obuzibu bwokumanya ekkubo lyo kukwata

    [99] Abo nno Katonda abasonyiwa, bulijjo Katonda alekera era musonyiyi nnyo

    [100] Oyo yenna asenguka olwokuweereza mu kkubo lya Katonda afuna ebifo bingi ebyokubudamamu n'obulamu obulungi, omuntu aleka amaka ge naasenguka ku lwa Katonda n'omubaka we naye naafa (nga tannatuuka) empeera ye eba emaze okukakata ewa Katonda, Katonda bulijjo musonyiyi musaasizi

    [101] Bwe mubanga mutambudde mu nsi, si kibi okuba nga musala ku sswala kavuna mwekengera nga abo Abaakaafuwala bayinza okubatuusaako akabi, anti bulijjo Abakafiiri balabe ba mmwe aboolwatu

    [102] Ggwe (Nabbi Muhammad) bwobanga mu lutalo n’abakkiriza, nobakulembera mu kusaala, ekibinja ekimu ku bo kiyimiriranga naawe musaale, era nga babagalidde ebyokulwanyisa byaabwe, bwebamala okuvunnama bagende bayimirire emabega wa mmwe ate ekibinja ekirala abatannasaala bajje babe nga basaala naawe, bateekeddwa okuba obulindaala nga babagalidde ebyokulwanyisa byaabwe, abo Abakaafuwala bandyagadde singa mugayaalirira ebyokulwanyisa byammwe n'ebintu byammwe, nebabagwako ekiyiifuyiifu tewali kibi ku mmwe bwe muba nga mulina obuzibu olwenkuba oba nga mubadde balwadde okuba nga mussa wansi ebyokulwanyisa byammwe naye era mubeere bulindaala, mazima Katonda yategekera Abakafiiri ebibonerezo ebinyoomesa

    [103] Bwemumala e sswala, mutendereze Katonda mu kuyimirira ne mu kutuula ne mu kugalamira, ate bwe muba mu mirembe musaale e sswala mu ngeri eyaabulijjo. Mazima e sswala yalaalikibwa ku Bakkiriza nga esaalibwa mu biseera ebigere

    [104] Temunafuwa nga mulondoola omulabe, bwe muba nga mulumwa mazima nabo balumwa nga bwemulumwa, ate nga mmwe musuubira ewa Katonda bo kyebatasuubira, bulijjo Katonda amanyi nnyo era mugoba nsonga

    [105] Mazima ffe twassa gyoli ekitabo mu butuufu, obe nga olamula wakati w’abantu nga okozesa ebyo Katonda bye yakuwa, era towolerezanga abakumpanya

    [106] Era weegayirire Katonda, mazima Katonda musonyiyi nnyo waakisa

    [107] Towakanira abo abeelyazaamanya, bulijjo Katonda tayagala muntu mukumpanya omwonoonefu

    [108] Beekweka abantu nebatasonyiwalira Katonda, so nga bulijjo aba nabo bwebasula nga abayiiya ebigambo byatayagala, ate nga bulijjo Katonda yetoolodde bye bakola

    [109] Abaffe mmwe beebo ababawakanira mu bulamu obwensi kati ani aliboogerera ewa Katonda ku lunaku lwokuzuukira! oba ani alibeera omweyimirize waabwe

    [110] Omuntu akola ekibi oba neyeeyisa obubi naye neyeegayirira Katonda, asanga Katonda nga musonyiyi nnyo omusaasizi

    [111] Omuntu akola ekibi akikolera mwoyo gwe, bulijjo Katonda mumanyi nnyo agoba nsonga

    [112] Ate omuntu akola ekisobyo, oba ekyonoono ate naakissa ku muntu atakikoze, mazima aba yeetisse ekikolwa ekyobulimba era nga kibi ekyolwatu

    [113] Singa si kisa kya Katonda n'okusaasirakwe bya kulinako, (Ggwe Muhammad) ekibiina mu bo kyaliyagadde okukubuza, byonna byebakola beebuza bokka, tebayinza kukutuusako kabi konna nga Katonda assa ku ggwe ekitabo (Kur’ani) n’ebigambo ebya magezi (Hadith) era nga yakumanyisa n'ebyo byewali tomanyi era bulijjo e birungi bya Katonda byakuwa bingi nnyo

    [114] Tewali bulungi mu mboozi zaabwe ezisinga obungi, okugyako oyo alagira abantu okusaddaaka oba obuntu bulamu oba okutabaganya wakati w’abantu, omuntu akola ebyo nga anoonya kusiima kwa Katonda tugenda kumuwa empeera ensukkulumu

    [115] N'omuntu ayawukana ku Mubaka oluvanyuma lwo bulungamu okumweyoleka, naakwata ekkubo eritali lya bakkiriza tumulekera ekyo kyaaba asazeewo, era tugenda kumukasuka mu muliro Jahannama, obwo nno buddo bubi ddala

    [116] Mazima Katonda tasonyiwa ku mugattako kintu, so nga asonyiwa ekitali ekyo eri oyo gwaba ayagadde, oyo yenna agatta ku Katonda ekintu aba abuze olubula oluyitirivu

    [117] Buli byebasaba ebitali ye baabituuma amannya ag’ekikazi, era ddala tebasaba (mu nkola yaabwe eyo) okugyako Sitane eyeewaggula

    [118] Katonda yagikolimira era neegamba nti nja kutwala ekitundu ekiwera mu baddubo

    [119] Njakubabuliza ddala, era nja kubawanga ebisuubizo ebyobulimba, era nja kubalagirira ddala bawummule amatu g’ebisolo ebirundibwa era nja kubalagirira nga ddala bakyuse entonda ya Katonda. N’omuntu afuula Sitane mukwanogwe naaleka Katonda mazima aba afaafaganiddwa olufaafaganirwa olwolwatu

    [120] (Sitane) abalagaanyisa naabawa n’ebisuubizo ebyo bulimba, Sitane byonna byabalagaanyisa tebiri okugyako byabutaliimu

    [121] (Abagoberera Sitane) abo obuddo bwa bwe muliro Jahannama, era nga tebagenda kufuna buddukiro kuguwona

    [122] Naabo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu tujja kubayingiza e jjana nga emigga jikulukutira mu zo, baakuzibeeramu obugenderevu, eyo nga ndagaano ey’amazima Katonda gyabawadde, ate ani asinga Katonda okwogera ebigambo eby’amazima

    [123] (Okuyingira e jjana) tekigenda kusinziira ku kwagala kwa mmwe oba abaaweebwa e kitabo kye baagala, (enkola eri nti) omuntu akola ekibi kiri musasulwa, era nga oggyeko Katonda tewaliba mukuumi yenna wadde omutaasa

    [124] N’omuntu akola emirimu emirongoofu kaabe musajja oba mukazi nga mukkiriza, abo nno baakuyingira e jjana, era tebagenda kuyisibwa bubi wadde mu kantu akatono

    [125] Ani ali mu ddiini e nnungi okusinga oyo aba yeewadde ewa Katonda, era nga mukozi wa birungi, era n'agoberera e nkola ya Ibrahim e yobutakkiririza mu bisinzibwa byonna ebitali Katonda omu, era nga Katonda yafuula Ibrahim mukwano gwe owenjawulo

    [126] Era bya Katonda byonna ebiri mu ggulu omusanvu ne nsi, era bulijjo Katonda amanyi ekifa ku buli kintu

    [127] Bakubuuza ku nsonga za bakyala, bagambe nti Katonda ajja kubaanukula ebikwata ku bakyala, era nga bwajja okubategeeza ebibasomerwa mu kitabo (Kur’ani) ku nsonga zaaba mulekwa abakyala, abo bemutawa ekyo ekiteekwa okuweebwa (Amahare), ate nemwagala okubawasa era abategeeza ebikwata ku baana abato abateesobola, era nga bwajja okubategeeza nti muteekwa okukola ku nsonga z’a bamulekwa mu bwesimbu, era mukimanye nti e kirungi kyonna kyemukola Katonda akimanyidde ddala

    [128] Omukyala bwatyanga bba okumuyisa obubi, oba okumusuulawo, si kibi ku bombi okukola ekiyinza okubatabaganya era (bulijjo) okutegeeragana kwekusinga obulungi. Naye omuntu bulijjo agwa olubege ku mulugube, naye singa mulongoosezza nemutya Katonda, bulijjo Katonda byemukola abimanyi nnyo

    [129] Wabula temugenda kusobola kukola bwenkanya wakati wa bakyala (obuli 100%) ne bwe muba nga kye mwandi yagadde, wabula temubasuulira ngawo ddala, omukyala nemumuleka nga alengejja nga omuwanike, naye singa mutegeeraganye, era nemutya Katonda, mazima bulijjo Katonda musonyiyi nnyo musaasizi

    [130] Naye (omwami n'omukyala abafumbo) singa baawukana buli omu Katonda ajja kumumalira ebyetaagobye nga ajja mu bigabwabye e bingi, bulijjo Katonda mugazi nnyo mu buli kimu era agoba nsonga

    [131] Byonna ebiri mu ggulu omusanvu ne mu nsi bya Katonda, era mazima twalaamira abo abaaweebwa ekitabo oluberyeberye lwa mmwe, nammwe netubalaamira nti mutye Katonda, wabula bwemugyema mazima ddala bya Katonda ebyo ebiri mu ggulu omusanvu nebiri mu nsi. Era bulijjo Katonda talina kyeyetaaga era atenderezebwa

    [132] Era bya Katonda ebyo ebiri mu ggulu omusanvu nebyo ebiri mu nsi. Era bulijo Katonda yaakola ku nsonga z’ebitonde byonna

    [133] (Okukakasa ekyo) singa aba ayagadde asobola okubagyawo abange mmwe abantu naaleeta abalala, bulijjo Katonda kwekyo musobozi

    [134] Omuntu ayagala empeera y’okunsi, Katonda yaafuga empeera y’okunsi n'e yokunkomerero bulijjo Katonda awulira era alaba nnyo

    [135] Abange mmwe abakkiriza mubeere abalwanirira obwenkanya, abajulira ku lwa Katonda, ensonga nebweba ekwata ku mmwe mwennyini, oba abazadde bombi, n'aboluganda olwokumpi (aweebwako obujulizi) kaabe mugagga oba mwavu bombi bantu ba Katonda okusinga okuba nti ba mmwe, kale nno temugoberera okwagala kwa mmwe nemutakola bwenkanya. bwemunaakyusa amazima oba nemugaana okuwa obujulizi, mazima ddala Katonda bulijjo amanyidde ddala byemukola

    [136] Abange mmwe abakkiriza mukkirize Katonda n’omubakawe, n’ekitabo kyeyassa ku mubakawe, era n’ekitabo kyeyassa oluberyeberye, oyo yenna atakkiririza mu Katonda ne ba Malayika be n'ebitabo bye n’ababaka be n’olunaku lw’enkomerero aba abuze olubula oluyitirivu

    [137] Mazima abo abakkiriza, ate nebakaafuwala, ate nebakkiriza, oluvanyuma nebakaafuwala, ate nebeeyongerera ddala obwa kiwagi, Katonda si wakubasonyiwa wadde okubalungamya ku kkubo e ggolokofu

    [138] Sanyusa abannanfusi nga obategeeza nti balina ebibonerezo ebiruma

    [139] (Abannanfusi) abo abafuula abakafiiri mikwano gyabwe, nebaleka abakkiriza, abaffe baba babanonyaako kitiibwa! Mazima bulijjo ebitiibwa byonna bya Katonda

    [140] Nga ate mazima (Katonda) yassa ku mmwe mu kitabo nti bwemuwuliranga ebigambo bya Katonda nga biwakanyizibwa, era nga bijolongwa temutuulanga wamu nabo abakola ekyo okutuusa lwebadda ku mboozi endala, (ate nga mazima ddala bulijjo kimanyiddwa nti) mazima Katonda agenda kukunganya abakafiiri n’abananfusi bonna abayingize omuliro Jahannama

    [141] (Era Abannanfusi) beebo bulijjo abalindirira ekintu ekinaatuuka ku mmwe, bwemufuna obuwanguzi okuva ewa Katonda bagamba nti bulijjo tetuli nammwe, abakafiiri bwebaba nga beebafunyeeyo ku buwanguzi babagamba nti tetwabayamba netubataasa ku bakkiriza, wabula Katonda agenda kulamula wakati wa mmwe ku lunaku lw’enkomerero, ate nga Katonda tagenda kuwa Bakafiiri kkubo lyebayinza kuwanguliramu Bakkiriza

    [142] Mazima Abannafunsi bakwenyakwenya Katonda, kale naye waakubakwenyakwenya, era bwebayimirira okusaala bayimirira lwabuwaze, nga bagenderera kulaga bantu era tebatendereza Katonda okugyako katono nnyo

    [143] Ba nampa wengwa (wakati wa Bakkiriza na Bakafiiri) nga tebayinza kubalibwa ku bali oba ku bano, bulijjo omuntu Katonda gwabuza tayinza kumufunira kkubo. (lidda eri bulungamu)

    [144] Abange mmwe abakkiriza temufuula nga abakafiiri mikwano gyammwe nfiira bulago nemuleka abakkiriza, mwandiyagadde okwewaako obujulizi obwolwatu ewa Katonda

    [145] Mazima Abannanfusi bagenda kubeera ku mwaliiro ogusemberayo ddala wansi mu muliro, ate nga togenda kubafunira mutaasa

    [146] Okugyako abo abeenenya, nebalongoosa, nebekwata ku Katonda, nga neddiini yaabwe bagikola kulwa Katonda yekka, abo nno bagenda kuba wamu nabakkiriza. Ate nga Katonda abakkiriza agenda kubawa empeera ensukkulumu

    [147] Singa mwebaza Katonda, era nemukkiriza, ate olwo Katonda aliba ababonerereza lwaki! ate nga bulijjo Katonda mwebaza era mumanyi nnyo

    [148] Katonda tayagala kwatuukiriza kigambo kibi (ku muntu) okugyako oyo aba alangiddwa obwereere, bulijjo Katonda awulira era amanyi nnyo

    [149] Bwemwolesa ekirungi, oba nemukikweka, oba nemusonyiwa abayisizza obubi, mazima bulijjo Katonda alekera, muyinza nnyo

    [150] Mazima abo abajeemera Katonda n’ababakabe, nebagezaako okwawula wakati wa Katonda n’ababakabe, era nebagamba nti tukkirizaako abamu abalala tetubakkiriza, nebaagala okuteekawo ekkubo wakati weebyo ebibiri, (babe nga mwebatambulira)

    [151] Abo nno beebatakkiriza abannamaddala. Era nga abakafiiri twabategekera ebibonerezo ebinyoomesa

    [152] Ate abo abakkiriza Katonda n'ababaka be nebatayawula wakati w’omu kubo, abo nno Katonda agenda kubawa empeera yaabwe, bulijjo Katonda musonyiyi wa kisa nnyo

    [153] Abaaweebwa ekitabo bakusaba okuba nga bafuna ekitabo okuva mu ggulu, ate nga mazima kyebaasaba Musa kyali kinene okusinga ekyo, bwebaagamba nti tulage Katonda mubweyolefu. Olwokweyisa kwabwe okubi laddu yabakuba (ate oluvanyuma Katonda yabalamusa), ate neb’eteerawo ennyana nebagisinza, so nga obunnyonyofu bwali bwabajjira dda, ekyo nno nakyo twakisonyiwa, so nga ate twali twawa Musa obujulizi obwenkukunala (obukakasa obwa Nabbi bwa Musa)

    [154] Netuleebeseza waggulu waabwe olusozi, bwebataagoberera, endagaano gyetwabakozesa nti baali bateekwa okugoberera (enjigiriza ya Taurat) netubagamba nti muyingire omulyango gw’ekibuga (Bait Makdis) nga muvunnamye (kyebataakola) era twabalagira obutavuba ku lunaku lwa mukaaga (ekiragiro kyebaamenya) era twabakozesa endagaano enzito

    [155] Ekyabatuusa kwebyo, kuba nti baamenya endagaano zaabwe, n’okuwakanya amateeka g’a Katonda, n’okutta kwabwe ba Nabbi ekitaali kituufu, era nekulwokugamba kwabwe nti, emitima gyaffe mizibikivu, ekituufu kiri nti Katonda yeeyagibikka olw'obukaafiiri bwabwe, tebayinza kukkiriza okugyako kitono nnyo

    [156] Era nekulwobukafiiri bwabwe, n’okutemerera Mariam ekigambo ekinene

    [157] Era nekulwekigambo kyabwe bwebagamba nti, mazima ffe tumaze okutta Masiya Issa Mutabani wa Mariam omubaka wa Katonda so nga tebaamutta, wadde okumukomerera ku musaalaba, wabula kyabalabikiranga abasse yye, naye mazima ddala abaayawukana mu nsonga eno bali mu kubuusabuusa ku bigikwatako, tebalina bukakafu ku yo wabula okugoberera okuteebereza, naye nga ddala tebaamutta

    [158] Wabula Katonda yamusitula n’amutwala gyali, era bulijjo Katonda ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga

    [159] Mazima tewali n’omu mwabo ab'aweebwa e kitabo okugyako nga agenda ku mukkiriza nga tannafa, nga ne ku lunaku lw’enkomerero agenda kubawaako obujulizi

    [160] Okusinziira kukweyisa obubi kwa ba Yudaaya, twaziza ku bo ebirungi ebyali bibakkiriziddwa, ne ku lwo kwekiika kwabwe mu kkubo lya Katonda

    [161] Nekulwokutwalanga kwabwe Ribbah, so ng’ate baagigaanibwa, nekulwokulya kwabwe emmaali y’abantu mu bukyamu, era twateekerateekera abakafiiri mu bo ebibonerezo ebiruma

    [162] Wabula abamanyi ba kakensa mu bo n’abakkiriza ebyassibwa gyoli, n'ebyassibwa oluberyeberyelwo, era abayimirizaawo e sswala, nebawaayo nezzaka, era abakkiriza Katonda n’olunaku lwe nkomerero, abo nno tugenda kubawa mpeera ensukkulumu

    [163] Mazima ffe twakuwa ggwe (Nabbi Muhammad) obubaka nga bwetwawa Nuhu obubaka, neba Nabbi bangi oluvanyumalwe, era twawa Ibrahim obubaka ne Ismail ne Ishaka ne Yakubu ne bazzukulu ba Yakubu, ne Isa ne Ayub ne Yunus ne Haruna ne Sulaiman, ne Dauda netumuwa Zaburi

    [164] N’ababaka abalala twabakunyumiza dda ate nga ababaka abalala tetwabakunyumiza, era mazima Katonda yayogera ne Musa olwogera (nga tewali Mubaka wakati waabwe)

    [165] Ababaka abo bonna bajjanga nga bawa amawulire agasanyusa, nga n'abandi bawa amawulire agalabula, abantu baleme kuba na byekwaso ku Katonda kasita yamala okubatumira ababaka, bulijjo Katonda nantakubwa ku mukono mugoba nsonga

    [166] (Ekyo kimala abantu okuba nga naawe bakukkiriza naye abayudaaya n’ababafaanana bweba nga tebakukkirizza) kasita Katonda akakasa nti (ekitabo) ekyassibwa ku ggwe kyassibwa ku lwakumanya kwa Katonda n’okusalawokwe ne ba Malayika ekyo kyennyini kyebakakasa, naye nga bulijjo Katonda yeemalirira okuwa obujulizi n’okukakasa ekintu kyonna

    [167] Mazima abo abaakaafuwala nebassa emisanvu mu kkubo lya Katonda, mazima baabula olubula oluyitirivu

    [168] Mazima abo abaakaafuwala era nebeeyisa obubi, Katonda si waakubasonyiwa wadde okubalungamya mu kkubo

    [169] Mpozzi ekkubo erigenda mu muliro Jahannama gwebalibeeramu obugenderevu, era bulijjo ekyo ku Katonda kyangu nnyo

    [170] Abange mmwe abantu, omubaka yabajjira nga aleeta amazima okuva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe, kale mukkirize, kye kirungi gyemuli, naye bwe munaakaafuwala mazima ddala ebiri mu ggulu omusanvu ne nsi bya Katonda, bulijjo Katonda mumanyi nnyo agoba nsonga

    [171] Abange mmwe abaaweebwa ekitabo temusukkanga ekyetaagisa, nga mutuukiriza eddiini yammwe, era temwogeranga ku Katonda okugyako amazima, mazima ddala Masiya Isa mutabani wa Mariam mubaka wa Katonda, era kigambokye, kyeyawa Mariam, era mwoyo ogwava gyali. Kale temugamba nti basatu, ekyo mukikomye, kyekirungi gyemuli, mazima ddala Katonda ali Katonda omu, yayawukana (tasaana) kuba namwana, bibye byonna ebiri mu ggulu omusanvu n'ebiri mu nsi , bulijjo kimala okuba nti Katonda y’ayimiriddeko ensonga ya buli kintu

    [172] Masiya tayinza butayagala kuba muddu wa Katonda, wadde ba Malayika abali kumwanjo nabo tebayinza butakyagala, oyo yenna atayagala kuyitibwa muddu wa Katonda neyeekuluntaza, (Katonda) ajja kubazuukiza bonna abazze gyali ku lunaku lw’enkomerero

    [173] Kale nno abo abakkiriza nebakola emirimu emirungi, Katonda ajja kubasasula empeera y’emirimu gyaabwe mu bujjuvu, ate abongere n’ebirungi ebirala ebiva gyali, naye abo abawakanya nebawaganyala, abo wa kubabonereza ebibonerezo ebiruma ennyo, ate tebagenda kubaayo gwebafuna atali Katonda nga mukwano gwaabwe wadde nga mutaasa

    [174] Abange mmwe abantu mazima bwabajjira obubonero obwenkukunala, era nga twassa gyemuli ekitangaala ekyeyolefu (Kur’ani)

    [175] Naye abo abakkiriza Katonda nebeenywereza ku ye, abo nno agenda kubayingiza (e jjana) nga kusaasira okuva gyali (era alibawa) ebigabwa (ebirala), era abalungamyenga eri ekkubo eribatuusa gyali, nga kkubo ggolokofu

    [176] Bakubuuza (ggwe Nabbi Muhammad) ku muntu afa naataleka bazadde oba abaana wabula nga alese bagandabe, gamba nti Katonda ajja kubannyonnyola ebikwata ku kusikira omuntu oyo, omuntu bwafa nga talina mwana, naye nga alina mwannyina, oyo afuna kimu kyakubiri kwebyo byaba alese, era naye asikira mwannyina singa (Mwannyina afa) nga talese mwana, bannyina bwebaba babiri bafuna bibiri byakusatu kw'ebyo byaba alese, bwebaba b’aluganda nga basajja na bakazi, omusajja afuna omugabo gwabakazi babiri, Katonda abannyonnyola (amateekage) mube nga temubula, bulijjo Katonda mumanyi waabuli kintu

    Emmere

    Surah 5

    [1] Abange mmwe Abakkiriza mutuukirizenga endagaano, mukkirizibwa okulya ennyama y’ebisolo ebiriibwa byonna okugyako e binaabasomerwa, ate nga temukkirizibwa kuyigga nga muli mu mizizo gya (Hijja oba Umurah) mazima Katonda asalawo kyaaba ayagadde

    [2] Abange mmwe abakkiriza temufuulanga Halaali ebyo Katonda byeyabalambira nti biri Haramu, era nga bwemutaasanye kukyusa myezi gya mizizo nemugifuula egyokulwaniramu, era temwekiikanga mu kkubo lyebirabo ebiba bireetebwa e Makkah wadde ensolo ennambe nga z’abirabo, wadde abantu abagenda okulambula e nyumba ey’emizizo, ababa bagenda okunoonya obulungi n’okusiima okuva ewa Katonda waabwe, naye bwe muba musumulukuse okuva mu mizizo gya (Hijja ne Umurah) olwonno muyiggenga. Olwokuba nti abantu baabaziyiza okutuuka ku muzikiti ogw’emizizo, tekibatuusanga okubayisa obubi, era muyambaganenga ku kukola obulungi n’okutya Katonda, so temuyambagananga ku kukola ebibi n’obulumbaganyi, era mutye Katonda, mazima Katonda muyitirivu w’abibonerezo

    [3] Muziyiziddwa okulya ennyamanfu n’omusayi (Kafece) nennyama y’embizzi n’ekyo ekiba kyogereddwako eritali linnya lya Katonda nga kisalibwa, n’ekifudde olw’okukubwa, n’ekifudde olwokugwa, n’ekitomeddwa kinnakyo, n’ekiriiriddwako ensolo enkambwe, okugyako byemuba mwanguyidde nemubisala, era muziyiziddwa okulya ennyama y’ebisolo ebiba bisaliddwa olwokubiwongera atali Katonda omu ateekwa okusinzibwa, era muziyiziddwa okweraguza nga mukozesa obusaale. Okukola ekimu kwebyo, buba bugyemu, olwaleero abo abakaafuwala tebakyalina ssuubi kubalemesa ddiini yammwe, kale temubatya, mutye nze. Olwaleero mbajjulizza eddiini yammwe, era nembajjuliza ebyengera byange, era nembasalirawo obusiramu okuba nga yeddiini (yammwe) kale nno omuntu eyeesanga mu buzibu obwenjala, so ssi lwakugenderera kumenya tteeka (naamala alya ku bigaaniddwa), mazima Katonda musonyiyi wa kisa

    [4] Bakubuuza ggwe (Nabbi Muhammad) ebibakkirizibwa (okulya), gamba nti mukkirizibwa okulya ebirungi, era (mukkirizibwa okulya) n’okulya ebyo ebikwatiddwa ebiyigga byemutendese nemuyigiriza ddala okusinziira nga Katonda bweyabayigiriza, bweguba gutyo mulye ebyo bye bibakwatira, era mubyogerereko erinnya lya Katonda (nga mubisindika okugenda okukwata ensolo) era mutye Katonda, anti mazima Katonda mwangu wa kubala

    [5] Olwaleero mukkirizibwa okulya e birungi, nga era n'ennyama esaliddwa abaaweebwa ekitabo bwekkiriziddwa gyemuli, n'ennyama yammwe ekkiriziddwa gye bali, era mukkirizibwa okuwasa ab'ensa mu bakyala abakkiriza nga bwemukiriziddwa abakyala abensa mwabo abaaweebwa ekitabo oluberyeberye lwa mmwe, kavuna mubawa Amahare gaabwe nga mubawasa mu bufumbo obutukuvu, so ssi mu bwenzi wadde okuba nti mubatwala nga bakyala ba mmwe abebbali, n'omuntu atakolera ku mateeka g’abukkiriza emirimu gye giba gimufudde, nga naye ku lunaku lw’enkomerero agenda kubeera mu bafaafaganiddwa

    [6] Abange mmwe abakkiriza bwe muba mugenda okusaala muteekeddwa okunaaza ebyenyi byammwe, n’emikono gyammwe okutuusa mu nkokola, era musiige ku mitwe gyammwe, munaaze n’ebigere byammwe okutuuka ku bukongovule, bwe muba nga mulina Janaba muteekeddwa okunaaba naye bwe mubanga abalwadde, oba nga muli ku safari, oba omu ku mmwe nga avudde mukumala ekyetaago ekyobutonde, oba nemukwata ku bakyala (mumbera ezo zonna) nemutafuna mazzi, kale nno, mutayammame, nga mukozesa ettaka eddungi, (ekyo mukikola) nga musiiga ku byenyi byammwe n’emikono gyammwe, Katonda tayagalangako kubateerawo bukalubo bwonna, naye ayagala kubatukuza era abajjulize ekyengerakye musobole okubeera nga mwebaza

    [7] Era mujjukire e kyengera kya Katonda kyeyabawa n'endagaanoye gyeyabakozesa bwemwagamba nti tuwulidde era tugonze. Era mutye Katonda, anti mazima Katonda amanyidde ddala ebyo ebiri mu bifuba

    [8] Abange mmwe abakkiriza mubeere beesimbu ku lwa Katonda, nga muwa obujulizi mubwenkanya, abantu okuba abalabe ba mmwe, tekibawugulanga nemutakola mazima, bulijjo mukole obwenkanya, kyo kyekiri okumpi n'okutya Katonda, era mutye Katonda, mazima Katonda amanyidde ddala byemukola

    [9] Katonda yalagaanyisa abo abakkiriza nebakola emirimu emirungi, nti balina ekisonyiwo nempeera ensukkulumu

    [10] Ate abo ab'akaafuwala nebalimbisa ebigambo byaffe, abo nno be bantu b’omumuliro

    [11] Abange mmwe abakkiriza mujjukire ekyengera kya Katonda kye yabawa, abantu abamu bwe baayagala okugolola e mikono gyaabwe (babalwanyise), n'aziyiza e mikono gyaabwe ku mmwe, era bulijjo mutye Katonda, Katonda yekka abakkiriza gwebateekeddwa okwesiga

    [12] Mazima Katonda yakozesa abaana ba Israil endagaano, era netuggya mu bo abakulembeze kkumi nababiri, Katonda naagamba nti mazima njakuba wamu nammwe, bwe munaayimirizaawo e sswala, nemutoola Zzaka, nemukkiriza ababaka bange, era nemubawagira, era nemuwola Katonda oluwola olulungi, njakubasonyiwa ebyonoono byammwe, mbayingirize ddala e jjana ezikulukutiramu emigga, naye oyo yenna alikaafuwala mu mmwe oluvanyuma lwekyo, aliba abuze okuva ku kkubo ettuufu

    [13] Kulwokumenya kwabwe endagaano twabakolimira, emitima gyaabwe netugifuula emikakanyavu nebaba nga bakyusa ebigambo okubijja ku makulu gaabyo amatuufu, nebasuula ekitundu kinene kw'ebyo ebyabayigirizibwa, bulijjo ojja kugwanga ku nkwe zaabwe okugyako abatono mu bo, kale basonyiwe era olekere, anti bulijjo mazima Katonda ayagala abakozi b’obulungi

    [14] Era twakozesa endagaano abamu kwaabo abeeyita Abanaswara, era nabo baasuula ekitundu kinene kweebyo ebyabayigirizibwa, netussa wakati waabwe obulabe n’obukyayi okutuusa olunaku lw’enkomerero, olwo nno Katonda alyoke abategeeze byonna byebaakolanga

    [15] Abange mmwe abaaweebwa ekitabo, mazima omubaka waffe yabajjira abategeeze bingi byemwaali mukweka mu kitabo, mu ngeri yeemu asonyiwe bingi, mazima kyabajjira ekitangaala n’ekitabo ekyeyolefu okuva eri Katonda

    [16] Katonda alungamya nakyo mu kkubo e ry'emirembe oyo aba agoberedde okusiimakwe, era naabajja mu bizikiza nga abazza eri ekitangaala kulwokwagalakwe, era n'abalungamya ku kkubo eggolokofu

    [17] Mazima baakaafuwala abaagamba nti ddala Masiya mutabani wa Mariam ye Katonda, gamba (Ggwe Muhammad) ani ayinza okukolawo ekintu kyonna singa Katonda aba asazeewo okuzikiriza Masiya mutabani wa Mariam ne maamawe, n’abantu bonna abali ku nsi, obufuzi bweggulu omusanvu ne nsi nabyonna ebiri wakati wa byombi, bwa Katonda, atonda kyaba ayagadde, era Katonda bulijjo muyinza wa buli kintu

    [18] Era Abayudaaya n'aba Krisitayo bagamba nti ffe tuli baana ba Katonda era mikwanogye, bagambe ate lwaki alibabonereza olwebyonoono byammwe, ekituufu kiri nti mmwe muli bantu nga abalala beyatonda, asonyiwa gwaba ayagadde, era naabonereza gwaba ayagadde, era obufuzi bweggulu omusanvu ne nsi nabyonna ebiri wakati wa byombi bya Katonda, ate nga gyali yeeri obuddo

    [19] Abange mmwe abaweebwa ekitabo, mazima abagyidde omubaka waffe nga abayigiriza oluvanyuma lwokuyitawo akaseera nga tewali mubaka, muleme kugamba nti tetwajjirwa atuwa mawulire ga ssanyu ag’ejjana oba okututiisa omuliro, ekituufu kiri nti abawa amawulire agessanyu, era nga abatiisa n’omuliro yabajjira. Bulijjo Katonda muyinza waabuli kintu

    [20] Era mujjukire Musa bweyagamba abantu be nti abange, bantu bange, mujjukire ekyengera Katonda kye yabawa bwe yabassaamu ba Nabbi (abangi), era mmwe n'abawa obuyinza era n'abawa ebintu byataawa muntu mulala yenna mu bitondebye

    [21] Abange bantu bange (mulwane) muyingire ensi entukuvu eyo Katonda gyeyabalagaanyisa, temukyukanga nemukubayo amabega (nemudduka) nemufuuka abafaafaganiddwa

    [22] Nebagamba nti owange Musa mazima ensi eyo, erimu abantu bakirimaanyi, era mazima tetuyinza kuyingira mpozzi nga bagifulumye, bwebagifuluma olwo ffe nga tuyingira

    [23] Abasajja babiri mwabo abatya Katonda, nga era Katonda yabawa ekyengera kyobukkiriza nebagamba nti, mubalumbe nga muyita ku mulyango omunene, kemuyingira mazima ddala mujja kuwangula, naye Katonda yekka gwemuba mwekwatako, bwe muba nga muli bakkiriza

    [24] Nebagamba nti owange Musa, mazima ffe tetujja kukiyingira ebbanga lye banaamala nga bakyakirimu, ggwe ne Katonda wo mugende mulwane ffe tusigadde wano

    [25] (Musa) naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange mazima nze sifuga okugyako omwoyo gwange ne muganda wange, lamula wakati waffe ne wakati w’abantu abonoonyi

    [26] Katonda (n’alamula) wakati waabwe naagamba nti ekyokuyingira kibagaaniddwa okumala emyaka ana, gyebaamala nga babulubuutira mu nsi, n’olwekyo tewennyamira olwabantu abajeemu

    [27] Era basomere mu bulambulukufu ebikwata ku baana ba Adam ababiri bwe baawa ewa Katonda Saddaka, ey’omu nekkirizibwa, ate ey’omulala n’etakkirizibwa, kwekugamba nti nja kukuttira ddala (ye oli) naagamba nti mazima ddala Katonda akkiriza mirimu gyabo abamutya

    [28] (Naye) bwonongalulira omukono gwo onzite, nze sigenda ku kugalulira mukono gwange ku kutta, mazima nze ntya Katonda omulabirizi w’ebitonde

    [29] Mazima nze njagala ogende n’ekibi kyange n’ekikyo (singa onzita), olwo nno obeere mu bantu bo mu muliro, era nga bulijjo eyo ye mpeera y’abantu abeeyisa obubi

    [30] Omwoyo gwe omubi negumusalirawo okutta muganda we, era n'amutta naabeera mu baafaafaganirwa

    [31] Olwonno Katonda n’asindika Namungoona eyajja nga asima ettaka olwonno amulage engeri gyanaaziikamu omulambo gwa mugandawe, naagamba nti mbadde ki nze? nemeddwa okukola nga Namungoona bwakoze, mbe nga nziika omulambo gw’a muganda wange, awo naatandika okubeera mu bejjusa

    [32] Okusinziira ku ekyo twassa etteeka ku baana ba Israil nti mazima oyo atta omuntu atatemudde muntu, oba atakoze bwonoonefu mu nsi, mazima ddala aba nga asse abantu bonna., ate ataasa obulamu bw'omuntu omu aba nga ataasizza obulamu bwa bantu bonna, (ebyo abayudaaya baalibadde babitegeera) anti mazima ababaka baffe babaleetera amateeka amannyonnyofu, naye ate oluvanyuma lwekyo mazima bangi ku bo baasigala beeyisa bubi mu nsi

    [33] Mazima ddala empeera y’abo abalwanyisa Katonda n’omubaka we nebasaasaanya obwonoonefu mu nsi, (ekibonerezo kyabwe) kuttibwa, kukomererwa ku musaalaba, oba emikono na magulu gaabwe kutemwaako mu ngeri y’okuwaanyisibwa (nga bwebamutemako omukono ogwa dddyo, okugulu bamutemako kwa kkono) oba bawangangusibwe okuva mu nsi yaabwe, ekyo nno nga kubakkakkanya kuno ku nsi era nga ne ku lunaku lw’enkomerero bagenda kutuusibwako ebibonerezo ebikakali

    [34] Okugyako abo abeenenya nga temunabakwata, era mumanye nti mazima ddala Katonda musonyiyi nnyo omusaasizi

    [35] Abange mmwe abakkiriza mutye Katonda era munoonye ekkubo erituuka gy'ali, era munyiikire nnyo mu kuweereza mu kkubo lye, ekiribayamba okubeera mu balituuka ku buwangizi (ku lunaku lw’enkomerero)

    [36] Mazima abo abaakaafuwala singa mazima byonna ebiri mu nsi n’ebiringa byo nga obitadde wamu nebaagala okwenunula nabyo okuwona ebibonerezo by’olunaku lw’enkomerero, tebyandikkiriziddwa okuva gyebali, era baakussibwako e bibonerezo e biruma e nnyo

    [37] Baliyagala okufuluma mu muliro ng’ate sibaakugufuluma, bagenda kutuukwako ebibonerezo e byolubeerera

    [38] Omubbi omusajja n'omubbi omukazi mubatemeko emikono gyaabwe bombi, nga mpeera (kibonerezo) yeekyo kyebakoze, era nga kyakulabirako ekyassibwawo Katonda ekikanga abalala, bulijjo Katonda ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga

    [39] Oyo yenna eyeenenya oluvanyuma lwokweyisa kwe obubi naalongoosa, mazima Katonda akkiriza okwenenya kwe, anti bulijjo mazima Katonda musonyiyi musaasizi

    [40] Tomanyi nti mazima ddala obufuzi bweggulu omusanvu ne nsi bwa Katonda, abonereza gwaba ayagadde ate naasonyiwa gwaba ayagadde, bulijjo Katonda muyinza ku buli kintu kyonna

    [41] Owange ggwe omubaka, tebakunakuwazanga abo abavuganya mu kuwakanya(obwannabbi bwo), mu abo abagamba n'emimwa gyaabwe nti tukkirizza so nga e mitima gyabwe tegikkiriza. Ne mu Bayudaaya abakkiriza e bigambo byobulimba, era abawuliriza kulwa bantu abalala ababa tebazze mu nkungaanazo nebakyusa e bigambo okubiggya mu bifo byabyo nga bagamba (bannaabwe nti), bwemuweebwa kino mukitwale, bwekitabaweebwa mwekeke, naye Katonda gwaba ayagadde okugezesa toyinza kumuyamba mu kintu kyonna ewa Katonda, abo beebo Katonda baatayagala kutukuza mitima gyaabwe, obuswaavu buli ku bo kuno ku nsi, era ne ku lunaku lw’enkomerero bagenda kussibwaako ebibonerezo ebikambwe

    [42] Bawuliriza ebigambo ebyobulimba, balya emmaali gyebafuna mu makubo aga haramu, singa bajja gyoli (Ggwe Muhammad) lamula wakati waabwe oba baveeko, bwoba obavuddeko tebagenda kukutuusaako kabi, naye bwobanga osazeewo okubalamula, lamula wakati waabwe n'obwenkyanya, anti bulijjo Katonda ayagala abakola obwenkanya

    [43] Naye lwaki basalawo ggwe obalamule, nga ate balina Taurat erimu okulamula kwa Katonda, ate oluvanyuma nebagikuba amabega, abo sibakkiriza (naakatono)

    [44] Mazima ffe twassa Taurat nga erimu obulungamu nekitangaala, bannabbi ba bayudaaya era bulijjo abamanyiddwa nti beewaayo eri Katonda, nga gyebakozesa okulamula abayudaaya, nga ne banna ddiini n'abakugu mu ddiini nga gyebalamuza olwobwesigwa obwabakwasibwa nga buva mu Kitabo kya Katonda babe nga bakuuma Taurat, era ku ekyo baali bajulizi kale nno temutyanga abantu mutye nze, ebigambo byange temubiwanyisangamu omuwendo omutono, oyo yenna atalamuza ebyo Katonda byeyassa, abo nno be bakaafiiri abannamaddala

    [45] Era (mu Taurat eyo) twabalaalikako nti mazima omuntu attibwa olwokutta omuntu, n’eriiso liggyibwamu olw’okugyamu eriiso, nennyindo esalwako olwokmuhiuddin khanusala ennyindo y'omulala, n'okutu kusalwako olwokusala okutu kw'omuntu, n'erinnyo balikulamu olwokukuula erinnyo lyomuntu, n'ebiwundu bisasulwa. Wabula omuntu akisonyiwa kimubeerera e nsonga yo kumusonyiwa e bibibye. Era bulijjo omuntu yenna atalamuza Katonda bye yassa abo nno be bantu abeeyisa obubi

    [46] Mu buwufu bwabwe (Abayudaaya) twagoberezaako Isa Mutabani wa Mariam ng’akakasa ebyo ebyamukulembera ebiri mu Taurat, era yajja nga bulungamu, era ekyokubuulirira eri abo abatya Katonda

    [47] Kale nno abantu benjiri bateekeddwa okulamuza ebyo Katonda byeyassa mu yo, omuntu yenna atalamuza ebyo Katonda byeyassa abo nno bo be bonoonyi

    [48] Era twassa gyoli (Ggwe Muhammad) ekitabo, mu bulambulukufu nga kikakasa e bitabo byonna e byakikulembera era nga kye kibisukkulumye. Kale lamula wakati waabwe nga okozesa e byo Katonda byeyassa togezaako okugoberera okwagala kwa bwe obe nga oleka amazima agakujjidde, buli bamu mu mmwe twabawa amateeka n'enkola singa Katonda yayagala yaalibafudde ekibiina kimu naye yayagala okubakema olwebyo byeyabawa, kale nno muvuganye mu kukola e birungi, anti eri Katonda yeeri obuddo bwa mmwe mwenna, gyalibategeereza ebyo byemwayawukanamu

    [49] Era lamula wakati waabwe ng’okozesa ebyo Katonda byeyassa, togobereranga okwagala kwa bwe era beegendereze baleme kukuggya ku bimu ku ebyo Katonda byeyassa gyoli, bwebaba nga bakoze e kyennyume kyekyo, manya nti mazima Katonda ayagala okubavunaana olw'ebimu ku byonoono byabwe, wabula nga bulijjo abantu abasinga obungi bonoonyi

    [50] Ennamula y’ebiseera byobutamanya gyebaagala okukozesa! ani ayinza okuwa okulamula okulungi okusinga okuva ewa Katonda eri abo abakozesa amagezi gaabwe mu butuufu

    [51] Abange mmwe abakkiriza temuufulanga abayudaaya n'abakrisitayo mikwano gyammwe ab'omunda, anti abamu ffa nfe w’abalala, yenna abafuula mikwano gye mu mmwe, mazima yye aba afuuse wa mu bo, anti mazima Katonda talungamya bantu beeyisa bubi

    [52] Ojja kulaba abo abalina obulwadde mu mitima gyabwe nga babeeyunira nga bagamba nti (ekitukozesa kino) tutya okuba nga tutuukibwako ekitutuusaako obuzibu, naye lumu Katonda agenda kuleeta obuwanguzi oba ekintu kyonna okuva gyali, balikeesa enkya nga bejjusa olwebyo bye baakweeka mu mitima gyabwe

    [53] Ate bbo abakkiriza baligamba nti abo beebo abaalayira Katonda nga bakakasa ebirayiro byabwe!, bwebaagamba nti mazima ddala bo bali wamu nammwe, byebakola byonna byafa togge, olwo nno nebaba nga bafaafaganiddwa

    [54] Abange mmwe abakkiriza oyo yenna ava mu ddiini ye akimanye nti Katonda agenda kuleeta abantu (abalala) abamwagala nga naye abaagala, abakkakkamu mu maaso ga bakkiriza, nga beegulumiza mu maaso ga bakaafiiri, nga beewaayo mu kuweereza mu kkubo lya Katonda, era nga tebatya kunenya kwa munenyi yenna, ebyo birungi bya Katonda abiwa gwaba ayagadde, bulijjo Katonda mugazi mu buli kintu, mumanyi nnyo

    [55] Mazima mukwano gwa mmwe ow’omunda Katonda, n’omubaka we naabo abakkiriza, abo abayimirizaawo e sswala nebatoola zzaka, era nga bakutama ku maviivi (nga basaala)

    [56] Oyo yenna asalawo mukwano gwe ow’omunda okuba Katonda n'omubaka we, n'abo abakkiriza, anti bulijjo e kibiina kya Katonda bo be b'okuwangula

    [57] Abange abakkiriza temufuula abemikwano egyomunda gyemuli abo abafuula eddiini yammwe e kyokusaagirako era e kyokuzannyisa, mu abo abaaweebwa e kitabo oluberyeberye lwa mmwe, n’abakaafiiri. Bulijjo bulijjo mutye Katonda bwe muba nga muli bakkiriza

    [58] (Mmwe) bwemukowoola abantu okujja okusaala bakitwala nga kyakusaaga era nga kyamuzannyo, bakola batyo lwakuba nti ddala bbo bantu abatategeera

    [59] Gamba nti: abange mmwe abaaweebwa e kitabo, abaffe waliwo kyemutunyiigira okugyako okuba nti tukkiriza Katonda n'ebyo e byassibwa gyetuli, n'ebyo e byassibwa oluberyeberye era nga na lwakuba nti abasinga mu mmwe boonoonyi

    [60] Gamba nti abaffe mbategeeze oyo alifuna empeera esinga okuba embi ewa Katonda? be bantu Katonda beyakolimira nabasunguwalira, abamu ku bo nabafuula enkobe ne mbizzi n’abamu nebasinza Sitane, abo nno beebalina ekifo ekisinga obubi era beebasinga okubula okuva ku kkubo ettuufu

    [61] Bwe bajja gyemuli bagamba nti tukkiriza naye mazima bayingira n’obukaafiiri era nebafuluma nabwo, Katonda amanyi nnyo byonna bye bakweka

    [62] Ogenda noolaba nga bangi mu bo banguyirira nnyo okukola ekibi nobulumbaganyi n’okulya kwabwe ebya Haramu, kibi nnyo kyebakola

    [63] Waakiri singa ba nnaddiini n'abakugu mu kumanya e ddiini babakomako ku bigambo e bibi n’okulya e mmaali eya Haramu, kibi nnyo kyebakola

    [64] Abayudaaya baagamba nti omukono gwa Katonda mu kolige, emikono gyabwe gye gyakoligibwa, ne bakolimirwa olwebyo byebayogera, e kituufu kiri nti e mikono gye gyombiriri myanjulukufu agaba nga bwayagala, e byo ebyassibwa gyoli okuva ewa Katonda wo bijja kwongerera ddala bangi mu bo obubuze nobukafiiri, era twassa wakati waabwe obulabe n'obukyayi okutuusa ku lunaku lw'enkomerero, buli lwonna lwe bakoleeza omuliro gw’olutalo nga Katonda aguzikiza, era basaasaanya mu nsi obwonoonefu, naye bulijjo Katonda tayagala boonoonyi

    [65] So singa ddala abaaweebwa e kitabo bakkiriza nebatya Katonda twandibasonyiye e byonoono byabwe, era twandibayingizza e jjana ey’ebyengera

    [66] Era mazima singa bo bayimirizaawo Taurat ne Enjili na byonna e byassibwa gye bali okuva ewa Katonda waabwe, bandiridde okuva waggulu waabwe ne wansi w'ebigere byabwe, mu bo mulimu Abantu abeesimbu naye abangi mu bo byebakola bibi

    [67] Owange Ggwe omubaka tuusa gyebali ebyo e byassibwa gyoli okuva ewa Katondawo, bwotakikole ojja kuba totuukirizza bubakabwe (totya) Katonda ajja kukuuma ku Bantu, mazima Katonda talungamya kibiina kya bakaafiiri

    [68] Gamba (Ggwe Nabbi Muhammad) nti temulina kyemuliko okugyako nga muyimirizzaawo Taurat ne Enjili na byonna e byassibwa gyemuli okuva ewa mukama omulabirizi wa mmwe. ebyo e byassibwa gyoli okuva ewa Mukama omulabirizi wo bijja kwongera bangi mu bo obubuze n'obukaafiiri, tonakuwala olwa bantu abakaafiiri

    [69] Mazima abo abakkiriza, na Bayudaaya ne ba Swabi-uuna (be bantu abataasinza bintu bitali Katonda omu so nga ate tebaalina ddini ya mu ggulu yonna gyebaaliko) n'abakrisitayo, oyo yenna eyakkiriza Katonda n'olunaku lw’enkomerero naakola e mirimu e mirungi (abo) tebalina kutya era tebagenda kunakuwala

    [70] Twakozesa abaana ba Israil endagaano era netubatumira ababaka wabula buli lweyabajjiranga omubaka n’ebyo emyoyo gyaabwe byegitayagala nga ekitundu bakirimbisa nga ate abalala babatta

    [71] Baalowooza nti ekyo tekijja kuvaako mutawaana, naye nebafuuka ba muzibe era bakiggala, oluvanyuma Katonda yakkiriza okwenenya kwaabwe, ate bangi mu bo baddamu nebafuuka ba muzibe era bakiggala, Katonda bulijjo alaba byebakola

    [72] Mazima baakaafuwala abo abagamba nti ddala Katonda ye Masiya mutabani wa mariam, nga ate Masiya yagamba nti abange abaana ba Israil musinze Katonda Mukama wange era nga ye Mukama wa mmwe, mazima ddala oyo agatta ku Katonda ekintu ekirala Katonda yamuziyizaako okuyingira e jjana, nga n’obuddobwe muliro. Era abeeyisa obubi tebagenda kuba namutaasa yenna

    [73] Mazima baakaafuwala abo abagamba nti mazima ddala Katonda yoomu ku basatu (abakola Katonda omu) ekituufu kiri nti tewali Katonda yenna okugyako Katonda omu era bwe bateekomeko ku bye boogera, abo abaakafuwala mu bo bajja kutuukwako e bibonerezo e biruma

    [74] Abaffe, tebayinza kwenenyeza Katonda nebamusaba ekisonyiwo. Ate nga bulijjo Katonda musonyiyi waakisa

    [75] Masiya mutabani wa Mariam tali kintu kirala kyonna okugyako okuba nti Mubaka wa Katonda era nga ddala ababaka bangi abaamukulembera, ne Maama we yali Mukazi omukkiriza ow'amazima bombi baalyanga emmere, tunula olabe engeri gyetubannyonnyolamu ebigambo ate tunula olabe engeri gyebawugulwa

    [76] Gamba (Ggwe Nabbi Muhammad) nti abaffe musinza ebintu ebitali Katonda, ebitayinza kubatuusaako kabi konna wadde ekirungi, era Katonda yye bulijjo awulira era amanyi nnyo

    [77] Gamba (Ggwe Nabbi Muhammad) nti abange mmwe abaaweebwa ekitabo temusukkanga ekigero ekyetaagisa nga mukola eddiini yammwe ebyobutaliimu, era temugobereranga okwagala kw’abantu, mazima bo basooka nebabula era nebabuza n’abantu bangi, era nebabulira ddala okuva ku kkubo eggolokofu

    [78] Baakolimirwa abo Abaakaafuwala mu baana ba Israil ku lulimi lwa Dauda ne Issa Mutabani wa Mariam, ekyo nno kulwakujeema kwaabw,e era nga bulijjo baasukkanga (Amateeka g’a Katonda)

    [79] Tebeekomangako ku mize gyebaakolanga, kibi ddala ekyo kyebaakolanga

    [80] Olaba bangi mu bo nga bafuula abakaafiiri mikwano gyaabwe egyomunda, kibi nnyo emyoyo gyaabwe gyekyabasalirawo ekyatuusa Katonda okubasunguwalira era nga baakutuula bugenderevu mu bibonerezo

    [81] Singa baali bakkiriza Katonda ne Nabbi n’ebyassibwa gyali tebandibafudde mikwano gyaabwe egyomunda, naye bangi mu bo boonoonyi

    [82] Ojja kukirabira ddala nti abasinga okuba ab'obulabe eri abo abakkiriza be bayudaaya naabo abagatta ku Katonda ebintu ebirala era ojja kukirabira ddala nti abasinga okuba ab'omukwano ogw'okumpi eri abo abakkiriza beebo abagamba nti mazima ffe tuli ba Kristayo, ekyo nno lwakuba nti mazima ddala mu bo mulimu abayivu mu bye ddiini, na Basosorodoti era nalwakuba nti bo tebeekuluntaza

    [83] Bwebaba bawulidde e byassibwa ku Mubaka, olaba amaaso gaabwe nga gakulukusa amaziga olwamazima gebaba bategedde nebagamba nti ayi Mukama Katonda waffe tukkirizza tuwandiike mu bajulizi

    [84] Tuyinza tutya obutakkiriza Katonda ku mazima gano agamaze okutujjira! ate nga era tuyaayaanira okuba nga Mukama omukuumi waffe atuyingiza e jjana awamu n'abantu abalongoofu

    [85] Olwo nno Katonda naabasasula ku lw'ebyo bye bayogera (n'abayingiza) e jjana e zikulukutiramu e migga, mwebalibeera olubeerera era eyo y'empeera y’abakozi b’obulungi

    [86] N'abo abaakaafuwala nebalimbisa e bigambo byaffe, abo be bantu bo muliro

    [87] Abange mmwe abakkiriza temufuulanga Haramu e birungi ebyo Katonda bye yabakkiriza, mu ngeri y'emu temusukkanga e nsalo z'ebyo Katonda bye yabagaana, bulijjo mazima Katonda tayagala basukka nsalo (z’amateekage)

    [88] Era mulye Katonda bye yabagabirira, kavuna biba nga byakkirizibwa ate nga birungi, era mutye Katonda oyo mwe gwemukkiriza

    [89] Katonda tabavunaana olwebirayiro byammwe byemulayira mu kusaaga, naye abavunaana lwebyo byemuba mukakasizza. (E kilayiro omuntu kyalayira ng’akakasa bwakimenya), omutango gw'akyo kuliisa abanaku kkumi nga baliisibwa e mmere gyemuliisa abantu abo mu daala eryo mu makati, (mu kitundu kyammwe) oba okubambaza, oba okuta omuddu. Omuntu aba tafunye e kimu ku ebyo ateekwa okusiiba ennaku ssatu. Ogwo nno gw’emutango gw’ebirayiro byammwe byemunalayiranga, mwegendereze nnyo okulayira kwa mmwe. Bwatyo Katonda bw'abannyonnyola e bigambobye, musobole okubeera abeebaza

    [90] Abange mmwe abakkiriza mazima ddala omwenge ne zzaala, namasanamu n’okweraguza, n’obusaale bibi bya mu bikolwa bya Sitane, muteekwa okubyewala kibayambe okuba mu balituuka ku buwanguzi (ku lunaku lw’enkomerero)

    [91] Mazima ddala Sitane ayagala okussa wakati wa mmwe obulabe n’obukyayi olw’omwenge ne zzaala, era ebawugule ku kutendereza Katonda n’okusaala, abaffe e bikolwa e byo munaabireka

    [92] Era mugondere Katonda, mugondere n’omubaka mwewalire ddala e bikolwa e bibi, bwemutakola mutyo olwo nno mumanye nti mazima ddala omubaka waffe kyateekwa okukola, kyekyokutuusa obubaka mulwatu

    [93] Abo abakkiriza ne bakola e mirimu e mirungi tebavunaanwa ku lwebyo bye baalya oba bye baanywa e dda, kavuna batya Katonda ne bakkiriza, ne bakola e mirimu e mirungi ate ne batya Katonda ne bakkiriza ate ne batya Katonda era ne beeyisa bulungi, bulijjo Katonda ayagala abeeyisa obulungi

    [94] Abange mmwe abakkiriza (bwe munaabeeranga mu mikolo gya Hijja ne Umrah) Katonda ajja kubagezesa n’ensonga y’okuyigga ebisolo nga mubikwata n’emikono gyammwe, era nga mubifumita n'amafumu gammwe olwo nno Katonda alyoke amanye oyo amutya mu mmwe, awamu n’okuba nti tamulabako, oyo yenna an’amenya e tteeka lino oluvanyuma lw’okumanya bino agenda kutuusibwako e bibonerezo e biruma e nnyo

    [95] Abange mmwe abakkiriza temuyigganga, nga muli mu mizizo gya Hijja oba Umrah, oyo yenna mu mmwe atta e kisolo kyo muttale nga agenderedde, ateekwa okuwa omutango, nga awaayo mu nsolo e zirundibwa e yenkana neeri gyeyasse, (nga ekyo okukituukako), kisalibwawo abantu babiri abeesimbu mu mmwe, ekyo nga kirabo e kiteekwa okutuusibwa ku Kaaba. Bwekitaba ekyo, ateekwa okuwa omutango gwokuliisa abanaku, oba okusiiba e nnaku ezenkana omutango ogwo, ebyo byonna biri bwebityo alyoke abe nga akomba ku bukaawu bwekikolwa kye yetantala. Byo e byakulembera Katonda yabisonyiwa, naye oyo addamu Katonda agenda kumubonereza, bulijjo Katonda nantakubwa ku mukono asobola okubonereza oyo gwaba asazeewo okubonereza

    [96] Mukkirizibwa okuvuba n'okulya e biva mu nnyanja ku lw'okuyimirizaawo obulamu bwa mmwe, n'obwabatambuze naye mugaaniddwa okuyigga ku lukalu ebbanga lyemumala nga muli mu mizizo gya Hijja ne Umrah, bulijjo mutye Katonda oyo gyali gye mulikunganyizibwa

    [97] Katonda yassaawo Kaaba e nyumba e y'emizizo nga y’eyimiriddeko e ntambuza y’ebintu byonna e bikwata ku bantu era nateekawo e myezi e gyemizizo n’ebisolo e bitonebwa, nebisolo e birekebwa nga birambiddwa e byo byonna bibayambe okumanya nti mazima ddala Katonda amanyi ebyo byonna e biri mu ggulu omusanvu n'ebiri mu nsi, era nti mazima ddala Katonda bulijjo amanyidde ddala ebikwata ku buli kintu

    [98] Muteekeddwa okumanya nti mazima Katonda muyitirivu wabibonerezo era nga ddala bulijjo Katonda musonyiyi wa kisa

    [99] Omubaka talina kyavunaanwa, okugyako okubatuusaako obubaka, era bulijjo Katonda amanyi byemukola mulwatu ne bye mukweka

    [100] Gamba (ggwe Nabbi Muhammad nti) e kibi n'ekirungi tebifaanana newaakubadde nga oluusi osikirizibwa obungi bw'ekibi, kale mutye Katonda abange mmwe abalina amagezi agakola obulungi mulyoke mube mu balituuka ku buwanguzi (ku lunaku lw'enkomerero)

    [101] Abange mmwe abakkiriza temubuuzanga e bikwata ku bintu, nga singa bibategeezeddwa byandibasudde mu ntata, anti singa mubibuuza nga Kur’ani e kyakka bijja kubategeezebwa (ate bibakaluubirire), so nga Katonda teyabisiinyaako, anti bulijjo Katonda musonyiyi wa kisa

    [102] Mazima abantu b'ebibiina e byabakulembera baabibuuzanga ate oluvanyuma byabakaafuwaza

    [103] Katonda ssi ye yateekawo (e byokulondobamu ebisolo e bimu e birundibwa n’ebiweebwa amasanamu) nga okusalako okutu kw’ensolo bweba e zadde e nzaalo e ziwera, wadde eyo gyebaawulako nga y’alubaale, wadde e kyokwevuma ensolo e zaala e nkazi zokka, wadde e kyokwekwasa seddume w'e ngamiya e zaazisizza e ngamiya e nnyingi. Naye mazima ddala abo abaakaafuwala (mu kuwanuuza kwa bwe okwo), batemerera Katonda, wabula bulijjo bangi mu bo tebategeera

    [104] Bwe baba bagambiddwa nti mujje eri e byo Katonda byeyassa, era mujje eri omubaka, bagamba nti bye twasangako bakadde baffe bitumala (abaffe bagamba batyo) wadde nga bakadde baabwe baali tebamanyi kintu kyonna era nga tebayinza kulungama

    [105] Abange mmwe abakkiriza mwefeeko. Oyo e yabula tayinza kubatuusaako kabi kavuna mmwe mulungama, ewa Katonda mwenna yeeri obuddo bwa mmwe, olwo nno alyoke abategeeze byonna byemwali mukola

    [106] Abange mmwe abakkiriza omu ku mmwe bwawulira, nga ayinza okuba nga asemberedde okufa, mussengawo abajulizi babiri abeesimbu mu mmwe nga akola ekiraamo, oba abalala babiri abatali ba mu mmwe. Bwe mubanga ku safari nemutuukibwako ekizibu kyokufa (abajulizi ababiri) mubatuuza oluvanyuma lw’esswala nebalayira ku linnya lya Katonda, ekyo mukituukako bwe muba nga mufunye okubuusabuusa (era bateekeddwa okugamba nti) tetugenda kukkiriza kukyusa kiraamo kino olwekintu kyonna, newaakubadde nga gwetuwaako obujulizi wa luganda lwaffe olw,okumpi, era tetugenda kukweka bujulizi bwa Katonda anti bwetukikola tubeera mu boonoonyi

    [107] Bwekizuulwa nti abajulizi beekobanye nebakola ekibi ku nsonga y’obujulizi, olwo mangu ddala musseewo abalala babiri badde mu kifo kyabwe bombi, nga baggyibwa mu bantu bali ababiri mwe baggyibwa, nebalayira Katonda (era nebagamba nti) obujulizi bwaffe bwa maanyi okusinga obwa bali ababiri era tetugenderedde kubaweebuula anti bwetukola ekyo, tuba tugudde mu luse lwa beeyisa obubi

    [108] Okukola ekyo, kye kisinga obulungi ku kuyamba okuba nga bawa obujulizi mu butuufu bwa bwo, oba batye e birayiro (byabwe) okugobwa oluvanyuma lw'okulayira kwabwe, mutye Katonda era muwulire, bulijjo Katonda talungamya bantu bajeemu

    [109] Mujjukire olunaku Katonda lwalikunganya ababaka nagamba nti abantu baabaanukula batya, ne bagamba nti: tetumanyi bye baagamba anti mazima bulijjo ggwe omanyidde ddala e bikusike

    [110] Era mufumiitirize Katonda bwaligamba nti owange Isa mutabani wa Mariam, jjukira e byengera byange bye nnakuwa ne bye nnawa Maamawo, bwe nnakuwagira ne mwoyo mutukuvu n'oyogera n’abantu ng’okyali mu kibaya, ne bwe wasajjakula, era jjukira bwennakuyigiriza okuwandiika n’okukozesa amagezi ne Taurat ne Injili, era jjukira bwe wasobola okubumba mu ttaka e kibumbe kye kinyonyi ku lw’okukkiriza kwange, n’okifuuwamu ne kiba e kinyonyi ku lw'okukkiriza kwange, era n’osobola okuwonya ba Muzibe n’abolukeke, byonna lwa kukkiriza kwa nge, era jjukira bwe wasabiranga abafu ne bazuukira olw'okukkiriza kwange, era jjukira bwe nnakuwonya abaana ba Israil bwe wabajjira n’obunnyonnyofu, abaakaafuwala mu bo ne bagamba nti bino byaleese si kirala okugyako ddogo e ryeyolefu

    [111] Era jjukira bwe nnatumira abayigirizwabo nti munzikirize n’omubaka wange ne bagamba nti tukkirizza, era naawe julira okakase nti mazima ddala tuli basiramu

    [112] Era jjukira abayigirizwa bwe baagamba Isa mutabani wa Mariam nti abaffe Katondawo asobola okutussiza ekijjulo okuva mu ggulu, naagamba nti mutye Katonda bwe muba nga ddala muli bakkiriza

    [113] Nebagamba nti twagala tukiryeko, era e mitima gyaffe gitebenkere, era tumanye nti wewaawo byo tugamba byonna bya mazima, era naffe tufuuke abajulizi ku ekyo

    [114] Isa mutabani wa Mariam naagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe tussize e kijjulo okuva mu ggulu, kibe e mbaga gyetuli eri abaliwo muffe n’abalijja oluvanyuma, era nga bujulizi okuva gyoli, era tukusaba otugabirire. Ggwe mugabi asinga

    [115] Katonda naagamba nti mazima nze nja kukibassiza naye oyo yenna anaakaafuwala oluvanyuma lw’okujja kwakyo, mazima ddala ngenda kumubonereza olubonereza lwe ssigenda kubonereza muntu mulala yenna

    [116] Era jjukira Katonda bwe yagamba nti owange Isa Mutabani wa Mariam ggwe wagamba abantu nti nze ne Mmange ffembi mutufuule ba Katonda, muve ku Katonda. Naagamba nti Mukama omulabirizi wange oli musukkulumu, siyinza kwetantala kwogera kitali kyange, mu butuufu, bwe mba nakyogera mazima wakimanya, anti omanyi byonna ebiri mu nze atenga nze simanyi biri mu ggwe, (ekireeta e njawulo eyo) anti mazima ddala ggwe omanyi e byekusifu

    [117] Ssaabagamba okugyako kye wandagira, e ky’okubagamba nti: musinze Katonda mukama omulabirizi wange era nga ye mukama omulabirizi wa mmwe, era nali mujulizi ku byonna bye baakolanga e bbanga lye nnamala nga ndi nabo, naye bwe wantwala, ggwe wasigala omanyi byonna bye bakola. Anti bulijjo ggwe osobola okumanya e bikwata ku buli kintu

    [118] Bwoba wa kubabonereza, mazima bo baddu bo, naye bw'obasonyiwa, mazima ddala ggwe nantakubwa ku mukono mugoba nsonga

    [119] (Ku lunaku olwo) Katonda agenda kugamba nti, luno lunaku abaayogera amazima, amazima gaabwe gagenda kubagasa, balina e jjana e zikulukutiramu e migga, bagenda kuzibeeramu olubeerera, Katonda yabasiima nabo nebeeyanza, okwo nno kwe kwesiima okusukkulumu

    [120] Obufuzi bwe ggulu omusanvu ne nsi n'ebirimu bwa Katonda, era bulijjo Katonda musobozi wa buli kintu

    Ensolo

    Surah 6

    [1] Ebitendo byonna e birungi bya Katonda oyo eyakola e ggulu omusanvu ne nsi n’assaawo e nzikiza ne kitangaala, wabula abo abagyemera Mukama omulabirizi waabwe bava ku mazima

    [2] Yye yooyo (Katonda) e yabatonda nga abajja mu ttaka, oluvanyuma naasalawo buli omu mu mmwe e bbanga lya naawangaala, ate nassaawo e bbanga e ddala e ggere e rimanyiddwa yye yekka, ensi lwerikoma. Ate oluvanyuma mmwe mubuusabuusa

    [3] Era yye, ye Katonda mu ggulu omusanvu ne nsi, amanya bye mukola mu kyama ne bye mukola mu lwatu, era amanya byonna bye mukola

    [4] Tewali kabonero konna kabajjira mu bubonero bwa Katonda okugyako bwonna babwawukanako

    [5] Mazima baalimbisa amazima bwe gaabajjira, naye luliba lumu ebigambo e bituufu e bikwata kwebyo bye baajeejanga biri bajjira

    [6] Abaffe tebalaba e mirembe e meka agyaliwo oluberyeberye lwabwe gyetwazikiriza! twabawa okwegazaanyiza mu nsi, okusinga ku ngeri gyetwawa mmwe okwegazanyizaamu, ne tubawa e ggulu okuba nga libafukirira e nkuba mu bungi, ne tussawo e migga nga gikulukutira wansi waabwe, naye era ne tubazikiriza olwebibi byabwe ne tuleeta oluvanyuma lwabwe omulembe omulala

    [7] Singa twassa ku ggwe e kitabo e kikoleddwa mu mpapula ne bakikwatako n’emikono gyabwe, abo abaakaafuwala bandigambye nti, bino temuli okugyako ddogo lyennyini

    [8] Era nebagamba nti singa wassiddwa ku ye Malayika, naye singa twassa Malayika e nsonga yandiggweredde awo era ne batarindirizibwa

    [9] Era singa twasalawo okuweereza Malayika twandimuweerezza nga muntu, era e kibatabula kyandibadde kibatabula

    [10] Ababaka bangi baajeejebwa nga tonnatumwa, abo abaajeeja mu bo ababaka, baatuukwako e bibonerezo by'okujeeja kwabwe

    [11] Gamba nti, mutambule mu nsi olwo nno mulabe e nkomerero y’abaalimbisa yali e tya

    [12] Gamba nti, byani e byo e biri mu ggulu omusanvu ne nsi (bwomala) gamba nti bya Katonda, yeekakasaako okusaasira era nga agenda kubakunganyiza ddala ku lunaku lw’enkomerero, tekiriimu kubuusabuusa (wabula) abo abafaafaganirwa e myoyo gyabwe tebagenda kukkiriza

    [13] Era bibye (Katonda) byonna e bibeerawo e kiro n’emisana, anti bulijjo yye, yaawulira era amanyi e nnyo

    [14] Gamba nti: ndeke Katonda neeteerewo e kintu e kirala kyonna e kitali yye! nga ye mukwano gwange ow’omunda, nga ate yye (Katonda) yeeyatonda e ggulu omusanvu ne nsi, era yye, yaaliisa ng’ate talisiibwa gamba nti, mazima nze nalagirwa okuba omusaale mwabo abeewaayo era tobeeranga mu bagatta Katonda n'ebintu e birala

    [15] Gamba, nti mazima nze ntya nnyo e bibonerezo by'olunaku oluzito singa mba njeemedde mukama omulabirizi wange

    [16] Omuntu alyesambisibwa ku byo olunaku olwo, mazima Katonda aliba amusaasidde era e kyo bwe buwanguzi obwa nnamaddala

    [17] Singa Katonda akutusaako akabi tewali ayinza kukakuwonya okugyako yye, singa aba akuwadde e birungi yye Katonda muyinza wa buli kintu

    [18] Era yye, ye Nantalemwa, alina mu mikono gye e nsonga z’abaddu bonna, anti yye ye mugoba nsonga amanyi buli kimu

    [19] Gamba nti kintu ki e kisinga obukulu okuba nga bwe bujulizi, gamba nti Katonda ye mujulizi wakati wange nammwe, era naweebwa Kur’ani eno nga bubaka mbe nga mbatiisa nayo n’abo beerituukako abatali mmwe, ate mmwe muyinza okuleeta obujulizi nti ku Katonda kweyongerako ba katonda abalala, gamba nti mazima ddala yye Katonda ali omu, era mazima ddala neesambye e byo byemugatta ku Katonda

    [20] Abo be twaawa e kitabo bamutegeera (Nabbi Muhammad) nga bwebategeera abaana baabwe, abo abaafaafaganirwa e myoyo gyabwe (nebatategeera ntegeera ntuufu) abo nno bo tebakkiriza (byo bagamba)

    [21] Ani yeeyisa obubi okusinga oyo atemerera Katonda nga ddala amanyi nti alimba! oba n’alimbisa e bigambo bya Katonda. Anti mazima abeeyisa obubi tebagenda kwesiima

    [22] Ku lunaku lwetulibakungaanya bonna era ne tugamba abo abaagatta ku Katonda e bintu e birala nti, ba katonda ba mmwe abo be mwagambanga baluwa

    [23] Awo nno bwe balimala okugwa mu kizibu (olwo kubuuzibwa e kibuuzo e kyo) tebaliba na kya kukola okugyako okugaana ne bagamba nti, tulayira Katonda Mukama omulabirizi waffe tetubangako mu bagatta ku Katonda bintu birala

    [24] Laba e ngeri gye beerimbamu ne bibaggwaako e byo bye baagunjaawo

    [25] Era mu bo mulimu abawulira byoyogera, naye nga ku mitima gyabwe twassaako e kibikka ne batasobola kubitegeera n’amatu gaabwe ne tuteekamu e nvumbo, ne bwebalaba e kyamagero kyonna tebakikkiriza, ne batuusa okujja gyali nga bakuwakanya abo abaakaafuwala ne bagamba nti (byonna byayigiriza) tebirina kye biri okugyako okuba nti nfumo z’abedda

    [26] Nga nabo bagaana abantu okujja eri Nabbi, era nga nabo be nnyini bamwesamba, (mweekyo) tebazikiriza okugyako myoyo gya bwe naye tebategeera

    [27] Singa olisobola okubalaba bwe baliyimirizibwa ku muliro, olwo nno ne bagamba nti nga tulabye singa tuzzibwaayo (ku nsi) ne tutalimbisa bigambo bya Mukama omulabirizi waffe olwo nno tube mu bakkiriza

    [28] Olwo nno biriba bye yolese gye bali e byo bye baakwekanga mu kusooka, ne bwe baaliziddwaayo baalizzeemu okukola e kya bagaanibwa, era bo baliba balimba (mu byonna bye baliba boogera)

    [29] Era bagamba nti tewali bulamu bulala, okugyako buno bwe tuwangala obw'okunsi, era tetugenda kuzuukizibwa

    [30] Waalisaanye olabe, e mbeera gye balibeeramu nga bayimiriziddwa mu maaso ga Mukama omulabirizi waabwe, n’abagamba nti kino kye mulaba si mazima, bagenda kugamba nti bwe gutyo bwe guli ayi Mukama omulabirizi waffe naagamba nti: kale nno mukombe ku bukaawu bwe bibonerezo olwe'byo bye mwawakanya

    [31] Mazima baafaafaganirwa abo abaalimbisa okusisinkana Katonda, okutuusiza ddala olunaku lwe nkomerero lwe lulibatuukako e kibwatukira, ne bagamba nti nga tulabye olw'ebyo bye twayonoona mu nsi, olwo nno nga beetisse e bibi bya bwe ku migongo gyabwe abange bibi ddala bye bakola

    [32] Obulamu bwe nsi tebuli okugyako muzannyo na kusanyuka, naye mazima ddala e nyumba e yenkomerero y'esinga obulungi eri abo abatya Katonda, abaffe temutegeera

    [33] Mazima tumanyi nti ddala bye boogera bikunyiiza, mazima ddala bo tebakulimbisa naye mazima ddala abeeyisa obubi e bigambo bya Katonda bye bawakanya

    [34] Mazima ababaka bangi olubereberye lwo baalimbisibwa ne bagumiikiriza ku e byo byebalimbisibwa, era ne bayisibwa bubi okutuusa okutaasa kwaffe lwe kwabajjira era tewali akyusa bigambo bya Katonda. Mazima ojjiddwa e bimu ku bigambo e bikwata ku babaka

    [35] E ky'okukwawukanako bwe kiba nga kikuyitiriddeko, kale nno bwoba nga osobodde okufuna omukwesese mu ttaka oba amadaala agakutwala waggulu obeere ng’obaleetera e kya magero kyonna (kola e kyo, naye nga tekirina makulu kubanga) singa Katonda yayagala yaali bagattidde ku bulungamu, kale (Nabbi Muhammad) tobeeranga mu batategeera

    [36] Abo abawulira okuwulira okutuufu, mazima bajja kwanukula okukoowoola (kwo), sso abafu Katonda agenda kubazuukiza era gyali gye balizzibwa

    [37] (Abagatta Katonda e bintu e birala) bagamba nti singa assiddwaako e kya magero kyonna okuva e wa Mukama omulabirizi we, bagambe nti mazima Katonda asobola okussa e kyamagero kyonna ,naye abasinga obungi tebamanyi

    [38] Tewali kintu kyonna kitambula ku nsi nga kiramu ka kibe kinyonyi e kibuuka n'ebiwawaatiro bya kyo okugyako bulijjo bikolera mu bibinja nga mmwe, tewali kintu kyonna kye twaleka okugyako nga twakiwandiika mu Lauhul Mahfuudhu (Eggwandisizo lya Katonda) oluvanyuma eri Mukama omulabirizi wa bwe gye bagenda okunganyizibwa

    [39] Abo bonna abaalimbisa e bigambo byaffe ba kiggala ba kasiru bali mu bizikiza. Omuntu Katonda gwaba ayagadde abule amubuza, ate gwaba ayagadde okulungamya amusobozesa okulungama eri e kkubo e ggolokofu

    [40] Bagambe ggwe (Nabbi Muhammad) nti mulaba mutya singa biba bibajjidde e bibonerezo bya Katonda oba olunaku lwe nkomerero nga lwe lubajjidde, (mu mbeera eyo muyinza) okulaajanira atali Katonda omu bwe muba nga mwogera mazima

    [41] E kituufu kiri nti mulaajanira Katonda wa mmwe e yabakola yekka, n'abaggyirawo e kyo kye mumumulaajanidde bwaba nga ayagadde nemwerabira n'okwerabira e byo bye mubadde mumugattako

    [42] Mazima twatuma ababaka eri e bibinja bya bantu oluberyeberyelwo, netubagezesa n'ebizibu by'obwavu n’obubenje balyoke beetowaze (basinze Katonda omu)

    [43] Kale nno singa e bizibu bwe byabajjira beetoowaliza (Katonda, kyandibayambye) naye e myoyo gyabwe gyeyongera kuwaganyala. Sitane naabawundira e byo bye baali bakola

    [44] Kavuna baaleka e byo bye bajjukizibwa na byo, netubaggulirawo e miryango gya buli kintu mu byenfuna, okutuusiza ddala lwe baayitiriza okweyagalira mu e byo bye twabawa, netubabonereza mbagirawo nebatuuka n’okuba nti tebalina kantu konna

    [45] Katonda yabazikiriza okutuusiza ddala ku asembayo mwabo abeeyisa obubi, bulijjo okutenderezebwa kwonna kwa Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna

    [46] Bagambe ggwe (Nabbi Muhammad) mulaba mutya singa Katonda abafuula ba kiggala era ba muzibe, naateeka ne nvumbo ku mitima gya mmwe, katonda ani atali Katonda omu ayinza okubibaddiza, laba e ngeri gye tunnyonnyolamu obubonero (bwange) ate bo ne babuvaako

    [47] Gamba, mmwe mulaba nti singa e bibonerezo bya Katonda bibatuukako e kibwatukira, oba ne bijja nga mutegedde, waliwo abayinza okubonerezebwa abalala okugyako abo abeeyisa obubi

    [48] Bulijjo tetutuma babaka okugyako nga basanyusa abakozi b’obulungi era nga bwe batiisa abakozi b’ebibi, oyo yenna akkiriza n’akola e mirimu e mirungi abo tebalina kutya, era tebagenda kunakuwala

    [49] Ate abo abalimbisa e bigambo byaffe, e bibonerezo bigenda kubatuukako ol'webyo bye baakola

    [50] Gamba ggwe (Nabbi Muhammad nti) si bagamba nti nze nnina amawanika ga Katonda, wadde okubagamba nti manyi e byekusifu, nga bwe siyinza kubagamba nti mazima nze ndi Malayika, tewali kyengoberera okugyako obubaka obutumwa gyendi. Gamba nti muzibe nooyo alaba benkana, abaffe temufumiitiriza

    [51] Tiisa nayo (Kur’ani) abo abatya okuzuukizibwa ne bazzibwa eri Mukama omulabirizi waabwe, nga oggyeko yye, tebalina wa mukwano ffa nfe wadde omuwolereza. Olwo nno balyoke babeere mu batya Katonda

    [52] Togobanga abo abasinza Mukama omulabirizi waabwe e nkya ne ggulo nga bakikola ku lulwe, e bibavunaanibwa tewali na kimu kikubanjibwa,nga naawe e bikuvunaanibwa tewali kye babanjibwa, olyoke obagobaganye, ekijja okukuteeka mu beeyisa obubi

    [53] Mu ngeri yeemu abantu twabagezesa nga tukozesa bannaabwe (abamu netubafuula abagagga abalala baavu, abamu) nebatuuka okugamba nti abo mu ffe fenna Katonda beyasalawo okugonnomolako e kyengera (e kyobukkiriza), (naye okutuuka okwogera e kyo tebamanyi nti) bulijjo Katonda amanyi nnyo e bikwata ku baddu abeebaza

    [54] Bwebajja gyoli abo abakkiriza e bigambo bya ffe, gamba nti emirembe gibeere ku mmwe, Mukama omulabirizi wa mmwe yeekakasaako okusaasira, nekiba nti oyo yenna mu mmwe akola ekibi mu butamanya oluvanyuma lwakyo ne yeenenya, era n’akola e mirimu e mirungi, mazima bulijjo Katonda musonyiyi musaasizi

    [55] Bwe tutyo bwe tunnyonnyola e bigambo byaffe kisobozese e kkubo lya boonoonyi okweyoleka

    [56] Gamba (Ggwe Muhammad) mazima nze naganibwa okusinza e byo bye musaba nemuleka Katonda omu, gamba nti sijja kugoberera kwagala kwa mmwe, anti bwenakikola njakuba mbuze, era sijja kubeera mu balungamu

    [57] Gamba nti mazima nze ndi ku mazima agava ewa Mukama omulabirizi wange, naye nga mmwe mugalimbisa, kye mwagala kijje amangu (e kyebibonerezo) tekiri mu mikono gyange, okusalawo tekuli wantu wonna okugyako wa Katonda, byonna byayogera mazima, era bulijjo yaasinga abalamuzi bonna

    [58] Singa nze nnina kye mwagala kijje mangu (kyandizze) e nsonga wakati wange nammwe neggwa, era bulijjo Katonda amanyi nnyo abeeyisa obubi

    [59] Era yye y'alina e bisumuluzo bye by’ekusifu tewali abimanyi okugyako yye, era amanyi e biri ku lukalu ne mu nyanja, era tewali kikoola kigwa okugyako nga akimanya, era tewali mpeke eri mu bizikiza bye ttaka wadde e kibisi oba e kikalu kyonna okugyako nga kiwandiike mu kitabo e kitottola buli kintu

    [60] Era yye yooyo abeebasa e kiro (nemuba nga abafudde) era amanyi bye mwakoze e misana, ate oluvanyuma abazza e ngulu nga bukedde (ne kifanana nga abazuukizza okuva mu kufa,) ekyo kisobozese buli kitonde okumalayo ebbanga eryakigererwa. Oluvanyuma gyali yeeri obuddo bwa mmwe, olwo nno abategeeza byonna bye mwakolanga

    [61] Era yye yaalina obuyinza obwenkomeredde ku baddube, era abassaako (ba Malayika) abakuumi, okutuusa omu ku mmwe bwaba atuuse okufa, ababaka baffe bamuggyamu obulamu, era bulijjo tebasubwa

    [62] Oluvanyuma ne bazzibwa ewa Katonda Mukama waabwe owanamaddala, mukimanye nti obuyinza bwonna bubwe, era nga bulijjo mwangu mu kubala okusinga ababazi bonna

    [63] Gamba ani ayinza okubataasa ku nzikiza yo'lukalu n’enizikiza y'enyanja, nemuba nga mumusaba olw'okulaga obugonvu mu lwatu ne mu kyama nemutuuka n'okugamba nti singa (gwetusaba) atuwonya obuzibu buno tujja kubeerera ddala mu beebaza

    [64] (Tebayinza kumufuna n’olwekyo) gamba nti Katonda yajja okubibawonya, na mu buli kizibu kyonna. E kyo bwe kiggwa ate nemugatta ku Katonda e bintu e birala

    [65] Gamba nti yye (Katonda) yaasobola okubasindikira e kibonerezo kyonna, nga kiva wa ggulu ne wansi w'ebigere bya mmwe, n’abafuula e bibinja e byenjawulo n’akombesa abamu mu mmwe ku bukaawu bwa bannaabwe. Weetegereze engeri gyetunnyonnyolamu e bigambo balyoke babe nga bategeera

    [66] (Kur’ani) abantu bo bagirimbisa, ate nga ddala yo mazima meereere, bagambe nti n’olwekyo si nze mbasalirawo

    [67] Buli kintu kibaako e kkomo, (nakino) bwe kirituuka mugenda kumanyira ddala

    [68] Era bwolabanga abo abakinaggukira mu bigambo byaffe, baviire, okutuusa lwe banaayingira mu mboozi e ndala, singa Sitane akwerabiza (n'obeerawo) wonna wojjukirira togenda mu maaso ng’otuula n’abantu abeeyisa obubi

    [69] Era abo abatya Katonda tebavunaanyizibwa ku kintu kyonna kikwata ku bantu abo, (wabula omulimu gwabwe) kubuulirira oba olyawo balyoke batye Katonda

    [70] Vva kwabo abaafuula e ddiini yaabwe e kintu e kyomuzannyo era e kyekinyumu, obulamu bw'ensi ne bubagayaaza, naye buulirira nga okozesa Kur’ani omwoyo guleme kuzikirizibwa olw'ebyo bye yakola, tegulina nga oggyeko Katonda, w’amukwano wadde omuwolereza, nebweguliwaayo e nnunuzi e faanana etya, tegenda kukkirizibwa kuva gyeguli, abo beebo abaazikirizibwa olw'ebyo bye baakola, baliweebwa e byokunywa e by’olweje, era balissibwako e bibonerezo e biruma ennyo olw’ebyo bye baawakanyanga

    [71] Gamba nti, tuleke Katonda tusinze e byo e bitatugasa! era e bitayinza kukutusaako kabi! tutambuzibwe e kyenyumanyuma oluvanyuma lwa Katonda okutulungamya! tufaanane nga oyo Sitane gwezibuza mu nsi, n’asoberwa naaba mu masangazira so nga alina mikwano gye abamuyita okujja eri obulungamu, (nga bagamba nti) jangu eno (ekyo bwekiba nga tekisobola kwemalirira) gamba nti mazima okulungamya kwa Katonda, bwe bulungamu bwokka, era twalagirwa okwewa ewa Mukama omulabirizi w’ebitonde

    [72] (Era twalagirwa nti) muyimirizeewo e sswala era mutye Katonda era yye yooyo, gyali gyemulikunganyizibwa

    [73] Era yye yooyo, eyakola e ggulu omusanvu n'ensi nga byebyo bye nnyini, era obufuzi buliba bubwe olunaku e ngombe lwelifuyibwa, omumanyi w’ebyekusifu n'ebirabikako, era yye ye mugoba nsonga, omumanyi ennyo

    [74] Era jjukira Ibrahim bweyagamba kitaawe Azara nti: amasanamu gofuula Katonda! mazima nze nkulaba n’abantubo nga muli mu bubuze obweyolefu

    [75] Mu ngeri y’emu twalaga Ibrahim ebiri mu bwengula ne nsi (nengeri namateeka kwebitambulira) alyoke abeere mu baddu abannyikivu mu bukkiriza

    [76] Ekiro bwe kyamubikka, yalaba e munyenye naagamba nti oyo ye Mukama omulabirizi wange, e munyenye bweyabula (Ibrahim) naagamba nti nze saagala ba katonda babulawo

    [77] Bweyalaba omwezi nga gwetadde naagamba nti oyo ye Mukama omulabirizi wange, omwezi bwe gwabula (Ibrahim) naagamba nti Mukama omulabirizi wange bwatannungamye nja kubeerera ddala mu bantu ababuze

    [78] Ate nno bweyalaba nga e njuba evuddeyo naagamba nti: ono ye Mukama omulabirizi wange, ono ye munene ddala, (Enjuba) bweyagwa naagamba nti abange abantu bange nze e byokugatta ku Katonda e bintu e birala si biriimu

    [79] Mazima nze njolekezza e kyenyi kyange eri oyo eyatonda e ggulu omusanvu ne nsi, nga njawukanira ddala ku nsinza zonna. Siri wa mu bagatta Katonda na bintu birala

    [80] Abantube ne bamuwakanya naagamba nti mumpakanya ku Katonda nga ate mazima yannungamya, era nga sitya e byo bye mumugattako (okuba nga bintusaako akabi), be ppo nga Mukama omulabirizi wange alina kyakkirizza, Mukama omulabirizi wange yeetooloola buli kintu mu kumanya, abaffe temwebuulirira

    [81] Nyinza ntya okutya e byo bye mugatta ku Katonda, nga ate mmwe temutya kugatta ku Katonda bintu birala bya tabassizangako bujulizi. ku bibinja byombi (ffe nammwe) kiriwa e kisaanidde okulowooza nti kiri mirembe bwe muba nga mumanyi

    [82] (E kituufu kiri nti) abo abakkiriza ne batatabula kweyisa bubi (Shirik), mu bukkiriza bwabwe, abo nno be balina e mirembe era abo be baalungamizibwa

    [83] Obwo bwe bujulizi bwaffe bwe twawa Ibrahim akozese ku bantube (e kyamussa mu kifo e kyenjawulo), bulijjo tusitula amadaala gw’oyo gwetuba twagadde, anti mazima ddala Mukama omulabiriziwo agoba nsonga mumanyi nnyo

    [84] Era twamugabira (Ibrahim) Ishak ne Yakub, bombi twabalungamya nga n’okusooka twalungamya Nuhu, ne mu zadderye twalungamya Dauda ne Sulaiman ne Ayub ne Yusuf ne Musa ne Haruna, na bwekityo nno bwe tusasula abalongoofu

    [85] Ne Zakariya ne Yahya ne Isa ne Eliasi, buli omu kwabo wa mu bakozi b’emirimu e mirungi

    [86] Ne Ismail ne Iriyasa-a ne Yunus ne Luutu, buli omu ku bo twamusukkulumya ku bantu abalala

    [87] Era (twalungamya abantu abalala) nga bava mu bakadde baabo ne bazzukulu baabwe ne baganda baabwe, era netubafuula ab'enjawulo, era netubalungamya ku kubo e ggolokofu

    [88] Okwo kwe kulungamya kwa Katonda, alungamya na kwo oyo gwaba ayagadde mu baddube, naye singa baagatta e kintu e kirala kyonna ku Katonda, bandiyonoonekeddwa e byo bye baali bakola

    [89] Abo beebo be twawa e kitabo n’obufuzi n’obwa Nabbi, kati bano bwe baba nga bawakanya e bintu e byo, mazima twabikwasa abantu abatagenda kubiwakanya

    [90] Abo beebo Katonda be yalungamya, obulungamu bwabwe bwoteekwa okugoberera, ogambe nti, (kyenkola) si kibasabirako mpeera kyenkola, tekiri kyo (kintu kirala kyonna) okugyako okuba nti kujjukiza eri abantu bonna

    [91] (Wabula Abayudaaya) tebaawa Katonda kitiibwa kimusaanira, bwe baagamba nti Katonda tassanga ku muntu yenna kintu kyonna.Gamba (gwe Nnabbi Muhammad) nti ani yassa e kitabo e kyo Musa kye yajja nakyo nga kitangaala era e kyokulungama eri abantu, (mmwe) kye mwafuula e mpapula zemulaga abantu, ate ne mukweka bingi so nga ate mwamanyisibwa bye mwali temumanyi, mmwe ne bakadde ba mmwe, bagambe nti Katonda ye yassa e kitabo e kyo, olwo nno obaleke mu bubuze bwabwe nga bazannya

    [92] Kura’ni eno kitabo twakissa nga kya mukisa, nga kikakasa e byo e byakulembera, era okikozese nga otiisa abantu b’omu (Makkah), maama w'ebibuga, n'abantu bo'mu bitundu e bikyetoolodde. Bo abo abakkiriza olunaku lw’enkomerero bakkiriza e kitabo kino, era bulijjo e sswala zaabwe bazikuuma butiribiri

    [93] Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo ayogera ku Katonda e bigambo e byo bulimba, oba naagamba nti nnaweebwa obubaka so nga taweebwanga bubaka bwonna, era ani mubi okusinga oyo agamba nti njakuleeta e bigambo e bifaanana n'ebyo Katonda bye yassa! naye n’omala olaba e kiseera abeeyisa obubi bwe babeera mu bulumi bw'okufa nga ba Malayika bagolodde e mikono gyabwe (nga bwebagamba nti,) muggyemu e myoyo gyammwe, olwaleero luno mugenda kusasulwa e bibonerezo e binyoomesa olw'ebyo bye mwayogeranga ku Katonda e byobutaliimu, e kyabatuusa okwekuza nemuva ku bigambo bye

    [94] Mutujjidde omu omu, nga bwe twabatonda mu kusooka, byonna bye twabawa mubirese mabega wa mmwe, era tulaba bwe muzze temuleese bawolereza ba mmwe, abo be mwawozanga, nti mazima bo ne Katonda bakolera wamu ku mmwe, e nkolagana ekutuseewo wakati wa mmwe nebababulako abo be mwali mulowooza nti b’akubawolereza

    [95] Mazima Katonda y’ayasa e mpeke n’omuwula (ameza e bimera) aggya e kiramu mu kifu era yagya e kifu mu kiramu oyo nno ye Katonda wa mmwe. Ate muwugulwa mutya

    [96] (Era ye yooyo) ayasa n’ayawula obudde ne bufuuka e misana, e kiro naakifuula e kiwummulo e njuba n’omwezi nga byombi bitambula nga bigoberera e nkola gye yabiteerawo, okwo kwekusalawo kwa nantakubwa ku mukono omumanyi ennyo

    [97] Era yye yooyo e yabateerawo e munyeenye mube nga mulungama nazo nga muli mu bizikiza, by’olukalu n'ebizikiza by’enyanja mazima tunnyonnyodde e bigambo olunnyonnyola olumala eri abantu abamanyi

    [98] Era ye yooyo eyabakola nga abaggya mu muntu omu, nga musinziira mu nnabaana wa ba maama ba mmwe, era nga musinziira mu migongo gya bataata, tunnyonnyodde e bigambo (olunnyonnyola olumala) eri abantu abategeera

    [99] Era yye yooyo atonnyesa amazzi (e nkuba) okuva waggulu, netumeza nago e bimera bya buli kintu, ne tuggya mu byo e bya kiragala, nga tuggya mu byo e mpeke ezeeweese ku zinnaazo, ne mu mitende ne mubaamu egirina e birimba e bireebeeta, n’ennimiro ez’emizabibu n’e za zaitun ne nkomamawanga, e bifaanagana n'ebitafaanagana, tunuulira e bibala bya byo bwebiba bissizza n'okwengera kwabyo mazima ddala mu ebyo mulimu obubonero eri abantu abakkiriza

    [100] Bateeka ku Katonda ababeezi abava mu Majinni so nga ye yabatonda, wabula ate nebamupaatiikako abaana ab’obulenzi n’abobuwala ekitalina wekiva, Katonda asukkulumye era yeesambye ku ebyo bye bamutemerera

    [101] (Yye Katonda) ye w’eggulu n’ensi nga tewali kyarabirako, ayinza atya okubeera n’omwana ate nga talina mukyala! era nga ye yatonda buli kintu era nga yye (Katonda) ku buli kintu mumanyi

    [102] Oyo nno ye Mukama omulabirizi wa mmwe, tewali kintu kyonna kisinzibwa mu butuufu okugyako yye yekka, omutonzi wa buli kintu, kale nno ggwe mubamusinza, era bulijjo y’alina obuyinza ku buli kintu

    [103] Amaaso tegasobola kumulaba, so nga ate ye agalaba n’amalayo e bintu byonna, anti ye Katonda alina obusobozi bw’okumanya buli kintu atalina kiyinza kumwekweka

    [104] Mazima obujulizi bubajjidde nga buva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe, omuntu anaalaba anaaba ye yambye yekka, ate oyo anaaziba amaaso akabi k’ekyo kadda ku ye. Nze siri wa kuddaawo kubalunda

    [105] Bwetutyo nno bwe tunnyonnyola e bigambo, batuuke n’okugamba nti (Muhammad) wasoma (ku ba Yudaaya okutuuka okumanya bino byonna) era tube nga tubinnyonnyola eri abantu abamanyi

    [106] (Ggwe Muhammad ky’oba okola) goberera e byo e bissibwa gyoli nga biva ewa Mukama omulabirizi wo, tewali kintu kyonna kirina kusinzibwa okugyako ye, era weesambe abagatta e bintu e birala ku Katonda

    [107] Singa Katonda yayagala tebandimugasseeko bintu birala, era tetukussangawo obe kalondoozi ku bo, era ggwe toyinza kuba avunaanyizibwa ku nsonga zaabwe

    [108] Temuvumanga ebyo bye basaba ne balekawo Katonda, mu kwesasuza olw'obutamanya bwabwe bajja kuvuma Katonda, bwetutyo nno buli bantu twabawa okulaba e byabwe nga bye bisinga obulungi, oluvanyuma ewa Mukama omulabirizi waabwe yeeri obuddo bwa bwe, olwo nno n’abategeeza byonna bye baakolanga

    [109] Era balayira Katonda ne bakkaatiriza e birayiro bya bwe, ne bagamba nti singa bajjirwa e kyamagero kyonna baalikikkirizza, bagambe: e byamagero byonna bya Katonda, naye mumanyira ku ki nti mazima singa e ky’amagero kijja tebajja kukkiriza

    [110] Tugenda kukyusa e mitima gyabwe n'okulaba kwabwe nga nabo bwe batakkiriza (Kur’ani) mu kusooka era tubaleke mu bubuze bwa bwe nga babulubuuta

    [111] Singa twabassiza ba Malayika , era abafu ne boogeranabo, ne tubakunganyiza buli kintu ne kibaawo, tebandikkirizza okugyako Katonda nga ayagadde wabula mazima ddala abasinga obungi mu bo tebategeera

    [112] (Nga bwetukugezesa ggwe Nabbi Muhammad n’oba n’abalabe mu bakaafiiri) ,bwe kityo buli Nabbi twamuteekako omulabe nga ali mu bantu ne mu majinni, abamu batumira bannaabwe e bigambo e biwoomu, naye nga bibi olwe kigendererwa kyo kugayaaza, naye singa Mukama omulabiriziwo aba ayagadde tebandikikoze kale nno baleke n'ebyo bye bagunjawo

    [113] Era e mitima gy'abo abatakkiriza lunaku lw'enkomerero gibe nga gibiwuliriza, era babisiime era bagende mu maaso n’okukola e byo bye bakola

    [114] Nyinza okuleka Katonda nenfuna omulala ansalirawo! nga ate yye Katonda y'oyo eyassa gye muli e kitabo( kuran) nga kinnyonnyola buli kimu, abo nno betwawa e kitabo( Tawraat n'enjili) bamanyi mazima ddala kyassibwa nga kiva ewa Mukama omulabiriziwo, nga kyonna mazima meereere, kale nno tobeer mu babuusabuusa

    [115] E kigambo kya Mukama omulabirizi wo kituukiridde nga kyonna mazima na bwenkanya, tewali asobola kukyusa bigambo bye era bulijjo yye awulira era amanyi nnyo

    [116] Singa on'ogondera abantu abasinga obungi mu nsi bajja kukubuza bakujje ku kkubo lya Katonda (byonna bye bakola temuli) okugyako okuba nti bateebereza, kye bakola tekiri okugyako kuteeba buteebi

    [117] Mazima Mukama omulabirizi wo y'asinga okutegeera oyo eyabula ne ava ku kkubo lye, era nga bwali nti yaasinga okutegeera ebikwata ku balungama

    [118] Kale nno mulye e byo e biba byogereddwa ku byo e rinnya lya Katonda, bwe muba nga mukkiriza e bigambo bye

    [119] Ate muyinza mutya obutalya e byo e byogereddwako e rinnya lya Katonda nga mazima yabannyonnyola e byo bye yaziyiza ku mmwe, mpozzi e kyo kye muba mukoze olwo buwaze, naye ate mazima ddala abantu bangi babuza (abalala) nga bagoberera okwagala kwa bwe okutaliimu kwesigama ku kumanya, mazima bulijjo Mukama omulabiriziwo amanyi nnyo e bikwata ku basukka e nsaloze

    [120] Muve ku bibi e byomulwatu ne byo'mukyama, mazima ddala abo abakola e bibi bajja kusasulwa ku lwebyo bye baakolanga

    [121] Temulyanga e byo e bitayogereddwaako linnya lya Katonda mazima ddala okukola e kyo bwonoonyi bwennyini, era ddala Sitane ziwa mikwano gyaazo e bigambo babawakanye nabyo, singa mubagondera, nammwe olwo muba mu bagatta ku Katonda e bintu e birala

    [122] Omuntu eyali omufu netumuwa obulamu, netumuwa e kitangaala kyakozesa nga atambula mu bantu, ayinza okufaanana ng’oyo ali mu bizikiza byatasobola kufulumamu. Na bwekityo abakaafiiri balaba nga bye bakola nga bye bisinga obulungi

    [123] Na bwekityo twassa mu buli kitundu abakulira abagyemu baamu, babe nga bakolerera okusaasaanya obukyamu mu kyo, bye bakola tebituusa kabi okugyako ku bo bennyini naye tebamanyi

    [124] Obujulizi obwe nkukunala bwe bubaggyira bagamba nti tetujja kukkiriza okutuusa nga tuweereddwa nga e byaweebwa ababaka ba Katonda, (e kituufu kiri nti) Katonda amanyidde ddala wassa obubaka bwe, abo abayonoona bajja kutuukwako okunyomebwa mu maaso ga Katonda n’ebibonerezo e bikakali, ku lwo kusaasanya kwabwe e bikyamu

    [125] So nno omuntu Katonda gwaba ayagadde okulungamya ayanjuluza e kifuba kye eri obusiramu, n'oyo gwaba ayagadde okubuza afunza e kifuba kye n'atuuka okuba nga tawulira bulungi n’aba nga oyo agenda wa ggulu (space) bwatyo Katonda bwassa e kibonerezo kwabo abatakkiriza

    [126] Lino lye kkubo lya Mukama omulabirizi wo e ggolokofu, mazima e bigambo tubinnyonnyodde eri abo abasobola okwebuulirira

    [127] Olw'ebyo bye baali bakola ku nsi bagenda kufuna e nyumba ey'emirembe ewa Mukama omulabirizi waabwe, era yye ye mutaasa waabwe

    [128] (Ggwe Nabbi Muhammad) lowooza olunaku Katonda lwalikungwanya (abakaafiiri) bonna, (abagambe nti) abange mmwe amajinni mwabuza abantu bangi nnyo, mikwano gya majinni mu bantu ne bagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe fenna twesanyusizanga wamu netutuuka ku kiseera kyaffe kye watugerera okuba ku nsi, Katonda n'abagamba nti omuliro bwe buddo bwa mmwe, muli baakugubeeramu bugenderevu okugyako oyo Katonda gwaliba yagadde, anti mazima Mukama omulabiriziwo mugoba nsonga muyitirivu wa kumanya

    [129] Bwe tutyo bulijjo abeeyisa obubi tubafuula mikwano gy’a ba nnaabwe bwe bafaanana olw'ebyo bye bakola

    [130] Abange mmwe amajinni n'abantu ababaka tebaabajjira nga bava mu mmwe nga babategeeza e bigambo byange era ne babatiisa, okutuuka ku lunaku lwa mmwe luno, baligamba nti twewaako obujulizi (nti byonna baabitugamba, naye e kyabaleetera okubula) obulamu bwe nsi bwabagayaaza, olwo nno nebaba nga beekakasizzaako ddala nti baali bakaafiiri

    [131] Ekyo nno (e kyokutuma ababaka) kyaliwo lwakuba nti Mukama omulabiriziwo yali tayinza kuzirikiza bantu ba kitundu kyonna olw'okweyisa obubi nga abantu b'omukitundu e kyo tebamaze kumanyisibwa (mateekage)

    [132] Buli omu ku bo alina amadaala okusinziira ku bye yakola Mukama Katonda omulabiriziwo tayinza kumala galeka e byo bye bakola

    [133] Mukama omulabiriziwo y’atalina kye yeetaaga, ye nannyini kusaasira, bwaba ayagadde asobola okubajjawo oluvanyuma lwa mmwe naaleeta abo baaba ayagadde, nga nammwe bwe yabassaawo nga abajja mu zzadde ly’abantu abalala

    [134] Mazima e byo bye mulagaanyisibwa bya kutuukirira ate mmwe temugenda kusobola kubiremesa

    [135] Gamba (Ggwe Nabbi Muhammad) abange abantu bange mubeere ku nkola ya mmwe nange, nkole e byange, kyaddaaki mujja kumanya obuddo obw'enkomerero e nnungi bwani, mazima ddala bulijjo abeeyisa obubi tebagenda kutuuka ku buwanguzi

    [136] (Mu bibi abantu abatagenda kutuuka ku buwanguzi bye bakola kwe kuba nti) bateerawo Katonda omugabo mu birime ne mu bisolo, mu kujweteka kwabwe ne bagamba nti, guno omugabo gw’a Katonda, naguno gwa ba katonda baffe abalala, oguba ogwa ba katonda baabwe tegutuuka w’a Katonda, ate oguba ogwa Katonda, gwo gutuuka ku ba katonda baabwe abalala, e nnamula yaabwe mbi

    [137] Mu ngeri yeemu, abagatta ku Katonda e bintu e birala, ba katonda baabwe baabalaga nti kirungi okutta abaana baabwe, nebabatuusa okukola ekivve (eky'okutta omuntu ) nga bababuza, era babe nga babuzaabuza e ddiini yaabwe, singa Katonda yayagala tebandikikoze kale baleke n'ebyo bye bagunja

    [138] Era abagatta ku Katonda ebintu e birala mu ndaba yaabwe bagamba nti, bino e bisolo n’ebirime tebikkirizibwa kuriibwa okugyako oyo gwetuba twagadde, ate nebaba n’ebisolo bye baziza okwebagala, ate nebaba n’ebisolo e birala bye batayogererako linnya lya Katonda ( nga bagenda okubisala) byonna nga bigambo bigunje ku Katonda, Katonda ajja kubasasula olw'ebyo bye baali bagunja

    [139] Era (abagatta ku Katonda e bintu e birala) baagamba nti amawako g’ebisolo gakkirizibwa kuliibwa basajja bokka mu ffe, era tegakkirizibwa bakyala baffe, naye (amawako ago) bwegavaamu nga gafudde olwo bonna bakkiziribwa okubirya, Katonda ajja kubasasula olw'okutetenkanya kwabwe okwo, anti mazima Katonda mugoba nsonga, muyitirizu wa kumanya

    [140] Mazima bafaafaaganirwa abo abatta abaana baabwe mu busiru olw'obutamanya, era mu ngeri y'okutemerera Katonda ne baziza e byo Katonda bye yabagabira, mazima baabula era tebaali balungamu

    [141] Era yye (Katonda) yooyo eyateekawo amalimiro agabalira ku ttaka naago agatabalira ku ttaka, n’emitende n'ebimera ( ebirala) nga okuwooma kwabyo kwawukamu, n'e mizayituuni n’enkoma mawanga ebifaanagana mundabika yaabyo ate nga obuwoomu bwabyo bwawukamu, mulye e bibala byabyo bwe biba nga bibaze ate mujjemu n'omugabo gwabyo (gwa Zakka) olunaku lwemuba lwe mubikungula, wabula temusukkanga e kigero kyabyo ( mu nkozesa ne mu kutoola zzaka), anti Katonda tayagala basukka kigero

    [142] Era Katonda yateekawo e bisolo e byetikka n’ebirala nga biggyibwako eby'okwaliira, mulye mu ebyo Katonda bye yabagabira temugobereranga obuwufu bwa Sitane, anti mazima yye gye muli mulabe wa lulango

    [143] E bisolo e birundibwa (Katonda bye yatukkiriza okulya) e mitindo gyabyo giri munaana, e biri mu ndiga, n’ebiri mu mbuzi, bagambe (ggwe Nabbi Muhammad) nti e nsajja z’ombiriri Katonda ze yaziza ku mmwe, oba e nkazi, oba amawako g’azombiriri, mumbulire nga musinziira ku kumanya bwe muba nga bye mwogera bya mazima

    [144] Ne mu ngamiya e mitindo e biri, ne mu nte e mitindo e biri, bagambe (ggwe Nabbi Muhammad) e nsajja z’ombiriri zeyaziza oba e nkazi, oba amawako g’a zombiriri, abaffe mwaliwo nga Katonda akibalagira! olwo ani eyeeyisa obubi okusinga oyo agunja ku Katonda obulimba, atuuke okubuza abantu awatali kumanya, bulijjo Katonda talungamya bantu beeyisa bubi

    [145] Gamba ggwe (Nabbi Muhammad) nti: mu bubaka obwampebwa temuli kiri Haramu kwoyo aba ayagadde okukirya, be ppo nga ebadde nnyamanfu oba omusaayi ogwa kafekye, oba e nnyama ye mbizzi, mazima e kikolwa e ky’okulya e bintu e byo kivve, oba (mu biri haram) y'ensolo esalibwa mu bugyemu nga eyogereddwaako e rinnya eritali lya Katonda. Wabula omuntu aba alemereddwa nga takikola lwa jjoogo wadde okumenya amateeka ga Katonda, mazima Mukama omulabiriziwo musonyiyi era musaasizi

    [146] Era twaziza ku bayudaaya buli kisolo ekirina e njala, ate nga ente n'embuzi, twaziza ku bo amasavu gaazo okugyako ag'oku mugongo oba e byenda oba agali mu nnyama e y'okuggumba ekyo twababonereza nakyo lwabubuze bwabwe, mazima ffe buli lwe twogera kiba kyekyo

    [147] Bwebakulimbisa gamba nti Mukama omulabirizi wa mmwe okusaasira kwe kugazi, kyokka ate e bibonerezo bye tebiyinza kuwonebwa bantu boonoonyi

    [148] Abo abagatta ebintu e birala ku Katonda bajja kugamba nti singa Katonda yayagala ffe ne bakadde baffe tetwandigasse kintu kirala ku Katonda, era tewali kintu kye twandifudde Haramu, bwe batyo n'abaakulembera bwe baalimbisa okutuusa lwe baakomba ku bukaawu bwe bibonerezo byaffe, gamba nti abaffe (mwogera e byo) nga mulina kye musinziirako! kale mu kitulage, tewali kye mugoberera okugyako okufumiitiriza era kye mukola si kirala okugyako okuteebereza

    [149] Gamba (Ggwe Muhammad) obujulizi obumatiza bwa Katonda. Kale nno singa yayagala mwenna yaalibalungamizza

    [150] Gamba (Ggwe Muhammad) muleete abajulizi ba mmwe abo abajulira nti mazima Katonda yaziyiza e kintu gundi, bwe bajulira ne bakikakasa gwe toba nabo, era togoberera n'omulundi n'ogumu okwagala kw'abo abalimbisa e bigambo byaffe, n'abo abatakkiriza lunaku lwa nkomerero, era nga bo bagatta e bintu e birala ku Katonda

    [151] Gamba nti mujje mbasomere e byo Katonda bye yafuula haramu ku mmwe, temugattanga e kintu kyonna ku Katonda, abazadde ababiri bateekeddwa okuyisibwa obulungi, temuttanga abaana ba mmwe olw’obwaavu, ffe tugabirira mmwe nabo, era temusembereranga eby'obuwemu eby'olwatu mu byo n’ebyekwese, temuttanga omuntu oyo Katonda gwe yaziza okugyako nga waliwo e nsonga. E byo nno (Katonda) yabibakalaatira kibayambe mube abategeera

    [152] Era temusembereranga e mmaali ya ba mulekwa okugyako mu ngeri esinga okuba e nnungi okutuusa omwana oyo nga akuze mu birowoozo, era mutuukirize e bipimo n'ebigero mu bwesimbu, omuntu tetumulaalikako okugyako e kyo kyasobola, era bwe muba nga mwogera mulage amazima aweebwako obujulizi ne bwaba wa luganda, era mu ngeri e yenjawulo mutuukirize obweyamu bwa mmwe bwe mwawa Katonda. E byo nno Katonda yabibakalaatira kibayambe okujjukira (mwekube mu kifuba)

    [153] Era mazima ddala e kkubo lyange lino ggolokofu kale nno lyemuba mukwata, temugobereranga obukubo obulala ne kibakyusa okuva ku kkubo lye, e byo nno yabibakalaatira mmwe mulyoke mube abamutya

    [154] Era (mukimanye) nti twawa Musa e kitabo nga kujjuuliriza eri oyo akola obulungi era nga kittottola buli kintu, era nga bulungamu na kusaasira, kibasobozese okukkiriza nti bagenda kusisinkana Mukama omulabirizi waabwe

    [155] Na kino e kitabo (Kur’ani) twakissa nga kya mukisa kale nno mukigoberere era mutye Katonda olwo nno musaasirwe

    [156] Muleme kugamba nti bwo obubaka bwa weebwa e bibinja bya mirundi e biri e byatukulembera ate nga twali tetufaayo ku bye basoma

    [157] Oba muleme kugamba nti singa mazima ddala twassibwako e kitabo twandibadde balungamu okusinga bali, mazima obunnyonnyofu okuva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe n'obulungamu n’okusaasira byabajjira, kaakati ani eyeeyisa obubi okusinga oyo alimbisa e bigambo bya Katonda n'abyawukanako, abo abaawukana ku bigambo byaffe tugenda kubasasula nga tubatuusaako e bibonerezo e bikakali olw'okuva kwabwe ku bigambo bya Katonda

    [158] Abaffe balina kye balindirira mpozzi ba malayika okubajjira, oba Mukama omulabirizi wo ajje, oba obumu ku bubonero bwa Mukama omulabiriziwo bujje, (wabula) olunaku, obumu ku bubonero bwa mukama omulabiriziwo lwe burijja, omuntu tagenda kuganyulwa mu kukkiriza kwe kavuna aliba nga mu kusooka teyali mukkiriza oba obukkiriza bwe nga tebwamuyamba kukola burungi gamba (ggwe Muhammad) nti mulindirire mazima naffe tulindiridde

    [159] Mazima ddala abo abatemaatema mu ddiini yaabwe, nebafuuka biwayi tolina kakaatwe nabo ku kintu kyonna, mazima e nsonga zaabwe ziri wa Katonda (yaagenda okubalamula), olwo nno alyoke abategeeze e byo bye baakolanga

    [160] Omuntu alijja nga akoze e kirungi kimu, alifuna e mpeera yaakyo e mirundi kkumi, ate oyo alijja nga akoze e kibi, tagenda kusasulwa okugyako e kyenkana n'ekyo kye yakola, era nga bulijjo, nabo tebagenda kuyisibwa bubi

    [161] Gamba mazima nze Mukama omulabirizi wange yannungamya ku kkubo e ggolokofu, nga ddiini e nnambulukufu, nga ye ddiini ya Ibrahim, eyali omwesimbu munzikiriza, era tabangako wa mubagatta ku Katonda kintu kirala

    [162] Gamba (Ggwe Muhammad) nti mazima okusaala kwange, n’okusaddaaka kwange e bisolo, n’obulamu bwange, n’okufa kwange, byonna biri eri Mukama omulabirizi w’ebitonde

    [163] Tewali kimugattibwako, bwentyo nno bwe nnalagirwa, era nze musaale mu beewaayo ewa Katonda

    [164] Gamba Ggwe (Nabbi Muhammad) abaffe nyinza okuleka Katonda nenfuula e kintu e kirala kyonna okuba nga ye mulabirizi wange, so ng’ate yye ye mulabirizi w’abuli kintu, tewali kibi muntu kyakola okugyako nga kidda gyali, era tewali muntu yeetikka kibi kya mulala. Oluvanyuma eri Mukama omulabirizi wa mmwe yeeri obuddo bwa mmwe

    [165] Era yye yooyo eyabateekawo nga mujja musikira obuvunaanyizibwa ku nsi, era naasitula abamu ku mmwe mu madaala, olwo nno abenga abagezesa mu ebyo bye yabawa, mazima Mukama omulabirizi wo mwangu wa kubonereza, era mazima ddala yye musonyiyi nnyo musaasizi

    Ebifo Ebigulumivu

    Surah 7

    [1] Alif Laam Miim Swad

    [2] Kino kitabo e kyassibwa gyoli, tekisaanye kukuleetera nkeka, batiise nakyo era nga kya kwebuulirira eri abakkiriza

    [3] Mugoberere ebyo ebyassibwa gye muli nga biva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe, temumulekangawo nemugoberera abalala, (ekibi) mujjukira kitono

    [4] E bitundu bimeka bye twazikiriza! E bibonerezo byaffe ne bibatuukako e kiro, nga beebase oba ne bibatuukako e misana nga bawumuddeko

    [5] Ebibonerezo byaffe bwe byabajjira tebaalina kyakwogera okugyako okugamba nti, mazima ddala tubadde tweyisa bubi

    [6] Tugenda kubuuliza ddala abo abaatumirwa era nga bwe tugenda okubuuliza ddala abaatumwa

    [7] Tugenda kubatottolera ddala olw'okumanya (kwaffe), anti tetubulangako (webakolera kintu kyonna)

    [8] Okupima ku lunaku olwo kugenda kubeera kwa bwenkanya. Oyo yenna e birizitowa e bipimwa bye, abo nno be bagenda okubalibwa nti batuuse ku buwanguzi

    [9] Oyo yenna e biriwewuka e bipimwa bye, abo nno beebo abafaafaaganirwa e myooyo gyabwe okusinziira ku ngeri gye beeyisangamu obubi ku bikwata ku bigambo byaffe

    [10] Mazima twabawa obuyinza ku nsi ne tugibateeramu e bibabeezaawo (wabula) musiima kitono

    [11] Era mazima twabatonda mmwe, oluvanyuma twabawa e bifaananyi bya mmwe oluvanyuma ne tugamba ba malayika muvunnamire Adam ne bavunnama okugyako Ibuliisu (Sitane) ataali mu baavunnama

    [12] Katonda naagamba nti: kiki ekikugaanye okuvunnama bwe nkulagidde, (Sitane) naagamba nti nze mulungi okusinga yye, wantonda mu muliro, ate yye n'omutonda mu ttaka

    [13] Katonda naagamba nti gifulume (e jjana), tolina lukusa kuwaganyaliramu, kale fuluma mazima ggwe oli mu bakkakkanyiziddwa

    [14] (Sitane) naagamba nti nindiriza okutuusa ku lunaku lwe balizuukizibwa

    [15] (Katonda), naagamba nti, mazima ggwe okkiriziddwa okubeera mu balindirizibwa

    [16] (Sitane) naagamba nti, nga bwombuzizza nja kubateeganga ku kkubo lyo e ggolokofu

    [17] Olwo nno ndyoke mbalumbire ddala nga mbava mu maaso ne mabega waabwe ne ku ddyo waabwe ne kkono, era togenda kusanga abasinga obungi mu bo nga beebaza

    [18] (Katonda) naagamba nti gifulume ng’ovumirirwa ng’ogobeddwa, oyo yenna alikugoberera mu bo ggwe nabo mwenna ngenda kubajjuza mu muliro

    [19] Era netugamba Adam nti ggwe ne Mukyalawo mubeere mu jjana mwembi mulye wonna wemwagala, naye temusemberera omuti guno ne kibatuusa mwembiriri okubalibwa mu beeyisa obubi

    [20] Sitane naababuzaabuza neeba e nsonga gye yayitamu okubalaga obwereere bwabwe obwo obwali butabamanyisiddwa. (Sitane) naagamba nti Mukama omulabirizi wa mmwe mwembiriri teyabagaana muti guno okugyako lwakuba nti mwembiriri mwandibadde ba Malayika oba mwembiriri okubeera abalamu olubeerera

    [21] (Sitane) naabalayirira nti mazima ddala nze era ku mmwe mwembiriri ndi omu kubawi ba magezi

    [22] Naababuza bombi ng’ayita mu kubakwenyakwenya, bwe baamala okukomba ku buwoomu bw’omuti, obwereere bwabwe bwa beeyoleka, olwo nno ne batandika okunoga nga bwe beebikkako e bikoola byo mu jjana Mukama omulabirizi waabwe naabakoowoola (mu ddoboozi eryomwanguka) nti, ssaabagaana mwembiriri omuti ogwo era mwembiriri nembagamba nti mazima ddala Sitane mulabe ow'olwatu ku mmwe mwembiriri

    [23] Nebagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe tweyisizza bubi, bwonooba totusonyiwe n’otusaasira tujja kubeerera ddala mu bafaafaaganiddwa

    [24] (Katonda) naagamba nti mugende, abamu mu mmwe nga muli balabe ba bannaabwe, mujja kutuulanga ku nsi n'okweyagala okutuusa e kiseera e kigere

    [25] (Katonda) naagamba nti mu yo mwemujja okuwangaaliranga, mu yo mwemulifiira, era nga mu yo mwemugenda okujjibwa (muzuukire)

    [26] Abange mmwe abaana ba Adam mazima twabawae byambalo e bibikka obwereere bwa mmwe, netubawa ne byambalo bye mwewunda nabyo, wabula e kyambalo ky’okutya Katonda kyo kye kisinga obulungi. Bino bye bimu ku bigambo bya Katonda (bya batumira babe nga beebuulirira)

    [27] Abange mmwe abaana ba Adam, Sitane tababuzaabuzanga, nga bweyajja bakadde ba mmwe mu jjana n'aba nga abajjako e byambalo bya bwe olwo nno abenga abalaga nti bali bwereere, anti mazima yye (Sitane) ne banne babalaba mmwe wemutabalabira, anti twafuula zi Sitane okuba mikwano ffa nfe eri abo abatakkiriza

    [28] Bwe baba bakoze e kyobuwemu bagamba nti twasanga bakadde baffe bwe bakola, era nga Katonda ye yakitulagira, gamba ggwe (Nabbi Muhammad) nti mazima Katonda talagira bya buwemu, mutuuka okwogera ku Katonda e byo bye mutamanyi

    [29] Ggwe (Nabbi Muhammad) gamba nti Mukama omulabirizi wange yalagira okukola obwenkanya, era mubeerenga beesimbu mu kusinza mu buli Ibaada, (okusingira ddala) buli lwemugenda mu Mizikiti, era bwe muba nga musaba musabe ye yekka, olwo nno mube nga e ddiini mugikolera ye yekka, anti nga bwe yabatandika (mu ku batonda) mugenda kuddawo (oluvanyuma lw'okufa)

    [30] E kibinja e kimu yakilungamya ate nga e kibinja e kirala baakakatwako obubuze, anti mazima bo Sitane baazifuula mikwano gyabwe ffa nfe ne baleka Katonda, ate ne beebala nti mazima bo balungamu

    [31] Abange abaana ba Adam mwambalenga bulungi buli lwe mugenda okusaala, era mulye munywe naye temudiibudanga. Mazima Katonda tayagala badiibuuzi

    [32] Gamba (Ggwe Nabbi Muhammad) nti ani yaziza e by’okwewunda bya Katonda e byo bye yawa abaddu be ne Riziki ng’ebadde nnungi, gamba nti byo n'abasiraamu bakkirizibwa okubikozesa mu bulamu obwensi, naye bigenda kubeera byabwe bokka ku lunaku lwe nkomerero, bwe tutyo nno bwe tutottola e bigambo eri abantu abamanyi

    [33] Gamba ggwe Muhammad nti Mukama omulabirizi wange yaziza e by'obuwemu eby'olwaatu n’ebyenkiso era yaziza obwonoonyi n’okulumbagana abantu awatali nsonga ntuufu, era naaziza okuba nga mugatta ku Katonda e bintu e birala e kintu kyatassaako bujulizi era naaziza okuba nga mwogera ku Katonda bye mutamanyi

    [34] Buli bantu balina e bbanga e lyabagererwa, Katonda bwasalawo e ntuuko yaabwe neetuuka, tebayinza kusaba kaseera kubongozebwayo wadde okukendezebwako (nebakifuna)

    [35] Abange mmwe abaana ba Adam ababaka bwe balibaggyira , nga bava mu mmwe, nga babatottolera e bigambo byange, oyo yenna alitya Katonda naakola e mirimu e mirungi abo nno tebalibaako kutya era tebagenda kunakuwala

    [36] Naabo abalimbisa e bigambo byaffe ne beekuluntaza, ne babireka abo nno be bantu bo muliro bo baakutuula bugenderevu mu gwo

    [37] Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo ajweteka e bigambo ku Katonda, oba naalimbisa e bigambo bye, abo nno omutemwa gwabwe ogwabagererwa gubatuukako, olwo nno ababaka baffe bwe babajjira (ba Malayika) okubajjamu e myoyo bagamba nti baluwa abo be mwasinzanga nemuleka Katonda nebagamba batubuzeeko nebeewaako obujulizi nti mazima ddala baali bakaafiiri

    [38] Katonda aligamba nti muyingire omuliro nga muyingirira mu bibinja e byabo be mufaanana, abaabakulembera mu majinni ne mu bantu, buli kibinja ekiriyingira nga kikolimira kinnaakyo okutuusa nga bonna bamaze okusisinkana mu gwo, e kibinja e kyenkomerero kiryogera ku kyolubereberye nekigamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe abo baatubuza bawe e bibonerezo by'omuliro nga obikubisizzaamu, Katonda naagamba nti buli bamu bongezeddwamu naye temumanyi

    [39] Ab'olubereberye baligamba ab’enkomerero (nti ekyo kyemwogera) tekibawa nkizo yonna ku ffe, kale mukombe ku bukaawu bwe bibonerezo olw'ebyo bye mwakolanga

    [40] Mazima abo abaalimbisa e bigambo byaffe ne babyekuluntalizaako, e miryango gye ggulu tegigenda kubaggulirwa, era tebagenda kuyingira jjana be ppo nga e ngamiya eyise mu kituli ky'empiso, bwe tutyo nno bwetusasula aboonoonyi

    [41] Balina obuliri mu muliro Jahannama nga ne byokwebikka waggulu waabwe muliro, era bwe tutyo bwe tusasula abeeyisa obubi

    [42] Bo abo abakkiriza nebakola e mirimu e mirungi tetuwaliriza muntu yenna okugyako kyasobola, abo nno be bantu be jjana bo baakutuula bugenderevu mu yo

    [43] Era tugenda kujja mu bifuba byabwe obukukuuzi bwonna, (balibeera mu jjana) nga ekulukutiramu e migga, era baligamba nti amatendo gonna ga Katonda oyo eyatulungamya eri e kkubo erituuka eri kino, tetwali baakulungama singa Katonda teyatulungamya mazima ababaka ba Mukama omulabirizi waffe bye baaleeta mazima meereere, era balikowoolwa nti eyo e jjana mugifunye olw'ebyo bye mwaali mukola

    [44] Abantu bo Mu jjana balikowoola abantu b’o mu muliro nga bagamba nti mazima Mukama omulabirizi waffe bye yatulagaanyisa tusanze nga bituufu, nammwe Mukama omulabirizi wa mmwe bye yabalagaanyisa mubisanze nga bye byo, baligamba nti yye olwo nno omulanzi alirangirira wakati waabwe, nti e kikolimo kya Katonda kibeere ku beeyisa obubi (abantu abo abeeyisa obubi)

    [45] Beebo abaziyiza abantu okuweereza mu kkubo lya Katonda, era nebalivumirira. Anti bo bawakanya olunaku lw’enkomerero

    [46] Era wakati w’a bantu b’o mu muliro n’a bo mu jjana wagenda kubaawo e kikomera, nga waggulu ku kikomera waliyo abasajja abaawula buli muntu okusinziira ku bulambebwe, (abantu abo) balikoowoola abantu b’o mu jjana, nebabagamba nti e mirembe gibeere ku mmwe, anti (abalibeera mu kifo e kyo), baliba tebannayingira jjana era nga amaddu gabatta

    [47] Ate amaaso gaabwe bwe galikyusibwa negoolekera abantu b’o mu muliro baligamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe totuteeka wamu n’abantu abeeyisa obubi

    [48] Era abalibeera ku kikomera balikoowoola abantu be balimanya olw'obulambe bwabwe ne bagamba nti bye mwakunganya tebibayambye, wadde okwekuza kwe mwalimu

    [49] Abo beebo be mwalayirirako nti Katonda tagenda kubasaasira (mwe wamma) muyingire e jjana, temugenda kutuukibwako kutya era temugenda kunakuwala

    [50] Era abantu bo mu muliro balikoowoola abo mu jjana nebagamba nti, mutuwe ku mazzi oba n'ekirala kyonna Katonda kyabagabidde, baligamba nti mazima byombi Katonda yabiziza ku bakaafiiri

    [51] Abo abaafuula e ddiini yaabwe e kinyumu n'omuzannyo obulamu bwe nsi nebubagayaaza kale nno olwaleero tujja kubeerabira nga nabo bwe beerabira nti walibaayo okutuuka ku lunaku luno, era n’okuba nti baali bawakanya e bigambo byaffe

    [52] Era mazima ddala twabawa e kitabo mwe twannyonnyolera buli kintu nga tusinziira ku kumanya, (e kitabo e kyo) bulungamu era kusaasira eri abantu abakkiriza

    [53] Abaffe balindirira okugyako Kur’ani by'eyogerako gye biriggwera, olunaku bwe lulituuka okulaga e bintu gye biriggwera, abo abaagireka oluberyeberye baligamba nti, ababaka ba Mukama omulabirizi waffe baaleeta amazima, naye abaffe tusobola okufuna abawolereza batuwolereze, oba tuyinza okuzzibwayo (ku nsi), netukola (e mirimu e mirungi) egitali e gyo gye twali tukola, mazima bafaafaaganirwa e myoyo gyabwe n’ebyo bye baali beegunjirawo ne bibabulako

    [54] Mazima Mukama omulabirizi wa mmwe Katonda, yooyo eyatonda e ggulu omusanvu ne nsi mu nnaku mukaaga, olwo nno naatuula ku Arish, e kiro akibikka omusana, nga kigunoonya mu bwangu obuyitirivu, era yatonda e njuba n’omwezi ne munyenye nga byonna bitambulira ku kiragiro kye, abange mukimanye nti okutonda n’ebiragiro bibye. Yayawukana Katonda omulabirizi w’ebitonde

    [55] (kale nno) musabe Mukama omulabirizi wa mmwe nga muli bakkakkamu ( mu lwatu) ne mu kyama, anti mazima yye tayagala basukka nsalo

    [56] Era temwonoonanga mu nsi oluvanyuma lwokugirongoosa, era Katonda mumusabenga olw'okutya e bibonerezobye, oba olw'okululunkanira e birungi bye, anti mazima okusaasira kwa Katonda kuba kumpi n’abalongoosa (e mirimu gyabwe)

    [57] Era Katonda yooyo asindika e mpewo, nga zireeta amawulire agessanyu okuva mu kusaasirakwe, olwo nno bwezisindika e bire e bizito, e birimu amazzi tubiweereza eri e kitundu e kikalu, ne tukitonnyesaamu e nkuba, olwo nno netumeza nayo e bimera, era bwe tutyo nno naabafu bwetugenda okubazuukiza,mulyoke mwebuulirire (nakyo)

    [58] E kitundu kye nsi e kirungi ebisigwamu bimera bulungi olw'obuyinza bwa Mukama omulabirizi w'akyo, kyo e kibi tebimera okugyako nga bibi, bwe tutyo nno bwe tunnyonnyola e bigambo abantu abeebaza

    [59] Mazima twatuma Nuhu eri abantu be, naagamba nti abange bantu bange musinze Katonda yekka, tewali kirala kyonna kisaana kusinzibwa mazima nze mbatiisa e bibonerezo by'olunaku oluzito

    [60] Abakungu mu bantu be ne bagamba nti, mazima ffe tukulaba ng’oli mu bubuze obweyolefu

    [61] Naagamba nti bantu bange siriiko bubuze bwonna naye mazima nze ndi Mubaka okuva ewa Mukama omulabirizi w’ebitonde

    [62] Nga mbatusaako obubaka bwa Mukama omulabirizi wange, era nga mbabuulirira, era nga mmanyi okuva ewa Katonda ebyo bye mutamanyi

    [63] Mwewuunya okulaba nti obubaka bubajjidde okuva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe! nga bukkira ku Musajja ava mu mmwe, n'aba nga abeekesa, era kibafuule abatya Katonda mube nga musaasirwa

    [64] Ne bamulimbisa ne tumuwonya n'abo abaali naye mu lyato, era ne tuzikiriza abo abaalimbisa e bigambo byaffe, anti mazima bo baali ba muzibe

    [65] N’abeekika kya Aadi twabaatumamu muganda waabwe Huud, naagamba nti abange bantu bange musinze Katonda yekka, temulinaayo kirala kitali yye kisaana kusinzibwa, abaffe temutya

    [66] Abakungu abo abaakaafuwala mu bantu be nebagamba nti mazima ffe tukulaba ng’oli mu bya butaliimu, era mazima ffe tukulaba, ng’omu ku balimba

    [67] Naagamba nti bantu bange siri mu bya bwe wussa, wabula mazima ddala nze ndi Mubaka atumiddwa Mukama omulabirizi w’ebitonde

    [68] Mbatuusaako obubaka bwa Mukama omulabirizi wange nga nange gyemuli ndi mubuulirizi omwesimbu

    [69] Mwewuunya okuba nti obubaka bubajjidde okuva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe! Nga bukkira ku musajja ava mu mmwe, naaba nga abeekesa!. Era mwandibadde mujjukira bweyabafuula abasigire oluvanyuma lwa bantu ba Nuhu, n'abongera obugimu mu butonde, kale nno mujjukire ebigabwa bya Katonda kibasobozesa okutuuka ku buwanguzi

    [70] Nebagamba nti, abaffe e kikuleese gye tuli lwa kusinza Katonda yekka! tuleke e byo ba jajja ffe bye baali basinza, bwe kiba bwe kityo tutuuseeko e kyo ky’otulagaanyisa, bwoba nga oli mu boogera amazima

    [71] (Hudu) naagamba nti e bibonerezo n’obusungu bya Mukama omulabirizi wa mmwe bibakakaseeko, muyinza mutya okumpakanya ku mannya gemwetuumira mmwe, ne bakadde ba mmwe, nga Katonda tabissangako bujulizi bwonna, kale nno mulindirire, mazima nze nindirira wamu na mmwe

    [72] Netumuwonya n'abo abaali naye olw'okusaasira kwaffe, twaggyirawo ddala e mirandira gyabo abaalimbisa e bigambo byaffe, era tebabeerangako mu bakkiriza

    [73] Era aba Thamudu twabatumira muganda waabwe Swaleh naagamba nti abange bantu bange musinze Katonda yekka temurinaayo kirala kyemulina kusinza ekitali yye, obujulizi bubajjidde okuva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe (eno) Ngamiya ya Katonda, nga kya magero gye muli, kale nno mugireke erye mu nsi ya Katonda wonna weeyagala, temugituusaako akabi nemutuukwaako e bibonerezo e biruma ennyo

    [74] Era mujjukire Katonda bwe yabazza mu bigere byaba Aadi, naabatebenkeza mu nsi, nga mu bifo ebya wansi mu yo, muzimbamu amayumba amatiribona, ng’ate e nsozi muzisima nezifuuka amayumba, kale nno mujjukire e byengera bya Katonda, era temugufuula omulimu okugenda nga mwonoona ku nsi

    [75] Abakungu abo abeekuluntaza mu bantu be kibiina kye, nebagamba eri abo abaatwalibwanga okuba aba wansi mu bo, nga bagamba abo abaali bakkiriza mu bo, nti mukakasa nti ddala Swaleh Mubaka okuva eri Mukama omulabirizi we, nebagamba nti yye, mazima ddala ffe tukkiriza byonna ebyamutumwa

    [76] (Olwo nno) abo abeekuza nebagamba nti, mazima ffe tuwakanyizza ddala e byo bye mukkirizza

    [77] E ngamiya n ebagifumita ne bava ku kiragiro kya Mukama omulabirizi waabwe, era nebagamba owange Swaleh bwoba nga oli mu luse lwa babaka twanguyize e byo byo tulagaanyisa

    [78] Okukankana okwamaanyi (Musisi) nekubajjira nebakeesa e nkya nga mirambo egigangalamye mu mayumba gaabwe

    [79] Awo nno (Swaleh) kwekubavaako nga bwabagamba nti, yye mmwe bantu bange mazima nabatuusaako obubaka bwa Mukama omulabirizi wange, era nababuulirira naye (ekituufu) temwagala babuulirira

    [80] Era (jjukira ggwe Nabbi Muhammad) Luutu nga bwe yagamba abantu be nti abaffe mukola eby'obuwemu, nga mu nsi yonna tewali muntu yali abikoze

    [81] Mazima mmwe obwagazi bwa mmwe mu bukola ku basajja nemulekawo abakazi wabula bantu mmwe, kyemukola muli badiibuuzi

    [82] Tekwali okwanukula kw’a bantube okugyako, okuba nga baagamba nti, (abo) mubafulumye mu nsi ya mmwe, anti bo bantu abeetwala okuba nti bayonjo

    [83] Wabula twamutaasa n’abantube okugyako mukyala we, yasigala nabaatuukibwako e bibonerezo

    [84] Netubasindikira e nkuba (nga y’amayinja) kale fumiitiriza e nkomerero ya bajeemu bwe yali

    [85] Ate abe Madyana twabatumira muganda waabwe Swaibu, naagamba nti abange bantu bange musinze Katonda, ng’oggyeko yye tewali kirala kyemusaanidde kusinza, obunnyonnyofu okuva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe bubajjidde, kale nno mutuukirize ebirengwa n’ebipimwa, temugaananga okutuukiririza abantu ebintu byaabwe, era temwonoonanga mu nsi oluvanyuma lwokugikola nga nungi, ekyo nno mmwe kye kirungi gye muli bwe muba nga muli bakkiriza

    [86] Era temuteeganga abantu mu kkubo lyonna nemubatiisa (olw'okwagala okubanyaga) nemuziyiza abantu abakkiriza Katonda okuweereza mu kkubo lye, ne mulifuula ebbi eri abantu, era mujjukire nga bwe mwali abatono naabayingiwaza, era mulabe e nkomerero y’abonoonyi nga bwe yali

    [87] Era bwekiba nga e kitundu ku mmwe bakkiriza ekyo kye nnatumwa nakyo, ng’ate e kitundu e kirala tebakkiriza, kale mulinde okutuusa Katonda lwanaatulamula, anti nga bulijjo yaasinga abalamuzi

    [88] Abakungu abo abeekuluntaza mu bantube, baagamba nti owange Swaibu tujja kukugoba mu kitundu kyaffe n’abo abakkiriza abali naawe, oba ssi ekyo, oteekeddwa okudda mu ddiini yaffe. Naagamba nti ne bwetuba nga e kyo si kyetwagala

    [89] (Ne tumala tukikola) mazima tunaaba tugunjizza ku Katonda e bigambo e byobulimba singa tudda mu ddiini ya mmwe, oluvanyuma lwa Katonda okugituwonya, era tewali nsonga egituddisaamu, beppo nga Mukama omulabirizi waffe yaayagadde, Mukama omulabirizi waffe okumanyakwe kubuna buli kintu, ku Katonda kwe twekutte, ayi Mukama omulabirizi waffe salawo wakati waffe n’abantu baffe mu mazima, anti ggwe osinga abasalawo bonna

    [90] Abakungu abo abaakaafuwala mu bantu be ne bagamba nti, singa mugoberera Swaibu, olwo nno mazima mmwe, mujja kubeera mu bafaafaaganiddwa

    [91] Okukankana okw'amaanyi (Musisi) ne kubajjira ne bakeesa nga mirambo e gigangalamye mu mayumba gaabwe

    [92] Abo abaalimbisa Swaibu ne baba nga abateeyagalirangako mu mayumba gaabwe, abo abaalimbisa Swaibu bo be bafaafaaganirwa

    [93] Olwo nno Swaibu n’abavaako (nga takyalina kya ku bakolera) naagamba nti abange bantu bange, mazima nabatusaako obubaka bwa Mukama omulabirizi wange, era nembabuulirira. Butya bwennyinza okunyolwa olw’abantu abakaafiiri

    [94] Tewali Nabbi gwe twatuma mu kitundu kyonna okugyako ng’abantu b’omukintu e kyo, (bwe bamulimbisa) tubatuusaako obubenje n’obuzibu, olwo nno balyoke bagonde

    [95] Oluvanyuma mu kifo kye kibi ne tuwaanyisaamu e kirungi, okutuusa lwe baayala e mbeera yaabwe neetereera, ne bagamba nti, (si ffe tusoose) ne bakadde baffe baatuukibwako obuzibu, ate oluvanyuma ne batuukibwako obwangu. (awamu n'ekyo Katonda agamba) ne tubakwata (ne tubatta) nga nabo tebategeera

    [96] Singa abantu b’o mu bitundu e byo bakkiriza ne batya Katonda, twandibagguliddewo e mikisa okuva mu ggulu ne mu nsi, naye baalimbisa, olwo nno netubabonereza olw’ebyo bye baakola

    [97] Abaffe abantu b’omu bitundu e byo baalina obukakafu nti e bibonerezo byaffe tebiyinza kubatuukako kiro, nga nabo beebase

    [98] Oba abantu b’omu bitundu e byo baalina obukakafu nti e bibonerezo byaffe tebiyinza ku batuukako misana, nga nabo bali mu kutiguka

    [99] Abaffe baawona okusalawo kw’a Katonda, (e kituufu kiri nti) tewali ayinza kulowooza nti ayinza okuwona okusalawo kw’a Katonda okugyako abantu abafaafaaganirwa

    [100] Abaffe tekitegeerekeka eri abo abasikira e nsi oluvanyuma lw’abagibaddemu okufa nti, singa twayagala twalibavunaanye olw’e byonoono bya bwe, ne tuteeka e nvumbo ku mitima gyabwe nebaba nga tebawulira

    [101] E bitundu e byo tukutegeeza e bimu ku byafaayo byabyo, era mazima ababaka baabwe baabajjira n’obunnyonnyofu, baali tebayinza kukkiriza ebyo bye baalimbisa mu kusooka, bulijjo bwatyo Katonda bwazibikira e mitima gy’a bakafiiri

    [102] Era abasinga obungi mu bo tetwabasanga na ndagaano yonna (gye baatuukiriza), wabula twasanga abasinga obungi mu bo nga boonoonyi

    [103] Ate oluvanyuma lwabwe, twatuma Musa ewa Firawo n’abakungube, nga tumuwadde eby’amagero byaffe nebabiwakanya, kale nno, fumiitiriza olabe e nkomerero y’aboonoonyi nga bwe yali

    [104] Musa naagamba nti, owange Firawo mazima nze ndi mubaka okuva ewa Mukama Katonda omulabirizi w’ebitonde

    [105] Kikakafu okuba nga soogera ku Katonda okugyako amazima, mazima mbaleetedde okuva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe obujulizi, n’olwekyo mpa abaana ba Israil (ngende nabo)

    [106] (Firawo) naagamba nti oba olina obujulizi bwozze nabwo buleete, bwoba nga ddala oli mu boogera amazima

    [107] Awo Musa n’asuula omuggogwe, okugenda okwekanga nga gwo, musota ogwannamaddala

    [108] Era naggyayo omukonogwe, okugenda okulaba nga mweru eri buli atunula

    [109] Abakungu mu bantu ba Firawo nebagamba nti mazima ono, mulogo kakensa

    [110] Ayagala ku baggya mu nsi ya mmwe, kati mmwe kiki kye mugamba

    [111] Nebagamba nti, mugambe ne mugandawe balindeko, otume mu bitundu byonna abakunga (abalogo)

    [112] Bajja kukuleetera buli mulogo omukugu

    [113] Era abalogo bajja ewa Firawo ne bagamba nti, mazima tuteekwa okusasulwa, kavuna tuba nga ffe tuwangudde

    [114] Naagamba nti weewaawo, era mazima ddala mujja kubeera mu abo abambeera ku lusegere

    [115] Nebagamba nti owange Musa ggwe osooka okwanja, oba ffe tusooka okussaawo

    [116] Naagamba nti musseewo, bwe bassaawo baaloga amaaso g’abantu, era nebabatiisa nnyo, anti baaleeta e ddogo e pitirivu

    [117] Netutumira Musa nti, suula omuggogwo, negutandika okumira byonna, ebyo bye baali bajingiridde

    [118] Amazima negalabika, byonna bye baali bakola nebifa

    [119] Bwe batyo nebawangulirwa awo wennyini, nebafuuka abakkakanyiziddwa

    [120] Bbo abalogo beesanga nga bateekwa kuvunnama

    [121] Nebagamba nti tukkirizza Mukama Katonda omulabirizi w’ebitonde

    [122] Mukama omulabirizi wa Musa ne Haruna

    [123] Firawo naagamba nti mumukkirizza nga sibawadde lukusa, (kirabika nti mazima ddala) luno lukwe lwe mwakoledde mu kitundu kino olw'ekigendererwa ky’okugobamu abantu baamu, naye muggya ku kimanya

    [124] Nja kubatemako e mikono n’amagulu gammwe mu mpuyi ez’enjawulo (Nga bwetutema omukono ogwa ddyo, okugulu tutema kwa kkono) ate oluvanyuma mwenna nja kubakomerera ku misaalaba

    [125] Nebagamba nti (ekyo temuli), anti mazima ddala ffe olwo tunaaba tudda eri Mukama omulabirizi waffe

    [126] Tolina kyotuvunaana okugyako okuba nti tukkirizza e bigambo by’a Mukama omulabirizi waffe e bitujjidde, ayi Mukama omulabirizi waffe tugonnomoleko obugumiikiriza, era otuuse e ntuuko yaffe nga tuli basiraamu

    [127] Abakungu mu bantu ba Firawo nebagamba nti, ogenda kuleka Musa n’abantube babe nga boonoona mu nsi, (era osuubire nti Musa an’akuleka) neba Katondabo, (Firawo) kwe kugamba nti, abaana baabwe ab’obulenzi tujja kubatta, tulekewo bawala baabwe, mazima ffe, nga bulijjo tubali waggulu, era tubasukkulumye mu maanyi

    [128] Musa naagamba abantube nti, mwekwate ku Katonda era mugumiikirize, mazima ddala ensi y’aKatonda, agisikiza abo b’aba ayagadde mu baddube, era e nkomerero (e nnungi), y'abo abatya Katonda

    [129] Nebagamba nti, mazima twabonyabonyezebwa nga tonnatujjira, n’oluvanyuma lw’okutujjira! (Musa) naagamba nti, Mukama omulabirizi wa mmwe ajja kuzikiriza omulabe wa mmwe, mu kifo kya bwe azzeewo mmwe, nga abasigire mu nsi, olwo nno atunuulire alabe bwe mukola

    [130] Mazima twabonereza abantu ba Firawo n’emyaka gy’enjala, n’ekkekwa ly’ebibala, babe nga bajjukira

    [131] Bwe kyabajjira nga e kirungi baagambanga nti, kino kyaffe, (ffe tukikoze) buli lwe baatukwangako e kibi, nga beekwasa Musa n’abo abaali naye, naye nga ddala e kikwa kyabwe kiri wa Katonda, wabula mazima abasinga obungi mu bo tebamanyi

    [132] Era nebagamba nti, buli kabonero konna k’onootuleetera obe nga otuloga nako, tetugenda kukukkiriza

    [133] Olwo nno netubasindikira amataba, n’enzige, n’ensekere, n’ebikere n’omusaayi nga bubonero obulagiddwa obulungi, wabula ne beekuluntaza, anti era bulijjo baali bantu aboonoonyi

    [134] Ekibonerezo bwe kyamala okubatuukako nebagamba nti, owange Musa tusabire Mukama omulabiriziwo, ng’osinziira ku ebyo bye yakuwa, singa otuggyako e kibonerezo kino, ddala tujja kukukkiriza era tugenda kukuweera ddala abaana ba Israil (obatwale)

    [135] Bwe twamala okubaggyako e kibonerezo nga e bbanga eryali libagereddwa liweddeko, ekyaddirira bo kumenya ndagaano

    [136] Olwo nno netubalaga obusungu bwaffe, netubazikiriza mu nnyanja olw'okuba nti, mazima bo baalimbisa e bigambo byaffe, era nga ku byo baali bagayaavu

    [137] Era abantu abo abaali batwalibwa okuba nti ba wansi netubasikiza obuvanjuba n’obugwanjuba bwensi, eyo gye twassaamu e mikisa, nekituukirira e kigambo kya Mukama omulabiriziwo, e kirungi ku baana ba Israil ku lw'ebyo bye baagumiikiriza, netusaanyaawo byonna Firawo n’abantube bye baali bakola ne bye baali bazimba

    [138] Netusomosa abaana ba Israil e nnyanja, nebayita ku bantu abaali beefunyiridde ku kusinza amasanamu gaabwe, nebagamba nti owange (Musa) tuteerewo e kisinzibwa nga nabo bwe balina e bisinzibwa, (Musa) naagamba nti mazima ddala mmwe, muli bantu abatategeera

    [139] Mazima abo bye balimu bya kuzikirizibwa, era ebyo bye bakola bifu

    [140] Naagamba nti, ekitali Katonda omu omutuufu kyemba mbateerawo musinze! ate nga yye yabasukkulumya ku bitonde byonna

    [141] (Ebyogeddwa byonna mu aya ezikulembedde okubaawo kyagoberera e kyafaayo e kiddirira e kigamba nti), mujjukire bwe twabataasa ku bantu ba Firawo bwe baali babakombesa ku bukaawu bwe bibonyobonyo, nga batemula abaana ba mmwe abalenzi nebalekawo bawala ba mmwe, mu ekyo mwalimu okugezesa kunene nnyo okuva eri Mukama omulabirizi wa mmwe

    [142] Twalagira Musa amale e biro makumi asatu nga yeetegekera okusisinkana Mukama omulabiriziwe, ate netubijjuza n’ekkumi, olwo nno Mukama omulabiriziwe kye yamugerera nekituukirira, nga z’ennaku amakumi ana, awo Musa naagamba mugandawe, Haruna nti, nsigalira mu bantu bange, era kola bulungi, togoberera n’omulundi n’ogumu e kkubo ly’aboonoonyi

    [143] Musa bwe yajja mu kifo kye twamulagira, Mukama omulabiriziwe n’ayogera naye, (Musa) yagamba nti, ayi Mukama omulabirizi wange, nzikiriza nkutunuleko, n’amugamba nti tosobola kundaba, naye tunula ku lusozi olwo, bwe lunaasobola okusigala mu kifo kyalwo, olwo nno ojja kundaba, wabula Mukama omulabiriziwe bwe yeeyoleka eri olusozi, yalufuula e nsaano, era Musa n’agwa ku ttaka nga azirise, bwe yadda e ngulu yagamba nti, oli musukkulumu, nkwenenyerezza, era nkwata kisooka mu bakkiriza

    [144] (Katonda) naagamba nti, owange Musa mazima nze nkuwadde e nkizo ku bantu, olw’obubaka bwange, n’okwogera kwange naawe, kale twala bye nkuwadde, era obeere mu beebaza

    [145] Era twamuwandiikira ku mbaawo buli kintu, kibe ekyokubuulirira, era nga kunnyonnyola mu bujjuvu, ku buli kintu, kale nno bikuume butiribiri, era olagire abantubo babikwate mu ngeri esinga okuba e nnungi, oluvanyuma ngenda ku balaga e kifo ky’aboonoonyi

    [146] Abo abeekuza mu nsi awatali nsonga ntuufu, ngenda kubeesambya e bigambo byange, buli lwe banaalabanga, akabonero konna, tebajja ku kakkirizanga, era bwe banaalabanga e kkubo ly’o bu lungamu, tebagendanga kulifuula kkubo gye bali (kulikwata), naye bwe banaalabanga e kkubo ly’obwonoonefu lye banaatwalanga okuba e kkubo, ekyonno lwa kuba nti mazima ddala bo, baalimbisa e bigambo byaffe, nebaba nga ku byo, beesuulirayo gwa naggamba

    [147] Naabo abaalimbisa e bigambo byaffe, n’okusisinkana olunaku lw’enkomerero, e mirimu gyabwe gyonna gyafaafaagana, (ate olwo) abaffe balisasulwa okugyako ebyo bye baakolanga

    [148] Musa bwe yagenda, abantube, baabumba e nnyana okuva mu by'okwewunda byabwe, nga erabikira ddala nga erina omubiri, n’okungonga engonga, abaffe tebaakiraba nti mazima ddala yyo tesobola kw’ogera nabo! era nga tesobola kubalungamya ku kkubo, b’agyeteerawo, era olwekikolwa ekyo nebabeera ab’omu bantu abeeyisa obubi

    [149] Bwe beefumiitiriza, nebalaba nti ddala mazima baabula olw’ekikolwa kyabwe ekyo, (beenenya) nebagamba nti, singa Mukama omulabirizi waffe tatusaasira, naatusonyiwa, tujja kubeerera ddala mu bafaafaaganiddwa

    [150] Musa bwe yamala okudda eri abantube, nga musunguwavu, era nga asaaliddwa, yagamba nti, kibi nnyo kye mwakoze nga siriiwo, mwayaanguyirizza e kigambo ky’a Mukama omulabirizi wa mmwe! olwo nno kwe kukasuka e mbaawo, n’akwata omutwe gw’a mugandawe, nga amusika amuzza gyali, (Haruna) naagamba nti mwana wa nnyabo, mazima abantu bansinzizza amaanyi, era kumpi banzite, tontusaako kino olw'okusanyusa abalabe, era tonzisa mu bantu abeeyisa obubi

    [151] Musa naagamba nti, ayi Mukama omulabirizi wange, nsonyiwa ne muganda wange, era otuyingize mu kusaasirakwo, anti bulijjo ggwe musaasizi asinga abasaasizi bonna

    [152] Mazima abo abeeteerawo e nnyana (bagisinze), bajja kutuukwako obusungu n’okukkakkannyizibwa ebiva ewa Mukama omulabirizi waabwe, mu bulamu obwe nsi, era bwe tutyo bwe tusasula abo abatemerera e bigambo

    [153] Naabo abakola ebibi, ate nebeenenya oluvanyuma lwabyo, era nebakkiriza, mazima ddala Mukama omulabiriziwo, oluvanyuma lwabyo, musonyiyi, musaasizi

    [154] Obusungu bwe bwaggwa ku Musa, yasitula e mbawo, nga ne mu biwandiikiddwa ku zo, mulimu obulungamu, n’okusaasira eri abo, bo abatya Mukama omulabirizi waabwe

    [155] Musa yalonda mu bantube, abasajja nsanvu, bagende mu kifo kye twamuteerawo, wabula musisi bwe yabajjira, (Musa) yagamba nti, ayi Mukama omulabirizi wange, singa kino kye wali oyagala, wandibadde wabazikiriza olubereberye wamu nange, oyagala kutuzikiriza olw'ekyo ababuyabuya mu ffe kye baakola! kino si kintu kirala kyonna okugyako okugezesakwo, obuza nakwo oyo gwoba oyagadde, ate n’olungamya nakwo, oyo gwoba oyagadde, otulinako obuyinza, n’olwekyo tusonyiwe, era otusaasire, bulijjo ggwe asinga abasaasizi bonna

    [156] Tuwandiikeko birungi kuno ku nsi, era ne ku nkomerero, (anti) tukwemenyedde, (Katonda) naagamba nti, e bibonerezo byange mbituusa kw’oyo gwemba njagadde, ate okusaasira kwange kwamalayo buli kintu, ngenda ku kukuwa abo abatya Katonda, nebatoola zzaka, era abo abakkiriza e bigambo byaffe

    [157] Abo abagoberera omubaka, Nabbi, atasoma biwandiiko, oyo gwe basanga nga muwandiike ewaabwe mu Taurat ne enjili, nga abalagira e mpisa e nnungi, era n’abagaana e mpisa e mbi, era nga abakkiriza e birungi (mu biriibwa n’ebinywebwa), era naabaziyiza e bibi, era naabaggyako obuzito n’amakoligo, ebyo e byabaliko, kale nno abo abamukkiriza, nebamuwagira, ne bamutaasa, era ne bagoberera e kitangaala ekyo e kyamuweebwa, abo nno bo, be balituuka ku buwanguzi

    [158] Gamba (ggwe Nabbi Muhammad), nti abange abantu, mazima nze ndi mubaka w’a Katonda, eri mmwe mwenna, (Katonda) oyo bubwe obufuzi bw'eggulu omusanvu ne nsi, tewali kintu kyonna kisinzibwa okugyako yye, awa obulamu, era natta, kale nno mukkirize Katonda n’omubakawe, Nabbi ataasoma biwandiiko, oyo akkiriza Katonda n’ebigambobye, era mu mugoberere, olwo nno mube nga mulungamye

    [159] Mu bantu ba Musa, mulimu e kibiina nga bakozesa amazima, era nga gebakozesa okukola obwenkanya

    [160] Era twabakutulamu e nnyiriri kkumi na bbiri nga bika, era twatumira Musa, abantube bwe baamusaba okubafunira amazzi, ne tumugamba nti, kuba omuggo gwo ku jjinja, olwo nno nemufubutukamu e nsulo kkumi na bbiri, buli bantu baamanya webalina okunywa, ekirala twabasiikiriza n’ekire, era twabassiza Manna, ne Saluwa (nga bwe tubagamba nti) mulye e birungi mu ebyo bye tubagabira, si ffe bebaayisa obubi, wabula beeyisa bokka obubi

    [161] Era jjukira bwe baalagirwa nti, mutuule mu kitundu kino, mulye nga muli mu kyo, wonna wemwagala, era mugambe nti, Hittwa (tuggyeko e bibi), era muyingire omulyango gw’ekibuga nga muvunnamye, olwo nno tujja kubasonyiwa e byonoono bya mmwe, tujja kwongeza abakozi b’obulungi

    [162] Abo abeeyisa obubi, baakyusa e kigambo ekyabagambwa, olwo nno ne tubasindikira e bibonerezo okuva mu ggulu olw'ebyo bye beeyisangamu obubi

    [163] Babuuze ebikwata ku kitundu e kyali ku lubalama lwe nyanja, bwe baamenya e tteeka erikwata ku lunaku lw’omukaaga, olw'okuba e byennyanja byabwe bya bajjiranga, mu bungi ate nga ku lunaku olutali lw’amukaaga nga tebibajjira, bwe tutyo bwe tubakema olw'ebyo bye baakola mu bwonoonyi

    [164] Era jjukira e kibiina mu bo bwe kyagamba nti, lwaki mubuulirira e kibiina kya bantu nga Katonda ajja kubazikiriza, oba ajja kubabonereza n’ebibonerezo e bisuffu, bo nebagamba nti tukikola lwa kweggyako musango ewa Mukama omulabirizi wa mmwe, ate sinakindi nabo bayinza okutya Katonda

    [165] Kebaamala nebeerabira e byababuulirwa, twawonya abo abakoma ku bannaabwe okukola e bibi, ate abo abeeyisa obubi netubassaako e bibonerezo e bikambwe olw'obwonoonyi bwe baakolanga

    [166] Bwe baalemera kw'ebyo e byabagaanibwa twabagamba nti, mubeere enkobe kibafuule abanyoomebwa

    [167] Era jjukira Mukama omulabiriziwo bwe yalangirira nti (abayudaaya) ajja kubateerawo ddala abantu abanaabakombesanga ku bukaawu bwe bibonerezo, okutuusa ku lunaku lw’enkomerero, mazima Mukama omulabiriziwo mwangu mu kubonereza, era mazima yye. Musonyiyi nnyo wa kisa

    [168] Era twabagabanya mu nsi, nebaba e bibiina e byenjawulo, mu bo mulimu abalongoofu, era mu bo mulimu abatali ekyo, era twabagezesa n’ebirungi n’ebibi kibayambe okudda (eri Katonda)

    [169] Newajja oluvanyuma lwabwe abaabaddira mu bigere, abaasikira e kitabo nebaba nga bakulembeza by’akufuna bya nsi ebitaliimu, era nebagamba nti tulisonyiyibwa, era singa bajjirwa e birala e bibifaanana, nabyo bandibitutte, abaffe tebaakozesebwa ndagaano y’ekitabo okuba nga teboogera ku Katonda okugyako amazima, era nga basoma ebyo ebiri mu kitabo, ate nga ekituufu kiri nti, obutuulo obw'enkomerero bwe bulungi eri abo abatya Katonda, abaffe temutegeera

    [170] Ate abo abeekwata ku kitabo nebayimirizaawo e sswala, mazima ffe tetugenda kwonoona mpeera y’abalongoofu

    [171] Era jjukira bwe twatengeesa olusozi waggulu waabwe, neruba nga manvuli, nebatuuka okulowooza nti mazima ddala lugenda kubagwako (awonno netubagamba nti) bye tubawadde mubikwate butiribiri, era mujjukire ebibirimu, olwo nno mube abatya Katonda

    [172] Era jjukira Mukama omulabiriziwo bwe yajja ku migongo gy’abaana ba Adam ezzadde lyabwe, n’abalagira beeweeko obujulizi, (naagamba nti) Sinze Mukama omulabirizi wa mmwe, nebagamba nti, bwe guli, era tukiwaako obujulizi, olwo nno muleme kugamba ku lunaku lw'enkomerero nti, mazima ddala ffe, kino twali tetukimanyi

    [173] Oba muleme kugamba nti, bakadde baffe beebaakola shiriki ffe nga tetunajja, era ffe twali zzadde eryajja oluvanyuma lwabwe. Otuzikiriza otya olw'ebyo ebyakolebwa aboonoonyi

    [174] Era nno bwe tutyo bwe tunnyonnyola e bigambo, babe nga badda (eri okusinza Katonda yekka)

    [175] Era basomere ebikwata ku oyo gwe twawa obubonero bwaffe n'abwesamba, ne Sitane naamunoonya (n'amufuula munne) olwo nno naabeera ow'omu babuze

    [176] Singa twayagala twandimusitudde e ddaala olw'obubonero obwo, naye mazima ddala yye yeemalira ku nsi, era n’agoberera okwagalakwe, olwo nno e kifaananyi kye alinga e mbwa bwogigoba e misinde ewejjawejja, ate nebwogireka eba ewejjawejja, ekyo nno kye kifaananyi kyabo abaalimbisa e bigambo byaffe, bategeeze ebyafaayo kibayambe ku bigambo byaffe, bategeeze ebyafaayo, kibayambe okwefumiitiriza

    [177] Kifaananyi kibi eky’a bantu abaalimbisa e bigambo byaffe, ate nga ekituufu kiri nti emyoyo gyabwe gye baayisanga obubi

    [178] Oyo yenna Katonda gw'aba alungamizza ye y’abeera omulungamu, ate gwabuza, abo nno be baafaafaaganirwa

    [179] Omuliro Jahannama twagutegekera bangi mu majinni ne mu Bantu, (kyova olaba) nti, balina e mitima naye tebagikozesa kutegeera, era balina amaaso gebatalabisa, era balina amatu gebatawuliza, abo nno balinga e bisolo, sinakindi bo b’e babuze okusinga e bisolo, abo nno be beesuulirayo ogwa nnagamba (ku bigambo bye ddiini)

    [180] Era Katonda alina amannya amalungi, kale mugamusabise, era muve kw’abo abakyusakyusa amannyage, balisasulwa ebyo bye baakola

    [181] Mu bantu betwatonda, mulimu e kibiina nga bo bakolera ku mazima, era gebakozesa okukola obwenkanya wakati w’abantu

    [182] Naabo abaalimbisa tujja kubatwaliriza mpola, naye tubakwate nga tebamanyi

    [183] Era mbalindiriza nebeeyagalira (mu byengera) naye nga mazima entegeka yange nnyweevu

    [184] Abaffe tebaalowoozaako (n’omulundo n'ogumu) nti munnaabwe ono si mugwi wa ddalu, (e kituufu kiri nti) tali kintu kyonna okugyako okuba nti mutiisa ow’olwatu

    [185] Abaffe tebaatunulako mu bufuzi bwe ggulu omusanvu ne nsi! na buli kyonna Katonda kyeyatonda! n’okuba nti kirabika nti e nkomerero yaabwe mazima yali etuuse! kaakano oluvanyuma lwa kino bigambo ki bye bayinza okukkiriza

    [186] Oyo yenna Katonda gwabuza tewali ayinza ku mulungamya, era abaleka mu bubuze bwa bwe nga babulubuuta

    [187] Bakubuuza ku lunaku lw'enkomerero nti lulituuka ddi, gamba nti, mazima ebirukwatako Mukama omulabirizi wange y'abimanyi, tewali ayinza ku kubuulira mu butuufu nti lulituuka ddi? okugyako yye, ebilukwatako bizito mu ggulu omusanvu, ne ku nsi, terugenda kubajjira okugyako kibwatukira, balukubuuza ng’olinga alumanyiiko ennyo, gamba nti, mazima ebyokumanya olunaku olwo biri wa Katonda, naye ddala abantu abasinga obungi tebamanyi

    [188] Gamba nti si nze neesalirawo e kirungi oba e kibi, okugyako Katonda kyaba ayagadde, era singa nnali mmanyi e byekusifu, nandiyitirizza okukola e birungi, mu ngeri y'emu tewandibadde kabi kantuukako, nze siri kintu kyonna okugyako okuba omutiisa, omusanyusa eri abo abatya Katonda

    [189] Katonda yye yooyo eyabatonda nga abaggya mu muntu omu, ng’ate mu ye mwe yaggya mukyalawe, abeere ng’adda gyali olw'okufuna obutebenkevu, bwe yamala okulabagana naye, naafuna olubuto olwangu, n’ayita nalwo mu mitendera (olubuto mweruyita) olw’amala okukula, baasaba Mukama omulabirizi waabwe, nebagamba nti, singa otuwa omwana omulongoofu, tujja kubeerera ddala mu beebaza

    [190] (Naye ate abantu abaddirira) Katonda bwe yabawa omwana omulongoofu, baamugattako e bintu e birala mu ekyo kye yabawala, Katonda w'anjawulo nnyo, kw'ebyo bye bamugattako

    [191] Abaffe bagatta ku Katonda ebyo ebitasobola kutonda kintu kyonna, ng’ate byo byatondebwa

    [192] Era tebiyinza kubafunira kutaasa wadde bo bennyini okwetaasa

    [193] Bwe mubakoowoola okujja eri obulungamu tebabagoberera, kye kimu kamube nga mubayise, oba nga musirise

    [194] Mazima abo bemusaba nemuva ku Katonda, baddu nga mmwe, kale mubasabe babaanukule bwe muba nga mwogera mazima

    [195] Abaffe balina amagulu nti gebatambuza, oba balina e mikono gye bakwasa, oba balina amaaso gebalabisa, oba balina amatu gebawuliza, gamba nti muyite bye musinza ne mubigatta ku Katonda, olwo nno munneekobaanire temunnindiriza

    [196] Mazima omukuumi wange ye Katonda, oyo eyassa e kitabo, era bulijjo yye, ye mukuumi w’abalongoofu

    [197] Era mazima ddala be musaba ne mumulekawo, tebasobola kubataasa, era nga bwe batasobola kwetaasa

    [198] Bwe mubakoowoola okujja eri obulungamu tebawulira, obalaba nga bakutunuulidde kyokka nga tebalaba

    [199] Nywerera ku kusonyiwa, era olagire abantu okweyisa obulungi, era ove ku batategeera

    [200] Buli wonna wootuukirwangako okulabankanya kwa Sitane, saba obukuumi bwa Katonda, mazima yye Katonda awulira nnyo, mumanyi

    [201] Mazima abo abatya Katonda, bwe baba baggyiddwa okubuzibwabuzibwa okuva eri Sitane, bajjukira Katonda, olwo nno nebalaba e kituufu

    [202] Naye nga bannaabwe bongera kubasindika mu bwonoonefu, era nga tebaweera

    [203] Bwotabaleetera kya magero, bagamba nti, waakiri waalikyeyiiyirizza, gamba nti, mazima ngoberera ebyo ebiba bimpereddwa okuva ewa Mukama omulabirizi wange. (Kur’ani) eno, mumuli oguvudde ewa Mukama omulabirizi wa mmwe, era bulungamu na kusaasira eri abo abakkiriza

    [204] Buli Kur’ani lwesomwanga mugiwulirize, era mugisseeko omulaka, olwo nno mulyoke musaasirwe

    [205] Bulijjo jjukira Mukama omulabiriziwo, mu mwoyogwo, nga olaga obugonvu n’okutya, awatali kusitula ddoboozi mu bigambo (nga ekyo okikola), enkya n’eggulo, era tobeeranga mu bagayaavu

    [206] Mazima abo abali ewa Mukama omulabiriziwo, tebeekuluntaza nebatamusinza, era ba mutendereza, era nga yye yekka, gwebavunnamira

    Omunyago

    Surah 8

    [1] Bakubuuza (ggwe Nabbi Muhammad) ebikwata ku minyago, gamba nti e minyago gy’a Katonda n’omubaka, kale nno mutye Katonda, era mulongoose e nkolagana wakati wa mmwe, era mugondere Katonda n’omubakawe bwe muba nga muli bakkiriza

    [2] Mazima ddala abakkiriza, be bo buli Katonda lwayogerwako, e mitima gy'abwe gitya, era bwe basomerwa e bigambobye, kibongera obukkiriza, era nga Mukama omulabirizi waabwe yekka gwe beekwasa

    [3] Abo abayimirizaawo e sswala, era nga ne ku bye tubawa bagabako

    [4] Abo b’e bakkiriza abannamaddala, balina e bifo ebya waggulu ewa Mukama omulabirizi waabwe n’ekisonyiwo n’okugabirirwa okuyitirivu

    [5] (Kino kifaanana) nga Mukama omulabiriziwo bwe yakulagira, era nga kye kituufu ofulume (ogende ku lutalo lwe badri), so nga ettengetenge mu bakkirizza baali tebakyagadde

    [6] Bakuwakanya ku kintu e kituufu (kyoliko), oluvanyuma lw'okuba nti kimaze okweyoleka, nebaba nga abawalulwa, nga batwalibwa eri okufa, nga batunula

    [7] Mujjukire Katonda bwe yabalagaanyisa okufuna e kimu ku bibiri, nti mazima kyo mujja ku kifuna, wabula mmwe mwali mwagala ekitaliimu buzibu kye muba mufuna, naye nga Katonda ayagala amazima gayimirirewo okusinziira ku biragirobye, era akutulire ddala e mirandira gya bakaafiiri

    [8] Olwo nno abe nga ayimirizaawo amazima, asaanyeewo obwonoonefu, newaakubadde nga aboonoonyi tebaakyagala

    [9] Mujjukire bwe mwasaba Mukama omulabirizi wa mmwe obuyambi, n’abaanukula nti mazima nze, nja ku badduukirira ne ba Malayika lukumi nga bagoberagana

    [10] Kino tewali Katonda kyeyakireetera okugyako nti kibe amawulire ag’essanyu, era e mitima gya mmwe gyeyongere okunywera ku lw'ekyo, naye nga kwo okutaasa tekulina we kuli okugyako ewa Katonda, bulijjo mazima Katonda ye nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga

    [11] Mujjukire (Mukama Katonda) bwe yabatuusaako okusumagira, nga kukkakkanya okuva gyali, n’abassiza amazzi okuva waggulu (e nkuba) abe nga abatukuza nago, era abaggyirewo e mitego gya Sitane, era agumye e mitima gyammwe, era anyweze nayo e bigere bya mmwe

    [12] Jjukira Mukama omulabiriziwo, bwe yatumira ba Malayika nti, mazima nze ndi wamu na mmwe, mugumye abo abakkiriza, njakussa okutya mu mitima gyabo abaakaafuwala, kale muteme waggulu w’ensingo, era mubatemeko n’engalo

    [13] Ekyo nno lwa kuba nti mazima bo beesimba mu Katonda n’o mubakawe, anti omuntu eyeesimba mu Katonda n’omubakawe, mazima Katonda muyitirivu wa kubonereza

    [14] Ebyo nno ebibatuuseeko (bye bibasaanira), kale mukombe ku bukaawu bwabyo (nga muttibwa mu ntalo kuno ku nsi), era nga ddala abakaafiiri bagenda kussibwako e bibonerezo by’o mu muliro

    [15] Abange mmwe abakkiriza, bwe mugasimbagananga n'abo abaakaafuwala, ababa bazze okubalwanyisa, temubaddukanga

    [16] Oyo yenna abalaga e mabegawe (nadduka), ku lunaku olwo, mpozzi ng’ali ku kakodyo ka lutalo, oba nga adda eri kibinja kya balwanyi banne, mazima aba akakaseeko obusungu bw’a Katonda, nga n’obuddobwe muliro Jahannama, ate nga buddo bubi

    [17] Simmwe mwabatta, naye mazima Katonda y’e yabatta, era bwe wakanyuga, si ggwe wakanyuga, naye mazima Katonda y’eyakanyuga, era abeere nga agezesa abakkiriza olugezesa olulungi n’ekikolwa ekyo, mazima Katonda awulira nnyo, mumanyi

    [18] E byo byebyo (mubimanye), era mumanyire ddala nti, mazima Katonda anafuya enkwe z’a bakaafiiri

    [19] (Mwe abakaafiiri) bwe muba nga musaba Katonda kusalawo, okusalawo kuzze, era bwe muneekomako, ekyo kye kirungi gye muli, naye bwe munaddamu, nga naffe tuddamu, ate ekibinja kya mmwe tekigenda kubagasa kintu kyonna, ne bwe kiba kinene kitya, anti mazima Katonda ali wamu n’abakkiriza

    [20] Abange mmwe abakkiriza, mugondere Katonda n’omubakawe, temumuvangako, ate nga muwulira (bya bagamba)

    [21] Temubeera nga abo ab’agamba nti tuwulidde so nga tebawulira

    [22] Mazima e kiramu e kisinga obubi ewa Katonda, be ba kiggala, ba kasiru abo abatategeera

    [23] Singa Katonda yabamanyaamu akalungi konna, yaalibawulizza, ate ne bwe yaalibawulizza, baaliwuguse nebava ku mazima

    [24] Abange mmwe abakkiriza, mwanukule Katonda n’omubaka bwabayita okujja eri ekyo ekibawa obulamu, era mumanye nti, mazima Katonda, assa ekyawula wakati w’omuntu n’omutimagwe, so ng’ate bulijjo, mazima gyali gye mugenda okukunganyizibwa

    [25] Mutye e kikemo e kitagenda kukwata ku abo abeeyisa obubi mu mmwe bokka, era mumanye nti mazima Katonda muyitirivu wa kubonereza

    [26] Mujjukire we mwali abatono, nga muyisibwa bubi mu nsi, nga mutya abantu okubagajambula, n'abawa obubudamu, n’abawagira n’okutaasakwe, n’abagabirira mu birungi, olwo nno mube nga mwebaza

    [27] Abange mmwe abakkiriza, temukumpanyanga Katonda n’omubaka, nemukumpanya obuvunaanyizibwa bwa mmwe, ng’ate ddala mumanyi

    [28] Era mumanye nti mazima e mmaali ya mmwe, n’abaana ba mmwe kikemo, era nga bulijjo mazima ddala Katonda, alina empeera ensukkulumu

    [29] Abange mmwe abakkiriza, singa mutya Katonda, ajja kubasobozesa okwawula (wakati w’ekirungi n’ekibi) era abasanguleko e byonoono bya mmwe, era abasonyiwe, era nga bulijjo Katonda ye nannyini bigabwa e bisuffu

    [30] Era jjukira abo abaakaafuwala bwe baakukolera olukwe, bakusibe oba bakutte, oba bakugobe, nebasala olukwe, ne Katonda naayanukula olukwe olwo (n'abataasa), Katonda ali waggulu nnyo w’abasala enkwe

    [31] Bwe basomerwa e bigambo byaffe bagamba, nti mazima ffe ebyo twabiwulira dda, era singa tuba twagadde naffe tusobola okwogera nga ebyo (byoyogera), ebyo tebirina kye biri okugyako okuba enfumo z’a bedda

    [32] Era jjukira (ggwe Nabbi Muhammad abatakkiriza) bwe baagamba nti, ayi Mukama Katonda, gano (ebigambo by’a Muhammad )bwe biba nga g’emazima agavudde gyoli, tubonereze nenkuba nga y’amayinja okuva waggulu, oba tuleetere ebibonerezo e biruma ennyo

    [33] Naye Katonda teyali w’akubabonereza, nga naawe okyali nabo, era Katonda teyali w’akubabonereza nga beegayirira

    [34] Kale nga lwaki Katonda teyaalibabonerezza! ng’ate baziyiza (abantu) abakkiriza okutuuka eri omuzikiti ogw’emizizo, so nga tebabangako bakuumi baagwo, abakuumi baagwo, si balala okugyako abatya Katonda, wabula ddala abasinga obungi mu bo tebamanyi

    [35] Okusaba kwe basabira ku Kaaba temuli, anti kubeera kufuuwa mpa na kukuba mu ngalo, kale nno mukombe ku bukaawu bwe bibonerezo, olw'ebyo bye mwawakanyanga

    [36] Mazima abo abaakaafuwala, bawaayo e mmaali yaabwe, baggye abantu ku kkubo lya Katonda, kale bajja kugiwaayo, oluvanyuma ebafuukire e ky'okwejjusa, era bawangulwe, ng’ate abo abaakaafuwala, bagenda kukunganyizibwa batwalibwe mu muliro Jahannama

    [37] Olwo nno Katonda abe nga ayawula omubi ku mulungi, ababi abakasuke ku bannaabwe bonna babeere entuumu. Entuumu eyo agisse mu muliro Jahannama. Abo nno be baafaafaganirwa

    [38] Gamba abo abaakaafuwala, nti bwe baneekomako, baggya kusonyiyibwa e byakulembera, naye bwe banaddamu, ekyatuuka ku baasooka kimanyiddwa

    [39] Era mubalwanyise waleme kubeerawo bukaafiiri, e ddiini yonna ebeere y’a Katonda. Bwe baba beekomyeko, mazima ddala Katonda alaba bye bakola

    [40] Naye bwe batakola ekyo, mumanye nti mazima Katonda ye mukuumi wa mmwe, (era nga yye) ye mukuumi asinga era omutaasa asinga

    [41] Era mumanye nti omunyago gwonna gwemuba muggye ku mulabe, mazima kimu kyakutaano kyagwo kya Katonda, n’omubaka, nab’oluganda olw'okumpi olwa Nabbi, ne ba mulekwa, n’a banaku, n’omutambuze, bwe muba nga mwakkiriza Katonda n'ebyo bye twassa ku muddu waffe (Muhammad) ku lunaku Katonda lwe yayawula amazima ku bulimba, olunaku e bibinja e bibiri lwe byasisinkana (ku lutalo e Badri), bulijjo Katonda w’a buyinza ku buli kintu

    [42] Mujjukire e kiwonvu bwe mwakiri ku ludda oluli okumpi (n'ekibuga Madinah, nga ate abalabe ba mmwe bali mitala, ate nga n’a baali mu kibinja kya basuubuzi nga bali mu kifo ekiri wansi wa mmwe, singa mwali mulagaanye okusisinkana mwandiyawukanye ku ndagaano eyo, naye (mwasisinkana), Katonda alyoke atuukirize ekyo kye yasalawo okukolebwa, olwo nno oyo anaazikirira, azikirire nga azikirira lwa nsonga, n’asigadde nga mulamu asigale lwa nsonga, bulijjo mazima Katonda muyitirivu wa kuwulira, era mumanyi nnyo

    [43] Jjukira Katonda bwe yabakulaga (abalabebo) mu kirootokyo, nga batono, so nga singa yabakulaga nga bangi mwalinafuye ne mukubagana empawa mu kusalawo, naye mazima Katonda yabataasa, anti Katonda muyitirivu w'a kumanya ebiri mu bifuba bya mmwe

    [44] Era jjukira Katonda bwe yababalaga nga batono mu maaso ga mmwe, bwe mwasisinkana, mmwe naabafuula batono mu maaso gaabwe, Katonda alyoke atuukirize ekyo kye yasalawo okukolebwa, era bulijjo e nsonga zonna ewa Katonda gye zizzibwa

    [45] Abange mmwe abakkiriza bwe musisinkananga e kibinja kya balabe munywere, mwogere nnyo ku Katonda, mulyoke muwangule

    [46] Era mugondere Katonda n’omubakawe, temukubagananga e mpawa ne kibanafuya, nemuggwamu amaanyi, era mugumiikirize, anti Katonda ali wamu n'abagumiikiriza

    [47] Temubeera nga (abakaafiiri) abaafuluma mu mayumba gaabwe nga beekuluntaza n’okweraga eri abantu, era nga baziyiza abantu okuyingira mu ddiini y’a Katonda, nga bulijjo Katonda yeetoolodde ebyo byonna bye bakola

    [48] Jjukira Sitane bwe yabalaga bye baali bakola nti birungi, (Sitane) n'abagamba nti tewali muntu yenna waakubawangula olwa leero, era nti mazima nze nja kubataasa, naye ate e bibinja by’ombiriri bwe byasisinkana, Sitane neyeefuula, era naagamba nti, mazima nze siri nammwe, anti mazima nze ndaba bye mutalaba, era mazima nze ntya Katonda, nga bulijjo Katonda muyitirivu wa kubonereza

    [49] Jjukira abannanfusi n’abalina obulwadde mu mitima gyabwe bwe baagamba nti, e ddiini yaabo abakkiriza ebabuzizza, sso nga buli eyeekwasa Katonda (y’aba akoze e kituufu), anti mazima Katonda ye nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga

    [50] Singa olaba (ggwe Nabbi Muhammad) engeri malayika gye ziggyamu e myooyo gy’abakaafiiri, nga babakuba mu maaso gaabwe, ne ku migongo gyabwe, nga bwe babagamba nti, mukombe ku bukaawu bwe binorezo ebyokya

    [51] Ekyo ekibatuuseeko, kiva ku ebyo bye mwakola (mu bulamu bwensi) era nti mazima Katonda tayisa bubi baddube

    [52] (Ebyo ebituuse ku bakaafiiri) bifaanana n’ebyatuuka ku bantu ba Firawo, n'abo abaabakulembera, baawakanya ebigambo bya Katonda, Katonda naababonereza olw'e byonoono bya bwe, mazima ddala Katonda wa maanyi era muyitirivu wa kubonereza

    [53] Ebyo ebituuse ku bakaafiiri (bibasaanira), anti mazima Katonda takyusa kyengera kyaba awadde bantu, okutuusa nga bo bennyini bakyusizza embeera zaabwe, era nga bulijjo mazima Katonda muyitirivu wa kuwulira, mumanyi nnyo

    [54] Bafaanana nga abantu ba Firawo, n'abo abaaliwo oluberyeberye lwa bwe, baalimbisa e bigambo bya Mukama omulabirizi waabwe, netubazikiriza olw'ebibi bya bwe, netusaanyaawo abantu ba Firawo, era bonna baali beeyisizza bubi

    [55] Mazima ekiramu ekisinga obubi mu maaso g’a Katonda, beebo abaakaafuwala nekiba nti tebagenda kukkiriza

    [56] Abo bewakozesa endagaano, ate nebamenya endagaano yaabwe buli mulundi, era tebayinza kutya Katonda

    [57] Buli lwo bagwikirizanga mu lutalo, babonereze mu bukambwe, kibe ekyokutiisa, eri abo abalibaddirira, babe nga beebuulirira

    [58] Bwe weekengeranga obukumpanya mu bantu, baddize e ndagaano yaabwe mu lwatu, anti mazima ddala Katonda tayagala bakumpanya

    [59] Abo abaakaafuwala tebeeyibaalanga ne balowooza nti basimattuse ku Katonda, anti mazima bbo tebayinza kulemesa (Katonda)

    [60] Era mubeetegekere, nga mukozesa ekyo kyonna kye musobola mu by’okulwanyisa, nga e nfalaasi e ntendeke, era mutiise nakyo omulabe w’a Katonda era omulabe wa mmwe, n’abalala abatali abo be mutamanyi naye nga Katonda abamanyi, (mukutuukiriza ekyo), e kintu kyonna kye muwaayo mu kkubo lya Katonda, kigenda kubasasulwa mu bujjuvu, era temugenda kuyisibwa bubi

    [61] Singa bayaayaanira e mirembe naawe giyaayaanire, era weekwase Katonda, anti mazima yye awulira nnyo, mumanyi

    [62] Naye singa baba baagadde okukukwenyakwenya, akumalira byonna ye Katonda, anti yye yooyo eyakudduukirira n’akutaasa (era n’akuwagira) ng’akozesa abakkiriza

    [63] Era naagatta wakati w’emitima gyabwe, nga singa wawaayo ebiri mu nsi byonna, tewandigasse wakati w’a mitima gyabwe, naye mazima ddala Katonda yagatta wakati waabwe, anti mazima ddala yye ye nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga

    [64] Owange ggwe Nabbi, Katonda akumalira era naamalira n’abali naawe nga bakkiriza

    [65] Owange gwe Nabbi, kubiriza abakkiriza okugenda okulwana, kale nno mu mmwe bwe mubaamu amakumi abiri abagumiikiriza bawangula e bikumi bibiri, ate e kikumi mu mmwe bawangula lukumi, mu abo abaakaafuwala olw'okuba nti bo bantu abatategeera

    [66] Kaakati Katonda abawewulidde, era amanyi nti mazima mu mmwe mulimu obunafu, kale mu mmwe bwe mubangamu e kikumi ekigumiikiriza, bawangula e bibiri, ate olukumi mu mmwe bawangula e nkumi bbiri ku lwo kukkiriza kwa Katonda, nga bulijjo Katonda aliwamu n'abagumiikiriza

    [67] Tekisaanira Nabbi yenna kuba na bawambe okutuusa nga amaze okusimba amakanda mu nsi. (Bwe musalawo okutwala abawambe nga temunnanywera) muba mwagala bya kufuna byansi, ng’ate Katonda ayagala nkomerero, ate nga bulijjo Katonda ye nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga

    [68] Singa ssi kusalawo kwa Katonda oluberyeberye, mwandituusiddwako e kibonerezo e kikakali olw'ebyo bye mwatwala

    [69] Kale nno mulye mu ebyo bye mufunye, nga minyago ebiri Halal ate nga birungi, era mutye Katonda, mazima Katonda musonyiyi, musaazizi

    [70] Owange ggwe Nabbi gamba abawambe abali mu mikono gya mmwe nti, Katonda bwa naamanya nti mu mitima gya mmwe mulimu akalungi agenda kubawa e birungi e bisinga kw'ebyo ebyabaggyibwako era abasonyiwe, anti bulijjo Katonda musonyiyi, musaasizi

    [71] Naye bwe baba baagadde ku kukumpanya, mazima ba kumpanyadda Katonda, wabula yakuyamba n’obawangula, nga bulijjo Katonda amanyi nnyo, agoba nsonga

    [72] Mazima abo abakkiriza nebasenguka, ne balafuubana mu kkubo lya Katonda, nga bakozesa e mmaali yaabwe n’emyooyo gyabwe, era n’abo abaabudamya era ne bataasa (abaava e Mekkah) abo nno, abamu bateekwa okudduukirira bannaabwe. Ate abo abakkiriza nebatasenguka temuvunaanyizibwa ku kintu kyonna mu kubataasa, okutuusa nga basenguse. Naye bwe babakubira e nduulu ku nsonga eye ddiini, olwo nno muteekwa okubadduukirira okugyako nga bakaayagana n’abantu bemulina nabo e ndagaano. Nga bulijjo Katonda alaba bye mukola

    [73] Ate abo abaakaafuwala abamu mikwano gya bannaabwe, bwe mutaakikole (eky'okutaasa bannammwe bemuteekwa okukikolera), olwo wajja kubaawo obuzibu mu nsi n’okwonoona kungi

    [74] Era abo abakkiriza nebasenguka, nebalafuubana nga baweereza mu kkubo lya Katonda, n'abo abaabudamya nebataasa (abaava e Mekkah), abo nno be bakkiriza abannamaddala. Balina e kisonyiwo n’okugabirirwa okw'ettendo

    [75] Ate abo abakkiriza, oluvanyuma ne balafuubana wamu nammwe mu kkubo lya Katonda, abo nno ba mu mmwe, naye nga ab'oluganda abamu ku bo be basinga okukwatibwako ensonga z’a bannaabwe. Ebyo nga biri mu kitabo kya Katonda. Nga bulijjo mazima Katonda mumanyi wa buli kintu

    Okwenenya

    Surah 9

    [1] Kino kirango ekiva ewa Katonda n’omubakawe, eri abo be mwakola nabo e ndagaano, mu bagatta e bintu e birala ku Katonda

    [2] (Kati muweereddwa e ddembe ddembe) kale mutambule mu nsi e bbanga lya myezi ena, era mukimanye nti mazima ddala mmwe temuyinza kulemesa Katonda, era ddala, nga bulijjo Katonda aswaza abakaafiiri

    [3] Era kuno kulangirira okuva eri Katonda n’omubakawe, okuteekwa okutuusibwa eri abantu, ku lunaku olukulu olwa Hijja, nti mazima Katonda amenyeewo e ndagaano zonna ezaakolebwa n'abo abagatta ku Katonda e bintu e birala, n’omubakawe bwatyo azimenyeewo, naye singa mwenenya ekyo kye kirungi gye muli, wabula singa mugaana mumanye nti mazima mmwe temusobola kulemesa Katonda, era (ggwe Muhammad) abo abaakaafuwala bawe amawulire ag’ebibonerezo e biruma

    [4] Okugyako abo be mwakola nabo e ndagaano mu bagatta ku Katonda e bintu e birala, oluvanyuma ne batamenya katundu konna mu ndagaano eyo, era nebatayamba muntu yenna abalwanyisa. (abo) mubajjulize e ndagaano yaabwe okutuusa e kiseera kya bwe lwe kiggwako, anti mazima ddala Katonda ayagala nnyo abamutya

    [5] Emyezi egy'emizizo bwegiggwako, mutte abo abagatta e birala ku Katonda, wonna wemubagwikiriza, era mubawambe, era mubataayize, era mubateege mu buli kkubo, kyokka bwe beenenya, nebayimirizaawo e sswala, nebatoola zzaka, olwo nno mubaleke, anti mazima Katonda musonyiyi, musaasizi

    [6] Singa omuntu yenna mu abo abagatta ku Katonda e bintu e birala akusaba okumuwa obubudamu, bumuwe, kimuyambe okuwulira e bigambo bya Katonda, oluvanyuma mutuuse mu kifo waabeerera mu mirembe, ekyo nno lwa kuba nti mazima bbo bantu abatamanyi

    [7] Kisoboka kitya okubaawo e ndagaano wakati w’a bagatta ku Katonda e bintu e biralala, ne wakati wa Katonda n’omubaka we! mpozzi abo be mwakola nabo e ndagaano mu kifo awali omuzikiti ogw’e mizizo, kale e bbanga lye bamala nga beesimbu gye muli nammwe muteekwa okubeera abeesimbu gye bali mazima Katonda ayagala abamutya

    [8] Ngeriki (bwe wayinza okubaawo e ndagaano wakati wa mmwe nabo) so nga bwe baba babawangudde tebafa ku ndagaano wadde oluganda lwe mulina nabo, babasiimiikiriza n’ebigambo bya bwe, so nga e mitima gy’abwe tegiri nammwe ng’ate abasinga obungi mu bo, boonoonyi

    [9] Batunda e bigambo bya Katonda omuwendo ogwa layisi (ku nsi) ekyabaviirako okuziyiza (abantu) ku kkubo lya Katonda, mazima bo bibi ebyo bye baali bakola

    [10] Tebafa ku mukkiriza yenna keebe ndagaano oba oluganda, era abo be baasukka e nsalo (za Katonda)

    [11] Naye (awamu n'ekyo) bwe baba beenenyezza (nebava ku bikolwa ebyo) ne bayimirizaawo e sswala nebawa zzaka, olwo nno baba bafuuse baganda ba mmwe mu ddiini, era bulijjo tunnyonnyola mu bulambulukufu e bigambo byaffe eri abantu abamanyi (abeegasa nabyo)

    [12] (Wabula ate) bwe bamenya e birayiro bya bwe, oluvanyuma lw'endagaano gye baakola, nebajerega e ddiini ya mmwe, olwo nno mulwanyise abakungu mu bukaafiiri, anti mazima bbo, tebakuuma birayiro, balyoke beekomeko

    [13] Kiki ekibagaana okulwanyisa abantu abamenya e ndagaano zaabwe, nebaagala n’okugoba omubaka (mu Makkah), ate nga bo bennyini b’e baabasosonkereza omulundi ogwasooka, abaffe mutya batye, Katonda yaasaanira okuba nga mumutya bwe muba nga ddala muli bakkiriza

    [14] Mubalwanyise, Katonda ababonereze n’emikono gya mmwe, era abakkakkanye era mmwe abataase ku bo, aweweeze ekyo ekiri mu mitima gya bakkiriza

    [15] Era amalewo obukyayi bw’emitima gya bwe, era Katonda akkirize okwenenya kw’oyo gwaba ayagadde, bulijjo Katonda muyitirivu w’a kumanya, mugoba nsonga

    [16] Abaffe, musuubidde okuba nga mulekebwa (nemutagezesebwa), Katonda abe nga amanya abo abaalafuubana mu mmwe (olw'ediini), nebateeteerawo wa mukwano yenna atali Katonda, oba omubakawe, oba abakkiriza, bulijjo Katonda amanyidde ddala ebyo bye mukola

    [17] Abagatta ku Katonda e bintu e birala tebakkirizibwa kuzimba mizikiti gya Katonda, nga nabo bennyini beewaako obujulizi nti bakaafiiri, abo e mirimu gya bwe gyonna mifu, era nga mu muliro mwe bagenda okutuula obugenderevu

    [18] Mazima ddala azimba e mizikiti gy’a Katonda, yooyo akkiriza Katonda n’olunaku lw'enkomerero, n’ayimirizaawo e sswala, n'atoola zzaka, era n’atatya okugyako Katonda, abo nno be bookubeera mu balungamu

    [19] Muddira mutya okuwa ba Hajji amazzi n’okulabirira omuzikiti ogw’e mizizo ne mukyenkanya n'oyo akkiriza Katonda n’olunaku lw'enkomerero! era naalafuubana mu kuweereza mu kkubo lya Katonda, tebayinza kwenkana mu maaso g’a Katonda, era bulijjo Katonda talungamya bantu beeyisa bubi

    [20] Abo abakkiriza, nebasenguka, era ne balafuubana mu kuweereza mu kkubo lya Katonda nga bakozesa e mmaali yaabwe n'emyoyo gyabwe, be basinga amadaala ag’a waggulu ewa Katonda, era abo, bo be b'okwesiima

    [21] Mukama omulabirizi waabwe abasanyusa nga bwagenda okubawa okusaasira, n’okusiima ebiva gyali, era abawe e jjana, mwe balifunira e byengera e bitakoma

    [22] Baakubeera mu zo olubeerera, mazima Katonda yekka yaalina e mpeera e nsukkulumu

    [23] Abange mmwe abakkiriza, bakadde ba mmwe ne baganda ba mmwe, temubafuulanga mikwano gya mmwe egy'omunda, kavuna bakulembeza obukaafiiri ku bukkiriza, oyo yenna mu mmwe abafuula mikwanogye ab'omunda, abo nno be beeyisa obubi

    [24] Gamba nti bakadde ba mmwe n’abaana ba mmwe, ne baganda ba mmwe, ne bemwafumbiriganwa nabo, n’aboluganda lwa mmwe, n’ebyobugagga bye mukungaanya, n’ebyobusuubuzi bye mutya okudiba kwabyo, n’amayumba agabasanyusa, ebyo byonna bwe biba nga bye mwagala e nnyo okusinga Katonda n’omubakawe, n’okulafuubana okuweereza mu kkubolye, olwo nno mulindirire okutuusa Katonda lwanaaleeta e kiragirokye, era Katonda talungamya bantu boonoonyi

    [25] Mazima Katonda yabataasa mu bifo bingi, ne ku lunaku lw'olutalo lwe Hunaini, obungi bwa mmwe bwe bwabasigula nebutabagasa kintu kyonna. Ensi yabafundirira awamu n’obugazi bwayo n’ekyaddako mwakyuka ne mussaako kakokola tondeka nnyuma

    [26] Oluvanyuma Katonda yassa obuteefu ku mubakawe, ne ku bakkiriza era nassa amagye gemutaalaba, era naabonereza abo abaakaafuwala. Era nga bulijjo empeera y’abakafiiri bwetyo bweba

    [27] Oluvanyuma lw'ekyo Katonda akkiriza okwenenya kw'oyo gwaba ayagadde, era bulijjo Katonda musonyiyi, musaasizi

    [28] Abange mmwe abakkiriza (mukimanye nti), mazima abagatta ku Katonda e bintu e birala bajama, tebasembereranga omuzikiti ogw’emizizo oluvanyuma lw’omwaka gwabwe guno. Bwe muba mutidde bwavu, Katonda bwanaaba ayagadde ajja kubagaggawaza nga aggya mu bigabwabye, anti mazima Katonda mumanyi nnyo mugoba nsonga

    [29] Mulwanyise abo abatakkiriza Katonda, wadde olunaku lw'enkomerero. Era nga tebaziza ebyo Katonda n’omubakawe bye baafuula Haramu. Era nebatagoberera ddiini entuufu, nga bava mu abo abaaweebwa e kitabo, okutuusa nga bawadde omusolo nga buli omu yaagweweera, balabike nga bakkakkanyiziddwa

    [30] Abayudaaya baagamba nti Uzairu mwana wa Katonda, ate Abanaswara ne bagamba nti Masiya mwana w’a Katonda, ekyo kigambo kyabwe kye boogera n’emimwa gyabwe, nebifaanana e kigambo ky'abo abaakaafuwala oluberyeberye. Katonda yabakolimira, bawugulwa batya (okuva ku mazima)

    [31] Bafuula ba kabona baabwe n’a basosodooti okuba abasinzibwa, nebaleka Katonda. Mu ngeri y’emu ne Masiya mutabani wa Mariam baamufuula bwe batyo, so ng’ate tebaalagirwanga okugyako okusinza Katonda omu. Tewali kisinzibwa kyonna okugyako ye, musukkulumu nnyo kw'ebyo bye bamugattako

    [32] Baagala okuzikiza e kitangaala ky’a Katonda, nga bakozesa e mimwa gyabwe, ne Katonda takkiriza okugyako okujjuza ekitangaalakye, newaakubadde nga abakafiiri tebayagala

    [33] Katonda, yye yooyo eyatuma omubakawe nga amuwadde obulungamu n’eddiini ey’amazima, abe ng’a agiraga nga bweri waggulu we ddiini e ndala zonna newaakubadde nga abagatta ku Katonda e bintu e birala tebakyagala

    [34] Abange mmwe abakkiriza, mazima bangi mu ba kabona, n’a basosodooti balya e mmaali y’abantu mu bukyamu, era nebaziyiza abantu okutuuka ku kkubo lya Katonda. N’abo bonna abakungaanya zaabu ne feeza ne batabiwaayo mu kkubo lya Katonda, basanyuse n’ebibonerezo ebiruma ennyo

    [35] Ku lunaku (e mmaali eyo) lwe liyengerezebwa mu muliro Jahannama, e byenyi byabwe nembiriizi zaabwe n’emigongo gyabwe nebyokebwa nayo, (nga bwe bakomekkerezebwa nti) bino bye mwetegekera, mukombe ku bukaawu bw'ebyo, bye mwaterekanga

    [36] Mazima omuwendo gw'emyezi ew’a Katonda giri emyezi kkumi n'ebiri, bwe kityo bwe kiri mu biwandiiko bya Katonda, okuva ku lunaku Katonda lwe yatonda e ggulu omusanvu ne nsi. Ena ku gyo gy’amizizo, eyo nno y’e ddiini e nnambulukufu, temweyisanga bubi mu gyo, era mulwanyise abagatta ku Katonda e bintu e birala bonna, nga nabo bwe babalwanyisa mwenna, mumanye nti mazima Katonda bulijjo abeera n’a bamutya

    [37] Mazima okuwaanyisa e myezi egy'emizizo kyongera bukaafiiri, babuzibwa nakyo abo abaakaafuwala nga bakkiriza okugirwaniramu mu mwaka, ate omwaka omulala nebagiziza, basobole okujjuza omuwendo gwe myezi Katonda gye yaziza, mu kukola ekyo nebaba nga bafuula Halali Katonda kye yafuula Haramu. Ebikolwa byabwe e bibi bya balabikira okuba nga bye birungi, nga bulijjo Katonda talungamya bantu bakaafiiri

    [38] Abange mmwe abakkiriza mwabaaki! bwe babagamba nti mufulume mulafuubane mu kuweereza mu kkubo lya Katonda, muwulira nga muzitoye ne musalawo kutuula ku ttaka, musazeewo kugenda na bulamu bwansi okusinga e nkomerero! naye obulamu bwensi bwe bugeraageranyizibwa ku bw'enkomerero tebuba, okugyako kantu katono nnyo

    [39] Bwemutagenda (ku lutalo) (Katonda) agenda kubabonereza e bibonerezo e biruma ennyo, ate asseewo abantu abalala mu kifo kya mmwe, era temuyinza ku mutuusaako kabi konna, nga bulijjo Katonda muyinza wa buli kintu

    [40] Bwe mutamutaasa (Nabbi Muhammad), mazima Katonda yamutaasa mu kiseera abakaafiiri bwe baamufulumya nga y’omu ku babiri, webaabeerera mu mpuku, mu kiseera weyagambira munne nti tonakuwala mazima Katonda ali wamu naffe, awo nno Katonda naamussaako obutebenkevubwe, era naamudduukirira neggye lye mutaalaba. E kigambo ky'abo abaakaafuwala n’akifuula ekya wansi, ssi nga ekigambo kya Katonda kyo kye kya waggulu, bulijjo Katonda ye nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga

    [41] Mufulume n’ebyokulwanyisa e bitonotono oba e bizito, mulafuubane nga muweereza mu kkubo lya Katonda, nga mukozesa e mmaali ya mmwe nemy’oyo gya mmwe, ekyo nno ky’ekirungi gye muli, bwe muba nga mumanyi

    [42] Singa byali byanfuna nga biri kumpi, nga n’olugendo lwangu, baalikugoberedde, naye olugendo lwabayitirirako era bajja kulayira Katonda nga bagamba nti, singa twabadde tusobola twandigenze na mmwe, mukwogera ekyo nebaba nga bazikiriza myoyo gyabwe, anti Katonda amanyi nti mazima bo balimba

    [43] Katonda akusonyiwe (Ggwe Muhammad) lwaki wabakkiriza okusigala n’otalinda kumala kumanyira ddala ab'amazima, era n’omanya abalimba

    [44] Abo abakkiriza Katonda n’olunaku lw'enkomerero, tebayinza kukusaba kubaggyako luwalo lwa kugenda kulafuubana mu kkubo lya Katonda, nga bakozesa e mmaali yabwe, n’emyoyo gyabwe, era Katonda amanyidde ddala abo abamutya

    [45] Mazima abo abatakkiriza Katonda n’olunaku lw'enkomerero, be bakusaba okubakkiriza obutagenda ku lutabaalo, n’emitima gyabwe gibuusabuusa, bonna mu kubuusabuusa kwabwe mwebabeera nga tebayinza kusalawo

    [46] Singa baali baagadde kugenda ku lutalo, baalirwetegekedde okwetegeka okwetaagisa, naye Katonda teyayagala kugenda kwa bwe, n’olwekyo n’atabasobozesa, olwo nno nebalangirira nti, musigale n’abasigadde

    [47] Singa baagendera mu mmwe, tebandibongedde okugyako bizibu, era bandibungeesezza e ngambo mu mmwe, nga babaagaliza akabi, ate nga ne mu mmwe mwandibaddemu ababawuliriza, Katonda amanyi nnyo ebikwata ku bantu abeeyisa obubi

    [48] Mazima baayagala dda okukuleetera akabi ne bakutabangulira e bintu, okutuusa amazima lwe gajja n’ekigambo kya Katonda nekyeyoleka, nga nabo tebaagala

    [49] Mu bo mulimu omuntu agamba nti, nsaba onzikirize nneme kugenda ku lutalo, era tonteeka mu kikemo, abange abo nno mu kikemo mwennyini mwe baagwa, mazima omuliro Jahannama gwetoolodde abakaafiiri

    [50] Bwotuukibwako e kirungi, kibanakuwaza, ate bw’otuukibwako e kibi, bagamba nti, ffe ekyo twakirabirawo ne tukyekeengera, olwo nno nebadda mu maka gaabwe nga basanyufu

    [51] (Ggwe Muhammad) gamba nti tewali kitutuukako okugyako Katonda kye yatuwandiikako, yye, ye mutaasa waffe, abakkiriza Katonda yekka gwe bateekwa okwesiga

    [52] Gamba (ggwe Muhammad), mulina kye musuubira okututuukako ekitali e kimu ku birungi e bibiri (okuwangula olutalo oba okuwangulwa netuyingira e jjana), ng’ate ffe tubalindiridde Katonda abatuusaako ebibonerezo okuva gyali, oba abibatuseeko ng’abiyisa ku mikono gyaffe, kale mulindirire naffe tulindirira wamu na mmwe

    [53] Gamba (ggwe Muhammad), kamuweeyo mu mmaali ya mmwe mu ngeri y’akyeyagalire oba ey’obuwaze, (okugaba kwa mmwe okwo) tekugenda kukkirizibwa kuva gye muli, anti mazima ddala mmwe muli abantu aboonoonyi

    [54] Tewali kyagaanyisa kuwaayo kwabwe kukkirizibwa, okugyako okuba nti, mazima ddala bo baagyemera Katonda n’omubakawe, era tewali lwe bagenda kusaala okugyako nga bagayaavu, era tebawaayo okugyako lwa buwaze

    [55] Emmaali yaabwe n’abaana baabwe tebikuyigula ttama, anti mazima Katonda ayagala kubabonereza nabyo mu bulamu obw'ensi, era batuuke okussa omukka ogusembayo nga bakaafiiri

    [56] Era balayira Katonda nti, mazima bo ba mu mmwe, naye ssi ba mu mmwe, mazima bo, bantu batiitiizi

    [57] Singa bafuna obuddukiro, oba e mpuku, oba e kifo aweekukumwa, bandidduse okugenda gye kiri nga baduma

    [58] Ate mu bo mulimu abakusongamu e mimwa ku nsonga ya saddaaka, bwe baweebwako basiima, ate bwe bataweebwa, olwo nno nebasunguwala

    [59] Singa bamatira n'ekyo Katonda n’omubakawe kye baabawa, era ne bagamba nti Katonda waffe atumala, Katonda ajja kutuwa mu bigabwabye e bingi n’omubakawe bwatyo, anti mazima ddala ffe ewa Katonda gye tuyaayaanira okudda

    [60] Mazima ddala saddaaka (zzaka) eweebwa abaavu, n’abanaku, n’abagikolako, naabo e mitima gyabwe egisikirizibwa, (abaakasiramuka), ne mu kununula abaddu, n’abo amabanja begatuuse mu bulago, ne mu kulafuubana mu kuweereza mu kkubo lya Katonda, n’omutambuze, ebyo byonna nga y'engereka y’a Katonda, era bulijjo Katonda amanyi nnyo, mugoba nsonga

    [61] Era mu bo, mulimu abo abanyiiza Nabbi nga bagamba nti, yye awuliriza buli kimu, gamba nti awuliriza lwa bulungi bwa mmwe, akkiriza Katonda, era yeesiga abakkiriza, era yye kya kusaasira eri abo abakkiriza mu mmwe, bo abo abanyiiza omubaka wa Katonda, bagenda kutuukwako e bibonerezo e biruma

    [62] Babalayirira Katonda babasanyuse, so nga Katonda n’omubaka beebasinga okusaanira okusanyusibwa singa (abantu abo) babadde bakkiriza

    [63] Abaffe, tebamanyi nti mazima ddala omuntu eyeesimba mu Katonda n’omubakawe, mazima wa kuyingizibwa omuliro Jahannama, nga w’akubeera mu gwo bugenderevu, obwo bwe buswavu obuyitirivu

    [64] Abannanfunsi beekengera okussibwako e Ssura, nga ebategeeza ebiri mu mitima gyabwe, gamba (ggwe Nabbi Muhammad nti), mugira mubiyita eby'olusaago, mazima Katonda ajja kwanika ebyo bye mwekengera

    [65] Singa obabuuza (lwaki bajerega abakkiriza), bajja kugambira ddala nti, mazima twabadde mu lwali na kuzannya, gamba (ggwe Muhammad) Katonda, n’ebigambobye n’omubakawe, bye mwabadde mujerega

    [66] Temwetonda mazima mukaafuwadde oluvanyuma lw’obukkiriza bwa mmwe, bwe tusonyiwa e kitundu ku mmwe (olw'okwetonda), tuba tulina okubonereza e kitundu e kirala ekiteetonze, olw'okuba nti mazima bo baali boonoonyi

    [67] Abannanfunsi abasajja n’abannanfusi abakazi beebamu, balagira okukola e mpisa e mbi, ne bagaana (abantu) okukola e mpisa e nnungi, era bafunya e mikono gyabwe (bakodo) beerabira Katonda naye naabalekerayo, mazima abannanfusi, bo be boonoonyi

    [68] Abannanfusi abasajja n’abannanfusi abakyala, n’abakaafiiri, Katonda ya balagaanyisa omuliro Jahannama, baakugubeeramu obugenderevu, ggwo gwe gw'okubamala era Katonda yabakolimira era balissibwako e bibonerezo eby'olubeerera

    [69] Bafaananako nga abo abaaliwo oluberyeberye lwa mmwe, baali ba maanyi nnyo okusinga mmwe, era nga beebasinza e mmaali n’abaana, olwo nno ne beeyagala olw'ebyo bye baafuna nga nammwe bwe mweyagadde olw'ebyo bye mufunye, nga abaabakulembera bwe beeyagala olw'ebyo bye baafuna, era ne mudda mu kukuba olwali nga bali lwe baalimu, abo nno e mirimu gya bwe gyayonooneka ku nsi ne ku nkomerero, era abo be b'okufaafaaganirwa

    [70] Abaffe e kigambo ky'abo abaabakulembera tekyabatuukako! abantu ba Nuuhu, n’aba A’adi, n’a ba Thamud, n’abantu ba Ibrahim, n’abantu b’o mu kitundu kye Madiyana, n’abantu b’o mu bitundu ebyavuunikibwa (aba Nabbi Luutu)ababaka baabwe baabajjira n’ebigambo bya Katonda e binnyonnyofu, oluvanyuma lw'ebyo Katonda si ye yabayisa obubi, naye bbo bennyini be beeyisa obubi

    [71] Abakkiriza abasajja n’abakkiriza abakazi, abamu mikwano gya bannaabwe, balagira okuyisa obulungi, ne baziyiza okuyisa obubi, era ne bayimirizaawo e sswala ne batoola zzaka, era ne bagondera Katonda n’omubakawe, abo Katonda ajja kubasaasira. Anti mazima ddala Katonda nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga

    [72] Katonda yalagaanyisa abakkiriza abasajja, n’abakkiriza abakazi e jjana ezikulukutiramu e migga, b’akubeera mu zo bugenderevu, era baliweebwa e bisulo e birungi mu jjana ez’olubeerera, nga n'ekisingira ddala, bagenda kufuna okusiima okuva ewa Katonda, era ekyo kwe kwesiima okusukkulumu

    [73] Owange ggwe Nabbi, lwanyisa abakaafiiri, n’abannanfusi era obakaluubirize, era obuddo bwa bwe muliro Jahannama, era buddo bubi nnyo

    [74] Balayira Katonda nti tebabyogerangako, naye nga mazima baayatula e kigambo ky'obukaafiiri, olwo nno nebafuuka abakaafiiri oluvanyuma lw'okuba nti baali basiraamu, nebagezaako nnyo okukola kye baali tebasobola kutuukiriza (eky'okutta Nabbi), tewali kyabakozesa mpalana okugyako okuba nti Mukama Katonda n’omubakawe baabagonnomolako e bigabwa bya Katonda, kale nno singa beenenya kiba kirungi gye bali, naye bwe batakikola Katonda agenda ku babonereza olubonereza oluluma ennyo ku nsi, ne ku nkomerero, era nga tebalina ku nsi mukuumi yenna oba mutaasa

    [75] Era mu bo mulimu abo abaalagaanyisa Katonda nga bagamba nti, singa atuwa mu bigabwabye, mazima tujja kusaddaakako era tujja kubeerera ddala mu balongoofu

    [76] Bwe yabawa ku bigabwabye, baabikodowalira, nebava ku kiragaanye, mu kukola ekyo nebaba nga baava ku ndagaano

    [77] N’olwekyo ekyaddirira Katonda nannyikiza obunnanfusi mu mitima gy’abwe, okutuusa ku lunaku lwe balimusisinkana, olw'okuba nti baayawukana ku kye baalagaanyisa Katonda, ne ku lw'ebyo bye baali balimbisa

    [78] Abaffe tebaamanya nti mazima Katonda amanyi e byama byabwe n’emboozi zaabwe ez’olwatu, era nga mazima amanyidde ddala e byekusifu

    [79] Abo abavumirira abakozi b’obulungi mu bakkiriza olw'okuwaayo saddaaka, era nebavumirira n'abo abatasobola kufuna okugyako akatono, nekibatuusa n’okubagyegya, Katonda abaziimuula era bagenda kussibwako e bibonerezo e biruma

    [80] Koobeegayiririre oba tobeegayiririra, nebwonaabeegayiririra e mirundi nsanvu Katonda tagenda kubasonyiwa, ekyo nno lwa kuba nti mazima bbo, baawakanya Katonda n’omubakawe, era nga bulijjo Katonda talungamya bantu boonoonyi

    [81] Abaayawukana ku Nabbi baasanyuka olw'okusigala nga batudde, nga baawukanye ku mubaka w’a Katonda, nebatamwa okulwana ne mmaali yaabwe, n’emyooyo gyabwe mu kkubo lya Katonda, era nebagamba bannaabwe temugezaako nemugenda mu bbugumu, bagambe nti omuliro Jahannama gwe gusinga okwokya singa babadde bategeera

    [82] Kale nno basaana baseke kitono (mu bulamu obw'ensi), ate bakaabe nnyo (ku nkomerero), nga y'empeera gye bagenda okusasulwa olw'ebyo bye baali bakola

    [83] Singa Katonda anaakuzza eri e kibinja mu bo (e Madinah), nebakusaba okufuluma (ku lutabaalo), bagambe nti temugenda kuddayo kufuluma nange, era temugenda kulwanyisa mulabe yenna nga muli nange, mazima mmwe mwasalawo obutagenda omulundi ogwasooka, kale mubeere naabo abaanjawukanako

    [84] Era tosaaliranga oyo yenna aba afudde mu bo, era toyimiriranga ku kabbuliye, anti mazima bbo baagyemera Katonda n’omubakawe, era ne bafa nga boonoonyi

    [85] Obungi bwe mmaali yaabwe n’abaana baabwe tebukwewuunyisa. Katonda kyagenderera mu byo kubabonereza kuno ku nsi, era batuuke okufa nga bali ku bukaafiiri

    [86] Essura bwe ssibwa nga ebalagira nti mukkirize Katonda, era mulafuubane mu kuweereza mu kkubolye nga muli n’omubakawe, abagagga mu bo bakusaba obasonyiwe, nebagamba nti, tuleke tubeere n’abatagenze

    [87] Baasiima okubeera awamu n’abaasigala. Emitima gyabwe negizibikirwa, ne baba nga tebasobola kutegeera

    [88] Naye mazima omubaka n’abo abakkiriza abali awamu naye balafuubana mu kuweereza mu kkubo lya Katonda nga bakozesa e mmaali yaabwe, n’emyoyo gyabwe, era abo balina obulungi, era abo bbo be balituuka ku buwanguzi

    [89] Katonda yabategekera e jjana ezikulukutiramu e migga, baakubeeramu bugenderevu, ekyo nno kwe kwesiima okusuffu

    [90] Abawarabu ba nnamalungu ne bajja eri Nabbi nga beetonda, babe nga bakkirizibwa obutagenda ku lutalo, ate abo abaalimbisa Katonda n’omubakawe, bo baatuula butuuzi (awatali kuwa nsonga yonna), abo abaakaafuwala mu bo, bagenda kutuukwako e bibonerezo ebiruma ennyo

    [91] Abanafu n’abalwadde, n’abo abatasobola kufuna kye bawaayo, tewali kibavunaanwa kasita baba nga bakola ku lwa Katonda n’omubakawe, abakozi b’obulungi (ng’abo) tewali wooyita kubassaako musango, nga bulijjo Katonda musonyiyi, musaasizi

    [92] Era tewali musango ne kw'abo abakujjira obafunire engeri gy’obatwalamu ku lutalo, noogamba nti sirina ngeri gye mbatwalamu, nebava wooli ng’amaaso gaabwe gakulukuta amaziga olw'ennaku y’okuba nti tebayinza kufuna kye bawaayo

    [93] Mazima okuvunaana, kubeera kw'abo abaakusaba obutagenda ate nga bagagga, baasalawo babe naabo abasigadde, Katonda nassa e nvumbo ku mitima gyabwe, tebayinza kumanya (nsonga ntuufu)

    [94] (Abo abaabaawukanako ku lutalo lwe Tabuk) bajja kubeetondera (nga balimba), bwe munaaba muzzeeyo gye bali bagambe (gwe Nabbi Muhammad) nti temwetonda tetujja kukkiriza kwetonda kwa mmwe, anti mazima Katonda yatutegeeza ebibakwatako, Katonda ajja kulaba ebikolwa bya mmwe n'omubakawe ajja kubiraba, oluvanyuma muli baakuzzibwa eri omumanyi w'ebyekwese n'ebyolwatu, olwo nno Katonda alyoke abategeeze ebyo bye mwali mukola (ku nsi)

    [95] (Abo abaakwawukanako ku lutalo lwe Tabuk) bajja kubalayirira Katonda bwe munaaba muzzeeyo gye bali muleme kubaako bye mubanenya, kale mubaleke anti mazima bo banyoomebwa nga n'obuddo bwa bwe muliro Jahannama nga y'empeera y'ebyo bye baali bakola

    [96] Babalayirira balyoke babasiimiikirize naye bwe munaaba mukkiriza okusiimiikiriza kwabwe, mazima ye Katonda takkiriza kusiimiikiriza kwa bantu aboonoonyi

    [97] Ba nnamalungu be basinga obukaafiiri n'obunnanfusi era be basinga obutamanya bikomo bya Katonda bye yassa ku Mubakawe, Katonda mumanyi nnyo mugoba nsonga

    [98] Mu ba nnamalungu mulimu abo abalaba kye baba bawaddeyo kyonna mu kkubo lya Katonda nga kufiirwa era nga babaagaliza bizibu naye nga e bizibu bya kutuuka ku bo, (sso si ku mmwe), Katonda awulira nnyo era muyitirivu wa kumanya

    [99] Era mu ba nnamalungu mulimu abakkiriza Katonda n'olunaku lw'enkomerero era nga ne bye baba bawaddeyo mu kkubo lya Katonda babibala nga bya kubatuusa ku kusiima kwa Katonda n'omubaka okubasabira (obulungi). Kituufu ebyo bye baba bawaddeyo bibatuusa ku kusiima kwa Katonda, Katonda ajja kubayingiza (e jjana) ekifo ky'okusaasirakwe.Anti mazima Katonda musonyiyi nnyo musaasizi

    [100] N'abo abaasookera ddala okukkiriza mu baasenguka okuva e Makkah ne ba Answari (abaataasa Nabbi) n'abo abaabagoberera mu kukola obulungi, Katonda yabasiima nabo ne bamusiima, era Katonda yabateekerateekera e jjana ezikulukutiramu e migga nga baakubeera mu zo olubeerera, okwo nno kwe kwesiima okusukkulumu

    [101] Ne mw'abo ababeetoolodde mu ba nnamalungu mulimu abannanfusi ne mu batuuze be Madinah mulimu abaagugubira ku bunnanfusi, nga ggwe tobamanyi, ffe nno tubamanyi. Tujja kubabonereza e mirundi e biri (kuno ku nsi n'okubaswaza n'ebibonerezo byo mu Kabuli oluvanyuma lw'okufa), oluvanyuma baakuzzibwa eri e bibonerezo e bisuffu

    [102] (Waliwo) N'abalala abakkiriza e bibi byabwe, baatabula e mirimu e mirungi n'emirala e mibi. Ob'olyawo Katonda ajja kubasonyiwa (olw'okwetonda kwa bwe) anti mazima Katonda muyitirivu wa kusonyiwa era muyitirivu wa kusaasira

    [103] (Abo abeetonda mu bo) gya mu mmaali yaabwe Saddaaka obatukuze era obalongoose nayo. Era basabire (Katonda abasonyiwe) anti mazima okusaba kwobasabira mirembe gye bali, Katonda awulira nnyo mumanyi nnyo

    [104] Tebamanyi nti mazima Katonda yye, yakkiriza okwenenya kwa baddube era nti yakkiriza Saddaaka era nti mazima Katonda yye yakkiriza okwenenya era omusaasizi ennyo

    [105] Bagambe (Ggwe Nabbi Muhammad) nti mukole, Katonda ajja kulaba e mirimu gya mmwe n’omubakawe n’abakkiriza era nga muli ba kuzzibwa eri omumanyi w'ebitalabikako n'ebirabikako olwo alyoke abategeeze, ebyo bye mwali mukola

    [106] (N'abalala mw'abo abaakwawukanako ku lutalo lwe Tabuk) baalekerwa kusalawo kwa Katonda, oba agenda kubabonereza oba alikkiriza okwenenya kwa bwe. Mazima Katonda mumanyi nnyo mugobansonga

    [107] N'abo (Abannanfusi) abaateekawo omuzikiti ogw'obulabe n’olwobukaafiiri, era n’olwokwawulayawula mu bakkiriza n’olwokutegekera oyo eyalwanyisa Katonda n'omubakawe oluberyeberye, era bajja kulayirira ddala nti tetulina kigendererwa okugyako obulungi, so nga Katonda amanyi nti mazima bo balimbira ddala

    [108] Bulijjo toyimiriranga (Ggwe Nabbi) okusaalira mu gwo, mazima omuzikiti ogwazimbibwa ku musingi ogw'okutya Katonda kuntandikwa gw'oteekwa okusaalirangamu, mu muzikiti ogwo mulimu abasajja abaagala okwetukuza, anti bulijjo Katonda ayagala abeetukuza

    [109] Abaffe oyo eyatandika omusingi gw'ekizimbekye ku lw'ekigendererwa ky'okutya Katonda n'okusiimakwe yaasinga obulungi oba oyo eyatandikawo omusingi gw'ekizimbekye ku nsonda y'ekifunvu nekimusuula mu muliro Jahannama, Katonda talungamya bantu beeyisa bubi

    [110] Ekizimbe Abannanfusi kye baazimba kijja kusigala nga kya kubuusabuusa mu mitima gya bwe okutuusa okufa kwa bwe, Katonda mumanyi nnyo mugoba nsonga

    [111] Mazima Katonda yagula ku bakkiriza obulamu bwa bwe ne mmaali ya bwe nga ddala agenda kubasasulamu jjana olw'okuba nti balwana mu kkubo lya Katonda ne batta era nga nabo battibwa eyo nga ndagaano gye yeekakasaako mu Taurat mu Injil ne mu Kur’ani ate ani ayinza okutuukiriza e ndagaano ye okusinga Katonda, kale nno musanyuke n'obuguzi bwe mugulaana era okwo kwe kwesiima okusukkulumu

    [112] (Abagwa mu kiti ekyo) beebo abeenenyeza Katonda abasinza Katonda abatendereza Katonda, abatambula mu nsi ku lw'okuweereza Katonda abakutama ku maviivi ne bavunnama ku ttaka (nga basaala) abalagira e mpisa e nnungi era abaziyiza amayisa amabi, era abeekuumira ku mateeka ga Katonda, era sanyusa abakkiriza

    [113] Nabbi tekimugwanira wadde abakkiriza okwegayiririra abagatta ku Katonda e kintu e kirala, ne bwe baba b'aluganda olw'o kumpi kasita kimala okubeeyolekerera ddala nti mazima bo ba mu muliro

    [114] Okwegayirira kwa Ibrahim kulwa kitaawe tekyaliwo okugyako olw'endagaano gye yamuwa, naye bwe yamala okukitegeera ddala nti mazima yye (kitaawe) mulabe wa Katonda yamwegaana, (Ibrahim yalina okugezaako nga bwasobola okwegayirira Katonda asaasire kitaawe), anti Ibrahim bulijjo yali muyitirivu wa kusaba na kuloopa nsongaze zonna ewa Katonda era nga wa kisa nnyo

    [115] Katonda teyali waakubuza bantu oluvanyuma lw'okubalungamya okugyako nga amaze okubannyonnyola ebyo bye bateekwa okwewala. Anti mazima Katonda mumanyi wa buli kintu

    [116] Mazima Katonda bubwe obufuzi bwe ggulu (omusanvu) ne nsi, awa obulamu era natt, ng'oggyeko Katonda temulina mukuumi wadde omutaasa

    [117] Mazima Katonda yakkiriza okwenenya kwa Nabbi n'okwa ba Muhajiriina (abaasenguka) n'okwa ba Answar (abaabudamya) abo abaamugoberera mu kiseera ekizibu oluvanyuma lw'okusemberera emitima gya'bamu ku bo okukyuka, olwo nno n'abasonyiwa anti mazima yye bulijjo wa kisa musaasizi era yakkiriza okwenenya

    [118] Era yakkiriza okwenenya kw'abasatu abo abataagenda ku lutabaalo okutuusa ensi lwe yabafundirira awamu n'obugazi bwayo, nabo bennyini nebafunda olw'okweraliikirira, nebatuuka okulowooza nti tewali kuwona Katonda okugyako nga omuntu azze gyali, oluvanyuma Katonda yabaddiramu basobole okwenenya. Anti mazima Katonda yye akkiriza okwenenya musaasizi

    [119] Abange mmwe abakkiriza mutye Katonda era mubeere wamu n'a b'amazima

    [120] Kyali tekisaanira bantu be Madinah neba nnamalungu ababeetoolodde okwawukana ku mubaka wa Katonda (ku lutabaalo) n'okuba nti beeyagala okusinga bwe bamwagala, ekyo nno lwa kuba nti mazima bo tewali nyonta wonna lwe baluma, wadde okukoowa, wadde e njala, nga bali mu kulafuubana okuweereza mu kkubo lya Katonda era tewali kigere kyonna, kye batambula ekinyiiza abakaafiiri, era tewali buzibu bwonna bwe batuusa ku mulabe, okugyako nga kibawandiikibwako nga omulimu omulungi. Mazima ddala bulijjo Katonda tayonoona mpeera ya bantu balongoosa

    [121] Era tebawaayo kiweebwayo kyonna kitono oba kinene era tebamalaako lusenyi lwonna okugyako nga kibawandikibwakonga kirungi. Olwo nno Katonda alyoke abasasule e birungi e bisukkuluma kw'ebyo bye baakola

    [122] Abakkiriza tebateekwa bonna kufuluma kugenda (kulafuubana mu kkubo lya Katonda) naye singa mu buli bantu muvaamu e kibinja ne bagenda bakuguka mu kumanya e ddiini olwo nno bagende babuulirire abantu baabwe nga bakomyewo gye bali ekyo nno kibasobozese okwekeka (ebitakkirizibwa)

    [123] Abange mmwe abakkiriza mulwanyise abakaafiiri abo ababaliraanye bateekwa bawulire obuzito obuva mu mmwe, era mukimanye nti mazima ddala Katonda bulijjo abeera wamu n'abamutya

    [124] Bulijjo essuula bweba nga essiddwa, mu bo mulimu abagamba nti ani mu mmwe (e ssuula) eno gweyongedde obukkiriza, wabula bo abakkiriza eba ebongedde obukkiriza era baba bali mu ssanyu

    [125] Naye abo abalina obulwadde mu mitima gya bwe ebongera bubi ku bubi bwa bwe nebatuuka okufa nga nabo bakaafiiri

    [126] Abaffe tebakiraba nti mu buli mwaka bagezesebwa omulundi gumu oba ebiri, oluvanyuma ne bateenenya wadde okuba abeebuulirira

    [127] Era e ssuula bweba essiddwa abamu batunula ku bannaabwe (nga bagamba nti) abaffe waliwo omuntu yenna abalaba olwo nno ne beemulula, Katonda yakyusa e myoyo gya bwe kubanga bo bantu abatategeera

    [128] Omubaka yabajjira nga ava mu mmwe mwennyini nga kimuzitoowerera nnyo ekyo ekibakaluubiriza abalumirwa nnyo, era eri abakkiriza bonna wa kisa musaasizi

    [129] Wabula kebava ku ebyo, gwe (Nabbi Muhammad) gamba nti Katonda ammala, tewali kisinzibwa kyonna (mu butuufu) okugyako yye, yye gwenneesiga era yye ye mufuzi wa Arish ey'ekitiibwa

    Yunus

    Surah 10

    [1] Aliif Laam Raa, e nnyukuta zino twazoogerako ku ntandikwa ya Sura Al Bakara, bino bye bigambo by'ekitabo (Kur’ani) eby'amagezi

    [2] Abaffe kya kwewuunya eri abantu okuba nti twassa obubaka eri omusajja mu bo, (nga tumulagidde) nti tiisa abantu (abatakkiriza) ate owe amawulire ag'essanyu eri abo abakkiriza (obubaka) nti balina e mpeera e nnungi ewa Mukama omulabirizi waabwe (ku lw'emirimu e mirungi gye bakola). Abakaafiiri (Nabbi bwe yamala okubajjira) ne bagamba nti mazima ono mulogo mweyolefu

    [3] Mazima Mukama omulabirizi wa mmwe ye Katonda oyo eyatonda e ggulu (omusanvu) n'ensi mu nnaku mukaaga bwe yamala naatereera ku Arish nga atambuza buli kimu, tewali agenda kwetantala kuwolereza okugyako nga Katonda amaze okukkiriza. Oyo nno mwe, ye Katonda, omulabirizi wa mmwe. Kale nno mumusinze, abaffe temwebuulirira

    [4] Gyali y'eri obuddo bwa mmwe mwenna eyo nga ndagaano e nkakafu eyabassibwako Katonda, anti mazima yye, y’atandika e bitonde ate oluvanyuma y'agenda okubizzaawo, abe nga asasula mu bwenkanya abo abakkiriza nebakola e mirimu e mirongoofu ate abo abakaafuwala bagenda kuweebwa e byokunywa nga by'amazzi ag'olweje, era bassibweko e bibonerezo e biruma olw'ebyo bye baawakanyanga

    [5] (Katonda) yye yooyo eyassaawo e njuba nga eyaka, nassaawo omwezi nga kitangaala, n'agugerera e bifo (mwe gubeera mu biseera eby'enjawulo) kibasobozese okumanya omuwendo gw'emyaka n'okubala, ebyo Katonda teyabikola okugyako mu butuufu bwa byo (nga bwebiteekwa okuba), bulijjo Katonda annyonnyola obubonero (obulaga obuyinza bwe n'obusobozibwe) eri abantu abamanyi

    [6] Mazima okwawukana kw'ekiro n'emisana n'ebyo Katonda bye yatonda mu ggulu omusanvu n'ensi ddala mulimu obubonero eri abantu abatya Katonda (obubayamba okutegeera e kitiibwa n'obuyinza bwa Katonda)

    [7] Mazima abo abatasuubira kutusisinkana era ne basiima okwemalira ku bulamu bw'ensi era ne batebenkera nabwo, era abo abatassa mulaka ku bubonero bwaffe

    [8] Abo nno obuddo bwa bwe muliro olw'ebyo bye baakolanga

    [9] Mazima abo abakkiriza nebakola e mirimu e mirongoofu, Mukama omulabirizi waabwe abalungamya olw'obukkiriza bwa bwe, gikulukutira e migga wansi waabwe mu jjana ez'ebyengera

    [10] Okusaba kwa bwe nga bali mu yo (baliba batendereza nga bagamba nti) wasukkuluma ayi Mukama Katonda nga ne ssalaamu, kye kiriba e kiramuso kya bwe, nga n'enkomelero y'okusaba kwa bwe baligamba nti amatendo gonna ga Katonda omulabirizi w'ebitonde

    [11] Singa Katonda yali atuusa ku bantu akabi nga bwabatuusaako amangu obulungi, yaalibatuusizza kw'ekyo kye yabagerera, olwo nno netuleka abatasuubira kutusisinkana mu bubuze bwa bwe nga babulubuuta

    [12] Omuntu bwatuukwakwo obuzibu atukoowoola tumuyambe kaabe nga agalamidde, atudde, oba nga ayimiridde, wonna wetumuggyirako obuzibubwe aniigiina nga atatuyitangako kujja kumutaasa mu buzibu obuba bumutuuseeko, mu ngeri nga eyo aboonoonyi ab'olutentezi bwe balaba ekibi nekiba nga e kirungi mu ebyo bye bakola

    [13] Twazikiriza e mirembe mingi oluberyeberye lwa mmwe bwe gyamala okweyisa obubi (ewa Katonda wa bwe), so nga ababaka baabwe baabajjira n'obunnyonnyofu naye nga tebaali baakukkiriza, bulijjo bwe tutyo bwe tusasula abantu aboonoonyi

    [14] Oluvanyuma twabafuula (mmwe) abaddira bali mu bigere oluvanyuma lwa bwe, olwo nno tulabe mmwe mukola mutya

    [15] Ebigambo byaffe bwe bibasomerwa ng’ate ddala binnyonnyofu, abo abatasuubira kutusisinkana bagamba nti leetayo Kur’ani endala etali eno oba eno gikyuseemu, bagambe nti tekiri mu buyinza bwange okugikyusa nga nze nnesalirawo, sirina kyengoberera okugyako ekyo ekimpebwa nga bubaka, mazima nze ntya ebibonerezo by'okulunaku oluzito singa njemera Mukama omulabirizi wange

    [16] Bagambe nti singa Katonda yayagala sandigibasomedde (Kur’ani) era (Katonda) teyandigibamanyisizza, anti mazima nnatuula mu mmwe ebbanga ddene nga tennampebwa abaffe temutegeera

    [17] Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo atemerera ku Katonda ebigambo eby'obulimba oba naalimbisa ebigambo bye mazima ddala aboonoonyi tebagenda kuwona

    [18] Nebatuuka okusinza ebirala ebitali Katonda ebyo ebitayinza kubatuusaako kabi era ebitayinza kubagasa nebagamba nti bano, be bawolereza baffe ewa Katonda, gamba (Ggwe Muhammad nti mu kukola ekyo) mutegeeza Katonda ekyo kyatamanyi mu ggulu (omusanvu) wadde mu nsi, Musukkulumu era yeesambye nnyo kw'ebyo bye bumugattako

    [19] Abantu tebabangako okugyako e kibiina kimu (Wddiinin y'obusiraamu) wabula oluvanyuma baayawukana, naye singa si kigambo ekyakulembera nga kiva ewa Mukama omulabiriziwo (okuba nti buli muntu alina waalifiira) ensonga zaabwe zaalimaliddwa (mangu) mw'ebyo bye baawukanamu

    [20] Era bagamba nti singa (Muhammad) assibwako eky'amagero okuva ewa Mukama omulabiriziwe kale ggwe gamba nti mazima ebitalabwako biri mu mikono gya Katonda (bwayagala abiwa abantu bwaba tayagadde naatabawa), kale nno mulindirire, mazima nze ndiwamu na mmwe mu balindirira

    [21] Abantu bwe tubakombya ku kusaasira oluvanyuma lw'obuzibu obuba bubatuuseeko ogenda okulaba nga balina enkwe zebakola ku by'amagero byaffe, gamba ggwe (Muhammad) nti Katonda y'asinga obwangu mu kussa mu nkola kyaba asazeewo, mazima ddala bulijjo ababaka baffe bawandiika enkwe zemusala

    [22] (Katonda) yye yooyo abatambuza ku lukalu ne ku mazzi okutuusa bwe muba nga muli mu lyato (amaato) negatambula n'abantu abagaliko nga gaseeyeeya mu mpewo e nnungi era negabasanyusa ate nno baba balyawo e mpewo erimu kibuyaga neebajjira n'amayengo negabajjira okuva mu mpuyi zonna, nebatuuka n'okulowooza nti obwabwe bukomye, awo nno basaba Katonda ng'okusaba kwonna bakwolekeza ye yekka era nga bagamba nti n'omala otuwonya e kizibu kino tujja kubeerera ddala mubeebaza

    [23] Naye ate bwamala okubawonya ogenda okubalaba nga bakola obwonoonefu mu nsi awatali nsonga yonna ntuufu. Abange mmwe abantu mazima obwonoonefu bwa mmwe bufiiriza mmwe, (anti bwo) kweyagala kwa bulamu bwa nsi oluvanyuma gyetuli y'eri obuddo bwa mmwe olwo nno tubamanyise byonna bye mwakolanga

    [24] Mazima e kifaananyi ky'obulamu bw'ensi kiringa amazzi getussa okuva waggulu ne gatuuka ku bimera ebiri mu ttaka, mu ebyo abantu bye balya n'ensolo bye zirya, okutuusa ensi bwetandika okulabika obulungi nenyirira abantu abagiriko nebalowooza nti bagisobola, e kiragiro kyaffe nekibajjira ekiro oba e misana netugifuula nga enkungule neeba nga etabadde y'amugaso eggulo bwe tutyo nno bwe tunnyonnyola obubonero eri abafumiitiriza

    [25] Ne Katonda akoowoola abantu okujja eri e nyumba ey'emirembe era alungamya oyo gwaba ayagadde eri ekkubo eggolokofu

    [26] Abo abakola obulungi bagenda kuweebwa obulungi n'ennyongeza. Enfuufu tegenda kubikka byenyi bya bwe wadde okulabikako obunyomoofu, abo nno b'ebantu bo mu jjana bo baakutuula bugenderevu mu yo

    [27] Bo abakola ebibi empeera y'ekibi yenkana ekibi ekikoleddwa era obunyoomu bugenda kubabikka tebagenda kubeera n'abawonya yenna ku Katonda, bo ebyenyi bya bwe bigenda kubeera nga ebibikkiddwa ekitundu ky'ekiro eky'enzikiza abo nno b'ebantu bo mu muliro bo baakutuula mu gwo lubeerera

    [28] Era jjukira olunaku lwe tulibakunganya bonna olwo nno netugamba eri abo abaagatta abintu ebirala ku Katonda mubeere mu bifo bya mmwe ne bannammwe (be mwagatta ku Katonda) olwo nno netubaawulamu bebaagatta ku Katonda nebagamba nti mwali temusinza ffe

    [29] Katonda amala okuba nga ye mujulizi wakati waffe na mmwe okukakasa nti tetumanyangako nti mwali mutusinza

    [30] Olwo nno buli muntu agenda kulagwa ebyo bye yakola era bazzibwe ewa Katonda mukama waabwe omutuufu olwo nno bye baayiiyanga biryoke bibabuleko

    [31] Bagambe (Ggwe Muhammad) nti ani abagabirira okuva mu ggulu ne mu nsi oba ani afuga okuwulira n'okulaba era ani aggya ekiramu mu kifu era n'aggya ekifu mu kiramu era ani atambuza buli kintu? Ddala bajja kukugamba nti Katonda, bagambe nti abaffe temutya

    [32] Oyo nno mmwe ye Katonda Mukama omulabirizi wa mmwe omutuufu. Oluvanyuma lwa mazima gano ate kiki (omuntu) kyalinda! okugyako okubula, kale nno ate muwugulwa mutya (okuva ku Katonda)

    [33] Bwe kityo e kigambo kya Mukama omulabiriziwo, bwe kyakakata ku abo abaayonoona ne kiba nti mazima ddala bo tebagenda kukkiriza

    [34] Gamba ggwe (Muhammad) nti abaffe mu abo bemugatta ku Katonda mulimu asobola okutandikawo ebitonde (bwamala n'abiggyawo) ate n'abizzaawo, gamba nti Katonda atandika ebitonde ate agenda kubizzaawo kale ate muwugulwa mutya

    [35] Bagambe nti abaffe mu abo bemugatta ku Katonda mulimu asobola okulungamya, gamba nti Katonda alungamya eri obutuufu, yaateekwa okugobererwa oba oyo atalungamya okugyako nga alungamiziddwa mwabaaki ebintu mubisalawo mutya

    [36] Abasinga obungi mu bo tebagoberera okugyako okuteeba, anti mazima okuteeba tekulina kintu kyonna kye kuyamba ku kulaga obutuufu, mazima ddala bulijjo Katonda amanyidde ddala ebyo bye bakola

    [37] Kyali tekisoboka kuba nti Kur’ani eno yagunjibwawo nga teyava wa Katonda, wabula yye Katonda yagissa nga ekakasa ebyo ebitabo ebyagikulembera era nga ennyonnyola ebiri mu bitabo ebyo byonna, teriimu kubuusabuusa yava wa Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna

    [38] Oba bagamba nti (Muhammad) yagigunjaawo, gamba nti (bwemba nga nze nnagiyiiya) kale muleete essuula yonna egifaanana muyite bonna bemunaaba musobodde, nga oggyeko Katonda bwe muba nga mwogera mazima

    [39] Wabula baalimbisa ebyo bye bataamanyira ddala mu bujjuvu, nga n'enzivuunula y'abyo tennabajjira bwe batyo abaabakulembera bwe baalimbisa naye tunula olabe enkomerero y'a beeyisa obubi yali etya

    [40] Ate mu bo mulimu abakkiriza (Kur’ani) era nga bwe mulimu abatagikkiriza era Mukama omulabiriziwo y'asinga okumanya bikwata ku boonoonyi

    [41] Naye bwe baba nga bakulimbisizza (ggwe Nabbi Muhammad), bagambe nti nina e mirimu gyenkola (e ddiini yange) na mmwe mulina e mirimu gye mukola (mu ddiini yammwe) muli wala nnyo n'ebyo byenkola era nange ndiwala nnyo n'ebyo bye mukola

    [42] Ate mu bo mulimu abakuwuliriza naye abaffe ggwe osobola okuwuliza ba kiggala newaakubadde nga tebategeera

    [43] Era mu bo mulimu akutunuulira naye abaffe ggwe osobola okulungamya ba muzibe wadde nga tebalaba

    [44] Mazima Katonda tayisa bubi Bantu mu kintu kyonna, naye mazima abantu bo bennyini be beeyisa obubi

    [45] N'olunaku (Katonda) lwali bakunganya bagenda kuba nga abataali ku nsi okugyako essaawa emu mu budde bw'emisana nga bamanyigana wakati waabwe. Mazima bafaafaaganirwa abo abalimbisa okusisinkana Katonda era tebabangako balungamu

    [46] Naye singa tukulaga ebimu ku ebyo bye tubalagaanyisa (kuno ku nsi) oba netukutta (nga tobirabye ky'ekimu) n'olwekyo gye tuli y'eri obuddo bwabwe ate Katonda alaba ebyo byonna bye bakola

    [47] Nabuli bantu bonna baafuna omubaka, kale nno bwalijja omubaka waabwe (naabawaako obujulizi ku lunaku lw'enkomerero) wagenda kulamulwa wakati waabwe na bwenkanya era nga tebagenda kuyisibwa bubi

    [48] Era bagamba nti, ebyo ebitulagaanyisibwa biribaawo ddi bwe muba nga mwogera mazima

    [49] Bagambe (Ggwe Nabbi Muhammad) sisobola kwetaasa mu kabenje konna era nga bwe siyinza kwegasa na kintu kyonna okugyako ekyo Katonda kyaba anjagalizza, buli bantu balina ebbanga Katonda lye yabagerera singa ebbanga eryo liba lituuse tebasobola kwongezaayo oba okukulembeza oba wadde essaawa emu

    [50] Bagambe nti, mulaba mutya singa ebibonerezo bya Katonda biba bibajjidde kiro oba misana (ekyo kibagasaaki?) lwaki aboonoonyi basaba ebibonerezo okubajjira amangu

    [51] Abaffe oluvanyuma lw'okujja kw'ekibonerezo ebyo olwo nga mubikkirize so nga ate mwali musaba byanguyirizibwe (mu ngeri ya kujeeja)

    [52] Oluvanyuma abeeyisa obubi baligambibwa nti mukombe ku bibonerezo eby'olubeerera, abaffe muyinza okusasulwa okugyako ekyo kye mwapakasa

    [53] Bakubuuza ggwe (Nabbi Muhammad) nti abaffe ebibonerezo by'olunaku lw'enkomerero bya mazima! bagambe nti yye ndayira Mukama omulabirizi wange nti mazima byo bya mazima, era mmwe temuli baakulemesa (Katonda)

    [54] Singa buli mwoyo (omuntu) gwonna ogweyisa obubi gulina ebyo byonna ebiri mu nsi gwalibifudde ennunuzi (okuwona ebibonerezo bya Katonda), bagenda kulyazanyizibwa. Abeeyisa obubi bwe baliraba ebibonerezo bagenda kwegeyaamu nga bejjusa, era bagenda kulamulwa mu bwenkanya era tebagenda kuyisibwa bubi

    [55] Abange, mazima bya Katonda, ebiri mu ggulu omusanvu ne mu nsi, abange mazima endagaano ya Katonda ya mazima, naye mazima abantu abasinga obungi tebamanyi

    [56] Yye Katonda y'awa obulamu era yatta ate gyali gye bagenda okuzzibwa

    [57] Abange mmwe abantu kubajjidde okubuulirira okuvudde eri Mukama omulabirizi wa mmwe era nga kya kuvumula eri ebyo byonna ebiri mu bifuba, era nga bulungamu era nga kusaasira eri abakkiriza

    [58] Bagambe (Ggwe Nabbi Muhammad) nti ku lw'ebigabwa bya Katonda n'okusaasirakwe (okubawa eddiini yo'busiraamu) ku lw'ebyo basaana basanyuke, ebyo nno bye bisinga obulungi mw'ebyo byonna bye mukunganya

    [59] Bagambe (Ggwe Nabbi Muhammad) nti mumbulire ebyo Katonda bye yabassiza mu bigabwa mmwe nemweteeramu bye muziza nemulondobamu, bagambe nti mazima Katonda yeyabakkiriza (okukola mutyo) oba Katonda gwe mutemerera

    [60] Era abo abatemerera ku Katonda eby'obulimba balowoozaaki ku biribaawo ku lunaku lw'okuzuukira, mazima Katonda agabira abantu obulungi bungi nnyo naye abasinga obungi mu bo tebeebaza

    [61] Tolina mbeera yonna gyobeerako era tewali kintu kyonna kyosoma mu Kur’ani era tewali mulimu gwonna gwe mukola, wabula tubeera bajulizi ku mmwe nga tubalaba mu kiseera wemugutandikira, tewali wadde akantu akatono ennyo ku nsi wadde mu ggulu kasobola kubula ku Mukama omulabiriziwo, wadde akatono okusingako awo oba ekinene tewali kintu kyonna okugyako nga kyawandiikibwa mu kitabo ekinnyonnyofu

    [62] Abange mazima emikwano gya Katonda tebalibaako kutya era be batagenda kunakuwala

    [63] (Mikwano gya Katonda) beebo abakkiriza nebaba nga batya Katonda

    [64] Balina okusanyusibwa mu bulamu obw'ensi n'o bw'enkomerero, (ekyo nga ndagaano ebaweereddwa Katonda, ate nga) ebigambo bya Katonda tebikyusibwa, ekyo nno kwe kwesiima okusuffu

    [65] Bye boogera tebikunakuwaza anti ekitiibwa n'amaanyi byonna bya Katonda, anti yye y'awulira ennyo omumanyi

    [66] Abange mazima bya Katonda byonna ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi, abo abaleka Katonda nebasaba ebintu ebirala tebalina kye baliko, tebalina kye bagoberera okugyako ebirowoozo nga bo bwe balaba, bye bakola tebisukka okuba nti bateebereza buteebereza

    [67] Yye yooyo Katonda eyabateerawo ekiro mube nga mukiwummuliramu, era naabateerawo obudde obw'emisana nga butangaala mazima mu ekyo mulimu obubonero (obulaga okubaawo kwa Katonda era n'obuyinzabwe), eri abantu abawulira

    [68] Bagamba nti Katonda yeeteerawo omwana, Katonda musukkulumu (ku ebyo bye bamujwetekako anti) yye talina kye yeetaaga, ebiri mu ggulu omusanvu n'ebiri mu nsi byonna bibye, (eky'okugamba nti Katonda alina omwana) temukirinaako bujulizi bwonna, abaffe mwogera ku Katonda bye mutamanyi

    [69] Gamba nti mazima abo abagunjaawo obulimba ku Katonda tebagenda kwesiima

    [70] Kale beeyagale mu nsi oluvanyuma gye tuli y'egenda okuba obuddo bwa bwe olwo nno tubakombye ku bibonerezo ebikakali olw'ebyo bye baawakanyanga

    [71] Banyumize ebyafa ku Nuhu bwe yagamba abantube nti abange bantu bange, okubeera kwange mu mmwe n'okubajjukiza e bigambo bya Katonda bwe bibeeranga bibazitooweredde, nze nneekwasizza Katonda, kale mmwe mwekobaane ne bannammwe ate kyemusazeewo kireme kuba kya kyama olwo nno musalewo kye mwagala okukola era temunnindiriza

    [72] Bwemuva ku ekyo (nze byonna byenkola mbibakolera lwa Katonda) sibasabangako kunsasula mpeera, empeera yange teri okugyako ewa mukama Katonda, era nnalagirwa okubeera mu basiraamu

    [73] (Awamu n'ebyo byonna) baamulimbisa netumuwonya n’abo abaali awamu naye mu lyato netubafuula abasigire (ku nsi) era netuzikiriza abo abaalimbisa ebigambo byaffe, tunula (weetegereze) enkomerero y'abo abaalabulwa

    [74] Oluvanyuma lwe (Nuhu) twatuma ababaka buli omu eri abantube nebabaleetera obujulizi obw'enkukunala naye (bano) tebaali b'a kukkiriza bali bye baalimbisa oluberyeberye, bwe tutyo bulijjo bwe tubikka emitima gy'abo abasukka e nsalo

    [75] Oluvanyuma lwa bwe twatuma Musa ne Haruna eri Firawo n'abantube nga tubawadde obubonero bwaffe wabula ne bawaganyala anti bulijjo baali bantu boonoonyi

    [76] Olwo nno amazima bwe gaabajjira okuva gye tuli ne bagamba nti mazima kino ddogo eryeyolefu

    [77] Musa naabagamba (nga bwe yeewunya) nti mugamba mutya ku mazima agabajjidde okuva ewa Katonda nti lino ddogo, so nga abalogo tebagenda kuwangula (kuno ku nsi ne ku nkomerero)

    [78] Nebagamba nti otujjidde olyoke otuwugule okutujja ku ebyo bye twasangako bakadde baffe. Obuyinza n'ekitiibwa byonna mu nsi (Ya Misiri) bibeere bya mmwe (ggwe ne Haruna) naye ffe mmwe mwembi tetujja kubakkiriza

    [79] Olwo Firawo naagamba nti mundeetere buli mulogo omukenkufu

    [80] Kale nno abalogo bwe baamala okujja, Musa kwe kubagamba nti mwanje buli kye mwagala

    [81] Bwe baamala okwanja (ebyabwe) Musa kwe kubagamba nti ebyo bye muleese lye ddogo anti mazima Katonda ajja kulaga obutaliimu bwa lyo anti mazima Katonda talongoosa mulimu gwa boonoonyi

    [82] Era Katonda ajja kunyweza obutuufu bw'ebyo bye mbajjidde nabyo n'ebigambobye (ebiragirobye) newaakubadde nga aboonoonyi tebandikyagadde

    [83] Tewaali bakkiriza Musa (awamu n'obubonero bwe yajja nabwo) okugyako bazzukulu baabwe, nga batya Firawo n'abakungu mu bo okubatuusaako ebikemo, era naye mazima Firawo yeekuluntaza (ne yessa mu ddaala erya waggulu) kuno ku nsi era mazima yye yagenda wala nnyo mu bwonoonyi

    [84] Musa naagamba nti abange bantu bange bwe muba nga mwakkiriza Katonda mwekwase yye bwe muba nga muli abasiraamu (abeewaayo eri Katonda)

    [85] (Abantu ba Musa) ne bamugamba nti Katonda waffe gwe twekutteko, ayi Mukama omulabirizi waffe, totufuula e kikemo eri abo abeeyisa obubi

    [86] Era otuwonye (otutaase) olw'okusaasirakwo ku bantu abaakaafuwala

    [87] Netutumira Musa ne Mugandawe (Haruna) nti muteereewo abantu ba mmwe amayumba mu Misiri era mufuule amayumba ga mmwe nga bwolekero nga musaala era muyimirizeewo e sswala era wa amawulire ag'essanyu eri abakkiriza

    [88] Musa naagamba nga asaba nti, Ayi Mukama omulabirizi waffe mazima ggwe wawa Firawo n'abakungube eby'okwewunda, n'ebyobugagga mu bulamu buno obw'ensi, ayi Mukama omulabirizi waffe ngenkomerero y'abyo kubuza (bantu) ku baggya ku kkubo lyo, ayi Mukama omulabirizi waffe saanyaawo e mmaali yaabwe era osse obukakanyavu ku mitima gyabwe olwo nno baleme kukkiriza okutuusa nga balabye ebibonerezo ebiruma (nga ate okukkiriza okwo tekukyabagasa)

    [89] (Katonda) naagamba nti mazima okusaba kwa mmwe mwembiriri kukkiriziddwa, mubeere beesimbu mwembi era temugoberera mwembi ekkubo ly'abo abatamanyi (abatategeera bukakafu bwa ndagaano za Katonda)

    [90] Netusomosa abaana ba Israil ennyanja olwo ne Firawo n'abawondera n'amagyege mu ngeri ey'obulabe n’obulumbaganyi, okutuusa lwe yatuukibwako okuzikirira mu mazzi olwo naagamba nti: nzikirizza nti mazima ddala tewali Katonda asinzibwa mu butuufu okugyako oyo abaana ba Israil gwe bakkiriza era nze ndi mu basiramuse

    [91] (Firawo naagambibwa nti kati olwo okkiriza) so nga wajeema dda n'obeera mu boonoonyi

    [92] Kale nno olwa leero tujja kukuwonya (kukuuma) omulambogwo (guleme kuvunda) olyoke obeere eky'okulabirako eri abalijja oluvanyumalwo, mazima abantu abasinga obungi tebafaayo (kwegasa na bubonero bwaffe)

    [93] Mazima twasenza abaana ba Israil mu kifo e kirungi ekyesiimisa netubagabirira mu bigabwa ebirungi, nebataba na njawukana (mu ddiini) okutuusa okumanya lwe kwabajjira (nti Nabbi Muhammad ajja kujja nga mubaka wa Katonda) mazima Katonda agenda kulamula wakati wa bwe ku lunaku lw'enkomerero mu ekyo kye baali baawukanamu

    [94] Bwoba nga olimu okubuusabuusa (Ggwe Muhammad) ku ebyo bye twassa gyoli buuza abo abaasoma e kitabo oluberyeberyelwo, ddala amazima gakujjidde okuva ewa Mukama omulabiriziwo kale togeza nga n'obeera mu babuusabuusa

    [95] Era ddala tobeeranga mu abo abalimbisa e bigambo bya Katonda n'obeera mu bafaafaganirwa

    [96] Mazima abo abaakakatako ekigambo kya Mukama omulabiriziwo tebagenda kukkiriza

    [97] Nebwebanajjirwa buli kabonero okutuusa lwe baliraba e bibonerezo ebiruma

    [98] Tewali bantu ba kitundu bakkiriza obukkiriza bwa bwe nebubagasa okugyako abantu ba Yunusu anti bwe bakkiriza twabaggyako ebibonerezo ebiswaza mu bulamu buno obw'ensi netubeeyagaza okutuusa ku ntuuko zaabwe

    [99] Singa Mukama omulabiriziwo yayagala abantu abali mu nsi bandikkirizza bonna, kaakati ggwe oyagala kukaka bantu bonna babeere bakkiriza

    [100] Tewali muntu ayinza kukikkiriza okugyako ng’akkiriza lwa kwagala kwa Katonda, era Katonda assa ekibi ku abo abatategeera

    [101] Bagambe nti: mwetegereze ebiri mu ggulu (omusanvu) n'ensi naye obubonero n'okutiisa tebigasa bantu batakkiriza

    [102] Abaffe balina kye balindirira mpozzi ekifaananako ne nnaku zaabo abaabakulembera., bagambe nti: mulindirire nange ndi wamu na mmwe mu balindirira

    [103] Oluvanyuma ne tuwonya (ne tutaasa) ababaka baffe n'abo abakkiriza bwe tutyo nno bulijjo kikakafu kuffe okutaasa abakkiriza

    [104] Bagambe nti: abange mmwe abantu bwe muba nga mulina okubuusabuusa mu ddiini yange (mukitegeere nti) sisinza abo be musinza nemuva ku Katonda, wabula nsinza Katonda oyo abatta ,era nnalagirwa mbeere mu bakkiriza

    [105] Era tereera mu ddiini ya Katonda n'goli mwesimbu era ddala tobeeranga mu bagatta e bintu e birala ku Katonda

    [106] Tolekanga Katonda n'osaba e kintu e kirala ekyo ekitakugasa era ekitayinza kukutuusako kabi naye bwonookikola mazima ddala ggwe olwo nno onoobeera mu abo abeeyisa obubi

    [107] Singa Mukama Katonda akutuusaako ekibi tewali ayinza kukikuggyako okugyako yye, ate singa aba akwagalizza kirungi teri ayinza kuzzaayo birungibye, abifunyisa oyo gwaba ayagadde mu baddube, era yye bulijjo ye musonyiyi, omusaasizi owa nnamaddala

    [108] Bagambe (Ggwe Muhammad) nti; abange mmwe abantu amazima gabajjidde okuva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe oyo yenna alungama aba yeelungamidde, ate oyo abula okubulakwe kukosa yye. Nze siri mukuumi ku mmwe

    [109] Era goberera ebyo ebitumwa gyoli era ogumiikirize okutuusa Katonda lwa naasalawo, anti bulijjo yye yaasinga abasalawo bonna

    Hud

    Surah 11

    [1] Alif Laam Raa, ekitabo kino e bigambo by'akyo byasengekebwa oluvanyuma nebinnyonnyolwa mu bujjuvu okuva ewa Katonda akola buli kintu ng’asinziira ku nsonga ng’ate amanyi mu bujjuvu buli kintu

    [2] Kitegeeza abantu nti temusinzanga kintu kyonna wabula Katonda yekka mazima nze gye muli ndi mutiisa (ku bibonerezo bye) era omusanyusa (olw'emperaye eri abalongoosa)

    [3] (Era kibagamba) nti mwegayirire Mukama omulabirizi wa mmwe era mumwenenyeze olwo nno ajja kubeeyagaza olweyagaza olulungi okutuusa ku kiseera ekigere era buli oyo yenna ateekeddwa okufuna obulungi agenda kumuwa obulungibwe, naye bwe muva ku ekyo mazima nze mbatiirira ebibonerezo by'olunaku oluzibu

    [4] Eri Katonda y'eri obuddo bwa mmwe ate yye nga bulijjo muyinza ku buli kintu

    [5] Abange mazima bbo (abatakkiriza) bakweka ebifuba byabwe babe nga beekweka Katonda, abange (mukimanye nti) ne mu kiseera webeebikkira engoye zaabwe Katonda amanya ebyo bye bakweka ne bye boolesa, anti mazima yye amanyidde ddala ebiri mu bifuba

    [6] Tewali kitonde kyonna mu bitambula ku nsi okugyako nga okugabirirwa kwa kyo kuli ku Katonda, era amanyi byonna ebikikwatako mu bulamu bw'ensi n’obwoluvanyuma, buli kimu kiri mu kitabo ekyeyolefu

    [7] Era yye yooyo, eyatonda eggulu omusanvu n'ensi mu nnaku mukaaga, era Arish ye yali ku mazzi, olwo nno alyoke abagezese ani mu mmwe asinga okukola obulungi, singa ogamba (Ggwe Muhammad) nti mazima mmwe mujja kuzuukizibwa oluvanyuma lw'okufa abo abakaafuwala bajja kugambira ddala nti tekiri kino (Kur’ani) okugyako eddogo ery'olwatu

    [8] Singa tulindiriza ku bo ebibonerezo okutuuka ekiseera ekigere bajja kugambira ddala nti ate ki ekibigaana okujja, abange! olunaku lwe biribajjira si bya kubaggyibwako, era biribeetoloola ebyo bye baajeejanga

    [9] Omuntu bwe tumukombesa ku kusaasira okuva gye tuli ate oluvanyuma ne tukumuggyako mazima yye akutuka n'okusuubira n'akaafuwala

    [10] Naye ate bwe tumukombesa ku byengera oluvanyuma lw'ebizibu ebiba bimutuuseeko ajja kugambira ddala nti obuzito bunvuddeko, mazima yye aba musanyufu eyeeraga

    [11] Okugyako abo abagumiikiriza ne bakola emirimu emirongoofu balina ekisonyiwo n'empeera ennene

    [12] Olabika nga oli waakuleka ebimu ebissibwa gyoli, era ekyo nga kikunyiga mu kifubakyo olw'okuba nti bagamba nti singa aweebwa eggwanika oba Malayika najja naye. Mazima ggwe oli mutiisa. Ate nga Katonda ye mweyimirize ku buli kintu

    [13] Oba bagamba nti (Kur’ani eno Muhammad) yagigunjawo bagambe nti kale muleeteeyo essuula kkumi enjiiye ezifaanana (Kur’ani) era ng'oggyeko Katonda muyite yenna gwe musobodde (abayambeko) bwe muba nga mwogera mazima

    [14] Bwe bataabaanukule, olwo nno mumanye nti mazima yyo (Kur’ani) yassibwa na kumanya kwa Katonda era tewali kisinzibwa kyonna okugyako yye, abaffe mmwe mwewaddeyo ewa Katonda (ne musiramuka)

    [15] Oyo yenna ayagala obulamu obw'ensi n'ebyokwewunda kwayo tubasasula mu bujjuvu emirimu gya bwe mu yo era nga bo muyo tebaseerwa

    [16] Abo beebo abatalina ku nkomerero kintu kyonna okugyako omuliro, era byonna bye bakola ku nsi nebitabalibwa, bye baakolanga byalinga byonoonefu

    [17] Abaffe balimbisa oyo (Muhammad) ku bunnyonnyofu obuva ewali Mukama omulabiriziwe, era nga abusoma omujulizi (Jiburilu) ava ewa Katonda nga n'oluberyeberyelwe waliwo ekitabo kya Musa nga kiraga ekkubo era nga kusaasira, abo (Muhammad n'abantube) bagikkiriza ate ebibiina byonna ebitagikkiriza omuliro y'endagaano yaabwe, tobeeranga mu kugibuusabuusaamu, mazima yyo ge mazima agavudde ewa Mukama omulabiriziwo. Naye ddala abantu abasinga obungi tebakkiriza

    [18] Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo agunja obulimba ku Katonda! abo bagenda kwanjulwa ewa Mukama omulabirizi waabwe nti abo baawaayiriza Mukama Katonda Omulabirizi waabwe. Abange ekibonerezo kya Katonda kibeere ku beeyisa obubi

    [19] Abo abaziyiza abantu ku kkubo lya Katonda ne babaagaliza kukoleramu bikyamu, era nga nabo olunaku lw'enkomerero baluwakanya

    [20] Abo tebaali ba kulemera ku nsi, era ng'oggyeko Katonda tebalinaayo ba mukwano balala bayinza kubawonya, ebibonerezo bya bwe bigenda kwongezebwamu anti baali tebasobola kuwulira era nga bwe baali tebalaba

    [21] Abo be baafaafaganirwa emyoyo gya bwe ne bibaggwako bye baayiiyanga

    [22] Kikakafu ddala bbo ku lunaku lw'enkomerero be balifaafaganirwa ennyo

    [23] Mazima abo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu ne bamenyekera Mukama omulabirizi waabwe abo be ba nannyini jjana, bo mu yo ba kutuulamu bugenderevu

    [24] Ekifaananyi ky'ebibinja ebibiri (ebyogeddwako waggulu) kiringa ekya muzibe ne kiggala n'oyo alaba era nga awulira abaffe balabika nti bafaanana temwebuulirira

    [25] Mazima twatuma Nuhu eri abantube (n'abagamba) nti mazima nze ndi mutiisa wa mmwe omweyolefu

    [26] (Mbategeeza) nti temusinza kintu kyonna okugyako Katonda mazima nze mbatiiriddeko e bibonerezo by'olunaku olw'okuluma obugigi

    [27] Abakungu abo abaakaafuwala mu bantube ne bagamba nti tetukulaba ggwe okugyako okuba nti oli muntu nga ffe, era tetulaba abakugoberedde okugyako ab'awansi mu ffe ab'endowooza entono, mwenna tetubalabamu nkizo yonna ku ffe wabula tubalowooza kuba balimba

    [28] Nuhu naagamba nti abange bantu bange mulaba mutya singa mba ndi ku bunnyonnyofu obuva ewa Mukama omulabirizi wange era nampa okusaasira okuva gyali naye mmwe ekyo ne mutakiraba, abaffe tusobola okukibawaliriza ng’ate mmwe temukyagala

    [29] Era abange mmwe abantu bange (kye mbagamba) si kibasabirako sente, empeera yange teri wantu wonna okugyako ewa Katonda (era nnyaniriza abo bonna ababa bangoberedde) era siri nze w'akugoba abo abakkiriza (ne bwe bataba ba bitiibwa) mazima ddala bo baakusisinkana Mukama omulabirizi waabwe naye mazima ddala nze mbabala mmwe nga muli bantu abatamanyi

    [30] Era abange bantu bange ani ayinza okuntaasa ku Katonda bwemba mbagobye, abaffe temujjukira

    [31] Era siyinza kubagamba (mmwe) nti nina amawanika ga Katonda, era simanyi byekusifu, sigamba nti mazima nze ndi Malayika era sigamba abo amaaso ga mmwe begatawa kitiibwa nti Katonda tagenda kubawa birungi, Katonda y'amanyidde ddala ebyo ebiri mu mitima gya bwe, n'olwekyo mazima nze nemmala nkikola ddala mbeera mu beeyisa obubi

    [32] Nebagamba nti owange Nuhu mazima otukaayanyizza n'oyitiriza okutukaayanya, kale tutuuseeko ebyo by'otulagaanyisa bwoba nga oyogera mazima

    [33] (Nuhu) naagamba nti mazima Katonda ajja kubibatuusaako bwanaaba ayagadde, ate temuyinza kumulemesa

    [34] Era okubuulirira kwange tekujja kubagasa singa mba njagadde okubabuulirira, ate Katonda n'aba nga ayagadde kubabuza. Yye ye Mukama omulabirizi wa mmwe era gyali gye mulizzibwa

    [35] Oba bagamba nti (Muhammad, Kur’ani) yagunja ngunje, bagambe bwe mba nagyegunjirawo ekyonoono ekyo kiri kunze, naye nange sirina kakwate ku ebyo bye mwonoona

    [36] Nuhu n'aweebwa obubaka nti mazima tebagenda kukkiriza mu bantubo okugyako abo abakkiriza edda n'olwekyo tonakuwala olw'ebyo bye baali bakola

    [37] Kale kola eryato nga naffe tukutunuulidde era okole okusinziira ku ndagirira yaffe era toyogera nange ku bikwata ku abo abeeyisa obubi, mazima ddala bo baakufiira mu mazzi

    [38] (Nuhu) n'aba nga akola eryato. Buli lwonna abakungu mu bantube webaamuyitirangako baamusekereranga naagamba nti bwe muba nga mutusekerera naffe tujja kubasekerera nga bwe mutusekerera

    [39] Lumu mujja kumanya ani gwe binajjira ebibonerezo ebimuswaza era najjirwa ebibonerezo eby'olubeerera

    [40] (Baabeera bwe batyo) okutuusa ekiragiro kya ffe lwe kyajja ettanuuru neefukumuka amazzi netugamba (Nuhu) nti pakira mu lyo, ngojja mu buli mutindo gwabiramu bibiri bibiri, ekisajja n'ekikazi, era pakiramu abantu b'o mu maka go okugyako oyo eyakakatako edda ekigambo (ekyokuzikirira) era pakiramu buli yenna eyakkiriza, wabula tewaali bakkiriza baali naye okugyako batono

    [41] (Nuhu) naagamba nti mulinnye e lyato, okutambula kwa lyo n'okuyimirira kwa lyo byonna bibeewo ku lwe linnya lya Katonda, mazima Mukama omulabirizi wange musonyiyi musaasizi

    [42] Nalyo neriseeyeeya nabo, mu mayengo agenkana ensozi, mu kiseera ekyo Nuhu yakowoola Mutabaniwe eyali awo ku mabbali g'elyato naamugamba nti mwana wange linnya ogende naffe tosigala n'abakafiiri (n'ozikirira)

    [43] (Omwana) naagamba nti njakulinnya olusozi lujja kumponya amazzi. (Nuhu) naagamba nti tewali ayinza kuwonya olwa leero ( muntu n'asimattuka ) ku kiragiro kya Katonda, okugyako Katonda gwanaaba asaasidde. Awo nno amayengo ga yawula wakati waabwe (omwana) naabeera mu baasaanawo

    [44] (Ng'ebitonde bimaze okuzikirira) waalangirirwa nti owange ttaka mira amazzi naawe ggulu lekera awo okutonnyesa enkuba era amazzi gaakalira ensonga neekoma awo eryato neritereera ku lusozi oluyitibwa Juudi era newalangirirwa nti okwesamba okusaasira kwa Katonda kubeere ku bantu abeeyisa obubi

    [45] Nuhu n'akoowoola Mukama omulabiriziwe naagamba nti Mukama omulabirizi wange mazima Mutabani wange y'omu ku bo mu maka gange era mazima endagaano yo ya mazima era ggwe osinga abalala bonna okugoba e nsonga

    [46] (Katonda) naagamba nti owange Nuhu mazima yye si wa mu bantubo mazima yye yakola ekikolwa ekitali kirungi, n'olwekyo tonsaba ekyo kyotalinaako kumanya, mazima nze nkubuulirira oleme kubeera mu batategeera

    [47] (Nuhu) naagamba nti nkusaba obukuumibwo nneme kuba nga nkusaba ekyo kye sirinaako kumanya era bwotonsonyiwe n'onsaasira nja kubeera mu bafaafaaganiddwa

    [48] Newalangirirwa nti owange Nuhu kka (ove mu lyato), ebiva gye tuli, gibe mirembe na mikisa ku ggwe, ne ku bibiina bya bantu ebiri naawe ne ku bibiina bya bantu betujja okweyagaza mu nsi, oluvanyuma ebibonerezo ebiruma ennyo bibatuukeko okuva gye tuli

    [49] Ebyo bye bimu ku bintu ebyekusifu tubikutumira ggwe (Muhammad) tobimanyangako ggwe wadde abantubo oluberyeberye lwa kino, n'olwekyo gumiikiriza, mazima enkomerero (e nnungi) y’abatya Katonda

    [50] Era ab'ekika kya A’di twabatumira muganda waabwe Hudu naagamba nti abange abantu bange musinze Katonda, ngoggyeko yye tewali kirala kyonna kisinzibwa, temuli mmwe okugyako abagunja obugunja bye musinza

    [51] Abange bantu bange, si basaba mpeera ku kino, empeera yange teri okugyako ku oyo eyantonda, abaffe temutegeera

    [52] Era abange bantu bange, mwegayirire Mukama omulabirizi wa mmwe, oluvanyuma mwenenye mudde gyali, ajja kubasindikira okuva mu bire waggulu enkuba etonnya ngeddingana, era abongere amaanyi ku maanyi ga mmwe, era temukyukanga nemuva ku ekyo ne muba aboonoonyi

    [53] Nebagamba nti owange ggwe Hudu totuleetedde bujulizi bweyolefu (ku ebyo byogamba) ate era naffe tetuyinza kuleka ba katonda baffe olw'okuba ogambye, era ffe tetugenda kukukkiriza

    [54] (Okusinziira ku ebyo by'oyogera) tetulina kye tugamba okugyako nti abamu ku ba katonda baffe be bakuliko mu ngeri eyo embi. (Hudu) naagamba nti era mazima nze njuliza Katonda na mmwe mujulire nti ddala nze ndi wala n'ebyo bye mugatta ku Katonda

    [55] Nemulekawo Katonda, kale munsalire enkwe mwenna ate temunnindiriza

    [56] Mazima nze neekwasizza Mukama Katonda omulabirizi wange era Mukama omulabirizi wa mmwe, tewali kitambula ku nsi okugyako yye y'akutte akawompo kakyo, mazima Mukama omulabirizi wange ali ku kkubo ggolokofu

    [57] Bwe munaava ku ekyo mazima nze mmaze okubatuusaako ekyo kye nnatumwa nakyo era Mukama omulabirizi wange mu kifo kya mmwe ajja kussaawo abantu abalala abatali mmwe, era temulina kabi kemugenda kumutuusaako. Mazima Mukama omulabirizi wange buli kyonna ekikolebwa akilondoola (tewali kimubuuka)

    [58] Ekiragiro kya ffe bwe kyamala okujja ku lw'okusaasira kwa ffe, twawonya Hudu n'abo abakkiriza abaali naye ne tubawonya ebibonerezo ebizito

    [59] Abantu abo ab'ekibiina kya A’di baawakanya ebigambo bya Mukama omulabirizi waabwe ne bajeemera ababakabe ne bagoberera ekigambo kya buli eyeekuza awalaaza empaka

    [60] Mu nsi muno nebagoberezebwako ekikolimo, mu ngeri yeemu ne ku lunaku lw'enkomerero, abange mazima ab'ekika kya A’di baajeemera Mukama omulabirizi waabwe abange okubula okwewala ennyo kutuuke ku b'ekika kya A’di abantu ba Hudu

    [61] Bo ab'ekika kya Thamud twabatumira Muganda waabwe Swaleh, naagamba nti abange bantu bange musinze Katonda temulinaayo kintu kyonna kigwanidde kusinzibwa okugyako yye, yye yeeyabatandikawo ng’abaggya mu nsi, ate naabakwasa obuyinza okugikulaakulanya, kale mumwegayirire, era mwenenye, mudde gyali mazima Mukama omulabirizi wange ali kumpi ayanukula (abamusaba)

    [62] Nebagamba nti owange Swaleh, mazima obadde mu ffe, nga tukulinamu essuubi, nga kino tekinnabaawo. Otugaana okusinza ebyo bakadde baffe bye basinza era mazima ffe tulina okubuusabuusa okujjudde okutankana ku ekyo ky'otuyita okujja gye kiri

    [63] Naagamba nti abange bantu bange, mukiraba nti singa mba ndi ku bunnyonnyofu obuva ewa Mukama omulabirizi wange, era nenfuna okusaasira okuva gyali, kale ani anantaasa ku Katonda bwe mmugyemera (singa nkolera ku bya mmwe), temulina kye munnyogera okugyako okufiirwa

    [64] Abange bantu bange eno engamiya evudde wa Katonda nga kabonero gye muli (okukakasa obwa Nabbi bwange), n'olwekyo mugireke erye ebiri mu nsi ya Katonda, temugezaako ne mugituusaako akabi konna nekibaviirako okutuukibwako ebibonerezo ebya mangu

    [65] (Nebamuwakanya era) nebagifumita olwo nno ye (Swaleh) kwe kubagamba, mweggalire mu mayumba gammwe okumala ennaku ssatu (zokka), eyo ndagaano etalimbisibwa

    [66] Ekiragiro kya ffe bwe kyamala okujja, twawonya Swaleh n'abo abakkiriza abaali naye olw'okusaasira okuva gye tuli era netubawonya ne mu buswavu obw'olunaku olwo, anti mazima Mukama omulabiriziwo ye wa maanyi nantakubwa ku mukono

    [67] Abo nno abeeyisa obubi ne batuukibwako olubwatuka (olw'amanyi) olwo nno nebakeesa nga mirambo egigangalamye mu mayumba gaabwe

    [68] (Engeri gye baazikirizibwamu) baali nga abatawangalirangako mu go, abange mazima abantu b'ekika kya Thamud baawakanya Mukama omulabirizi omulezi waabwe, abange abantu ba Thamud babeere wala nnyo n'okusaasira kwa Katonda

    [69] Mazima ababaka baffe (Ba Malayika) bajja eri Ibrahim n'amawulire ag'essanyu, nti (Yye ne Mukyalawe bajja kuzaala omwana Ishaka) ne bamugamba nti mirembe naye naabagamba (ng’abaddamu) nti mirembe, waayitawo akaseera katono naabaleetera ennyana enjokye

    [70] (Ibrahim) bwe yalaba emikono gya bwe nga tegituuka ku nnyama naabekengera, (Ba Malayika) bo kwe kumugamba nti totutya, mazima ffe tuli ba Malayika tutumiddwa eri abantu ba Luutu (okubazikiriza)

    [71] Nga mukyala wa Ibrahim (Sarah) ayimiridde (abawulira) naaseka (nga yeewuunya olw'ebyo bye yawulira) olwo nno ne tumuwa amawulire ag'essanyu ag'okuba nti ajja kuzaala Ishaka ate nga n’oluvanyuma lwa Ishaka wajja kuzaalibwayo Yakub (omuzzukulu)

    [72] (Omukyala Sarah bwe yamala okufuna amawulire g’okuzaala Ishaka) naagamba (nga bwe yewuunya) nti: gano nga mawano nze (Sarah) ngenda kuzaala omwana nga ndi mukadde bwe nti nga n'ono baze kinvinvi, mazima kino kintu ekye wuunyisa nnyo

    [73] (Ba Malayika) ne bagamba nti: butya bwe weewuunya ekiragiro kya Katonda! okusaasira kwa Katonda n'emikisagye bibeere ku mmwe abantu benju (ya Ibrahim). Mazima Katonda atenderezebwa nnyo wa kitiibwa nnyo

    [74] Ensisi bwe yamala okuggwa ku Ibrahim, ng’amaze n'okufuna amawulire ag'essanyu, yagenda mu maaso nga atukaayanya (nga awolereza) abantu ba luutu

    [75] Mazima Ibrahim yali wa kisa nnyo ate nga asaba nnyo Katondawe era nga amwenenyeza ku buli nsonga

    [76] (Ba Malayika nebamugamba nti) owange Ibrahim ebyo biveeko mazima kimaze okutuuka ekiragiro kya Mukama omulabiriziwo era mazima bo bagenda kujjirwa ebibonerezo ebitali bya kuzzibwayo

    [77] Ababaka baffe bwe bajja ewa Luutu, tebaamusanyusa naawulira bubi (olw'okuba yali tasobola kubakuuma) era naagamba nti luno lunaku luzibu

    [78] Abantube nebajja gyali nga banguwa naye nga okusooka baali bakola ebibi (Luutu) naagamba nti abange bantu bange bawala bange baabo be balungi gye muli, mutye Katonda temunswaza eri abagenyi bange, abaffe mu mmwe temuli musajja mulungamu

    [79] Nebagamba mazima okimanyi nti bawalabo tetubalinaako bwetaavu, era mazima ddala ggwe omanyi kye twagala

    [80] (Luutu) naagamba nti (neegomba) singa mbadde nina amaanyi ku mmwe, oba empagi engumu gyensobola okwesigamako, (abantu abasobola okuntaasa)

    [81] (Ba Malayika) nebagamba nti owange Luutu ffe tuli babaka ba Mukama omulabiriziwo (abo) tebajja kukutuukako, tambula n'abantubo mu kitundu ky'ekiro, era takyuka omu ku mmwe (naatunula emabega, genda n'abantubo) okugyako Mukyalawo, anti mazima kiri nti ajja kutuukwako ebinaatuuka ku bali. Mazima ekiseera ekibalagaanyisiddwa bwe budde bw'oku makya, obudde bw'oku makya tebuli kumpi

    [82] (Ekitundu mwe baali babeera), ekiragiro kyaffe bwe kyajja, waggulu wa kyo wetwazza wansi era netukiwandagazaako amayinja amakole mu bbumba ejjokye nga gajjira kumukumu

    [83] (Amayinja ago) nga malambe okuva ewa Mukama omulabiriziwo, ekibonerezo ng'ekyo tekiri wala ku buli abo bonna abeeyisa obubi

    [84] Ate abe Madiyana twabatumira Muganda waabwe Swaibu naagamba nti abange bantu bange musinze Katonda temulinaawo kirala kyonna kye mulina kusinza ekitali yye, temukendeezanga ebipimo ne minzani, mazima nze mbalaba nga musigala muli bulungi (bwe muba temukendeezezza mu bipimo ne minzani). Era mazima nze mbatiiriddeko ebibonerezo by'olunaku olugenda okwetooloola buli kimu

    [85] Era abange bantu bange mutuukirize ebipimo ne minzani mu bwesimbu temukumpanyanga abantu ebintu bya bwe, era temukolanga ebibi mu nsi nga mugenderera okwonoona

    [86] Ebilekeddwa Katonda (nga oggyeko byayogedde wa ggulu ebitaliimu kukumpanya bantu) bye birungi gye muli bwe muba nga muli bakkiriza. Era nze siri kalondoozi ku mmwe

    [87] Nebagamba nti owange Swaibu okusaalakwo kwe kukulagira okuba nga tuleka bakadde baffe bye basinza, oba tukkirizibwa okukola mu mmaali yaffe bye twagala, anti ggwe oli alumirwa ow'amagezi

    [88] Naagamba nti abange bantu bange mulaba nti singa mbadde ku bulungamu obwava ewa Mukama omulabirizi wange, nampa ne Riziki ennungi ate nnyinza okubaleka (nessibagambako) ate era saagala kubaawukanako nenzira ku ebyo bye mbagaana sirina kyengenderera kyonna okugyako okulongoosa nga bwemba nsobodde, era okulungama kwange tekuli okugyako ewa Katonda yye gwenneekwasiza era gyali gyengenda okudda

    [89] Era abange bantu bange okwawukana kwange na mmwe tekubatwaririza nemutuukwako ebyo ebyatuuka ku bantu ba Nuhu oba abantu ba Hudu oba abantu ba Swaleh era abantu ba Luutu tebali wala na mmwe

    [90] Era musabe Mukama omulabirizi wa mmwe ekisonyiwo olwo nno mwenenye okudda gyali mazima Mukama omulabirizi wange musaasizi mwagazi nnyo (wa bitondebye)

    [91] Nebagamba nti owange Swaibu bingi mu by'ogamba tetubitegeera ate era tukulaba ng'oli munafu muffe singa si kika kyo twandikukubye amayinja era ggwe tolina kitiibwa kyonna gye tuli

    [92] Naagamba nti abange bantu bange ekika kyange kye ky'ekitiibwa gye muli okusinga Katonda ne mutuuka okumussa emabega wa mmwe nga mumukubye amabega mazima Mukama omulabirizi wange yeetoolodde byonna bye mukola

    [93] Era abange bantu bange mukolere ku nkola ya mmwe nange kankole, ddala mujja kumanya ani, anajjirwa ebibonerezo ebimuswaza, era ani mulimba, naye era mulindirire mazima nze nindirira awamu na mmwe

    [94] Ekiragiro kyaffe bwe kyamala okujja, ku lw'okusaasira kwaffe, twawonya Swaibu n'abo abakkiriza naye. Abo abeeyisa obubi nebatuukwako okubwatuka nebakeesa enkya nga mirambo egigangalamye mu mayumba ga bwe

    [95] Nebaba nga abatagabeerangamu, abange abantu be Madiyana babeere wala nnyo n'okusaasira kwa Katonda nga abantu ba Thamud bwe beesamba okusaasira kwa Katonda

    [96] Mazima twatuma Musa n'ebyamagero byaffe n'obujulizi obw'olwatu

    [97] Agende ewa firawo n'eri abakungube, bo abakungu baagoberera ekigambo kya Firawo, naye nga ekigambo kya Firawo si kirungamu

    [98] (Firawo) alikulembera abantube ku lunaku lw'enkomerero naabayingiza omuliro. Buyingiro bubi bwe baliyingira

    [99] Ate nebagoberezebwa ekikolimo kuno ku nsi ne ku lunaku lw'enkomerero, ennyongeza mbi ne kye bongerako nakyo kibi

    [100] Ebyo bye bimu ku bigambo ebikwata ku bitundu bye twazikiriza, tubikutegeeza ggwe (Muhammad), mu byo mulimu ebikyaliwo nga n'ebirala byasaanawo

    [101] (Okubatuusaako ebyo) tetwabayisa bubi wabula beeyisa bokka obubi, ba Katonda baabwe abo be basaba ne bava ku Katonda omu tebaabagasa kintu kyonna, ekiragiro kya Mukama omulabiriziwo bwe kyajja, era tebaabongera okugyako okufaafaganirwa

    [102] Bwe kutyo bwe kuba okukwata kwa Mukama omulabiriziwo. Bwakwata e bitundu nga biri mu mbeera ey'okweyisa obubi mazima okukwata kwe kuluma nnyo era kuyitirivu

    [103] Mazima ekyo mulimu ekyokulabirako eri oyo atya ebibonerezo byo lunaku lw'enkomerero, olwo lwe lunaku ku lwalwo abantu bonna bagenda kukunganyizibwa era olwo olunaku abantu bonna baakulubaako

    [104] Era tetululindiriza okugyako okutuuka ku kiseera kya lwo ekigere

    [105] Olunaku bwe lulituuka teri muntu yenna agenda kwogera okugyako lwa kukkiriza kwa Katonda, nga mu bo mulibaamu abonoonefu n'abalongoofu

    [106] Bo abo abaajeema baakuyingira muliro baliba balina mu gwo okusinda n'okukema

    [107] Baakugubeeramu ebbanga eggulu (omusanvu) ne nsi bye birimala nga weebiri okugyako ekiseera Mukama omulabiriziwo kyaliba ayagadde mazima Mukama omulabiriziwo akola ekyo kyaba ayagadde

    [108] Bo abo abaweebwa obulongoofu baakuyingira e jjana nga baakugibeeramu ebbanga eggulu omusanvu ne nsi bye birimala nga weebiri okugyako ebbanga Mukama omulabiriziwo lyaliba ayagadde nga okwo kuweebwa okutalibaako kutaataaganyizibwa

    [109] Tobaamu kubuusabuusa mu ebyo bye basinza tebasinza okugyako nga ba Jjajaabwe bwe baasinzanga oluberyeberye,era mazima ffe tujja kubatuukiririza omugabo gwa bwe awatali kukendezaako

    [110] Mazima twawa Musa ekitabo ne kyawukanwamu, singa si kigambo ekyava ewa Mukama omulabiriziwo ekyakulembera, eggoye lyandisaliddwawo (nebazikirira) era mazima bo bali mu kubuusabuusa era nga batankana (ku nsonga ya Kur’ani)

    [111] Na mazima ddala bonna Mukama omulabiriziwo agenda kubasasula emirimu gya bwe mu bujjuvu, mazima yye amanyidde ddala bye bakola

    [112] Kale beera mwesimbu nga bwolagiddwa, n'abo abeenenyezza naawe era temubeera ba kiwagi, anti mazima ye (Katonda) bye mukola abiraba

    [113] Era temuggweranga ku abo abeeyisa obubi, omuliro negubakwata ate nga ojjeeko Katonda temulinaayo bayambi balala, era temugenda kutaasibwa

    [114] Era yimirizaawo e sswala ku nsalosalo ebbiri ez'emisana (ku makya n'akawungezi) n'ekiseera ekisooka ku kiro mazima ebirungi bijjawo ebibi. Okwo nno kubuulirira eri abo abajjukira

    [115] Era gumiikiriza, bulijjo Katonda tayinza butasasula mpeera ya bakozi ba bulungi

    [116] Singa waaliyo mu mirembe egyabakulembera abantu abalina kye baasigazaawo (mu ddiini) nga bagaana obwonoonefu mu nsi, (tebaaliyo) okugyako batono nnyo mu abo be twawonya mu bo. Wabula bo abeeyisa obubi ne batwalibwa ebirungi bye baaweebwa mu nsi nebaba aboonoonyi

    [117] Mukama omulabiriziwo tabangako wa kuzikiriza ebitundu mu bulyazaamaanyi nga ate abantu baabyo bakozi ba bulungi

    [118] Singa Mukama omulabiriziwo yayagala, abantu bonna yandibafudde ekibiina kimu, naye tebagenda kuva ku kwawukana

    [119] Okugyako oyo Mukama omulabiriziwo gwaba asaasidde. N'olwekyo kyeyava abatonda, era kyakakata ekigambo kya Mukama omulabiriziwo nti ngenda kujjuza omuliro Jahannama nga nzija mu majinni n'abantu okutwalira awamu

    [120] Era tukutegeeza buli kimu ekikwata ku babaka, ekyo kyetunyweza nakyo omutima gwo, era mu kino ojjiddwa amazima n'okubuulirira, era nga kya kujjukiza eri abakkiriza

    [121] Era gamba abo abakkiriza nti mukolere ku nkola ya mmwe naffe katukole

    [122] Era mulindirire naffe tulindiridde

    [123] Kandi kuri Allah ni iby'ibintu bitagaragara by'ijuru n'isi kandi kuri we azasubizwa icyo kibazo, byose, bityo rero musenge kandi umwishingikirize. Kandi Umwami wawe ntabwo azi ibyo ukora

    Yusufu

    Surah 12

    [1] Alif Laam Raa, bino bigambo by'ekitabo ekyeyolefu

    [2] Mazima ffe twakissa (ekitabo) nga kyakusoma nga kiri mu luwarabu mube nga mutegeera

    [3] Ffe tukutegeeza ebyafaayo ebisinga obulungi nga tukozesa obubaka bwe twakussaako (nga nabwo) ye Kur’ani eno, newaakubadde nga mu kusooka wali mu batamanyi

    [4] Jjukira Yusuf bwe yagamba Kitaawe nti: owange Taata mazima nze nnaloose emmunyeenye kumi n'emu, n'omwezi, n'enjuba nabirabye nga binvunnamidde

    [5] (Kitaawe Yakubu) naagamba nti owange Katabani kange, ekirooto kyo tokinyumiza bagandabo nebakukolera enkwe mazima, bulijjo Sitane ku muntu mulabe ow'olwatu

    [6] Mu ngeri y'emu Mukama omulabiriziwo agenda ku kulonda era akuyigirize okuvvuunula endooto era ajjulize abantu ba Yakub ekyengera kye, nga mu kusooka bwe yakijjulizza bakadde bo bombi Ibrahim ne Ishaka. Mazima Mukama omulabiriziwo mumanyi nnyo era mugobansonga

    [7] Mazima (mu kyafaayo kya) Yusuf ne bagandabe mulimu obujulizi eri ababuuza

    [8] Jukira (baganda ba Yusuf) bwe baagamba nti kirabika Yusuf ne Mugandawe (bwe bazaalibwa mu nnyabwe) be baganzi ewa Kitaffe okusinga ffe ate nga tuli bangi, mazima Kitaffe ali mu bubuze obuyitirivu

    [9] (Omu n'aleeta ekiteeso nti) Yusuf mumutte oba mumukasuke mu nsi (etamanyiddwa) olwo mwekomye okwagalwa Kitammwe, era oluvanyuma lw'ekyo musobola okubeera abantu abalongoofu

    [10] Omwogezi omulala mu bo naagamba nti temutta Yusuf wabula mumusuule wansi mu luzzi abamu ku batambuze bajja kumulonda, bwe muba nga muteekwa buteekwa okubaako kye mukola

    [11] (Ebyo nga biwedde) baagamba nti owange Kitaffe lwaki totwesiga ku Yusuf ate nga naffe tumufaako

    [12] Mutuwe tugende naye enkya, asanyuke, era azannye era mazima ffe tujja kumukuuma

    [13] (Yakub) naagamba nti mazima nze kimpisa bubi okuba nga mumutwala, era ntya omusege okumulya nga mmwe mumulagajjalidde

    [14] Ne bagamba nti singa omusege gumala ne gumulya nga ate tuli bangi mazima ffe olwo tubeera tufaafaaganiddwa

    [15] Bwe baagenda naye era nebassa kimu okumuteeka mu kinnya wansi mu luzzi, netumutumira nti mazima ddala ogenda okubategeeza ekigambo kya bwe kino nga bo tebakyakifaako

    [16] Olwo nebadda ewa Kitaabwe olw'eggulo nga bakaaba (naye nga kwali kwekaabya)

    [17] Nebagamba nti owange Kitaffe mazima ffe twagenze netusindana mu kudduka netuleka Yusuf awabadde ebintu byaffe omusege negumulya, tojja kutukkiriza newaakubadde nga twogera mazima

    [18] Nebajja nga batadde ku kyambalo kye omusaayi ogw'obulimba (Yakub naagamba nti) wabula emyoyo gya mmwe gyatetenkanyizza negilungiya ekintu kino gye muli. Obugumiikiriza bulungi era Katonda ye Muyambi ku ebyo bye mwogera

    [19] Abatambuze nebajja ne batuma abakimira amazzi nassa endobo ye olwajigyayo (wansi mu luzzi bwati naalaba omulenzi), naagamba nti “Neesiimye neefunidde omulenzi” ne bamukukusa nga bamufudde kya maguzi. Katonda mumanyi nnyo ku ebyo bye baali bakola

    [20] Nebamutunda omuwendo omutono, Dirihamu mbale bubazi, anti baali tebamwetaaga

    [21] Oyo eyamugula ow'emisiri naagamba mukyalawe nti mulabirire, muyise bulungi sinakindi ayinza okutugasa (mu maaso eyo) oba tumufuule omwana (Katonda kwe kugamba nti) bwe tutyo bwe twasobozesa Yusuf (A.S) okubeera mu nsi era tube nga tumuyigiriza okuvvuunula endooto. Era bulijjo Katonda ekigambokye kiwangula, wabula mazima abantu abasinga obungi tebamanyi

    [22] Bwe yasajjakula twamuwa okusengeka ensonga n'okumanya, era bwe tutyo bwe tusasula abakozi b’obulungi

    [23] (Ekyo nga kiwedde) ate muka nnyinimu oyo mu nju mweyasulanga naamwegwanyiza naggala enzigi, naamugamba nti “nzuno nkwewadde”. (Yusuf) naagamba nti: “nsaba obukuumi bwa Katonda”, ekituufu kiri nti Mukama wange (balo) ampisizza bulungi (siyinza kukikola) mazima anti abeeyisa obubi tebagenda kwesiima

    [24] Mazima (omukyala) yamwegomba ne (Yusuf) namwegomba (omukyala), naye singa (Yusuf) teyalaba kabonero ka Mukama omulabiriziwe (yandigudde mu nsobi) twakola bwe tutyo tube nga tumuwugulako obwonoonefu n'obuwemu, anti mazima ye wa mu baddu baffe abasengejje

    [25] Nebagobagana nga badda ku mulyango, (mu mbeera eyo) omukyala naayuza ekyambalo (kya Yusuf) emabega, nebasanga bba (w'omukyala) ku mulyango, omukyala naagamba nti kibonerezo ki ekisaanira okuweebwa omuntu ayagala okukola ku mukyalawo ekivve,okugyako okuba nga asibwa oba okumussaako e kibonerezo ekiruma

    [26] (Yusuf) naagamba nti ye yanneegwanyizza, omu ku bantu bo mu nyumba y'omukyala naawa obujulizi nti ekyambalokye (Yusuf) bwe kiba kiyuziddwa mu maaso gaakyo, omukyala yaanaaba ayogedde amazima ate yye (Yusuf (naaba ow'omu balimba)

    [27] Naye ekyambalokye (Yusuf) bwe kinaaba nga kiyuziddwa mabega (omukyala) anaaba alimbye, olwo nno ye naabeera mu ba mazima

    [28] (Olwo bba w'omukyala) bwe yamala okulaba ekyambalokye nga kiyuziddwa mabega kwe kugamba nti “ezo nkwe zammwe (mwe abakyala) anti mazima bulijjo enkwe za mmwe za kabi nnyo

    [29] Gwe (Yusuf) bino biveeko (tobinyega) ate ggwe weetonde olw'ekibikyo, mazima ddala ggwe obadde mu basobya

    [30] Abakyala bo mu kibuga nebagamba nti Muka omukulu yeegwanyizza omuweerezaawe! mazima okwagala kumumazeemu, mazima ffe ye tumulaba nga ali mu bubuze obweyolefu

    [31] Omukyala bwe yawulira e bigambo abakyala bye basaasaanya, yabatumira naabategekera ekifo aw'okutuula buli omu naamuwa akambe naagamba nti: (Yusuf) fuluma ogende gye bali, bwe baamulaba ne bamutendereza ne beesala engalo, era nebagamba nti: ono ssi muntu ono tali okugyako Malayika ow'ekitiibwa

    [32] Omukyala naagamba nti oyo nno yooyo gwe mubadde munnenyeza. Yye, kituufu namwegwanyizza naagaana, wabula bwataakole ekyo kye mmulagira aggya kusibirwa ddala era abeere mu banyomebwa

    [33] (Yusuf) naagamba nti: Ayi Mukama omulabirizi wange ekkomera lyenjagala okusinga ekyo kye bampitira, bwotamponye nkwe zaabwe nja kugwa mu mitego gya bwe, era mbe mu batategeera

    [34] Awo nno Mukama omulabiriziwe naamwanukula naamuwugulako enkwe zaabwe anti mazima yye awulira nnyo mumanyi nnyo

    [35] (Bwe baamala okutunula mu bujulizi) kyabalabikira nga balina kumusiba okumala ekiseera

    [36] Abavubuka babiri, baayingira naye ekkomera, (nga bali mu kkomera buli omu yalaba endooto) omu ku bo naagamba nti mazima nze naloose nga nsogola omubisi, omulala naagamba nti naloose nga neetisse ku mutwe gwange omugaati ng'ebinyonyi bigulyako, tubuulire bivvuunulwa bitya? Mazima ffe tukulaba nga oli mu balongoosa

    [37] (Yusuf) naabagamba nti emmere gye muweebwa tejja kubatuukako okugyako nga mmaze okubavvuunulira (buli omu ekirootokye) nga tennaba kubatuukako, ekyo nno mmwe kye kimu ku bintu Mukama omulabirizi wange bye yanjigiriza, anti mazima nze nayawukana n'ekibiina ky'abantu abatakkiriza Katonda, nga era bo bawakanya olunaku lw'enkomerero

    [38] Era nengoberera eddiini ya bakadde bange Ibrahim ne Ishaka ne Yakub, teki kusaanirangako kugatta ku Katonda kintu kyonna. Byonna ebyo bye bimu ku birungi bya Katonda bye yatugabira era bye yagabira abantu abalala. Naye abantu abasinga obungi tebeebaza

    [39] (Yusuf naabagamba nti) abange mmwe abasibe ababiri, ba katonda ab'enjawulo be balungi okusinga Katonda omu nantalemwa

    [40] Bye musinza ne muleka Katonda, tebirina kye biri okugyako okuba amannya obunnya ge mwatuuma mmwe ne bakadde ba mmwe. Katonda tabissangako bujulizi bwonna, ate nga okusalawo kwonna tekuli okugyako mu mikono gya Katonda (ate nga) yalagira mube nga temusinza okugyako ye yekka eyo nno y'eddiini ennambulukufu, wabula abantu abasinga obungi tebamanyi

    [41] Abange mmwe abasibe ababiri, yye, omu ku mmwe ajja kubeera mu senero ewa Mukama we, ate yye, omulala ajja kukomererwa ku musaalaba, ebinyonyi bimulye ku mutwe, ekigambo kiwedde ekyo kye mubadde mubuuza

    [42] (Yusuf) naagamba oyo gwe yalinamu essuubi ly'okuwona ku bombi nti: onjogererayo nga otuuse ewa Mukama wo (kabaka), wabula Sitane neemwerabiza okumwogererayo ewa Mukamaawe, olwo nno naatuula mu kkomera emyaka egiwera

    [43] (Lumu) Kabaka naagamba nti mazima nze naloose nga ndaba ente musanvu engevvu nga ziriibwa emigogge gye nte musanvu, era nendoota ebirimba musanvu ebyakiragala n'ebikoola musanvu ngabikaze, abange mmwe abakungu munnyinnyonnyole endooto yange bwe muba nga mumanyi okuvvuunula amakulu g'ebirooto

    [44] Nebagamba nti: okwo kulogojjana kwa birooto ate ekirala tetumanyi kuvvuunula birooto

    [45] Omu ku basibe ababiri eyawona (e kkomera) naagamba era nga yajjukira wamaze kuyitawo kaseera nti nze njakubabuulira amakulu g'ekirooto ekyo, kale muntume

    [46] (Bwe yatuuka mu kkomera) naagamba nti Yusuf owange ggwe omwogera mazima tubuulire amakulu g'ekirooto nga ente musanvu engevvu nga ziriibwa emigogge gy'ente musanvu, ebirimba musanvu ebyakiragala n'ebirala musanvu bikalu, olwo nno nzire eri abantu mbabuulire babe nga bamanya

    [47] Yusuf naagamba nti mujja kulimira emyaka musanvu egiddiringanye, bye munaakungula mubireke mu birimba byabyo okugyako bitono ebyo bye munaalya

    [48] Oluvanyuma lw'ekyo, wajja kujja emyaka musanvu egy'obuzibu egiggya okumalawo byonna bye mwagiterekera okugyako ebitono ennyo bye mulisalawo bisigalewo (nga nsigo)

    [49] Oluvanyuma lw'ebyo wagenda kujjawo omwaka abantu mwebalinywesebwa era mu mwaka ogwo balisobola okusogola ku mubisi

    [50] Kabaka naagamba nti: mumundeetere, gwebaatuma bwe yamala okumutuukako (Yusuf) naagamba nti ddayo ewa Mukamaawo omubuuze ebikwata ku bakyala abo abeesala engalo, mazima Mukama omulabirizi wange amanyidde ddala ebikwata ku nkwe zaabwe

    [51] (Kabaka) yagamba (abakyala abo nti) kiki ekyabatuusa kukwegwanyiza Yusuf, nebagamba nti amazima ga Katonda tetumumanyangako kibi kyonna, muka omukulu naagamba nti kaakati amazima geeyolese nze namwegwanyiza era mazima yye wa mu bantu aboogera amazima

    [52] (Yusuf naagamba nti ekyo kyali bwekiti Kabaka) asobole okumanya nti nze sigezangako kumukumpanya nga taliiwo, bulijjo Katonda talungamya nkwe za bakumpanya

    [53] Era sseetukuza mazima omwoyo (gw'omuntu) gulagira nnyo okwonoona, okugyako oyo Mukama omulabirizi wange gwaba asaasidde anti mazima Mukama omulabirizi wange musonyiyi musaasizi

    [54] Kabaka naagamba nti mumundeetere, mwekomye, bwe yamala okwogera naye (Kabaka) naagamba nti mazima ggwe okuva olwa leero oweereddwa obuvunaanyizibwa era oli mwesigwa

    [55] (Yusuf) naagamba nti (bwe kiba bwe kityo) mpa obuyinza ku mawanika g’omunsi (eno Misiri) mazima nze nsobola obuwanika era omumanyi ennyo

    [56] Bwe tutyo nno twawa Yusuf obuvunaanyizibwa mu nsi (Misiri) nga adda eno n'eri mu yo nga bwayagala. Tussa okusaasira kwa ffe ku oyo gwe tuba twagadde era tetuyinza butasasula bakozi ba bulungi

    [57] Empeera y'enkomerero y'esinga obulungi eri abo abakkiriza ne baba nga batya Katonda

    [58] Awo nno baganda ba Yusuf bajja ne bayingira we yali era n'abamanya nga ate bo tebamutegeera

    [59] Bwe yamala okubategekera bye banaatwala, naagamba nti lwe mulidda mundeeteranga muganda wa mmwe mu Kitammwe temulaba nti mazima nze ntuukiriza ebipimo era nze nsinga okuyisa obulungi abagenyi

    [60] Bwe mutalimundeetera temugenda kupimirwa mmere okuva gyendi era temunsembereranga

    [61] Nebagamba nti tujja kusaba Kitaawe amutuwe era mazima ddala ffe tugenda kukikola

    [62] (Yusuf) naagamba abavubuka be nti musse sente zaabwe mu migugu gya bwe banaakimanyira eyo nga batuuse kibenga kibasikiriza okudda

    [63] Bwe baddayo ewa Kitaabwe, baagamba nti owange Kitaffe tugaaniddwa okupimirwa (emmere omulundi omulala bwe tutagenda ne Beniyamini) kale tukkirize tugende ne Muganda waffe tube nga tupimirwa era mazima ddala ffe tugenda kumukuuma

    [64] Yakub naagamba nti abaffe munsuubira okubeesiga ku ye, okugyako nga bwennabeesiga ku mugandawe oluberyeberye (nemutatuukiriza), Katonda ye mukuumi asinga era yye, ye musaasizi asinga abasaasizi bonna

    [65] Bwe baasumulula emigugu gya bwe (nga batuuse ewaabwe) ne bagwa ku sente zaabwe nga zibaddiziddwa ne bagamba nti owange Taata ate kiki ekirala kye twagala, sente zaffe ziizino zituddiziddwa, kye tulina okukola kuleetera bantu baffe mmere, era Muganda waffe tujja kumukuuma, olwo nno tuddeyo tweyongere ekipimo eky'etikkibwa engamiya, era ekyo ekipimo kyangu nnyo okufuna

    [66] Yakub naagamba nti sijja kumubawa kugenda naye okutuusa nga mumpadde obweyamo eri Katonda nti mazima ddala mujja kumunkomezaawo, okugyako nga mwetooloddwa (ne mutasobola kumutaasa). Bwe baamala okumuwa obweyamo bwa bwe naagamba nti Katonda ye mweyimirize ku byonna bye twogera

    [67] Era naagamba nti abange baana bange (bwe mutuukayo) temuyingirira mu mulyango gumu, wabula muyingirire mu milyango gya njawulo, (ngambye ntyo) wabula sisobola kubamalira kintu kyonna ewa Katonda anti okulamula kwonna tekulina gye kuli okugyako ewa Katonda, ye yekka gwe nneesize, anti abeesiga bonna ye yekka gwe bateekwa okwesiga

    [68] Bwe baayingira nga Kitaabwe bwe yabalagira ekitaali kya kubagasa kintu kyonna ewa Katonda okugyako okutuukiriza ekyetaago ekyali mu mutima gwa Yakub, era mazima yye yamanyira ddala bye twamuyigiriza naye ddala abantu abasinga obungi tebamanyi

    [69] Bwe baayingira awaali Yusuf yasembeza gyali Mugandawe naagamba nti: mazima ddala nze Mugandawo (eyabula) kale nno tonakuwala olw'ebyo bye baakolanga

    [70] Bwe yamala okubategekera bye batwala yassa ekisena mu mugugu gwa Muganda we, olwo nno omulangirizi naalangirira nti, abange mmwe abatambuze abagenda mazima ddala mmwe muli babbi

    [71] Nebagamba nga boolekedde bali (ababagamba eby'obubbi) kiki ekibabuzeeko

    [72] Nebagamba nti ekisena kya Kabaka tetukiraba era oyo yenna anaakireeta ajja kuweebwa empeera ey'etikkibwa e ngamiya, era ekyo nze nkyeyimiridde

    [73] Nebagamba nti tulayira Katonda mazima mukimanyi tetwajja kwonoona mu nsi, (eno) era tetubangako babbi

    [74] Nebabagamba nti kibonerezo ki (ekimugwanira) bwe munaaba abalimba

    [75] Nebagamba nti ekibonerezokye, oyo yenna ekisena kya Kabaka gwe kinaasangibwa mu mugugugwe ye y'anaafuuka omutango gwa kyo, (ewaffe) bwe tutyo bwe tubonereza abeeyisa obubi

    [76] (Yusuf naayaza) nga atandikira ku migugu gya bwe nga tannatuuka ku mugugu gwa Mugandawe olwo naakijja mu mugugu gwa mugandawe, bwe tutyo bwe twayamba Yusuf naasalira bagandabe amagezi (anti) yali tayinza kusigaza mugandawe okusinziira ku nkola ya Kabaka (we Misiri) singa Katonda teyayagala, tusitula amadaala g'abo betuba twagadde era waggulu wa buli mumanyi waliyo omumanyi (asingako)

    [77] Nebagamba nti (Biniyamini) bwaba abbye Mugandawe yabba dda, Yusuf naakyesigaliza mu mutimagwe naatabaatulira, naagamba mmwe babi okusinga, era Katonda y'asinga okumanya ebyo bye mwogera

    [78] (Nebagamba nti owange ggwe Kamalabyonna mazima Biniyamini) aliko Kitaawe Musajja mukulu mukadde, kale mu kifo kye sigaza omu ku ffe, mazima tukutwala okuba nga oli mu bakozi b'obulungi

    [79] (Yusuf) naagamba nti Katonda akisse wala okuba nga tukwata atali oyo gwe tukutte n'ebintu byaffe bwe kiba kityo olwo nno tuba balyazaamaanyi

    [80] Bwe baamala okuba nga tebakyamulinamu ssuubi nebadda ebbali (begeyeemu), Mukulu waabwe naagamba nti temukimanyi nti Kitammwe yabaggyeko obweyamo eri Katonda ate nga oluberyeberye mulina engeri gye mutaayisaamu Yusuf bulungi, n'olwekyo sigenda kuva mu nsi eno okugyako nga Kitange anzikirizza oba Katonda nansalirawo. Era yye yaasinga abasalawo bonna

    [81] Muddeeyo eri Kitammwe mumugambe nti: owange Kitaffe mazima Mutabaniwo yabba tetuwa bujulizi okugyako ku ekyo kye tumanyi, era tetubangako ba kalondoozi ku ebyo ebyekusifu

    [82] Buuza abantu bo mu kitundu gye twali, obuuze n'ekibinja ky'abantu kye twaddiramu era mazima ddala ffe tuli b'amazima

    [83] (Yakub) naagamba nti wabula emyoyo gya mmwe gyabayiiyirizza ekintu. okugumiikiriza kulungi, nina essuubi nti bonna Katonda agenda kubandeetera bonna. Mazima ddala y'amanyi ennyo era mugoba nsonga

    [84] Awo nno naabaviira era naagamba nti: ndabye n'omwana wange Yusuf, amaasoge negatukula olw'obunakuwavu, era nga yye munyiikaavu

    [85] Nebagamba nti amazima ga Katonda era okyajjukira Yusuf okutuusa lwokonzibye n'otuuka okubeera mu bagenda okufa

    [86] Naagamba nti mazima ebizibu byange ne nnaku yange mbiroopera Katonda era mmanyi okuva eri Katonda bye mutamanyi

    [87] Abange baana bange mugende mugezeeko okunoonya ebifa ku Yusuf ne Mugandawe, temugwangamu ssuubi ku kusaasira kwa Katonda mazima tewali akutuka ssuubi na kususaasira kwa Katonda okugyako abantu abakaafiiri

    [88] Bwe baayingira awaali Yusuf ne bagamba nti owange kamala byonna ekyeya kituli bubi ffe n'abantu baffe, ate bye twagala okuwaanyisaamu emmere bye tuleese ssi birungi, wabula ggwe tujjulize byotupimira era otusaddaakire (okkirize tugendere awo) mazima Katonda asasula abasaddaaka

    [89] (Yusuf) naagamba nti: mumanyi ekyo kye mwakola Yusuf ne Mugandawe nga temumanyi (bigenda kuddirira)

    [90] Nebagamba nti mazima ddala ggwe Yusuf, naagamba nti nze Yusuf era ono Muganda wange, Katonda yatugonnomolako ebyengera era anti mazima omuntu atya Katonda era naagumiikiriza mazima Katonda tayinza butasasula bakozi ba bulungi

    [91] Nebagamba nti tulayira Katonda nti mazima Katonda yakuwa enkizo ku ffe, era mazima mu byonna bye twakola twali basobya

    [92] Naagamba nti olwa leero si lunaku lwa kubanenya, nsaba Katonda abasonyiwe era yye ye musaasizi asinga abasaazizi bonna

    [93] Mutwale ekyambalo kyange kino mukisuule ku maaso ga Kitange ajja kuddamu alabe era mundeetere abantu ba mmwe bonna

    [94] Ekibinja (kyabwe) bwe kyamala okuva (Emisiri) Kitaabwe naagamba nti mpulira akawoowo ka Yusuf singa si kutya nti munamputtawaza

    [95] Nebagamba nti tulayira Katonda mazima ggwe oli mu bubuzeebwo obw'edda

    [96] Eyaleeta amawulire ag'esssanyu bwe yatuuka, (ekyambalo) yakissa ku kyenyikye (ekya Yakub) awo wennyini naddamu okulaba. (Yakub) naagamba nti saabagamba nti mmanyi okuva ewa Katonda ebyo bye mutamanyi

    [97] Nebagamba nti owange Kitaffe tusabire Katonda atusonyiwe ebyonoono byaffe mazima twali basobya

    [98] Naagamba nti nja kubasabira Mukama omulabirizi wange abasonyiwe, mazima yye ye musonyiyi omusaasizi ennyo

    [99] Bwe baayingira awaali Yusuf yasembeza bakaddebe gyali era naagamba nti muyingire Misiri mubeere mirembe Katonda bwanaaba ayagadde

    [100] Era yasitula bakaddebe naabatuuza ku Ntebeye (Ey'obukulubwe) bonna ne bakutama ne bamuvunnamira era naagamba nti owange Kitange, gano ge makulu g’ekirooto kyange kye nnaloota edda, mazima Katonda wange akituukirizza, era mazima yankolera obulungi bwe yanzija mu kkomera ate na mmwe naabaleeta okubajja mu kyalo oluvanyuma lwa Sitane okuba nti yatabula wakati wange ne baganda bange. Mazima Mukama omulabirizi wange alumirwa oyo gwaba ayagadde anti mazima yye mumanyi nnyo mugoba nsonga

    [101] Ayi Mukama omulabirizi wange mazima ompadde kyompadde mu bufuzi era nommanyisa okuvvuunula endooto, (ggwe) omutonzi w'eggulu omusanvu ne nsi, ggwe mukuumi wange ku nsi ne ku nkomerero. Nzita nga ndi musiraamu onteeke mu bakozi b'obulungi

    [102] Ebyo nno bye bimu ku bigambo ebyekusifu bye tukutumira (ggwe Muhammad) era tewali nabo bwe bassa ekimu nga bakola olukwe

    [103] Abantu abasinga obungi ne bwolulunkana otya tebayinza kubeera bakkiriza

    [104] Sso ate tobasaba mpeera (ku kyobalungamya) tekiri (kyokola) okugyako okujjukiza eri ebitonde

    [105] Obubonero bumeka mu ggulu omusanvu n'ensi bwe bayitako nga bbo tebabufaako

    [106] Abasinga obungi mu bo tebakkiriza Katonda okugyako nga era bamugattako ebintu ebirala

    [107] Abaffe baafuna obukakafu okuba nti tebayinza kujjirwa kibonerezo ky'amaanyi okuva ewa Katonda oba olunaku lw'enkomerero nerubatuukako kibwatukira nga nabo tebategedde

    [108] Gamba nti: lino ly'ekkubo lyange nkowoola abantu okujja eri Katonda, nze n'abangoberera tukola ekyo nga tusinziira ku kulungamizibwa, era Mukama Katonda yasukkuluma, era nze siyinza kubeera mu bamugattako kintu kirala

    [109] Tetwatumako oluberyeberye lwo okugyako basajja nga tubawa obubaka nga bantu ba mu bitundu ebyo (bye baatumwamu) abafffe tebatambula mu nsi ne balaba, yali etya enkomerero y'abo abaabasooka, e nyumba y'enkomerero y'esinga obulungi eri abo abatya Katonda, abaffe temutegeera

    [110] (Okutaasibwa kwa bantu tekwajjanga) okutuusa ababaka lwe baasemberanga okukutuka n'okusuubira era ne balowooza nti mazima bo baalimbisibwa (awo nno) okutaasa kwa ffe ne kubajjira, naawonyezebwa oyo gwe twayagala awonyezebwe, obukambwe bwaffe ku bantu aboonoonyi tebuwonyezebwa

    [111] Mu nkuru zabo rwose habaye isomo kubumva. Ntabwo Qor'ani yigeze ivumburwa, ahubwo ni ibyemeza ibyayibanjirije ndetse no gusobanura mu buryo burambuye ibintu byose, ubuyobozi n'imbabazi kubantu bizera

    Okubwatuka

    Surah 13

    [1] Alif Laam Miim Raa, zino aya za kitabo (Kur’ani) ekyo ekyassibwa gyoli okuva ewa Mukama omulabiriziwo, ge mazima. Naye abantu abasinga obungi tebakkiriza

    [2] Katonda yooyo eyasitula eggulu omusanvu awatali mpagi ze mulaba, oluvanyuma yatebenkera ku ntebe ye, era yagonza enjuba n'omwezi buli kimu kigenda kutambula okumala ebbanga eryakigererwa, atambuza buli kintu, annyonnyola ebigambo, kibasobozese okukkiriza nti mugenda kusisinkana Mukama omulabirizi wa mmwe

    [3] Era yye yooyo eyagaziya ensi Nassa mu yo e nsozi n'emigga, ate nabuli bibala, yateeka mu yo emitendera ebiri (ekisajja n'ekikazi) obudde bw'ekiro abubikkisa emisana. Mazima ebyo birimu obubonero eri abantu abafumiitiriza

    [4] Ate ne mu ttaka mulimu ebitundu ebiriraanye (naye ate tebifaanagana) era nga mulimu amalimiro ag'e Nzabibu era nga mulimu n'ebimera n'emitende ekikolo eky'emiti emingi n'ekikolo eky'omuti ogumu (nga byonna) binywekerezebwa ku mazzi ge gamu, era tusukkulumya ebimu ku binnaabyo mu kuwooma, mazima mu ebyo mulimu obubonero eri abantu abalina amagezi

    [5] Bwoba oli wa kwewuunya, kyewuunyisa ekigambo kyabwe bwe bagamba nti: bwe tulimala okufuuka ettaka (nga tufudde) abaffe tuliddamu ne tutondebwa, abo nno beebo abaajeemera Mukama omulabirizi waabwe era abo enkoligo zigenda kubeera mu nsingo zaabwe era abo be bantu bo muliro bo baakutuula bugenderevu mu gwo

    [6] Bakusaba batuusibweko ekibi mu bwangu mu kifo ky'okuba nga bandibadde bakusaba birungi, ate nga ebibonerezo bingi ebyaliwo oluberyeberye. era mazima Mukama Omulabiriziwo ajjudde okusonyiwa eri abantu ku kweyisa kwa bwe obubi, era ddala Mukama omulabiriziwo muyitirivu wa bibonerezo

    [7] Era abo abaakaafuwala bagamba nti: singa aweebwa eky'amagero okuva ewa Mukama omulabiriziwe (wabula) mazima ddala ggwe oli mutiisa. Anti bulijjo buli bantu balina omulungamya waabwe

    [8] Katonda amanyi buli kikazi ekyo kye kiba kirina mu lubuto lwa kyo, n'ekyo nnabaana kyayongera ne kyakendeeza, (ku bbanga olubuto lye lumala) era buli kintu kyonna ewa Mukama Katonda kikolera ku kigero (ekyakiweebwa)

    [9] Amanyi ebyekusifu n'ebirabwako, ow'ekitiibwa ennyo eyeesukulumya yekka

    [10] Kye kimu (ewa Katonda) mu mmwe oyo aba akweese, ekigambo n'oyo akyatula, n'oyo akukuta ekiro, n'oyo assa ebibye mu musana

    [11] (Buli muntu) aliko (ba Malayika) abakolera mu mpalo, buli kiseera babeera mu maasoge n'emabegawe nga bamukuuma nga ekyo kiragiro kya Katonda, mazima Katonda takyusa mbeera nnungi eri ku bantu okugyako nga bo bennyini be bakyusizza, Katonda bwaba ayagaliza obubi okutuuka ku bantu tewali ayinza kubuzzaayo, era tebayinza kufuna ng'oggyeko Katonda mukuumi mulala yenna

    [12] Yye yooyo abalaga ekimyanso waggulu ne muba mu kutya ate nemuba nga muyaayaanira (enkuba), era yassaawo ebire ebizito ebitonnyesa enkuba

    [13] Okubwatuka okuva waggulu kutendereza Katonda nga bwe kumusuuta, ba Malayika (nabo bamutendereza) olw'okumutya era asindika okubwatuka kwe ggulu naazikiriza nakwo oyo gwaba ayagadde okuzikiriza. (Awamu n'ekyo) bo abakaafiiri bagenda mu maaso nga bawakana ku bwomu bwa Katonda mazima yye Katonda amaanyige masuffu

    [14] Okusaba okutuufu kwolekezebwa yye, bo abo abasaba atali yye tebasobola kubaanukula ku kintu kyonna, okugyako okuba nga omuntu agolodde ebibatu bye eri amazzi agaleete eri omumwa gwe naye nga tasobola kugatuuka. Era tekuli okusaba kwa bakaafiiri okugyako okubeera mu bubuze

    [15] Ebiri mu ggulu omusanvu ne mu nsi bivunnamira Katonda mu kwagala oba mu kukakibwa nga n'ebisikirize bya byo ku makya n'olweggulo (bikola bityo)

    [16] Gamba (Ggwe Muhammad) nti ani Mukama omulabirizi w'eggulu omusanvu n'ensi bagambe nti: Katonda ate bagambe nti ate olwo mweteerawo mutya abakuumi, yye ne mumuleka, so nga ekirungi n'ekibi ebibatuukako tebiri mu mikono gya bwe, bagambe nti abaffe muzibe n'omuntu alaba benkana oba ebizikiza n'ekitangaala byenkana oba Katonda bamussaako ababeezi nga batonda nga okutondakwe nekiba nti okutonda (okw'emirundi ebiri) kwe kwabatabula, bagambe nti Katonda ye Mutonzi wa buli kintu, era yye y'oyo ali omu (obwannamunigina) nnantalemwa

    [17] Atonnyesa enkuba okuva waggulu, amazzi negakulukutira mu nsenyi okusinziira ku bunene bwazo, Mukama naaleeta ebisejja nga bibimbye ate ekifaananyi ekirala ebintu bye bakumako omuliro olw'okwagala okufunamu eby'okwewunda oba eby'okukozesa, mu kukola ekyo namwo muvaamu ebisejja nga biri, bwa tyo Katonda bwa lambika amazima n'obwonoonefu wabula byo ebisejja bifuuka kasasiro, wabula kyo ekigasa abantu kisigala mu ttaka. Bwa tyo Katonda bwakuba ebifaananyi

    [18] Abo abanaayanukula Mukama omulabirizi waabwe balina okufuna obulungi, naye abo abataamwanukule ebiri mu nsi yonna ne bwe byandibadde bya bwe nga balina n'ebirala ebibifaanana awamu nabiri bandyenunudde nabyo (ku lunaku lw'enkomerero), abonno balifuna okubalibwa okubi era omuliro Jahannama bwe buliba obuddo bwa bwe era bwe buliri obusinga obubi

    [19] Abaffe oyo amanyi nti ebyassibwa ku ggwe okuva ewa Mukama omulabiriziwo ge mazima ayinza okuba nga oyo muzibe (atalaba mazima ago). Mazima aba magezi be bajjukira

    [20] (Aba magezi) beebo abatuukiriza endagaano za Katonda nebatamenya bweyamo

    [21] Era abo abayunga ekyo Katonda kyeyalagira okuyunga era ne batya ne babeera nga buli kiseera beeraliikirira Mukama omulabirizi waabwe, era ne batya okubalibwa okubi (okutaliimu kulekera kwonna)

    [22] Era abo abagumiikiriza ku lw'okwagala okubeera ku ludda lwa Mukama omulabirizi waabwe era nebayimirizaawo e sswala, era nebawaayo ku ebyo bye twabagabirira nga bakikola mu kyama ne mu lwatu era nga ekibi bakiggyisaawo ekirungi, abo nno balifuna ekifo ekisiimwa ku nkomerero

    [23] (Ekifo ekyo) ze jjana ez'olubeerera zebaliyingira, nga baliba wamu n'abo abalongoosa mu bakadde babwe, ne be baali nabo mu bufumbo, ne zzadde lya bwe ba Malayika baliba bayingira gye bali, nga bayita mu buli mulyango

    [24] (Balibagambanga) nti emirembe gibe ku mmwe olw'ebyo bye mwagumiikiriza, ekyengera ekisinga obulungi kye kifo ekyo ekirisiimwa ku nkomerero

    [25] Ate abo abamenya endagaano za Katonda oluvanyuma lw'okuzikakasa, ne bakutula ekyo Katonda kye yalagira okuyunga era ne boonoona mu nsi abo baliko ekikolimo era bagenda kuweebwa e nyumba embi (ku lunaku lw'enkomerero)

    [26] Katonda agaziya riziki eri oyo gwaba ayagadde era agifundiza (gwaba ayagadde, bo abantu abalowoolereza mu by'ensi) badda mu kusanyuka n'obulamu obw'ensi so nga ate obulamu bw'ensi tebulina kye buli ku bulamu bw'enkomerero okugyako mpozzi lusanyuka lwa mulundi gumu

    [27] Abo abaakaafuwala ne bagamba nti: singa assibwako (Nabbi Muhammad) eky'amagero okuva ewa Mukama omulabiriziwe. Bagambe nti mazima Katonda abuza oyo gwaba ayagadde naalungamya okudda gyali oyo yenna eyeemenya

    [28] (Abeenenya) be bo abakkiriza Katonda, era nga emitima gya bwe gitebenkera olw'okwogera ku Katonda. Abange anti bulijjo emitima gitebenkera olw'okwogera ku Katonda

    [29] Be bo abakkiriza ne bakola e mirimu emirongoofu, bagenda kufuna okwesiima n'obuddo obulungi

    [30] Nabwekityo twakutuma ggwe (Nabbi Muhammad) mu bantu nga oluberyeberye lwa bwe waaliyo ebibiina bingi obe nga obasomera ekyo kye twassa gyoli, nga bali ku kuwakanya Katonda ow'ekisa ekingi, bagambe nti yye ye Mukama omulabirizi wange, tewali kisinzibwa (mu butuufu) okugyako yye, ye gwenneekwasizza era gyali gye njolekeza okwenenya kwange

    [31] Singa mazima waliyo ekitabo ekisomwa nga ensozi zisobola okutambuzibwa nakyo, n'ensi neyeeyasaamu emiwaatwa (ne gitambuliramu amazzi), oba abafu ne boogezebwa nakyo (ekitabo ekyo kyandibadde Kur’ani eno, eby'amagero si bye birungamya) wabula obuyinza bwonna bwa Katonda, abaffe abo abakkiriza tebakutukanga na kusuubira nti singa Katonda yayagala yandirungamizza, abantu bonna, era abo abaakaafuwala tebagenda kuvaawo nga batuukwako obuzibu olw'ebyo bye baakola oba ekizibu okugwa okumpi n'amayumba ga bwe, okutuusa endagaano ya Katonda lwe lijja. Mazima Katonda tayawukana ku ndagaano

    [32] Era mazima ababaka bangi abaagyejebwa oluberyeberyelwo, naye nennindiriza abo abaakaafuwala, oluvanyuma nnabakwata (ggwe) olaba okubonereza kwange kwali kutya

    [33] Abaffe oyo alina obuyinza ku buli mwoyo olw'ebyo bye gukola (ayinza okufaanana nga oyo atali bwatyo). Abantu nebatuuka okugatta ku Katonda ebisinzibwa ebirala. Bagambe nti: muboogere (be baani) bwe kitaba ekyo muba nga abamutegeeza ebyo byatamanyi ku nsi, oba mumala gakozesa bigambo ku ngulu kwabyo (nga bwe mulaba), (wabula) ekituufu kiri nti abo abaakaafuwala enkwe zaabwe zaabalabikira okuba nga nnungi olwo nno ne baggyibwa ku kkubo. Oyo yenna Katonda gwaba abuzizza tayinza kubaako alungamya

    [34] Balina ebibonerezo mu bulamu obw'ensi ate nga ebibonerezo by'enkomerero bye bisinga obukakali. Tebagenda kufuna mutaasa yenna ku Katonda

    [35] Ekifaananyi kye jjana eyo eyalagaanyisibwa abatya Katonda (efaanana bweti) emigga gikulukutira wansi waayo, eby'okulya byamu bya lubeerera n'ekisiikirize kyamu bwe kityo, eyo y'enkomerero yaabo abatya Katonda so nga enkomerero ya bakaafiiri muliro

    [36] N'abo be twawa ekitabo basanyuka olw'ekyo ekyassibwa gyoli ate mu bibiina byabwe (ebimu) mulimu abawakanya ebimu ku bye watumwa nabyo, bagambe nti nalagirwa okuba nga nsinza Katonda era mbe nga simugattako kintu kyonna, nkowoola abantu okudda gyali era gyali yeeri obuddo bwange

    [37] Era bwe tutyo bwe twassa Kur’ani nga esalawo ku buli kintu nga eri mu luwarabu, singa ogoberera okwagala kwa bwe oluvanyuma lw'okumanya okukujjidde, tolina mukuumi wadde omutaasa ku Katonda

    [38] Mazima twatuma ababaka bangi oluberyeberyelwo, netubawa abakyala n'ezadde, tewali Mubaka yenna yali asobola kuleeta kyamagero kyonna okugyako kulwa kukkiriza kwa Katonda. Buli ntuuko eba mpandiike ewa Katonda

    [39] Katonda asangulawo kyaba ayagadde, ate ebirala naabireka nga bwe yabisalawo, ekitabo ekikulu (Llawuhul – Mahfuzu) ekiwandiikibwamu ebintu byonna yakyesigaliza

    [40] Oba singa tukulaga ebimu ku ebyo bye tukulagaanyisa oba netukutuusa ku ntuukoyo (nga tobirabye, byonna kye kimu) ggwe kyoteekwa okukola kwe kubatuusaako obubaka, kwo okubala kuli ku ffe

    [41] Abaffe tebalaba nti mazima ffe mpolampola tugenda tukendeeza ensi nga tutandikira gy'ekoma, kiri nti Katonda yasalawo tewali agobereza kigambo ku kusalawo kwe, era nga ye mwangu mu kubala

    [42] Mazima abo abaabakulembera bakola enkwe naye nga enkwe zonna ziggwera eri Katonda, amanyi buli kyonna omuntu kyakola, abakaafiiri bagenda kumanya nti enkomerero ennungi eriba yaani

    [43] Era abo abaakaafuwala bagamba nti toli mutume, bagambe nti Katonda amala okuba nga ye mujulizi wakati wange na mmwe, n'abo abalina okumanya nga kuva mu kitabo (Abayudaaya na Banaswara)

    Ibrahim

    Surah 14

    [1] Alif Laam Raa, kino kitabo twakissa gyoli obe nga oggya abantu mu kizikiza obazze mu kitangaala, ku lw'okukkiriza kwa Mukama omulabirizi waabwe (obalungamye) ku kkubo lya nnantakubwa ku mukono atenderezebwa

    [2] Katonda oyo nannyini wa byonna ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi. Era okubonaabona kuliba ku bakaafiiri olw'ebibonerezo ebikakali ebiribatuukako

    [3] Abo abakulembeza obulamu bw'ensi ku bw'enkomerero, nga bagoba abantu okubaggya ku kkubo lya Katonda era nga balyagaliza okuba ekkyamu. Abo bali mu bubuze obweyolefu

    [4] Tetutumanga Mubaka yenna okugyako mu lulimi lwa bantube, alyoke abe nga abannyonnyola (buli nsonga etegeerekeke) olwo nno Katonda abuze gwaba ayagadde era alungamye gwaba ayagadde, anti yye nga bulijjo ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga

    [5] Mazima twatuma Musa n'obubonero bwaffe (netumugamba) nti: Abantu bo baggye mu bizikiza obazze eri ekitangaala, era obajjukize ennaku za Katonda, (kwe yakolera) ebintu ebiteekwa okujjukirwa mazima mu ekyo mulimu obubonero (obulaga obuyinza bwa (Katonda) eri omugumiikiriza omwebaza owa nnamaddala

    [6] Era jjukira Musa bwe yagamba abantube nti mujjukire ekyengera Katonda kye yabawa, bwe yabawonya abantu ba Firawo nga babakombya ku bibonyobonyo ebikakali, nga batirimbula abaana ba mmwe abalenzi nebalekawo abaana ba mmwe ab'obuwala, mu kukola ekyo mwalimu okugezesebwa kunene nnyo okuva eri Mukama omulabirizi wa mmwe

    [7] Era mujjukire Mukama omulabirizi wa mmwe bwe yalangirira nti singa mwebaza nja kubongerera ddala naye singa mukaafuwala mazima ebibonerezo byange bikakali

    [8] Musa naagamba nti singa mmwe mukaafuwala n'abantu bonna abali mu nsi, mazima Katonda talina kye yeetaaga eri muntu yenna era yye y'atenderezebwa

    [9] Abaffe tegaabatuukako amawulire agakwata ku abo abaabakulembera (nga) abantu ba Nuhu, abantu ba A’di ne Thamud, n'abo abaaliwo oluvanyuma lwa bwe tewali abamanyi okugyako Katonda, ababaka baabwe baabajjira n'obunnyonnyofu, nebassa emikono gya bwe ku mimwa gya bwe, era nebabagamba nti mazima ffe tetukkirizza ebyo bye muleese, era mazima ffe tuli mu kubuusabuusa okulimu okutankana ku ebyo bye mutuyita okujja gye biri

    [10] Ababaka baabwe nebagamba nti abaffe Katonda abuusibwa buusibwa (okuba nti ali omu) omutonzi we ggulu n'ensi, abakoowoola mujje abe nga abasonyiwa ebyonoono bya mmwe era abalindirize okutuusa ku kiseera ekigere. Nebagamba nti tewali kye muli wabula muli bantu nga ffe, mwagala kutuggya ku ebyo bakadde baffe bye baasinzanga, kale mutuleetere obujulizi obweyolefu

    [11] Ababaka baabwe nebabagamba nti (ye wewaawo) tetuli kirala kyonna wabula tuli bantu nga mmwe, naye mazima Katonda ddala agabira oyo gwaba ayagadde mu baddube era tetusobola kubaleetera bujulizi okugyako, nga Katonda akkirizza. Katonda yekka, abakkiriza gwe bateekwa okwekwasa

    [12] Tuyinza kwesigulaki netuteekwasa Katonda, nga ate yatulungamya mu makubo gaffe, era ddala tujja kugumiikiriza ku ngeri gye mutuyisaamu obubi, Katonda yekka abeesiga gwe bateekwa okwesiga

    [13] Era abo abaakaafuwala nebagamba ababaka baabwe nti: tujja kubagoba mu nsi yaffe, oba ssi ekyo mujja kuddira ddala mu ddiini yaffe. Mukama omulabirizi waabwe naabatumira nti ddala tujja kuzikiriza abeeyisa obubi

    [14] Era ddala mmwe tujja kubatebenkeza mu nsi, oluvanyuma lwa bwe, ekyo kigenda kufunibwa oyo atya okuyimirira mu maaso gange naatya n'ebitiiso byange

    [15] (Ababaka) nebasaba (Katonda) okubataasa, naawemuka buli mwekuza ow'amawaggali

    [16] Oluvanyuma lw'ekyo (omwekuza oyo alindiriddwa) omuliro jahannama era agenda kunywesebwa amazzi ag'amasira ag'olusaayi saayi

    [17] Agenda kugezaako okuganywa naye nga tagasobola, ate okufa nekumujjira nga kuva mu buli luuyi so nga ate tagenda kufa, nga ate oluvanyuma lw'ekyo alindiriddwa ebibonerezo ebizito

    [18] Ekifaananyi ky'abo abawakanya Mukama omulabirizi waabwe, (kiri nti) emirimu gya bwe giringa vvu erikungusiddwa empewo ku lunaku olulimu kibuyaga nga mu bye baakola byonna tebalina kye balinako buyinza okwo nno kwe kubula okwewala

    [19] Abaffe tolaba nti mazima Katonda eggulu omusanvu ne nsi yabitonda mu ngeri entuufu. Bwaba ayagadde abajjawo naaleeta ebitonde ebipya

    [20] Era ekyo ku Mukama Katonda ssi kinene

    [21] Bonna bagenda kweyoleka mu maaso ga Katonda. Abaali abanafu bagenda kugamba abo abeekuza mazima ffe twali bagoberezi ba mmwe abaffe mulina ekintu kye muyinza okutuyamba ku bibonerezo bya Katonda, nebagamba nti singa Katonda yatuluingamya twali balungamizza, kye kimu kuffe tutidde oba tugumiikirizza tetulina wa kuddukira

    [22] Ekigambo nga kimaze okuggwa (mu ngeri eyo) Sitane aligamba nti mazima Katonda yabalagaanyisa endagaano ey'amazima nange nembalagaanyisa, naye nembaawukanako, era sibangako na buyinza bwonna ku mmwe okugyako okuba nti nnabayita nemunnyanukula. Kale nno temunnenya, mwenenye mwekka, nze siri wa kubataasa nga na mmwe bwe mutali ba kuntaasa, mazima nze neegaanye ebyo bye mwangattamu ne Katonda oluberyeberye. Mazima abeeyisa obubi balina ebibonerezo ebiruma

    [23] Abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu baliyingizibwa e jjana nga emigga gikulukutira wansi waazo, bagenda kuzibeeramu olubeerera olw'okukkiriza kwa Mukama omulabirizi waabwe, Salaamu (mirembe) kye kiriba ekiramuso kyabwe nga bali muzo

    [24] Abaffe tolaba engeri Katonda gye yakubamu ekifaananyi ky'ekigambo ekirungi (Lla Ilaaha Illa Llahu Muhammad Rasuulu Llah), nga kifaanana omuti omulungi nga ekikolo kyagwo kinywevu nga amatabi g'agwo gali waggulu

    [25] Guleeta eby'okulya by'agwo buli kiseera ku lw'okukkiriza kwa Mukama omulabirizi waagwo, era Katonda akubira abantu ebifaananyi kibasobozese okujjukira

    [26] Ate ekifaananyi ky'ekigambo ekibi kiringa omuti omubi ogusindulwa (nga gwamerera) ku ngulu nga tegulina wegunywerera

    [27] Katonda anyweza abo abakkiriza olw'ekigambo ekinywevu mu bulamu obw'ensi n'obwenkomerero (mu ngeri y'emu), era naabuza abeeyisa obubi. Bulijjo Katonda, akola ekyo kyaba ayagadde

    [28] Abaffe tolaba abo ekyengera kya Katonda abaakiwaanyisaamu obukaafiiri (olw'ekyo), nebatwala abantu ba bwe mu nyumba ey'okuzikirira

    [29] (Nga nayo) gwe muliro Jahannama, gwe bagenda okwesogga era obwo obuddo bubi

    [30] Nebateeka ku Katonda ebisinzibwa ebirala babe nga babuza abantu okubaggya ku kkubolye, bagambe nti mweyagale, mazima ddala obuddo bwa mmwe buli mu muliro

    [31] Gamba abaddu bange abo abakkiriza babe nga bayimirizaawo e sswala era baweeyo mu ebyo bye tubagabira (bakikole) mu kyama ne mu lwatu nga olunaku olutalibaamu bya maguzi wadde ab'emikwano telunnajja

    [32] Katonda oyo eyatonda eggulu omusanvu n'ensi naatonnyesa okuva waggulu, amazzi n'ameza nago ebibala nga bya kulya bya mmwe, era yabagondeza amaato okuba nga gatambulira ku nyanja ku lw'obuyinzabwe era naabagondeza emigga

    [33] Era naabagondeza enjuba n'omwezi nga byombi bitambula era naabagondeza ekiro n'omusana

    [34] Era naabawa ekyo kyonna kye mumusaba, singa mugezaako okubala ebyengera bya Katonda temuyinza kubimalayo, anti mazima bulijjo omuntu yeeyisa bubi, yeewakana ebyengera

    [35] Era Jjukira Ibrahim bwe yagamba nti Ayi Mukama omulabirizi wange ekibuga kino (Makkah) kifuule kya mirembe, onneekese n'abaana bange okuba nga tusinza amasanamu

    [36] Ayi Mukama omulabirizi wange mazima go gabuzizza abantu bangi, oyo yenna angoberera mazima yye aba wa mu bantu bange, ate oyo yenna anjeemera, mazima ggwe oli musonyiyi musaasizi

    [37] Ayi Mukama omulabirizi waffe mazima nze nsenzezza abamu ku zzadde lyange mu lusenyi olutaliimu birime awali enyumba yo ey'emizizo, ayi Mukama omulabirizi waffe olwo babe, nga bayimirizaawo e sswala kale nno, fuula emitima gy'abantu egyagala okujja gye bali era obagabirire mu bibala basobole okwebaza

    [38] Ayi Mukama omulabirizi waffe, mazima ggwe omanyi bye tukweka ne bye twolesa, ate nga tewali kintu kyonna kyekweka Katonda mu nsi wadde mu ggulu

    [39] Ebitendo bya Katonda, oyo eyampa Ismail ne Ishaka mu bukadde. Mazima Mukama omulabirizi wange awulirira ddala okusaba

    [40] Ayi Mukama omulabirizi wange nfuula ayimirizaawo e sswala, ne muzadde lyange (ojjemu abakola ekyo) ayi Mukama omulabirizi waffe nkusaba okkirize okusaba kwange

    [41] Ayi Mukama omulabirizi waffe onsonyiwanga ne bakadde bange bombi, n'abakkiriza ku lunaku okubala lwe kuliyimirirawo

    [42] Tosuubiranga Katonda okuba nti tafaayo ku ebyo abeeyisa obubi bye bakola, anti mazima abalindiriza okutuusa olunaku amaaso lwe galilalambala lwe lulituuka

    [43] Baliba banguyirira nga balalambazza emitwe gya bwe, nga amaaso gaabwe tegadda gye bali (kutunula ku kintu kirala) nga n'emitima gya bwe myereere

    [44] Era tiisa abantu olunaku ebibonerezo lwe biribajjira, abo abeeyisa obubi nebagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe, tulindirize okumala akaseera katono tusobole okwanukula okukoowoola kwo era tugoberere ababaka, (baligamba) abaffe temwalayira oluberyeberye nti temugenda kuva ku nsi

    [45] Nemusenga mu bibanja byabo abeeyisa obubi, era nekibalabikira mu lwatu, ki kye twabakola. Era tubakubidde ebifaananyi (mube nga mumatira)

    [46] Mazima ddala bakola enkwe zaabwe naye nga enkwe zaabwe zonna ewa Katonda weziggwera, era ensozi tezibangako zaakuvaawo olw'enkwe zaabwe

    [47] Tokirowoozanga nti Katonda wa kwawukana ku ndagaanoye gye yawa ababakabe (okubataasa). Mazima Katonda ye nantakubwa ku mukono alina obusobozi bw'okubonereza

    [48] Ku lunaku ensi lwe likyusibwa neba nga tekyali nsi, nabwekityo eggulu omusanvu, (abantu bonna) ne beeyoleka ewa Katonda omu nantalemwa

    [49] Oliraba aboonoonyi ku lunaku olwo nga bagattiddwa ku mpingu

    [50] Engoye zaabwe ziriba zikoleddwa mu bikwata amangu omuliro, era omuliro gulibikka ebyenyi byaabwe

    [51] Olwo nno Katonda abe nga asasula buli mwoyo ebyo bye gwakola, mazima Katonda mwangu mu kubala

    [52] Kuno kutuusa (obubaka) eri abantu era babe nga balabulwa nabwo (ebyaziyizibwa), era babe nga bamanya nti mazima yye ali Katonda omu, era abalina amagezi beebuulirire

    Oluyiira Olw'amayinja

    Surah 15

    [1] Alif Laam Raa, zino ze zimu ku Aya z'ekitabo, era nga ye Kur’ani ennyinyonnyofu

    [2] Lumu, abo abaakaafuwala balyegomba okuba nti singa baali basiraamu

    [3] Baleke balye, era beeyagale era essuubi (mu kuwangaala) libalabankanye, kyaddaaki balimanya

    [4] Tetwazikiriza kitundu kyonna okugyako nga kyalina ekiseera ekimanyiddwa

    [5] Tewali bantu bakulembera ntuuko yaabwe era tebayinza kusaba kwongerwayo (okusaba kwa bwe ne kuyitamu)

    [6] Nebagamba (abakaafiiri) nti owange ggwe eyassibwako ekijjukiza (Kur’ani) mazima ddala ggwe oli mulalu

    [7] Waakiri singa otuleetera ba Malayika bwoba nga oli mu boogera amazima

    [8] (Katonda naagamba) nti: tetussa ba Malayika okugyako lwa nsonga n'olwekyo (singa twabaweereza ba Malayika) tebandibadde balindirizibwa

    [9] Mazima ffe, ffe twassa ekijjukiza (Kur’ani) era mazima ffe tujja kugikuuma

    [10] Mazima nga tonnajja twatumira ebibiina ebyakulembera

    [11] Era tewali mubaka yenna eyabajjira okugyako baamujeejanga

    [12] (Nga bwe twayingiza obukaafiiri mu mitima gya bakaafiiri abaakulembera) bwe tutyo bwe tubuyingiza mu mitima gy'aboonoonyi (abo mu bantubo)

    [13] (Obubaka bwo) tebabukkiriza ate nga ekyatuuka ku baabakulembera kimanyiddwa

    [14] Era singa twabaggulirawo omulyango mu ggulu nebaba nga balinnyira mu gwo (nga bwe bakka)

    [15] Baaligambye nti mazima amaaso gaffe gatamiiziddwa si nakindi ffe tuli bantu abaloge

    [16] Mazima twassa ku ggulu ebifo by'emmunyenye netulinyiriza eri abalabi

    [17] Era netulikuuma ku buli Sitane eyagobwa mu kusaasira kwa Katonda

    [18] Wabula oyo Sitane aba awulirizza mu bubba olwo nno ekitawuliro ekyeyolefu nekimufubutula emisinde

    [19] N’ensi twagigaziya, netugisimbamu enkondo (ensozi), netumeza mu yo buli kintu nga kya kigero

    [20] Netubateera (mmwe) mu yo ebiyimirizaawo obulamu bwa mmwe, n'ebiyimirizaawo obulamu bw'ebyo bye mutaliisa

    [21] Tewali kintu kyonna okugyako nga ffe tulina amawanika g'akyo ate tetubissa okugyako nga kigero ekisaliddwawo

    [22] Era tusindika empewo eyamba ebire okubaamu amazzi, olwo nno netussa enkuba okuva waggulu, netubanywekereza nayo mmwe, so nga si mmwe muba mugaterese

    [23] Era mazima ffe tuwa obulamu, era netutta era ffe tugenda okusigalawo

    [24] Era mazima ddala twamanya abalisooka mu mmwe (okufa) era mazima twamanya abalisembayo

    [25] Era mazima Mukama omulabiriziwo yaali bakunganya (ku lunaku lw'enkomerero) anti mazima yye mugoba nsonga, muyitirivu wa kumanya

    [26] Mazima twakola omuntu (Adam) mu bbumba ettabule nga liddugavu

    [27] N'amajjini twagatonda oluberyeberye mu muliro omuyitirivu ogwokya ennyo

    [28] Jjukira ggwe (Nabbi Muhammad) Mukama omulabiriziwo bwe yagamba ba Malayika nti: mazima nja kutonda omuntu nga muggya mu bbumba ekkaze

    [29] Olwo nno bwe nnamala okumwenkanyankanya, nenfuuwa mu ye omwoyo oguva gyendi kale nno mugwe wansi nga mumuvunnamira

    [30] Olwo ba Malayika bonna nebavunnama

    [31] Okugyako Ibuliisu yagaana okubeera mu bavunnama

    [32] (Katonda) kwe kugamba nti: owange ggwe Ibuliisu ki ekikugaanye okuvunnama n'abavunnami

    [33] (Ibuliisu) nti: sandibadde avunnamira omuntu, gwotonze nga omuggya mu bbumba ekkaze eriddugavu

    [34] (Katonda) kwe kumugamba nti gifulume (e jjana) anti ggwe ogobeddwa okuva mu kusaasira kwa Katonda

    [35] Era mazima ekikolimo kibeere ku ggwe okutuusiza ddala olunaku lw'okubalibwa

    [36] (Ibuliisu) naagamba nti: Ayi Mukama Omulabirizi wange, nnindiriza okutuusa ku lunaku lw'okusasulwa

    [37] (Katonda) naagamba nti kale oli mubalindiriziddwa

    [38] Okutuusa ku lunaku lw'ekiseera ekimanyiddwa (ebitonde byonna lwe birizikirira)

    [39] (Ibuliisu) naagamba nti: ayi Mukama omulabirizi wange nga bwombuzizza, mazima nja kubawundira kuno ku nsi (obujeemu n'ebibi bibe nga by'ebirungi mu maaso gaabwe) era nja kubabuliza ddala bonna

    [40] Okugyako abaddubo mu bo abalondobemu

    [41] (Katonda) naagamba nti lino kkubo ggolokofu

    [42] Mazima abaddu bange tobalinaako buyinza, mpozzi abo abakugoberera mu babuze

    [43] Era mazima omuliro Jahannama gwabalagaanyisibwa bonna

    [44] Gulina emiryango musanvu, buli mulyango gulina mu bo omuteeko ogwagugerekerwa

    [45] Mazima abatya Katonda balibeera mu jjana n'ensulo nga zikulukuta

    [46] (Baligambibwa) nti mugiyingire nga muli mirembe nga temulina kutya kwonna

    [47] Netujjawo buli kakuku akali mu bifuba bya bwe nebaba ab'oluganda. Olwo nno nga bali ku bitanda nga batunuuliganye (banyumya)

    [48] Tebagenda kutuukibwako kukoowa era nga bwe batagenda kufulumizibwamu

    [49] Tegeeza abaddu bange nti nze musonyiyi ennyo omusaasizi

    [50] Era nti mazima ebibonerezo byange by'ebibonerezo ebiruma ennyo

    [51] Era bategeeze ebikwata ku bagenyi ba Ibrahim

    [52] Mu kiseera bwe baayingira we yali nebagamba nti mirembe (Salaamu) naagamba (Ibrahim) mazima ffe tubatidde

    [53] Nebagamba nti totya, mazima ffe tukuwa amawulire ag'essanyu (ag'okuzaala) omwana omulenzi omumanyi ennyo

    [54] (Ibrahim) naagamba nti: mumpa amawulire ag'essanyu nga n'obukadde bumaze okunzingiza olwo mawulire ga ssanyu nnabaki

    [55] Nebagamba nti, tukuwadde amawulire ag'essanyu mu bwesimbu, tobeeranga mu bakutuka n'okusuubira

    [56] Naagamba nti nga ani akutuka n'okusaasira kwa Mukama omulabiriziwe mpozzi ababuze

    [57] Naagamba nti kiki ekibaleese abange mmwe abatumiddwa

    [58] Nebagamba nti: mazima ffe tusindikiddwa eri abantu aboonoonyi

    [59] Ng'oggyeko abenju ya Luutu mazima ddala ffe bonna tujja kubawonya

    [60] Okugyako mukyalawe, twakisalawo nti mazima yye waakubeera mu abo abataligenda (naye)

    [61] Ababaka bwe baatuuka awali abantu ba (Nabbi) Luutu

    [62] (Luutu) naagamba nti mazima mmwe muli abantu abatamanyidddwa

    [63] Nebagamba nti: ssi ekyo kyokka wabula tukujjidde n'ekyo kye baali babuusabuusa

    [64] Era tukuleetedde amazima, era ddala ffe bye twogera bituufu

    [65] Kale tambula n'abantubo mu kitundu ky'ekiro era (ggwe) baveeko emabega tewaba omu ku mmwe akyuka, era mugende eyo gye mulagiddwa

    [66] Netumuwa ekiragiro nti abasembayo ku bo baakuggwawo nga busaasaana

    [67] Abantu bo mu kibuga nebajja (ewa Luutu) nga bafa essanyu (olw'abagenyi abavubuka abaali bakyaddeyo)

    [68] (Luutu) naagamba nti mazima abo bemulaba bagenyi bange temunsonyiwaza

    [69] Era mutye Katonda temunswaza

    [70] Nebagamba nti: abaffe tetwakugaana (okuleeta wano) abantu

    [71] Naabagamba nti bawala bange baabo bwe muba nga mulina kukikola

    [72] (Katonda agamba nti) ndayidde obulamu bwo (ggwe Muhammad) mazima bo mu kukola ebyo byonna, baali babuyaanira mu butamiivu bwabwe

    [73] Okubwatuka (okwamaanyi) nekubatuukako nga enjuba evaayo

    [74] (Netuvuunika ebyalo byabwe) netuzza waggulu waabyo wansi, netubafukirira amayinja ag'o mu bbumba eryokye

    [75] Mazima mu ebyo mulimu obubonero eri abo abalondoozi b'obubonero

    [76] Era mazima ebyalo ebyo (ebyazikirizibwa) biri ku kkubo erikyaliwo (agendayo asobola okubiraba)

    [77] Mazima mu ebyo mulimu akabonero (akalaga obusobozi bwa Katonda) eri abakkiriza

    [78] Era mazima n'abantu b'omukibira baali beeyisa bubi

    [79] Netubazikiriza era mazima abantu ab'emirundi ebiri (aba Luutu ne Swaibu) baali ku kkubo erimanyiddwa (buli ayitawo alabawo)

    [80] Mazima abantu be Hijiri baalimbisa ababaka (bwe baalimbisa Nabbi Swaleh)

    [81] Era netubaleetera obubonero bwaffe naye nebabwawukanako

    [82] Baasimanga ensozi, nebakolamu amayumba mwe baawangaaliranga mu ddembe

    [83] Okubwatuka nekubakwata nga bukya

    [84] Ebyo bye baakolanga tebyabayamba

    [85] Era tetwatonda eggulu omusanvu n'ensi n'ebyo ebiri wakati wa byombi okugyako ku lwakigendererwa, era nti mazima essaawa esembayo ejja kutuuka, kale nno lekera olulekera olulungi

    [86] Mazima Mukama omulabiriziwo yye ye mutonzi amanyi ennyo

    [87] Era mazima twakuwa ayaa omusanvu eziddinganwa (Surat Al Fatiha) ne Kur’ani ey'ekitiibwa (yonna)

    [88] Tokanulanga amaaso go (nga otunuulira nga weegomba) eri ebyo bye twasanyusa nabyo emitindo egimu ku bo, era tebakunakuwazanga era wekkakkanye eri abakkiriza

    [89] Era bagambe nti mazima nze ndi mutiisa ow'olwatu

    [90] Nga bwe twassa ku abo abagabanya (mu bubaka bwa Katonda)

    [91] Abo abafuula Kur’ani ebiwayi

    [92] Ndayira Mukama omulabiriziwo nti mazima bonna tugenda kubabuuliza ddala

    [93] Ku ebyo bye baakolanga

    [94] Kale yogera mu lwatu ekyo ekikulagirwa, era oyawukane ku bagatta ku Katonda ebintu ebirala

    [95] Mazima ffe twakumalira abajeeja

    [96] Abo abassa ku Katonda ba katonda abalala, nebwebuliba ddi balimanya

    [97] Tumanyidde ddala nti mazima ggwe ekifuba kyo kifunda olw'ebyo bye boogera

    [98] (Ggwe kyoba okola) tendereza ebitendo bya Mukama omulabiriziwo era obeere mu bavunnama

    [99] Era sinza Mukama omulabiriziwo okutuusa obukakafu (okufa) lwe bulikujjira

    Enjuki

    Surah 16

    [1] Ekiragiro kya Katonda kisembedde n'olwekyo temusaba kwanguwa kwakyo, (Katonda) yasukkuluma neyeesamba ku ebyo bye bamugattako

    [2] Assa ba Malayika nga baleeta obubaka ku lw'ekiragirokye ku oyo gwaba ayagadde mu baddube, mutiise (abantu nga mubagamba nti), mazima tewali kisinzibwa kyonna (mu butuufu) okugyako nze kale nno muntye

    [3] Yatonda eggulu omusanvu n'ensi lwa nsonga, musukkulumu nnyo ku ebyo bye bamugattako

    [4] Yatonda omuntu nga amuggya mu mazzi agazaala, (bwakula) naafuuka omukaayanye ow'olwatu

    [5] N’ebisolo ebirundibwa yabibatondera mufune mu byo okubuguma, n'emigaso (emirala) nga era kwe mulya

    [6] Era mulina mu byo okunyumirwa mu kiseera wemubiggyirayo ne mu kiseera wemubitwalirayo (ku ttale)

    [7] (Nga ebisolo ebimu) byetikka emigugu gya mmwe okugitwala eri ekitundu gye mutandituuse okugyako mu buzibu obw'ekitalo, mazima bulijjo Mukama omulabirizi wa mmwe alumirwa nnyo wa kisa

    [8] Era (yatonda) enfalaasi, n'e nyumbu n'endogoyi mube nga mubyebagala era nga bya kubasanyusa, era atonda ne bye mutamanyi

    [9] Katonda y'alaga ekkubo ettuufu, ate amakubo agamu makyamu, singa yali ayagadde mwenna yandibalungamizza

    [10] Yye yooyo abatonnyeseza enkuba okuva waggulu, ku nkuba eyo kwe munywa, era ku nkuba eyo emiti kwe gimerera nga ku gyo kwe muliisa ensolo za mmwe

    [11] Abamereza nayo ebirimwa ne Zaituni n'emitende ne nzabibu nabuli bibala byonna, mazima mu ekyo mulimu akabonero (akalaga obuyinza) bwa Katonda eri abantu abafumiitiriza

    [12] Era yabagondeza ekiro n'emisana era enjuba n'omwezi n'emmunyeenye byonna byagonzebwa (bitambulira) ku kiragiro kye. Mazima mu ebyo byonna mulimu obubonero eri abantu abategeera

    [13] N’ebyo bye yabateera mu nsi nga amabala g'abyo tegafaanagana, mazima mu ekyo mulimu akabonero eri abantu abejjukanya

    [14] Era yye, yooyo eyagonza enyanja mube nga mulya muyo ennyama (ebyenyanja) ebibisi era muggye mu yo eby'okwewunda bye mwambala. Ogenda noolaba amaato nga gakola ekkubo muyo, olwo nno musobole okugenda okunoonya ebigabwabye (Katonda), era kibasobozese okwebaza

    [15] Era yassa mu nsi enkondo (ensozi) ereme kubayuuza, era nassaamu emigga, n'amakubo musobole okulungama

    [16] Era naateeka (mu nsi) obubonero, okwo nno bwogattako emmunyeenye basobole okumanya gye balaga

    [17] Abange oyo atonda ayinza okuba nga atatonda! abaffe temujjukira

    [18] Ne bwe mubala ebyengera bya Katonda temusobola kubikomekkereza, mazima Katonda musonyiyi nnyo musaasizi

    [19] Era Katonda amanyi bye mukola mu kyama ne bye mukola mu lwatu

    [20] Era abo bebasaba nebaleka Katonda tebatonda kintu kyonna ate nga bo batondebwa butondebwa

    [21] (Bebasaba) bafu ssi balamu era tebamanyi ddi lwe balizuukizibwa

    [22] Katonda wa mmwe ali Katonda omu, abo abatakkiriza lunaku lwa nkomerero emitima gyabwe gikiwakanya era nga bo beekuza

    [23] Tewali kubuusabuusa mazima Katonda amanyi bye bakweka ne bye bakola mu lwatu, era mazima yye tayagala beekuza

    [24] Bwe baba bagambiddwa nti Mukama omulabirizi wa mmwe kiki kyassizza bagamba nti nfumo za baasooka

    [25] Olwo nno balyoke beetikke ebibi bya bwe mu bujjuvu ku lunaku lw'enkomerero, era beetikke ne ku bibi bya abo be baabuza awatali kumanya, abange kibi kye beetikka

    [26] Ab’abakulembera baakola enkwe, Katonda naasitula ebizimbe byabwe nga asinziira ku musingi akasolya nekabagwira waggulu waabwe ebibonerezo nebibajjira okuva webatasuubira

    [27] Oluvanyuma ku lunaku lw'enkomerero agenda kubaswaza, era agambe nti baliwa bannange abo bemwayawukanangamu, baligamba abo abaaweebwa okumanya nti mazima obuswavu ne nnaku olwa leero bigenda kubeera ku bakaafiiri

    [28] Abo ba Malayika bebatuusa ku ntuuko zaabwe nga bakyeyisa bubi olwo nno nebalangirira okukkiriza Katonda (nga bwe bagamba nti) tetukolanga kibi kyonna. Nedda mazima Katonda amanyidde ddala ebyo bye mwakolanga

    [29] Kale muyingire emiryango gyo muliro Jahannama mugenda kutuula mu gwo obugenderevu. Obuddo bwa beekuza bubi

    [30] Abo abatya Katonda bwe baba bagambiddwa nti Mukama omulabirizi wa mmwe kiki kyassizza bagamba nti bulungi bwereere, abo abakola obulungi mu nsi muno bateekwa kusasulwa bulungi ra e nyumba ey'enkomerero ye nnungi, era nga kyengera kinene okuba nga y’enyumba y'abatya Katonda

    [31] E jjana ey'olubeerera gye baliyingira, nga emigga gikulukutira wansi waayo nga bali mu yo balifuna ebyo bye beetaaga. Bwatyo Katonda bwasasula abamutya

    [32] Abo ba Malayika bebatusaako entuuko zaabwe nga balungi, nga bagamba nti emirembe gibeere ku mmwe muyingire e jjana olw'ebyo bye mwakola

    [33] Abaffe balina kye balinda mpozzi ba Malayika okubajjira oba nekijja ekyo Mukama omulabiriziwo kye yasalawo bwe batyo abaaliwo oluberyeberye lwabwe bwe baakola era Katonda teyabayisa bubi wabula bo bennyini be beeyisa obubi

    [34] Obubi bw'ebyo bye baakola nebubatuukako era bye baali bajeeja nebibeetoloola

    [35] Abo abagatta ku Katonda ebintu ebirala baagamba singa Katonda yayagala ffe wadde bakadde baffe tetwandisinzizza kintu kirala netulekayo yye, era tetwandizizizza kintu kyonna kyataaziza, mu ngeri y'emu abaaliwo oluberyeberye lwabwe baakola batyo, abaffe ababaka baali balina kye bavunaanyizibwa okugyako okutuukiriza obubaka mu ngeri ennyinyonnyofu

    [36] Mazima buli bantu twabatumira omubaka (nga agamba) nti musinze Katonda mwewale ebisinzibwa ebirala byonna, mu bo mulimu Katonda be yalungamya, nga era mu bo mulimu abo abaakakatibwako okubula, kale mutambule mu nsi, mulabe enkomerero y'abalimbisa nga bwe yali

    [37] Bwoba olulunkanira kulungama kwa bwe, mazima Katonda tayinza kulungamya gwe yabuza, ate tebagenda kufuna wa kubadduukirira

    [38] Era balayira Katonda nga bakakasa ebirayiro byabwe nti, Katonda tagenda kuzuukiza oyo afudde, nedda eyo ndagaano ku ye gye yeekakasaako edda (nti agenda kukikola) naye mazima abantu abasinga obungi tebamanyi (nti agenda kubazuukiza)

    [39] Olwo nno abannyonnyole ekyo kye baawukanamu era abo abaakaafuwala babe nga bamanya nti mazima bbo baali balimba

    [40] Mazima ekigambo kyaffe eri ekintu bwe tuba tukyagadde (kibeerewo) tukigamba nti ba nekiba

    [41] Abo abaasenguka ku lwa Katonda oluvanyuma lw'okuyisibwa obubi tujja ku batuuza mu nsi mu bifo ebirungi, naye nga empeera y'olunaku lw'enkomerero yeesinga obunene singa baali bamanyi

    [42] (Bo) beebo abagumiikiriza era nga Mukama omulabirizi waabwe gwe beekwasa

    [43] Tetutumanga oluberyeberyelwo okugyako basajja nga tubawa obubaka kale mubuuze ba nannyini kumanya bwe muba nga temumanyi

    [44] (Tubatuma nga tubawa) obujulizi obweyolefu n'ebitabo, era twassa ku ggwe ekyokujjukiza osobole okunnyonnyola abantu ekyo ekyassibwa gye bali olwo babe nga beefumiitiriza

    [45] Abo abakola enkwe, balina obwesige okuba nga Katonda tabaseeterezaako nsi oba ebibonerezo okubajjira nga biva gye batamanyi

    [46] (Oba Katonda) naabakwata nga bali mu kwetala kwa bwe (nga bakola emirimu) nga ate tebayinza kulemesa

    [47] Oba naabakwata nga bali mu kutya (nti essaawa yonna ebibonerezo bibatuukako). Mazima Mukama omulabirizi wa mmwe alumirwa wa kisa

    [48] Abaffe tebatunuulira ne balaba ebintu Katonda bye yatonda, ebisiikirize byabyo engeri gye bikyukamu ku ddyo ne ku kkono nga bivunnamira Katonda era nga bimugondera

    [49] Katonda yekka ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi gwe bivunnamira, kabibe ebitambula ku nsi, ne ba Malayika, era byonna tebyekuza

    [50] Batya Mukama omulabirizi waabwe ali waggulu waabwe era bakola buli ekibalagirwa

    [51] Katonda agamba nti temugunjawo ba katonda ababiri, mazima yye ali Katonda omu kale nno nze nzekka gwe muba mutya

    [52] Era bibye yekka ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ensi era yekka yaateekwa okugonderwa, ngeriki bwe muyinza okutya atali Katonda

    [53] Buli kyengera kyonna kye mulina kiva eri Katonda, oluvanyuma akabi bwe kabatuukako gyali gye musaba okuyambibwa

    [54] Ate bwabajjako obuzibu ogenda okulaba nga ekitundu ku mmwe bagatta ebintu ebirala ku Mukama omulabirizi waabwe

    [55] Nebawakanya bye twabawa kale mweyagale kyaddaaki mujja kumanya

    [56] Ebyo bye batamanyi (amasanamu) babiwa omugabo ku ebyo bye tubawa, ndayidde Katonda ddala mugenda kubuuzibwa ku ebyo bye mugunjaawo

    [57] Nebateerawo Katonda abaana ab'obuwala, Katonda musukkulumu ku ekyo bo nebeewa be baagala (abalenzi)

    [58] so nga ate omu ku bo bwe bamuwa amawulire ag'okufuna omwana omuwala ekyenyikye kifuuka era n'aba munyikaavu

    [59] Nga yeekweka abantu olw'amawulire amabi agamutuuseeko, (nga alowooza eky'okukola) amale gabeera n'ekibi ekyo mu buswavu oba amuziike mu ttaka. Abange kibi ekyo kye baasalangawo

    [60] Abo abatakkiriza lunaku lwa nkomerero bakubirwako ekifaananyi ekisinga okuba ekibi, (mu bukaafiiri n'obutamanya) so nga ye Katonda alina ebitendo ebisukkulumu, era nga ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga

    [61] Singa Katonda yali asasulirawo abantu olw'okweyisa kwabwe obubi, teyaalirese ku nsi kitambula kyonna wabula abalindiriza okutuuka ku kiseera kyabwe ekigere, olwo nno ekiseera kyabwe ekigere bwe kiba kimaze okutuuka tebayinza kusaba nekyongezebwayo nga bwe batayinza kusaba nekireetebwa mangu

    [62] (Era abo abatakkiriza) bateeka ku Katonda ekyo bbo kye batamwa, ennimi zaabwe zoogera eby'obulimba (mbu) balina obulungi (ewa Katonda), tewali kubuusabuusa nti mazima bo baakusasulwa muliro, era ddala bo baakulekebwa mu muliro

    [63] Ndayira Katonda, mazima twatumira abantu abaaliwo oluberyeberyelwo (Ggwe Muhammad), ate Sitane naabawundira ebibi bye bakola, kale nno olwa leero abeere munnaabwe, era baakussibwako ebibonerezo ebiruma

    [64] Tetwakussaako kitabo (kino) wabula lwa kukusobozesa kubannyonnyola ekyo kye baawukanamu, era nga (Kur’ani) bulungamu era nga kusaasira eri abantu abakkiriza

    [65] Era Katonda yassa enkuba okuva waggulu naawa nayo ettaka obulamu, oluvanyuma lw'okukala kwalyo, mazima mu ekyo mulimu akabonero eri abantu abawulira (nebategeera)

    [66] Mazima mulina eky'okuyiga mu bisolo ebirundibwa, tubanywesa ku ebyo ebiri munda wa'byo, amata ameereere nga gava wakati w'obusa n'omusayi agawoomera abanywi

    [67] Era ne mu bibala by'emitende ne Nzabibu mwekoleramu eby'okunywa era nemufunamu n'ebyokulya ebirungi. Mazima mu ekyo mulimu akabonero eri abantu abategeera

    [68] Era Mukama omulabiriziwo yatumira enjuki nti mukole mu nsozi amayumba (emizinga), ne mu miti ne mu ebyo bye babazimbira

    [69] Olwo nno (wanjuki), lya ku buli kibala, nga bwogoberera enkola ya Mukama omulabiriziwo gye yasalawo ogoberere, (enjuki bwe zikola zityo) mu mbuto zaazo muvaamu ekyokunywa eky'amabala agenjawulo nga mulimu okuwonya abantu, mazima mu ekyo mulimu akabonereo eri abantu abafumiititiza

    [70] Era Katonda yeeyabatonda oluvanyuma y’abatta, era mu mmwe mulimu abazzibwa eri obulamu obusinga okuba obwa wansi, olwo nno (omuntu) atuuke okuba nga takyamanyi kintu kyonna oluvanyuma lw'okuba nti yali amanyi. Mazima Katonda amanyi nnyo muyinza

    [71] Era Katonda yasukkulumya abamu mu mmwe ku balala mu by'enfuna, abo abaasukkulumizibwa ku balala tebaddiza ku bya nfuna bya bwe eri abo bebafuga, olwo nno babe nga bonna benkanankana, abaffe ate olwo ebyengera bya Katonda bye bawakanya

    [72] Era Katonda yabateerawo be mufumbiriganwa nabo nga abaggya mu mmwe era naabateerawo nga aggya mu bemufumbiriganwa nabo abaana n'abazzukulu, era naabagabira nga aggya mu birungi, abaffe ebitali bituufu bye bakkiriza ate ebyengera bya Katonda bo bye bawakanya

    [73] Nebatuuka okusinza ebitali Katonda, ebitalina buyinza bwonna ku Riziki yaabwe okuva mu ggulu omusanvu n'ensi, era nga tebiyinza kukisobola

    [74] Kale nno Katonda temumu kubirangako bifaananyi, anti mazima Katonda amanyi ate mmwe temumanyi

    [75] Katonda yakuba ekifaananyi eky'omuntu omufuge nga talina kintu kyonna kyasobola, n'ekifaananyi ekirala eky'oyo gwe tugabirira okuva gye tuli e riziki ennungi, nga naye (omuddu oyo) agaba ku yo mu kyama n'olwatu abaffe benkana?. Ebitendo byonna bya Katonda, wabula abasinga obungi mu bo tebamanyi

    [76] Era Katonda yakuba ekifaananyi ekya basajja ababiri omu ku bo nga Kasiru nga tasobola kukola kintu kyonna, n'aba mugugu ku Mukamaawe, wonna waaba amutumye nga talina kirungi kyayinza kumugasa abaffe oyo yenkana n'omuntu alagira okukola obwenkanya ate nga ali ku kkubo eggolokofu

    [77] Katonda amanyi ebikusike mu ggulu omusanvu ne mu nsi, obwangu bw'okujja kw’olunaku lw'enkomerero tebuli okugyako nga olutemya lweriiso, oba kyo kyekisinga obwangu, anti mazima Katonda ku buli kintu muyinza

    [78] Era Katonda yabagya mu mbuto za bannyamwe nga temulina kyemumanyi, naabawa amatu, n'amaaso, n'emitima mube nga mwebaza

    [79] Abaffe tebatunuulira ebinyonyi nga byagondezebwa (okubuuka) waggulu mubbanga tewali abiwanirira okugyako Katonda. Mazima mwekyo mulimu obubonero eri abantu abakkiriza

    [80] Era Katonda yabateerawo mu mayumba gammwe obuwummuliro, era naabateerawo mu maliba gebisolo amayumba agabanguyira lwe muba mutambudde ne lwe muba temutambudde, ate nabaggira mu byoya bye ndiga ne bye ngamiya ne mu bye mbuzi ebyokukozesa era nga byakweyagala kwa mmwe okumala akabanga

    [81] Era Katonda yabateerawo ebisiikirize nga bikolebwa ebimu ku ebyo bye yatonda era naabateera mu nsozi empuku (wemwekukuma) era naabateerawo ebyambalo ebibajuna ku bbugumu n'ebyambalo (ebirala) ebibakuuma mu ntalo zammwe bwatyo bwajjuliza ebyengerabye ku mmwe kibayambe okukkiriza

    [82] Naye bwe bava ku ekyo mazima kyoteekwa okukola kwe kutuusa obubaka mu bunnyonnyofu

    [83] Bamanya ebyengera bya Katonda, naye nebabiwakanya, era abasinga obungi mu bo bakaafiiri

    [84] (Bajjukize) olunaku lwe tulizuukiza mu buli kibiina omujulizi, oluvanyuma abo abaakaafuwala tebagenda kukkirizibwa kwetonda, nga era bwe batagenda kusabibwa kwemenya

    [85] Abo abeeyisa obubi kebaliraba ku bibonerezo tebigenda kukendezebwa ku bo era tebagenda kulindirizibwa

    [86] Abo abagatta ku Katonda ebintu ebirala bwe baliraba ebyo bye baamugattangako, baligamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe abo be bannaffe betwasabanga gwe netukuvaako, nebabaddiza ekigambo nti, mazima mmwe muli balimba

    [87] Olunaku olwo bagenda kulangirira okwewaayo ewa Katonda era bigenda kubabulako ebyo bye bagunjawo

    [88] Abo abaakaafuwala nebalobera abantu abalafuubana nga baweereza mu kkubo lya Katonda, tugenda kubongera ebibonerezo waggulu w'ebibonerezo ku lw'ebyo bye baayonoonanga

    [89] Era bajjukize olunaku lwe tulizuukiza mu buli bantu oyo alibawaako obujulizi nga ava mu bo bennyini ate ggwe netukuleeta nga owa obujulizi ku abo, era twakussaako ekitabo nga kinnyonnyola buli kintu era nga bulungamu, era nga kusaasira, era nga mawulire ag'essanyu eri abasiraamu

    [90] Mazima Katonda alagira obwenkanya, n'okuyisa, obulungi n'okugabira ab'oluganda olw'okumpi. Era aziza eby'obuwemu n'empisa embi n'okwewaggula ababuUlirira mube nga mujjukira

    [91] Era mutuukirize endagaano ya Katonda, era temumenyanga ebirayiro oluvanyuma lw'okubinyweza, nga ate Katonda gwe mwafuula omweyimirize wa mmwe. Bulijjo mazima Katonda amanyi byonna bye mukola

    [92] Temubeera nga omukazi oyo eyataggululanga byatunze nebifuuka obulere oluvanyuma lw'okubinyweza, nga mufuula ebirayiro bya mmwe enkwe wakati wa mwwe olw'okuba nti abantu abamu bo bagagga okusinga abalala,mazima (eby'obugagga) Katonda abagezesa nabyo bugezesa era ku lunaku lw'enkomerero agenda kubannyonnyolera ddala bye mwali mwawukanamu

    [93] Singa Katonda yayagala yandibafudde ekibiina kimu, naye abuza oyo gwaba ayagadde era nalungamya oyo gwaba ayagadde, era ddala mugenda kubuuzibwa ebyo bye mwakolanga

    [94] Temufuulanga ebirayiro bya mmwe okukwenyakwenya wakati wa mmwe, olwo nno ekigere nekiserera oluvanyuma lw'okunywera kwakyo, era nemukomba ku bubi (bw'obusungu bwa Katonda), kulwokuziza kwa mmwe (abantu) ku kkubo lya Katonda era mugenda kutuusibwaako ebibonerezo ebiyitirivu

    [95] Endagaano ya Katonda temugitundanga omuwendo omutono, mazima ebiri ewa Katonda bye birungi gye muli, bwe muba nga mumanyi

    [96] Byemulina biggwawo ate ebiri ewa Katonda bya kusigalawo, abo abagumiikiriza tugenda kubasasulira ddala empeera yaabwe nga baweebwa ekisinga obulungi ku lw'ebyo bye baakolanga

    [97] Oyo yenna akola omulimu omulingi, kaabe musajja oba mukazi, nga naye mukkiriza, tugenda kumuwangaliza ddala mu bulamu obulungi era tugenda kubasasula empeera yaabwe nga baweebwa ekisinga obulungi ku lw'ebyo bye baakolanga

    [98] Buli lwoyagala okusoma Kur’ani saba Katonda akukuume ku Sitane eyafulumizibwa (mu kusaasira kwa Katonda)

    [99] Mazima ye (Sitane) talina buyinza ku abo abakkiriza era nga Mukama omulabirizi waabwe gwe beekwasa

    [100] Mazima obuyinzabwe buli ku abo abamwewa, era n'abo abagatta ku Katonda ebintu ebirala

    [101] Bwetukyusa aya mu kifo kya aya endala, era nga Katonda yamanyi ebyo byassa, bagamba nti mazima ggwe obyeyiyiza naye (ekituufu) abasinga obungi mu bo tebamanyi

    [102] Gamba nti yagissa (Kur’ani) mu bwesimbu mwoyo mutukuvu (Jiburilu) nga ajijja ewa Mukama omulabiriziwo, olwo nno alyoke anyweze abo abakkiriza era (Kur’ani) bulungamu n'amawulire ga ssanyu eri abasiraamu

    [103] Mazima tukimanyi nti bo bagamba nti ddala amuyigiriza muntu (ekyo kyabulimba) anti olulimi lw'oyo gwebemulugunyako nti yamuyigiriza si Ruwarabu ate nga eno Kur’ani eri mu lulimi oluwarabu olweyolefu

    [104] Mazima abo abatakkiriza bigambo bya Katonda, Katonda tabalungamya era baakutukibwako ebibonerezo ebiruma

    [105] Mazima abagunjawo obulimba beebo abatakkiriza bigambo bya Katonda era abo bo be balimba

    [106] Oyo yenna awakanya Katonda oluvanyuma lwokukkirizakwe (kagenda kumujjutuka), okugyako oyo akakiddwa naye nga omutima gwe gunyweredde ku bukkiriza, naye oyo ayanjuliriza obukaafiiri ekifubakye, abo baliko obusungu okuva eri Katonda, era balituusibwako ebibonerezo ebiyitirivu

    [107] Ekyo nno lwa kuba nti mazima bbo baagala obulamu obw'ensi okusinga obw'enkomerero, era mazima Katonda talungamya bantu bakaafiiri

    [108] Abo beebo Katonda beyazibikira emitima gyabwe n'amatu gaabwe n'amaaso gaabwe era abo bo be batafaayo

    [109] Tewali kubuusabuusa mazima bo ku nkomerero be b'okufaafaaganirwa

    [110] Ate mazima Mukama omulabiriziwo ku nsonga y'abo abaasenguka oluvanyuma lw'okunyigirizibwa ate nebalafuubana nga baweereza mu kkubo lya Katonda era nebagumiikiriza, mazima Mukama omulabiriziwo oluvanyuma lw'ebyo musonyiyi musaasizi

    [111] Bajjukize olunaku omwoyo bwe gulijja nga gwerwanako gwokka, era buli mwoyo gugenda kusasulwa mu bujjuvu ekyo kye gwakola, era bo tebagenda kuyisibwa bubi

    [112] Era Katonda yakuba ekifaananyi ky'ekitundu ekyali emirembe nga kitebenkedde, nga eby'okulya by'akyo bikijjira mu bungi, nga biva mu buli kifo, (ekitundu ekyo) nekiwakanya ebyengera bya Katonda, Katonda naakikombya ku kyambalo (kya nnawokeera) w'eenjala n'okutya, (ebyo byonna byabatuukako) olw'ebyo bye baakola

    [113] Era mazima omubaka yabajjira nga ava mu bo nebamulimbisa, ebibonerezo nebibatuukako nga bo bali mu kweyisa bubi

    [114] Kale mulye mu ebyo Katonda byabagabira kasita biba Halali nga ate birungi, era mwebaze ebyengera bya Katonda bwe muba nga ye yekka gwe musinza

    [115] Mazima yabaziyiza okulya ennyamanfu n'omusaayi n'ennyama ye mbizzi, nakyonna ekiba kisaliddwa ku lw'ekintu ekirala ekitali Katonda, naye oyo abeera mu bwetaavu nga takikola lwa jjoogo, era naatasukka ekitebereka (mu kulya) mazima ddala Katonda musonyiyi wa kisa

    [116] Temugambanga, ebyo ennimi zammwe bye zoogera mu bulimba nti kino kiri Halali nakino kiri Haramu olw'okutemerera obulimba ku Katonda. Mazima abatemerera obulimba ku Katonda tebagenda kutuuka ku buwanguzi

    [117] Okwo kweyagala kutono era bagenda kutuukwako ebibonerezo ebiruma

    [118] Ate twaziza ku abo abagamba nti bayudaaya ebyo bye twakutegeeza oluberyeberye, si ffe twabayisa obubi bo bennyini be beeyisa obubi

    [119] Ate mazima Mukama omulabiriziwo ku bikwata ku abo abakola ebibi mu butamanya, ate nebeenenya oluvanyuma lw'ekyo, era nebakola ebirungi (Katonda abasonyiwa), anti mazima Mukama omulabiriziwo oluvanyuma lw'ebyo musonyiyi nnyo wa kisa

    [120] Mazima Ibrahim (ye, yekka) yali kibiina, nga mugonvu ku lwa Katonda, nga mwesimbu, tabeerangako mu bagatta ku Katonda bintu birala

    [121] Nga yeebaza ebyengera bye, yamwawula, era naamulungamya ku kkubo eggolokofu

    [122] Era twamuwa ku nsi ebirungi era mazima yye ku nkomerero agenda kubeera mu balongoofu

    [123] Oluvanyuma twakutumira (Ggwe Muhamad) nti goberera eddiini ya Ibrahim nga oli mwesimbu, era (Ibrahim) tabeerangako mu bagatta bintu birala ku Katonda

    [124] Mazima olw'omukaaga lwateerwawo abo abalwawukanamu, era mazima Mukama omulabiriziwo agenda kulamula wakati waabwe ku lunaku lw'enkomerero mu ekyo kye baayawukanamu

    [125] Kowoola (abantu) okudda eri ekkubo lya Mukama omulabiriziwo nga okozesa amagezi n'okubuulirira okulungi, nyonnyolagana nabo nga okozesa amakubo agasinga obulungi mazima Mukama omulabiriziwo y'asinga okumanya ebikwata ku oyo eyabula okuva ku kkubolye era yaasinga okumanya ebikwata ku balungamu

    [126] Bwe muba nga mubonereza mubonereze kyenkanyi ky'ekyo kye muba mubonerezebbwa nakyo, naye singa mugumiikiriza ekyo kye kisinga obulungi eri abagumiikiriza

    [127] Era gumiikiriza, okugumiikirizakwo tekuyinza kubaawo okugyako ku lwa Katonda, tobanakuwalira, era tobeera mu bulumi olw'enkwe ze bakola

    [128] Mazima Katonda ali wamu n'abo abamutya, era abo abalongoosa

    Olugendo lw'Ekiro

    Surah 17

    [1] Musukkulumu nnyo oyo eyatambuza omudduwe ekiro okumuggya ku muzikiti ogw'emizizo (Makkah) naagenda ku muzikiti ogusinga okuba ogw'ewala (Jerusalemu), ogwo ebitundu ebigwetoolodde bye twawa omukisa, olwo nno tumulage obumu ku bubonero bwaffe. Mazima yye (Katonda) y'awulira ennyo alaba

    [2] Era twawa Musa ekitabo era netukifuula eky'okulungamya eri abaana ba Israil (nga mbagamba) nti nga oggyeko nze temweteerangawo omukuumi omulala yenna

    [3] (Abange mmwe) ezadde ly'abo be twatwala ne Nuhu mu lyato (mubeere nga Nuhu), mazima ye yali muddu eyeebaza

    [4] Era twasalawo ku baana ba Israil mu kitabo nti mugenda kwonoonera ddala mu nsi emirundi ebiri, era mugenda kwe kuluntaza olwekuluntaza oluyiritivu

    [5] Bwerituuka endagaano y'omulundi ogusooka ku gyombi, tugenda kubatumira abaddu baffe ab'amaanyi amasuffu, bagenda kutuuka ku buli kanyomero ka mayumba, (nga batuusa obuzibu ku buli omu), era (eyo) neeba nga ndagaano eteekwa okutuukirizibwa

    [6] Oluvanyuma twabaddiza mmwe amaanyi ku bo (nemubawangula) era netubawa emmaali, n'abaana era netubafuula mmwe nga mwe musinga obungi

    [7] (Netubagamba nti) bwe mulongoosa mulongoseza myoyo gya mmwe, naye bwe mwonoona era gye mwonoonera, endagaano y'enkomerero bwelijja (tulibasindikira abantu) boonoone ebyenyi bya mmwe (babakkakkanye), era bagenda kuyingira omuzikiti (Jerusalemu) nga bwe baaguyingira omulundi ogwasooka, olwo nno bye baliba bawangudde babibetente olubetenta

    [8] Bwe muyisa obulungi kisoboka Mukama omulabirizi wa mmwe okubasaasira, naye bwe muddamu naffe nga tuddamu, ate nga omuliro Jahannama twagufuula ekkomera lya bakaafiiri

    [9] Mazima Kur’ani eno erungamya eri ekkubo erisinga obugolokofu, era ewa abakkiriza abo abakola emirimu emirongoofu amawulire ag'essanyu nti: mazima bo baakufuna empeera ensukkulumu

    [10] Era nti mazima ddala abo abatakkiriza lunaku lwa nkomerero twabagerekera ebibonerezo ebiruma ennyo

    [11] Omuntu (olw'ebizibu ebimutuukako) yeesabira ebibi nga bwe yandyesabidde ebirungi, anti bulijjo omuntu ayanguyiriza

    [12] Era twassaawo ekiro n'emisana, nga bubonero bubiri, olwo nno tujjawo akabonero k'ekiro netussaawo akabonero k'emisana, nekabasobozesa okulaba mulyoke musobole okumanya ebigabwa bya Mukama omulabirizi wa mmwe, era musobole okumanya omuwendo gw'emyaka n'okubala, era buli kintu twakinnyonnyola olunnyonnyola olumala

    [13] Era buli muntu twamukakasaako emirimugye mu nsingoye, era ku lunaku lw'enkomerero tugenda kumuggyirayo ekitabo kyalisanga nga kibikkule

    [14] Olwo nno aliragirwa nti soma ekitabokyo, kimala bumazi okuba nti olwa leero ggwe wennyini ggwe ogenda okwebala

    [15] Oyo yenna alungama alungamira mwoyogwe, ate abula omwoyogwe gwaba aleetedde obuzibu bw'okubula, tewali mwoyo mwonoonyi gugenda kwetikka kyonoono kya mwoyo mwonoonyi mulala, era tetusobola kubonereza okugyako nga tutumye omubaka

    [16] Bwetuba twagadde okuzikiriza ekitundu kyonna (olw'obujeemu bwakyo) tulagira abali mu byengera (okweyisa obulungi) naye ate nebeeyisa bubi mu kyo, olwo nno ekigambo (eky'okubonerezebwa) nekikikakata, olwo nno netukisesebbula olusesebbula

    [17] Mirembe emeka gye twazikiriza oluvanyuma lwa Nuhu (nga mingi!), Mukama omulabiriziwo amalira ddala ku bikwata ku bibonerezo bya baddube, okuba nti amanyidde ddala alaba

    [18] Oyo ayagala eby'amangu (ensi) tumwanguyiza muyo ekyo kye tuba twagadde si buli omu wabula oyo gwe tuba tusazeewo, oluvanyuma netumuteerawo omuliro Jahannama agenda kugwesogga nga avumirirwa nga agobeddwa (mu kusaasira kwa Katonda)

    [19] Ate omuntu ayagala enkomerero era naakola ebyetaagisa ku yo, era nga mukkiriza, abo nno bye bakola byebazibwa

    [20] Buli bamu (abalungi n'ababi ku nsi) tuwa bano nabali okuva mu bigabwa bya Mukama omulabiriziwo. Okugaba kwa Mukama omulabiriziwo tekussibwangako kkomo (ku muntu yenna kuno ku nsi)

    [21] Tunula olabe engeri gye twasukkulumya abamu ku balala, wabula enkomerero y'erimu amadaala agasinga obukulu era y'erimu okusingana okusinga obulungi

    [22] Katonda tomussangako ba katonda balala, olwo nno nekikufuula avumirirwa aboolebwa

    [23] Mukama omulabiriziwo yasalawo okuba nga temusinza okugyako yye, yekka. Era yasalawo abazadde ababiri okuyisibwa obulungi, singa omu ku bo, oba bombi akaddiwa nga wooli, tobagambanga ekigambo eky'okubeenyinyala era tobaboggoleranga yogera nabo ebigambo eby'ensa

    [24] Beetoowalize era wekkakkanye gye bali olw'okubasaasira.Era gamba nti ayi Mukama omulabirizi wange basaasire bombi nga bwe bandera nga ndi muto

    [25] Mukama omulabirizi wa mmwe, y'asinga okumanya ebyo ebiri mu myoyo gya mmwe (bye mukwese), bwe muba nga muli abalongoosa, bulijjo musonyiyi w'abo abamwemenyera

    [26] Ow'olugandalwo ow'okumpi muwenga ekyo kyoteekwa okumuwa, era owe omunaku n'omutambuze, todiibuuda obudiibuuzi

    [27] Mazima abadiibuuzi be bayambi ba Sitane (mu bwonoonefu n'obujeemu). Ate bulijjo Sitane mujeemu eri Mukama omulabiriziwe

    [28] Naye bwobanga tobawadde (olw'ensonga yonna), naye ate nga oyagala era nga osuubira okusaasira kwa Mukama omulabiriziwo olwo nno bagambe ekigambo ekigonvu

    [29] Omukono gwo togufuulanga oguwanikiddwa ku nsingoyo (olw'obukodo), ate togwanjuluzanga n'ogumalayo (olw'okudiibuuda), n'ofuuka anenyezebwa atasigazizza

    [30] Mazima Mukama omulabiriziwo ayanjuluriza riziki oyo gwaba ayagadde, naawa mu ngeri y'empola (eri omulala) anti mazima yye bulijjo amanyidde ddala ebikwata ku baddube era alaba

    [31] Era temuttanga abaana ba mmwe olw'okutya obwavu (okubalumba), ffe tubagabira netugabira nammwe, mazima okubatta kibi kiyitirivu

    [32] Era temusembereranga obwenzi, mazima bwo kya buwemu era kkubo bbi

    [33] Era temuttanga omuntu oyo Katonda gwe yaziza okutta okugyako nga waliwo ensonga, oyo yenna attibwa nga alangibwa bwereere mazima twawa nannyiniye obuyinza (okutta eyatta omuntuwe) wabula mu kutta tosaanye kusukka kikomo anti mazima yye (attiddwa) ataasibwa (n'etteeka)

    [34] Temusembereranga emmaali ya mulekwa, okugyako lwa kugikolako ekyo ekisinga obulungi, okutuusa lwasajjakula.Era mutuukirizenga endagaano mazima endagaano yaakukubuuzibwa

    [35] Era mutuukirizenga ebigero bye mugera era mupime n'ebipimo ebituufu, ekyo kye kirungi era kye kituusa ku nkomerero ennungi

    [36] Tewessanga ku kintu kyotalinaako kumanya, mazima okuwulira, n'okulaba, n'omutima. Ebyo byonna buli kimu kigenda kubuuzibwa

    [37] Totambulanga mu nsi nga weeraga, mazima ggwe togenda kwabya ttaka era togenda kwenkana nsozi buwanvu

    [38] Ekibi kya buli kimu ku ebyo, kitamwa ewa Mukama omulabiriziwo

    [39] Ebyo bye bimu ku ebyo Mukama omulabiriziwo byassa gyoli mu bigambo eby'amagezi, era tossanga ku Katonda ba katonda abalala, n'okakatibwako okukasukibwa mu muliro Jahannama, ng'ovumirirwa era nga ogobeddwa mu kusaasira kwa Katonda

    [40] (Abange mmwe abatakkiriza), Mukama omulabirizi wa mmwe yasalawo mmwe abawe abaana abalenzi ate yye neyeewa abawala mu ba Malayika! mazima mmwe mwogera ekigambo ekibi ennyo

    [41] Mazima twannyonnyola mu Kur’ani eno buli kintu (eri abantu), babe nga bajjukira (beebuulirire), wabula tekibongera okugyako okweyongera (okwesamba amazima)

    [42] Bagambe (Ggwe Muhammad) singa Katonda aliko ba katonda abalala nga bwe bagamba, olwo nno (ba katonda abo) bandibadde beetaaga ekkubo eribatuusa ewa (Katonda) nnyini Arish

    [43] Yeesamba naasukkuluma ebyo bye bagamba olusukkuluma olusuffu

    [44] Ku lulwe eggulu omusanvu n'ensi n'ebirimu byonna bimutendereza era tewali kintu kyonna wabula nga kitendereza ebitendobye naye temutegeera ngeri ya kutendereza kwabyo, mazima yye bulijjo alumirwa musonyiyi

    [45] Bwosoma Kur’ani, tussa wakatiwo ne wakati w'abo abatakkiriza lunaku lwa nkomerero ekibikka ekitalabika

    [46] Era netussa ku mitima gya bwe ekibikka ekibagaana okubitegeera, netussa mu matu gaabwe envumbo, era bwoyogera ku Mukama omulabiriziwo yekka mu Kur’ani, bakubayo amabega nebadduka

    [47] Ffe tumanyi ennyo lwaki bawuliriza bwe bajja okukuwuliriza, era tumanyi kye babaako mu nkiiko zaabwe ez'ekyama, mu kiseera awo abeeyisa obubi webagambira nti mazima gwe mugoberera talina kyali okugyako okubeera omusajja omuloge

    [48] Tunula olabe engeri gye bakukubira ebifaananyi nebatuuka okubula nebatasobola kulaba kkubo (libazza eri amazima)

    [49] Era bagamba nti bwe tulimala okubeera amagumba (amamerengufu) netufuuka obutundutundu obutakyayawulwa na ttaka, abaffe tulizuukizibwa nga tuli bitonde bipya

    [50] Gamba nti kamube mayinja oba byuma (mujja kuzuukizibwa)

    [51] Oba mube ekitonde kyonna mu ebyo bye mulaba nga binene mu kutegeera kwa mmwe (era mujja kuzuukizikibwa) olwo nno bagamba nti ani alituzzaawo! Bagambe nti oyo eyabatandikawo omulundi ogwasooka y'alibazzaawo, bajja kukunyeenyeza emitwe nga bwe bagamba nti kyo kyaddi?, bagambe nti ddala kiri kumpi

    [52] (Kigenda kubaawo) ku lunaku lwalibakoowoola nemwanukula nga mumutendereza era mugenda kulowooza nti temwamala ku nsi okugyako akaseera katono

    [53] Era gamba abaddu bange, babe nga boogera ebyo ebisinga okuba ebirungi. Mazima Sitane atabula wakati wa bwe anti mazima Sitane mulabe wa muntu ow'olwatu

    [54] Katonda wa mmwe y'asinga okubamanya, bwayagala abasaasira, oba bwaba ayagadde ababonereza era tetukutumanga kuba nga ggwe okola ku nsonga zaabwe

    [55] Era Mukama omulabiriziwo y'asinga okumanya abo abali mu ggulu omusanvu n'ensi, mazima twawa ba Nabbi abamu enkizo ku bannaabwe, era twawa (Nabbi) Dauda Zaburi

    [56] Bagambe nti kale musabe abo bemulowooza nti ba katonda nemuva ku ye, ate nga tebasobola kuggya ku mmwe kabi wadde (okukakyusa) okukazza ku mulala

    [57] Abo bebasaba nabo banoonya ekkubo eribatuusa ewa Mukama omulabirizi waabwe, (kaakati) ku bonna ani ow'okumpi? Era baagala okusaasirakwe era batya ebibonerezobye mazima ebibonerezo bya Mukama omulabiriziwo biteekwa okwewalibwa

    [58] Tewali kitundu kyonna (ku nsi) okugyako okuba nga tugenda kukisanyaawo nga olunaku lw'okuzuukira terunnatuuka oba tugenda kukibonereza ebibonerezo ebikakali. Ekyo kyawandiikibwa dda mu kitabo

    [59] Tewali kitugaana kuweereza by'amagero, okugyako okuba nti abaasooka baabirimbisa nga bwe twaleetera abantu ba Thamud engamiya nga kyamagero eky'olwatu, nebeeyisa bubi ku yo, era tewali kituweerezesa byamagero okugyako okutiisa (abantu bave ku bujeemu)

    [60] Era jjukira bwe twakugamba nti mazima Mukama omulabiriziwo yeetoolodde abantu (abo, n'olwekyo tobatya) era tetwaleeta ndooto eyo gye twakulaga okugyako olw'okugezesa abantu era mu ngeri y'emu omuti ogwakolimirwa mu Kur’ani nakyo kigezo era tubatiisa (nga tubabuulira) ebiribaawo ku lunaku lw'enkomerero naye tebibongera okugyako okubula okuyitirivu

    [61] Era jjukira bwe twagamba ba Malayika nti muvunnamire Adam, nebavunnama okugyako Ibuliisu eyagamba nti nvunnamire oyo gwe watonda mu ttaka

    [62] Era (Sitaane) naagamba nti ggwe bwotyo bwolabye nti oyo omusukkulumizza ku nze. Singa onnindiriza (nemba mulamu) okutuuka ku lunaku lw'enkomerero nja kubuliza ddala ezzadderye okugyako abatono ennyo

    [63] Katonda naAgamba nti kale genda (ekyo nkikuwadde) naye buli alikugoberera mu bo mazima Jahannama yempeera yammwe eribasasulwa mu bujjuvu

    [64] Era sikiriza n'eddoboozilyo oyo yenna gwoba osobodde mu bo, batabaale nga okozesa eggyeryo eryembalaasi n'eritambuza ebigere okolagane nabo mu mmaali ne mu baana era obasuubize (buli kyoyagala) wabula Sitaane tabalagaanyisa okugyako ebigayaaza

    [65] Mazima abaddu bange tobalinaako buyinza era kimala okuba nga Mukama omulabiriziwo ye mukuumi

    [66] Mukama Katonda wa mmwe yooyo abatambuliza amaato mu nyanja musobole okunoonya ebimu ku bigabwabye, mazima yye ku mmwe musaasizi nnyo

    [67] Obuzibu bwe bubatuukako nga muli mu nyanja olwo nno buli kye musaba nekivaawo okugyako yye, naye bwabawonya nemudda ku lukalu ate olwo nemuddayo. Era anti bulijjo omuntu mwegaanyi

    [68] Abaffe mulina obukakafu (Katonda) okuba nti tayinza kulagira ludda lwansi (gye mulaze) nelubamira, oba n'abasindikira kibuyaga, nemuba nga temuyinza kufuna mukuumi yenna

    [69] Oba mulina obukakafu nti Katonda tayinza kubazzaayo mu yo (enyanja) omulundi omulala, olwo nno n'abasindikira omuyaga olw'ebyo bye mwawakanya ate nga temuyinza kwefunira kuffe olw'ekintu ekyo muntu alondoola

    [70] Mazima twawa abaana ba Adam ekitiibwa, netubawa kwe batambulira nga bali ku lukalu ne kunyanja, netubagabirira mu birungi, era netubasukkulumya olusukkulumya ku bingi mu ebyo bye twatonda

    [71] (Bajjukize) olunaku lwe tulikoowoola buli bantu nga tuyita linnya lya mukulembeze waabwe (mulungi oba mubi),oyo aliweebwa ekitabokye mu mukonogwe ogwa ddyo abo nno bagenda kusoma ebitabo byabwe, era tebagenda kulyazaamanyizibwa wadde akantu akatono

    [72] Era oyo yenna muzibe mu bulamu buno obw'ensi ku lunaku lw’enkomerero agenda kuba muzibe, era nga abuze nnyo okuva ku kkubo

    [73] Newaakubadde nga baabula kata bakubuze okuva ku bubaka obwo bwe twakutumira ggwe (Nabbi Muhammad) obe nga ogunja ku ffe ekintu ekirala ekitali bwo, era singa okola ekyo balikufudde ffa nfe waabwe

    [74] Era singa tetwakunyweza, mazima kumpi okyamemu katono nga odda gye bali

    [75] Olwo nno (singa obagondera) twandi kukombesezza ku bibonerezo byo ku nsi, nga bibaziddwamu era netukukombesa ne ku bibonerezo byokufa, nga nabyo bibaziddwamu era tewandifunye akututasaako

    [76] Newaakubadde nga basemberera okukunyenya bakuggye mu nsi (yo) olwo nno bagikugobemu, ekyo nebwekituukirira nga gwe ofulumye, tebayinza kugituulamu okugyako ebbanga ttono

    [77] Eyo y'enkola (yaffe) kwabo betwatuma oluberyeberyelwo mu babaka baffe, toyinza kulaba nkyukakyuka yonna mu nkola yaffe

    [78] Yimirizaawo e sswala enjuba nga ekyuse okutuusa ku nzikiza y'ekiro nabwekityo Kur’ani y'okumakya (Sswala ya Subuhi) mazima Kur’ani y'okumakya ba Malayika bagibaako

    [79] Ne mu kiro saala nga ogisoma (Kur’ani), (ekyo) nga nnyongeza gyoli olwo nno Mukama omulabiriziwo ajja kukuzuukiza mu kifo ekiweesa ekitiibwa

    [80] Era gamba nti ayi Mukama omulabirizi wange, nyingiza mu mulyango ogwa mazima era onfulumize mu mulyango ogwamazima, era ompe okuva gyoli obusobozi obunzirukirira

    [81] Era gamba nti amazima gazze obwonoonefu nebuvaawo, mazima obwonoonefu buba bwakuvaawo

    [82] Era tussa mu Kur’ani ebyo ebijja nga kya kuwonya era nga kya kusaasira eri abakkiriza. Wabula abeeyisa obubi tebongera okugyako okufaafaaganirwa

    [83] Bwetuwa omuntu ebyengera (mu kifo ky'okwebaza) atuvaako neyeefaako yekka, so nga akabi bwe kamutuukako akutuka n'okusuubira

    [84] Bagambe nti buli omu akolere ku ngeriye, Mukama omulabirizi wa mmwe y'asinga okumanya, ali ku kkubo eddungamu

    [85] Era bakubuuza ku mwoyo, gamba nti omwoyo kye kimu ku bintu Mukama omulabirizi wange bye yeesigaliza, era temwaweebwa kumanya okugyako kutono

    [86] Era singa tuba twagadde tusobola okukuggyako ebyo bye twakutumira, ate toyinza kufuna olw'ebyo kuffe muwolereza

    [87] (Era wabisigaza ssi lwa nsonga ndala yonna) okugyako okusaasira okuva eri Mukama omulabiriziwo, anti mazima ebirungibye ku ggwe bisuffu

    [88] Gamba nti singa abantu n'a Majinni beegatta babe nga baleeta ekitabo ekifaanana Kur’ani eno, tebayinza kuleeta kigifaanana newaakubadde nga abamu babeera bayambi ku bannaabwe

    [89] Mazima twannyonnyola abantu mu Kur’ani muno buli kika kya kifaananyi, naye abantu abasinga obungi bagaana (okugyako okusigala) mu bukafiiri

    [90] Era nebagamba nti tetugenda kukkiriza okugyako nga otufukumulire amazzi okuva mu ttaka

    [91] Oba obe nga olina ennimiro erimu emitende ne Nzabibu. Olwo nno noofukumula emigga mu nnyiriri zaayo olufukumula

    [92] Oba otusuuleko eggulu nga bwogamba, nga liri mu bibajjo, oba oleete Katonda ne ba Malayika tubalabe maaso ku maaso

    [93] Oba obe n’enyumba nga yazimbwa mu Zaabu, oba olinnye mu ggulu era tetujja kukkiriza kulinnya kwo okugyako nga otuleetedde ekitabo netukisoma. Gamba ggwe (Muhammad) Mukama omulabirizi wange musukkulumu, nalimbaddeko (ekintu kyona) okugyako okubeera omuntu obuntu omubaka

    [94] Tewali kyagaana bantu kukkiriza obulungamu bwe bwabajjira okugyako okuba nti bagamba nti omuntu obuntu Katonda gwatumye nga mubaka

    [95] Bagambe nti singa ensi yalimu ba Malayika nga batambula, nga mwe babeerera ddala, olwo nno twandibadde tubatumira Malayika okuva mu ggulu nga ye Mubaka

    [96] Bagambe nti Katonda amala okuba nga ye mujulizi wakati wange nammwe, anti mazima yye bulijjo amanyidde ddala era alaba ebikwata ku baddube

    [97] Oyo yenna Katonda gwalungamya, yye, yaaba omulungamu ate oyo gwaba abuzizza oba toyinza kubafunira bayambi batali yye, (Katonda) era tugenda kubazuukiza ku lunaku lw'enkomerero nga babutamidde ebyenyi bya bwe nga ba Muzibe ba Kasiru, ba Kiggala, obuddo bwa bwe buliba muliro Jahannama buli lwe gunaakenderanga nga tugubaseesezamu

    [98] Eyo y'empeera yaabwe, kubanga mazima bo baawakanya ebigambo byaffe, era ne bagamba nti bwe tuliba engumbagumba oba nga tufuuse ettaka, abaffe tulizuukizibwa netutondebwa bupya

    [99] Abaffe tebalaba nti mazima Katonda oyo eyatonda eggulu omusanvu n'ensi asobola okuddamu okubatonda nga bwe baali, era nti yabassaako ekkomo mu bulamu bwa bwe eritaliimu kubuusabuusa, ate olwo nno abeeyisa obubi bagaana (buli kintu) okugyako (okukalambira) ku bukaafiiri

    [100] Gamba ggwe (Muhammad) nti singa mmwe mufuga amawanika g'okusaasira kwa Mukama omulabirizi wange, mwandibadde mukwatirira olw'okutya okusaasaanya bulijjo omuntu muganiriza

    [101] Mazima twawa Musa eby'amagero mwenda ebyeyolefu, buuza abaana ba Israil (ebyaliwo) mu kiseera weyabajjira (aba Misiri), Firawo naamugamba nti mazima nze Musa nkulabira ddala nga ggwe oli mulogo

    [102] (Musa) naagamba nti mazima omanyi ggwe (Firawo) tewali assizza (by'amagero) ebyo okugyako Mukama omulabirizi we ggulu omusanvu ne nsi, abireese nga bujulizi (okulaga obutuufu bwe bigambo byange) era mazima nze nkulabira ddala ggwe Firawo nga ozikiridde

    [103] Olwo nno (Firawo) yayagala okubagoba mu nsi (Misiri), twamuzikiriza n'abo abaali naye

    [104] Era oluvanyuma lw'ekyo twagamba abaana ba Israil mutuule mu nsi (eye Sham), endagaano y'olunaku lw'enkomerero bwelituuka mwenna tugenda kubaleeta nga tubakungaanya

    [105] (Kur’ani eno) twagissa na mazima era yaleeta mazima era tetwakutuma okugyako lwa kuba nga owa amawulire ag'essanyu era nga oli mutiisa

    [106] Era Kur’ani twagyawulamu ebitundu obe nga ogisomere abantu mu ngeri y'empola mpola era twagissa olussa (olw'ebitundu tundu)

    [107] Gamba nti kamugikkirize oba temugikkiriza (kasita) mazima abo abaaweebwa okumanya nga tonajja, bwe basomerwa bagwira ku bulevu bwa bwe nga bavunnama

    [108] Era nga bagamba nti Mukama omulabirizi waffe musukkulumu, endagaano ya Mukama omulabirizi waffe bulijjo etuukirizibwa

    [109] Era bagwira ku bulevu (bwa bwe) nga bakaaba, ekibongera okugonda

    [110] Bagambe nti musabe Katonda oba musabe omusaasizi, erinnya (lye) mukozesa nga mumusaba likola, anti alina amannya agasinga obulungi, toleekaana nga osaba era tossa nnyo ddoboozi lyo nga osaba, wakati w'ebyo wooba onoonya enkolayo

    [111] Era gamba nti ebitendo byonna bya Katonda oyo ateeteerawo mwana, era atabangako na muyambi mu bufuzibwe, era tabangako na mutaasa mbu amuwonye okuswala olw'ebyandimulemye, era mugulumize olugulumiza

    Empuku

    Surah 18

    [1] Ebitendo byonna bya Katonda oyo eyassa ku mudduwe (Muhammad) ekitabo (Kur’ani) naatakiteekamu bukyamu bwonna

    [2] Wabula nga kyesimbu abe nga atiisa nakyo ebibonerezo ebikakali ebiva gyali era awe nakyo amawulire ag'essanyu abakkiriza abo abakola emirimu emirongoofu (nga abategeeza) nti mazima balina empeera ennungi

    [3] Baakugibeeramu olubeerera

    [4] Era atiise abo abagamba nti Katonda yeeteerawo omwana

    [5] Kye batalinaako kumanya kwonna wadde bakadde baabwe, kibi nnyo ekigambo ekiva mu mimwa gya bwe. Bye boogera temuli okugyako bulimba bwereere

    [6] Olw'okunnyolwa, olabika nga obula kwetta ku lwa bwe olw'okuba tebakkiriza bigambo bino

    [7] Mazima ffe twassa ku nsi ebigiriko nga bya kuginyiriza olwo nno tubagezese ani asinga okukola ebirungi

    [8] Mazima ffe tugenda kufuula ebigiriko ettaka ekkalu

    [9] Oba olowooza nti ddala abantu bo mu mpuku, n'ekiwandiiko ekibakwatako baali baakyewunyo nnyo okusinga eby'amagero byaffe ebirala

    [10] Mu kiseera abavubuka bwe beewogoma mu mpuku nebagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe tuwe okusaasira okuva gyoli era otwanguyize ensonga yaffe gye tuliko otuwe obulungamu

    [11] Netukuba ku matu gaabwe (ekibikka) nga bali mu mpuku (nebeebaka) emyaka mingi

    [12] Oluvanyuma twabazuukusa kimanyike nti, kiriwa ku bibiina ebibiri ekisinga okwogera ekituufu ku bbanga lye baamalamu

    [13] Mazima ffe tukunyumiza ekyafaayo kya bwe mu butuufu, mazima bo baali bavubuka abakkiriza Mukama omulabirizi waabwe era netubongera obulungamu

    [14] Era twasiba ekimyu ku mitima gyabwe bwe baayimirira (mu buvumu) nebagamba nti Mukama omulabirizi waffe ye Mukama omulabirizi w'eggulu omusanvu n'ensi, n'olwekyo tetuyinza ku mulekawo ne tusaba Katonda mulala yenna era bwe tukikola mazima tuba twogedde ekigambo ekibi

    [15] Abo abantu baffe baamulekawo (Katonda) nebeeteerawo ba katonda abalala, kale nno singa babaleetako obujulizi obweyolefu, naye ani eyeeyisa obubi okusinga oyo agunja ku Katonda ebigambo eby'obulimba

    [16] Bwe mwabaawukanako nemwawukana ne ku bye basinza, nga oggyeko Katonda (Omu) olwo nno mugende mu mpuku Mukama omulabirizi wa mmwe ajja kubanjuliriza okumu ku kusaasirakwe era ajja kubateerawo okulumirwa ekigambo kya mmwe

    [17] Awo nno walabanga enjuba bwe yavangayo nga ekyuka nga eva ku mukono ogwa ddyo ogw'e mpuku yaabwe, ate nga bwegwa nga ebaleka ku mukono ogwa kkono nebaba nga beetaayiza mu bugazi bw'empuku ekyo kamu ku bubonero bwa Katonda (ku buyinza bwe nobusobozibwe) oyo yenna Katonda gwalungamya yye yemulungamu ate oyo gwaba abuzizza toyinza kumufunira muyambi amulungamya

    [18] Era (bwe wabalaba nga) nga osuubira nti tebeebase so nga beebase nga tubakyusa ku ddyo ne ku kkono nga n'embwa yaabwe egolodde emikono gyayo nga eri ku mulyango (gw'empuku) nga singa obakubako eriiso waalikyuse noobadduka era wandijjudde okubatya

    [19] Era bwe tutyo twabazuukusa babe nga beebuuzaganya wakati waabwe (ku kyabatuukako) omwogezi omu ku bo naagamba nti wano mumazeewo bbangaki? nebagamba nti tumazeewo lunaku oba kitundu kya lunaku nebagamba nti Mukama omulabirizi wa mmwe yaasinga okumanya ebbanga lye mumazeewo kale mutume omu ku mmwe, agende mu kibuga ne Sente zammwe zino alabe mmere ki esinga obulungi eriyo abaleetereyo ku yo eky'okulya, wabula atambule nga yeegendereza tewali muntu n'omu asaanidde kubamanya

    [20] Anti mazima bo bwe banaabazuula bajja kubakuba amayinja oba ssi ekyo babazzeeyo mu ddiini yaabwe olwo nno temugenda kwesiima olubeerera

    [21] Nabwetutyo twasobozesa abantu okubazuula olwo nno bamanye nti mazima endagaano ya Katonda ya mazima, era bamanye nti mazima essaawa (esembayo) teriimu kubuusabuusa. (Era) jjukira (abakaafiiri ) bwe baakaayana ku nsonga yaabwe (abamu), nebagamba nti mubazimbeko ekizimbe, Mukama omulabirizi waabwe y'asinga okumanya ebibakwatako, ate abalina ekigambo ekisinga obulungi nebagamba nti tujja kubazimbako omuzikiti

    [22] (Abantu abamu) bajja kugamba nti baali basatu, nga embwa yaabwe yaakuna, abamu bagambe nti baali bataano nga embwa yaabwe yamukaaga nga kujweteka ku byebatamanyi. Abalala bajja kugamba nti baali musanvu nga embwa yaabwe ya munaana gamba nti Mukama omulabirizi wange y'asinga okumanya omuwendo gwabwe, tewali abamanyi okugyako bantu batono, n'olwekyo towakana ku bibakwatako okugyako okuwakana okwokungulu era tewebuuzanga ku muntu yenna ku nsonga ebakwatako

    [23] Era togambanga ku kintu kyonna, nti mazima nze ngenda kukikola enkya

    [24] Okugyako nga ogasseeko nti Katonda bwanaaba ayagadde, era yogera ku Mukama omulabiriziwo wooba nga weerabidde, era gamba nti nsuubira nti Mukama omulabirizi wange ajja ku nnungamya eri obujulizi obusinga ku buno, (eky'abavubuka bo mu mpuku okulaga obwa Nabbi bwange)

    [25] Era baatuula mu mpuku yaabwe emyaka bikumi bisatu (ku mbala ey'enjuba) ate nebeeyongera mu mwenda (kumbala ey'omwezi)

    [26] Gamba nti Katonda y'asinga okumanya ebbanga lye baamalamu, yekka y'amanyi ebyekusifu by'omu ggulu omusanvu n'ensi, weewuunye okulaba kwe n'okuwulira kwe (okuba nti byetoolodde buli kintu, n'olwekyo) tebalina nga oggyeko yye (Katonda) mutaasa. Era mu kusalawo kwe teyeegatta na muntu mulala yenna ( wabula bulijjo asalawo yekka)

    [27] Era soma ebyo ebyassibwa gyoli nga bya mu kitabo kya Mukama omulabiriziwo tewali akyusa bigambobye era togenda kufuna buddukiro etali wuwe

    [28] Wenyweze nga obeera wamu n'abo abasaba Mukama Omulabirizi waabwe enkya n'olweggulo nga baluubirira kuba ku luddalwe, tobaggyako amaaso (nootunuulira babinojjo) nga ogenderera kufuna eby'okwewunda by'obulamu bwensi, era togondera oyo yenna gwe twagayaaza omutimagwe naatatwogerako naagoberera okwagalakwe embeera ye yonna neeba bwonoonyi

    [29] Gamba nti gano ge mazima agavudde ewa Mukama omulabirizi wa mmwe kale ayagala akkirize n'anayagala akaafuwale, mazima ffe abeeyisa obubi twabateekerateekera omuliro, lugenda kubeetoolola olugo lwa gwo, buli lwe banaasabanga okuweebwa amazzi balinywesebwa amazzi agalinga olutabu lw'ekyuma olulyoka ebyenyi. Kiriba kya kunywa kibi era nga n'obutuulo buliba bubi

    [30] Mazima abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu mazima ffe tetugenda butasasula mpeera y'oyo eyalongoosa emirimu

    [31] Abo nno bagenda kufuna e jjana ey'olubeerera nga emigga gikulukutira wansi waabwe. nga bali mu yo baliba beesigamye, nga batudde ku ntebe ensitufu, eyo nno mpeera nnungi era nga n'obutuulo buliba bulungi

    [32] Era bakubire ekifaananyi ky'abasajja babiri nga omu ku bo twamuwa ennimiro bbiri eze Nzabibu zetwassaako olukomera olw'emitende, ate wakati waazo netussaamu ebirime ebirala

    [33] Ennimiro zombi zaabala bulungi, tewali katundu kataabala, era nga twassa wakati waazo emigga

    [34] (Omu ku basajja ababiri) naaba nga afunye amakungula (amalungi) naagamba munne nga anyumya naye nti nze nkusinza emmaali era nga bwe nkusinza abantu

    [35] Olwo nno naayingira ennimiro yye nga yeeyisizza bubi yennyini, naagamba nti sirowooza nti bino biyinza okuggwawo

    [36] Era nga bwe ssirowooza nti essaawa ey'enkomerero egenda kubaawo (katugambe nti kibaddewo) bwe ndizzibwa ewa Mukama omulabirizi wange ngenda kufuna ebisinga obulungi ku bino

    [37] Munne naamuddamu nga amugamba nti owakanyizza oyo eyakutonda nga akuggya mu ttaka oluvanyuma naakuggya mu mazzi agazaala oluvanyuma naakukola nga oli Muntu omujjuvu

    [38] Naye nze ngamba nti mazima yye Katonda ye Mukama omulabirizi wange era siyinza kugatta ku Mukama Mulabirizi wange mulala yenna

    [39] Kale singa ggwe bwe wabadde oyingira ennimiroyo wagambye nti: ekyo kyonna Katonda kyaba ayagadde kyekiba, tewali maanyi okugyako nga Katonda y'agagabye, newaakubadde nga ondaba nga nze nnina emmaali ntono n'abaana batono obutenkana ggwe

    [40] Nina essuubi nti Mukama omulabirizi wange lumu alimpa ebirungi okusinga ennimiroyo ate naasindikira eyiyo kibuyaga okuva waggulu neekeesa enkya ttaka jjereere

    [41] Oba amazzi gaamu negafuuka gakkekwa n'oba nga tosobola kugazuula

    [42] Era ebibalabye byatuukwako obuzibu, nebukya nga akuba mu bibatubye olw'okufiirwa ebyo bye yassaamu, nga alaba ennimiro ebutamidde ku birimba byayo naagamba nti: zinsanze nze, singa saagatta kintu ku Mukama omulabirizi wange

    [43] Nga oggyeko Katonda yali tayinza kufuna kibinja kimutaasa nga naye bwe yali tasobola kwetaasa

    [44] Awo obwesige bwonna bwalina kubeera mu Katonda ow'amazima yekka, anti bulijjo yye yaasinga empeera ennungi, era y'alina enkomerero esinga obulungi

    [45] Era bakubire ekifaananyi eky'obulamu obw'ensi bulinga amazzi getutonnyesa okuva waggulu, nebyetabula nago ebimera byo ku nsi (olwo nno) nebikula nebikungulwa nebifuuka ebisusunku nga empewo ebikunguzza. Bulijjo Katonda ku buli kintu muyinza

    [46] Emmaali n'abaana byakwewunda bya bulamu bwansi, emirimu emirungi egisigalawo gye gisinga obulungi ewa Mukama omulabiriziwo, okuba nga ye mpeera era nga lye ssuubi erisinga obulungi

    [47] Era (fumiitiriza ku) lunaku lwe tulitambuza ensozi olwo nno oliraba ensi nga njereere era tulibakunganya bonna, tetugenda kusubwa n'omu yenna

    [48] Olwo nno balyanjulwa ewa Mukama Omulabiriziwo nga bali mu nnyiriri (Katonda aligamba nti) mazima muzze gye tuli nga bwe twabatonda ku mulundi ogwasooka naye mwalowooza nti tetwali baakubateerawo kiseera kigere

    [49] Ekitabo kya buli omu kigenda kuleetebwa olwo nno noolaba aboonoonyi nga batya olw'ebyo ebikirimu, baligamba nti: nga tulabye kitabo kya ngeriki kino! Tekirekaayo katono oba kinene okugyako nga kikikomekkereza, bagenda kusanga nga buli kye baakola weekiri. Mukama omulabiriziwo tagenda kulyazaamaanya muntu yenna

    [50] Era jjukira bwe twagamba ba Malayika nti muvunnamire Adam nebamuvunnamira okugyako Ibuliisu (Sitane) eyali owo mu Majinni olwo nno naayawukana ku kiragiro kya Mukama omulabiriziwe, abaffe ate mmwe oyo gwe mufuula n'ezaddelye abataasa ba mmwe (nze) Katonda nemunvaako ate nga bo balabe ba mmwe, nga okwo kuwanyisiganya kubi abeeyisa obubi kwebakola

    [51] Sibayitanga kubaawo nga eggulu omusanvu ne nsi bitondebwa wadde okutondebwa kwabwe era sibangako waakweteerawo ababuza nga be bayambi (bange)

    [52] Era (mufumiitirize) olunaku (Katonda) lwalibagamba nti muyite be mwangattako abo be mwagambanga (nti nabo ba katonda) olwo nno bali bayita nebatabaanukula era netussa wakati waabwe ekibaawula

    [53] Aboonoonyi baliraba omuliro, olwo nno bagenda kumanyira ddala nti mazima bo baakugugwamu era tebagenda kufuna buwonero bwonna ku gwo

    [54] Mazima tunnyonnyodde abantu mu Kur’ani eno (nga tukozesa) buli kifaananyi mazima omuntu y'asinga ebintu byonna okuwalaaza empaka

    [55] Tewali kyagaana bantu kukkiriza obulungamu bwe bwabajjira, era teri kyabagaana kwegayirira Mukama omulabirizi waabwe, mpozzi nga baali balindirira kujjirwa ekyo ekyatuuka ku baasooka oba ebibonerezo bibajjire babirabe lwatu

    [56] Era tetwatuma babaka okugyako lwa kuwa mawulire agasanyusa (eri abakozi b'obulungi), era nga bawa amawulire agatiisa (eri abakozi b’obubi), abo abaakaafuwala bawakana mu bukyamu nga bagenderera okugyawo nabwo amazima, ebigambo byange (n'ebintu ebirala) bye batiisibwa nabyo nebabifuula eby'olusaago

    [57] Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo ajjukizibwa ebigambo bya Mukama omulabiriziwe naabivaako, neyeerabira ebyo emikono gye bye gyakulembeza (okukola), mazima ffe twassa ku mitima gya bwe ekibikka, babe nga tebabitegeera ne mu matu gaabwe mulimu envumbo era nebwobayita okujja eri obulungamu tebagenda kulungama olubeerera bwe baba bwe batyo

    [58] Ne Mukama omulabiriziwo omusonyiyi ennyo nannyini kusaasira, singa abadde waakuvunaanirawo olw'ebyo bye bakola yandibatuusizzaako ekibonerezo mu bwangu, wabula balina ekiseera ekigere (bwe kirituuka) tebagenda kufuna buddukiro babe nga bakiwona

    [59] Ebitundu ebyo (bye muliraanye, abantu bamu) twabazikiriza bwe beeyisa obubi era okuzikirira kwa bwe twakuwa ekiseera kwe mwe kwalina okutuukira

    [60] Era jjukira Musa bwe yagamba omuweerezawe nti sijja kulekeraawo kutambula okutuusa lwe tunaatuuka enyanja ebbiri wezisisinkanira oba mmala byeya (kale mbimale)

    [61] Olwo nno bwe baatuuka bombi ekifo wezisisinkanira beerabira ekyenyanja kyabwe nekikola ekkubo lyakyo munyanja nga kireseewo omuwulukwa

    [62] Bwe baayita ku kifo ekyo (Musa) yagamba omuweerezawe nti leeta eno eky'okulya kyaffe mazima olugendo lwaffe luno tulusanzeemu obukalubo

    [63] (Omuweerezawe) naagamba nti ojjukira wetwawummulidde ku lwazi, mazima nze neerabidde ekyenyanja tewali kyanneerabizza kukijjukira okugyako Sitane era awo wekyakoledde ekkubo mu nnyanja mu ngeri eyeewuunyisa

    [64] (Musa) naagamba nti ekyo kyennyini kye tubadde tunoonya, olwo nno nebadda emabega nga bwe bazze nga banoonya ekifo (ekyo)

    [65] Nebasanga omuddu mu baddu baffe gwe twawa okusaasira okuva gye tuli, era netumuyigiriza okuva gye tuli okumanya (okw'enjawulo)

    [66] Musa naamugamba nti abaffe (onzikiriza) nkugoberere olwo nno obe nga onjigiriza ku bulungamu bwe wayigirizibwa

    [67] (Hidhiri) naamuddamu nti mazima ggwe tojja kusobola kugumiikiriza nga oli nange

    [68] Onoogumiikiriza otya ku bintu byotalinaako kumanya

    [69] (Musa) naagamab nti Katonda bwanaaba akkirizza ojja ku nsanga nga ndi mugumiikiriza era sigenda kukujeemera mu kintu kyonna

    [70] (Hidhiri) naagamba nti bwoba osazeewo okungoberera, tombuuza ku kintu kyonna okutuusa lwe nnaakufunira kye nkikubuulirako

    [71] Olwo nno nebagenda, okutuusa nga bamaze okulinnya eryato (Hidhiri) naalissaako ekituli, (Musa) naagamba nti olitaddeko ekituli ozikirize abantu abalirimu mazima okoze ekintu kibi

    [72] (Hidhiri) naagamba nti: saakugambye nti mazima ggwe tojja kusobola kugumiikiriza nga oli nange

    [73] (Musa) naagamba nti tonvunaana olw'ekyo kye nneerabidde era tontuusaako olw'ekigambo kyange (eky'okubeera naawe) buzito bwonna

    [74] Olwo nno nebagenda okutuusa lwe baasanga omulenzi, (Hidhiri) naamutta (Musa) naagamba nti osse omuntu atalina musango, atalina gwasse, mazima ekintu kyokoze kivve

    [75] (Hidhiri) naagamba nti ssaakugambye nti mazima ggwe tojja kusobola kugumiikiriza nga oli nange

    [76] (Musa) naagamba nti kenkubuuza ku kintu ekirala kyonna oluvanyuma lwa kino tonzikiriza kubeera naawe, mazima ofunye ensonga ekusonyiyisa ku nze

    [77] Nebagenda bombi okutuusa lwe batuuka ku bantu b'omukitundu, nebasaba abantu baamu okubawa emmere naye baagaana okubafuula abagenyi baabwe, wabula baasanga mu kyo (ekitundu) ekisenge nga kyagala kugwa (Hidhiri) naakiddaabiriza (Musa) naagamba nti singa oyagadde waalikisabiddeko empeera (noosasulwa)

    [78] (Hidhiri) naagamba nti: wano nze naawe wetwawukanidde, (wabula) ngenda kukubuulira amakulu g'ebyo byotaasobodde kugumiikiriza

    [79] Lyo eryato lyabadde, lya ba Masikiini nga bapakasiza ku nnyanja, nagenderedde okulissaako akamogo, anti, mu maaso eyo waabaddeyo Kabaka nga atwala buli lyato eddungi mu ngeri ya bunyazi

    [80] Ate yye omulenzi bakaddebe bombi baali bakkiriza, netutya yye (omulenzi) okubatuusaako obuzibu bwokubula n'okukaafuwala

    [81] Olwo nno twayagadde Mukama Omulabirizi wa bombi abawaanyisizeemu bombi ekirungi okusinga yye mubutukuvu, era asinga okuba omusaasizi

    [82] Ate kyo ekisenge kyabadde kya balenzi babiri bamulekwa mu kibuga (ekyo), wansi waakyo waabaddeyo eby'ogugagga bya bombi era nga Kitaabwe wa bombi yali mulongoofu, olwo nno Mukama omulabiriziwo yayagala bombi okumala okusajjakula, olwo nno baggyeyo eby'obugagga byabwe bombi, ekyo nga kusaasira okuva eri Mukama Omulabiriziwo, era ssaakikoze lwa kusalawo kwange (wabula) bubaka obwavudde eri (Katonda), okwo nno kwe kunnyonnyola byotasobodde kugumiikiriza

    [83] Bakubuuza ebikwata ku Dhul Karinaini, bagambe nti nja kubayitiramu ku bimukwatako

    [84] Mazima ffe twamuwa obusobozi mu nsi, era twamuwa ku buli kintu okumanya engeri gye kikolebwamu

    [85] Olwo nno naagoberera enkola (eyo)

    [86] Okutuusa lwe yatuuka enjuba gyegwa, naagisanga nga erabika nga egwa mu luzzi olw'ettosi, era mu kitundu ekyo naasangayo abantu, netumugamba nti owange Dhul Karinaini, bwoba oyagadde osobola okubabonereza oba oyinza okubakolamu ekirungi

    [87] (Dhul Karinaini) naagamba nti oyo aneeyisa obubi tujja kumubonereza, ate oluvanyuma alizzibwa ewa Mukama Omulabirizewe, naamubonereza ebibonerezo ebisuffu

    [88] Naye oyo akkiriza naakola emirimu emirungi, agenda kusasulwa empeera ennungi era tugenda kumugamba ebigambo ebyangu okuva gye tuli

    [89] Ate oluvanyuma naagoberera enkola eyo

    [90] Okutuusa lwe yatuuka enjuba gyeva naagisanga nga eviirayo ku bantu abo betutaawa kya kwebikka kuwona kwokya kwayo

    [91] Bwe tutyo bwe twakikola ate mazima byonna bye yalina, okumanya kwaffe kwali kubyetoolodde

    [92] Ate oluvanyuma bwe yamala naagoberera enkola y'emu

    [93] Okutuusa lwe yatuuka wakati w'ensozi ebbiri, naasanga wakati wa zombiriri abantu, kumpi nga tebategeera kigambo kyonna

    [94] Nebagamba nti owange Dhul Karinaini mazima Yajuuja ne Majuuja boonoonyi mu nsi abaffe tukuteerewo empeera (tukupakase) obe nga otuteera wakati waffe nabo ekikomera

    [95] Naagamba nti ekyo kyonna Mukama Omulabirizi wange kyanansobozesa kinaaba kirungi, kale munyambe n'amaanyi nja kuteeka wakati wa mmwe nabo ekikomera (ekigumu)

    [96] Mundeetere ebitundu tundu bye byuma (bye baaleeta) okutuusa lwe yajjuza ebyuma mu bbanga eriri wakati w'ensozi ebbiri, naagamba nti mufuuwe (emivubo) okutuusa ekyuma lwe yakifuula omuliro naagamba nti mundeetere ekikomo ekisaanuuse naakifukirirako

    [97] (Yajuuja ne Majuuja) tebasobolangako kukirinya era nga bwe batasobolangako kukiwummulamu kituli

    [98] (Dhul Karinaini) naagamba nti kuno kusaasira okuva eri Mukama Omulabirizi wange, n'olwekyo endagaano ya Mukama Omulabirizi wange bwelituuka, agenda kukifuula ekimerengufu, anti bulijjo endagaano ya Mukama omulabirizi wange ya mazima

    [99] Tulireka abamu ku bo nebaba nga beekuluumulira mu bannaabwe nga balinga amayengo. Era engombe egenda kufuuyibwa olwo nno bonna tubakunganye

    [100] Ku lunaku olwo tugenda kusoosootola omuliro Jahannama eri abakaafiiri olusoosootola

    [101] Abo amaaso gaabwe agaali mu kubikkibwa nebatosobola kunjogerako era baali tebasobola kuwulira

    [102] Abaffe abo abakaafuwala basuubira okufuula abaddu bange abakuumi baabwe nze nebandekawo, nze nebansuulirira, mazima ffe twateekateeka Jahannama nga bwe butuulo bwa bakaafiiri

    [103] Abaffe tubabuulire abasinga okufaafaganirwa emirimu gya bwe

    [104] Beebo okukola kwa bwe okubeera okwonoonefu mu bulamu obw'ensi, so nga ate bo balowooza nti bakola bulungi

    [105] Abo beebo abawakanya ebigambo bya Mukama omulabirizi waabwe, era nebawakanya okumusisinkana, olwo nno emirimu gya bwe negifaafaagana, n'olwekyo ku lunaku lw'enkomerero, tetugenda kubalabamu buzito bwonna

    [106] Bwe kityo nno empeera yaabwe muliro Jahannama olw'ebyo bye baawakanya era nebafuula obubonero bwange n'ababaka bange ekisekererwa

    [107] Mazima abo abakkiriza era nebakola emirimu emirongoofu, e jjana eza Firidausi, bwe buliba obutuulo bwa bwe

    [108] Bakuzibeeramu olubeerera tebagenda kwetaaga kukyusibwa kuva mu zo

    [109] Gamba nti singa ennyanja zaali nga ye bwino (akozesebwa mu kuwandiika) ebigambo bya Mukama omulabirizi wange, ennyanja zandikalidde, nga ebigambo bya Mukama omulabirizi wange tebinnagwayo, nebwetandireese ennyanja ezenkana eziriwo zibe nga ziziyamba

    [110] Bagambe nti mazima nze ndi muntu nga mmwe, (wabula) nfuna obubaka nga bugamba nti mazima Katonda wa mmwe ali omu, kale nno, buli yenna asuubira okusisinkana Mukama omulabiriziwe ateekwa okukola emirimu emirungi era mu kusinza n’atagatta kintu kyonna ku Mukama Omulabiriziwe

    Mariam

    Surah 19

    [1] Kaaf Haa Yaa Ain Swad

    [2] Okwogera ku kusaasira kwa Mukama Omulabiriziwo kwe yawa omudduwe Zakaria

    [3] Mu kiseera bwe yasaba Mukama Omulabiriziwe okusaba okw'ekyama

    [4] Naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange, mazima nze amagumba gannyenjebuse, n'omutwe gubunye envi, ate nga ssirekererwangako ayi Mukama Omulabirizi wange buli lwe nkusaba

    [5] Era mazima nze, nneekengedde ab'omusaayi gwange (bayinza okweyisa obubi) oluvanyuma lwange, ate nga ne Mukyala wange mugumba awo nno nkusaba ompe okuva gyoli omwana

    [6] Anaansikira, era asikire ab'olulyo lwa Yakubu, era omufuule asiimibwa ayi Mukama Omulabirizi wange

    [7] (Naayanukulwa nti) owange Zakaria mazima ffe tukuwa amawulire ag'essanyu nti ogenda kufuna omwana omulenzi, nga erinya lye ye Yahaya (erinnya) lye tutassangawo oluberyeberye aliyitibwa

    [8] (Zakaria) naagamba nti omwana omulenzi (oyo) nnaamufuna ntya, nga Mukyala wange mugumba nga n’olwo bukadde nfuuse mugogge

    [9] (Malayika) naagamba nti (bwe kityo bwe kirina okuba), Mukama Omulabiriziwo agambye nti: ekyo ku nze kyangu era mazima nakutonda nga mu kusooka tewali kintu kyonna

    [10] (Zakaria) naagamba nti ayi Mukama Omulabirizi wange nteeraawo akabonero (akanaalaga nti omukyala ali lubuto) naamugamba nti bwe butayogera na bantu okumala ebiro bisatu ebijjudde (awamu n'okuba nga oli mulamu)

    [11] Awo nno yafuluma, naasisinkana abantu be nga ava mu ssinzizo naabalagira (nga tayogera, wabula nga akozesa bubonero) nti muteendereze, (Katonda) enkya n'olweggulo

    [12] (Yahaya naalagirwa nti) owange Yahaya ekitabo (Tawurat) kikwate na maanyi, era twamuwa okumanya ensonga nga akyali muto

    [13] Era twamussaawo nga kulumirwa (bantu) okuva gye tuli era nga butukuvu, era yali mutya Katonda

    [14] Era nga yayisa bulungi bakaddebe bombi era tabangako mwekuluntaze omujeemu

    [15] Era emirembe gibeere ku ye olunaku lwe yazaalibwa, n'olunaku lwalifa, n'olunaku lwalizuukizibwa nga mulamu

    [16] Era yogera nga ojja mu kitabo (Kur’ani ebikwata ku) Mariam bwe yeesamba abantube nadda ku ludda olw'ebuvanjuba

    [17] Naateekawo olutimbe baleme kumulaba awo nno twamutumira mwoyo waffe (Jiburilu) naamweyoleka nga muntu ddala

    [18] (Mariam) naagamba nti nsaba Mukama Katonda Omusaasizi akuntaaseeko bwoba nga otya Katonda (ndeka tonsemberera)

    [19] (Malayika) naamugamba nti mazima nze ndi mubaka okuva ewa Mukama Omulabiriziwo nkuleetedde omwana omulenzi omutukuvu

    [20] Mariam naagamba nti nyinza ntya okufuna omwana nga tewali muntu yankutteko, ate nga sibangako malaaya

    [21] (Malayika naagamba nti) bwe kityo bwe kirina okuba, Mukama Omulabiriziwo agambye nti kyo ku nze kyangu. Era tube nga tumufuula akabonero eri abantu (akalaga obuyinza bwa Katonda), era nga kusaasira okuva gye tuli, era kyali ekigambo ekyasalibwawo (edda)

    [22] (Mariam) n'aba olubuto lwa Issa, neyeesamba nalwo okuva mu bantu okulaga eri ekifo ekyesudde

    [23] Awo nno ebisa nebimusindiikiriza naasibira wansi w'omutende, naagamba nti, ndabye nze singa nnafa nga kino tekinnabaawo nemba ekyerabiddwa ekitakyafiibwako

    [24] (Malayika) naamukoowoola nga asinziira wansi we nti tonakuwala, mazima Mukama omulabiriziwo atadde wansi wo omwaala

    [25] Weenyenyeze omutende gujja kukusuulira entende embisi, ezituuse okunoga

    [26] Olwo nno, lya ku (ntende) era onywe ku (mwaala) otebenkere amaaso (obeere bulungi), wonna woolabira omuntu yenna, ggwe mugambe nti neeyamye ku lwa Katonda Omusaasizi okusirika, ssigenda kwogera na muntu yenna olwa leero

    [27] Naamuleeta eri abantube nga amusitudde nebagamba nti owange Mariam mazima okoze ekintu ekisasamaza

    [28] Owange mwannyina wa Haruna, Kitaawo tabangako muntu mukozi wa kibi, era ne Maamawo tabangako Malaaya

    [29] (Mariam) naasonga ku mwana, (bali) nebagamba tuyinza tutya okwogera n'omwana ali ku kaali omuwere

    [30] (Omwana) naagamba nti mazima nze ndi muddu wa Katonda, ampadde ekitabo (enjiri) era nanfuula Nabbi

    [31] Era nanfuula ow'omukisa wonna wennabanga, era ankuutidde okusaala, n'okutoola Zakka, ebbanga lye nnaamala nga ndi mulamu

    [32] Era (ankuutidde) okuyisa obulungi Maama wange, era tanfudde eyeekuza, omwonoonefu

    [33] Era emirembe gibeere ku nze olunaku lwe nnazaalibwa, n'olunaku lwe ndifa, n'olunaku lwe ndizuukizibwa nemba omulamu

    [34] Oyo ye Issa Mutabani wa Mariam, ekigambo eky'amazima ekyo (abeeyita abagoberezibe) kye babuusabuusa

    [35] Katonda tekimusaanira kweteerawo mwana. Anti yye musukkulumu (ku buli kintu), bwasalawo ekintu mazima akigamba nti ba, nekiba

    [36] Era mazima ddala Katonda ye Mukama omulabirizi wange, era Omulabirizi wa mmwe, kale mumusinze, eryo ly'ekkubo eggolokofu

    [37] Wabula ebibiina bya bantu byayawukana (ku nsonga ya Issa), n'olwekyo okubonaabona kugenda kubeera ku abo abaakaafuwala (nebabikka amazima agakwata ku Issa) ku lunaku olunene abantu bonna lwe balibaako

    [38] Bagenda kuba nga bawulira nnyo era nga balaba nnyo, olunaku lwe balitujjira naye abeeyisa obubi olwa leero (kuno ku nsi) bali mu bubuze obw'olwatu

    [39] Batiise (Ggwe Muhammad) olunaku lw'okwejjusa mu kiseera ekigambo lwe kirisalibwawo, (abalongoofu bayingire e jjana aboonoonyi bayingire omuliro), wabula bo olwa leero bali mu bugayaavu era bbo tebakkiriza

    [40] Mazima ffe, ffe tulisikira ensi n'abagiriko era gye tuli gye balizzibwa

    [41] Era yogera nga ojja mu kitabo (kino Kur’ani) ebikwata ku Ibrahim, mazima yye yali mukkiriza ow'amazima era nga Nabbi

    [42] Mujjukire (Ibrahim) bwe yagamba Kitaawe nti owange Taata lwaki osinza ebitawulira, era ebitalaba, era ebitayinza kukugasa mu kintu kyonna

    [43] Owange Taata mazima nze nzigyiddwa okumanya okutaakujjira, n'olwekyo ngoberera, nja kukulungamya ku kkubo eggolokofu

    [44] Owange Taata tosinzanga Sitane, mazima Sitane yajeemera Katonda omusaasizi

    [45] Owange Taata mazima nze ntya ebibonerezo okuva ewa Katonda omusaasizi okukutuukako, olwo n'oba mukwano gwa Sitane

    [46] (Kitaawe) naagamba nti owange Ibrahim oyagala kuva ku ba Katonda bange, bwotookikomye nja kukukuba amayinja, nviira mangu ssaagala kukulaba

    [47] Ibrahim naagamba nti emirembe gibe ku ggwe, nja kwegayirira Mukama Omulabirizi wange akusonyiwe, mazima yye bulijjo annumirwa

    [48] Nja kubaviira (mbaleke) n'ebyo bye musinza nemuva ku Katonda era nja kusaba Mukama Omulabirizi wange, nkakasa siyinza kuba mwonoonefu olw'okusinza Mukama Omulabirizi wange

    [49] Bwe yabaviira naabaleka n'ebyo bye basinza nebalekawo Katonda, twamugabira Ishak, ne Yakubu buli omu ku bombi twamufuula Nabbi

    [50] Era twabagabira okuva mu kusaasira kwaffe, netubateerawo okwogerwako okw'amazima okubafuula ab'awaggulu

    [51] Yogera mu Kitabo (Kur’ani) ebikwata ku Musa, mazima yye yali mulondemu, era yali mubaka era Nabbi

    [52] Twamukoowoola ku ludda olwa ddyo olw'olusozi (Sinai), netumusembeza nga twogera naye

    [53] Era netumuwa okuva mu kusasira kwaffe Mugandawe Haruna nga (naye) Nabbi

    [54] Era yogera nga ojja mu Kitabo (Kur’ani) ebikwata ku Ismail, mazima yye yali mutuukiriza wa ndagaano, era yali Mubaka nga Nabbi

    [55] Yalinga alagira abantu be okusaala n'okutoola Zakka. Era bulijjo nga asiimwa ewa Mukama Omulabiriziwe

    [56] Era yogera nga ojja mu kitabo (Kur’ani) ebikwata ku Idrisa, mazima yye yali musuffu mu mazima nga Nabbi

    [57] Era twamusitula netumuwa ekifo ekya waggulu

    [58] Abo beebo Katonda beyagabira ebyengera mu ba Nabbi nga bava mu bazzukulu ba Adam, ne mu abo betwatwala ne Nuhu mu lyato, ne mu bazzukulu ba Ibrahim, ne Israil ne mu abo betwalungamya, era netubaawula. Ebigambo bya Katonda omusaasizi buli lwe byabasomerwanga bakkanga wansi nga bavunnama era nga bakaaba

    [59] Olwo nno oluvanyuma lwabwe wajjayo abaabaddira mu bigere, abataafa ku sswala, era nebagoberera eby'obwagazi, luliba lumu bagenda kusisinkana okufaafaaganirwa n'okuzikirira

    [60] Okugyako oyo eyeenenya, era nakkiriza era naakola emirimu emirongoofu, abo bagenda kuyingira e jjana era tebagenda kulyazaamaanyizibwa kintu kyonna

    [61] (Baliyingira) e jjana ez'olubeerera, ezo Katonda omusaasizi ze yalagaanyisa abaddube nga tebazirabyeko, mazima endagaano ye erina kutuukirira

    [62] Tebagenda kuwulira mu yo (e jjana) luyoogaano wabula (baliwulira) bigambo bya mirembe byereere baliweebwa riziki yaabwe mu yo enkya n'olweggulo

    [63] Eyo ye jjana, eyo gye tulisikiza, abamu ku baddu baffe, oyo eyali atya Katonda

    [64] Era ffe (ba Malayika) tetukka okugyako lwa kiragiro kya Mukama Omulabiriziwo, bibye byonna ebiri mu maaso gaffe n'ebiri emabega waffe, n’ebyo ebiri wakati wa byombi era Mukama omulabiriziwo tabeerangako eyeerabira

    [65] (Katonda) ye Mukama omulabirizi w'eggulu omusanvu n'ensi, n'ebyo ebiri wakati wa byombi kale nno musinze ogumiikirize ku kumusinza (bwotokola ekyo) abaffe omanyiiyo amufaanana

    [66] Omuntu agamba nti bwendiba nfudde ate ndiggyibwa (mu ntaana) nga ndi mulamu

    [67] Abaffe omuntu tajjukira nti mazima ffe twamutonda omulundi ogwasooka nga yali tabangako kintu kyonna

    [68] N'olwekyo ndayidde Mukama omulabiriziwo, ddala tugenda kubazuukiza ne (Sitane) nazo tuzizuukize, oluvanyuma tugenda kubaleetera ddala awali omuliro Jahannama nga bakutaamiridde

    [69] Oluvanyuma ddala tugenda kuggya mu buli kibiina buli yenna eyali asinga okwewaggula ku Katonda ow'ekisa ekingi

    [70] Oluvanyuma ffe tuliba tumanyi nnyo abo abasinga okusaanira okugwesogga

    [71] Tewali n'omu yenna ku mmwe okugyako w'a kuguyitako, ekyo ku Mukama omulabiriziwo kikakafu ekyaggwa edda

    [72] Oluvanyuma tuliwonya abo abatya Katonda, olwo nno tuleke mu gwo abeeyisa obubi nga bagangalamye

    [73] Bwe bisomebwa ku bo ebigambo byaffe nga binnyonnyofu, abo abaakaafuwala bagamba abo abakkiriza, nti ku bibiina ebibiri kiriwa ekirina ekifo ekirungi? era abalina enkungaana ezisinga obulungi

    [74] Mirembe emeka gye twazikiriza oluberyeberye lwa bwe, nga abo be baali basinza ebintu ebirungi nendabika ennungi

    [75] Bagambe nti oyo yenna abeera mu bubuze, Katonda omusaasizi amulindiriza olulindiriza, okutuusa nga balabye bye baalagaanyisibwa, kabibe bibonerezo oba essaawa ey'enkomerero olwo nno bagenda kumanya ani alina ekifo ekibi era ani alina eggye erinafu

    [76] Ate abo abaalungama Katonda abongera bulungamu, byo ebisigalawo ebirungi y'empeera esinga obulungi ewa Mukama omulabiriziwo, eyo nga mpeera era nga bwe buddo obusinga obulungi

    [77] Abaffe olabye oyo alimbisa ebigambo byaffe, era naagamba nti (ne ku nkomerero) ngenda kuweebwa emmaali n'abaana

    [78] Abaffe yasobola okulaba ebyekusifu, oba yafuna ewa Katonda omusaasizi endagaano, (atuuke okugamba nti aliba ne mmaali n'abaana ku nkomerero)

    [79] Si bwe guli, tujja kuwandiika buli kyayogera tumulindirize ku bibonerezo olulindiriza

    [80] Olwo nno tweddize ebyo bye yagamba, ate nga agenda kutujjira nga ali yekka nga talina kyalina

    [81] Era beeteerawo bye basinza nebaleka Katonda omu, mbu olwo balyoke babeere eri bano abataddewo abawi b'obuwagizi

    [82] Ssi bwe guli, bajja kuwakanya eky'okubasinza bafuuke ekyennyume kyabwe

    [83] Tolaba nti mazima ffe tusindika Sitane eri abakaafiiri nga zibawagira oluwagira

    [84] Toyanguya kubasabira kuzikirira, mazima ennaku zaabwe tuzibabalira bubalizi

    [85] (Bategeeze) olunaku lwe tulikunganya abatya Katonda, netubatwala ewa Katonda omusaasizi nga bagenyi

    [86] Ate tusindiikirize aboonoonyi, nga tubatwala ku muliro Jahannama nga balinga ensolo ezigenda okunywa amazzi

    [87] Tebaliba na buyinza bwa kuwolereza, wabula oyo eyafuna endagaano ewa Mukama Katonda ow'ekisa ekingi

    [88] (Abatakkiriza) bagamba nti Katonda omusaasizi yeeteerawo omwana

    [89] Mazima mu kwogera ekyo muleese ekintu ekibi ennyo

    [90] Eggulu omusanvu kumpi okweyuza olw'ekyo, n'ensi ebula okwatikayatika n'ensozi kumpi kugwa nga zimogosemogose

    [91] Olw'okugamba nti Mukama Katonda Omusaasizi alina omwana

    [92] Ate nga tekigwana ku Katonda omusaasizi kweteerawo mwana

    [93] Tewali kitonde kiri mu ggulu musanvu n'ensi okugyako nga kigenda kujja ewa Katonda omusaasizi nga kiri mu ngeri ya buddu

    [94] Mazima yabakomekkereza, era naababala olubala

    [95] Era bonna bagenda kumujjira olunaku lw'enkomerero kinnoomu

    [96] Mazima abo abakkiriza nebakola emirimu emirungi, Katonda ajja kubateerawo okwagalwa

    [97] Mazima (Kur’ani) twagifuula nnyangu ku lulimilwo, obe nga osanyusa nayo abo abatya Katonda, ate obe nga otiisa nayo abo abayitirivu b'okugiwakanya

    [98] (Abantu ba) mirembe emeka gye twazikiriza oluberyeberye lwa bwe (bano abalimbisa Kur’ani), abaffe olina gwolabako mu bo, oba gwowulizaako olukwakwayo

    Twa-Ha

    Surah 20

    [1] Twa-haa

    [2] Tetwakussaako Kur’ani obe nga ozitoowererwa

    [3] Wabula twagikussaako nga kya kujjukiza eri oyo atya Katonda

    [4] (Kur’ani eno) yassibwa okuva eri oyo eyatonda ensi n'eggulu eryewanise

    [5] Katonda omusaasizi ow'ekisa ekingi, yatebenkera ku Arish

    [6] Bibye ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi, n'ebyo ebiri wakati wa byombi, n'ebyo ebiri wansi w'ettaka

    [7] Singa olina ekigambo kyonna kyoyatudde (k'obe nga tokyatudde) anti mazima yye amanyi ekyekyama n'ekisinga okubeera ekikweke

    [8] Katonda y'oyo ewatali kisinzibwa kya mazima okugyako yye. Y'alina amannya agasinga obulungi

    [9] Abaffe kwakujjira okwogera (ku kyafaayo) kya Musa

    [10] Mu kiseera weyalabira omuliro alyoke agambe abantube nti (mutuule) wano, mazima nze nengende omuliro (kangendeyo) sikulwa nga mbaleetera okuva gye guli eryanda si nakindi nensanga awali omuliro obulungamu

    [11] Musa bwe yagutuukako yakoowoolwa nti: owange ggwe Musa

    [12] Mazima nze, nze Mukama omulabiriziwo kale ggyamu engattozo, anti mazima ggwe oli mu lusenyi olutukuvu oluyitibwa Tuwa

    [13] Era mazima nze nkulonze okubeera (omubaka) wange, kale nno wuliriza obubaka obukussibwako

    [14] Mazima nze, nze Katonda nga tewali kisinzibwa mu butuufu okugyako nze, kale nno nsinza, oyimirizeewo e sswala obeere nga onjogerako mu yo

    [15] Anti mazima ekiseera (ebitonde lwe birizuukizibwa) kijja kutuuka mbula kukikweka (nange mbe nga sikimanya, ate bo bakimanyira wa), olwo nno (bwe kiriba kituuse) buli mwoyo gulyoke gusasulwe ebyo bye gwatakabanira

    [16] Kale nno takulabankanya okukuggya ku kukolerera ekiseera ekyo, oyo yenna atakikkiriza nga agoberera kwagalakwe (nekikuviirako) okuzikirira

    [17] Owange Musa kiki ekiri mu mukono gwo ogwa ddyo

    [18] Naagamba nti ogwo muggo gwange, gunyamba nga ntambula, era gwe nneeyambisa okukuba ebikoola embuzi zange (ziryoke zirye) era nina mugwo emigaso emirala

    [19] Katonda naagamba owange Musa gukasuke wansi

    [20] Naagukasuka, okugenda okulaba nga gwo musota ogutambula

    [21] Katonga naagamba gukwate, era totya, tujja kuguzza ku mbeera yaagwo ey'abulijjo

    [22] Yingiza omukono gwo mu nkwawazo, gugenda kuvaayo nga mweru nga ate tegutuukiddwako kabi, nakyo nga ky'amagero kirala

    [23] Olwo nno tulyoke tukulage obubonero bwaffe obunene

    [24] Genda ewa Firaawo mazima yye yabula (naafuuka kiwagi)

    [25] (Musa) naagamba nti ayi Mukama Omulabirizi wange, nyanjululiza ekifuba kyange

    [26] Era onsobozese omulimu gwange

    [27] Era ojje okwesiba mu lulimi lwange

    [28] Bategeere ebigambo byange

    [29] Era onteerewo omuyambi nga ava mu b'oluganda lwange

    [30] (Nga ye) Haruna muganda wange

    [31] Nkusaba oggumize naye obusobozi bwange

    [32] Era omugatte (ku nze) mu mulimu gwange

    [33] Olwo nno tube nga tukutendereza nnyo

    [34] Era tukwogereko nnyo

    [35] Mazima ggwe bulijjo otulabira ddala

    [36] (Katonda) naagamba nti owange Musa, oweereddwa ebisabwa byo

    [37] Era mazima twakugabira ekyengera omulundi omulala (oluberyeberye lwa kino)

    [38] Mu kiseera bwe twatumira eri Maamawo ekyo kye twamutumira

    [39] (Netumugamba) nti musse mu sanduke (bwomala) ogisse ku mazzi (g'omugga) amazzi gajja kumukasuka ku lubalama, olwo nno omulabe wange era nga mulabe we ajja kumutwala, era nakussaako ggwe (Musa) okwagala okuva gyendi, era olyoke obeere mu kulabirirwa kwange

    [40] Jjukira ekiseera mwannyoko bwe yatambula (naatuuka ku bantu bo mu maka ga Firaawo), naagamba nti abaffe mbalagirire omuntu anaamulabirira, olwo netukuzza ewa Maamawo, eriiso lye liryoke litebenkere (omutima gumubeere wamu), era aleme kunakuwala, (era jjukira nti lumu) watta omuntu wabula netukuwonya okweraliikirira era twakugezesa n'ebigezo bingi, nootuula emyaka egiwera mu bantu be Madiana. Oluvanyuma owange Musa bwomaze nojja wano Katonda nga bwe yakugerera

    [41] Era nkwawudde nga oli wange (nkuwadde obubaka)

    [42] Genda ggwe ne mugandawo, nga mututte obubonero bwange, kyokka temukoowanga okunjogerako

    [43] Mugende mwembiriri ewa Firaawo, mazima yeewaggula

    [44] Mumugambe ebigambo ebigonvu, alyoke ajjukire era atye

    [45] (Musa ne Haruna) nebagamba nti, ayi Mukama omulabirizi waffe mazima ffe tutya, ayinza okutubonyaabonya ennyo, oba (yye) okweyongera okwewaggula

    [46] (Katonda) naagamba nti temutya mazima nze ndi wamu nammwe mpulira era ndaba

    [47] Kale nno mugende gyali mwembiriri mumugambe nti mazima ffe fembi tuli babaka ba Mukama omulabiriziwo, tuleke tugende n'abaana ba Israil era tobabonyaabonya. Mazima tukujjidde n'ekyamagero okuva ewa Mukama omulabiriziwo, era bulijjo emirembe gibeera ku oyo agoberera obulungamu

    [48] Mazima ffe tuweereddwa obubaka nti, mazima ebibonerezo bibeera ku oyo yenna alimbisa naava ku kituufu

    [49] (Oluvanyuma bombi baatuuka ewa Firaawo), naagamba nti owange Musa olwo ani Mukama omulabirizi wa mmwe mwembiriri

    [50] (Musa) naagamba nti Mukama omulabirizi waffe y'oyo eyawa buli kintu obutonde bwakyo, oluvanyuma naakirungamya (ku ngeri gye kiteekwa okuwangaalamu)

    [51] (Firaawo) naagamba (bwe guba bwe gutyo) emirembe egyakulembera gyo gibalibwa gitya

    [52] (Musa) naagamba nti ebigifaako biri wa Mukama omulabirizi wange nga biri mu kitabo (byawandiikibwa dda), Mukama omulabirizi wange takola kikyamu era teyeerabira

    [53] (Omulabirizi wange) oyo eyabateerawo ensi nga kyaliiro, naabateera mu yo amakubo, era nassa okuva waggulu amazzi netumeza nago emitendera ebiri mu bimera ebitali bimu

    [54] (Netugamba nti) mulye era mulunde ebisolo bya mmwe. Mazima mu ekyo mulimu obubonero eri ab'amagezi

    [55] Mulyo (ettaka) mwe twabatonda era mulyo mwe tubazza era mulyo mwe tulibaggya omulundi omulala

    [56] Era mazima twamulaga (Firaawo) obubonero bwaffe bwonna naalimbisa era naagaana

    [57] (Firaawo) naagamba nti owange Musa ekikuleese kutuggya mu nsi yaffe olw'eddogolyo

    [58] Kale nno naffe tujja kukuleetera eddogo eriringa lyo, teeka wakati waffe naawe endagaano, gye tutajja kwawukanako ffe wadde ggwe, (tusisinkane mu) kifo ekikiriziganyiziddwako (enjuyi zombi)

    [59] (Musa) naagamba nti endagaano yammwe (tusisinkane) olunaku lw'okwenyiriza, era abantu balagirwanga okukungaana mu kalasa mayanzi

    [60] Olwo nno Firaawo yavaawo, naagenda n’agattagatta enkwe ze oluvanyuma najja (ku lunaku olulagaanye)

    [61] Musa naabagamba (abalogo) nti: nga mulabye nnyo! Temutemerera Katonda obulimba naabasanyawo, n'ebibonerezo, era bulijjo afaafaaganirwa oyo agunjawo obulimba

    [62] (Abalogo), ekigambo kyabwe nebakyawukanamu wakati waabwe, wabula olukiiko lwali mu kyama

    [63] Nebagamba nti mazima bano bombi balogo, baagala babaggye mu nsi yammwe, olw'eddogo lyabwe bombi era baggyewo enkola ya mmwe ennungi

    [64] Musse kimu mu kusalawo kwa mmwe, olwo nno mulumbe nga muli lunyiriri lumu, era mazima anaawangula olwa leero y'anaaba yeesiimye

    [65] Nebagamba nti owange Musa ggwe (osooka) okusuula omuggo oba ffe tube abasooka okusuula

    [66] (Musa) naagamba nti wabula mmwe musuule, okugenda okulaba nga emiguwa gyabwe n'emiggo gyabwe, olw'eddogo lyabwe nga gimulabikira nti mazima ddala gitambula

    [67] Musa naafuna okutya mu mutima gwe

    [68] Netumugamba nti totya, mazima, ggwe ajja okuwangula

    [69] Era suula ekyo ekiri mu mukono gwo ogwa ddyo (nga gwe muggo), gujja kumira ebyo bye bakoze. Anti mazima ddala bye bakoze nkwe za mulogo ate nga omulogo buli waaba tawangula

    [70] (Bwe yakola ekyo) abalogo bonna nebagwa nga bavunnama, nebagamba nti tukkirizza Mukama omulabirizi wa Haruna ne Musa

    [71] (Firaawo) naagamba nti, mumukkirizza mutya nga sinnaba kubakkiriza, (kirabika) nti mazima yye ye mukulu wa mmwe oyo eyabayigiriza eddogo, n'olwekyo nja kutemerako ddala emikono gyammwe n'amagulu gammwe, (ngantema) omukono ogwa ddyo n'okugulu okwa kkono, era nja kubabamba ku ndoddo z'emitende, era mugenda kumanyira ddala nti ani ku fenna asinza ebibonerezo era ow'okusigalawo

    [72] (Abalogo) nebagamba tetujja kukulembeza ku mazima ameeyolefu, agamaze okutujjira, wadde okukulembeza ku oyo eyatonda, kale ggwe, salawo kyosalawo, mazima osobola kusalawo ku buno obulamu obw'ensi

    [73] Mazima ffe tukkirizza Mukama omulabirizi waffe, abe nga atusonyiwa ebisobyo byaffe, era atusonyiwe ebyo byotuwaliriza okukola eby'eddogo, era bulijjo Katonda y'asinga obulungi era ow'okusigalawo

    [74] Mazima oyo yenna alijja nga mwonoonyi ewa Mukama omulabiriziwe, mazima agenda kuyingira omuliro Jahannama tagenda kufa nga ali mu gwo wadde okubeera omulamu

    [75] Ate oyo alimujjira nga mukkiriza, era nga yakola emirimu emirongoofu, abo bagenda kuweebwa amadaala aga waggulu

    [76] (Amadaala ago) e jjana ez'olubeerera, nga emigga gikulukutira wansi waazo, baakutuula mu zo obugenderevu, era eyo y'empeera y'oyo eyeetukuza

    [77] Era mazima twatumira Musa nti, tambula ekiro n'abaddu bange (abaana ba Israil) obakubire ku nyanja ekkubo ekkalu, totya (mulabe) kubasanga, era totya (nyanja kubasaanyawo)

    [78] Olwo nno Firaawo yabagoberera n'eggyerye, olwo nebabikkibwa amazzi ago (Katonda) geyasalawo gababikke

    [79] Bwatyo Firawo yabuza abantube era (naye) teyalungama

    [80] Abange abaana ba (Israil) mazima twabawonya omulabe wa mmwe, era twabalagaanyisa mu kifo ekiri ku ludda olwa ddyo ku lusozi, (wetwayogerera ne Musa era wetwamuweera Taurat) era twabassiza Manna ne Saliwa (ekisooka mmere ekirala nva)

    [81] (okwo netwongerako nti), mulye mu buli kirungi mu ebyo bye tubagabira temusukka ekikomo mu kwo (okulya) nemukakatwako obusungu bwange, era bulijjo oyo yenna gwe bukakatako obusungu bwange aba abuze

    [82] Era mazima nze ndi musonyiyi, eri oyo eyeenenya naakola emirimu emirongoofu, ate bulijjo naabeera ku bulungamu

    [83] (Musa bwe yatuuka ku lusozi, Katonda naamugamba nti) owange Musa, kiki ekikwanguyizza nooleka abantu bo

    [84] Naagamba nti bo, baabo bangoberera, nze nyanguye okujja gyoli Mukama omulabirizi wange, obe nga osiima

    [85] (Katonda) naagamba nti, mazima twakemye abantubo nga ovuddeyo, Saamiriyyu naababuza

    [86] Olwo nno Musa nadda eri abantu be, nga musunguwavu nga mwennyamivu, naagamba nti abange bantu bange. Abaffe Mukama omulabirizi wa mmwe teyabalagaanyisa endagaano ennungi, ekiseera ekiragaane kye kyabawanvuwako, oba mwayagala mutuukibweko obusungu okuva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe, olwo nno nemuva ku ndagaano yange

    [87] Nebagamba nti: Endagaanoyo tetwagivuddeko lwa kweyagalira kwaffe, wabula mazima ffe twatikkiddwa ebizito mu by'okwewunda bya bantu ba (Firaawo) olwo nno netubikasuka ( mu muliro) bwatyo Saamiriyyu bwe yasudde

    [88] Olwo (Saamiriyyu) naabakoleramu ennyana erina omubiri, era nga engonga, nebagamba nti ono ye Katonda wa mmwe, era Katonda wa Musa wabula Musa yeerabidde, (naagenda so nga Katonda yamulese wano)

    [89] Abaffe tebaalaba nti ennyana eyo, yali tesobola kubaddamu kigambo kyonna, era nga tefuga kubatuusaako kabi wadde omugaso

    [90] Ate nga mazima Haruna yali amaze okubagamba mu kusooka nti abange bantu bange, mazima mukemeddwa olweyo (ennyana), era mazima Mukama omulabirizi wa mmwe, ye Katonda omusaasizi kale nno mungoberere era mugondere ekiragiro kyange

    [91] Nebagamba nti, tetugenda kulekayo kugisinza, okutuusa Musa lwanadda gye tuli

    [92] (Musa bwe yakomawo) yagamba nti owange Haruna bwe walabye nga babuze ki ekyakugaanye

    [93] Okungoberera (n'obanenya nga bwenkoze) abaffe wajeemedde ekiragiro kyange

    [94] (Haruna) naagamba nti owange mwana wa nnyabo tonsika kirevu, wadde omutwe gwange, mazima nze natidde ggwe okugamba nti, wayawukanyizza abaana ba Israil, nootalinda kigambo kyange

    [95] (Musa) naagamba nti ate ggwe Saamiriyyu, kiki ekyakukozesezza ekyo

    [96] (Saamiruyyi) naagamba nti nalabye kye bataalabye olwo nno nenjoola olubatu lw'ettaka omubaka (Jiburilu) weyayise, nenkolamu ennyana nze bwentyo bwe nnalabye

    [97] (Musa) naagamba nti kale genda, mazima ossiddwako ekibonerezo mu bulamu obw'ensi, ekya tewali kukwataganako, era mazima oweereddwa ekiseera ekigere, togenda ku kyawukanako era tunula (olabe) Katondawo oyo gwe wamaliddeko ebiseera nga osinza, oluvanyuma tugenda kumumansira ddala mu mazzi olumansa

    [98] Mazima Katonda wa mmwe ye Katonda oyo awatali kisinzibwa kyonna (mu butuufu) okugyako yye, yamalayo buli kintu kyonna mu kumanya

    [99] Bwe kityo tukutegeeza amawulire agakwata ku bya kulembera era mazima twakuwa okuva gye tuli ekijjukizza (Kur’ani)

    [100] Omuntu agyawukanako mazima agenda kwetikka ku lunaku lw'enkomerero ebibi (ayingizibwe omuliro)

    [101] Baakutuula mu gwo olubeerera, omugugu gwabwe ku lunaku lw'enkomerero gugenda kubeera mubi

    [102] Olunaku engombe lwe rifuuyibwa, era ku lunaku olwo tugenda kukungaanya aboonoonyi nga amaaso gabatwaakadde

    [103] Baliyogeraganya mu bwama, nga bagamba nti: tetumaze ku nsi okugyako ennaku kkumi (zokka)

    [104] Ffe tusinga okumanya bye boogera, mu kiseera abasinga okutegeera bwe baagamba nti temwatuula ku nsi okugyako olunaku lumu lwokka

    [105] Bakubuuza ekirituuka ku nsozi, gamba nti Mukama omulabirizi wange agenda kuzisaanyaawo olusaanyawo (zibe nga enfuufu)

    [106] Olwo nno agireke nga museetwe nga nkalu

    [107] Nga tolaba mu yo makoona wadde obutunnumba

    [108] Olunaku olwo baligoberera omukoowooze awatali kuwalira, amaloboozi gonna negakkakkanira Katonda, togenda kuwulira mpozzi olukwakwayo (lwokka)

    [109] Ku lunaku olwo okuwolereza tekugenda kugasa, okugyako oyo Katonda omusaasizi gwaliba akkirizza era naasiima byayogera

    [110] (Katonda) y’amanyi ebiri mu maaso gaabwe, n'ebiri emabega waabwe ate tebayinza kubimanya nebabimalayo

    [111] Ebyenyi bigenda kugondera oyo (Katonda) omulamu, eyeeyimirizaawo yekka, mazima aliba aweebuuse oyo alyetikka okweyisa obubi

    [112] Ate oyo akola emirimu emirongoofu nga naye mukkiriza, talitya kulyazaamaanyizibwa, era nga era bwatagenda kutya kunyigirizibwa

    [113] Mu ngeri bwetyo, twagissa Kur’ani nga eri mu lulimi luwarabu, netunnyonnyola mu yo buli kika kya bitiisa, olwo nno babe nga batya Katonda, oba bafune okubuulirirwa

    [114] Wa waggulu nnyo Katonda omufuzi owa mazima, (gwe Muhmmad) toyanguyiriza noosoma Kur’ani nga obubaka obukuweebwa tebunnagwayo, era gamba nti ayi Mukama omulabirizi wange nyongera okumanya

    [115] Era mazima twakozesa Adam oluberyeberye endagaano, kyokka neyeerabira era tetwamusangamu bunywevu (obutakola ebyo ebyamugaanibwa)

    [116] Era jjukira ekiseera bwe twagamba ba Malayika nti muvunnamire Adam nebavunnama okugyako Ibuliisu (Sitane) yagaana

    [117] Netugamba nti owange Adam mazima ono (Sitane) mulabewo, era mulabe wa Mukyalawo, temukkirizanga naabafulumya mu jjana nemwonooneka

    [118] Mazima olina ggwe, obutawulira njala mu yo, (e jjana) wadde okuyita obwereere

    [119] Era nti mazima ggwe, togenda kuwulira nyonta, nga oli mu yo wadde okwokebwa omusana

    [120] Sitane yamulabankanya, naamugamba nti owange Adam, abaffe nkulagirire omuti oguwa obulamu obw'olubeerera, n'obufuzi obutaggwaawo

    [121] Olwo nno (Adam ne Haawa) nebalya ku muti, obwereere bwabwe nebubalabikira, nebatandika okwebikka ebikoola byo mu jjana, era nekiba nti Adam yajeemera Mukama omulabiriziwe naabula

    [122] Oluvanyuma Mukama omulabiriziwe, yamusembeza nakkiriza okwenenyakwe era naamulungamya

    [123] (Katonda) naagamba nti mwenna mugiveemu (mwe ababiri ne sitaane), abamu mu mmwe baliba balabe ba bannaabwe naye bwe buliba bubajjidde obulungamu, okuva gyendi oyo yenna aligoberera okulungamya kwange, tagenda kubula, wadde okwonooneka

    [124] Ate oyo ava ku kubuulirira kwange, mazima abeera mu bulamu obunyiga, ate ku lunaku lw'enkomerero tugenda kumuzuukiza nga muzibe

    [125] Aligamba nti ayi Mukama omulabirizi wange, lwaki onzuukizza nga ndi muzibe, nga ate mazima nali ndaba

    [126] (Katonda) naagamba nti bwe kityo, ebigambo byaffe byakujjira noobyerabira, mu ngeri y'emu olwa leero werabiddwa

    [127] Bwe kityo bwe tusasula oyo eyayonoona naatakkiriza bigambo bya Mukama omulabiriziwe, ate nga lubeerera ebibonerezo by'o ku lunaku lw'enkomerero, bye bisinga obukakali era bye by'olubeerera

    [128] Abaffe tekibayigiriza, eky'okuba nti emirembe emeka gye twazikiriza oluberyeberye lwabwe (bano), nga batambula mu bitundu bya bali (betwazikiriza) mazima mu ekyo mulimu eby'okuyiga eri ab'amagezi

    [129] Era singa si kigambo ekyakulembera nga kyava ewa Mukama omulabiriziwo, era singa tekiri nti entuuko ya buli omu ngere olwo kyandibadde kikakafu (okubazikiriza)

    [130] Kale nno gumiikiriza ku ebyo bye boogera, era otendereze ebitendo bya Mukama omulabiriziwo, nga enjuba tennavaayo n'era nga tennagwa, era ne mu kiseera ky'ekiro mutendereze ne ku ssaawa ez'emisana olwo nno obeere mu basiima

    [131] Era totunuzanga amaaso go eri ebyo bye tweyagaza nabyo abaafumbiriganwa mu bo (abakaafiiri), nga bya kwewunda bya bulamu bwansi, tubakeme nabyo. Era bulijjo okugabirira kwa Mukama omulabiriziwo kwe kusinga obulungi era kwe kw'olubeerera

    [132] Era lagira abantu bo okusaala, era ogumiikirize ku kwo (okusaala), tetukusaba nti weegabirire, ffe tukugabirira. Enkomerero eri mu kutya Katonda

    [133] Era (abakaafiiri) bagamba nti singa atuleetera akabonero okuva ewa Mukama omulabiriziwe, naye abaffe tebwabajjira obunnyonnyofu, bw'ebyo obuli mu bitabo ebyasooka

    [134] Era singa twabazikiriza n'ebibonerezo oluberyeberyelwe, (Nabbi Muhammad nga tannatumwa) bandigambye nti ayi Mukama omulabirizi waffe, singa watutumira omubaka, olwo nno netugoberera ebigambo byo, netutatuuka ku kukkakkanyizibwa netuswaala

    [135] Gamba nti buli omu alindiridde, kale mulindirire, lumu mulimanya, baani abaali ku kkubo eggolokofu, era ani yalungama

    Bannabbi

    Surah 21

    [1] Kusemberedde abantu okubalibwa kwa bwe nga bo bali mu butafaayo, era nga bo bakola byennyume

    [2] Tewali kujjukiza kwonna kubajjira okupya okuva ewa Mukama omulabirizi waabwe okugyako okuba nti bakuwuliriza nga bwe bazannya

    [3] Emitima gya bwe nga miragajjavu, abo abeeyisa obubi ne boogera mu kyama nga bagamba nti, abaffe ono alina kyali okugyako okuba nti muntu nga mmwe, abaffe mugenda ku ddogo nga nammwe mulabira ddala

    [4] (Nabbi Muhammad) naagamba nti: Mukama omulabirizi wange amanyi ekigambo ekiri mu ggulu ne mu nsi era yye y'awulira ennyo, amanyi ennyo

    [5] (Wabula Abakaafiiri) baagamba nti: okwo kulogojjana mu kuloota oba ye yennyini yaabyegunjirawo, si nakindi yye mutontomi, (bwaba ayagala tukkirize byagamba) kale atuleetere akabonero nga abaasooka bwe baatumwa

    [6] Tewali kitundu kye twazikiriza nga abantu ba mu bakkiriza, abaffe bo be banakkiriza

    [7] Oluberyeberyelwo tetwatumanga okugyako basajja nga tubawa obubaka kale mubuuze abalina okumanya bwe muba nga temumanyi

    [8] Era tetwafuula (ba Nabbi) mubiri nga tebalya mmere (nga ba Malayika) era tebaali ba kubeera mu nsi lubeerera

    [9] Oluvanyuma twabatuukiririza endagaano (gye twabawa) netubawonya awamu n'abo be twayagala era netuzikiriza abaayonoona ekisukkiridde

    [10] Mazima twabassiza ekitabo (Kur’ane) nga kirimu okwogera ku kitiibwa kya mmwe abaffe temutegeera

    [11] Ebyalo bimeka bye twazikiriza ebyali byeyisa obubi olwo nno netuleeta abantu abalala (oluvanyuma lwa bwe)

    [12] Bwe baamala okumanya nti ebibonerezo byaffe bijja olwo nnonebabidduka

    [13] (Baagambibwa) nti temudduka era mudde eri ebyo bye mubadde mweyagaliramu era mudde mu mayumba gammwe luliba lumu mulibuuzibwa

    [14] Nebagamba nti: zitusanze mazima ffe twali tweyisa bubi

    [15] Okuwanjaga kwa bwe okwo kwali bwe kutyo okutuusa lwe twabafuula nga ennimiro ekunguddwa ne ggwawo

    [16] Tetwatonda eggulu n'ensi n'ebiri wakati wa byombi nga bya muzannyo

    [17] Singa twayagala kweteerawo muzannyo, twaligukoze mu bano abali eno gye tuli singa twali ba kukikola

    [18] Wabula tukasuka amazima ku bulimba negabuggyawo, olwo nno bwo nebuvaawo era mugenda kubonerezebwa olw'ebyo bye mwogera

    [19] Bibye ebyo byonna ebiri mu ggulu ne mu nsi, n'abo abali waali tebeekuluntaza ku kumusinza era tebakaluubirirwa

    [20] Batendereza (Katonda) emisana n'ekiro tebakoowa

    [21] Oba beeteerawo ba Katonda nga ba ku nsi nga bo be balizuukiza (abafu)

    [22] Singa (ensi n'eggulu) byalimu ba katonda abalala atali Katonda omu byombi byaliyonoonese, (ekyo nno kikulage) nti yasukkuluma Katonda Mukama omulabirizi wa Arishi kw'ebyo bye boogera

    [23] Tabuuzibwa ku byakola ate bo babuuzibwa

    [24] Abo bateekawo ba katonda ne baleka Katonda omu, gamba nti muleete obujulizi bwa mmwe (ku ekyo). Kuno kwe kubuulirira abali nange era kwe kubuulirira kw'abo abaakulembera wabula abasinga obungi mu bo (Abakaafiiri) tebamanyi mazima olwo nno bo bagakuba amabega

    [25] Era tetwatuma oluberyeberyelwo Mubaka yenna okugyako nga tumutumira obubaka nti tewali kisinzibwa kyonna (mu butuufu) okugyako nze (Katonda) kale munsinze

    [26] Era baagamba nti: Katonda ow'ekisa ekingi yeeteerawo omwana, musukkulumu (ku ebyo byonna) wabula (ba malayika bebamugattako) baddu abaweebwa ekitiibwa

    [27] Tebayinza kumukulembera na kigambo era bbo bakolera ku kiragirokye

    [28] Amanyi ebyo ebiri mu maaso gaabwe n'ebyo ebiri emabega waabwe, tebagenda kuwolereza okugyako oyo gwaliba asiimye nabo olw'okumutya beegendereza

    [29] Oyo yenna mubo agamba nti mazima nze ndi Katonda naaleka Katonda omu, oyo tugenda kumusasula omuliro Jahannama. Bwe tutyo bwe tusasula abeeyisa obubi

    [30] Abo abaakaafuwala tebakiraba nti mazima eggulu omusanvu n'ensi byali kitole netubyabuluzaamu era netuggya mu mazzi buli kintu ekiramu abaffe tebakkiriza

    [31] Era netussa mu nsi ensozi ebe nga tebayuuza era netussa mu yo amakubo kibayambe okumanya gye balaga

    [32] Era netufuula eggulu akasolya akakuumibwa, wabula bbo tebafaayo ku bya magero bya byo (ebya byonna ebyogeddwa waggulu)

    [33] Era (Katonda) yye yooyo eyatonda ekiro n'emisana n'enjuba n'omwezi buli kimu kiri mu bbanga (nga byonna) biwuga

    [34] Era tetuwanga muntu yenna oluberyeberyelwo buwangaazi obw'olubeerera, bwoba ofudde bo be b'okubeerawo olubeerera

    [35] Buli muntu wa kukomba ku kufa era tubagezesa n'obubi n'obulungi nga kikemo era gye tuli gye mulizzibwa

    [36] Abaakaafuwala bwe bakulaba tebakufuula okugyako eky'omuzannyo (ne bagamba) nti ono y'oyo ayogera ku bye musinza nga nabo bawakanya okwogera ku Katonda ow'ekisa ekingi

    [37] Omuntu yatondebwa nga ayanguyiriza nja ku balaga obubonerero bwange kale temunsaba kubanguyiriza bibonerezo

    [38] Era abakaafiiri bagamba nti ekiragaanyiso ekyo kiribaawo ddi bwe muba nga mwogera mazima

    [39] Abo abaakaafuwala singa bamanyi (ekiribaawo) mu kiseera we batalisobolera kuziyiza muliro kutuuka ku byenyi bya bwe wadde e migongo gya bwe, era nga tebagenda kutaasibwa

    [40] Wabula biribatuukako kibwatukira nebibakanga, tebalisobola kubizzayo era si baakulindirizibwa

    [41] Mazima ababaka (bangi) baagyejebwa olubereberyelwo, nebituuka ku abo abaabanyoomanga ebyo bye baalinga bajeeja. (Abo abaali babajeeja baatuukibwako ebibonerezo bye baali bajeeja)

    [42] Bagambe nti ani abakuuma ekiro n'emisana okubawonya ekyandibatuseeko okuva ewa Katonda ow'ekisa ekingi wabula bbo abatakkiriza beesamba okwogera ku Mukama omulabirizi waabwe

    [43] Abaffe balina ba katonda abalibawonya ku ffe abatali ffe (ba katonda baabwe bennyini) tebagenda kusobola kwetaasa era tebagenda kufuna gwe baliba naye abawonya ku ffe

    [44] Wabula twabawa bo ne bakitaabwe okweyagala, okutuusa obuwangaazi lwe bwabawanvuwako, abaffe tebalaba nti mazima ffe, tuddira ensi netugikendeeza okuva ku nsalo zaayo abaffe bo be b'okulema

    [45] Bagambe nti mazima mbatiisa nga nkozesa obubaka, wabula ba kiggala tebawulira kukoowoola bwe baba balabuddwa

    [46] So nga bwe balituukwako akatundu ku bibonerezo bya Mukama omulabiriziwo bagenda kugambira ddala nti zitusanze mazima ffe tubadde tweyisa bubi

    [47] Tugenda kussaawo minzane entuufu ezirikozesebwa ku lunaku lw'enkomerero, olwo nno tewali muntu aliryazaamaanyizibwa kintu kyonna, ne bwe kiriba kyenkana obuzito bwe mpeke ya khardali tugenda kukireeta. Kimala bumazi okuba nti ffe tuliba ababazi

    [48] Twawa Musa ne Haruna amateeka (Taurat) agaawula wakati wa mazima n'obulimba era nga kitangaaala era nga kya kubuulirira eri abatya Katonda

    [49] Abo abatya Mukama omulabirizi waabwe awamu n'okuba nga tebamulaba era nga nabo beeraliikirira ekiseera ky'enkomerero

    [50] Eno (k’urane) kubuulirira okw'omukisa kwe twassa, abaffe mugiwakanya

    [51] Mazima twawa Ibrahim obulungamubwe okuva oluberyeberye era twali tumanyi ebimukwatako

    [52] Jjukira bwe yagamba kitaawe n'abantu be nti: bifaananyi ki bino, ebyo mmwe bye mulemeddeko

    [53] Nebagamba nti twasanga bakadde baffe nga byebasinza

    [54] (Ibrahim) naagamba nti mazima mmwe ne bakadde ba mmwe mwali mu bubuze obw'olwatu

    [55] Nebagamba nti otuleetedde mazima oba oli mu ba kazannyirizi

    [56] Naagamba nti wabula Mukama omulabirizi wa mmwe, ye Mukama omulabirizi w'eggulu (omusanvu) n'ensi oyo eyabitonda nange ku ekyo ndi omu ku bajulizi

    [57] Era ndayira Katonda amasanamu ga mmwe nja kugasalira amagezi singa munaaba mugaleseewo ne mubaako wemulaga

    [58] (Yagabetenta) naagafuula bubajjo okugyako (essanamu) erigasinga obunene, olwo nno badde gye liri (lye baba babuuza)

    [59] (Bwe badda) nebagamba nti ani akoze kino ku ba katonda baffe, mazima yye ali mu beeyisa obubi

    [60] Nebagamba nti twawulidde omuvubuka ayitibwa Ibrahim nga agoogerako

    [61] Nebagamba nti kale mumuleete mu maaso g'abantu bamuweeko obujulizi

    [62] (Bwe baamutuusa) nebamugamba nti: Gwe wakoze kino ku ba katonda baffe owange Ibrahim

    [63] Naabagamba nti: nedda omukulu waabwe ono ye yakikoze, kale mubabuuze bwe baba nga baatula

    [64] Nebeetunulako nebagamba nti mazima mmwe, mmwe abeeyisa obubi

    [65] Ate oluvanyuma (lw'ekyo) beekyusa, (mu kifo ky'okwenenya baalemera ku bukaafiiri era nebagamba nti) mazima okimanyi nti amasanamu ago tegoogera

    [66] (Ibrahim) naagamba nti ate muva ku Katonda nemusinza ebitabagasa kantu konna wadde okubatuusaako akabi

    [67] Kivve ku mmwe, lwaki musinza ebintu ebirala nemuleka Katonda abaffe temutegeera

    [68] Nebagamba nti (oba bwatyo bwagamba) mumwokye mutaase ba katonda ba mmwe bwe muba nga mulina kye munaakola

    [69] Netugamba nti owange muliro beera bunnyogovu era mirembe ku Ibrahim

    [70] Baayagala okumukolera olukwe naye twabafuula abataalufunamu

    [71] Netumuwonya netuwonya ne Luutu netubatwala mu nsi gye twawa omukisa ku lw'ebitonde

    [72] Twamugabira Ishaka ne Yakubu nga nnyongeza, bonna twabafuula balongoofu

    [73] Era twabafuula abakulembeze nga balungamya olw'ekiragiro kyaffe, era twabatumira nti (bateekwa) okukola obulungi n'okuyimirizaawo e sswala n'okutoola zzaka era baali batusinza

    [74] Ne Luutu twamuwa okusengejja ensonga n'okumanya era twamuwonya netumuggya mu kitundu ekyali kikola ebyonoono mazima bo baali bantu ba kibi aboonoonyi

    [75] Era twamuyingiza mu kusaasira kwaffe mazima yye wa mu balongoofu

    [76] Era (mujjukire) Nuhu bwe yasaba oluberyeberye nga abantu (bamulemeredde) netwanukula okusaba kwe netumuwonya wamu n’abantube mu kabi akanene

    [77] Netumutaasa ku bantu abo abaalimbisa ebigambo byaffe, mazima bbo baali bantu ba kibi netubazikiriza bonna

    [78] Era mujjukire Dauda ne Sulaiman mu kiseera bombi bwe baalamula omusango ogukwata ku nnimiro, embuzi z’abantu bwe zaaliiramu, era ku kulamula kwabwe twali bajulizi

    [79] (Omusango ogwo) twawa Sulaiman okutegeera obulungi, naye buli omu twamuwa okugoba ensonga n’okumanya, era twagondeza Dauda ensozi nga zitendereza, n’ebinyonyi bwe bityo, (buli lwe yatenderezanga nga nabyo bitendereza). Era ebyo twali tusobolera ddala okubikola

    [80] Era twamuyigiriza okukola ebyambalo bya mmwe (eby'entalo) biryoke bibakuume ku buzibu bwa mmwe, abaffe mmwe mwebaza

    [81] Era Sulaiman twamugondeza empewo ekungunta nga etambulira ku kiragirokye neEgenda eri ensi eyo gye twawa omukisa. Era twali tumanyi buli kintu

    [82] Ne mu zi Sitane mwalimu ezibbira mu nnyanja ku lulwe nga zikola n'emirimu emirala egitali ogwo era ffe twazikuumanga

    [83] Era (jjukira) Ayubu bwe yakoowoola Mukama omulabiriziwe nti mazima nze ntuukiddwako obuzibu, era ggwe musasizi asinga abasaasizi bonna

    [84] Twamwanukula (okusaba) kwe netumuggyako obuzibu obwali bumutuuseeko netumuwa abantube (abaali bafudde) netumuwa n’abalala awamu nabali, ekyo nga kusaasira okuva gye tuli era nga kya kubuulirira eri abasinza (Katonda)

    [85] Era (jjukira) Ismail ne Idrisa ne Zulikifuli bonna ba mu bagumiikiriza

    [86] Era twabayingiza mu kusaasira kwaffe mazima bo ba mu balongoofu

    [87] Era (jjukira) ekyafaayo kya nannyini kyenyanja (Yunus) bwe yagenda nga musunguwavu naalowooza nti tetugenda kumusobola, ate bwe yamala okubeera mu kizikiza yakoowoola nti tewali kisinzibwa kyonna okugyako ggwe wasukkuluma (Mukama wange) mazima nze mbadde mu beeyisa obubi

    [88] Awo nno twayanukula okusabakwe ne tumuwonya okweraliikirira, era bwe tutyo bwe tuwonya abakkiriza

    [89] Era jjukira Zakaria bwe yakoowoola Mukama omulabiriziwe (naagamba nti) ayi Mukama omulabirizi wange tondeka bwannamunigina (ne bwompa ezzadde nsigala ndi mukkiriza) anti ggwe osinga abasigalawo bonna

    [90] Awo nno twayanukula okusabakwe, era netumuwa Yahaya netusobozesa mukyalawe okuzaala, mazima bbo baalinga bettanira okukola ebirungi era nga batusaba ku lw'okwagala okufuna ebirungi bye tulina ne ku lw'okutya ebibonerezo byaffe era baalinga batugondera

    [91] Era (jjukira) ekyafaayo ky'omukyala (Mariyamu) oyo eyakuuma obwereerebwe olwo nno netumufuuwamu omwoyo ogwava gye tuli netumufuula yye n’omwanawe nga kya kulabirako eri ebitonde byonna

    [92] Mazima kino ekibiina kyammwe kiri ekibiina kimu nange nze Mukama omulabirizi wa mmwe kale munsinze

    [93] (Naye abantu) baayawukana mu kigambo ky'eddiini yaabwe wakati waabwe (wabula) bonna gye tuli gye bagenda okudda

    [94] Oyo akola omulimu omulungi gwonna nga mukkiriza tayinza butasasulwa olw'okutakabanakwe era mazima tumuwandiikira (emirimugye)

    [95] Kizira ku kitundu kyonna kye twazikiriza (okudda ku nsi) mazima bo tebayinza kudda

    [96] Okutuusa nga Yaajuuja ne Majuuja bagguliddwa era nga nabo bagenda kufukumuka nga bava mu buli kkubo

    [97] Endagaano eya mazima neba nga esembedde olwo nno oligenda okulaba nga amaaso gaabo abaakaafuwala galalambadde (olw'entiisa nebagamba nti) zitusanze ekintu kino tubadde tukigayaaliridde si kyokka wabula tubadde tweyisa bubi

    [98] Mazima mwe n'ebyo bye musinza nemuva ku Katonda mugenda kubeera nku za Jahannama (omuliro) mwe muli ba kuguyingira

    [99] Singa ebyo (bye musinza) nga baali ba Katonda ddala tebyandiguyingidde naye bonna ba kugubeeramu bugenderevu

    [100] Balituukibwako nga bali mu gwo okuyiriitira era tebagenda kuwulira nga bali mu gwo

    [101] Mazima abo be twamanya edda nti bagenda kubeera balongoofu abo nno bagenda kubeera wala n’omuliro

    [102] Tebagenda kuwulira lukwakwayo lwa gwo era mazima bo ku ebyo emyoyo gya bwe gye byagala ba kubeera mu byo obugenderevu

    [103] Ebikangabwa ebisinga okuba ebyamanyi tebigenda kubatiisa, ba Malayika balibaaniriza nga babayozaayoza nti luno lwe lunaku lwa mmwe olwo lwe mwali mulagaanyisibwa

    [104] Olunaku lwe tulizingako eggulu nga eggwandiikiro bwe rizingako ebiwandiiko. Mu ngeri y'emu nga bwe twatandika ebitonde bwe tugenda okubizikiriza, nga kikakafu ku ffe anti mazima ekyo tusobolera ddala okukikola

    [105] Mazima twawandiika mu Zaburi oluvanyuma lw'okuwandiika ku Lauhil Mahfuudhwi nti mazima ensi egenda kusikirwa abaddu bange abalongoofu

    [106] Mazima ebyo, (ebyogeddwako wano) kwe kubuulirira okwannamaddala eri abantu abasinza Katonda

    [107] Tetwakutuma ggwe (Nabbi Muhammad) okugyako nga oli kya kusaabira eri ebitonde

    [108] Bagambe (Ggwe Nabbi Muhammad) nti mazima mpeebwa obubaka (nga obubaka bugamba) nti: mazima Katonda wa mmwe ali Katonda omu, abaffe mmwe munaasiramuka

    [109] Kale nno bwe bamala nebaawukana ku ekyo, (nebatasiramuka) olwo nno ggwe bagambe nti mwenna mbawulizza kyenkanyi (nga tewali gwe ndeseeyo) era siri nze amanyi nti bye mulagaanyisibwa biri kumpi oba biri wala

    [110] Mazima yye (Katonda) amanyi bye mwolesa nga mwogera era nga bwamanyi n'ebyo bye mukweka

    [111] Era simanyi obanga (okubalindiriza n'atabakangavvulirawo) nga kikemo gye muli era nga kubaleka kweyagala okutuusa ebbanga eggere

    [112] (Nabbi Muhammad) naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange salawo mu butuufu (wakati wange n'abo abannimbisa) era Mukama omulabirizi waffe omusaasizi ow'ekisa ekingi gwe tusaba obuyambi ku ebyo bye mwogera

    Okulamaga

    Surah 22

    [1] Abange mmwe abantu, mutye Mukama omulabirizi wa mmwe anti mazima okukankana (kw'ensi) nga enkomerero etuuse kiriba kintu kinene nnyo

    [2] Olunaku lw'olikulaba (okukankana) buli Mukyala muzadde talissa mwoyo ku mwana (gwe yazaala) n'ayonsa, ate buli aliba alina olubuto lugenda kuvaamu, era oliraba abantu nga balinga abatamidde so nga tebatamidde (ekiribatuusa ku ekyo) lwa kuba nti mazima ebibonerezo bya Katonda biyitirivu

    [3] Mu ba ntu mulimu awakana ku bikwata ku Katonda nga talina kumanya kwonna, n'aba nga agoberera kyewaggula Sitane

    [4] (Sitane) kyamuwandiikwako nti ddala buli amwewa mazima yye amubuza era n'aba nga amuzza eri ebibonerezo by'omuliro

    [5] Abange mmwe abantu bwe muba nga mulina okubuusabuusa ku kuzuukira (mukimanye) nti mazima ffe twabatonda nga tubajja mu ttaka (okusinziira ku jajja mmwe Adam nga bwe yatondebwa) oluvanyuma (ne tuba nga) tubatonda mu mazzi agazaala nate oluvanyuma netubajja mu kisaayisaayi oluvanyuma ekifuuka ekinyamanyama ekituukiridde mu butonde bwakyo n'ekitatuukiridde olwo nno tube nga tubalaga (obuyinza bwaffe) olwo nno netukuumira mu nnabaana ekyo kye tuba twagadde okumala ebbanga eggere oluvanyuma tubafulumya nga muli bawere ate oluvanyuma mube nga mufuuka abakulu, ne mu mmwe mulimu abafa (nga bakyali) era mu mmwe mulimu abazzibwayo eri obuwangaazi obusinga okuba obunafu (n'akaddiwa nga takyesobola) n'aba nga takyasobola kumanya kintu kyonna oluvanyuma lw'okuba nga yali amanyi (ekirala ekiraga nti okuzuukira kulibaayo) ogenda noolaba ensi ng'ekaze naye ketugitonnyesaako enkuba edda buto n'etinta n'emeza buli mutindo gwa bimera ebirungi

    [6] Ekyo nno lwakuba nti mazima Katonda yye ye w'amazima era mazima yye agenda kulamusa abafu. Era nti mazima yye muyinza ku buli kintu

    [7] Era nti mazima essaawa ey'enkomerero ejja, teriimu kubuusabuusa era nti mazima ddala Katonda agenda kuzuukiza abali mu kabbuli

    [8] Mu bantu mulimu oyo awakanya ebikwata ku Katonda nga tasinziira ku kumanya wadde okulungamizibwa oba ekitabo ekiraga obutangaavu

    [9] (Mu ngeri y’okulengezza n’okwekuza) aweta ensingoye abe nga ajja abantu ku kkubo lya Katonda, atuusibwako okuswazibwa mu nsi era tugenda kumukombesa ku lunaku lw'enkomerero ku bibonerezo ebyokya

    [10] (Aligambibwa nti) ekyo kikutUuseeko olw'ebyo e mikonogyo bye gyakola edda (ku nsi) era mazima Katonda talyazAamaanya baddu

    [11] Ne mu bantu mulimu asinza Katonda ng'ali ku ndeboolebo (ya bukkiriza) n'olwekyo bwatuukibwako ekirungi akkalira nakyo ate bwatuukibwako ekikemo oba okugesezebwa atalantuka n'agwira ku kyenyikye (naava ku ddiini) olwo nno naafiirwa ensi n'enkomerero okwo kwe kufaafaaganirwa okw'olwatu

    [12] Alekawo Katonda n'aasinza ebyo ebitamutuusaako kabi era ebitamutuusaako mugaso okwo kwe kubula okwewala

    [13] Asaba oyo akabiike nga ke kali okumpi okusinga omugasogwe, mubi nnyo asuubirwa okutaasa era mubi nnyo asuubirwa okuba nga ye w'omukwano

    [14] Mazima Katonda agenda kuyingiza e jjana abo abaakola emirimu emirungi, nga emigga gikulukutira wansi, waazo, mazima Katonda akola ekyo kyaba ayagadde

    [15] Omuntu alowooza nti Katonda tagenda kutaasa Mubakawe kuno ku nsi ne ku nkomerero kimugwanidde akasuke omuguwa waggulu ku kasolya oluvanyuma yeerippe (yeetuge) olwo nno alabe abaffe byakola bisobola okumuwonya byatayagala

    [16] (Katonda nga bwe yannyonnyola obuyinzabwe mu kusobola okuzuukiza abafu), mu ngeri y'emu annyonnyola engeri gye yassaamu Kur’ani naagamba nti) era bwe tutyo twagissa (Kur'ani) nga bigambo ebinnyonnyola (obulungi) era mazima Katonda alungamya gwaba ayagadde

    [17] Mazima abo abakkiriza (Nabbi Muhammad) n'abakkiriza eddiini ye Kiyudaaya (ku mulembe gwayo) n'abatasinza masanamu (nga Nabbi Muhammad tannatumwa) n'abakkiriza mu ddiini ye Kikurisitaayo (ku mulembe gwayo) n'abo abasinza omuliro, n'abo abagatta ku Katonda ebintu ebirala mazima Katonda agenda kusalawo wakati waabwe (ku ebyo bye baali basinza) ku lunaku lw'enkomerero. Anti mazima Katonda ku buli kintu mujulizi

    [18] Abaffe tolaba nti mazima Katonda bamuvunnamira abali mu ggulu omusanvu n'abo abali mu nsi n'enjuba n'omwezi n'emunyenye n'ensozi n'emiti n'ebisolo, nga n'abantu bangi nnyo (abamuvunnamira), era nga n'abantu bangi bakakatwako ebibonerezo (olwo butamuvunnamira) era omuntu Katonda gwaba ataddeko okunyoomebwa kale tayinza kufuna amussaamu kitiibwa. Anti mazima Katonda akola ekyo kyaba ayagadde

    [19] Bino ebibinja by'abantu ba mirundi ebiri baayawukana mu kutongoza Mukama omulabirizi waabwe, kale nekibeera nga, abakaafuwala batungirwa engoye nga za mu muliro nga bagenda kufukirirwa ku mitwe gya bwe amazzi ag'olwegye

    [20] Nga amazzi ago birisaanusibwa nagwo ebiri mu mbuto zaabwe n'amaliba gaabwe

    [21] Era nga bagenda kukubwanga ennyondo ezaakolebwa mu kyuma

    [22] Buli bwe baliba baagala okufuluma mu muliro ogwo ku olw'obulumi obulibatuukako mu gwo nga bazzibwa mu gwo (nga bagambibwa nti) era mukombe ku bukaawu bwe bibonerezo by'omuliro ogwokya ennyo

    [23] Mazima Katonda agenda kuyingiza mu jjana abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu nga emigga gikulukutira wansi waazo. Nga bali mu zo, balyambazibwa ebikomo ebya zaabu ne Luulu nga n'engoye zebagenda okwambala ziriba za Siliki

    [24] Era nga baalungamizibwa (ku nsi) eri ekigambo ekisinga obulungi (eky'okwawula Katonda n'okumusuuta) era nga balungamizibwa eri ekkubo eritenderezebwa

    [25] Mazima abo abaakaafuwala era nebaziyiza abantu ku kkubo lya Katonda n’omuzikiti gw'emizizo ogwo gwe twateerawo abantu nga omutuuze weguli n'owewala bonna benkana, omuntu yenna ayagala okukoleramu obukyamu tumukombya ku bibonerezo ebiruma ennyo

    [26] Era jjukira ekiseera bwe twalaga Ibrahimu ekifo ky'enyumba (Kaaba), era ne mugamba nti tongattangako ekintu kyonna era tukuza e nyumba yange eri abagyetooloola n'abayimiriramu n'abakutama abavunnama (nga basaala)

    [27] Era koowoola abantu baggye okukola Hijja, bagenda ku kujjira abatambuza ebigere, n'abalijjira ku nsolo enkovvu nga bava mu buli kkubo eryewala

    [28] Bagende balabe ebibagasa, era batendereze erinnya lya Katonda mu nnaku ezimanyiddwa olw'ebyo bye yabagabira mu bisolo eby'awaka (ebirundibwa) kale mulye ku byo era muliise omwetaavu omwavu

    [29] Ekyo nga kiwedde babe nga bamaliriza emikolo gya bwe era batuukirize bye beeyama era betooloole e nyumba kaasangwawo

    [30] Ebyo (babikola lwa kuwa Mukama Katonda kitiibwa) era bulijjo buli yenna agulumiza emizizo gya Katonda ekyo kye kirungi gyali mu maaso g'a Mukama omulabiriziwe. Era mwakkirizibwa okulya (ennyama y'e) bisolo ebirundibwa, okugyako ebyo ebibasomerwa mu ngeri y'emu mwewale amasanamu olw'obubi bwago, era mwewale ebigambo ebitemerere

    [31] Mulina kubeera abeewa Katonda yekka nga temumugattako kintu kirala kyonna, oyo yenna agatta ku Katonda ekintu ekirala aba nga awanuse waggulu ebinyonyi nebimusikula oba empewo neemusuula mu kifo eky'ewala ennyo

    [32] (Ebyo eby'okukola Hijja n'okusala ebisolo biragiro bya Katonda) era bulijjo omuntu agulumiza obubonero bwa Katonda mazima ekyo kibalibwa mu bikolwa by'emitima egitya Katonda

    [33] Mulina mu byo (ebirabo bye muwaayo mu Hijja) emigaso (nga okubyebagala n'okunywa amata gaabyo) okutuusa ebbanga eggere, oluvanyuma ekifo wezirina okusalirwa kwe kuba nga zituuka awali e nyumba kaasangwawo

    [34] Buli bantu twabateerawo emikolo gy'okusaddaaka ebisolo balyoke babe nga boogera ku linnya lya Katonda olw'ebyo bye yabagabira mu bisolo ebirundibwa, yye Katonda wa mmwe ali Katonda omu, yye gwe muba mu siramuka ku lulwe, era sanyusa (ggwe Muhammad) abo abatebenkedde (ku kusinza Katonda)

    [35] (Bo) beebo, Katonda buli lwayogerwako emitima gya bwe gitya era abagumiikiriza ku ebyo ebiba bibatuuseeko era abayimirizaawo e sswala era abawaayo ku ebyo bye tubagabira

    [36] Ne ngamiya twazibateerawo nga za mu bubonero bwa Katonda, mulina mu zo ebirungi, kale muzoogerereko erinnya lya Katonda nga muziteeseteese okuzisala (bwe muzisiba okugulu okumu nezisigala nga ziyimiridde ku asatu) olwo nno embuto zaazo bwe zigwa ku ttaka mukkirizibwa okuzirya, era muliiseeko atalina n'omwetaavu, bwe tutyo twazibagondeza mube nga mwebaza

    [37] Ennyama ya zo n'omusayi gwa zo tebituuka ku Katonda naye atuukwako okumutya okuva mu mmwe, bwatyo yazibagondeza mube nga mutendereza Katonda olw'ebyo bye yabalungamyamu era sanyusa abalongoosa

    [38] Mazima Katonda alwanirira abo abakkiriza, mazima Katonda tayagala oyo yenna omukumpanya omuwakanyi

    [39] Kikkiriziddwa (okwerwanako) eri abo abalwanyisibwa mu ngeri y'okuba nti mazima bo balyazaamaanyizibwa era mazima bulijjo Mukama Katonda asobolera ddala okubataasa

    [40] (Bo) beebo abaagobwa mu mayumba gaabwe awatali nsonga okugyako okuba nga bagamba nti: Katonda ye Mukama omulabirizi waffe, singa Katonda tajjawo bantu ng'akozesa abalala, amasinzizo ga bakabona, n'amakanisa ga ba Kurisitayo, n'amasinzizo ga ba Yudaaya n'emizikiti gy'abasiraamu, omwogererwa ennyo ku linnya lya Katonda byandimenyeddwa era Katonda ajja kutaasiza ddala abo abamutaasa, mazima Katonda wa maanyi Nantakubwa ku mukono

    [41] (Katonda baataasa) beebo bwe tuba tubatebenkezza mu nsi bayimirizaawo e sswala nebatoola zzaka nebalagira okuyisa obulungi, nebaziyiza okuyisa obubi era enkomerero y'ebintu byonna ya Katonda

    [42] Singa bakulimbisa mazima oluberyeberye lwa bwe abantu ba Nuhu na ba A’di na ba Thamud baalimbisa

    [43] Nabwekityo n'abantu ba Ibrahim n'abantu ba Luutu

    [44] N'abantu be Madiyana. Ne Musa yalimbisibwa nennindiriza abakaafiiri oluvanyuma nnabakwata, naye okubonereza kwange kwali kutya

    [45] Ebitundu bimeka bye twazikiriza nga byo biri mu kweyisa bubi! (nga nabuli kati) obusolya bwa byo buguddemu n'enzizi ezitakyakimwako mazzi n'ebizimbe ebyali bizimbiddwa obulungi

    [46] Abaffe tebatambulako mu nsi nebafuna emitima gye bategeera nagyo oba amatu ge bawulira nago, mazima amaaso si ge gaziba naye emitima egiri mu bifuba gye giziba

    [47] Bakugamba obatuuseeko ebibonerezo mu bwangu naye Katonda tayinza kwawukana ku ndagaanoye (ajja kubibatuusaako ku lunaku lw'enkomerero) era mazima olunaku lumu ewa Mukama omulabiriziwo lulinga emyaka lukumi mu mbala ya mmwe

    [48] Era ebitundu bimeka bye nnalindiriza so nga byo byali mu kweyisa bubi naye oluvanyuma nembikwata era gyendi yokka y'eri obuddo

    [49] Gamba (Ggwe Muhammad) abange mmwe abantu mazima nze gye muli ndi mutiisa ow'olwatu

    [50] Bo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu balina ekisonyiwo n'okugabirirwa okw'ekitiibwa

    [51] Naabo abeewaayo okulemesa ebigambo byaffe, abo be ba nannyini muliro Jahiimu

    [52] Tetwatuma oluberyeberyelwo mubaka yenna oba Nabbi okugyako nga bwayagala okusoma (obubaka obumuweereddwa) Sitaane agezaako okusonseka ebigambo mu kusomwakwe, olwo nno Katonda najjawo ebyo Sitane byagezaako okusonsekamu awo Katonda nakakasaawo ebigambobye, bulijjo Katonda mumanyi nnyo, mugoba nsonga

    [53] (Ekikozesa ekyo kwe kuba nti) Katonda afuule Sitane byagezaako okusonseka (mu bubaka) ekikemo ku abo abalina obulwadde mu mitima gya bwe, n’abalina emitima emikakanyavu era mazima abeeyisa obubi beesambye nnyo Katonda

    [54] Bateekeddwa okutegeera abo abaaweebwa okumanya nti mazima ddala (Kur’ani) ge mazima agavudde ewa Mukama omulabiriziwo olwo nno bagakkirize, era gyewombeke ku lw'ekyo emitima gya bwe, era mazima Katonda wa kulungamya abo abakkiriza eri ekkubo eggolokofu

    [55] Bulijjo abo abaakaafuwala tebagenda kulekayo kubuusabuusa ku yo, (Kur’ani) okuutuusa olunaku lwe'nkomerero lwe lulibatuukako ekibwatukira, oba ne bibatuukako ebibonerezo by'olunaku olutalibaako kulekera

    [56] Obufuzi ku lunaku olwo buliba bwa Katonda yekka. Agenda kulamula wakati waabwe, bo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu bagenda kubeera mu jjana ezijjudde ebyengera

    [57] Ate abo abaakaafuwala ne balimbisa ebigambo byaffe abo bagenda kussibwako ebibonerezo ebinyoomesa

    [58] Ate abo abaaleka amaka gaabwe ne bagenda okulafuubana mu kuweereza mu kkubo lya Katonda olwo nno nebattibwa oba ne bafa, Katonda agenda kubaweera ddala ebigabwa ebirungi. Era bulijjo mazima Katonda yye y'asinga abagabi bonna

    [59] Agenda kubayingiriza ddala obuyingiro bwe balisiima. Era mazima Katonda mumanyi nnyo wa kisa

    [60] Ekyo bwe kityo bwe kiri. Era oyo yenna asasula ekyenkana obuvune obumutuusiddwako, ate oluvanyuma naalumbaganwa, mazima Katonda wa kumutaasiza ddala mazima Katonda mulekezi musonyiyi

    [61] Ekyo nno lwakuba nti mazima Katonda ayingiza ekiro mu musana era naayingiza omusana mu kiro era mazima Katonda awulira alaba nnyo

    [62] Ekyo bwe kityo bwe kiri lwakuba nti mazima Katonda ye ye mazima, era ddala bye basinza ebitali yye bye bitali bituufu era mazima Katonda yye ye wa waggulu ow'ekitiibwa

    [63] Abaffe tolaba nti mazima Katonda assa okuva waggulu amazzi ensi neefuuka ya kiragala mazima Katonda alumirwa (ebitonde bye) amanyi ebyekusifu

    [64] Bibye yekka ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi era ddala Katonda yye y'atalina kye yeetaaga atenderezebwa

    [65] Abaffe tolaba nti mazima Katonda yabagondeza ebyo ebiri mu nsi, n'abagondeza n'amaato agaseeyeeya ku nnyanja olw'ekiragirokye era awanirira eggulu obutagwa ku nsi mpozzi nga ayagadde, mazima Katonda mukwata mpola musaasizi nnyo eri abantu

    [66] Yye yooyo abawa obulamu oluvanyuma n'abatta n'oluvanyuma alibawa obulamu mazima omuntu mwewakanyi (wa byengera)

    [67] Buli bantu twabawa emikolo (egy'okusinza) bo gye bakola n'olwekyo (abakaafiiri) tebasaanye ku kuwakanya ku kintu kyonna, era koowoola abantu okudda ewa Mukama omulabiriziwo (okusinziira ku bye twogedde) mazima ggwe oli ku bulungamu obulambulukufu

    [68] Bwe bakuwakanya gamba nti Katonda y'asinga okumanya ebyo bye mukola

    [69] Katonda agenda kusalawo wakati wa mmwe ku lunaku lw'enkomerero ku ebyo bye mwalinga mwawukanamu

    [70] Abaffe tomanyi nti mazima Katonda amanyi ebiri mu ggulu ne mu nsi mazima ekyo kiri mu kitabo (kiwandiike okuva edda) mazima ekyo kyangu nnyo ku Katonda

    [71] Basinza ebitali Katonda byatassangako bujulizi bwonna, era bye batalinaako kumanya kwonna, bulijjo abeeyisa obubi tebaba na mutaasa

    [72] Ebigambo byaffe bwe bibasomerwa nga binnyonnyofu olaba mu byenyi by'abo abaakaafuwala ekifaananyi ekitali kirungi, kumpi babuukire abo ababasomera ebigambo byaffe, bagambe nti abaffe mbabuulire ekibi okusinga abo, gwe muliro Katonda gwe yalagaanyisa abo abaakaafuwala era buddo obusinga okuba obubi

    [73] Abange mmwe abantu ekifaananyi kikubiddwa kale mukiwulirize mazima abo be musaba abatali Katonda tebasobola kutonda nsowera ne bwe baba nga beegasse ku lw'ekyo, era ensowera singa ebaggyako ekintu tebasobola kugikiggyako abanja munafu negwebabanja

    [74] Tebaawa Katonda kitiibwa kimusaanira mazima Katonda wa maanyi nnyo Nantakubwa ku mukono

    [75] Katonda alonda mu ba Malayika ababaka, bwatyo ne mu bantu, mazima Katonda muwulizi alaba nnyo

    [76] (N’olwekyo) amanyi ebiri mu maaso gaabwe n'ebiri emabega waabwe, n'eri Katonda ebintu byonna gye bizzibwa

    [77] Abange mmwe abakkiriza mukutame (nga mukutte ku maviivi) era muvunname, musinze Mukama omulabirizi wa mmwe, era mukole obulungi musobole okutuuka ku buwanguzi

    [78] Era mulafuubane nga muweereza (mu kkubo lya) Katonda mu bulambulukufu bw'okulafuubana okwo, yye (Katonda) ye yabalonda (ku lwe ddiiniye) era teyabateekera mu ddiini buzito bwonna, nga ye ddiini ya Mukadde wa mmwe Ibrahimu, yye y'eyabatuuma abasiraamu oluberyeberye (mu bitabo ebyakulembera) ne mu (Kur’ani) eno olwo nno omubaka abeere mujulizi ku mmwe nammwe mubeere bajulizi ku bantu (abalala) kaakano nno muyimirizeewo e sswala muwe ne Zakka era mwekwase Katonda yye ye mukuumi wa mmwe, kale mulungi nnyo omukuumi (oyo) era mulungi nnyo omutaasa oyo

    Abakkiriza

    Surah 23

    [1] Mazima abakkiriza batuuse ku buwanguzi

    [2] Abo bbo abeewombeka mu sswala zaabwe

    [3] Era abo bbo abatabeera mu bintu bitaliimu makulu

    [4] Era abo bbo abajjumbize mu kutoola Zakka

    [5] Era abo bbo abakuuma obwereere bwabwe

    [6] Okugyako ku be baafumbiriganwa nabo, oba abo emikono gya bwe egya ddyo be gyafuna (abazaana) anti mazima bbo, ku ekyo tebanenyezebwa

    [7] Naye oyo anaayiza okusukka ku ekyo abo bbo be babuuka ensalo (z'amateeka ga Katonda)

    [8] (Abakkiriza) era beebo bbo abakuuma obutiribiri obwesigwa bwa bwe n'endagaano zaabwe

    [9] Era bbo beebo abeekubiriza okutuukiriza e sswala zaabwe

    [10] Abo nno bbo be bagenda okusikira (okuyingira e jjana)

    [11] Abo abalisikira Firidausi (e jjana) nga bbo mu yo baakutuulamu bugenderevu

    [12] Mazima twatonda omuntu nga tumuggya mu nsibuko ya ttaka

    [13] Oluvanyuma tumufuula amazzi agazaala ge tukuumira mu kifo ekinywevu (nnabaana)

    [14] Oluvanyuma netutonda mu mazzi ago e kisaayisaayi ate e kisaayisaayi ne tukitondamu e kinyama ate e kinyama ne tukitonderamu amagumba olwo nno amagumba ne tugambaza e nnyama, ate oluvanyuma ne tumutonda nga kitonde kirala (naafuuka omuntu nga afuuyiddwamu omwoyo) n'olwekyo Katonda musukkulumu oyo asinga abakozi be bintu bonna

    [15] Mazima mmwe oluvanyuma lw'ekyo ddala mugenda kufa

    [16] Oluvanyuma mazima mmwe olunaku lw'enkomerero muli ba kuzuukizibwa

    [17] Era mazima twatonda waggulu wa mmwe eggulu omusanvu era tetubangako bagayaalira (kulabirira) bitonde

    [18] Era tussa okuva waggulu amazzi mu ngeri ya kigero netugabeeza mu ttaka era nga mazima ddala ffe tuba tusobola okugabuzaawo

    [19] Netubamereza nago e nnimiro ez'emitende ne nzabibu nga zirimu ebibala bingi era nga ku byo kwe mulya

    [20] Era netumeza nago omuti (omuzaituni) ogwo ogusibuka ku lusozi Sinaa, guvaamu omuzigo (abantu gwe beesiiga) era nga muwoomu eri abali

    [21] Era mazima mulina mmwe mu nsolo ezirundibwa eky'okuyiga, tubanywesa mu ebyo ebiri mu mbuto zaazo era mulina mu zo emigaso mingi era nga mulya ezimu ku zo

    [22] Nga era ku zo ne ku maato kwe mutwalirwa

    [23] Era mazima twatuma Nuhu eri a bantube naagamba nti: abange bantu bange musinze Katonda yekka temulinaayo kintu kirala kyonna kisaana kusinzibwa. Abaffe temutya (Katonda)

    [24] Abakungu abo abaakaafuwala mu bantube ne bagamba nti: tali ono (Nuhu) okugyako muntu nga mmwe, ayagala kwe sukkulumya ku mmwe singa Katonda yayagala (kutuma Malayika) yaalibadde atuma ba Malayika, kino tetukiwulirangako mu bakadde baffe abaasooka

    [25] Talina kyali okugyako okuba nti alina ekimulinnya ku mutwe kale mumuliindirize okumala ekiseera ekigere (ajja kuvaawo oba ajja kufa)

    [26] (Nuhu) naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange ntaasa ku kunnimbisa (kwa bwe)

    [27] Awo nno twamutumira nti kola eryato nga okolera ku biragiro byaffe, era ne tumutumira nti ekigambo kyaffe bwe kinaatuuka e ttanuuru neefukumukamu amazzi olwo nno pakira mu lyo (eryato) ku buli kintu bibiri ekisajja n'ekikazi era pakiramu abantubo okugyako omuntu oyo ekigambo gwe kyakakatako edda mu bo, era toyogera nange ku abo abeeyisa obubi, mazima bbo ba kuzikirira

    [28] Ggwe n'abo abali naawe bwe mukkalira mu lyato olwo nno gamba nti okutenderezebwa kwonna kwa Katonda oyo atuwonyezza abantu abeeyisa obubi

    [29] Era gamba nti ayi Mukama omulabirizi wange (bwe ntuuka okuva mu lyato lino) nzisa mu kifo eky'omukisa anti ggwe osinga bonna abasalawo ebifo (eby'okubeeramu)

    [30] Mazima ekyo kijjuddemu obubonero (obulaga obuyinza bwa Katonda) newaakubadde nga ate tubagezesa

    [31] Ekyo nga kiwedde twatandikawo oluvanyuma lwa bwe omulembe omulala

    [32] Netubatumamu omubaka ng'ava mu bo ng'abagamba nti musinze Katonda temulina kirala kyonna kye musaanye kusinza kitali yye, abaffe temutya (Katonda)

    [33] Abakungu abaakaafuwala mu bantube, era abaalimbisa okusisinkana olunaku lwe'nkomerero, era abo be twawa okweyagala mu bulamu bw'ensi, baagamba nti ono talina kyali okugyako muntu buntu nga mmwe, bye mulyako byalya, ne bye munywa byanywa

    [34] Ate singa mugondera omuntu obuntu nga mmwe, mazima mmwe olwo munaaba mufaafaaganiddwa

    [35] Mbu abalagaanyisa nti mazima mmwe singa mufa ne muba ettaka era amagumba ameereere, nti mazima mmwe mugenda kudda

    [36] Tekisoboka era tekisobokera ddala ekyo kye mulagaanyisibwa

    [37] (Ekituufu kiri nti) tewali bulamu bulala bwonna okugyako obulamu obw'ensi abamu muffe bava mu bulamu abalala ne bayingira. Era ffe tetugenda kuzuukuzibwa

    [38] Tali yye okugyako okuba nti musajja agunja ku Katonda ebigambo eby'obulimba, era ffe tetujja kumukkiriza

    [39] (Omubaka) naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange ntaasa ku kunnimbisa kwa bwe

    [40] (Katonda) naagamba nti mu kaseera katono nnyo bajja kuba bejjusa

    [41] Okubwatuka ne kubatuukako era nga kye kibasaanira ne tubafuula ebisasiro. N'olwekyo babeere wala nnyo abantu abeeyisa obubi

    [42] Ekyo nga kiwedde twatandikawo oluvanyuma lwa bwe emirembe emirala

    [43] Tewali mulembe guyinza kukulembera kiseera kyagugererwa, era tebayinza kwagala kwongezebwayo (nebakufuna)

    [44] Oluvanyuma twatuma ababaka baffe nga bagoberegana, buli bantu bwe bajjirwanga omubaka waabwe nga bamulimbisa, olwo nno abamu ne tubakwasa ekkubo bannaabwe lye baakwata (mu kuzikirira) ne tubafuula eky'okwogerwako kale nno babeere wala nnyo abantu abatakkiriza

    [45] Oluvanyuma twatuma Musa ne Mugandawe Haruna nga tubawadde eby'amagero byaffe n'obujulizi obw'enkukunala

    [46] Bagende ewa Firaawo n'abakungube (wabula be twatuma bwe baagenda gye bali) ne beekuza ne babeera abantu abeetwala okuba aba waggulu

    [47] Nebagamba nti tukkirize abantu ababiri abafaanana nga ffe ng'ate abantu baabwe batusinza businza

    [48] Ne babalimbisa bombi olwo nno ne baba mu abo abaazikirizibwa

    [49] Era mazima twawa Musa ekitabo babe nga balungama

    [50] Twafuula Mutabani wa Mariam ne Maamawe akabonero, ne tubawa obutuulo mu kifo e kisitufu e kibeerekamu nga kirimu n'amazzi agakulukuta

    [51] Abange mmwe ababaka mulye ebikkirizibwa okuliibwa, era mukole emirimu emirungi mazima nze manyidde ddala ebyo bye mukola

    [52] Mazima ddala e kibiina kya mmwe kino (eddiini yammwe) kiri ekibiina kimu nange nze Mukama omulabirizi wa mmwe kale muntye

    [53] Naye abantu beekutulamu wakati waabwe ku kigambo kyaabwe (eky'eddiini), ebibiina bingi nga buli kibinja (abantu baakyo) basanyuka n'ebyo bye balina

    [54] Kale baleke mu bubuze bwa bwe okutuusa ekiseera (ekyabagererwa)

    [55] Abaffe balowooza bye tubawa mu mmaali n'abaana

    [56] Tuba tubanguyiza kwe yongera kufuna birungi! wabula tebategeera

    [57] Mazima abo abeeraliikirira okutuukiriza obuvunaanyizibwa bw'okutya Mukama omulabirizi waabwe

    [58] Era abo ebigambo ebyassibwa okuva ewa Mukama omulabirizi waabwe babikkiriza

    [59] Era abo abatagatta kintu kirala ku Mukama omulabirizi wa bwe

    [60] Era abo abawaayo bye baba bawaddeyo (ku lwa Katonda wa bwe) nga emitima gyabwe gitidde okuba nti mazima bbo bagenda kudda ewa Mukama omulabirizi wa bwe

    [61] Abo nno bayaayaanira okukola ebirungi era nga bo mu ekyo be bakulembera

    [62] Era tetuwaliriza muntu (kukola) okugyako ekyo ekiri mu busobozibwe era tulina ekitabo ekiraga mu butuufu (ebikolebwa) nabo nga tebagenda kulyazaamaanyizibwa

    [63] Wabula emitima gya bwe (abakaafiiri) giri mu kugayaalirira (Kur’ani) eno, awamu n'okugatta ku Katonda ebintu ebirala, balina e mirimu emirala emibi nga Katonda abaleka ne bagikola (olwo nno ebibonerezo bya bwe byeyongere)

    [64] Okutuusa bwe tussa ebibonerezo ku beejalabi mu bo olwo nno bo nebalajaana

    [65] Temulaajana leero, mazima mmwe temuli ba kututaasibwako

    [66] Mazima ebigambo byange byabasomerwanga naye mmwe mwalinga mukyukira ku bisinziro bya mmwe ne mubikuba amabega

    [67] Nga mwekuza olw'okugiwalana (Kur’ani), nga mugyogerako mu ngeri e mbi nga mutudde ku byoto bya mmwe ekiro

    [68] Abaffe tebeetegereza ekigambo (Kur’ani ne balaba nti ntuufu) oba (ekibabuza kwe kuba nti) bajjiddwa ebyo ebitajjira bakadde baabwe abaakulembera

    [69] Oba tebaamanya mubaka waabwe n'eba nga y'ensonga lwaki bamuwakanya

    [70] Oba bagamba nti mulalu, wabula (ekituufu kiri nti) yabajjira n'amazima, naye nga abasinga obungi mu bo batamwa amazima

    [71] Singa amazima gaagoberera okwagala kwa bwe, eggulu omusanvu n'ensi n'ebyo ebirimu byandi yonoonese, wabula twabawa ekyo ekibaweesa ekitiibwa (Kur’ani) naye (eky'ennaku) bbo beesamba ekitiibwa kya bwe

    [72] Oba obasaba musaala (ne kiba nga kye kibagaana okukkiriza naye nakyo tokikola), anti omusaala gwa Mukama omulabiriziwo gwe gusinga obulungi era yye y'asinga abagabirizi bonna

    [73] Era mazima ggwe obakoowoola okujja eri e kkubo eggolokofu

    [74] Era mazima abo abatakkiriza lunaku lwa nkomerero ddala be bava ku kkubo

    [75] Singa twabasaasira netubaggyako obuzibu obwabatuukako bandiremedde ku bubuze bwa bwe nga babulubuuta

    [76] Mazima twabatuusaako e bibonerezo naye tebeemenyera Mukama omulabirizi waabwe era tebaagonda

    [77] Okutuusa bwe tulibaggulira omulyango gw'ebibonerezo e bikakali oligenda okubalaba nga basobeddwa

    [78] (Katonda) yye, yooyo eyabatondera mmwe amatu n'amaaso n'emitima (naye) mwebaza kitono

    [79] Era yye yooyo (eyabatonda) n'abassa mu nsi era gyali gye mulikungaanyizibwa

    [80] Era yye yooyo awa obulamu era natta era ku kwe okwawukana kw'ekiro n'emisana, abaffe temutegeera

    [81] Wabula (ekivaako obuzibu) bagamba nga abaabasooka kye baagamba

    [82] Bagamba nti bwe tulifa ne tuba e nfuufu n'amagumba abaffe tugenda kuzuukizibwa

    [83] Mazima ffe ne bakadde baffe kino kyatulagaanyisibwa dda, tekirina kye kiri okugyako okuba enfumo z'abasooka

    [84] Bagambe nti: ensi n'ebigirimu byani bwe muba nga mumanyi

    [85] Bajja kugamba nti bya Katonda, bagambe nti abaffe temwebuulirira

    [86] Bagambe nti ani Mukama Omulabirizi w'eggulu omusanvu era Mukama Omulabirizi wa Arishi ey'ekitiibwa

    [87] Bajja kugamba nti bya Katonda, bagambe nti abaffe temutya

    [88] Bagambe nti obufuzi bwa buli kintu buli mu mukono gw'ani? Alina obusobozi obuwa obukuumi (oyo aba yeekubidde enduulu gyali, ate bwaba yeetaaga omuntu) takugirwa ku ye, (mwanukule) bwe muba nga mumanyi

    [89] Bajja kugamba nti (obufuzi) bwa Katonda, bagambe nti mubuzibwabuzibwa mutya

    [90] Wabula twabaleetera amazima naye ddala bbo balimba

    [91] Katonda teyeeteerangawo mwana era tawabangawo naye katonda mulala, singa bwe kyali buli katonda yandigenze ne bye yatonda era abamu baaliwambye bannaabwe. Katonda yeesambidde ddala ebyo bye boogera

    [92] (Katonda) mumanyi wa byekusifu n'ebirabikako ali wala nnyo ku ebyo bye bamugattako

    [93] Gamba nti: ayi Mukama omulabirizi wange, lwolindaga (ebibonerezo) ebyo bye balagaanyisibwa

    [94] Ayi Mukama omulabirizi wange tonteekanga mu bantu abeeyisa obubi

    [95] Era mazima ffe ku ky'okukulaga bye tubalagaanyisa tusobolera ddala

    [96] Ggyawo ekibi nga okozesa ekyo ekisinga obulungi, ffe tusinga okumanya ebyo bye boogera

    [97] Era gamba nti ayi Mukama omulabirizi wange nkusaba ompe obukuumi ku kubuzaabuza kwa Sitane

    [98] Era Mukama omulabirizi wange nkusaba ompe obukuumi (Sitane) zireme kunsemberera

    [99] (Baakubeera mu bubuze) okutuusa okufa lwe kujjira omu ku bo, naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange munzizeeyo (ku nsi)

    [100] Mbe nga nkola emirimu emirungi mu ebyo byessaakola, si bwe kiri mazima kyo kigambo bugambo yye kyayogera (naye nga tagenda kusobola kudda) ate era mu maaso gaabwe waliwo e kiseera (ekyawula wakati w'obulamu bw'ensi n'obw'oluvanyuma mwe balibeera) okutuusa ku lunaku lwe balizuukizibwa

    [101] Olwo nno engombe bwerifuuyibwa tewagenda kuba nganda wakati wa bwe ku lunaku olwo, era tebagenda kwogeraganya

    [102] Oyo yenna ebirizitowa ebipimwabye abo nno be b'okwesiima

    [103] Ate oyo ebiriwewuka ebipimwabye abo nno be bafaafaaganirwa emyoyo gya bwe nga baakutuula lubeerera mu muliro Jahannama

    [104] Omuliro gulisiriiza ebyenyi bya bwe, balibeera mu gwo nga banyinyibadde

    [105] Abaffe ebigambo byange byali tebibasomerwa ate mmwe ne muba nga mubilimbisa

    [106] Nebagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe obwonoonefu bwaffe bwatusinza amanyi, era twali abantu abaabula

    [107] Ayi Mukama omulabirizi waffe tuggye mu gwo (omuliro), olwo nno bwe tuddamu okwonoona mazima tujja kuba abeeyisa obubi

    [108] Naagamba nti mubeere mu gwo nga munyoomebwa era temwogera nange

    [109] Mazima ekitundu mu baddu bange baali bagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe tukkirizza kale tusonyiwe era otusaasire era ggwe osinga abasaasizi bonna

    [110] Ne mubafuula ekisekererwa okutuusa lwe baaberabiza okunjogerako era mwali mubasekerera

    [111] Mazima nze olwa leero mbasasudde olw'ebyo bye baagumiikiriza mazima bbo be b'okwesiima

    [112] (Katonda) aligamba nti mu nsi mwatuulamu emyaka emeka

    [113] Baligamba nti: twamalamu lunaku oba kitundu kya lunaku, wabula buuza ababazi

    [114] Aligamba nti temwatuula okugyako ebbanga ttono singa mazima mmwe mwali mumanyi

    [115] Abaffe mwalowooza nti mazima twabatonda nga tewali kigendererwa, era nti mazima mmwe temugenda kuzzibwa gye tuli

    [116] Yasukkuluma Katonda Omufuzi (era yye) ye mazima tewali kisinzibwa kyonna (mu butuufu) okugyako yye, Mukama omulabirizi wa Arishi ey'ekitiibwa

    [117] Oyo yenna asinza ekintu ekirala awamu ne Katonda so nga ate takirinaako bujulizi, mazima okubalibwa kwe kuli wa Mukama omulabiriziwe, mazima abakaafiiri tebayinza kwesiima

    [118] Era gamba nti ayi Mukama omulabirizi wange sonyiwa osaasire. Era ggwe osinga abasaasizi bonna

    Ekitangaala

    Surah 24

    [1] (Eno) ssuula twagissa ne tugikakasa (okukozesa amateeka agagirimu) netussa mu yo ebigambo ebinnyonnyofu mube nga mujjukira

    [2] Omwenzi omukazi n'omwenzi omusajja buli omu ku bo mumukube emiggo kikumi, ekisa tekibakwatanga ku lwa bwe bombi, nga muli mu kutuukiriza e ddiini ya Katonda, bwe muba nga mukkiriza Katonda n’olunaku lw'enkomerero, ekibinja mu bakkiriza kiteekwa okubaawo nga babonerezebwa

    [3] Omusajja omwenzi tawasa okugyako omukazi omwenzi oba agatta ebintu ebirala ku Katonda, n’omukazi omwenzi tawasibwa okugyako omusajja omwenzi oba agatta ebintu ebirala ku Katonda, era ekyo kyaziyizibwa ku bakkiriza

    [4] N’abo abatemerera abakyala ab'ensa obwenzi ate ne bataleeta bajulizi bana mubakube emiggo kinaana era lubeerera temuddangayo okukkiriza obujulizi bwa bwe era abo be boonoonyi

    [5] Okugyako abo abeenenya oluvanyuma lw'ekyo, era nebakola e mirimu emirungi. Anti mazima Katonda musonyiyi musaasizi

    [6] Ate abo abawaayiriza be baafumbiriganwa nabo obwenzi ate nga tebalina bajulizi okugyako bo bennyini, kale nno obujulizi bw'omu ku bo kwe kulayira Katonda emirundi ena (naayongerako nti) mazima yye wa mu boogera amazima

    [7] Ne ku mulundi ogw'okutaano (ayongerako nti) mazima ekikolimo kya Katonda kibe ku ye bwaba nga wa mu balimba

    [8] Olwo nno omukyala ne bamuggyako e kibonerezo bwalayira Katonda emirundi ena (naayongerako nti) mazima oli byayogera bimussa mu balimba

    [9] Ne ku mulundi ogw'okutaano (ayongerako nti) mazima obusungu bwa Katonda bube ku ye (bba) bwaba mu boogera amazima

    [10] Singa si bulungi bwa Katonda bwabawa na kusaasirakwe (mwandisanze) obuzibu mu kusalawo ensonga) era mazima Katonda akkiriza okwenenya mugoba nsonga

    [11] Mazima abo abaaleeta ebigambo eby'obulimba (ne batemerera Aisha obwenzi) bamu ku mmwe, temukitwala nti kibi gye muli wabula kirungi gye muli, buli omu ku bo ateekwa okufuna empeera y'ekibi kye yakola, ate oyo eyakikulembera mu bo waakufuna ebibonerezo e bikakali

    [12] Singa bwe mwakiwulira abakkiriza abasajja n'abakkiriza abakyala beerowooleza bulungi, era ne bagamba nti kuno kutemerera okw'olwatu

    [13] Singa baakireetako abajulizi bana naye kebataaleeta bajulizi olwo nno abo bbo ewa Katonda be balimba

    [14] Singa si bulungi bwa Katonda na kusaasirakwe byabawa ku nsi ne ku nkomerero olw'ebyo bye mweyingizaamu mwalituukiddwako ebibonerezo ebikakali

    [15] Mu kiseera wemwabisaasaanyiza ne nnimi za mmwe ne mwogera n'emimwa gya mmwe bye mutaalinako kumanya, mwakitwala nga ekyangu naye nga ewa Katonda kinene

    [16] Singa bwe mwakiwulira mwagamba nti tekitugwanira kwogera ku nsonga eno, wasukkuluma Mukama Katonda, kuno kutemerera okuyitirivu

    [17] Katonda ababuulirira bulijjo obutaddayo kukola kintu nga kino bwe muba nga muli bakkiriza

    [18] Era Katonda abannyonnyola amateeka. Era bulijjo Katonda amanyi nnyo ate nga mugoba nsonga

    [19] Mazima abo abaagala ebikolwa eby'obuwemu okusaasaana mu bakkiriza, balina ebibonerezo ebiruma ennyo ku nsi ne ku nkomerero. Era Katonda amanyi ate mmwe temumanyi

    [20] Singa si bulungi bwa Katonda na kusaasirakwe byabawa (mwandituuseeko ebizibu naye nga bulijjo) mazima Katonda wa kisa musaasizi

    [21] Abange mmwe abakkiriza temugobereranga amakubo ga Sitaane, oyo yenna agoberera amakubo ga Sitane anti yye (Sitaane) alagira okukola eby'obuwemu n'ebitayagalwa, era singa si bulungi bwa Katonda na kusaasirakwe byabawa olubeerera, teyanditukudde muntu yenna mu mmwe, naye mazima Katonda atukuza oyo gwaba ayagadde mazima Katonda awulira mumanyi nnyo

    [22] Abeeyisa obulungi mu ddiini era abagaziyizibwa mu byenfuna tebalayiranga obutawa ab'oluganda olw'okumpi n'abanaku n'abaasenguka olw'okuweereza mu kkubo lya Katonda. Basaana basonyiwe era balekere, abaffe (mmwe) temwagala Katonda kubasonyiwa era nga bulijjo Katonda musonyiyi musaasizi

    [23] Mazima abo abatemerera obwenzi abakyala ab'ensa abatalina musango abakkiriza, bakolimirwa ku nsi ne ku nkomerero era balissibwako ebibonerezo eby'amaanyi

    [24] Ku lunaku ennimi zaabwe n'emikono gya bwe lwe biribawaako obujulizi olw'ebyo bye baakolanga

    [25] Ku lunaku olwo Katonda agenda kubasasula mu bujjuvu empeera yaabwe ebasaanira, era bagenda kumanya nti mazima Katonda yye ye mazima owa nnamaddala

    [26] Abakazi ab'empisa embi ba basajja ab'empisa embi, n'abasajja ab'empisa embi ba bakazi ab'empisa embi, n'abakazi abeeyisa obulungi ba basajja abeeyisa obulungi, n'abasajja abeeyisa obulungi ba bakazi abeeyisa obulungi, abo (bebatemerera obwenzi) batukuvu ku ebyo (bali) bye boogera, balina ekisonyiwo n'okugabirirwa okw'ekitiibwa

    [27] Abange mmwe abakkiriza temuyingiranga amayumba agatali mayumba gammwe okugyako nga musabye era ne mutoolera abantu baamu ssalaamu ekyo kye kirungi gye muli kibayambe mujjukire

    [28] Bwe mutagasangamu muntu yenna temugayingiranga okutuusa nga mukkiriziddwa, bwe mugambibwanga nti muddeyo muddangayo, ekyo ky'ekisinga obutukuvu gye muli, Katonda byonna bye mukola abimanyidde ddala

    [29] Temulina musango bwe muyingira e nyumba ezitaliimu bantu ng'ate mulimu bye mwetaaga. Bulijjo Katonda amanyi bye mwoleesa ne bye mukweka

    [30] Gamba abakkiriza bakkakkanye ku maaso ga bwe, era bakuume obwereere bwa bwe, ekyo kye kisinga obutukuvu gye bali, mazima Katonda amanyidde ddala ebyo bye bakola

    [31] Era gamba abakyala abakkiriza bakkakkanye ku maaso gaabwe era bakuume obwereere bwa bwe, era teboolesa eby'okwewunda bya bwe okugyako ebyo ebiba biteekwa okulabika, era bateekwa beebikkirire obukaaya bwa bwe (nga butuuka) ku bifuba bya bwe, era teboolesa bya kwewunda bya bwe okugyako eri ba bbaabwe, oba ba kitaabwe, oba ba taata ba ba bbaabwe ,oba abaana baabwe, oba abaana ba ba bbaabwe, oba bannyinaabwe, oba abaana ba bannyinaabwe, oba abaana ba baganda baabwe, oba abakyala nga bbo, oba abo abaddu emikono gya bwe egyaddyo be gyafuna, oba abaweereza abalala abasajja abatakyalina bwetaavu eri bakyala, oba abaana abato abatalabanga ku bwereere bwa bakyala, era (abakyala abakkiriza bwe baba batambula) tebakuba bigere bya bwe kibe nga kituuka okumanyika ekyo kye bakusise mu by'okwewunda bya bwe. Mwenna mwenenyeze Katonda abange mmwe abakkiriza kibayambe okutuuka ku buwanguzi

    [32] Mufumbize mu mmwe abatali bafumbo, nabwekityo mufumbiriganye abalongoofu mu baddu ba mmwe n'abazaana ba mmwe, bwe baba baavu Katonda ajja kubagaggawaza nga aggya mu bigabwabye bulijjo Katonda mugazi (mu byalina) mumanyi nnyo

    [33] Abo abatasobola kuwasa bateekwa okwessaamu ensa okutuusa Katonda lwabawa ekimala ekyetaago kya bwe nga aggya mu bigabwabye, ate abo abasaba okuweebwa ekiwandiiko (ekibakkiriza okunoonya sente beenunule) mu baddu ba mmwe abo emikono gya mmwe egya ddyo be gyafuna mukibawandiikire singa mubalabamu akalungi, (mmwe abakulembeze) mubawe nga ku mmaali ya Katonda eyo gye yabawa, era temuwalirizanga abazaana ba mmwe okukola obwa malaaya (mu kikola mutya) ng'ate bbo baagala kuba na nsa! (ekibatuusa okukola ekyo) lwa kwagala kufuna bya bulamu byansi, oyo yenna abawaliriza mazima Katonda oluvanyuma lw'okubawaliriza musonyiyi musaasizi

    [34] Era mazima twassa gye muli ebigambo (bya Kur'an) ebinnyonnyola, era (netussa) eby'okulabirako ebikwata ku abo abaaliwo oluberyeberye lwa mmwe era ekyo nga kya kubuulirira eri abatya Katonda

    [35] Katonda kitangaala ky'eggulu omusanvu n'ensi ekifaananyi ky'ekitangaalakye kiringa akafo akaazimbirwa mu kisenge nga ka kuteekamu ttaala (naye nga tekayitamu kitangaala kuva bweru, ettaala bwe yaka ekitangaala kyayo kikoma ku kisenge kya kafo ako, ekiyamba abali mu kisenge kya kafo okufuna ekitangaala obulungi, akafo ako) nga kalimu ettaala nga ettaala eri mu kirawuli ekirawuli nga kiringa emmunyeenye etangalijja nga eteekebwamu amafuta agava mu muti omuzayituni ogw'omukisa nga si gwe buvanjuba wadde ebugwanjuba (mu nnimiro mwe gwakulira ne guba nga gwafunanga ekitangaala ky'enjuba ebbanga erimala), amafuta gaagwo kumpi gaaka newaakubadde nga tegatuukiddwako muliro, nekiba nga kitangaala ku kitangaala kinnaakyo (anti ekitangaala kye ttaala kyegatta ku kitangaala ky'ekirawuli ate nno bwogattako amafuta amalungi ennyo negubula asala). Katonda alungamya eri ekitangaalakye oyo gwaba ayagadde era Katonda akubira abantu ebifaananyi era Katonda bulijjo amanyi ebifa ku buli kintu

    [36] Mu mayumba (e mizikiti) Katonda geyakkiriza gazimbibwe era n'alagira erinnyalye libeere nga lyogerwako mu go, (omwo nno) bamutendereza mu go enkya n'olweggulo

    [37] Abasajja abatalabankanyizibwa bya busuubuzi wadde okutunda nebava ku kwogera ku Katonda n'okuyimirizaawo e sswala n'okutoola Zakka nga batya olunaku emitima n'amaaso lwe birikankana

    [38] Olwo nno Katonda abasasule ebirungi by'ebyo bye baakola era abongeze mu birungibye, bulijjo Katonda agabirira oyo gwaba ayagadde awatali kubalirira

    [39] Bbo abo abaakaafuwala emirimu gya bwe girirabika nga ennyanja ey'okumusenyu (so nga tebaawo) omuyonta agirabanga amazzi bwatuuka w'agirabye tasangawo kintu kyonna wabula mu kifo ekyo asangawo Katonda n'amuwa mu bujjuvu okubalibwakwe. Bulijjo Katonda mwangu mu kubala (kwe)

    [40] (Oba abaakaafuwala emirimu gya bwe giringa) ebizikiza ebiri mu nnyanja ey'ennyanga nga ebikkiddwa amayengo ng'ate waggulu waayo waliyo amayengo amalala ng'ate waggulu waago waliyo ebire ne biba bizikiza ebiri waggulu wa binnaabyo (omuntu singa abadde mu kifo ekyo) bw'ajjayo omukonogwe aba kumpi obutagulaba oyo yenna Katonda gwatawadde kitangaala tayinza kufuna kitangaala

    [41] Abaffe tolaba nti mazima Katonda bimutendereza byonna ebiri mu ggulu omusanvu n'ensi n'ebinyonyi nga byanjuluzza ebiwawaatiro (mu kumutendereza) buli kimu (Katonda) amanyi okusinza kwa kyo n'okutendereza kwa kyo.Anti Katonda amanyidde ddala ebyo bye bakola

    [42] Bwa Katonda obufuzi bw'eggulu omusanvu n'ensi, era ewa Katonda y'eri obuddo

    [43] Abaffe tolaba nti mazima Katonda atambuza ebire bwamala naabikungaanya wamu oluvanyuma n'abifuula entuumu olwo n'olaba nga enkuba etonnya okuva mu byo era atonnyesa omuzira okuva waggulu mu nsozi (ez'amazzi agakutte ebitole mu bbanga) n'atuusa n'omuzira ku oyo gwaba ayagadde ate n'aguwonya oyo gwaba ayagadde. Ekitangaala ky'e kimyanso kya byo kumpi kizibe amaaso (g'abantu)

    [44] Katonda akyusakyusa emisana n'ekiro, mazima mu ekyo mulimu e kyokuyiga eri abalina amaaso

    [45] Katonda yatonda buli kiramu nga akiggya mu mazzi, mu byo mulimu ekitambulira ku lubuto lwa kyo, ne mu byo mulimu ekitambulira ku magulu abiri, era mulimu ekitambulira ku ana, Katonda atonda ekyo ky'aba ayagadde. Mazima Katonda muyinza ku buli kintu

    [46] Mazima twassa obubonero obunnyonnyola, bulijjo Katonda alungamya gwaba ayagadde ku kkubo eggolokofu

    [47] (Abannanfusi) bagamba nti tukkirizza Katonda n'omubaka era ne tugonda ate ekitundu ku bo ne kyekyusa oluvanyuma lw'ekyo, era abo si bakkiriza

    [48] Bwe bayitibwa okudda eri Katonda n'omubakawe abe nga alamula wakati wa bwe ogenda okulaba nga ekitundu ku bo bakyawukanako

    [49] Bwe kiba nga amazima gali ku ludda lwa bwe bajja gyali (Nabbi) nga bagonvu

    [50] (Ekibakozesa ekyo) abaffe mu mitima gya bwe mulimu obulwadde oba babuusabuusa (obwa Nabbi bwe), oba batya Katonda n'omubaka we okubasaliriza, si bwekiri abo bbo be beeyisa obubi

    [51] Mazima kyalibadde ekigambo kya bakkiriza (kye bandigambye) wonna we babayitira okudda eri Katonda n'omubakawe abe nga alamula wakati waabwe bandigambye tuwulidde era netugonda era abo bbo be b'okutuuka ku buwanguzi

    [52] Oyo yenna agondera Katonda n'omubakawe n'atya Katonda ne yeeyisa nga Katonda bwayagala abo bbo be bawanguzi

    [53] Era (abannanfusi) balayira Katonda olw'okukkaatiriza ebirayiro bya bwe, nti singa obalagidde (okugenda ku lutabaalo naawe) ddala bajja kugenda naawe, bagambe nti temulayira, okugonda kwa mmwe (kwe mulangirira) kumanyiddwa (nga kwa bulimba). Anti Katonda amanyidde ddala ebyo bye mukola

    [54] Bagambe nti: mugondere Katonda era mugondere omubaka, bwe bagaana mazima (Nabbi) avunaanyizibwa ku ebyo ebyamutikkibwa nga nammwe bwe muvunaanyizibwa ku ebyo ebyabatikkibwa, naye bwe mumugondera mujja kulungama, era omubaka tabanjibwa okugyako okutuusa obubaka okw'olwatu

    [55] Katonda yalagaanyisa abo abakkiriza mu mmwe ne bakola e mirimu emirongoofu nti ajja kubawa obuyinza mu nsi, nga bwe yawa abo abaaliwo oluberyeberye lwa bwe era nti ajja kubanywereza e ddiini yaabwe eyo gye yabasiimira, era oluvanyuma lw'okuwangalira mu kutya ajja kubawaanyisizaamu emirembe, babe nga bansinza nga tebangattako kintu kirala kyonna, oyo yenna akola ekimenya amateeka oluvanyuma lw'ekyo abo nno bo be boonoonyi

    [56] Muyimirizeewo e sswala era mutoole zzaka mugondere n'omubaka mube nga musaasirwa

    [57] Abo abaakaafuwala tosuubira nti bayinza okulemesa (Katonda) mu nsi, obuddo bwa bwe muliro era buddo bubi ddala

    [58] Abange mmwe abakkiriza bateekeddwa okubasaba okuyingira mu biseera bya mirundi esatu abo begyafuna e mikono gya mmwe egya ddyo, n'abo abatannaba kutuuka myaka gya bukulu mu mmwe, (bwe baba nga bayingira gye muli mu biseera ebyo, nabyo) e sswala ya Subuhi nga tennatuuka, ne mu kiseera we mweyambulira engoye zammwe mu ttuntu, n'oluvanyuma lw’e sswala ya Isha, (ebyo) biseera bya mmwe bisatu okubeera obwereere, nga oggyeko ebiseera ebyo, mmwe nabo temulina musango mwena wamu bwe bayingira gye muli nga tebasabye, abantu abo babeetoololeramu ng'abamu musisinkana ba nnammwe, bwatyo (Katonda) bwa bannyonnyola e bigambo anti bulijjo Katonda mumanyi nnyo mugoba nsonga

    [59] Abato mu mmwe bwe batuuka e myaka gy'obukulu bateekwa okusaba okukkirizibwa okuyingira nga bwe basaba abo abakulembedde, bwatyo Katonda bwabannyonnyola ebigambobye, era bulijjo Katonda mumanyi nnyo mugoba nsonga

    [60] N'abannyuka eby'obufumbo mu bakyala abo abatakyalina ssuubi mu kufumbirwa, tebalina kabi obuteebikkirira naye nga tebegyagyama na bya kwenyiriza, era okwessaamu ensa kye kisinga obulungi gye bali, era bulijjo Katonda awulira nnyo mumanyi

    [61] Muzibe talina kibi, n'omulema talina kibi wadde omulwadde talina kibi (nga bbo) namwe temulina kibi okulya mu maka gammwe, oba mu maka ga ba kitammwe, oba mu maka ga ba nnyammwe, oba mu maka ga baganda ba mmwe, oba mu maka ga bannyinammwe, oba mu maka ga ba kitammwe abato oba mu maka ga ba senga mmwe, oba mu maka ga ba kojjammwe oba mu maka ga ba maama ba mmwe abato, oba amaka ge mufuga ebisumuluzo byago, oba amaka ga mukwano gwa mmwe temulina kabi okuliira awamu oba nga mweyawudde yawudde, bwe muyingiranga amayumba mwetoolere ‘salaamu’, ekyo nga kiramuso eky'omukisa ekirungi ekiva ewa Katonda. Bwatyo Katonda bwabannyonnyola ebigambo (bye) mulyoke mutegeere

    [62] Mazima abakkiriza beebo abakkiriza Katonda n'omubakawe era bwe baba naye ku nsonga ebakwatako bonna tebayinza kuvaawo okugyako nga bamaze kumusaba, mazima abo abakusaba okubakkiriza bagende, abo beebo abakkiriza Katonda n'omubakawe, kale bwe baba bakusabye olw'ezimu ku nsonga zaabwe wa olukusa oyo gwoba oyagadde mu bo era osabe Katonda abawe ekisonyiwo, mazima Katonda musonyiyi nnyo musaasizi

    [63] Temufuulanga engeri gye mukoowoola omubaka nga engeri gye mwekoowoolamu mwekka na mwekka, mazima Katonda amanyi abo abeemulula mu mmwe nga bebbirira, abo abaawukana ku kigambokye bateekeddwa okutya okuba nga batuukwako okugezesebwa oba ebibonerezo ebiruma ennyo

    [64] Abange, mazima bya Katonda yekka ebiri mu ggulu omusanvu n'ensi, mazima amanya ekyo kye mubaako era amanyi olunaku lwe baliddizibwa gyali olwonno abategeeze bye bakola era Katonda amanyidde ddala ebikwata ku buli kintu

    Ekipimo

    Surah 25

    [1] Musukkulumu oyo eyassa Kur’ani ku mudduwe eyawula wakati w'amazima n'obulimba alyoke abeere omutiisa eri ebitonde

    [2] Oyo (Katonda) bubwe yekka obufuzi bw'eggulu omusanvu n'ensi era teyeeteerawo mwana era talina amwegattako mu bufuzi era yatonda buli kintu naakikola olukola olukisaanira

    [3] Ate (abatakkiriza) bamuvaako ne beeteerawo ba katonda abalala abatalina kintu kyonna kye batonda so ng'ate bbo baatondebwa, era nga tebalina buyinza kwetuusaako kabi oba ekirungi, era tebalina buyinza ku kufa wadde ku bulamu wadde ku kuzuukira

    [4] Abaakaafuwala bagamba nti ebigambo (bya Muhammad) tebirina kye biri okugyako okuba nti bulimba bwe yagunjaawo, era abantu abalala ne bamuyamba ku bwo, olwo nno ne baba nga baleese okweyisa obubi n'okutemerera

    [5] Era ne bagamba nti (byayogera) nfumo z'abaasooka, yasaba ne zimuwandiikirwa olwo nno zimusomerwa enkya n'eggulo

    [6] Bagambe nti (Kur’ani) yagissa oyo amanyi ebyama byo mu ggulu omusanvu ne nsi, mazima yye (Katonda) bulijjo musonyiyi musaasizi

    [7] Era baagamba nti: ono mubaka wangeriki alya emmere naatambula mu butale!, singa Malayika yassibwa gyali naabeera mutiisa awamu naye (nga amuyambako)

    [8] Oba eby'obugagga nebissibwa gyali (okuva mu ggulu) oba abe nga alina e nnimiro mwalya. Era abeeyisa ne bagamba nti temulina gwe mugoberera okugyako omusajja omuloge

    [9] Laba engeri gye bakukubira ebifaananyi, olwo nno ne babula, n'olwekyo tebayinza kufuna kkubo libazza (ku mazima)

    [10] Musukkulumu oyo singa aba ayagadde yaalikuteereddewo ebirungi okusinga ebyo, (nga nabyo) g'emalimiro agakulukutiramu emigga era naakuteerawo embiri

    [11] Wabula (ekibaleetera obuzibu kwe kuba nti) balimbisa olunaku lw'enkomerero, ate nga twategekera abalimbisa olunaku lw'enkomerero omuliro Saira

    [12] (Omuliro ogwo) bwe gulibalaba okusinziira ewala baliwulira mu gwo okutokota n'okududuma

    [13] Bwe balisuulibwa mu gwo, nga buli omu asuulibwa mu kifo ekifunda nga balijjiddwa, olwo nno balikaaba yaaye

    [14] Baligambibwa nti temukaaba ‘yaaye’ mulundi gumu, mukaabe ‘yaaye’ emirundi mingi

    [15] Bagambe nti ekyo (eky'okuyingira omuliro) kye kirungi oba e jjana ey'olubeerera eyo eyalagaanyisibwa abatya Katonda, egenda kubeera mpeera gye bali era nga buddo

    [16] Muyo bagenda kufuna bye baagala baakubeeramu obugenderevu (ekyo) ku Mukama omulabiriziwo ndagaano erina okukuumwa obutiribiri

    [17] N'olunaku lwalibakungaanya n'ebyo bye basinza ne baleka Katonda alibagamba nti mmwe mwabuza abaddu bange abo oba be baabulwa ekkubo

    [18] Baligamba nti: wasukkuluma Mukama. Tekitugwanirangako kweteerawo bakuumi balala ne tukuvaako, wabula wabeeyagaza ne bakadde baabwe okutuusa lwe beerabira okutendereza ne baba abantu ab'okuzikirira

    [19] (Katonda alibagamba nti) mazima babalimbisizza ku ebyo bye mwogera temusobola kweggyako bibonerezo wadde okutaasibwa, oyo yenna eyeeyisa obubi mu mmwe tumukombesa ku bibonerezo ebikambwe

    [20] Era tetwatuma olubereberye lwo babaka okugyako nga mazima bbo baliira ddala emmere nga batambula ne mu butale, era netufuula abamu ku mmwe ekikemo eri abalala, abaffe munagumiikiriza, bulijjo Mukama omulabiriziwo alabira ddala

    [21] Abo abatasuubira kutusisinkana ne bagamba nti singa twassibwako ba Malayika oba netulaba Mukama omulabirizi waffe, mazima beekuza nnyo mu myoyo gya bwe ne babula olubula oluyitirivu

    [22] Olunaku lwe baliraba ba Malayika tewaliba mawulire ga ssanyu ku lunaku olwo eri aboonoonyi, era (ba Malayika) baligamba nti: kikafuuwe tekigenda kubaawo (omu ku mmwe okuyingira (e jjana)

    [23] Awo nno tulidda ku buli mulimu gwe baakola ne tugufuula olufufugge olufuumuddwa

    [24] Abantu b'o mu jjana ku lunaku olwo be baliba n'obutuulo obulungi, era be baliba n'ebifo ebirungi ebiwummulirwamu

    [25] N'olunaku eggulu lwe liriyatikamu ne riba nga lijjudde ebire, era ba Malayika ne bassibwa olussibwa

    [26] Obufuzi obwa nnamaddala ku lunaku olwo buliba bwa Mukama Katonda ow'ekisa ekingi, lugenda kuba lunaku luzito nnyo ku bakaafiiri

    [27] Era olunaku eyeeyisa obubi lwaliruma engaloze aligamba nti zinsanze, singa nateekawo ekkubo erinnyunga ku Mubaka

    [28] Nga ndabye nze singa ssaafuula gundi w'amukwano

    [29] Mazima yambuza nanzigya ku kubuulirira oluvanyuma lw'okuba nti kwanzijira, anti bulijjo Sitane ayabulira omuntu

    [30] Omubaka aligamba nti ayi Mukama omulabirizi wange, mazima abantu bange Kur’ani eno baagifuula kifulukwa

    [31] Era bwe kityo buli Nabbi twamuteerawo omulabe nga ava mu boonoonyi, era Mukama omulabiriziwo amala okuba nga ye mulungamya era omutaasa

    [32] Abo abaakaafuwala ne bagamba nti singa Kur’ani yassibwa ku ye omulundi gumu, twagissa bwe tutyo (mu bitundu tundu) tube nga tunyweza nayo omutimagwo era ne tugikusomera olusoma (mpola mpola)

    [33] Tebalina lwe bakuleetera kyakulabirako wabula nga tukuleetera amazima n'ennyinyonnyola esinga obulungi

    [34] Abo abaliwalulirwa ku byenyi bya bwe nga batwalibwa mu muliro Jahannama, abo be bali mu kifo ekisinga obubi era be basinga okubula okuva ku kkubo

    [35] Mazima twawa Musa ekitabo ne tumussaako Mugandawe Haruna nga muyambi

    [36] Netugamba nti mwembi mugende eri abantu abaalimbisa ebigambo byaffe, olwo nno ne tubazikiriza oluzikiriza

    [37] N'abantu ba Nuhu bwe baalimbisa ababaka twabazikiririza mu mazzi netubafuula eky'okulabirako eri abantu.Era twategekera abeeyisa obubi ebibonerezo ebiruma

    [38] Era twazikiriza abantu ba A’di, n'aba Thamud, era ne ba nannyini luzzi, era netuzikiriza n'abantu b'emirembe emirala mingi wakati w'abo

    [39] Buli mulembe ku egyo twabakubiranga ebifaananyi (ebyabo abaabasookawo), era buli bamu ku abo twabazikiriza oluzikirira (olw'obugyemu bwa bwe)

    [40] (Abagatta ku Katonda ebintu ebirala ab'e Makkah baali batambula e gendo zaabwe) mazima baatuuka mu kitundu ekya fukumulwako ebibonerezo ebibi (amayinja agaakuba ab'omulembe gwa Luutu). Abaffe baali tebakiraba (ne beebuulirira) wabula baali tebasuubira kuzuukira

    [41] Era bwe baba bakulabye tebalina ngeri gye bakulaba okugyako ekyokujeeja obujeeja (nga bwe bagamba) nti ono yooyo Katonda gwatumye nga Mubaka

    [42] Ali kumpi nnyo okutubuza nga atujja ku ba katonda baffe singa tunaaba tetunyweredde ku kusinza bbo, era bajja kumanya mu kiseera webanaalabira ebibonerezo ani eyabula okuva ku kkubo (eggolokofu)

    [43] Abaffe olaba oyo afuula okwagalakwe nga ye Katonda we, abaffe ggwe onoobeera ku ye omweyimirize

    [44] Oba olowooza nti abasinga obungi mu bo bawulira ebigambo bya Katonda, oba babitegeera, tebalina kye bali ku ebyo okugyako balinga nsolo, wabula bo be baabula okuva ku kkubo eggolokofu

    [45] Abaffe tolaba Mukama omulabiriziwo engeri gyawanvuyaamu ekisiikirize, singa yayagala yaali kirese nga kiyimiridde mu kifo kimu, ate twafuula enjuba nga y'eraga okubaawo n'okutambula kw'ekisiikirize

    [46] Bwe tumala tukikwata ne tukiggyawo nga tukiggyawo mpola mpola

    [47] Era yye (Katonda) yooyo eyabateerawo ekiro nga kibikka, naabateerawo n'okwebaka nga kuwummula naateekawo obudde obw'emisana nga mwe musaasaanira (olw'okunoonya eky'okulya)

    [48] Era yye yooyo asindika empewo nga zisaasaanya amawulire ag'essanyu (enkuba) nga ekyo kiri wansi wa mikono gya kusaasirakwe, era tussa okuva mu ggulu amazzi amayonjo

    [49] Tube nga tuzza buggya ekitundu ekikaze era tuganywese bingi mu bye twatonda (nga) ebisolo n'abantu bangi

    [50] Era mazima twaginnyonnyola (Kur’ani) mu bo babe nga beebuulirira wabula abantu abasinga obungi ne bagaana era nebakalambirira ku bukaafiiri

    [51] Singa twayagala buli kitundu twandikitumidde omutiisa, (naye twasalawo obeere omubaka eri bonna)

    [52] N'olwekyo togondera bakaafiiri (kozesa Kur’ani) obalwanyise olulwana olw'amanyi

    [53] Era (Katonda) yooyo eyagatta amazzi ag'ennyanja ebbiri (ez'enjawulo), gano malungi nnyo era nga ganywebwa ate nga gali g'amunnyu teganywebwa, era yassa wakati wa gombi ekyawula era ekiziyiza ekigagaana okwetabula

    [54] Era yye yooyo eyatonda omuntu nga amuggya mu mazzi, (mu muntu oyo yennyini) naggyamu ab'oluganda n'abako. Bulijjo Mukama omulabiriziwo muyinza

    [55] (Ate abantu balekawo Katonda) ne basinza ebintu ebirala ebitali Katonda ebyo ebitabagasa era ebitayinza kubatuusaako kabi, era bulijjo omukaafiiri ayamba Sitane mu kulwanyisa Mukama omulabiriziwe

    [56] Era tetwakutuma okugyako nga oli omusanyusa era omutiisa

    [57] Gamba nti: (kino kye nkola) sikibasabaako mpeera (era sirina kye njagala) okugyako oyo asalawo okweteerawo ekkubo erimutwala eri Mukama omulabiriziwe

    [58] Era weekwate ku mulamu oyo atafa, era otendereze ebitendobye. Kimala okuba nti yye amanyidde ddala ebyonoono bya baddube

    [59] Oyo eyatonda eggulu omusanvu n'ensi n'ebiri wakati wa byombi mu nnaku mukaaga oluvanyuma naatereera ku Arishi (Katonda) omusaasizi ow'ekisa ekingi (bwoba oyagala okumumanya) buuza abakenkufu ku bimukwatako

    [60] (Abakaafiiri) bwe bagambibwa nti muvunnamire omusaasizi ow'ekisa ekingi (Katonda), bagamba nti omusaasizi ow'ekisa ekingi oyo yaani! Tumale gavunnamira oyo gwotulagira (nga tetumanyi) ne kibongera kwesamba (ddiini)

    [61] Musukkulumu oyo eyassa mu ggulu ebifo ebibeeramu emmunyeenye, era nassaamu ettaala (enjuba eyaka) n'omwezi oguwa ekitangaala

    [62] Era yye yooyo eyassaawo ekiro n'emisana nga bigoberegana (yabiteerawo) oyo ayagala okwebuulirira oba ayagala okwebaza

    [63] Bo abaddu ba Katonda beebo abatambula ku nsi nga bakkakkamu. Abatategeera bwe boogera nabo (ebintu by'ekiyaaye) bo baddamu nti mirembe

    [64] Era beebo kulwa Mukama omulabirizi waabwe abasula nga bavunnama era abayimirira (nga basaala)

    [65] Era beebo abagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe tuwuguleko ebibonerezo by'omuliro Jahannama anti mazima ebibonerezo byagwo bya lubeerera

    [66] Mazima ggwo kifo era butuulo bubi

    [67] (Abaddu ba Katonda) era beebo bwe baba nga bagabye tebadiibuuda era tebaganiriza, okuwaayo kwa bwe kuli wakati w'ebyo byombi

    [68] Era beebo abatasinza kintu kirala awamu ne Katonda, era abatatta muntu oyo Katonda gwe yaziza okugyako nga waliwo ensonga, era abatayenda, omuntu akola ekimu ku ebyo agenda kusisinkana (e bibonerezo) bye bibi (bye)

    [69] (Si kye kyokka wabula) ebibonerezobye bigenda kubazibwamu ku lunaku lw'enkomerero era waakubituulamu obugenderevu mu ngeri enyoomesa

    [70] Okugyako oyo alyenenya nakkiriza naakola emirimu emirungi. Abo nno Katonda ebibi bya bwe agenda kubawaanyisizaamu ebirungi. Era bulijjo Katonda musonyiyi musaasizi

    [71] Omuntu yenna ayeenenya naakola emirimu emirungi, mazima yye aba yeemenyedde Katonda olw'emenya olwannamaddala

    [72] (Abaddu ba Katonda) era beebo tebawa bujulizi ku bigambo bya bulimba, era bwe bayita mu bifo omukolerwa ebitali bya magezi bayitawo nga beewa ekitiibwa

    [73] Era beebo bwe bajjukizibwa ebigambo bya Mukama omulabirizi waabwe tebabidduka nga ba kiggala oba ba muzibe

    [74] Era beebo abagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe, tuwe nga oggya mu betwafumbiriganwa nabo era nga oggya ne mu zadde lyaffe ekitebenkeza amaaso gaffe, era otufuule abakulembeze baabo abakutya

    [75] Abo nno bagenda kusasulwa nga baweebwa ebifo bya waggulu olw'obugumiikiriza bwe baakola. Nga bali mu byo bagenda kuweebwa ebiramuso ne ssalaamu (eziriva mu ba Malayika)

    [76] Baakubeeramu olubeerera nga butebenkero era butuulo obulungi

    [77] Bagambe (ggwe Muhammad abo abawakanya Katonda) nti Katonda talina kimutawaanya lwa kuba nti temumusaba, mazima mwalimbisa era mu bwangu mujja kutuukibwako e bibonerezo ebyakakata edda ku mmwe

    Abayimbi

    Surah 26

    [1] Twaa Siin Miim

    [2] Ebyo bye bigambo by'ekitabo ekinnyonnyola

    [3] Olabika nga ayagala okwetta olw'okuba bagaanye okuba abakkiriza

    [4] Singa twagadde twandissizza ku bo okuva mu ggulu akabonero, ensingo zaabwe nezikugondera olubeerera

    [5] Tewali bubaka bwonna bupya kuva wa Katonda Omusaasizi ennyo wabula bo babuwakanya

    [6] Nebaba nga mazima balimbisa, bigenda kubajjira ebigambo ebyo bye baali bajeeja

    [7] Abaffe tebatunuulira nsi ne balaba bimeka bye twameza mu yo mu buli mutindo oguvaamu emigaso

    [8] Mazima mu ekyo ddala mulimu akabonero (akalaga obuyinza bwaffe), wabula bangi mu bo tebakkiriza

    [9] Era mazima Mukama omulabiriziwo ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi ennyo

    [10] Era jjukira ekiseera Mukama omulabiriziwo bwe yakoowoola Musa (naamulagira) nti: genda eri abantu abeeyisa obubi

    [11] Abantu ba Firaawo (obagambe nti) abaffe tebatya Katonda

    [12] (Musa) naagamba nti: mazima nze ntya okuba nga bannimbisa

    [13] Ekifuba kyange ne kifunda olulimi lwange ne rutayatula, n'olwekyo lagira Haruna (annyambeko)

    [14] Ate banninako omusango, ntya nti bayinza okunzita

    [15] (Katonda) naagamba nti nedda mugende n'obubonero bwaffe mazima ffe tuli wamu na mmwe tuwulira (tugoberera buli ekigenda mu maaso)

    [16] Mugende ewa Firaawo mumugambe nti mazima ffe tutumiddwa Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna

    [17] (Atugambye nti) tuwe abaana ba Israil tugende nabo

    [18] (Firaawo) naagamba nti tetwakukuliza mu ffe okuva nga oli mwana muto, era nga wawangaalira mu ffe emyaka mingi ku buwangaazibwo

    [19] Era nookola ekikolwakyo ekyo kye wakola e kyakufuula okuba mu batasiima bye bakolerwa

    [20] (Musa) naagamba nti nnakikola bwe nnali nkyali mu babuze

    [21] Olwo nno nembadduka bwe nnabatya, awo Mukama omulabirizi wange nangabira okumanya e nsonga era nanteeka mu babaka

    [22] Ne'kyo e kyengera (eky'okundera n'okukulira mu mmwe) okindalaasaako naye nga ggwe abaana ba Israil wabafuula abaddu

    [23] Firaawo naagamba nti Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna gwoyogerako yaani

    [24] Musa naagamba nti Mukama omulabirizi w'eggulu omusanvu n'ensi n'ebiri wakati wa byombi bwe muba nga mwetegereza ebintu

    [25] (Firaawo) kwe kugamba abaali naye awo nti: abaffe temuwulira (nga bwabijweteka)

    [26] (Musa) naagamba nti ye Mukama omulabirizi wa mmwe, era Mukama omulabirizi wa bakadde ba mmwe abaasooka

    [27] (Firaawo) naagamba nti: mazima omubaka wa mmwe oyo eyatumiddwa gye muli mulalu

    [28] (Musa) naagamba nti (ye) Mukama omulabirizi w'ebuvanjuba n'ebugwanjuba n'ebyo ebiri wakati wa byombi singa mubadde mutegeera

    [29] (Firaawo) naagamba nti mazima singa oteekawo Katonda omulala atali nze nja kukuteera ddala mu b'okusibwa

    [30] (Musa) naagamba nti ne bwennaaba nkuleetedde ekintu ekyeyolefu (ekiraga obutuufu bw'ebyo bye ngamba)

    [31] (Firaawo) naagamba nti kale kireete bwoba nga oli mu boogera amazima

    [32] Awo nno Musa naasuula omuggogwe, okugenda okulaba nga musota omweyolefu

    [33] Era naggyayo omukonogwe okugenda okulaba nga ggwo gwakaayakanira abalabi

    [34] (Firaawo) naagamba abo abaali batudde waali nti mazima ono mulogo kafulu

    [35] Ayagala kubaggya mu nsi yammwe ku lw'eddogolye kati mugamba ki

    [36] Ne bagamba nti mulagaanyise ne Mugandawe (ddi na wwa) aw'okubasisinkana era otume mu bitundu eby'enjawulo abakungaanya abalogo

    [37] Bajja kukuleetera buli mulogo kakensa

    [38] Olwo nno abalogo ne bakungaanyizibwa mu kiseera ekiragaane ku lunaku olumanyiddwa

    [39] Abantu baagambibwa nti abaffe mmwe munajja

    [40] Sikulwa nga tunaagoberera abalogo bwe banaaba bo nga be bawangudde

    [41] Abalogo bwe bajja baagamba Firaawo nti mazima tuteekwa okuweebwa empeera bwe tunaaba nga ffe tuwangudde

    [42] (Firaawo) naagamba nti weewaawo era mazima mmwe singa kinaaba bwe kityo mujja kubeera ba ku lusegere

    [43] Musa naabagamba nti kale mwanje kye mwanja

    [44] Nebasuula e miguwa gya bwe n'emiggo gya bwe era ne bagamba nti ku lw'ekitiibwa kya Firaawo mazima ffe tujja okuwangula

    [45] Olwo nno Musa naasuula omuggogwe okugenda okulaba nga gwo gumira buli kye baali bagunjizzaawo

    [46] Awo nno abalogo ne beeyala nga bavunnama

    [47] Nebagamba nti tukkirizza Mukama Omulabirizi w'ebitonde

    [48] Mukama omulabirizi wa Musa ne Haruna

    [49] Firaawo naagamba nti: mukkirizza byagamba nga sinnaba kubawa lukusa, (kirabika) nti mazima yye ye mukulu wa mmwe oyo eyabayigiriza eddogo, kale nno mujja kukitegeera, nja ku bakutulako e mikono gya mmwe n'amagulu ga mmwe nga bwe nkuggyako okugulu okwa ddyo, omukono nkuggyako gwa kkono, era ddala mwenna nja ku bakomerera ku musaalaba

    [50] Ne bagamba nti ekyo tekiriimu buzibu, (anti) mazima ffe tujja kuba tudda eri Mukama omulabirizi waffe

    [51] Mazima ffe tululunkanira okuba nga Mukama omulabirizi waffe atusonyiwa ebyonoono byaffe bwe tuba nga ffe abakkiriza abasooka

    [52] Era netutumira Musa nti tambula ekiro n'abaddu bange, mazima mmwe mujja kulondoolwa

    [53] Firaawo naatuma mu bibuga abakungaanya (eggye era naagamba nti)

    [54] Mazima abo kabiina ka bantu batono

    [55] Era mazima bbo batunyiizizza

    [56] Era nga bulijjo mazima ffe nga tukolera wamu tuli abantu abeekengera

    [57] (Okusinziira ku nteekateeka zaabwe ne bye bakola ate) twabaggya mu malimiro ne nsulo ezikulukuta

    [58] N'amawanika n'ebifo eby'ekitiibwa

    [59] Bwe tutyo nno ne tubisikiza abaana ba Israil

    [60] Olwo nno nebabagoberera nga busaasaana

    [61] Ebibinja byombi bwe byalengeragana abantu ba Musa baagamba nti mazima ffe bajja kutukwata (batutte)

    [62] (Musa) naagamba nti nedda mazima Mukama omulabirizi wange ali nange ajja kundaga eky'okukola

    [63] Awo nno ne tutumira Musa nti kuba omuggogwo ku nnyanja, olwo neebajjukamu, buli kibajjo ne kiba nga olusozi olunene

    [64] Netusembeza awo abalala (Firaawo ne ggyerye nabo ne bayingira e kkubo Musa lye yakuba ku nnyanja)

    [65] Netuwonya Musa n'abaali naye bonna

    [66] Oluvanyuma ne tuzikiriza abasigadde

    [67] Mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga naye abasinga obungi mu bo tebaali bakkiriza

    [68] Era mazima Mukama omulabiriziwo yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi

    [69] Era basomere ebigambo ebikwata ku Ibrahim

    [70] Bwe yagamba kitaawe n'abantu be nti musinza biki

    [71] Nebagamba nti tusinza amasanamu tubeera we gali era ne tugawa ebiseera bingi mu kugasinza

    [72] (Ibrahim) naagamba nti abaffe bwe musaba gabawulira

    [73] Oba gabagasa oba gasobola okubatuusaako akabi

    [74] Nebagamba nti nedda wabula bwe tutyo bakadde baffe bye twasanga bakola

    [75] Naagamba nti mulaba ebyo bye musinza

    [76] Mmwe ne bakadde ba mmwe abaabakulembera

    [77] Mazima byo balabe bange, okugyako Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna

    [78] Oyo eyantonda, yye y'annungamya

    [79] Era yye yooyo andiisa nannyweesa

    [80] Era bwe ndwala yye y'amponya

    [81] Era yooyo anzita ate nampa obulamu

    [82] Era yye gwe ndulunkanira abe nga ansonyiwa ebyonoono byange ku lunaku lw'okusasulwa

    [83] Ayi Mukama omulabirizi ngabira okumanya ensonga era onsisinkanye abalongoofu

    [84] Era onteerewo okwogerwako obulungi mu balijja oluvanyuma

    [85] Era onteeke mu balisikira e jjana ey'ebyengera

    [86] Era sonyiwa Kitange mazima yye yali mu babuze

    [87] Era tonswazanga olunaku lwe balizuukizibwa

    [88] Olunaku emmaali n'abaana lwe bitaligasa

    [89] Okugyako (aliganyulwa) yooyo alijja ewa Katonda n'omutima omuyonjo

    [90] E jjana erisembezebwa eri abatya Katonda

    [91] N'omuliro ne gulagibwa eri ababuze

    [92] Era bagenda kugambibwa nti biriwa ebyo bye mwasinzanga

    [93] Ne muleka Katonda, abaffe bisobola okubataasa oba byo bisobola okwetaasa

    [94] Olwo nno ne bakasukibwa mu gwo bo n'ababuze

    [95] Na bonna abali muggye lya Ibuliisu

    [96] Baligamba nga bali mu gwo nga bakaayagana (nti)

    [97] Tulayira Katonda nti mazima ddala twali mu bubuze obw'olwatu

    [98] Bwe twabenkanya (mmwe) ne Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna

    [99] Era tewali yatubuza okugyako aboonoonyi

    [100] N'olwekyo tetulina bawolereza

    [101] Wadde ow'omukwano alumirwa

    [102] Naye singa tubadde tulina omukisa (okudda ku nsi) ne tuba mu bakkiriza

    [103] Mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga naye abasinga obungi mu bo tebakkiriza

    [104] Era mazima Mukama omulabiriziwo ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaazizi

    [105] Abantu ba Nuhu baalimbisa ababaka

    [106] Mu kiseera muganda waabwe Nuhu we yabagambira nti abaffe temutya (Katonda)

    [107] Mazima nze gye muli ndi mubaka omwesigwa

    [108] Kale mutye Katonda era mungondere

    [109] Era sikibasabirako mpeera, empeera yange teri okugyako ku Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna

    [110] Kale mutye Katonda era mungondere

    [111] Nebagamba nti abaffe tukukkirize nga abakugoberedde be ba wansi

    [112] Naagamba nti: mmanya ntya bye baali bakola

    [113] Okubalibwa kwa bwe tekuli okugyako kuli ku Mukama omulabirizi wange singa mubadde mumanyi

    [114] Ate nze siri wa kugoba bakkiriza (olw'okuba ba wansi)

    [115] Nze siri okugyako omutiisa ow'olwatu

    [116] Nebagamba nti: owange Nuhu bwo teekomeko ojja kubeerera ddala mu b'okukubwa amayinja

    [117] Naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange mazima abantu bange bannimbisizza

    [118] Kale salawo wakati wange nabo olusalawo olwannamaddala, era omponye owonye n'abakkiriza bendi nabo

    [119] Ne tumuwonya n'abo abaali naye mu lyato eryali lijjudde

    [120] Oluvanyuma twazikiriza abaasigala

    [121] Mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga naye abasinga obungi mu bo tebakkiriza

    [122] Era mazima Mukama omulabiriziwo ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi

    [123] Abantu ba A’di baalimbisa ababaka

    [124] Mu kiseera muganda waabwe Hudu lwe yabagamba nti abaffe temutya (Katonda)

    [125] Mazima nze gye muli ndi mubaka omwesigwa

    [126] Kale mutye Katonda era mungondere

    [127] Era sikibasabirako mpeera empeera yange teri okugyako ku Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna

    [128] Abaffe muzimba ku buli katunnumba ekijjukizo nga muzannya buzannyi

    [129] Era nemweteerawo amayumba amagundiivu nga mulinga abalibeerawo olubeerera

    [130] Ate bwe mukwata (abalabe ba mmwe) mukwata enkwata eya ba kirimaanyi (abanyigiriza bannaabwe)

    [131] Kale mutye Katonda era mungondere

    [132] Era mutye oyo abagabirira ebyo bye mumanyi

    [133] Abagabirira ebisolo ebirundibwa era n'abaana

    [134] N'amalimiro n'emigga

    [135] Mazima nze ku lwa mmwe ntya ebibonerezo by'olunaku oluzibu

    [136] Nebagamba nti kyekimu obuuliridde oba toli mu babuulirira

    [137] Tekiri kino (eky'okubuulirira kwokola) okugyako nkola ya baasooka

    [138] Era ffe tetuli ba kubonerezebwa

    [139] Nebamulimbisa olwo nno ne tubazikiriza, mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga naye abasinga obungi mu bo tebakkiriza

    [140] Era mazima Mukama omulabiriziwo ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi

    [141] Abantu ba Thamud baalimbisa ababaka

    [142] Mu kiseera muganda waabwe Swalehe we yabagambira nti abaffe temutya (Katonda)

    [143] Mazima nze gye muli ndi mubaka mwesigwa

    [144] Kale mutye Katonda era mungondere

    [145] Era sikibasabirako mpeera empeera yange teri okugyako ku Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna

    [146] (Mulowooza nti) mujja kulekebwa mirembe mu bintu ebiri wano

    [147] (Nga muli) mu malimiro n'emigga

    [148] N'ebimera n'emitende egiweese enkota enzito

    [149] Era nemukola amayumba mu nsozi mu ngeri y'ekikugu

    [150] Kale mutye Katonda era mungondere

    [151] Era temugondera ekigambo ky'abasukka e nsalosalo za Katonda

    [152] Abo aboonoona mu nsi nebatalongoosa

    [153] Nebagamba nti mazima ggwe oli wa mu baloge

    [154] Toli ggwe okugyako muntu nga ffe, kale leeta akabonero bwoba nga oli mu boogera amazima

    [155] Naagamba nti engamiya yiino, erina okunywa (ku lunaku lwayo) nammwe munywe ku lunaku olumanyiddwa

    [156] Temugituusangako kabi ne bibakwata e bibonerezo by'olunaku oluzito

    [157] Wabula baagifumita (neefa) olwo nno ne baba nga bejjusa

    [158] Ebibonerezo ne bibatuukako mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga, naye abasinga obungi mu bo tebakkiriza

    [159] Era mazima Mukama omulabiriziwo ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi

    [160] Abantu ba Luutu baalimbisa ababaka

    [161] Mu kiseera Muganda waabwe Luutu we yabagambira nti abaffe temutya (Katonda)

    [162] Mazima nze gye muli ndi mubaka omwesigwa

    [163] Kale mutye Katonda era mungondere

    [164] Era ssi kibasabirako mpeera empeera yange teri okugyako ku Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna

    [165] Abaffe mu bitonde byonna ne mwagalamu basajja

    [166] Ne muleka ekyo Mukama omulabirizi wa mmwe kye yabatondera mu abo be mwafumbiriganwa nabo, wabula mmwe muli bantu abasukka ebikomo

    [167] Nebagamba nti owange Luutu bwoteekomeko ojja kubeerera ddala mu bafulumizibwa (ne bagobwa mu nsi eno)

    [168] Naagamba nti mazima ndi omu ku batamwa ekikolwa kya mmwe (eky'ebisiyaga)

    [169] Ayi Mukama omulabirizi wange mponya n'abantu bange mu ebyo bye bakola

    [170] Netumuwonya n'abantu be bonna

    [171] Okugyako omukazi omukadde omu eyali mu baasigala

    [172] Oluvanyuma twazikiriza abalala (bonna)

    [173] Netubatonnyesaako enkuba, mazima yali mbi nnyo enkuba y'abo abaalabulwa (ne bateebuulirira)

    [174] Mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga kinene naye abasinga obungi mu bo tebakkiriza

    [175] Era mazima Mukama omulabiriziwo ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi

    [176] Abantu b'o mu kitundu eky'ekibira baalimbisa ababaka

    [177] Mu kiseera Swaibu bwe yabagamba nti abaffe temutya (Katonda)

    [178] Mazima gye muli ndi Mubaka omwesigwa

    [179] Kale mutye Katonda era mungondere

    [180] Era sikibasabirako mpeera empeera yange teri okugyako ku Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna

    [181] Era mutuukirizenga okupima temubeera mu abo abafiiriza abalala

    [182] Mupimisenga ebipimo ebituufu

    [183] Temukendeerezanga abantu ebintu bya bwe, temukolanga ebibi mu nsi ne muba aboonoonyi

    [184] Era mutye oyo eyabatonda n'atonda n'emirembe egyasooka

    [185] Nebagamba nti mazima ggwe oli mu baloge

    [186] Toli ggwe okugyako muntu nga ffe, era tukulowooza okuba nti oli mu balimba

    [187] Kale nno tusuuleko ekibajjo okuva waggulu bwoba nga oli mu boogera amazima

    [188] Naagamba nti Mukama omulabirizi wange yaasinga okumanya ebyo bye mukola

    [189] Wabula baamulimbisa ne bibakwata ebibonerezo ku lunaku ekire lwe kyabasiikiriza. Mazima kyo kyali kibonerezo kya lunaku oluzito

    [190] Mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga naye abasinga obungi mu bo tebakkiriza

    [191] Era mazima Mukama omulabiriziwo, ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi

    [192] Era mazima yyo (Kur’ani) yassibwa Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna

    [193] Yakka nayo mwoyo omwesigwa (Jiburilu)

    [194] (Naagissa) ku mutima gwo olyoke obe mu batiisa (abantu okukola ebibi)

    [195] Nga eri mu lulimi oluwarabu olutegeerekeka

    [196] Era mazima yo eyogerwako mu bitabo eby'edda ebyasooka

    [197] Abaffe tekibamala kuba bujulizi okuba nti bagimanyi abayivu b'abaana ba Israil

    [198] Singa twagissa ku bamu mu batali bawarabu

    [199] Olwo nno (omu kubo) naagibasomera tebandigikkirizza

    [200] Bwe kityo twagiyingiza mu mitima gy'aboonoonyi

    [201] Tebagenda kugikkiriza okutuusa lwe baliraba ebibonerezo ebiruma

    [202] Ebiribajjira ekibwatukira nga bo tebategedde

    [203] Olwo nno bagambe nti abaffe tusobola okulindirizibwa

    [204] Abaffe ebibonerezo byaffe bye basaba okubaleetera amangu

    [205] Okiraba nti singa tubawangaazizza emyaka (egiwera)

    [206] Oluvanyuma ne bibajjira ebyo bye balagaanyisibwa

    [207] Tebiyinza kubayamba ebyo bye baaweebwa okweyagaliramu

    [208] Tewali kitundu kye twazikiriza okugyako nga kimaze kufuna batiisa (ba Nabbi)

    [209] (Kyabanga bwe kityo) lwa kubabuulirira, tetubangako balyazaamaanyi

    [210] Era Sitane ssi ze zaajissa (Kur’ani)

    [211] Era tekizisaanira era nga tezikisobola

    [212] (Ku lw'ensonga nti) mazima zaaziyizibwa okuwulira ebifa mu ggulu

    [213] (N'olwekyo) bwoba osinza Katonda tomugattako kintu kirala (anti bwokikola) obeera wa mu balibonerezebwa

    [214] Era tiisa ab'oluganda lwo ab'okumpi

    [215] Era kakkanya ekiwawaatiro kyo (weewombeke) eri oyo aba akugoberedde mu bakkiriza

    [216] Wabula bwe bakujeemera gamba nti mazima nze nnesambye ebyo bye mukola

    [217] Era weekwate ku nantakubwa ku mukono omusaasizi

    [218] Oyo akulaba woobeerera nga oyimiridde (mu kusaala)

    [219] Era n'alaba okwekyusakyusakwo mu bavunnama

    [220] Mazima yye y'awulira ennyo omumanyi

    [221] Abaffe mbategeeze Sitane zikka ku ani

    [222] Zikka ku buli musazi w'abigambo omwonoonyi

    [223] Abo abasaasaanya bye bawulira naye nga abasinga obungi mu bo balimba

    [224] Era abatontomi, ababuze be babagoberera

    [225] Abaffe tolaba nti babulubuutira mu buli lusenyi

    [226] Era nti mazima bbo boogera bye batakola

    [227] Okugyako abo abakkiriza ne bakola emirimu emirungi ne boogera nnyo ku Katonda era ne baba nga beetaasa oluvanyuma lw'okuba nti bayisibwa bubi, era mazima abo abeeyisa obubi bagenda kumanya buddo ki gye balidda

    Enkuyege

    Surah 27

    [1] waa Siin, bino bigambo bya Kur’ani era ekitabo ekinnyonnyofu

    [2] Kya kulungamya era mawulire ga ssanyu eri abakkiriza

    [3] Abo abayimirizaawo e sswala ne batoola Zakka era nga bbo bakakasa olunaku lw'enkomerero

    [4] Mazima abo abatakkiriza lunaku lwa nkomerero twabalabisiza bulungi emirimu gya bwe, olwo nno bbo ne babulubuuta

    [5] Abo beebo abatuusibwako e bibonerezo ebizito (ng'okuttibwa) ate nga bbo ku lunaku lw'enkomerero be b'okufaafaaganirwa ennyo

    [6] Era mazima ggwe (Muhammad) oweebwa Kur’ani ng'eva (ewa Katonda) mugoba nsonga amanyi ennyo

    [7] Era jjukira (Musa) bwe yagamba ab'omu makage nti mazima nze nengedde omuliro (kanngendeyo) nja kubaleetera okuva we guli e kigambo oba mbaleetere ekitawuliro kibayambe okwota

    [8] Naye bwe yagutuukako yakoowoolwa (naagambibwa) nti wa mukisa oyo ali mu muliro n'oyo ali emabbali waagwo, era yasukkuluma Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna

    [9] Owange Musa mazima nze Katonda nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga

    [10] Era suula omuggogwo, bwe yagulaba nga gwenyeenya nga gulinga akasota akatono yakyuka nadduka era nga tayagala kudda, (Katonda kwe kumukoowoola nti) owange Musa totya mazima nze ababaka tebatya mu maaso gange

    [11] Okugyako oyo aba yeeyisizza obubi mu bantu abalala abatali babaka oluvanyuma obubi n'abuwaanyisaamu obulungi mazima nze ndi musonyiyi nnyo musaasizi

    [12] (Era Katonda naagamba Musa nti) yingiza omukonogwo mu lugoye lwo gujja kuvaayo nga mweru, so nga si mulwadde (nga ebibiri ebyo, bumu) ku bubonero omwenda bw'otwalira Firaawo n'abantube mazima bbo bantu aboonoonyi

    [13] Obubonero bwaffe bwe bwabatuukako nga bulagira ddala amazima baagamba nti lino ddogo eryeyolefu

    [14] Nebabuwakanya mu ngeri y'okweyisa obubi n'okwekuluntaza, so nga emyoyo gya bwe gya bukkiriza, kale nno tunuulira olabe enkomerero ya boonoonyi yali etya

    [15] Era mazima twawa Dauda ne Sulaiman okumanya era ne bagamba nti atenderezebwa Katonda oyo eyatusukkulumya ku bangi mu baddube abakkiriza

    [16] Era Sulaiman yasikira Dauda naagamba nti abange mmwe abantu tuyigiriziddwa olulimi lw'ebinyonyi era tuweereddwa ku buli kintu mazima kino bwe bulungi obweyolefu

    [17] Sulaiman naakungirwa eggyerye nga liva mu Majinni n'abantu n'ebinyonyi nga nabo batambulira ku nteekateeka eyabaweebwa

    [18] Okutuusa lwe baatuuka ku lusenyi lw'ensanafu, ensanafu emu kwe kugamba nti abange ba wansanafu muyingire mu bisulo bya mmwe, Sulaiman n'eggyerye tebababetenta nga nabo tebamanyi

    [19] Mu kiseera ekyo (Sulaiman) naamwenya ng'ate aseka olw'ekigambo kyayo era naagamba nti: ayi Mukama omulabirizi wange, nyamba mbe nga nsobola okwebaza ebyengerabyo ebyo bye wangabira era n'ebyo bye wagabira bakadde bange bombi era mbe nga nkola ebirungi byosiima era ku lw'okusaasirakwo onnyingize mu baddubo abalongoofu

    [20] Era Sulaiman yatunula mu binyonyi naagamba nti lwaki e fulungu siriraba oba liri mu bataliiwo

    [21] Nja ku libonereza e bibonerezo ebikakali si nakindi nja ku lisala oba ssi ekyo lindeetere ensonga ennambulukufu

    [22] (E fulungu) lyamala ebbanga eritaali ddene (oluvanyuma nerijja ewa Sulaiman) nerigamba nti nategedde ekintu kyotategeeranga era nkuleetedde okuva e Sabaa amawulire amakakafu

    [23] Mazima nze nnasanze nga omukyala y'abafuga ate nga yaweebwa buli kintu, era alina namulondo empitirivu

    [24] Namusanze (yye) n'abantube nga bavunnamira enjuba nebava ku Katonda, era Sitane yabanyiririza emirimu gya bwe, olwo nno n'ebagya ku kkubo n'olwekyo bo tebagenda kulungama

    [25] Nebatavunnamira Katonda oyo agyayo ebyekwese mu ggulu omusanvu ne mu nsi era amanyi ebyo bye mukweka ne bye mwolesa

    [26] Katonda, tewali kisinzibwa mu butuufu okugyako yye, Mukama omulabirizi wa Arishi ey'ekitiibwa

    [27] (Sulaiman) naagamba nti tujja kulaba oyogedde mazima oba oli mu balimba

    [28] Twala ebbaluwa yange eno ogibawe, bwomala baweemu akabanga olabe ki kye baddamu

    [29] (Balikiisi) bwe yafuna ebbaluwa naagamba nti abange mmwe abakungu, mazima nze mpeereddwa ebbaluwa ey'ekitiibwa

    [30] Mazima yyo eva wa Sulaiman era esoma nti ku lw'elinnya lya Katonda omusaasizi ow'ekisa ekingi omusaasizi ow'ekisa eky'enjawulo

    [31] Temunneekuluntalizaako mujje gyendi nga mukkirizza okugondera Katonda

    [32] (Balikisi) naagamba nti abange mmwe abakungu mumpe ebirowoozo ku nsonga yange eno, sisobola kusalawo nsonga okutuusa lwe mujja gyendi (ne tukyogerako)

    [33] Nebagamba nti: ffe tuli b'amaanyi ddala era ffe mu kulwana tuli bayitirivu, naye bbwo obuyinza buli gyoli, laba ki kyolagira

    [34] (Balikisi) naagamba nti: mazima abafuzi bwe bayingira e kitundu (nga bakiwangudde buwanguzi) bakyonoona ne bafuula abantu ab'ekitiibwa mu kyo abanyoomebwa era bwe batyo bwe bakola

    [35] Era mazima nze ngenda kubaweereza ebirabo olwo nno ninde bentumye badda na ki

    [36] (Abaatumwa) bwe bajja ewa Sulaiman yagamba nti: munsendasenda ne mmaali (olwo nno mbaleke) ebyo Katonda bye yampa bye birungi okusinga bye yabawa, wabula mmwe musanyuukirira nnyo olw'ebirabo bya mmwe

    [37] (Sulaiman naagamba) ddayo gye bali (n'ebirabo bya bwe) tugenda kubajjira n'eggye lye batalinaako busobozi, era (ensi eyo) tujja kugibafulumyamu nga ba wansi era nga banyoomebwa

    [38] (Sulaiman) naagamba nti abange mmwe abakungu ani mu mmwe andeetera namulondo ye nga tebannaba kunzijira nga bakkirizza Katonda

    [39] Ejinni ery'amaanyi nerigamba nti, nze nja kugikuleetera nga tonnava mu kifokyo, era mazima nze ku ekyo ndi wa maanyi omwesigwa

    [40] (Omulala) oyo alina okumanya (okw'enjawulo) okuva mu kitabo kya (Katonda) naagamba nti, nze nja kugikuleetera nga eriisolyo terinnadda gyoli (nga tonnatemya), bwe yagiraba nga eteredde waali yagamba nti, kino kya mu birungi bya Mukama omulabirizi wange abe nga angezesa, abaffe nneebaza oba sseebaza byengera, era bulijjo omuntu eyeebaza yeebaza yebaza ku lulwe, ate oyo akaafuwala mazima Mukama omulabirizi wange talina kye yeetaaga, mugabi nnyo

    [41] (Sulaiman) naagamba nti mukyusekyuse nnamulondoye tulabe anaasobola okugimanya oba anaabeera mu batasobola kugimanya

    [42] (Balikiisi) bwe yajja naagambibwa nti: eyo ye namulondoyo? naagamba nti mazima eringa yeeyo, (Sulaiman) naagamba nti: twaweebwa okumanya (Katonda) oluberyeberye lw'omukyala ono nga tanajja era tubadde basiraamu

    [43] Ekyamugaana (omukyala ono okubeera omusiraamu bye) ebyo bye yali asinza nga alese Katonda ali omu, mazima yye (balikiisi) yali ava mu bantu abakaafiiri

    [44] Naagambibwa nti: yingira olubiri (amatiribona) olwo bwe yalaba olubiri naalulabanga amayengo g'amazzi naabikkula ku ntumbweze zombiriri (olw'okutya amazzi) (Sulaiman) naamugamba nti mazima lwo lubiri (olujja lwa lwo) lwakolebwa mu birawuli nga wansi w'ebirawuli waliyo amazzi, (Balikiisi) naagamba nti Mukama omulabirizi wange, mazima nze mbadde neeyisa bubi (kaakano) nsiramuse nga ngoberera Sulaiman ku lwa Mukama omulabirizi w'ebitonde

    [45] Era mazima twatuma eri abantu b'ekika kya Thamud muganda waabwe Swaleh nti musinze Katonda ali omu, ekyaddirira abantu abo kwe kubaamu ebibinja bibiri ebikaayagana, (ekya bakkiriza n'abatakkiriza)

    [46] (Swaleh) naagamba nti abange mmwe abantu bange, lwaki musaba Katonda ekibi ng'ate temunnasaba kirungi, kale nno singa musaba Katonda okubasonyiwa mube nga musaasirwa

    [47] Nebagamba nti tujja kufuna ebizibu ku lulwo ne ku lw'abo abali naawe. (Swaleh) naagamba nti omugabo gwa mmwe mu birungi oba mu bizibu biri eri Katonda, wabula mmwe muli abantu abalabankanyizibwa

    [48] Mu kibuga kya bwe mwalimu abasajja mwenda nga boonoonyi mu nsi nga tebalongoosa

    [49] Nebagamba (bannaabwe) mulayire Katonda nti tujja kumuteega ekiro tumutte n'abantube. (bwe tunaamala okumutta) tujja kugambira ddala eri oyo yenna amulinako obuvunaanyizibwa nti: tetwabaddewo nga omuntu waabwe attibwa era mazima twogera mazima

    [50] Ne bakola e nkwe ez'okutta (Swaleh n'abantube) naffe ne tuzaanukula e nkwe ez'okumuwonya nabo nga tebamanyi

    [51] Kale laba enkomerero eyava mu nkwe zaabwe, mazima ffe twabazikiriza n'abantu baabwe bonna

    [52] Olwo nno amayumba gaabwe gaalekebwa ttayo olw'enneeyisa yaabwe embi, mazima mu ekyo mulimu e kyokuyiga eri abantu abamanyi

    [53] Twawonya abo abakkiriza ate nga baali batya Katonda

    [54] Era (jjukira omubaka waffe) Luutu bwe yagamba abantube nti: mukola ekikolwa eky'obuwemu nga mulabira ddala

    [55] Mazima mmwe obwagazi bwa mmwe mubukola ku basajja ne mulekawo abakazi, wabula mmwe muli abantu abakola ebikolwa eby'obubuyabuya

    [56] Tekwali okwanukula kw'abantube okugyako okugamba obugambi nti, muwanganguse abantu abali ne Luutu nga mu baggya mu kitundu kya mmwe anti mazima bbo bantu abeetwala okuba abatukuvu

    [57] Olwo nno ne tumuwonya n'abantube okugyako mukyalawe twamugerera (twamulamulira okubeera) mu b'okuzikirira

    [58] Netubafukirira e nkuba, n'eba nkuba mbi nnyo (eyafukirirwa) abantu abaalabubwa

    [59] Gamba (ggwe Nabbi Muhammad) nti okutenderezebwa okujjuvu kwa Katonda era nti emirembe gibeere ku baddube abo beyawa enkizo (ey'okutuusa obubaka bwe eri abantu), abaffe Katonda omutonzi y'asinga obulungi oba ebyo bye bamugattako

    [60] Abaffe ani yatonda eggulu n'ensi, era n'abatonyeseza okuva waggulu amazzi, ne tumeza nago amalimiro agalabika obulungi, tekibangako mu mikono gyamwe okumeza emiti gyago. Ate oluvanyuma lw'ekyo wabaawo watya ekisinzibwa kyonna nga kigattibwa ku Katonda!, wabula (ekibakozesa ekyo) lwa kuba nti bo bantu abenkanya Katonda n'ebintu ebirala

    [61] Abaffe ani oyo eyassaawo ensi nga nteefu naagissaamu e migga, naagiwa ensozi (nga nkondo) n'assa wakati w'ennyanja e bbiri (ey'omunnyu ne etali) ekyayawula (ate oluvanyuma lw'ekyo) wasobola okubaawo ekisinzibwa kyonna nga kigattibwa ku Katonda! wabula (ekibakozesa ekyo) lwakuba nti abasinga obungi mu bo tebamanyi

    [62] Abaffe ani oyo ayanukula ali mu buzibu bwaba amusabye, era naggyawo akabi, era naabafuula abasigire mu nsi (ate oluvanyuma lw'ekyo) wasobola okubaawo ekisinzibwa kyonna nga kigattibwa ku Katonda! mujjukira kitono

    [63] Abaffe ani oyo abalaga ekkubo mu bizikiza by'olukalu ne nnyanja era ani oyo asindika e mpewo nga zireeta essanyu (e nkuba) nga liva mu mikono gy'okusaasirakwe (ate oluvanyuma lw'ekyo) wasobola okubaawo ekisinzibwa kyonna nga kigattibwa ku Katonda!, Katonda musukkulumu nnyo ku ebyo bye bamugattako

    [64] Abaffe ani oyo atandikawo e bitonde ate nga agenda kubizzaawo (oluvanyuma lw'okufa kwabyo) era ani abagabirira (mmwe) okuva waggulu ne ku nsi (ate oluvanyuma lw'ekyo) wasobola okubaawo ekisinzibwa kyonna nga kigattibwa ku Katonda! bagambe nti muleete obujulizi bwa mmwe bwe muba nga muli ba mazima

    [65] Bagambe nti abali mu ggulu omusanvu n'ensi tewali amanyi byekusifu okugyako Katonda, (era n'olwekyo) tebamanyi ddi lwe balizuukizibwa

    [66] Wabula (ekibuuzo kiri nti) okumanya kwa bwe kwamalayo byonna okutuusa ku lunaku lw'enkomerero (olwo nno babe nga bakubuuza okuzuukira kulibaawo ddi) wabula (ekituufu kiri nti) bo ku bikwata ku lunaku lw'enkomerero bali mu kubuusabuusa, wabula (si ekyo kyokka) bo bamuzibe ku bikwata ku lunaku olwo

    [67] Abo abaakaafuwala bagamba nti bwe tulimala okufuuka ettaka ne bakadde baffe ate tulijjibwayo

    [68] Mazima ffe ne bakadde baffe okuva edda kino kizze kitulagaanyisibwa (nga tewali kibaawo, n'olwekyo) bino tebiri okugyako nfumo z'abaakulembera

    [69] Bagambe (ggwe Muhammad) nti mutambule mu nsi mulabe ngeriki enkomerero ya boonoonyi bwe yali

    [70] Tonakuwala ku lwabwe era towulira bubi olw'enkwe ze basala

    [71] Era bagamba nti endagaano eyo erituuka ddi bwe muba nga mwogera mazima

    [72] Bagambe nti, si kulwa nga musemberedde ebimu ku ebyo bye musaba okubatuukako mu bwangu

    [73] Era mazima Mukama omulabiriziwo ajjudde ebirungi byagabira abantu, naye abasinga obungi mu bo tebeebaza

    [74] Era mazima Mukama omulabiriziwo amanyi ebyo ebifuba bya bwe bye bikweka n'ebyo bye bakola mu lwatu

    [75] Era tewali kyekusifu kyonna mu ggulu ne munsi wabula nga nakyo Kiri mu kitabo ekiraga buli kimu

    [76] Mazima Kur’ani eno etegeeza abaana ba Israil ebisinga obungi ebyo bye baawukanamu

    [77] Era mazima yyo bulungamu na kusaasira eri abakkiriza

    [78] Era Mukama omulabiriziwo alitaawulula wakati wa bwe nga abalamula, era yye ye nantakubwa ku mukono omumanyi ennyo

    [79] N'olwekyo (ggwe Muhammad) weekwate ku Katonda, mazima ggwe oli ku mazima ameeyolefu

    [80] (Awamu n'ekyo) mazima ggwe tosobola kuwuliza bafu era nga bwotasobola kuwuliza ba kiggala okukoowoola, kasita bakyuka nebakubayo amabega

    [81] Era ggwe tosobola kulungamya ba muzibe noobaggya ku bubuze bwa bwe, tosobola kuwuliza okugyako abo abakkiriza ebigambo byaffe era abo be beewaayo ewa Katonda

    [82] Ekigambo bwe kiribagwaako tugenda kubaggyirayo ensolo okuva mu ttaka eyogere nabo, anti mazima abantu baali tebakakasa bigambo byaffe

    [83] Era babuulire olunaku lwe tulikungaanya mu buli kibiina kya bantu akabinja mu abo abalimbisa ebigambo byaffe, nabo nno nga bawalulwa mu miteeko

    [84] Okutuusa nga bazze (mu maaso ga Katonda) aligamba nti: mwalimbisa ebigambo byange so ng'ate temwabimanya mu bujjuvu bwabyo, kaakati mwakoleranga kuki

    [85] Olwo ekigambo (eky'okubonerezebwa) ne kibakakataako (olw'ebyo bye beeyisaamu obubi ne kiba nti tebagenda kwatula)

    [86] Abaffe tebalaba nti mazima ffe twateekawo ekiro babe nga bakiwummuliramu, era (ne tuteekawo) obudde obw'emisana nga butangaala (babe nga bakoleramu emirimu egibayimirizaawo) mazima mu ekyo mulimu o bubonero eri abantu abakkiriza

    [87] Era (babuulire) olunaku engombe lwe lifuuyibwa, alitya oyo yenna ali mu ggulu omusanvu n'oyo ali mu nsi okugyako oyo Katonda gwaliba ayagadde, na bonna bagenda kujja nga banyoomwa

    [88] Oliraba ensozi ze waalirowoozezza nti ziyimiridde ziriba zidduka ng'okudduka kw'ebire, okwo kwe kukola kwa Katonda oyo eyakola buli kintu mu nkola e singa okuba eya waggulu, mazima yye amanyidde ddala ebyo bye mukola

    [89] Oyo yenna alijja n'ekirungi agenda kuweebwa ekirungi ekikisingako, era bbo baliba mirembe ku ntiisa y'olunaku olwo

    [90] N'oyo alijja n'ekibi ebyenyi byabwe bigenda kuvumbikibwa mu muliro, abaffe mulisasulwa okugyako ebyo bye mwali mukola

    [91] Gamba (ggwe Nabbi Muhammad) nti mazima nalagirwa okuba nga nsinza Mukama omulabirizi w'ekibuga kino (Makkah) oyo eyakifuula e ky'emizizo era buli kintu kyonna kikye era nnalagirwa okubeera mu beewa ewa Katonda

    [92] (Era nnalagirwa) okuba nga nsoma Kur’ani, kale nno oyo yenna alungama alungama ku lulwe, ate oyo abula, bagambe nti mazima nze ndi wa mu batiisa

    [93] Era gamba nti buli kitendo kyonna kya Mukama Katonda ajja kubalaga obubonerobwe muli bumanya (ng'ate tebukyabagasa) Mukama omulabiriziwo tabangako atafaayo ku ebyo bye mukola

    Empisa

    Surah 28

    [1] Twaa Siin Miim

    [2] Bino bigambo bya kitabo ekinnyonnyola

    [3] Tukusomera mu bwesimbu ebigambo bya Musa ne Firaawo (bibe bya mugaso) eri abantu abakkiriza

    [4] Mazima Firaawo yeekuluntariza mu nsi, abantu baamu naabateekamu obubinjabinja, nga abonyaabonya ekibinja mu bo nga asala (natta) abaana baabwe abalenzi naalekawo abawala mu bo (mu kukola ekyo) naabeera mu boonoonyi

    [5] Era twayagala okubunduggula ebyengera ku abo abaayisibwa obubi ku nsi era tubafuule abakulembeze era tubafuule abasikira (ebyengera bali bye baaleka)

    [6] Era tubawe obuyinza mu nsi (era nga tukozesa bo) tulage Firaawo ne Hamana n'amagye gaabwe bombi ekyo kye baali beekeka

    [7] Era twatumira Maama wa Musa nti muyonse, naye bwoba nga omutiiriridde musuule mu mazzi era totya, era tonakuwala mazima ffe tujja ku mukuddiza era tujja kumuteeka mu ba baka

    [8] Abantu ba Firaawo ne bamulonda (naye nga) ajja kubafuukira omulabe era eky'okunakuwala. Mazima Firaawo ne Hamaana n'amagye gaabwe bombi baali basobya

    [9] Muka Firaawo naagamba nti (omwana ono) wa kusanyusa amaaso gange naawe, temumutta ayinza okutugasa oba ne tumufuula omwana, (naye) nga nabo tebamanyi (Musa kyagenda kubeera)

    [10] Omutima gwa Maama wa Musa gwali gwagaana okutereera (nga yeeraliikirira) yabula kata okumulaga (nga bwe yali omwanawe) singa tetwassa bunywevu ku mutimagwe (olwo nno) alyoke abe mu bakkiriza

    [11] (Maama wa Musa) yagamba mwannyina (wa Musa) nti mulondoole, awo nno naamulaba nga ali wala naye nga bo tebamanyi

    [12] Twamulemesa okukkiriza amabeere (g'omuyonsa yenna) okuva ku ntandikwa, (Mwannyina) naabagamba nti: abaffe mbalagirire abantu b'enyumba emu abanaamubalerera era nga nabo bajja kumubuulirira

    [13] Olwo nno twamuzza ewa Nnyina amaasoge gabe nga gatebenkera era aleme kunakuwala, era asobole okumanya nti mazima endagaano ya Katonda ya mazima wabula abasinga obungi mu bo tebamanyi

    [14] (Musa) bwe yakula n'asajjakula twamuwa okusengeka ensonga n'okumanya. Era bwe tutyo bwe tusasula abalongoosa

    [15] (Olunaku lumu Musa) yayingira e kibuga ng'abantu baamu tebategedde naasangamu abasajja babiri nga balwanagana, nga omu wa mu bantube ate omulala wa mu balabebe (wa mu bantu ba Firaawo) ow'omu bantube naamusaba amutaase ku mulabewe, awo nno Musa naamukuba ekikonde naamutta mbagirawo, (Musa) naagamba nti kino kikolwa kya Sitane, mazima yye mulabe era mubuza ow'olwatu

    [16] (Musa) naagamba ayi Mukama omulabirizi wange mazima nze neeyisizza bubi nsaba onsonyiwe, (Katonda) naamusonyiwa, anti mazima yye ye musonyiyi omusaasizi ennyo

    [17] Naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange okusinziira ku byengera byongonnomoddeko sigenda kubeera muyambi wa boonoonyi

    [18] Okuva olwo Musa yabeera mu kibuga ng'atya nga yeekengera. Yali akyali awo nga eyamusabye jjo okumutaasa ate amukubira enduulu amudduukirire, Musa naamugamba nti: mazima ggwe mulumbaganyi ow'olwatu

    [19] Olwo nno (Musa) bwe yayagala okuvumbagira oyo omulabe waabwe bombi, naagamba nti owange Musa oyagala kunzita nga bwe wasse omuntu jjo, tolina kyoyagala okugyako okubeera nantagambwaako mu nsi era (olabika) toyagala kubeera wa mu bakozi ba bulungi

    [20] Awo nno omusajja kwe kujja nga adduka ng'ava e kibuga gye kikoma, naagamba nti owange Musa mazima abakungu bakuteesaako okukutta, kale fuluma (mu nsi eno) mazima nze ndi mu bakubuulirira

    [21] Awo nno naakifuluma (ekibuga) nga atidde yeekengera, naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange mponya abantu abeeyisa obubi

    [22] Bwe yamala okwolekera oludda lw'e Madiyana yagamba nti nsaba Mukama omulabirizi wange annungamye ku kkubo ettuufu

    [23] Bwe yatuuka ku mazzi g'eMadiyana yasangawo ekibinja ky'abantu nga banywesa (ensolo zaabwe) era nga waliwo ku (bbali) abakazi babiri, nga bagaana (ensolo zaabwe okunywa amazzi) naabagamba nti ate mmwe ogubadde gwe gwaki? Nebagamba nti tetunywesa okutuusa abalunzi abalala lwe baggyawo ensolo zaabwe, ate nga ne kitaffe mukadde nnyo

    [24] Naabanyweseza, bwe yamala ne yeewogoma mu kisiikirize olwo naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange mazima nze ndi mwetaavu nnyo eri ekirungi kyonna kyoba ompadde

    [25] (Aba ali awo) omu ku bombi (abakazi) najja gyali mu ngeri ey'ensonyi, naagamba nti mazima Kitange akuyita abe nga akusasula empeera y'okutunyweseza, (Musa) bwe yatuuka waali (Kitaawe wa bawala) era naamunyumiza emboozi (y'ebimufaako) yamugamba nti totya omaze okuwona abantu abeeyisa obubi

    [26] (Omuwala) omu naagamba nti owange Taata muwe omulimu mazima omupakasi asinga obulungi ye wa maanyi omwesigwa

    [27] (Kitaawe wa Bawala) naagamba nti mazima nze njagala kukufumbiza omu ku bawala bange abo ababiri nga ojja kunkolera emyaka munaana naye bw'ojjuza e kkumi ekyo kiri gyoli, wabula saagala ku kukaluubiriza ojja kunsanga nga ndi mu bantu abakozi b'obulungi

    [28] (Musa) naagamba nti ekyo kiri wakati wange naawe ekimu ku biseera ebibiri kyennaaba nkoze njakuba sivunaanwa, era Katonda ye mweyimirize ku byonna bye twogera

    [29] Musa bwe yamala okutuukiriza ekiseera (kye baalagaana), yatambula n'abantube (nga bagenda e misiri) naalaba omuliro ku ludda lw'olusozi, naagamba abantube nti: mulindeeko wano katono, mazima nze nina wendabye omuliro, si kulwa nga mbaleetera amawulire okuva we guli oba nembaleetera e kitawuliro mulyoke mwote

    [30] Musa bwe yatuuka weguli, yakoowoolwa (nga eddoboozi) liva ku lubalama lwe'kisenyi olwa ddyo mu kifo eky'omukisa nga liva mu muti (nga limugamba) nti owange ggwe Musa, mazima nze Katonda Omulabirizi w'ebitonde

    [31] Era (Katonda naamugamba nti) kasuka omuggogwo (naye kwe kugukasuka) olwo nno bwe yagulaba nga gwenyeenya, nga gulinga omusota omwangu mu ntambula yaagwo, yakyuka nga adda emabega era n'atatunula gyava (Katonda kwe kumukoowoola nti) owange ggwe Musa komawo era totya anti mazima oli mu balina e mirembe

    [32] Yingiza omukono gwo mu kimeeme ky'ekyambalokyo gujja kufuluma nga mweru ng'ate tewali kabi kagutuuseeko, ssa omukonogwo ku kifubakyo. Obwo nno bwombiriri bwe bubonero okuva eri Katondawo bwotwalira Firaawo n'abakungube, anti mazima okuva emabega babadde bantu boonoonyi

    [33] (Musa) naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange mazima nze nabattamu omuntu, n'olwekyo ntya si kulwa nga banzita

    [34] Ate Muganda wange Haruna y'ansinga olulimi olwatufu, kale nno mutume wamu nange nga muyambi abe nga akkaatiriza amazima gange, anti mazima nze ntya okuba nga bajja kunnimbisa

    [35] Katonda naamugamba nti tujja kunyweeza omukonogwo (kukuwagira) ne mugandawo, era tubawe mwembiriri obusobozi babe nga tebasobola kubatuusaako kabi. olw'obubonero bwaffe, mmwe mwembiriri nabuli yenna abagoberera mmwe mujja okuwangula

    [36] Musa bwe yabajjira n'obubonero bwaffe nga bunnyonnyofu, baagamba nti kino tekiri okugyako okuba e ddogo e jjingirire, era tetuwuliranga ku kintu nga kino mu bakadde baffe abaasooka

    [37] Musa naagamba nti Mukama omulabirizi wange y'asinga okumanya oyo azze n'obulungamu ng'abuggya gyali era n'oyo aliba n'enkomerero e nnungi, anti bulijjo abeeyisa obubi tebayinza kutuuka ku buwanguzi

    [38] Ate Firaawo naagamba nti: abange mmwe abakungu ssibamanyiddeeyo Katonda mulala atali nze, ggwe Haamaan nkumira omuliro oyokye amataffaali onzimbire omulongooti nsobole okulaba Katonda wa Musa, era mazima nze mulowooleza ddala okuba nga ali mu balimba

    [39] Olwo nno ne yeekuza mu nsi yye n'eggyerye, awatali nsonga yonna (kwe basinziira) ne balowooza nti mazima tebagenda kuzzibwa gye tuli

    [40] Netumukwata n'eggyerye ne tubanyugunya mu nnyanja, kale tunuulira olabe enkomerero ya beeyisa obubi bwe yali

    [41] Ne tubafuula abakulembeze nga bakoowoola abantu okuyingira omuliro, era nga ne ku lunaku lw'enkomerero tebagenda kutaasibwa

    [42] Era twabagobereza e kikolimo mu nsi muno nga ne ku lunaku lw'enkomerero bbo be balifuulibwa abalabika obubi

    [43] Mazima twawa Musa e kitabo bwe twamala okuzikiriza emirembe egyasooka nga mumuli eri abantu, era nga bulungamu era kusaasira kibayambe okwebuulirira

    [44] Era (ggwe Muhammad) tobangako ku ludda olw'ebugwanjuba bwe twawa Musa ekigambo (ekiragiro eky'okugenda ewa Firaawo) era tewali mu baaliwo (mu kiseera ekyo)

    [45] Naye mazima ffe twasibulawo e mirembe ebbanga neriyitawo ddene (era nga ggwe tonnatumwa) era tobangako mutuuze mu bantu b'eMadiyana n'oba nga obasomera ebigambo byaffe naye mazima ffe bulijjo tubadde tutuma ababaka

    [46] Era tewaliiwo ku ludda lw'olusozi mu kiseera we twakoowolera (Musa tumuwe obubaka), wabula kwali kusaasira kwa Mukama omulabiriziwo (ggwe okumanya ebyaaliyo), obe nga weekesa abantu abatajjirwanga mutiisa yenna nga ggwe tonnajja olwo nno babe nga beebuulirira

    [47] (Era tetwandikutumye gye bali singa) si bantu kutuukibwako buzibu olw'ebyo e mikono gya bwe bye gyakola ate nebagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe singa watutumira omubaka ne tugoberera ebigambobyo era ne tubeera mu bakkiriza

    [48] Naye ate amazima bwe gaamala okubajjira okuva gye tuli baagamba nti singa aweereddwa nga ebyaweebwa Musa (naye) abaffe tebaawakanya ebyo ebyaweebwa Musa oluberyeberye ne bagamba nti (ebigambo bya Musa ne Muhammad) byombi ddogo, erimu liyamba linnaalyo era ne bagamba nti mazima ffe tuwakanya buli kyonna ekigwa mu kiti ky'ebyo

    [49] Bagambe (ggwe Muhammad) nti (bwe kiba bwe kityo) kale (mmwe) muleete ekitabo okuva ewa Katonda nga kyo kirungamu okusinga biri ebibiri nja kukigoberera bwe muba nga mwogera mazima

    [50] Bwe batakwanukula manya nti mazima bagoberera kwagala kwa bwe, era ani mubuze okusinga oyo agoberera okwagalakwe okutaliiko kulungamya kuva wa Katonda, mazima Katonda talungamya bantu beeyisa bubi

    [51] Mazima ekigambo tukibalambululidde kibayambe okwebuulirira

    [52] Abo betwawa ekitabo oluberyeberye lwa kino abamu (mu) bo bagikkiriza (Kur'ani)

    [53] Bweba ebasomeddwa bagamba nti tugikkirizza, ddala yo g'emazima agava ewa Mukama omulabirizi waffe, mazima ddala ffe nga tenajja twali basiraamu

    [54] Abo bagenda kuweebwa empeera yaabwe emirundi ebiri olw'ebyo bye baagumiikiriza era n'olwokuba nti ekibi bakiggyisaawo ekirungi era nga bawaayo ku ebyo bye tubagabirira

    [55] Era bwe bawulira eby'olubalaato babyesamba era ne bagamba nti tulina enkola yaffe nammwe mulina enkola yammwe, emirembe gibeere ku mmwe, tetwagala batategeera

    [56] Mazima ggwe (Muhammad) tolungamya oyo gwoba oyagadde naye mazima Katonda alungamya oyo gwaba asazeewo era y'asinga okumanya abalungamu

    [57] Era (abatakkiriza) ne bagamba nti singa tugoberera naawe obulungamu tujja kusikulwa mu nsi yaffe (naye) abaffe tetwabatebenkereza Haram (Makkah) nga ejjudde e mirembe nga ebibala ebya buli kika bireetebwa gyeri, nga okwo kugabirira okuva gye tuli naye wabula abasinga obungi mu bo tebamanyi

    [58] Bitundu bimeka bye twazikiriza ebyayonoona obulamu bwa byo (olw'okufuula obulamu obw'okweyagaliramu obweyagazi) amayumba gaabwe gaago, tegaddangayo kusulwamu oluvanyuma lwa bwe okugyako matono era ffe twafuuka abaagasikira

    [59] Mukama Omulabiriziwo tabangako wa kuzikiriza bitundu okugyako nga atumye omubaka mu makkati gaabyo ng'abasomera ebigambo byaffe era tetubangako baakuzikiriza bitundu okugyako abantu ba mu nga beeyisa bubi

    [60] Buli kintu kye muweebwa bya kweyagala bya bulamu bwa nsi na kwewunda kw'ayo. So ng'ate ebiri ewa Katonda bye bisinga obulungi era bye by'okusigalawo. Abaffe temutegeera

    [61] Abaffe oyo gwe twalagaanyisa endagaano ennungi era nga w'akugituukako ayinza okuba nga oyo gwe twawa eby'okweyagala by'obulamu bw'ensi, ate nga yye ku lunaku lw'enkomerero agenda kubeera mu balireetebwa okubonerezebwa

    [62] Era bategeeze olunaku (Katonda) lwali bakoowoola naagamba nti baliwa be mwangattangako

    [63] Abo abaliba bakakatiddwako ekigambo (eky'okubonerezebwa nga gubasinze) baligamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe, abo bbo betwabuza twababuza nga bwe twabula, tubeesamudde netwemalira ku ggwe. Baali tebasinza ffe

    [64] Baligambibwa nti: muyite bannammwe (be mwangattangako), balibayita nebatabanukula era baliraba ebibonerezo (ne bagamba nti) singa mazima bbo baali baalungama

    [65] Era (bajjukize) olunaku (Katonda) lwalibakoowoola naagamba nti: kiki kye mwayanukula ababaka

    [66] Ku lunaku olwo ebigambo biribakalira ku matama, nga era bbo tebagenda kwewuunaganya

    [67] Naye oyo eyeenenya, nakkiriza naakola e mirimu e mirungi, ddala oyo y'alibeera mu bawanguzi

    [68] Mukama Omulabiriziwo atonda kyaba ayagadde era y'asalawo, (abantu) tebabangako na kwesalirawo, yasukkuluma Katonda era ali wala nnyo ku ebyo bye bamugattako

    [69] Era Mukama Omulabiriziwo amanyi ebyo ebifuba bye bikwese n'ebyo bye bassa mu lwatu

    [70] Era yye Katonda tewali kisinzibwa kyonna mu butuufu okugyako yye okutenderezebwa ku kwe, ku ntandikwa ne ku nkomerero era obuyinza bwonna bubwe era gyali gye mulizzibwa

    [71] Bagambe nti mulaba mutya singa Katonda abassaako ekiro ne kiba kyalubeerera okutuusa ku lunaku lw'enkomerero, ani asinzibwa atali Katonda ayinza okubaleetera ekitangaala, abaffe temuwulira

    [72] Bagambe nti mulaba mutya singa Katonda abassaako obudde bw'emisana nga bwa lubeerera okutuusa ku lunaku lw'enkomerero, ani asinzibwa atali Katonda ayinza okubaleetera ekiro kye muwummuliramu, abaffe temulaba

    [73] Ebimu ku bibalibwa mu kusaasirakwe, kwe kuba nti yabateerawo ekiro n'emisana muwummuliremu era mube nga munoonya ebigabwabye era kibayambe okwebaza

    [74] Era (bategeeze) olunaku (Katonda) lwalibakoowoola naagamba nti baliwa abo bemwangattangako bemwagambanga

    [75] Era tuliggya mu buli kibiina omujulizi ne tugamba nti muleete abajulizi ba mmwe, awo nno balimanya nti ddala obutuufu bwa Katonda, era bigenda kubabulako ebyo bye baagunjanga

    [76] Mazima Karuna yali wa mu bantu ba Musa naabeewaggulako, ate nga twamuwa amawanika nga ddala e bisumuluzo byago bizitoowerera e kibinja eky'amaanyi. Jjukira abantube bwe baamugamba nti tosanyuukirira mazima Katonda tayagala basanyuukirira bitaliimu

    [77] Noonya e nyumba ey'enkomerero nga okozesa ebyo Katonda bye yakuwa, era teweerabiranga omugabogwo mu nsi, kolera (abalala) obulungi nga Katonda bwa kukolera obulungi, toluubiriranga okwonoona mu nsi. Mazima Katonda tayagala boonoonyi

    [78] (Karuna) naagamba mazima (bye nnina) nnabiweebwa lwa kumanya kwe nnina. Abaffe teyamanya nti ddala Katonda yazikiriza oluberyeberyerwe e mirembe gy'abo abaali bamusinga amaanyi era nga baakungaanya bingi okumusinga. Era aboonoonyi tebasabibwa (kunnyonnyola bikwata ku) byonoono bya bwe (anti Katonda abimanyi)

    [79] (Olwo nno Karuna) yafuluma (naagenda) awali abantube nga ali mu byambalobye ebirungi ennyo, abo abaagala obulamu bw'ensi ne bagamba nti singa naffe tulina ng'ebyo ebyaweebwa Karuna mazima yye wa mukisa munene

    [80] Abo abaaweebwa okumanya ne bagamba nti nga mulabye empeera za Katonda z'ezisinga obulungi eri oyo akkiriza n'akola emirimu emirungi (kyokka ekyo) tekiweebwa okugyako abagumiikiriza

    [81] Olwo nno netulagira ettaka nelimumira n'enyumba ye teyalina kabinja k'abantu baamutaasa awatali Katonda era teyali wa mu bayinza kwetaasa

    [82] Abo abeegomba e mbeeraye olunaku lwa jjo, baatuuka okugamba nti weewaawo ddala Katonda ayanjuluza riziki kwoyo gwaba ayagadde mu baddube era nga bwasobola okugifunza. Singa Katonda teyatwagaliza kirungi, naffe yaaliragidde ettaka neritumira yye abaffe tokiraba nti abakaafiiri tebayinza kutuuka ku buwanguzi

    [83] Eyo e nyumba ey'enkomerero (e jjana) tugiteerawo abo abatayagala kwesukkulumya mu nsi wadde okwonoona, era enkomerero ennungi y'abatya Katonda

    [84] Oyo yenna akola ekirungi alisasulwa e kirungi e kikisinga, wabula oyo akola ekibi, abo abakola ebibi tebagenda kusasulwa okugyako ebyo bye baakola

    [85] Mazima oyo eyakukasaako Kur’ani agenda kukuddiza ddala eri obuddo obulagaanye, gamba nti Mukama omulabirizi wange y'asinga okumanya oyo aleese obulungamu, era n'oyo ali mu bubuze obw'olwatu

    [86] Era wali tosuubira ekitabo okuba nga kikuweebwa, (ekyo tekyali) okugyako okusaasira okuva ewa Mukama omulabiriziwo n'olwekyo tobeeranga omuyambi wa bakaafiiri

    [87] Era tewabangawo akuggya ku bigambo bya Katonda oluvanyuma lw'okuba nti byassibwa gyoli, era koowoola (abantu) okujja ewa Mukama omulabiriziwo era tobeeranga mu bagatta ebintu ebirala ku Katonda

    [88] Era tosabanga awamu ne Katonda ekisinzibwa ekirala kyonna, tewali kisinzibwa mu butuufu okugyako yye, buli kintu kyakuggwawo okugyako yye, okusalawo kwonna kukwe era gyali gye mulizzibwa

    Eggaggaanya

    Surah 29

    [1] Alif Laam Miim

    [2] Abaffe abantu basuubira okulekebwa babe nga bagamba nti tukkirizza nga nabo tebagezesebwa

    [3] Mazima twagezesa abo abaabakulembera, Katonda ajja kumanyira ddala abo ab'esimbu (mu bukkiriza bwa bwe) era ajja kumanyira ddala abalimba

    [4] Oba abo abakola ebibi basuubira nti bayinza okutulemesa (ne tutababonereza), balamula bubi

    [5] Oyo yenna asuubira okusisinkana Katonda mazima e kiseera kya Katonda (okumusisinkana) kijja, era yye ye muwulizi ennyo omumanyi ennyo

    [6] Oyo yenna alafuubana (okuweereza Katonda) mazima yeelafuubanira ku lulwe mazima Katonda talina kye yeetaaga ku bitonde

    [7] Ate abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu ddala tugenda kubasangulako ebibi bya bwe, era tujja kubasasulira ddala ebirungi ebisinga bye baali bakola

    [8] Era twalaamira omuntu okuyisa obulungi bakaddebe bombi, naye bwe bakuwaliriza obe nga ongattako ekyo kyotalinaako kumanya kwonna tobagonderanga, gyendi y'eri obuddo bwa mmwe olwo nno mbategeeze ebyo bye mwakolanga

    [9] Era abo abakkiriza ne bakola e mirimu e mirungi tujja kubayingiririza ddala mu balongoofu

    [10] Mu bantu mulimu agamba nti nzikirizza Katonda naye bwayisibwa obubi ku lwa Katonda afuula okunyigiriza kwa bantu nga e bibonerezo bya Katonda, wabula singa okutaasa kwa Mukama omulabiriziwo kuba kuzze olwo nno bagambira ddala nti tubadde wamu nammwe, abaffe Katonda si y'asinga okumanya ebyo ebiri mu bifuba bye bitonde

    [11] Katonda ajja kumanyira ddala abo abakkiriza era nga bwajja okumanyira ddala abannanfusi

    [12] Era abo abaakaafuwala bagamba abo abakkiriza nti mugondere enkola yaffe olwo nno naffe twetikke ebibi bya mmwe so nga tebali bo ba kwetikka kintu kyonna mu bibi bya bwe, mazima bbo balimba

    [13] Bagenda kwetikka emigugu gyabwe n'emigugu (emirala) awamu n'emigugu gyabwe, era ddala bagenda kubuuzibwa ku lunaku lw'enkomerero ku ebyo bye baatemereranga

    [14] Mazima twatuma Nuuhu eri abantube naamala mu bo emyaka lukumi okugyako emyaka ataano, olwo nno amataba negabakwata nga nabo bali mu kweyisa bubi

    [15] Netumuwonya n'abantu abaali mu lyato ne tukifuula kya kuyiga eri abantu

    [16] Era (babuulire) ekyafaayo kya Ibrahim bwe yagamba abantube nti musinze Katonda era mumutye ekyo kye kirungi gye muli bwe muba nga mumanyi

    [17] Mazima musinza amasanamu ne muleka Katonda ne mussaawo obulimba, mazima abo be musinza ne muleka Katonda tebafuga riziki yammwe n'olwekyo ewa Katonda gye muba munoonya riziki, mumusinze era mumwebaze gyali gye mulizzibwa

    [18] Bwe munaalimbisa, mazima ebibiina bingi byalimbisa oluberyeberye lwa mmwe, ate omubaka tavunaanyizibwa okugyako okutuusa (obubaka) okweyolefu

    [19] Abaffe tebalaba engeri Katonda gy'atandikamu ebitonde (ne bivaawo) oluvanyuma n'abizzaawo mazima ekyo kyangu nnyo ku Katonda

    [20] Bagambe (ggwe Muhammad) nti mutambule mu nsi mulabe engeri gye yatandika ebitonde ate Katonda agenda kusibula olusibula olw'enkomerero, mazima Katonda muyinza ku buli kintu

    [21] Abonereza oyo gwaba ayagadde era n'asaasira oyo gwaba ayagadde era gyali gye mulikyusibwa okudda

    [22] Ate mmwe ku nsi ne mu ggulu temusobola kulemesa (Katonda) ate nga oggyeeko Katonda temusobola kufuna mukuumi wadde omutaasa

    [23] Abo abawakanya ebigambo bya Katonda n'okumusisinkana abo baakutuka n'okusuubira okusaasira kwange era abo balina ebibonerezo e biruma ennyo

    [24] Okwanukula kwa bantube tekwali okugyako okugamba nti: mumutte oba mumwokye awo nno Katonda naamuwonya omuliro, mazima mu ekyo mulimu obubonero obulaga obuyinza bwa Katonda eri abantu abakkiriza

    [25] (Ibrahim) naabagamba nti mulese Katonda ne mweteerawo ebifaananyi olw'enkolagana eri wakati wa mmwe mu bulamu bw'ensi, oluvanyuma ku lunaku lw'enkomerero abamu bagenda kwegaana bannaabwe era abamu bakolimire bannaabwe, nga n'obuddo bwa mmwe muliro, temuliba na bataasa (babadduukirira)

    [26] Olwo nno Luutu naamukkiriza era naagamba nti mazima nze ngenda kusenguka nzire ewa Mukama omulabirizi wange, mazima yye ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga

    [27] Era (Ibrahim) ne tumugabira Ishaaka ne Yakub era netussa mu zzadderye obwa Nabbi n'ebitabo (Taurat, Zaburi, Injiiri, Kur’ani) era twamuwa empeeraye ku nsi era mazima yye ku nkomerero wa mu bakozi ba bulungi

    [28] Era (bajjukize) Luutu bwe yagamba abantube nti mazima mmwe mukola ekivve awatabanga muntu n'omu yakibasookako

    [29] Mazima mmwe mudda ku basajja mu kifo ky'abakyala (ne mulya ebisiyaga) ne mukutula amakubo (ku bantu nga mubateega), ne mukola e bitasaana mu bifo bya mmwe wemukunganira. Okwanukula kw'abantube tekwali okugyako okugamba nti tuleetere ebibonerezo bya Katonda bwoba nga oli mu boogera amazima

    [30] (Luutu) naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange ntaasa ku bantu abOonoonyi

    [31] Ababaka baffe (ba Malayika) bwe bajja ewa Ibrahim nga bamuleetedde amawulire ag'essanyu (ag'okuzaala omwana Ishaka) baagamba nti mazima ffe (bwe tuva wano) tugenda kuzikiriza abantu b'omu kitundu kiri mazima abantu baamu babadde beeyisa bubi

    [32] (Ibrahim) naagamba nti mazima mu kyo Luutu mwabeera, ne bagamba nti ffe tusinga okumanya abaliyo, ddala tujja kumuwonya n'abantube okugyako mukyalawe ali mu abo ab'okusigala

    [33] Ababaka baffe bwe batuuka ewa Luutu yanakuwala ku lwab bwe, era naawulira nga talina maanyi ga kubataasa, ne bamugamba nti totya era tonakuwala, mazima ffe tujja kukuwonya n'abantubo okugyako mukyalawo yye wa mu abo abookusigala

    [34] Mazima ffe tugenda kussa ku bantu b'ekitundu kino e bibonerezo okuva mu ggulu olw'ebyo bye baali boonoona

    [35] Era mazima olw'ekikolwa ekyo twaleka a kabonero ak'enkukunala eri abantu abategeera

    [36] Era (jjukira) bwe twatumira abantu be Madiyana Muganda waabwe Swaibu naagamba nti abange abantu bange musinze Katonda, era mususubire (okusasulwa ku) lunaku lw'enkomerero, temukola ebikyamu mu nsi ne muba aboonoonyi

    [37] Baamulimbisa olwo nno olubwatuka olw'amanyi ne lubatuukako ne bafuuka emirambo egigangalamye mu mayumba gaabwe

    [38] Era (Jjukira) ebyatuuka ku bantu b'ekika kya A’di ne Thamud, mazima ebibakwatako bimanyiddwa gye muli okusinziira ku mayumba gaabwe nga bwe galabika kati, era Sitane yabanyiririza emirimu gya bwe emibi, olwo nno neebaggya ku kkubo so nga ate baali balaba (olwa ba Nabbi be baali bafunye)

    [39] Era jjukira Karuna ne Firaawo ne Haamaan, mazima Musa yabajjira n'obunnyonnyofu naye ne beekuluntaliza mu nsi era tebaali ba kusimattuka

    [40] Buli omu twamuvunaana olw'ekibikye, mu bo mulimu betwasindikira empewo eya mayinja, ate mu bo mulimu abaatuukwako okubwatuka, era mu bo mulimu betwamiza ettaka era mu bo mulimu be twazikiriza mu mazzi naye Katonda tabangako waakubalyazaamaanya wabula bennyini be beeyisa obubi

    [41] Ekifaananyi ky'abo abeeteerawo abataasa ne baleka Katonda, balinga nabbubi eyeezimbira e nyumba ate ng'enyumba esinga obunafu y’enyumba ya nabbubi singa baali bamanyi

    [42] Mazima Katonda amanyi nti bye basaba ne bamulekawo tebiriimu kantu, era yye ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga

    [43] Era ebyo ebifaananyi tubikubira abantu naye tebabitegeera okugyako abamanyi

    [44] Katonda yatonda eggulu omusanvu, n'ensi mu ngeri entuufu, mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga eri abakkiriza

    [45] Soma ebyo ebitumiddwa gyoli ebiri mu kitabo (Kur’ani) era yimirizaawo e sswala, mazima e sswala erobera okukola eby'obuwemu n'empisa embi, era okutendereza Katonda kye kisinga obukulu, era Katonda amanyi bye mukola

    [46] Era temuwakananga ne ba nannyini Kitabo okugyako nga mukozesa amakubo agasinga obulungi, okugyako ku abo abeeyisa obubi mu bo era mugambe nti (ffe) tukkirizza ekyo ekyassibwa gye tuli ne kyassibwa gye muli, nga Katonda waffe era Katonda wa mmwe ali omu, nga naffe fenna yye yekka gwe tweewa

    [47] Era bwe tutyo twassa gyoli ekitabo (Kur’ani) abo betwawa ekitabo (nga tetunnakuwa Kur’ani) bagikkiriza ne mu abo (Abawarabu be Makkah), mulimu abo abagikkiriza era tewali awakanya bigambo byeffe (ebiri mu Kur’ani) okugyako abakafiiri

    [48] (Ebimu ku bya magerobyo) kwe kuba nti ggwe tosomangako kitabo kyonna oluberyeberye nga Kur’ani tennakuweebwa wadde okuwandiika n'omukonogwo ogwaddyo, singa si bwe kyali ddala aboonoonyi baali buusizzabuusizza

    [49] Wabula (ekituufu kiri nti) Kur’ani bigambo bya (Katonda) ebinnyonnyofu, eri mu bifuba byaabo abaaweebwa okumanya tewali awakanya bigambo byaffe (ebiri mu Kur’ani) okugyako abeeyisa obubi

    [50] (Abagatta ku Katonda e bintu e birala) bagamba nti singa (Muhammad) aweereddwa obubonero okuva ewa Mukama omulabiriziwe, bagambe nti mazima obubonero bwa Katonda, naye mazima nze ndi mutiisa ow'olwatu

    [51] Abaffe tekibamala okuba nti twakuwa ekitabo ekibasomerwa, nga mulimu okusaasira n'okubuulirira eri abantu abakkiriza

    [52] Bagambe nti kimala wakati wange na mmwe okubeera nga Katonda ye mujulizi (akakasa nti ndi mubakawe), Katonda y'amanyi ebiri mu ggulu omusanvu n'ensi, naye abo abakkiriza ebitali bituufu ne bawakanya Katonda abo nno be b'okufaafaaganirwa

    [53] Bakusaba (mu ngeri y'olujereegerero) obanguyize ebibonerezo, singa tewaaliwo kiseera kigere bibonerezo byandibajjidde (awo we baalibadde babisabidde) era ddala e bibonerezo bya kubajjira kibwatukira nga nabo tebategedde

    [54] Bakusaba obanguyirize e bibonerezo (naye mazima tebamanyi) nti mazima omuliro Jahannama ddala gulitaayiza abakaafiiri

    [55] Ku lunaku e bibonerezo lwe biribatuukako nga biva waggulu ne wansi w'ebigere bya bwe, era Katonda abagambe nti mukombe ku bukaawu bw'ebyo bye mwali mukola

    [56] Abange mmwe abaddu bange abakkiriza (bwe muba nga muli mu kunyigirizibwa) mazima ensi yange ngazi (musenguke munsinzize awalala), era nze nzekka nze gwe muba musinza

    [57] Buli mwoyo gwonna gwa gukomba ku kufa, oluvanyuma gye tuli gye mujja okuzzibwa

    [58] Era abo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu tujja kubawa ebisenge eby'awaggulu mu jjana nga emigga gikulukutira wansi waabyo, baakubeera mu byo olubeerera (ebyo) birungi nnyo okuba nga y'empeera ya bakola obulungi

    [59] Abo abagumiikiriza era nga beesiga Katonda waabwe

    [60] Bimeka ebiramu ebitambula nga tebisobola kwetikka riziki yaabyo nga Katonda yekka y'abigabirira nammwe (abantu y'abgabirira) era nga yye (Katonda) ye muwulizi omumanyi ennyo

    [61] Abakaafiiri bwoba nga obabuuzizza nti ani eyatonda eggulu omusanvu n'ensi n'agonza e njuba n'omwezi? bajja kukugambira ddala nti Katonda, ate olwo bakyusibwa batya okuva ku mazima

    [62] Katonda agaziya ebyenfuna eri omuntu gwaba ayagadde mu baddube ate naafundiza oyo gwaba (ayagadde), mazima Katonda ku buli kintu mumanyi nnyo

    [63] Era bwobabuuza nti ani assa amazzi okuva waggulu n'alamusa nago ensi oluvanyuma lw'okufa kwayo? ddala bajja kugamba nti Katonda, gamba nti okutenderezebwa kwa Katonda wabula abasinga obungi mu bo tebategeera

    [64] Obulamu buno obw'ensi tebuli okugyako okuba eby'amasanyu era eby'omuzannyo era mazima e nyumba ey'enkomerero yo bwe bulamu obwa nnamaddala singa baali bamanyi

    [65] Bwe baba basaabalidde mu maato basaba Katonda, ng'ekyo bakikola ku lulwe yekka, naye bwabawonya naabatuusa ku lukalu, olwo ate ne bamugattako ebintu ebirala

    [66] Kale baleke beewakane bye twabawa era beeyagale, lumu balimanya

    [67] Abaffe tebalaba nti mazima ffe twafuula e kibuga (Makkah) eky'emizizo, e kitundu e ky'emirembe, naye ng'abantu basikulwa mu bifo ebibeetoolodde. Abaffe ebikyamu bye bakkiriza ate ne bawakanya ebyengera bya Katonda

    [68] Era ani mubi okusinga oyo atemerera obulimba ku Katonda oba naalimbisa amazima bwe gaba gamujjidde abaffe mu jahannama temuli kifo kya bakaafiiri

    [69] N'abo abalafuubana mu kutuweereza, ddala tujja kubalungamya ku makubo gaffe, era mazima Katonda ali wamu n'abalongoosa

    Abarumi

    Surah 30

    [1] Alif Laam Miim

    [2] Abaroma bawanguddwa

    [3] Mu nsi ey'okumpi (eriraanye Shami) ate nabo oluvanyuma lw'okuwangulwa kwa bwe, bajja kuwangula

    [4] Mu myaka mitono (egitasukka mwenda). Okusalawo kwa Katonda oluberyeberye n'oluvanyuma, olunaku olwo abakkiriza bagenda kukyakyankya

    [5] Ku lw'okutaasa kwa Katonda (Katonda) ataasa oyo gwaba ayagadde, anti bulijjo ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga

    [6] Eyo ndagaano ya Katonda, Katonda tayawukana ku ndagaanoye, naye abantu abasinga obungi tebamanyi

    [7] (Anti) bamanyi bya kungulu ku bikwata ku bulamu bw'ensi, era nga nabo ku bikwata ku nkomerero tebalina kye bamanyi

    [8] Abaffe tebafumiitiriza mu myooyo gyabwe (ne bakiraba nti) Katonda teyatonda ggulu musanvu n'ensi n'ebiri wakati wa byombi, wabula mu mazima era nga birina e kiseera ekigere naye mazima bangi mu bantu bawakanya okusisinkana Mukama omulabirizi waabwe

    [9] Abaffe tebatambulangako mu nsi nebalaba yali etya enkomerero y'abo abaabakulembera! (ate) nga baali babasinga amaanyi era baayiikuula ensi era ne bagizimba okusinga nga bano bwe baagizimba era ababaka baabwe baabaleetera obunnyonnyofu, n'olwekyo Katonda teyali wa kubayisa bubi wabula bo bennyini be beeyisa obubi

    [10] Oluvanyuma enkomerero y'abo abaakola ebivve yali nti baalimbisa e bigambo bya Katonda era baali babijeeja

    [11] Katonda y'atandika e bitonde oluvanyuma agenda kubizzaawo ate oluvanyuma gyali gye mulizzibwa

    [12] Era olunaku e ssaawa ey'enkomerero lwe lituuka, aboonoonyi bagenda kukutuka n'okusuubira

    [13] Era tebagenda kufuna mu bannaabwe bawolereza, olwo nno balyegaana bannaabwe

    [14] Era olunaku e ssaawa ey'enkomerero lwe lituuka kw'olwo bagenda kwawukana

    [15] Bo abakkiriza ne bakola e mirimu emirungi, abo nno baakubeera mu bifo ebyeyagaza nga basanyusibwa

    [16] Ate abo abaakaafuwala ne balimbisa ebigambo byaffe ne balimbisa n'ensisinkano y’olunaku lw'enkomerero, abo bagenda kuteekebwa mu bibonerezo

    [17] N'olwekyo asukkulumizibwe Katonda mu kiseera wemubeerera mu biseera eby'olweggulo ne wemubeerera mu biseera eby'okumakya

    [18] Era okutenderezebwa ku kwe mu ggulu omusanvu n'ensi ne mu kiseera eky'akawungeezi ne wemubeerera mu ttuntu

    [19] (Era Katonda) aggya e kiramu mu kifu era naggya e kifu mu kiramu, era y'awa ensi obulamu oluvanyuma lw'okufa kwayo era bwe mutyo bwe muliggyibwa mu ntaana

    [20] Era mu bubonerobwe (obulaga obuyinzabwe), kwe kuba nti yabatonda nga abaggya mu ttaka oluvanyuma mmwe mwabeera abantu abasaasaanira e nsi

    [21] Era mu bubonerobwe kwe kuba nti yabatondera be mufumbiriganwa nabo nga abaggya mu mmwe, mube nga musobola okubeera nabo, era yassa wakati wa mmwe omukwano n'okusaasira , mazima ebyo mulimu obubonero eri abantu abafumiitiriza

    [22] Era mu bubonerobwe : okutonda eggulu omusanvu n'ensi n'okwawukana kw'ennimi zammwe n'amabala gammwe mazima mu ebyo mulimu obubonero eri abamanyi

    [23] Era mu bubonerobwe : okwebaka kwa mmwe ekiro n'emisana n'okunoonya kwa mmwe ebigabwabye mazima ebyo birimu obubonero eri abantu abawulira

    [24] Era mu bubonerobwe : kwe kuba nti abalaga ekimyanso ky'eggulu nga mukitya ate nga mululunkanira (enkuba) era assa okuva waggulu amazzi n'awa nago ettaka obulamu oluvanyuma lw'okufa kwalyo. Mazima mu ebyo mulimu obubonero eri abantu abategeera

    [25] Era mu bubonerobwe : eggulu n'ensi okubeerawo ku kiragirokye, oluvanyuma bwali bakoowoola olukoowoola nti (muve) mu ttaka, oligenda okulaba nga muvaayo

    [26] Era bibye byonna ebiri mu ggulu omusanvu ne mu nsi byonna bigondera yye (yekka)

    [27] Era yye yooyo atandikawo ebitonde era nga yaalibizzaawo (oluvanyuma lw'okufa kwabyo) nakyo (eky'okubizzaawo) kye kisinga obwangu ku ye, era kikye yekka ekifo ekisukkulumu mu ggulu omusanvu n'ensi era yye ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga

    [28] (Katonda) yabakubira ekifaananyi nga kikwata ku mmwe mwe nnyini nga agamba nti abaffe mwebyo bye tubagabira mulina ababeegattako mwabo emikono gyamwe bye gifuga (abaddu ba mmwe) ne muba nga mwenna mwenkana mwekyo ne mutuuka okubatya nga bwe mwetya mwennyini, bulijjo bw tunnyonnyola ebigambo eri abantu abategeera

    [29] Wabula abo abeeyisa obubi bagoberera kwagala kwabwe awatali kusinziira ku kumanya kwonna y'ate ani ayinza okulungamya oyo Katonda gwe yabuza era abo tebagenda kufuna babataasa

    [30] Kale nno yolekeza ekyenyikyo eri eddiini ng'oli mwesimbu. (Olw'okuba eddiini eyo) y'enkola ya Katonda gye yatonderako abantu, tewali kukyusa mu ntonda ya Katonda, eyo ye ddiini ennambulukufu, naye abantu abasinga obungi tebamanyi

    [31] (N'olwekyo) mubeere abeemenyera Katonda era mumutye, era muyimirizeewo e sswala, era temubeeranga mu bagatta ku Katonda ebintu ebirala

    [32] Mu abo abaatemaatema e ddiini yaabwe ne baba bibiina nga buli kibinja kikyakyankya n'ebyo bye kirina

    [33] Obuzibu bwe buba butuuse ku bantu basaba Mukama omulabirizi waabwe nga bamwemenyera, oluvanyuma bwabaloza ku kusaasira okuva gyali ogenda okulaba nga ekitundu ku bo bagatta ebintu ebirala ku Mukama omulabirizi waabwe

    [34] Kale beegaane ebyo bye twabawa era mweyagale mmwe (nabo) lumu mulimanya

    [35] Abaffe oba twabawa obujulizi nga bwogera ku ebyo bye bagatta ku Katonda (nti bituufu)

    [36] Bwe tuba nga tulozezza abantu ku kusaasira kwaffe basanyuka nakwo, bwe baba nga batuukiddwako ekibi kyonna olw'ebyo e mikono gya bwe bye gyakola ogenda okulaba nga bakutuka n'okusuubira (okusaasira kwa) Katonda

    [37] Abaffe tebalaba nti mazima Katonda agaziyiza eby'enfuna eri gwaba ayagadde ate naafundiza oyo gwaba ayagadde, mazima mu ekyo mulimu obubonero obulaga obuyinza bwa Katonda eri abantu abakkiriza

    [38] Kale wa ow'olugandalwo olw'okumpi kyateekwa okuweebwa, n'omufuna mpola, n'omutambuze ekyo kye kirungi eri abo abaagala ebiri eri Katonda era abo bbo be bookutuuka ku kigendererwa

    [39] Ekyo kyonna kye muba muwaddeyo (nga muwola) mu mmaali ey'ennyongeza (Riba) nti zigende zizaalire mu mmaali y'abantu tezizaala ewa Katonda, ate ekyo kye muba muwaddeyo mu Zzaka nga mwagala ebiri eri Katonda abo nno be basaanira ennyongeza

    [40] Katonda yooyo eyabatonda bwamala naabagabirira bwamala naabatta, oluvanyuma agenda kubawa obulamu, abaffe mu bannammwe be mugatta ku Katonda waliwo akola ku ebyo ekintu kyonna? musukkulumu Katonda era yayawukana ku ebyo bye bamugattako

    [41] Obwonoonefu bweyolese ku lukalu ne ku nnyanja olw'ebyo emikono gy'abantu bye gikola, (Katonda) alyoke abakombese ku bukaawu bw'ebimu ku ebyo bye baakola, balyoke beekomeko

    [42] Gamba ( ggwe Muhammad) mutambule mu nsi mulabe yali etya e nkomerero y'abo abaaliwo oluberyeberye. abasinga obungi mu bo baali bagatta ku Katonda ebintu ebirala

    [43] Kale nno yolekeza ekyenyikyo eri e ddiini ennambulukufu, nga terunnajja olunaku olutagenda kuggyibwa ku Katonda neruzzibwayo, ku lunaku olwo abantu bagenda kubeera mu bibinja

    [44] Omuntu awakanya, ekibi ky'okuwakanyakwe kiri ku ye, n'oyo yenna akola emirimu emirongoofu (abo) baba bateekerateekera myoyo gya bwe

    [45] Katonda alyoke asasule mu bigabwabye abo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu, anti mazima yye tayagala bakaafiiri

    [46] Era mu bubonerobwe kwe kuba nti atambuza empewo nga zireeta amawulire ag'essanyu (enkuba), era alyoke abaloze ku kusaasirakwe, era amaato galyoke gadduke ku lw'ekiragiro kye, era mube nga munoonya ebigabwa bye era mulyoke mwebaze (Katonda ku lw'ebyo)

    [47] Era mazima twatuma oluberyeberye lwo ababaka eri abantu baabwe ne babaleetera obunnyonnyofu (ne bakaafuwala) olwo ne tuzikiriza abo abaajeema, era kyali kitukakatako okutaasa abakkiriza

    [48] Katonda yooyo atambuza empewo, nezifuukuula ebire naabyanjuluza mu bbanga nga bwaba ayagadde, naabifuula ebitundutundu, olwo nno n'olaba namutikkwa w'enkuba nga bivaamu, (Katonda) bwagituusa ku abo baaba ayagadde mu baddube ogenda okulaba nga bo basanyuka

    [49] Newaakubadde nga tennaba kubatonnyesebwa oluberyeberye lw'ekyo baali bakutuse n'okusuubira

    [50] Tunuulira olabe ebiva mu kusaasira kwa Katonda engeri gyawa ettaka obulamu oluvanyuma lw'okufa kwalyo. Mazima oyo ajja kulamusiza ddala abafu era yye bulijjo muyinza ku buli kintu

    [51] Wabula singa tuba tutambuzizza empewo ne babiraba (e birime) nga bifuuse bya kyenvu olw'okuwotoka, bandibadde olw'ekyo beegaana ebyengera bya (Katonda)

    [52] (N'olwekyo ggwe tobafaako) anti mazima ggwe tosobola kuwuliza bafu era nga bwotasobola kuwuliza bakiggala kasita bakyuka ne bakukuba amabega

    [53] Era toli asobola kulungamya bamuzibe n'obaggya ku bubuze bwabwe, tosobola kuwuliza okugyako abo abakkiriza ebigambo byaffe nebaba nga beewadde Katonda

    [54] Katonda yooyo eyatonda mmwe okutandikira mu bunafu, ate oluvanyuma lw'obunafu yabawa amaanyi, ate oluvanyuma lw'amaanyi yassaawo obunafu n'obukadde. Atonda kyaba ayagadde era yye ye mumanyi ennyo omuyinza

    [55] Olunaku lw'enkomerero lwe lulituuka aboonoonyi balilayira nti (Ku nsi) tebaatuulako okugyako kaseera katono, bwe batyo nno bwe baali bawugulwa

    [56] Ate abo abaaweebwa okumanya n'obukkiriza baligamba nti: mazima mwatuula (ku nsi) okumala ebbanga Katonda lye yabawandiikira, okutuuka ku lunaku lw'okuzuukira, kaakano luno lwe lunaku lw'okuzuukira (lutuuse) naye mazima mwali temumanyi

    [57] Ku lunaku olwo abo abeeyisa obubi okwetonda kwa bwe tekulibagasa era tebagenda kukubirizibwa kwenenya

    [58] Mazima tukubidde abantu mu Kur’ani eno buli kika kya kifaananyi, naye singa obaleetedde akabonero konna, ddala abo abakaafuwala bajja kugamba nti temuli mmwe okugyako okuba aboonoonyi

    [59] Bwatyo Katonda bwazibikira emitima gy'abo abatamanyi

    [60] Kale gumiikiriza mazima endagaano ya Katonda ya mazima, era tebakutiisanga abo abatakakasa kintu kyonna kikwata ku Katonda

    Luqman

    Surah 31

    [1] Alif Laam Miim

    [2] Ebyo bigambo eby'ekitabo ekijjudde amagezi

    [3] Nga bulungamu era kusaasira eri abalongoosa

    [4] Abo abayimirizaawo e sswala ne batoola Zakka, nabo nga bakakasa olunaku lw'enkomerero

    [5] Abo bali ku bulungamu okuva ewa Mukama omulabirizi waabwe era abo bbo be b'okwesiima

    [6] Mu bantu mulimu agula emboozi ezitaliimu makulu, olwo nno abeere nga abuza (abantu) n'abaggya ku kkubo lya Katonda awatali kusinziira ku kumanya kwonna, era nga ebigambo (bya Katonda) abifuula bya lusaago, abo nno balina e bibonerezo ebinyoomesa

    [7] Ebigambo byaffe bwe biba bimusomeddwa akyuka nga yeekuza, n'aba nga atabiwulidde amatuuge negaba nga agalimu envumbo, kale musanyuse n'ebibonerezo ebiruma ennyo

    [8] Mazima abo abakkiriza ne bakola emirimu emirungi balina e jjana ezijjudde e byengera

    [9] Baakutuula muzo obugenderevu, nga eyo ye ndagaano ya Katonda ey'amazima, era yye ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga

    [10] Yatonda eggulu omusanvu awatali mpagi zemulaba, ate nassa mu nsi ensozi ennywevu ereme kubayuuza, ate n'asaasaanya mu yo, buli kika kya kitambula, era netussa okuva waggulu amazzi ne tumeza mu yo mu buli mitindo ebiri ebiri (ebimera) eby'omugaso omusuffu

    [11] Okwo kwe kutonda kwa Katonda, kale mundage abo abatali yye bye batonda. Wabula (ekituufu kiri nti) abeeyisa obubi bali mu bubuze obweyolefu

    [12] Era mazima twawa Lukman okumanya ensonga (ne tumugamba) nti weebaze Katonda, era omuntu eyeebaza yeebaza ku lulwe, ate oyo akaafuwala mazima Katonda talina kye yeetaaga (eri kitonde kyonna) era atenderezebwa nnyo

    [13] Era jjukira Lukman bwe yagamba Mutabaniwe bw eyali amubuulirira nti: owange mwana wange togattanga ku Katonda ekintu ekirala mazima okugatta ku Katonda ekintu ekirala kwe kweyisa obubi okubi ennyo

    [14] Era twakalaatira omuntu okuyisa obulungi bakaddebe bombi, nnyina amusitula mu lubuto nga bunafu obweyongera ku bunafu, era nga okumuggya ku mabeere (kubaawo) mu banga lya myaka ebiri, (era ne tumugamba) nti neebaza era weebaze bakaddebo. Gyendi yokka yeeri obuddo

    [15] Bwe baba bakuwalirizza obe nga ongattako ekyo ky'otolinaako kumanya kwonna tobagonderanga, naye kolagana nabo mu nsi mu ngeri nnungi, era ogoberere ekkubo ly'oyo eyeemenya nadda gyendi. Ate oluvanyuma gyendi yeeri obuddo bwa mmwe olwo nno nembategeeza ebyo bye mwakolanga

    [16] Owange Mutabani wange mazima kyo (e kikolwa) ne bwe kiba kyenkana obuzito bwempeke ya Khardali, keebe nga eri mu lwazi oba mu ggulu omusanvu oba e nsi, Katonda agenda kukireeta (asasule e yakikola) mazima Katonda amanyidde ddala ebitalabika, ate buli kintu akimanyidde ddala okuva ku ntobo yaakyo

    [17] Owange Mutabani wange yimirizaawo e sswala olagire (abantu) okuyisa obulungi, obakomeko ku kweyisa obubi era ogumiikirize ku ebyo ebiba bikutuuseeko. Mazima ebyo (ebikugambiddwa) bye bimu ku bigambo e bikakafu

    [18] Tokyusizanga ettamalyo abantu olw'okwekuza (ng'obalengezza) era totambulanga mu nsi nga weewulira, mazima Katonda tayagala buli yenna eyeekuluntaza omwewulize

    [19] Pima entambulayo (tosaayirira ate totambula nga nawolovu) kakkanya e ddoboozilyo, mazima eddoboozi erisinga obubi mu maloboozi gonna ddoboozi lya ndogoyi

    [20] Abaffe temulaba nti mazima Katonda yabagondeza ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi, era n'abawa mu bungi ebyengerabye eby'okungulu n'ebyomunda, naye mu bantu mulimu abawalaaza empaka ku bikwata ku Katonda awatali kusinziira ku kumanya kwonna wadde obulungamu wadde e kitabo ekibamulisiza e kkubo

    [21] Bwe baba bagambiddwa nti mugoberere ebyo Katonda bye yassa bagamba nti nedda tugoberera ebyo bye twasangako bakadde baffe, naye abaffe (balemera ku ekyo) newaakubadde Sitane ebakoowoola kudda eri omuliro Sairi (bamala gagoberera)

    [22] Yye, omuntu awaayo ekyenyikye ewa Katonda era nga mulongoosa, mazima aba yeekutte ku muguwa omunywevu era ewa Katonda yeeri enkomerero y'ebigambo

    [23] Oyo yenna akaafuwala, okukaafuwalakwe tekukunakuwaza gye tuli yeeri obuddo bwabwe, olwo nno tulibategeeza bye baakola. Mazima Katonda amanyidde ddala ebiri mu bifuba

    [24] Tubeeyagaza kitono, oluvanyuma tulibawalabanya okubatwala eri ebibonerezo ebizito

    [25] Singa obadde obabuzizza nti: ani yatonda eggulu omusanvu n'ensi? ddala bajja kugamba nti Katonda, bagambe nti (n'olwekyo) okutenderezebwa kwonna kwa Katonda. Wabula abasinga obungi ku bo tebamanyi

    [26] Bya Katonda ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ensi, mazima Katonda yye y'atalina kye yetaaga (era) atenderezebwa

    [27] Era mazima singa e miti gyonna egiri mu nsi zaali kalaamu, nga n'ennyanja (eziriwo) ziyambibwako ennyanja musanvu oluvanyuma lwa zino, ebigambo bya Katonda tebyaliweddeyo, mazima Katonda nantakubwa ku mukono mugoba nsonga

    [28] Okutondebwa kwa mmwe n'okuzuukira kwa mmwe tekuli okugyako okuba nga kulinga okutonda n'okuzuukiza omuntu omu. Mazima Katonda awulira nnyo alabira ddala

    [29] Abaffe tolaba nti mazima Katonda ayingiza ekiro mu budde obw'emisana, ate naayingiza obudde obw'emisana mu kiro era naagonza enjuba n'omwezi, buli kimu kigenda kudduka okutuusa ku kiseera ekigere, era mazima Katonda amanyidde ddala bye mukola

    [30] Ekyo kiri bwe kityo, lwa kuba nti Katonda yye ye mazima, era ddala ebyo bye basaba ne baleka Katonda bye bikyamu, era mazima Katonda yye ye wa waggulu asinga okuweebwa e kitiibwa

    [31] Abaffe tolaba nti mazima amaato gaseeyeeya ku nnyanja ku lw'okusaasira kwa Katonda, olwo nno abe nga abalaga mu bubonerobwe. Mazima ekyo mulimu eby'okuyiga eri buli mugumiikiriza omwebaza

    [32] (Abatakkiriza bwe babeera mu maato ago) amayengo bwe gababikka ne genkana ng'ensozi (olwo nno) basaba Katonda, nga eddiini yonna bagikola ku lulwe yekka, naye bwabawonya, naabatuusa ku lubalama, mu bo mu baamu abeegendereza (ne baba wakati w'okukola e mirimu e mirungi n'emibi) era tawakanya bubonero bwaffe okugyako buli wa nkwe omukaafiiri

    [33] Abange mmwe abantu mutye Mukama omulabirizi wa mmwe era mutye olunaku omuzadde lwataligasa mwanawe wadde omwana okuba nti yye y'aligasa mukaddewe ekintu kyonna, mazima endagaano ya Katonda ya mazima, kale nno obulamu bw'ensi tebubabulankanyanga era ebirabankanya tebibaggyanga ku Katonda

    [34] Mazima Katonda ewuwe yokka y'eri okumanya ebifa ku lunaku lw'enkomerero, era y'atonnyesa e nkuba, era yamanyi ekyo ekiri mu nnabaana, omuntu tayinza kumanya kiki kyaanaafuna enkya, era omuntu tayinza kumanya alifiira mu nsi ki, mazima Katonda amanyi nnyo ategeerera ddala buli kintu okuva ku ntobo yaakyo

    Okuvunama

    Surah 32

    [1] Alif Laam Miim

    [2] Okussibwa kw'ekitabo kino (Kur'ani) tekuliimu kubuusabuusa (okuba nti) kyava ewa Mukama omulabirizi w'ebitonde

    [3] Oba bagamba nti (Muhammad) yakyegunjirawo, si bwe kiri, kyo g'emazima agava ewa Mukama omulabiriziwo, obe nga otiisa abantu abatajjirwa mutiisa oluberyeberyelwo olwo nno babe nga balungama

    [4] Katonda y'oyo eyatonda mu nnaku mukaaga eggulu omusanvu n'ensi, na byonna ebiri wakati wa byombi bwe yamala naatebenkera ku Arishi, okugyako yye temulina mukuumi wadde omuwolereza. abaffe temwebuulirira

    [5] (Katonda) atambuza e bintu byonna (nga ebiragiro) biva mu ggulu ne bijja ku nsi, oluvanyuma (ebikwata ku bikoleddwa) birinnya ne byambuka gyali mu lunaku nga e kigero kyalwo kyenkana emyaka lukumi mu egyo gye mubala

    [6] Oyo nno ye mumanyi w'ebikusike n'ebirabwako, nantakubwa ku mukono omusaasizi

    [7] Oyo eyalungiya buli kintu kye yatonda, nga era yatandika okutonda omuntu nga amuggya mu ttaka

    [8] Ate ezaddelye (omuntu) n'aba nga alisibimbula mu mazzi aganyoomebwa

    [9] Bwe yamala yamussa mu kifaananyi e kimusaanira, naamufuwamu ogumu ku myoyogye (gye yatonda edda) naabassaako amatu, n'amaaso n'emitima (naye) mwebaza kitono

    [10] Era (abatakkiriza) baagamba nti bwe tulimala okusaanirawo mu ttaka, abaffe walibaayo okutonda okupya (ne tuddawo), ekiboogeza ekyo si kirala wabula lwa kuba nti bawakanya okusisinkana Mukama omulabirizi waabwe

    [11] Bagambe nti Malayika walumbe oyo eyaweebwa obuyinza ku mmwe agenda kubatta, oluvanyuma eri Mukama omulabirizi wa mmwe gye mulizzibwa

    [12] Singa olisobola okulaba aboonoonyi webalikutamiza emitwe gyabwe, mu maaso ga Mukama omulabirizi waabwe, nga bagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe, tulabye era tuwulidde, n'olwekyo tuzzeeyo tukole e mirimu e mirungi mazima ffe tumaze okukakasa

    [13] Era singa twayagala buli mwoyo twaliguwadde obulungamu bwago, naye mazima kyakakata e kigambo okuva mu nze nti: nja kujjuliza ddala omuliro Jahannama okuva mu Majinni n'abantu bonna awamu

    [14] (Baligambibwa nti) kale mukombe (ku bibonerezo) ku lw'okwerabira kwa mmwe okusisinkana olunaku lwa mmwe luno, mazima ffe tubeerabidde era mukombe ku bibonerezo eby'olubeerera olw'ebyo bye mwali mukola

    [15] Mazima abakkiriza e bigambo byaffe, beebo buli lwe baba babuuliriddwa nabyo nga babutama wansi ne bavunnama era nebatendereza ebitendo bya Mukama omulabirizi waabwe, era bulijjo bbo tebeekuza

    [16] Nga e mbiriizi zaabwe ziva ku buliri (e kiro) ne baba mu kusaba Mukama omulabirizi waabwe olw'okutya (ebibonerezo bye) n'olwokululunkana (okufuna ebirungi bye), era bulijjo bawaayo nga baggya Mu ebyo bye tubagabirira

    [17] Tewali muntu amanyi ebyo ebyabateerekerwa mu kyama mu bitebenkeza amaaso (ebyabaweebwa) nga mpeera olw'ebyo bye baali bakola

    [18] Abaffe oyo abeera nga mukkiriza ayinza okuba nga oyo omwonoonyi! (e kituufu kiri nti) tebenkana

    [19] Bo abo abakkiriza ne bakola emirimu emirungi balina e jjana ezeeyagaza okubeeramu, nga bugenyi (obulibaweebwa) olw'ebyo bye baakolanga

    [20] Bo abo abaayonoona obuddo bwabwe muliro, lwonna lwe baliyagalanga okugufuluma nga bazzibwamu era ne bagambibwa nti mukombe ku bibonerezo by'omuliro ogwo gwe mwali mulimbisa

    [21] Era ddala tugenda kubakombesa ku bibonerezo ebinafu (mu bulamu obw'ensi) nga tebannatuuka ku bibonerezo ebinene (ku lunaku lw'enkomerero), oba oli awo ne badda (eri obutuufu)

    [22] Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo abuulirirwa ne bigambo bya Mukama omulabiriziwe ate naabivaako! Mazima ffe tugenda kubonereza aboonoonyi

    [23] Era mazima twawa Musa e kitabo (nga Taurat n'olwekyo naawe) tobeeramu kubuusabuusa mu ku kifuna (nga Kur'ani) era twakifuula bulungamu eri abaana ba Israil

    [24] Era twassaawo nga tuggya mu bo abakulembeze abalungamya (abantu) nga bakolera ku kiragiro kyaffe, kavuna bagumiikiriza era ne baba nga bakakasa obubonero bwaffe

    [25] Era mazima Mukama omulabiriziwo yye ajja kusalawo wakati waabwe ku lunaku lw'enkomerero mu ebyo bye baayawukanangamu

    [26] Abaffe tebakimanyanga mu bulambulukufu nti e mirembe emeka gye twazikiriza oluberyeberye lwabwe, ate nga batambulira mu bitundu gye baabeeranga, mazima mu ekyo mulimu obubonero bwaffe. Abaffe tebawulira

    [27] Abaffe tebalaba nti mazima ffe tusundika amazzi eri ettaka ekkalu ne tumeza nago ebirimwa, e bisolo bya bwe kwe birya nabo bennyini, abaffe tebalaba

    [28] Era bagamba nti okuwangula (okwo kwe mwogerako) kulibaawo ddi bwe muba nga mwogera mazima

    [29] Bagambe nti olunaku lw'okuwangula (bwe lulituuka) abo abaakaafuwala obukkiriza bwa bwe, (bwe baliyagala okukola mu kiseera ekyo) tebulibagasa, era tebagenda kulindirizibwa

    [30] Kale nno baveeko era ggwe olindirire, mazima bbo bali mu kulindirira

    Ebibinja

    Surah 33

    [1] Owange gwe Nabbi, tya Katonda era togondera abakaafiiri n'abannafunsi, mazima Katonda bulijjo mumanyi nnyo mugoba nsonga

    [2] Era goberera ebyo ebitumwa gyoli okuva ewa Mukama omulabiriziwo mazima Katonda bulijjo amanyidde ddala bye mukola

    [3] Era weekwate ku Katonda, Katonda amala okuba nga gweweekwatako

    [4] Katonda tateekanga munda wa muntu mitima ebiri, era bakyala ba mmwe abo be mulayira obuteegatta nabo Katonda tabafuulanga ba Maama ba mmwe, olw'okuba nti muba mugambye nti emigongo gyabwe giringa egya ba nnyammwe, era abaana be mufuula abaana ba mmwe (nga si mmwe mu bazaala) tabafuula baana ba mmwe, ebyo mmwe bigambo byammwe bye mwogera obwogezi n'emimwa gya mmwe. Era Katonda ayogera mazima, era yye y'alaga e kkubo (erisaana okukwata)

    [5] Mubateekenga ku ba kitaabwe, ekyo kye kituufu ewa Katonda, bwe muba temumanyi ba kitaabwe (mu bayite baganda ba mmwe) anti baganda ba mmwe mu ddiini, era bannammwe (mu ddiini) era temulina kibi mu ekyo kye mukola mu butanwa, naye (ekibavunaanwa) kyekyo emitima gya mmwe gye kiba gikoze mu bugenderevu, era bulijjo Katonda musonyiyi nnyo musaasizi

    [6] Nabbi abakkiriza gwe basaanira okuwa e kitiibwa okusinga bo bennyini, era bakyalabe baba ba Maama baabwe, bo ab'oluganda abamu ku bo be basinga okusaanira bannaabwe (mu by'obusika) ekyo bwe kityo bwe kiri mu kitabo kya Katonda, okusinga bwe bandibadde eri abakkiriza n'abaasenguka, okugyako nga mukoledde ba nnammwe eky'obuntu bulamu, ebyo nno byawandiikibwa mu Kitabo

    [7] Era jjukira bwe twakozesa ba Nabbi endagaano yaabwe, ne ku ggwe ne ku Nuuhu ne ku Ibrahim, ne ku Musa ne ku Isa Mutabani wa Mariam, era twabakozesa e ndagaano nga nzito

    [8] Olwo nno (Katonda) alyoke abuuze abakkiriza ab'amazima ku mazima gaabwe, era yateekerateekera abakaafiiri e bibonerezo ebiruma

    [9] Abange mmwe abakkiriza, mujjukire ebyengera bya Katonda bye yabagonnomolako amagye lwe gaabalumba, ne tubasindikira kibuyaga n'amagye ge mutaalaba, era bulijjo Katonda alabira ddala bye mukola

    [10] Mujjukire bwe baabajjira nga bayitira engulu ne mmanga wa mmwe, era mujjukire amaaso lwe gaakanuka era emitima ne gituuka mu malokooli, nemulowooza ku Katonda ebirowoozo ebyenjawulo

    [11] Nga muli mu mbeera eyo, abakkiriza baagezesebwa ne bakankanyizibwa olukankana olw'amaanyi

    [12] Era mujjukire abannanfusi n'abo abaalina obulwadde mu mitima gyaabwe bwe baagamba nti Katonda n’omubakawe tebaatulagaanya wabula (baatulagaanya) bya kutuguyaaguya

    [13] Era mujjukire e kibiina mu mmwe bwe kyagamba nti, abange mmwe abantu be Yathriba (Madinah) temusobola kubeera wano, n'olwekyo muddeeyo (mu Maka gammwe), ate e kibiina ekirala mu bo baasaba Nabbi (S.A.W.) abakkirize baleme kugenda ku lutalo, nga bagamba nti, mazima amayumba gaffe meereere, so nga tegaali meereere, baali tebalina kye baagala kyonna okugyako okudduka

    [14] Era singa baali balumbiddwa okuva mu mpuyi zaakyo (e kibuga) oluvanyuma ne basabwa bakaafuwale (era balwanyise abasiraamu) baalikikoze era tebaalisibyemu okugyako kaseera katono

    [15] Ate nga mu kusooka baali baalagaanyisa Katonda nti tebagenda kukyuka kukubayo mabega (ne badduka mu lutalo), era bulijjo e ndagaano ya Katonda ebuuzibwako (okulaba oba etuukiriziddwa)

    [16] Bagambe (gwe Muhammad) bwe muba nga mudduse kufa oba kuttibwa, okudduka tekuyinza kubagasa era ne bwe muba nga mudduse temugenda kuweebwa kweyagala okugyako akaseera katono

    [17] Bagambe nti, ani oyo ayinza okubawonya ku Katonda singa abadde abaagalizza akabi, oba nga abaagalizza kusaasira, era bulijjo okugyako Katonda tebayinza kufuna mukuumi oba omutaasa

    [18] Mazima Katonda amanyi abalemesa mu mmwe (ababa baagala okugenda mu lutalo) n'abo abagamba baganda baabwe nti mujje gyetuli) muve ku Muhammad (s.a.w.), era tebaagala kugenda ku lutalo okugyako kitono

    [19] Bulijjo baba bakodo ku mmwe, tebaagala (kubayamba ku lutalo). Ekiseera ekya kazigizigi bwe kijja obalaba nga bakukanulira amaaso gaabwe nga gakyuka ng’oyo azirise ng'agenda okufa, naye akaseera ka kazigizigi bwe kavaawo bakkakkana ku mmwe ne nnimi enjogi nga balulunkanira e birungi, abo tebakkirizanga, olwo nno Katonda asangula e mirimu gya bwe era ekyo ku Katonda kyangu nnyo

    [20] (Abannanfusi olw'obutiitiizi bwabwe) batuuka okulowooza nti ab'amagye g'omukago (abalumbaganyi) tebannagenda, singa amagye gajja (omulundi omulala), abannanfusi bandyegombye singa bbo babeera mu ba nnamalungu ne baba nga babuuza bubuuza ebikwata ku mmwe (nga bali eyo) era singa baali mu mmwe tebandirwanye okugyako kitono

    [21] Mazima mulina mmwe mu Mubaka wa Katonda ekyokulabirako ekirungi eri oyo abeera nga akkiriza Katonda n'olunaku lw'enkomerero, era naayogera nnyo ku Katonda nga amutendereza

    [22] Abakkiriza bwe baamala okulaba amagye g'omukago baagamba nti kino kyekyo Katonda n'omubakawe kye baatulagaanyisa, era Katonda n'omubakawe bayogera mazima, era (bwe baalaba) amagye g'omulabe tebaabongera okugyako obukkiriza n'okwewa Katonda

    [23] Mu bakkiriza mulimu abasajja abaatuukiriza ekyo kye baaweerako Katonda obweyamu (bwe baagamba nti bwe tulisisinkana omulabe bugenda ku twefuka), kale nno mu bo mulimu eyatuukiriza obweyamubwe nga bwe mulimu akyalindirira era tebakyusangako (ku ekyo) kukyusa kwonna

    [24] Olwo nno Katonda alyoke asasule abaatuukiriza amazima olwa mazima gaabwe, era abonereze abannanfusi bwaliba ayagadde, oba akkirize okwenenya kwa bwe(bwe baliba beenenyezza) mazima Katonda bulijjo musonyiyi nnyo musaasizi

    [25] Era Katonda yazzaayo abo abaakaafuwala n'obusungu bwa bwe, tebalina kalungi kebaafuna, era Katonda yamalira abakkiriza olutalo, era bulijjo Katonda wa maanyi nantakubwa ku mukono

    [26] Era yawanula abo abaabayamba mu ba nannyini kitabo ng'abajja mu bikomera byabwe, nassa mu mitima gya bwe okutya ne muba nga mutta e kitundu ate ne muwamba e kitundu e kirala (mu bo)

    [27] Era naasikiza mmwe e bibanja byaabwe n'amaka gaabwe ne mmaali yaabwe n'ebitundu by'ensi ebirala bye mutatuukangamu, bulijjo Katonda muyinza ku buli kintu

    [28] Owange ggwe Nabbi gamba bakyalabo nti: bwe muba mwagala bulamu bw'ansi na birungi byaayo, kale mujje mbasibirire (mbawe e birungi bye mwagala) era mbate oluta olulungi

    [29] Naye bwe muba nga mwagala Katonda n'omubakawe, ne nyumba ey'enkomerero mazima Katonda yateekerateekera abakola obulungi mu mmwe, e mpeera e nsuffu

    [30] Abange mmwe abakyala ba Nabbi oyo yenna mu mmwe akola e kikolwa eky'obuwemu, wekikakasibwa nti yakikoze, e kibonerezo ekimuweebwa kibazibwamu emirundi ebiri (olw'okuba Mukyala wa Nabbi) era ekyo kyangu ku Katonda

    [31] N'oyo yenna mu mmwe (baka Nabbi) agondera Katonda n’omubakawe naakola emirimu emirungi tumuwa empeeraye emirundi ebiri, era twamutegekera riziki eweesa ekitiibwa

    [32] Abange baka Nabbi temufaanana bakyala balala, bwe muba mutidde Katonda kale temugonzanga enjogera olwo nno naakwatibwa amaddu oyo alina obulwadde mu mutima gwe, era (buli lwe mwogera) mwogere ebigambo eby'ensa

    [33] Era mukkalire mu mayumba gammwe era temwejaajaamyanga enneejaajaamya ey'obutamanya obwaliwo mu kusooka era muyimirizeewo e sswala ne Zakka mugitoole, era mugondere Katonda n’omubakawe mazima Katonda ayagala okubaggyako ebibi abange mmwe abantu bo mu nyumba (ya Nabbi) era abatukuze olutukuza olwa nnamaddala

    [34] Era mujjukirenga ebyo ebisomerwa mu mayumba gammwe mu bigambo bya Katonda n’ebigambo eby'amagezi (Hadith za Nabbi), mazima bulijjo Katonda akwata bulungi (abaddu) ate nga amanyi byonna ebibafaako

    [35] Mazima abasajja abasiraamu n’abakazi abasiraamu, n’abasajja abakkiriza n’abakazi abakkiriza, n’abasajja abasinza Katonda n’abakazi abasinza Katonda, n’abasajja aboogera amazima n’abakazi aboogera amazima, n’abasajja abagumiikiriza n’abakazi abagumiikiriza, n’abasajja abagondera Katonda n’abakazi abagondera Katonda, n’abasajja abasaddaaka n’abakazi abasaddaaka, n’abasajja abasiiba n’abakazi abasiiba, n’abasajja abakuuma obwereere bwa bwe n’abakazi bwe batyo, n’abasajja aboogera ennyo ku Katonda n’abakazi bwe batyo, (abo bonna) Katonda yabategekera ekisonyiwo n'empeera ensuffu

    [36] Tekigwanirangako omukkiriza omusajja oba omukkiriza omukazi, Katonda n’omubaka we okumala okusalawo ekintu ate bo nebaba nga balina okwesalirawo ku nsonga yaabwe ate nga oyo yenna ajeemera Katonda n’omubaka we mazima aba abuze olubula olweyolefu

    [37] Jjukira bwe wagamba oyo Katonda gwe yawa ekyengera (n'asiramuka) naawe n'omuwa ekyengera (eky'okumuggya mu buddu) nti beera ne mukyalawo (toyawukana naye) era tya Katonda , ate ggwe nookweka mu mwoyo gwo ekyo Katonda kyanassa mu bbanga, n'oba nga otya abantu ate nga Katonda y'asinga okusaanira okuba nga gwotya, olwo nno Zaidi bwe yamala okumala obwetaavu (bwe) ku ye, twamukufumbiza olw'ensonga nti waleme kubaawo kuwulira bubi mu bakkiriza kuwasa baka baana baabwe (be batazaalira ddala) wabula bo be bayita obuyisi abaana baabwe. Wonna webaba bamalidde kye beetaaga ku bo, (nebaba nga tebakyabaagala nebabawa talaka) nga bulijjo ekiragiro kya Katonda kiteekwa kussibwa mu nkola

    [38] Tekisaanira Nabbi kuwulira bubi ku ekyo Katonda kyaba amusaliddewo, eyo y'enkola ya Katonda ku abo abaaliwo olubereberye. Ekigambo kya Katonda bulijjo kiba kyagerwa ekyasalibwawo edda

    [39] (Obutaba na nkenyera nga Katonda amaze okusalawo y'enkola ya) abo abasaasaanya obubaka bwa Katonda era nebamutya nebaba nga tebatya kintu kyonna okugyako Katonda, bulijjo kimala okuba nga Katonda y'agenda okubala

    [40] Muhammad tabangako kitaawe w'omu ku basajja mu mmwe wabula (yye) Mubaka wa Katonda, era ow'enkomerero wa ba Nabbi. Era bulijjo Katonda amanyidde ddala ebifa ku buli kintu

    [41] Abange mmwe abakkiriza mwogere ku Katonda nga mumwogerako nnyo

    [42] Era mumutendereze enkya n’olweggulo

    [43] Yye yooyo abasaasira nga ne ba Malayika be babasabira, abe nga abaggya mu bizikiza mudde eri ekitangaala. Era bulijjo musaasizi eri abakkiriza

    [44] Salaamu kye kiriba ekiramuso kya bwe (okuva ewa Katonda) olunaku lwe balimusisinkana, era yabategekera empeera ennungi

    [45] Owange ggwe Nabbi mazima ffe twakutuma nga oli mujulizi, era nga owa amawulire ag'essanyu, era nga owa amawuire agalabula

    [46] Era nga okoowoola (abantu) okudda eri Katonda ku lwe'kiragirokye era nga oli ttaala emulisa

    [47] Era sanyusa abakkiriza nti mazima bagenda kufuna okuva eri Katonda ebirungi ebisuffu

    [48] Era togondera abakaafiiri n'abannanfusi era tofa ku binyiizo bya bwe era weekwate bulijjo ku Katonda, anti amala okuba nga ye mukuumi

    [49] Abange mmwe abakkiriza bwe muwasanga abakyala abakkiriza ate nemubata nga temunnabakwatako (nga temunnatuuka gye bali), temubalinaako Idda zebatuula (nga tebannafumbirwa basajja balala), olwo nno mubasibirire ekyo ekibasanyusa era mubaleke oluleka olulungi

    [50] Owange ggwe Nabbi mazima ffe twakukkiriza okuba ne bakyala bo abo bewawa amahare gaabwe, n'abo bonna omukono gwo ogwa ddyo begufuga nga bajjira mu ebyo Katonda byaba akuwadde mu ntalo nga (eminyago), era twakukkiriza bawala ba Kitaawo omuto ne bawala ba ba sengabo, ne bawala ba Kojja wo ne bawala ba Maama bo abato (baganda ba nnyoko), abo abaasenguka naawe, nabwekityo omukyala yenna omukkiriza bwaba nga yeewadde Nabbi, Nabbi n'aba nga ayagadde okumuwasa ekyo nga kikyo wekka, so ssi abakkiriza abasigadde. Mazima tumanyi ebyo bye twabalaalikako (bo) ku bikwata ku bakyala baabwe n'abo emikono gya bwe egya ddyo begifuga, olwo nno obe nga towulira buzibu. Era bulijjo Katonda musonyiyi musaasizi

    [51] Olindiriza oyo gwoba oyagadde ku bo ate nootwala oyo gwoba oyagadde ate oyo gwoba osazeewo mu abo boolindirizza tolina kibi (singa oba osazeewo noomutwala) ekyo kye kitandikirwako mu kutebenkeza amaaso gaabwe ne batanakuwala era bonna nebasiima ebyo byoba obawadde, era Katonda amanyi ebyo ebiri mu mitima gya mmwe, anti bilijjo Katonda mumanyi nnyo wa kisa

    [52] Tokkirizibwa bakyala balala oluvanyuma lw'abo (boolina) wadde okubawaanyisaamu abakyala abalala, obulungi bwabwe ne bwe bukusanyusa butya okugyako abo omukono gwo ogwa ddyo begufuga, era bulijjo Katonda mulondoozi wa buli kintu

    [53] Abange mmwe abakkiriza temuyingiranga e nyumba za Nabbi okugyako nga mukkiriziddwa okugenda okulya (ate) nga temulinda kuyiisibwa kwa mmere, bwe mumala okulya olwo nno musaasaane era temutwalirizibwanga emboozi, mazima ekyo kibadde kinyiiza Nabbi ate nga abakwatirwa ensonyi so nga Katonda takwatibwa nsonyi kwogera mazima, era (bakyala ba Nabbi) bwe mubaako ekintu kye mubasaba mukibasabire mabega wa lutimbe, ekyo nno kyekisinga obutukuvu eri emitima gya mmwe n'emitima gyabwe. Tekibagwanira mmwe okunyiiza omubaka wa Katonda era tekibagwanira kuwasa bakyalabe oluvanyumalwe (nga ekiragiro kino) kya lubeerera. Mazima ekikolwa ekyo kinene ewa Katonda

    [54] Kamube nga mwolesezza ekintu oba nga mukikwese mazima Katonda bulijjo amanyidde ddala ekifa ku buli kintu

    [55] (Bakyala ba Nabbi) tebalina kibi (obuteebikka) nga bali ne ba kitaabwe, wadde abaana baabwe wadde bannyinaabwe, wadde abaana ba bannyinaabwe, wadde abakyala nga bbo, wadde emikono gyabwe egya ddyo begifuga, bateekeddwa okutya Katonda, mazima Katonda bulijjo aba buli kintu kyonna wekikolerwa

    [56] Mazima Katonda neba Malayikabe basaasira Nabbi, abange mmwe abakkiriza mumusabirenga era mumulamuse olulamusa (olumuwa ekitiibwa)

    [57] Mazima abo abanyiiza Katonda n’omubakawe, Katonda yabakolimira ku nsi ne ku nkomerero era naabategekera ebibonerezo ebinyoomesa

    [58] Ate abo abanyiiza abakkiriza abasajja n’abakkiriza abakazi awatali kintu kye bakoze, mazima baba beetisse okutemerera n'ekibi eky'olwatu

    [59] Owange ggwe Nabbi gamba bakyalabo ne bawalabo ne bakyala ba bakkiriza babe nga beebikkirira obukaaya bwabwe, ekyo kye kyanguya okuba nga bamanyika (nti ba kitiibwa) olwo nno baleme kunyiizibwa. Bulijjo Katonda muyitirivu wa kusonyiwa era muyitirivu wa kusaasira

    [60] Abannanfusi n'abo abalina obulwadde mu mitima gyabwe n'abasaasaanya kalebule mu Madinah bwe banaaba tebeekomyeko tujja kukusobozesa okubakolako, n'ekinaddako tebagenda kuddayo kubeera naawe mu kyo okugyako ekiseera kitono

    [61] Bakolimirwa, wonna webasangibwa bakwatibwa nebattibwa olutta

    [62] (Tebasaasirwa) ekyo ye nkola ya Katonda ku abo abaaliwo olubereberye, ate toyinza kusanga kukyuka mu nkola ya Katonda

    [63] Abantu bakubuuza ku lunaku lw'enkomerero bagambe nti: mazima okumanyibwa kwalwo kuli eri Katonda, ye omanya otya oba olunaku lw'enkomerero luli kumpi

    [64] Mazima Katonda yakolimira abakaafiiri era naabategekera omuliro Sai-ir

    [65] Baakutuula mu gwo bugenderevu, tebagenda kufuna wa mukwano oba omutaasa

    [66] Ku lunaku ebyenyi byabwe lwe birikyusibwakyusibwa mu muliro nga bagamba nti zitusanze singa twagondera Katonda era netugondera omubaka

    [67] Era ne bagamba nti: ayi Mukama omulabirizi waffe mazima ffe twagondera abakulembeze baffe n'abatutumufu mu ffe, olwo nno nebatubuza ekkubo

    [68] Ayi Mukama omulabirizi waffe bawe ebibonerezo byabwe nga bibaziddwamu emirundi ebiri era obakolimire olukolimira olunene

    [69] Abange mmwe abakkiriza temubeeranga abo abaanyiiiza Musa (bwe baagamba nti aliko obulemu ku mubirigwe obumugaana okunaaba naffe) wabula Katonda yamutukuza ku ekyo kye baagamba era bulijjo wa kitiibwa ewa Katonda

    [70] Abange mmwe abakkiriza mutye Katonda era mwogere ebigambo ebituufu

    [71] Ajja kubalongooseza emirimu gya mmwe era abasonyiwe ebyonoono bya mmwe, era bulijjo omuntu agondera Katonda n’omubakawe aba yeesiimye olwesiima olusuffu

    [72] Mazima ffe twayagala obuvunaanyizibwa okubuwa eggulu omusanvu n'ensi n'ensozi naye nebigaana okubwetikka nebibwesamba, ye omuntu naabwetikka (naatatuukiriza era olw'ekyo) n'abeera eyeeyisa obubi atamanyi

    [73] Olwo nno Katonda alyoke abe nga abonereza abannanfusi abasajja n'abannanfusi abakazi, n’abasajja abagatta ku Katonda ebintu ebirala n’abakazi abagatta ku Katonda ebintu ebirala, era abe nga asonyiwa abakkiriza abasajja n’abakkiriza abakazi. Era bulijjo Katonda muyitirivu wa kusonyiwa muyitirivu wa kusaasira

    Saba

    Surah 34

    [1] Ebitendo byonna bya Katonda, oyo nga bibye yekka, ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi, era ebitendo byonna bibye ku nkomerero era yye ye mugoba nsonga amanyi ennyo

    [2] Amanyi ebyo ebiyingira mu nsi n'ebigifuluma, n'ebyo ebikka okuva mu ggulu n'ebyambuka mu lyo, era yye ye musaasizi omusonyiyi

    [3] Abo abaakaafuwala bagamba nti enkomerero tegenda kutujjira, bagambe nti nedda ndayidde Mukama omulabirizi wange (enkomerero) egenda kubajjira ddala (Mukama omulabirizi wange) omumanyi w'ebyekusifu, akantu akatono ennyo tekayinza kumubulako kakabe mu ggulu omusanvu oba mu nsi wadde akatono ennyo okusinga kwako wadde ekinene (tewali kintu kyonna) okugyako nga kiri mu kitabo ekinnyonnyofu

    [4] (Byonna bwe biryolesebwa) olwo nno (Katonda) alyoke asasule abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu. Abo balina ekisonyiwo ne riziki eweesa ekitiibwa

    [5] Ate abo abakola kaweefube okulwanyisa ebigambo byaffe, abo balina ebibonerezo ebiruma olw'ebyonoono (byabwe)

    [6] Bo abo abaaweebwa okumanya ebissibwa gyoli okuva ewa Mukama omulabiriziwo baliraba nga g’emazima era nga birungamya eri ekkubo lya nantakubwa ku mukono atenderezebwa

    [7] Abo abaakaafuwala (mu kujereegerera) bagamba nti abaffe tubalagirire omusajja anaabategeeza bwe munaaba muyuziddwa oluyuzibwa olw'amaanyi (nga muli mu ntaana ennyama n'ebaggwa ku magumba) mbu mazima mmwe muliddayo nemutondebwa bupya

    [8] Abaffe (okwogera bwatyo) atemeredde bulimba ku Katonda oba agudde eddalu, wabula abo abatakkiriza nkomerero bali mu bibonerezo na bubuze obw'ewala

    [9] Abaffe tebalaba ebyo ebiri mu maaso gaabwe n'ebyo ebiri emabega waabwe ebiri ku ggulu ne ku nsi, singa twagadde tuyinza okubamizisa ensi oba netubasuulako ekibajjo okuva waggulu, mazima mu ebyo mulimu akabonero (eky'okuyiga) eri buli muddu eyeenenyeza Katonda we

    [10] Mazima twawa Dauda ebirungi okuva gye tuli, (nga bwe twagamba nti) abange mmwe nsozi mutendereze wamu naye nammwe ebinyonyi mukole bwe mutyo, era twamugondeza ekyuma

    [11] (Netumugamba nti) kola ebyambalo by'olutalo, amakowe gakole nga genkana, era mukole emirimu emirungi mazima nze ndabira ddala ebyo bye mukola

    [12] Ate Sulaiman twamugondeza empewo nga ekitundu kyetambula okuva kumakya okutuuka mu ttuntu kyanditambuliddwa mwezi, nga n'ekitundu kyetambula olw'eggulo kyalitambuliddwa mwezi, era twamukulukusiza ensulo z’ekikomo nga ne mu Majinni mulimu agaali mu buyinza bwe agamukolera byonna ku lw'ekiragiro kya Mukama Omulabiriziwe, ejinni lyonna eribula neriva ku kiragiro kyaffe tulikombesa ku bibonerezo ebyo muliro Sa-iri

    [13] N'olwekyo nga gamukolera byonna byayagala nga ebifo ebisinzibwamu n'ebifaananyi, ebibumbe ne nsiniya ennene eziringa ebidiba, n'amaseppiki (amanene ennyo) agatava mu kifo, (netumugamba nti) abange abantu ba Dauda mukole olw'okwebaza (Katonda), wabula batono abeebaza mu baddu bange

    [14] Bwe twamutuusaako okufa tewali kyagalaga kufa kwe okugyako ebiwuka by’omuttaka (enkuyege) ezaalya omuggo gwe gwe yatambula nga nagwo) olwo nno bwe yagwa amajinni gaakakasa nti singa gaali gamanyi ebyekusifu tegandibadde mu bibonyoobonyo ebinyoomesa

    [15] Mazima abantu be Saba-i mu kitundu kyabwe baalinamu eky'okuyiga (nakyo baalina) ennimiro bbiri ku ddyo ne ku kkono (netubagamba nti) mulye mu bigabwa bya Mukama omulabirizi wa mmwe era mumwebaze, (nga kino kye yabawa) kitundu kya nsi kirungi, ne Katonda mulabirizi musonyiyi

    [16] Baava ku kyabalagirwa netubasindikira mukoka omuyitirivu (eyawaguza zi daamu (amabibiro g'amazzi) essamba nezijjula amazzi), olwo nno nnimiro zaabwe netubawaanyisizaamu ennimiro endala bbiri ezijjudde ebyokulya ebikaawa n’emiti egitabala n’emiti gya Sidiri mitono tono

    [17] Ekyo kye twabasasula olw'obukaafiiri bwa bwe, ye ate tubonereza mu kusasula okw'ekyenkanyi mu ngeri eno okugyako abakaafiiri

    [18] Netussa wakati waabwe ne wakati w’ebitundu ebyo bye twawa omukisa ebitundu ebirala nga bikwataganye (era nga bisoboka okuwummulirwamu) okubitambuliramu netukifuula kyangu (kale) mutambule mu byo ebiro n’emisana nga muli mirembe

    [19] Olwo nno (mu kifo ky'okwebaza) ne bagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe, ssa amabanga manene (okutuuka wetusobola okuwummulira) mu ngendo zaffe. Mu kukola ekyo nebaba nga beelyazaamaanya bokka, olwo nno netubafuula eky'okwogerako era netubayuzaayuza oluyuzaayuza. Mazima mu ekyo mulimu eby'okuyiga eri buli mugumiikiriza owa nnamaddala eyeebaza ennyo

    [20] Mazima Ibuliisu yatuukiriza endowooza ye nga akozesa bbo, olwo nno ne bamugoberera okugyako ekitundu ku bakkiriza

    [21] Tabangako na buyinza ku bo wabula (ekimufunyisa abagoberezi) lwakuba twagala tumanye oyo akkiriza olunaku lw’enkomerero nga tumwawula ku oyo alulinamu okubuusabuusa, bulijjo Mukama omulabirizi wo mulondoozi wa buli kintu

    [22] Bagambe (gwe Nabbi Muhammad) musabe abo bemugamba nemuva ku Katonda, (wabula mukimanye nti) tebafuga kantu kenkana kanyinkuli mu ggulu omusanvu wadde mu nsi, era tebalina mugabo mu byombi era (Katonda) talina muyambi yenna ava mu bo wadde ava mu balala

    [23] Era mu maasoge okuwolereza tekugenda kugasa (muntu yenna) okugyako oyo gwaliba akkirizza, okutuusa okutya bwe kuliba kuggyiddwa mu mitima gya bwe baligamba nti Mukama omulabirizi wa mmwe agambyeki? (ba Malayika) baligamba nti (ayogedde) amazima, era yye wa waggulu omusukkulumu

    [24] Bagambe ani abagabirira okuva mu ggulu omusanvu n'e nsi, bagambe nti Katonda. Era mazima ffe oba mmwe tuli ku bulungamu oba ku bubuze obw'olwatu

    [25] Bagambe nti temugenda kubuuzibwa ku ebyo bye twayonoona nga bwe tutagenda kubuuzibwa ku bye mukola

    [26] Bagambe nti Mukama omulabirizi waffe agenda ku tukungaanya oluvanyuma asalewo wakati waffe mu mazima, anti yye ye mutaawuluza asinga, omumanyi ennyo

    [27] Bagambe nti mundage abo be munnyungako ne mubangattako, nedda tebaliiyo wabula yye ye Katonda nantakubwa ku mukono mugoba nsonga

    [28] Era tetwakutuma okugyako nga oli (mubaka) awa amawulire ag'essanyu (eri abakkiriza) era omutiisa (eri abatakkiriza) naye abantu abasinga obungi tebamanyi

    [29] Era nebagamba nti eyo endagaano eribaawo ddi bwe muba nga mwogera mazima

    [30] Bagambe nti mulina endagaano y’olunaku lwe mutalisobola kusaba museeseetulwe ku lwo wadde essaawa emu era nga bwe mutalisobola kusaba lubaleeterwe mangu (ne mukifuna)

    [31] Abo abaakaafuwala ne bagamba nti: tetujja kukkiriza Kur’ani eno wadde ebyo ebyagikulembera naye singa osobola okulaba ekiseera abeeyisa obubi lwe baliyimirizibwa mu maaso ga Mukama omulabirizi waabwe abamu ekigambo balikissa ku bannaabwe (ekyabasuula mu buzibu), abo abaali batwalibwa okuba aba wansi baligamba abo abeetwala okuba aba waggulu nti singa temwali mmwe twandibadde bakkirizza

    [32] Abo abaatwalibwanga okuba aba waggulu baligamba abo abaatwalibwanga okuba aba wansi nti: abaffe, ffe twabalemesa obulungamu bwe bwali nga bubajjidde (si bwe guli) wabula mwali bantu aboonoonyi

    [33] N'abo abaatwalibwanga okuba aba wansi baligamba abo abeetwalanga okuba aba waggulu nti (si bwe kiri), wabula ezo zaali nkwe ze mwasalanga ekiro n’emisana bwe mwatulagiranga tujeemere Katonda netumussaako ba katonda abalala, olwo nno balikweka munda okwejjusa kebaliraba ebibonerezo era tugenda kussa enjegere mu nsingo zaabo abaakaafuwala, ye ate balisasulwa okugyako ebyo bye baakola

    [34] Era tetutumanga mu kitundu kyonna mutiisa okugyako nga abawangaala obulamu obw'okwejalabya nga bagamba nti mazima ffe tuwakanya ebyo bye mutumiddwa nabyo

    [35] Era ne bagamba nti ffe tusinga (mmwe) emmaali n’abaana era ffe tetugenda kubonerezebwa

    [36] Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad nti) mazima Mukama omulabirizi wange ayanjuluriza eby'enfuna oyo gwaba ayagadde ate n’abifundiza gwaba ayagadde, naye ddala abantu abasinga obungi tebamanyi

    [37] Era emmaali ya mmwe n’abaana ba mmwe si bye biyamba okusembera gye tuli okugyako (ekiyamba) ye muntu akkiriza naakola emirimu emirungi. Abo nno balifuna empeera enkubiseemu olw'ebyo bye baakola era bagenda kutuula ntende mu nyumba ensitufu

    [38] N'abo abassa amaanyi mu kulemesa ebigambo byaffe bagenda kuleetebwa eri bibonerezo

    [39] Bagambe nti mazima Mukama omulabirizi wange ayanjuluza riziki eri oyo gwaba ayagadde mu baddu be ate naagifundiza (gwaba ayagadde), nabuli kintu kyonna kye muwaayo mazima yye akizzaawo era bulijjo yye yaasinga abagabirizi

    [40] Era mujjukire olunaku lwalibakungaanya bonna oluvanyuma naagamba ba Malayika nti: abaffe abo be baasinzanga mmwe

    [41] Baligamba nti wasukkuluma, ggwe Mukama waffe so ssi bo. Wabula bo baasinzanga majinni, abasinga obungi gebakkiririzangamu

    [42] (Katonda aligamba nti) kale nno olwa leero abamu ku mmwe tebagenda kuba na busobozi kugasa bannaabwe oba okubatuusaako akabi era tuligamba abo abeeyisa obubi nti mukombe ku bibonerezo by'omuliro ogwo gwe mwali mulimbisa

    [43] Ebigambo byaffe ebinnyonnyofu bwe bibasomerwa bagamba nti tali ono okugyako musajja ayagala okubajja ku ebyo bakadde ba mmwe bye baali basinza, era nebagamba nti (Kur’ani jazze nayo) eno teri okugyako bulimba obujingirire ate bo abaakaafuwala amazima bwe gamala okubajjira bagamba nti tebiri bino okugyako ddogo ery'olwatu

    [44] (Boogera ebyo naye nga) tetubawanga bitabo nti bye basoma era nga tetubatumiranga mutiisa yenna oluberyeberye lwo

    [45] Era abo abaaliwo oluberyeberye lwabwe baalimbisa (abaka baffe) ate nga (abantu b'e Makkah) tebaaweza kimu kya kkumi kye twawa bali, ate olwo nno nebalimbisa ababaka bange, naye nnababonereza ngeriki

    [46] Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad) nti mbabuulirira n’ekintu kimu kyokka nakyo kwe kuba nga muyimirira ku lwa Katonda babiri babiri oba kinnoomu oluvanyuma mulowoorereze (mujja kutegeera) nti munnammwe (Muhammad) ssi mulalu tali yye okugyako okuba nti mutiisa gye muli (nga abatiisa) ebibonerezo eby'amaanyi bye mwolekedde

    [47] Bagambe nti ssibasaba mpeera yonna (empeera yonna eri emu) nayo ya mmwe, empeera eyange teri okugyako ku Katonda yekka. Era yye ku buli kintu (abeerawo) nga kikolebwa

    [48] Bagambe nti mazima Mukama omulabirizi wange akozesa amazima najjawo obulimba amanyidde ddala ebyekusifu

    [49] Bagambe nti obutuufu buzze era obutali butuufu tebuyinza kutandika nate era ssi bwa kudda

    [50] Bagambe nti: bwemba mbuze mazima mba mbuze ku lwange naye bwennungama kiba kivudde ku bubaka Mukama omulabirizi wange bwantumira, mazima yye muwulizi nnyo ali kumpi ddala

    [51] Singa oliraba mu kiseera abakaafiiri bwe balitya (ku lunaku lw'enkomerero) tewaliba buddukiro era balikwatibwa nga bajjibwa mu kifo eky'okumpi ddala

    [52] Era baligamba nti tubikkiriza (ebyo Nabbi byagamba) naye wwa gye balijja okukkiriza nga bamaze okukuleka mu kifo eky'ewala (gye bavudde)

    [53] Mazima baabiwakanya oluberyeberye, era baatemerera obulimba ku bigambo ebyekusifu ebiri mu kifo eky'ewala

    [54] Newasiikirizibwa wakati waabwe ne wakati w'ekyo kye baagala nga bwe kyakolebwa oluberyeberye (ku abo) abalinga bo mazima bo bali mu kubuusabuusa okuleeta okutankana (ne batakkiriza)

    Omutandisi

    Surah 35

    [1] Ebitendo byonna bya Katonda omutonzi w'eggulu omusanvu n'ensi, eyafuula ba Malayika ababaka abalina ebiwawaatiro, ow'ebibiri n'ow'ebisatu n'ow'ebina ayongera mu kutonda ekyo kyaba ayagadde mazima Katonda muyinza ku buli kintu

    [2] Okusaasira Katonda kwaba agguliddewo abantu tewali ayinza kukulemesa, ate okwo kwalemesa tewali ayinza kukuleeta atali yye, era yye ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga

    [3] Abange mmwe abantu mujjukire ekyengera kya Katonda kye yabawa, abaffe waliyo omutonzi atali Katonda abagabirira okuva waggulu ne mu nsi, tewali kisinzibwa kyonna okugyako yye, olwo nno ate muwugulwa mutya

    [4] Bwe bakulimbisa mazima ababaka baalimbisibwa oluberyeberyelwo, era nga bulijjo ewa Katonda ensonga zonna gyezizzibwa

    [5] Abange mmwe abantu mazima endagaano ya Katonda ya mazima, obulamu bwensi tebubagayaazanga era ebigayaaza byonna tebibajjanga ku Katonda

    [6] Mazima Sitane mulabe wa mmwe kale (na mmwe) mumufuule mulabe. Anti mazima akoowoola ekibiinakye balyoke babeere mu bantu bo mu muliro Sa-iri

    [7] Abo abaakaafuwala balina ebibonerezo ebikakali ate abo abakkiriza nebakola emirimu emirungi balina ekisonyiwo n'empeera ensuffu

    [8] Abaffe oyo ogwawundibwa omulimu gwe omubi naagulaba nga mulungi (ayinza okufaanana oyo omulungamu) mazima Katonda abuza gwaba ayagadde naalungamya gwaba ayagadde, kale toggwamu mwoyo ku lw'okubasalirwa, mazima Katonda amanyidde ddala ebyo bye bakola

    [9] Katonda yooyo asindika empewo nezitambuza ebire (eby'enkuba, enkuba eyo) netunywekereza nayo ensi enfu (enkalu) olwo nno netuzza nayo mu bulamu ettaka eriba lifudde nabwekityo okuzuukira (bwe kuliba)

    [10] Oyo yenna ayagala ekitiibwa, ebitiibwa byonna biri wa Katonda. Gyali ebigambo ebirungi gye byambuka n’emirimu emirongoofu agisitula ate abo abakola enkwe okukola ebibi balina ebibonerezo ebikakali era enkwe zaabo zeezigwa obutaka

    [11] Era Katonda yabakola (mmwe) nga abajja mu ttaka oluvanyuma abajja mu mazzi agazaala oluvanyuma yabatonda nga muli bibiri bibiri (ekisajja n’ekikazi). Tewali kikazi kifuna lubuto wadde ekizaala okugyako nga amanyi, tewali kiwangaazibwa mu biwangaazibwa era tewali kikendezebwa ku buwangaazi bwakyo okugyako nga kiri mu kitabo (nga Katonda yakisalawo dda) mazima ekyo kyangu nnyo ku Katonda

    [12] Amazzi ag'ennyanja ebbiri tegayinza kufaanagana, nga (emu) amazzi gaayo malungi mawoomu ganyweka, nga ate endala ya mazzi ag’omunnyu lukalabule, ate nga mulya mu buli emu ku zo ebyenyanja ebibisi era mujjamu eby'okwewunda bye mwambala era olaba amaato mu zo nga gakola amakubo olwo nno musobole okunoonya mu bigabwabye olwo nno mubeere abeebaza

    [13] Ayingiza ekiro mu musana era naayingiza omusana mu kiro era yagonza enjuba n'omwezi nga buli kimu kya kutambula okumala ebbanga eggere oyo nno ye Katonda Mukama omulabirizi wa mmwe nannyini buyinza bwonna ate abo bemusaba abatali yye tebalina buyinza wadde obwenkana akakuta k'empeke

    [14] Bwe mubasaba tebawulira kusaba kwa mmwe ate (katugambe) nti bawulidde tebasobola kubaanukula era nga ne ku lunaku lw'enkomerero bagenda kwegaana engeri gye mubagatta ku Katonda, (ayagala ategeere) anti tewali ayinza kukutegeeza kufaanana nga oyo amanyi ekintu nemunda waakyo

    [15] Abange mmwe abantu mmwe beetaavu eri Katonda ate yye Katonda y'atalina bwetaavu atenderezebwa ennyo

    [16] (N'olwekyo) singa aba ayagadde asobola okubajjawo naaleeta ebitonde ebipya

    [17] Era ekyo ku Katonda si kinene

    [18] Tewali mwoyo mwonoonyi gugenda kwetikka kibi kya mwoyo mwonoonyi mulala, era oguliba guzitoowereddwa bwe gulisaba okugwetikkirako tebaligwetikkirako kintu kyonna ,(gwe gusaba) nebwaliba wa luganda olw'okumpi, mazima olabula abo abatya Mukama omulabirizi waabwe, awamu n'obutamulabako era nebayimirizaawo e sswala. N'oyo yenna eyeetukuza mazima yeetukuza ku lulwe era eri Katonda yeeri obuddo

    [19] Era muzibe n'alaba tebenkana

    [20] Wadde ebizikiza n'ekitangaala

    [21] Wadde ekisiikirize tekyenkana na ppereketya wa musana

    [22] Era abalamu n'abafu tebenkana, mazima Katonda awuliza oyo gwaba ayagadde era ggwe (Muhammad) tosobbola kuwuliza abo abali mu kabbuli

    [23] Ggwe toli okugyako okuba omutiisa

    [24] Mazima ffe twakutuma mu butuufu nga oli musanyusa (eri abakkiriza) era nga oli mutiisa (eri abatakkiriza) era tewali bantu bonna okugyako nga omutiisa yabatuukamu

    [25] Naye bwe bakulimbisa mazima n'abo abaabakulembera baalimbisa ababaka baabwe baabajjira n’obunnyonnyofu n'ebiwandiiko n'ebitabo ebitangaaza

    [26] Oluvanyuma nnakwata abo abaakaafuwala kale okubonereza kwange kwali kutya

    [27] Abaffe tolaba nti Katonda assa amazzi okuva waggulu netumeza nago ebibala eby'amabala ag'enjawulo nga ne mu nsozi mulimu amakubo ameeru n'amamyufu nga amabala gaago maawukamu na'maddugavu ttibittibi

    [28] Mu ngeri y'emu ne mu bantu n'ensolo n’ebisolo ebirundibwa awaka amabala gaabyo ga njawulo mazima ddala abamanyi be batya Katonda mu baddube, mazima Katonda ye nantakubwa ku mukono omusonyiyi ennyo

    [29] Mazima abo abasoma ekitabo kya Katonda (Kur’ani) ne bayimirizaawo e sswala era ne bawaayo mu kyama ne mu lwatu ku ebyo bye tubagabirira basuubira eby'obusuubuzi ebitadiba

    [30] Ate alyoke abawe mu bujjuvu empeera zaabwe era abongeze mu birungibye anti mazima yye, musonyiyi nnyo omwebaza

    [31] N'obubaka obwo bwe twakutumira mu kitabo (Kur’ani) go ge mazima nga gakakasa ebyo ebyagakulembera. Mazima Katonda amanyidde ddala eby'omunda era mulabi nnyo

    [32] Oluvanyuma twasikiza ekitabo abo be twalondoba mu baddu baffe olwo nno nemuba mu bo eyeeyisa obubi yennyini nga bwe muli mu bo ow'omumakkati era nga mu bo mulimu assa essira mu kukola ebirungi (ebya Faradha ne Sunna) ku lw'obuyinza bwa Katonda obwo nno bwe bulungi obusuffu

    [33] (Nga) z'ejjana ez'emirembe ze baliyingira. Balinaanikibwa nga bali mu zo ebikomo ebya zzaabu ne Luulu, era ebyambalo byabwe nga bali mu yo biriba bya Sirik

    [34] Era ne bagamba nti ebitendo byonna bya Katonda oyo atumazeeko ennaku, mazima Mukama omulabirizi waffe musonyiyi nnyo era yeebaza

    [35] Oyo atutadde mu nyumba ey'olubeerera nga kugaba kwe ennaku ssi yaakututuukako nga tuli mu yo, era nga tuli mu yo bwe tutagenda kutuukwako kukoowa

    [36] Ate abo abaakaafuwala balifuna omuliro Jahannama, tebagenda kusalirwawo nti (bafe) olwo nno ne baba nga bafa era tebagenda kukendezebwa ku bibonerezo byagwo bwe tutyo bwe tusasula buli ntasiima

    [37] Nabo bagenda kuba nga baleekaanira mu gwo (nga bagamba nti) ayi Mukama omulabirizi waffe tufulumye (otuzze ku nsi) tukole emirimu emirungi egitali egyo gye twali tukola luli, (baligambibwa nti) abaffe tetwabawangaaza ebbanga lyasobola okujjukiriramu oyo ajjukira era naabajjira omutiisa (kye musaba temujja kukifuna) kale mukombe ku bukaawu bw'ebibonerezo, abeeyisa obubi tebayinza kuba na mutaasa yenna

    [38] Mazima Katonda amanyi ebyekusifu byo mu ggulu omusanvu n'ensi mazima ddala yye amanyidde ddala ebiri mu bifuba

    [39] Ye yooyo eyabafuula (mmwe) abadda mu bigere bya bannaabwe mu nsi, oyo akaafuwala obukaafiiri bwe bukosa yye, era abakaafiiri obukaafiiri bwabwe tebubongera ewa Mukama omulabirizi waabwe okugyako okukyayibwa era abakaafiiri obukaafiiri bwabwe tebubongera okugyako okufaafaaganirwa

    [40] Bagambe nti mulaba abo bemungattako abo bemusaba nemuleka Katonda (kale) mundage kiki kye batonda ku nsi, oba abaffe balina omugabo mu (kukolebwa) kw'eggulu omusanvu oba (si ekyo) nga twabawa ekitabo olwo nno nebaba nga balina obujulizi okuva mu kyo (obubalagira okukola shiriki oyo) nedda abeeyisa obubi abamu mu bo tebalagaanyisa bannaabwe okugyako ebigayaaza

    [41] Mazima Katonda awanirira eggulu omusanvu n'ensi bibe nga tebivaawo era singa bivaawo teyandibiwaniridde omulala yenna oluvanyuma lwe anti mazima yye wa kisa musonyiyi nnyo

    [42] (Abakaafiiri be Makkah) baalayira Katonda mu kukakasa ebirayiro byabwe (ne bagamba nti) singa omutiisa alibajjira bagenda kubeerera ddala abasinga obulungamu okusinga (abantu bonna abaali babaddewo), awo nno omutiisa (Muhammad) bwe yabajjira tekyabongera okugyako okwesamba (omubaka)

    [43] (Nga ekyo kiva) ku kwekuluntaza (kwa bwe) mu nsi, n'okukolala enkwe embi, enkwe embi tezituusa kabi okugyako ku ba nannyini zo olwo abaffe balina kyebalindirira okugyako enkola eyatuuka ku baabakulembera ate nga enkola ya Katonda (mu kubonereza abajeemu) tebaamu kukyusibwa era nga enkola ya Katonda toyinza kugisangamu kujjululwa

    [44] Abaffe tebatambula mu nsi olwo nno nebalaba enkomerero yaabo abaabakulembera nga bwe yali ate nga baali ba maanyi okubasinga, kikafuuwe ekintu kyonna mu ggulu omusanvu ne mu nsi okulemesa Katonda anti mazima yye bulijjo mumanyi nnyo muyinza

    [45] Singa Katonda yali avunaana abantu olw'ebyo bye baba bakoze teyaalirese ku ngulu kwayo (ensi) kitambula kyonna naye abalindiriza okutuusa ekiseera ekigere olwo nno entuuko za bwe bwe zituuka (buli muntu nazzibwa eri ekifo ekimusaanira) anti Katonda bulijjo alabira ddala ebikwata ku baddube

    Ya-Sin

    Surah 36

    [1] Yaasin

    [2] Ndayidde Kur’ani (eno) ejjudde ebigambo eby'amagezi

    [3] Mazima ggwe (Muhammad) oli wa mu babaka

    [4] (Nga oli) ku kkubo eggolokofu

    [5] (Kur’ani eno) yassibwa nantakubwa ku mukono omusaasizi

    [6] Obe nga otiisa abantu bakadde baabwe abataatiisibwa olwo nno nebaba abeesuulirayo ogwa naggamba (ku bikwata ku Katonda)

    [7] Mazima kikakase ekigambo (eky'okubonerezebwa) ku basinga obungi mu bo nebaba nga tebagenda kukkiriza

    [8] Mazima ffe twassa mu nsingo zaabwe enkoligo nga nazo zituukira ddala ku bulevu, olwo nno nebaba nga balalambadde

    [9] Netussa mu maaso gaabwe ekiziyiza netussa n'ekiziyiza (ekirala) emabega waabwe, olwo nno netubabikka nga bo tebayinza kulaba

    [10] Era kyekimu ku bo obatiisizza oba tobatiisizza si baakukkiriza

    [11] Mazima otiisa oyo agoberera okubuulirira era n'atya (Katonda) omusaasizi ennyo awamu n'okuba nga talabika kale nno musanyuse n'amawulire g’ekisonyiwo n'empeera eyeesiimisa

    [12] Mazima ffe tuliramusa abafu era tuwandiika ebyo bye baakulembeza ne bye baagoberezaako nga na buli kintu twakikomeka mu kitabo e kikulu e kigenda okulaga buli kimu

    [13] Bakubire ekifaanayi ky'abantu bo mu kitundu ekimu bwe bajjirwa ababaka

    [14] Mu kiseera bwe twatumira gye bali ababaka babiri ne babalimbisa, olwo nno netubongera amaanyi n’owokusatu (bonsatule) nebagamba nti mazima ffe tutumiddwa gye muli

    [15] (Abo mu kitundu ekyo) ne bagamba nti: mmwe temuli okugyako (okuba) bantu bannaffe era Katonda omusaasizi ennyo tassanga kintu kyonna temuli mmwe okugyako okuba nga mulimba (bulimbi)

    [16] (Ababaka) nebagamba nti Mukama omulabirizi waffe omanyi nti mazima ddala ffe tutumiddwa gye muli

    [17] Era tetuvunaanyizibwa okugyako okutuusa obubaka mu bunnyonnyofu

    [18] (Abo mu kitundu) nebagamba nti mazima ffe tutya okutuukibwako obuzibu ku lwa mmwe, bwe muteekomeko tujja kubakasukira amayinja era ebibonerezo ebiruma ennyo bijja kubatuukako nga biva gye tuli

    [19] (Ababaka) ne bagamba nti okutya kwa mmwe okutuukibwako obuzibu mwe mukyereetedde (bwe mugaanye okuwuliriza obubaka bwe muleeteddwa) wabula mmwe muli bantu abayitirivu mu kwonoona

    [20] olwo nno omusajja najja nga ava ku nkomerero y’ekibuga nga ayanguwa naagamba nti: abange bantu bange mugoberere ababaka

    [21] Mugoberere abo abatabasaba mpeera ate nga bo balungamu

    [22] Nina ki okuba nti sisinza oyo eyantonda, ate nga gyali gye mulizzibwa

    [23] Ndeke Katonda neeteerewo ebisinzibwa ebirala, so nga singa Katonda omusaasizi ennyo anjagaliza akabi okuwolereza kwabyo tekwandingasizza kintu kyonna era tebiyinza kunziruukirira

    [24] (Singa nkikola) mazima nze olwo njakuba mu bubuze obweyolefu

    [25] Mazima nze nzikiriza Mukama omulabirizi wa mmwe kale mumpulirize

    [26] Naagambibwa (nga amaze okufa) nti yingira e jjana, naagamba nti kale singa abantu bange bamanyi

    [27] Ekyo Mukama omulabirizi wange kyansonyiyidde era nanteeka mwabo abagabulwa (olwaleero)

    [28] Era tetwassa ku bantu be oluvanyuma lwe ggye lyonna liva mu gggulu (olw'okubazikiriza) era tetwali baakulissa

    [29] (Wabula okuzikirira kwabwe) tekwali okugyako lwali olubwatuka lumu, okugenda okulaba nga bo bakalu

    [30] Kya nnaku nnyo, ku baddu (abantu) tewali mubaka abajjira okugyako bamujeeja

    [31] Abaffe tebalaba nti emirembe emeka gyetwazikiriza oluberyeberye lwabwe, nga mazima ddala bo tebagenda kudda gye bali

    [32] Tewali nagumu ku gyonna (emirembe) okugyako nga bonna ba kuleetebwa mu maaso gaffe

    [33] Ensi efudde (ekaze) kabonero gye bali, tugiwa obulamu (tutonnyesa nkuba) era netumeza mu yo empeke, okwo nno kwe balya

    [34] Netuteeka mu yo amalimiro ag’entende n'e Mizabibu era netufukula mu yo ensulo

    [35] Babe nga balya ku bibala byayo ne Ku ebyo emikono gyabwe bye gikola, abaffe tebeebaza

    [36] Musukkulumu oyo eyatonda ebimera mu nsi ne mubo bennyini (abantu) ne bye batamanyi, nga byonna biba ekisajja n'ekikazi

    [37] Era ekiro kabonero gye bali anti tukijjako obudde obw'emisana ogenda okulaba nga bali mu nzikiza

    [38] Ne njuba etambulira ku biragiro ebyagiweebwa, okwo kwe kugera kwa (Katonda) nantakubwa ku mukono amanyi ennyo

    [39] Nga n'omwezi (kabonero gye bali), twagugerera ebifo (mwe gutambulira) okutuusa lwe guddayo neguba nga ekikolokomba ekikadde

    [40] Tekisoboka enjuba kusisinkana mwezi era n'ekiro tekigenda kukulembera misana na buli kimu ku byombi kiri mu bbanga kiwuga

    [41] Era kabonero gye bali (abantu), mazima ffe twatambuliza bannaabwe mu maato agakubyeko

    [42] Era tubatondera agalinga go gebasaabaliramu

    [43] Singa twagadde tuyinza okubazikiriza ne batasobola kwekubira nduulu, era nga tebayinza kuddukirirwa

    [44] (Tewali kibaawo) okugyako okusaasira okuva gye tuli ne ku lw'okubeeyagaza okumala ekiseera ekigere

    [45] Bwe baba bagambiddwa nti mutye ebyo ebiri mu maaso ga mmwe n'ebyo ebiri emabega wa mmwe, olwo nno mube nga musaasirwa (beesuulirayo gwa naggamba)

    [46] Anti tewali kabonero mu bubonero bwa Mukama omulabirizi waabwe kaabajjira okugyako nga baakaawukanako

    [47] Era bwe baba bagambiddwa nti mugabe ku ebyo Katonda bye yabawa abo abaakaafuwala bagamba abo abakkiriza nti abaffe tuliise oyo singa Katonda yayagala yaali muliisizza, temuli mmwe okugyako okuba mu bubuze obw'olwatu

    [48] Era bagamba nti endagaano eyo eribaawo ddi bwe muba nga mwogera mazima

    [49] Tebalinda okugyako olubwatuka lumu olulibakwata nga nabo bali mu kukaayana

    [50] Olwo nno tebagenda kulaama wadde okudda eri abantu baabwe (eka)

    [51] Olwo engombe erifuuyibwa (olufuuwa olw'okubiri) oligenda okubalaba nga bava mu ntaana zaabwe nga bagenda eri Mukama omulabirizi waabwe nga baanguwa byansusso

    [52] Balyoke bagambe (nga bakuba ebiwoobe) nti nga tuzikiridde ani atuzuukizza okutujja gye tubadde twebase (mu ntaana zaffe bagenda kwanukulwa nti) ekyo kyekyo Katonda Omusaasizi ennyo kye yalagaanyisa n'ababaka baayogera mazima

    [53] (Okubazuukiza) tekugenda kuba okugyako olubwatuka lumu, olwo nno bonna gye tuli gye bagenda okuleetebwa

    [54] Olwa leero tewali muntu agenda kuyisibwa bubi mu kintu kyonna era temugenda kusasulwa okugyako ebyo bye mwali mukola

    [55] Mazima abantu b'omu jjana ku lunaku olwo balibeera mu kwetala olw'amasanyu gebalibeeramu

    [56] Bo n'abo be baafumbiriganwa nabo bagenda kubeera mu bisiikirize nga beesigamye ebitanda ebiwunde

    [57] Balina mu yo buli kika kya bibala era bagenda kufuna buli kye baliba basabye

    [58] (Bagenda kufuna ekyengera ekisinga ebyo) nakyo salaamu nga kigambo ekiriva ewa Mukama omulabirizi waabwe ow'ekisa ekingi

    [59] Naye bo aboonoonyi bagenda kugambibwa nti: abange mmwe aboonoonyi olwa leero mweyawule (ku bakkiriza)

    [60] Abange mmwe ezadde lya Adam abaffe ssaabakozesa endagaano nti: temusinzanga Sitane olw'okuba yye mulabe wa mmwe omweyolefu

    [61] Era (ne mbakalaatira) nti: munsinze, eryo lye kkubo ettuufu

    [62] Mazima (sitane) yabuza mu mmwe ebitonde bingi nnyo, abaffe mwali temutegeera

    [63] Guno nno gwe muliro Jahannama gwe mwalagaanyisibwanga (ku nsi)

    [64] Muguyingire olwa leero olw'ebyo bye mwalinga muwakanya

    [65] Olwa leero tujja kuteeka envumbo ku mimwa gyabwe ate gyo emikono gyabwe gyogere naffe, n'amagulu gaabwe gawe obujulizi ku ebyo bye baalinga bakola

    [66] Singa twayagala twandizibye amaaso gaabwe olwo nno nebaba nga banoonya okudda eri ekkubo, naye nno bandirirabye batya

    [67] Era singa twayagala twandikyusizza obutonde bwabwe ne babeera mu kifo awo webali, kale nno tebandisobodde kweyongerayo wadde okudda gye bavudde

    [68] Oyo yenna gwe tuba tuwangaazizza tumuzzaayo n'aba munafu mu butonde, abaffe tebategeera

    [69] (Nabbi Muhammad) tetumuyigirizanga kutontoma era tekimugwanira, bye yajja nabyo tebiri okugyako nga bya kujjukiza era nga Kur’ani ennyonnyola

    [70] (Nabbi Muhmmad) alyoke atiise oyo yenna omulamu era ekigambo (eky'ebibonerezo) kikakate ku bakaafiiri

    [71] Abaffe tebalaba nti mu bye twabatondera ebyakolebwa e mikono gyaffe z'ensolo bo zebafuga

    [72] Era twabibagondeza, mulimu bye beebagala era nga mulimu bye balya

    [73] Era mu byo balina emigaso (emirala) n'eby'okunywa abaffe tebeebaza

    [74] Ate abakaafiiri baleka Katonda ne beeteerawo ebisinzibwa ebirala mbu babe nga bataasibwa

    [75] So nga tebasobola kubataasa awamu n'okuba nti bo nabyo baliba kibinja ekirireetebwa mu muliro

    [76] Kale nno tebikunyiiza ebigambo bya bwe mazima ffe tumanyi ebyo bye bakweka ne bye bakola mu lwatu

    [77] Abaffe omuntu talaba nti mazima ffe twamutonda nga tumujja mu mazzi agazaala, ogenda okulaba nga ye muyitirivu wa kukaayana okw'olwatu

    [78] Naatukubira ekifaananyi neyeerabira obutonde bwe, nga agamba nti ani aliramusa amagumba nga gamaze okuba amamerengufu

    [79] Gamba nti agenda kugalamusa oyo eyagatandika omulundi ogwasooka era nga yye amanyidde ddala ebikwata ku buli kitonde

    [80] Oyo eyabateerawo omuliro okuva mu muti omubisi okugenda okulaba nga mmwe mukuma omuliro okuva mu gwo (omuti)

    [81] Abaffe oyo eyatonda eggulu omusanvu n'ensi tasobola kutonda bintu (birala) biringa byo, weewaawo (asobolera ddala) era ddala yye ye mutonzi omumanyi ennyo

    [82] Mazima ekiragirokye bwaba ayagadde ekintu (kibeewo) agamba bugambi nti bba ne kiba

    [83] N’olwekyo musukkulumu nnyo oyo mu mikono gye mwokka mwemuli obufuzi bwa buli kintu ate nga gyali yokka gye mulizzibwa

    Abateetera Emisiri

    Surah 37

    [1] Ndayidde ba Malayika abasimbye ennyiriri ennambulukufu

    [2] Olwo nno abo abagoba ebire olugoba (bigende bitonnyese enkuba)

    [3] N'abo abasoma ebigambo ebibuulirira

    [4] Mazima Katonda wa mmwe ddala ali omu

    [5] Mukama omulabirizi we ggulu omusanvu n'ensi n'ebyo ebiri wakati wa byombi era Mukama omulabirizi w'ebuvanjuba (n'e bugwanjuba)

    [6] Mazima ffe twawunda eggulu ly'okunsi n'okulabika obulungi kw'e mmunyeenye (ezirijjudde)

    [7] N'okulikuuma ku buli Sitane kyewaggula

    [8] Tezisobola kuwuliriza bitonde ebya waggulu era zikanyugirwa ebitawuliro okuva ku buli luuyi

    [9] Nga zifuumuulwa emisinde era nga zigenda kufuna ebibonerezo ebitakoma

    [10] Okugyako (Sitane) eyo enyakula ekigambo kyeba enyakudde olwo nno neekasukirirwa ekitawuliro ekibumbujja

    [11] Kale nno babuuze nti bo be bazibu mu kutonda oba ebyo bye twatonda, mazima ffe (bo) twabatonda mu budongo obukwafu

    [12] Wabula gwe weewuunya (ng’okungiriza) ate nga bo bajeeja bujeeja

    [13] Era nga bwe baba babuuliriddwa tebeebuulirira

    [14] Era bwe balaba akabonero konna (mu bubonero bwa Katonda) nga bajeeja

    [15] Era nebagamba nti: kino tekiri okugyako eddogo eryeyolefu

    [16] (Nebongerako nti) bwe tuliba tufudde netufuuka ettaka era netuba magumba ameereere abaffe tulizuukizibwa

    [17] Oba ba kitaffe abaakulembera

    [18] Gamba nti yee (mulizuukizibwa) nga nammwe mukkakkanyiziddwa

    [19] Mazima kyo (ekyo kuzuukira) luliba olufuuwa mu ngombe lumu oligenda okulaba nga bo batunula

    [20] Era baligamba nti zitusanze luno lwe lunaku lw'okusasulwa

    [21] (Ba Malayika baligamba nti) luno lwe lunaku lw'okwawula (wakati wa balongoofu n’aboonoonyi) olwo lwe mwali mulimbisa

    [22] (Ba Malayika baliragirwa nti) mukungaanye abo abeeyisa obubi wamu n'ababafaanana n'ebyo bye baasinzanga

    [23] Nebava ku Katonda olwo nno mubalage ekkubo eridda eri omuliro Jahiimu

    [24] Era nga (temunnabatwala) mubayimirize (mu bbaliro) mazima bo balina okubuuzibwa

    [25] (Olwo nno bagambibwe) nti: mubaddeki lwaki temwetaasa

    [26] Wabula bo ku lunaku olwa leero bagenda kukkiriza (nti tebalina bya kukola kuvvuunuka buzibu bwe balibeeramu)

    [27] Abamu ne boolekera bannaabwe nga bawaanyisiganya ebigambo

    [28] (Abagoberezi) ne bagamba (bebaagoberera) nti mazima mmwe mwalinga mutujjira nga mutuyita ku ddyo

    [29] (Abaagobererwa) baligamba nti nedda wabula temwali bakkiriza

    [30] Era tetwabalinaako buyinza bwonna wabula mwali bantu abeewagguzi

    [31] Olwo nno ekigambo kya Mukama omulabirizi waffe nekitukakatako (fenna) mazima ddala ffe tuteekwa kukomba (ku bibonerezo)

    [32] Twababuza era mazima ddala ffe (okugenda okubabuza) twali babuze

    [33] Mazima bo (ab'emirundi ebiri) bagenda kwegatta mu kibonerezo

    [34] Mazima ffe bwe tutyo bwe tukola aboonoonyi

    [35] Mazima bo bwe baagambibwanga nti tewali kisinzibwa kyonna okugyako Katonda baali nga beekuza

    [36] Nebagamba nti mazima ffe tuyinza okuleka ba katonda baffe ku lw'omuyimbi omulalu

    [37] Nedda (Nabbi Muhammad talinga bwe bagamba) wabula yajja na mazima era n’akakasa ababaka (abaamukulembera)

    [38] Mazima ddala mmwe muli ba kukomba ku bibonerezo ebiruma ennyo

    [39] Era temugenda kusasulwa wabula ebyo bye mwakolanga

    [40] Okugyako abaddu ba Katonda abalondobemu

    [41] Abo baliweebwa ebigabirirwa ebimanyiddwa

    [42] (Biriba) ebibala era nga nebaba nga bo bagabulwa

    [43] Nga bali mu jjana ez'ebyengera

    [44] (Baliba) ku bitanda nga buli bamu boolekedde bannaabwe

    [45] Nga babayisaamu (mu kubagabula) eggiraasi z'ebyo'kunywa eziva mu nsulo ezitakalira

    [46] (Eby'okunywa ebyo) nga byeru ebiriwoomera abanywi

    [47] Tebigenda kubaamu kirumya mutwe era nga bwebatagenda kutamiira olw'okubinywa

    [48] Era baliba balina abakyala ab'amaaso amakkakkamu amanene

    [49] Abakyala abo balibanga amagi ageegenderezebwa obutayatika

    [50] Olwo nno abamu neboolekera bannaabwe nga bawaanyisaganya ebigambo

    [51] Omwogezi (omu) ku bo aligamba nti mazima nze nalina ow'omukwano

    [52] Yalinga angamba nti abaffe ggwe oli mu abo abakakasa

    [53] Nti bwe tulifa netufuuka ettaka n’amagumba ameereere, abaffe tuli baakubalibwa

    [54] Omukozi w’obulungi aligamba nti abaffe mulaba ekiri mu muliro

    [55] Olwo alitunulayo n’amulaba ng’ali mu makkati g’omuliro Jahiimu

    [56] Aligamba nti ndayidde Katonda wabula kata onzikirize

    [57] Singa si byengera bya Mukama omulabirizi wange nnaalibadde mu baleeteddwa (eri omuliro)

    [58] Ate ffe tetukyaddayo nakufa

    [59] Okugyako okufa kwaffe okwasooka era nga tetuli ba kubonerezebwa

    [60] Mazima ekyo ddala kwo kwe kwesiima okusuffu

    [61] (N’olwekyo) ku lw’ebintu nga bino abatakabana baalitakabanye

    [62] Abaffe obwo bwe bugugenyi obulungi oba omuti gwa Zakkuumi

    [63] Twagussaawo nga kikemo eri abeeyisa obubi

    [64] Mazima gwo muti guva ku ntobo ya muliro Jahiimu

    [65] Ebibala byagwo (okumanya bibi) biringa emitwe gya Sitane

    [66] Mazima bo bagenda kugulyako bagenda kujjuza nagwo embuto

    [67] Oluvanyuma bagenda kubongeza ku gwo eby'okunywa ebitabuddwa mu lweje

    [68] Oluvanyuma mazima obuddo bwabwe buli mu muliro Jahiimu

    [69] Mazima bo baasanga bakadde baabwe nga babuze

    [70] N’olwekyo bo mu buwufu bwabwe batwalibwa kantindiggwa

    [71] Era mazima oluberyeberye lwabwe abasinga obungi mu baasooka baabula

    [72] So nga ate twatuma mu bo abatiisa

    [73] Kale tunuulira olabe enkomerero y'abaatiisibwa yali etya

    [74] (Tewali yawona) okugyako abaddu ba Katonda abalondobemu

    [75] Mazima Nuhu yatukoowoola naffe nno twali abaamwanukula obulungi

    [76] Netumuwonya n’abantube akabenje akayitirivu

    [77] Netufuula ezzadde lye nebaba bo nga be basigaddewo

    [78] Netumulekerawo okwogerwako okulungi mu balijja oluvanyuma

    [79] Emirembe gibeere ku Nuhu (n’okwogerwako okulungi) mu bitonde byonna

    [80] Mazima ffe bwe tutyo bwe tusasula abakozi b’obulungi

    [81] Mazima (Nuhu) ali mu baddu baffe abakkiriza aba nnamaddala

    [82] Oluvanyuma twazikiriza abasigadde (abatakkiriza Nuhu)

    [83] Era mazima ddala Ibrahim ali ku nkolaye(Nuhu)

    [84] Kubanga yajja ewa Mukama omulabiriziwe n’omutima omuyonjo

    [85] Bwe yagamba kitaawe n’abantu be nti biki bye musinza

    [86] Ba katonda abajingirire bemwagala nemuleka Katonda

    [87] Olwo Mukama omulabirizi w’ebitonde byonna, ki kye mumulowoozaako

    [88] Olwo nno naatunula olutunula mu munyeenye (nga enkola ya bantube bwe yali)

    [89] (Naagamba nti) mazima nze ndi mulwadde

    [90] Olwo nebamuvaako nebamulekawo

    [91] Olwo nadda ku ba katonda baabwe naalyoka abagamba nti lwaki temulya

    [92] Mwabaaki, nga temwogera

    [93] Olwo kwe kutandika okubatema n’omukono gwe ogwa ddyo

    [94] Olwo (abantu ba Ibrahim bwe baamanya kyakoze) bajja gyali nga banguwa

    [95] (Ibrahim) naagamba nti, musinza ebyo bye mubajja

    [96] So nga Katonda yeeyabatonda mmwe n'ebyo bye mukola

    [97] Nebagamba nti mumuzimbire ekifo (mukikumemu omuliro) olwo nno mumukasuke mu nnabeengeya w’omuliro

    [98] Mu kukola ekyo, baagenderera okumukolera olukwe (bamutte) wabula bbo netubafuula ab'awansi (bwe twalemesa olukwe lwabwe)

    [99] (Awo Ibrahim naasalawo okusenguka) era naagamba nti mazima nze ngenda ewa Mukama omulabirizi wange ajja kunnungamya

    [100] Ayi Mukama omulabirizi wange ngabira (omwana) nga wa mu balongoofu

    [101] Olwo netumusanyusa nti ajja kufuna omwana omulenzi ow'ekisa

    [102] Omwana oyo (Ismail) bwe yatandika okutambula naye (Ibrahim) naagamba nti owange mutabani wange nkirabye lunye mu kirooto mazima nze nga nkusala kale tunula olabe, ogamba ki? (Ismail) naagamba nti owange taata kola ekyo kyolagirwa, Katonda nga ayagadde ojja kunsanga nga ndi mu bagumiikiriza

    [103] Bombi bwe baamala okwewaayo eri (ekiragiro kya Katonda) naamugalamiza nga amuwunzise

    [104] Netumukoowoola nti owange Ibrahim

    [105] Mazima otuukirizza endooto, mazima ffe bwe tutyo bwe tusasula abalongoosa

    [106] Mazima ekyo (ekyatuuka ku Ibrahim n’omwana we) ddala kwe kugezesa okw'olwatu

    [107] Era (Ismail) twamununula n'ensolo ensuffu eyasalibwa

    [108] Netumulekerawo okwogerwako okulungi mu balijja oluvanyuma

    [109] Emirembe gibeere ku Ibrahim

    [110] Bwe tutyo bwe tusasula abalongoosa

    [111] Mazima ye wa mu baddu baffe abakkiriza (abannamaddala)

    [112] Era twamusanyusa n’okumuwa Ishaak nga nabbi nga wa mu balongoofu

    [113] Era twamuwa omukisa netuguwa ne Ishaak era mu zadde lyabwe bombi mwalimu omulongoosa n'yeeyisa obubi ow'olwatu

    [114] Mazima twabunduggula ebyengera ku Musa ne Haruna

    [115] Netubawonya n’abantu baabwe bombi akabenje ak'amaanyi

    [116] Netubataasa nebaba bbo nga bawanguzi

    [117] Bombi twabawa ekitabo ekinnyonnyofu okutangaaza ekkubo

    [118] Era twabalungamya mu kkubo eggolokofu

    [119] Era bombi twabalekerawo okwogerwako okulungi mu balijja oluvanyuma

    [120] Emirembe gibeere ku Musa ne Haruna

    [121] Mazima ffe bwe tutyo bwe tusasula abalongoosa

    [122] Mazima bombi ba mu baddu baffe abakkiriza (abannamaddala)

    [123] Era mazima ddala Elias wa mu babaka

    [124] Jjukira ekiseera bwe yagamba abantu be abaffe temutya (Katonda)

    [125] Musinza ekibumbe ne muleka (Katonda) omutonzi asinga abatonzi bonna

    [126] Katonda ye Mukama omulabirizi wa mmwe era ye Mukama omulabirizi wa bakadde ba mmwe abaasooka

    [127] Ne bamulimbisa n’olwekyo mazima bo baakuleetebwa (babitebye)

    [128] Okugyako abaddu ba Katonda abalondemu

    [129] Era twamulekera okwogerwako obulungi mu balijja oluvanyuma

    [130] Emirembe gibe ku bantu ba Elias

    [131] Mazima ffe bwe tutyo bwe tusasula abalongoosa

    [132] Mazima ye wa mu baddu baffe abakkiriza abannamaddala

    [133] Era mazima Luutu wa mu babaka

    [134] (Jjukira) bwe twamuwonya n’abantube bonna

    [135] Okugyako omukadde (Mukyalawe) eyali mu baasigala

    [136] Oluvanyuma twazikiriza abaasigala

    [137] Era mazima mmwe mubayitako (muyita ku matongo gaabwe) ku makya

    [138] N'ekiro abaffe temutegeera

    [139] Era mazima Yunus wa mu babaka

    [140] Jjukira (bwe yasuulawo omulimu Katonda gwe yamukwasa) naalinnya eryato eryali limaze okutikka

    [141] (Bwe lyasemberera okusaanawo olw'okuba lyali litisse nnyo), olwo nno (Yunus) yeetaba mu kalulu (ak'okusalawo ab'okukasukibwa mu nnyanja, akalulu kaagenda okuggwa) nga ali mu be kakutte (ne bamukasuka mu nnyanja)

    [142] Olwo nno ekyennyanja kwe kumumira nga ye y'anenyezebwa

    [143] Singa mazima ddala teyali mu batendereza (Katonda)

    [144] Yandibadde mu lubuto lwakyo okutuusa ku lunaku lwe balizuukizibwa

    [145] Wabula twamukasuka ku lukalu naye nga yali mulwadde

    [146] Twamumereza ekimera eky'ekiryo (kimusiikirize kimugobeko n'ensowera)

    [147] Era twamutuma eri abantu emitwalo kkumi oba okusingawo

    [148] Bakkiriza, olwo nno netubeeyagaza okutuuka ebbanga eggere

    [149] Kaakano ggwe babuuze (aba Kuraish) nti Mukama omulabiriziwo y'aba n'abawala bo nebaba n’abalenzi

    [150] Oba abaffe bo baaliwo nga tutonda ba Malayika nga bakazi

    [151] Abange mazima mu kutemerera kwabwe batuuka n'okugamba nti

    [152] Katonda yazaala nga ate ddala bo balimba

    [153] (Katonda) asalawo okutwala abawala n'aleka abalenzi

    [154] Mwabaaki mulamula mutya (ebintu)

    [155] Abaffe temwebuulirira

    [156] Oba mulina obujulizi obweyolefu (nga kye kibakozesa ekyo)

    [157] Kale muleete ekiwandiiko kyammwe bwe muba ab'amazima

    [158] (Abatakkiriza) nebateeka oluganda wakati we (Katonda) n'amajinni, nga ate amajinni gamanyi nti mazima ggo gaakuleetebwa (mu maaso ga Katonda gabitebye)

    [159] Katonda musukkulumu ku bye boogera

    [160] Wabula abaddu ba Katonda abalondobemu (anti bbo tebagwa mu kiti kyabo abamwogerako eby'ensimattu)

    [161] Kale nno mazima ddala mmwe n'ebyo bye musinza

    [162] Temusobola mmwe kufiiriza Katonda (ne mumujjako abaddu be)

    [163] Be ppo oyo y'ewokwesonseka omuliro Jahiimu (oyo musobola okumubuza)

    [164] (Ba Malayika ne bagamba nti) era tewali n'omu ku ffe okugyako nga alina ekifo ekimanyiddwa

    [165] Era mazima ffe (bulijjo) ffe tubeera mu nnyiriri (nga tusinza Katonda)

    [166] Era mazima ffe ddala ffe abatendereza (Katonda)

    [167] Newaakubadde nga (abakaafiiri) ddala bagamba nti

    [168] Ddala singa twalina okujjukizibwa nga kuva eri abaasooka

    [169] Twandibadde abaddu ba Katonda abalondobemu

    [170] (Wabula kitalo byonna ebyo bwe byajja nga ne Nabbi Muhammad kwali) baabiwakanya, kale kyaddaaki balimanya

    [171] Mazima kyakulembera ekigambo kyaffe eri abaddu baffe abaatumwa

    [172] Nti mazima bbo ddala be b'okutaasibwa

    [173] Era mazima eggye lyaffe ddala bo be baba abawanguzi

    [174] Kale baveeko okutuusa ekiseera ekigere

    [175] Era batunuulire kyaddaaki baliraba

    [176] Abaffe ebibonerezo byaffe bye basaba bibatuukeko mangu

    [177] Lwe birituuka mu lujja lwabwe galiba makya mabi eri abaaweebwa amawulire agabatiisa (omuliro ne batawulira)

    [178] Era baveeko okutuusa ekiseera ekigere

    [179] Era tunula kyaddaaki baliraba

    [180] Mukama omulabirizi wo, nannyini buyinza musukkulumu Ku ebyo bye boogera

    [181] Era emirembe gibeere ku babaka (ba Katonda)

    [182] Era buli kitendo kya Mukama omulabirizi w'ebitonde

    Swad

    Surah 38

    [1] Swad. Ndayidde Kur’ani ejjudde okujjukiza

    [2] Wabula abaakaafuwala bali mu kwekuza na kuwalaaza mpaka

    [3] Emirembe emeka gye twazikiriza oluberyeberye lwabwe, abaatuuka okukuba ebiwoobe (nga banoonya okutaasibwa), naye nga tewakyali buwonero

    [4] Nebeewuunya okuba nga omutiisa abajjira ng'ava mu bo, era abakaafiiri ne bagamba nti ono mulogo omulimba (awedde emirimu)

    [5] Abaffe abasinzibwa abangi abafudde omu! mazima ekyo kintu ekyewunyisa ennyo

    [6] Ekibinja kya bakungu mu bo nekigenda (nga kikunga abantu) nti: mugende mu maaso era mugumiikirize mulemere ku ba katonda ba mmwe

    [7] Mazima kino (eky'okubaggya ku ba katonda ba mmwe) kkobaane (Muhammad mwayagalira okuyita abaggye ku nsinza yammwe), kino tetukiwulirangako mu nzikiriza (ey'abagoberezi ba Issa) eyasembayo, kino tekiri okugyako kiyiiye (buyiiya)

    [8] Muffe fenna yye (Muhammad) yassiddwaako obubaka! wabula (ekibaleetera obuzibu) lwa kuba bo bali mu kubuusabuusa okubuulirira kwange wabula (bakola ekyo) lwa kuba tebannakomba ku bibonerezo byange

    [9] Oba (kyebava beeyisa bwe batyo) lwakuba balina amawanika g'okusaasira kwa Mukama omulabirizi wo, nantakubwa ku mukono, omugabi

    [10] Oba bo balina obufuzi bw'eggulu omusanvu n'ensi n'ebyo ebiri wakati wa byombi, bwe kiba bwekityo, kale baleke bakozese kyonna kyebasobola bafuneyo byebaagala

    [11] Bo, ggye eriri awo lya kuwangulwa, libalibwa mu bibinja (ebyawangulwa)

    [12] Mazima oluberyeberye lwabwe abantu ba Nuhu ne A-adi ne Farawo nannyini nkondo baalimbisa

    [13] Ne ba Thamud n’abantu ba Luut n’abantu b’omukibira, ebyonno bye bibinja (ebyogeddwaako mu Aya)

    [14] Tewali muntu yenna mwabo okugyako nga yalimbisa ababaka, olwo nno ebibonerezo byange nebikakata (ku bo)

    [15] Era abo tebalindirira okugyako lubwatuka lumu (oluliba olw'amaanyi) nga telwetaaga kuddibwamu mulundi mulala

    [16] Era (abatakkiriza) bagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe twanguyirize omugabo gwaffe (ogw'ebibonerezo) ng'olunaku lw'okubalibwa terunnatuuka

    [17] (Katonda agamba Nabbi Muhammad nti:) gumikiiriza ku bye boogera ojjukire omuddu waffe Dauda eyalina amaanyi amasuffu (awamu n'ekyo) yali adda nnyo eri Katonda

    [18] Mazima ffe twagonza ensozi neziba nga zitendereza awamu naye olweggulo n’obudde nga busaasaana

    [19] Era twagonza n’ebinyonyi nga biri mu bibinja (byabyo) buli kimu ku byo nga kigondera Dauda (nebitendereza nga bwatendereza)

    [20] Era twanyweza obufuzibwe era netumuwa okumanya ensonga n’okusalawo ekituufu ku bigambo ebiba byogeddwa

    [21] Abaffe amawulire g’abaakaayana bwe baawalampa ekisenge (Dauda mweyasinzizanga) gaakutuukako

    [22] Bwe baayingira Dauda weyali naabekanga nebagamba nti: totya (ffe) tuli abakaayana ababiri ng'omu kuffe asobezza munne, kale lamula wakati waffe n’amazima teweekubiira era otulage enkola entuufu

    [23] Mazima muganda wange ono alina endiga kyenda mu mwenda ng’ate nze nnina endiga emu, ate angamba nti gimpe ngikulundire ate nga ansinga ebigambo

    [24] (Dauda) naagamba nti: mazima akuyisizza bubi bwakusabye endiga yo agigatte ku ndigaze, ate nga bangi mu bagatta emirimu basobya bannaabwe, okugyako abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu wabula ate abo batono, Dauda naamanya nti mazima tumugezesezza neyeegayirira Mukama omulabiriziwe naakutama ku maviivi neyeemenya era nadda eri Katonda

    [25] Olwo nno ekyo netukimusonyiwa, era mazima alina gye tuli ekifo ekyo ku mwanjo n’obuddo obulungi

    [26] Owange Dauda mazima ffe twakufuula omusigire ku nsi, lamula wakati wa bantu mu mazima era togobereranga okwagala (kwo) nekukubuza okuva ku kkubo lya Katonda, mazima abo abaabula nebava ku kkubo lya Katonda, balifuna ebibonerezo ebikakali olw'ebyo ebyabeerabiza olunaku lw'okubalibwa

    [27] Eggulu n'ensi n'ebyo ebiri wakati wa byombi, tetwabitonda nga bya lusaago, eyo ndowooza yaabo abaakaafuwala, kale nno okubonaabona okw'omuliro kuliba ku abo abaakaafuwala

    [28] Oba (basuubira nti) abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu, tulibayisa nga aboonoona mu nsi, oba abatya Katonda betuliyisa nga aboonoonyi

    [29] (Kur’ani eno) kitabo twakissa gyoli nga kya mukisa babe nga beekenneenya ebigambo byakyo era ab'amagezi agakola babe nga beebuulirira

    [30] Era twagabira Dauda Sulaiman, yali muddu mulungi, (anti) mazima yye yali adda nnyo eri Katonda

    [31] Jjukira bwe yayanjulirwa mu kiseera eky'olweggulo enfaraasi ezirabika obulungi nga ziyimiridde (ate) empenyusi (bwe ziba zidduse)

    [32] Naagamba nti mazima nze nkulembezza okwagala ebirungi ku kutendereza Mukama omulabirizi wange (nenzira mu kutunuulira enfaraasi) okutuusa enjuba lwebuliddeyo

    [33] (Oluvanyuma yagamba nti) muzinkomezeewo, olwo nno naatandika okuzisala amagulu n'ensingo (naasaddaaka ennyama yaazo)

    [34] Era mazima twagezesa Sulaiman netuteeka omubiri (ogutaliimu bulamu) ku nnamulondo ye, (naye) oluvanyuma yeenenya

    [35] Naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange nsonyiwa ongabire obwakabaka obutalisaanira mulala yenna oluvanyuma lwange, (anti) mazima ggwe mugabi

    [36] Olwo nno netumugondeza empewo nga etambula ku lw'ekiragirokye mu ngeri ya mirembe neegenda wonna waaba asazeewo

    [37] Era twamugondeza Sitane (nga mu zo mwalimu) enkugu mu kuzimba n'endala nga zibbira mu nnyanja

    [38] Era nga ne (Sitane) endala zisibiddwa ku njegere (anti zo zaagaana okukola)

    [39] Netumugamba (nti) okwo kwe kugaba kwaffe, kale gabako oba omme (nga bwolaba) awatali kubuuzibwa

    [40] Era mazima (Sulaiman) alina gye tuli ekifo kya ku mwanjo n’obuddo obulungi

    [41] Era jjukira omuddu waffe Ayub bwe yakoowoola Mukama omulabirizi we (naagamba nti) mazima nze Sitane andeEtedde ennaku n’obuzibu (Ayi Mukama nkusaba omponye)

    [42] (Katonda naamugamba nti) samba ettaka n'ekigerekyo awo amazzi negafukula era ne bamugamba nti amazzi gano mannyogovu g'a kunaaba na kunywa (lye ddagala erikuweereddwa)

    [43] Era netumuwa (nga tuzzaawo) abantu be era awamu nabo (netumuwa) abalinga bo (ebyo byonna) nga kusaasira okuva gyetuli era nga kubuulirira eri abo abalina amagezi

    [44] Era (n'alagirwa nti) kwata ekisaaganda ky'obuti olwo nno okimukubise (mukyalawo) anti bwotyo bwe walayira obenga tomenye kilayiro kyo, mazima ffe twamusanga (Ayub) nga mugumiikiriza (yye) muddu mulungi, anti mazima yye adda nnyo eri Katonda

    [45] Era jjukira abaddu baffe Ibrahim ne Ishaak ne Yakub abaalina amaanyi n’okulengera ewala

    [46] Mazima ffe twabaawula n'enkizo ey’okujjukira e nyumba ey’olubeerera (enkomerero)

    [47] Era mazima bo gye tuli ba mu baawule abalondemu

    [48] Era jjukira Ismail ne Eliyasa-a ne Zul kifuli, nabuli omu kwabo wa mu balondemu

    [49] Kuno kujjukiza, era mazima ddala abatya Katonda bagenda kufuna obuddo obulungi

    [50] (Obuddo obwo buliba) Janna ez’emirembe, nga kulwabwe emiryango (gyazo) giriba miggule

    [51] Balibeera beesigamye nga bali mu zo, nga bwe batumya mu zo ebibala ebingi nga bya njawulo n'eby'okunywa

    [52] Era baliba balina abakyala abakkakkamu ab'amaaso ab'emyaka egyenkana

    [53] (Baligambibwa nti) kino (kye mutuseeko) kyekyo kye mwalagaanyisibwa okuweebwa ku lunaku lw'okubalibwa

    [54] Mazima ebyo kwe kugabiririra kwaffe tekuyinza kukalira

    [55] Ekyo kyekyo, naye mazima abeewagguzi balifuna obuddo obubi

    [56] Nga muliro Jahannama gwe balyesonseka naye buliba buliri bubi ddala

    [57] Kino (kye balimu bye bibonerezo ebiruma ennyo) kale balibikombako nga nabyo mazzi agookya n'amasira ag'olusaayisaayi

    [58] Ne (bibonerezo) ebirala ebiringa ebyo ebyengeri ez'ejawulo (nabyo biribatuukako)

    [59] (Buli aboonoonyi abapya lwe banaaleetebwanga mu muliro, nga abasookayo bagambibwa nti:) kino kibinja kyesozze omuliro awamu nammwe (olwo abalisangwamu bagambe nti) abo tebaanirizibwa (tebalina mirembe) mazima bo beesozze muliro

    [60] (Abaagoberera) baligamba (abaasooka) nti wabula mmwe, mmwe mutaanirizibwa, mmwe mwabituleetera, bugenda kuba butuulo bubi

    [61] Baligamba nti: ayi Mukama omulabirizi waffe oyo eyatuleetera bino mwongere ebibonerezo eby'okuba mu muliro nga bibazziddwamu

    [62] Era (aboonoonyi) baligamba nti lwaki tetulaba bantu betwali tubalira mu babi

    [63] Abaffe twabafuula eky'okujeeja (so nga baali balungi) oba amaaso ge gatabalaba

    [64] Mazima ebyo (ebyogeddwa) ddala (okwo kwe kuliba) okuyombagana kw'abantu bo mu muliro

    [65] Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad) mazima nze ndi mutiisa era tewali kisinzibwa kyonna mu butuufu okugyako Katonda ali omu nantalemwa

    [66] Mukama omulabirizi w'eggulu omusanvu n'ensi n'ebyo ebiri wakati wa byombi, nantakubwa ku mukono, omusonyiyi ennyo

    [67] Bagambe nti kyo (kye mbagamba) kigambo kikulu ddala

    [68] (Ate) mmwe kye mwawukanako

    [69] Sibangako na kumanya kwonna ku bikwata ku bakungu ab'awaggula webakaayanira, (ba Malayika bwe beemulugunya nga baagala Katonda baaba asindika ku nsi mu kifo kya Adam)

    [70] Ssaatumirwa kirala kyonna okugyako (okuba) nti mazima ddala nze ndi mutiisa ow'olwatu

    [71] Jjukira ekiseera Mukama omulabirizi wo bwe yagamba ba Malayika, nti mazima nze nja kutonda omuntu nga mugya mu kadongo

    [72] Bwe nnaamala okukola engeri nga bwanabeera era nemmufuuwamu omwoyo oguva gyendi, kale mubutame nga mumuvunnamira

    [73] Olwo nno ba Malayika bonna nga bali wamu baavunnama

    [74] Okugyako Ibliis yeekuluntaza naaba mu bakaafiiri

    [75] (Katonda) naagamba nti owange Ibliis kiki ekikugaanye okuvunnamira oyo gwe nnatonda n’omukono gwange abaffe wetwala nti oli wa kitiibwa (okusinga Adam), oba lwakuba nti bulijjo oli mu ba kiwagi ku Katonda

    [76] (Ibliis) naagamba nti: nze mmusinga, wantonda mu muliro ate (yye) noomutonda mu kadongo

    [77] (Katonda) naagamba nti: kale gifulume (e jjana) mazima ggwe ogobeddwa (era oli mukolimire)

    [78] Era mazima okakaseeko ekikolimo kyange okutuusa ku lunaku lw'okusasulwa

    [79] (Ibliis) naagamba nti: ayi Mukama omulabirizi wange nindiriza okutuusa ku lunaku lwe balizuukizibwa

    [80] (Katonda) naagamba nti: mazima ggwe oli mu balindiriziddwa

    [81] Okutuuka ku lunaku olw'ekiseera ekimanyiddwa

    [82] (Ibliis) naagamba nti: ndayira ekitiibwa kyo njakubabuliza ddala bonna

    [83] Okugyako abaddu bo abalondobemu mu bo

    [84] (Katonda) naagamba nti: ago nno g'emazima, era nga bulijjo njogera mazima

    [85] Ddala ngenda kujjuza omuliro Jahannama (nga nguteekamu) ggwe n'abo bonna abakugondera mu bo

    [86] Gamba (ggwe Muhammad nti ekyokubatuusaako obubaka) sikibasabirako mpeera, era nga bwe ssiri mu beetumiikiriza

    [87] (Kur’ani) yyo teri okugyako okuba nti kya kubuulirira eri ebitonde

    [88] Era ekigambo kyayo mujja kukimanyira ddala oluvanyuma lw'ekiseera kitono

    Ebibinja

    Surah 39

    [1] Okussa ekitabo kino (Kur’ani) kuva ewa Katonda nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga

    [2] Mazima ffe twassa gyoli ekitabo mu butuufu. Kale sinza Katonda nga eddiini yonna ogikola ku lulwe yekka

    [3] Abange eddiini ensengejje ya Katonda yekka bo abamuvaako ne beeteerawo abakuumi abalala (nga bagamba nti:) tetubasinza okugyako lwa kutusembeza kumpi ne Katonda, mazima Katonda agenda kulamula wakati waabwe mwebyo bo bye baawukanamu, mazima Katonda talungamya muntu oyo omulimba awalaaza empaka

    [4] Singa Katonda yayagala kweteerawo mwana yaalibadde alonda ekyo kyayagadde mwebyo byatonda, naye wabula musukkulumu nnyo (teyeetaaga mwana) yye ye Katonda ali omu nantalemwa

    [5] Yatonda eggulu omusanvu n'ensi mu butuufu, abikka ekiro ku misana nga bwabikka emisana ku kiro, era yagonza enjuba n'omwezi, buli kimu kyakutambula okumala ebbanga eggere, abange yye (Katonda) ye nantakubwa ku mukono, omusonyiyi ennyo

    [6] Katonda yabatonda nga abaggya mu muntu omu oluvanyuma naggya mu ye mukyala we, era naabawa mu bisolo eby'omumaka emitindo munaana, abatondera mu mbuto za ba nnyammwe, nga kuba kutonda luvannyuma lwa kutonda, nga muli mu bizikiza bisatu, oyo nno ye Katonda, Mukama omulabirizi wa mmwe, obufuzi bwonna bubwe tewali kisinzibwa (mu butuufu) okugyako yye, kale ate mukyusibwa mutya

    [7] Bwemukaafuwala, mazima Katonda talina kyeyeetaaga ku mmwe era tayagaliza baddu be bukaafiiri, naye bwe mwebaza (ekyo) akibasiimako, era omwoyo omwonoonyi tegugenda kwetikka bibi bya mulala, oluvanyuma obuddo bwa mmwe buli eri Mukama omulabirizi wa mmwe, olwo nno naabamanyisa ebyo bye mwakolanga (anti) mazima yye amanyidde ddala ebiri mu bifuba

    [8] Akabi bwe katuuka ku muntu asaba Mukama omulabiriziwe ng'amwenenyeza, oluvanyuma bwamuwa ekyengera kyonna okuva gyali, nga yeerabira oyo gwe yali asaba mu kusooka olwo nno nassa ku Katonda abasinzibwa abalala, abe nga abuza (abantu) okubaggya ku kkubo lye (Katonda). Gamba nti weeyagale katono n'obukaafiiri bwo, (anti) mazima ggwe oli wa mu bantu bo mu muliro

    [9] Abaffe oyo asinza mu biseera by'ekiro nga avunnama era ng'ayimirira (ng'asaala) nga atya olunaku lw'enkomerero ate nga asuubira okusaasira kwa Mukama omulabiriziwe, (oyo yenkana n'atakola ekyo) gamba (ggwe Nabbi Muhammad) nti abaffe abamanyi n'abatamanyi benkana? mazima (abamanyi enjawulo eyo) era nga beebuulirira be ba nannyini magezi amatuufu

    [10] Gamba (ggwe Nabbi Muhammad) nti abange mmwe abaddu bange abakkiriza, mutye Mukama omulabirizi wa mmwe, balina abo abakola obulungi mu bulamu buno obwo ku nsi obulungi (nga bakyali ku nsi, ne mu bulamu obw'oluvanyuma) era ensi ya Katonda ngazi (muyinza okusenguka ku lw'okusinza Katonda wa mmwe mu mirembe) so nga bo ababa bagumiikirizza (ne batasenguka) baliweebwa empeera yaabwe awatali kubalirira

    [11] Gamba (ggwe Nabbi Muhammad) mazima nze nnalagirwa okusinza Katonda, ng'eddiini ngikola ku lulwe yekka

    [12] Era nnalagirwa mbe nga nze nsoose okuba mwabo abasiramuse

    [13] Gamba ggwe (Nabbi Muhammad) nti mazima nze ntya singa mba njeemedde Mukama omulabirizi wange (okutuukibwako) ebibonerezo by'olunaku oluzibu

    [14] Gamba nti nsinza Katonda, ng'eddiini yange ngikola ku lulwe yekka

    [15] Kale mmwe musinze ebyo bye muba mwagadde ebitali yye, era gamba nti mazima abantu ab'okufaafaaganirwa beebo abagenda okufaafaaganirwa emyoyo gyabwe n’abantu baabwe ku lunaku lw'enkomerero, abange okwo nno kwe kufaafaaganirwa okweyolefu

    [16] Balina waggulu waabwe emizingo gy’omuliro ate nga ne wansi waabwe eriyo emizingo emirala. Ekyo nno Katonda atiisa nakyo abaddube nga abagamba nti: abange baddu bange kale muntye

    [17] Ate abo abeesamba okusinza ebisinzibwa eby'obulimba nebadda eri Katonda balina amawulire ag'essanyu n'olwekyo sanyusa abaddu bange

    [18] Abo abawulira ebigambo nebagoberera ebisinga obulungi mu byo, abo beebo Katonda be yawa obulungamu, era abo bo be ba nannyini magezi amatuufu

    [19] Abaffe oyo gwekikakaseeko ekigambo ky'ebibonerezo (olw'okwonoonekakwe oyinza okumulungamya!) abaffe ggwe oyinza okutaasa oyo ali mu muliro

    [20] Naye abo abatya Mukama omulabirizi waabwe balina e nyumba ezaakalina nga waggulu waazo ate wazimbiddwayo e nyumba endala, ng'emigga gikulukutira mu zo, (eyo) nga ndagaano ya Katonda (ate) nga Katonda tayawukana ku ndagaano

    [21] Abaffe tolaba nti mazima Katonda assa okuva waggulu amazzi naagakulukusiza mu mifuleggye egiri mu ttaka, oluvanyuma ameza nago ebibala eby'amabala ag'enjawulo, oluvanyuma bikala (ebibadde ebyakiragala) n'obiraba nga bifuuse bya kyenvu, oluvanyuma abifuula ebisubi ebikutusekutuse. Mazima mu ekyo mulimu okujjukiza eri abalina amagezi

    [22] Abaffe oyo Katonda gwayanjululiza obusiraamu ekifuba kye, olwo nno yye naaba nga ali ku kitangaala ekiva eri Mukama omulabirizi we (afaanana n'oyo alina omutima omukakanyavu!) okubonaabona kuli kwabo abakakanyavu b’emitima gyabwe egiva ku kutendereza Katonda, abo bali mu bubuze obw'olwatu

    [23] Katonda yassa ebigambo ebisinga obulungi (Kur’ani) nga kitabo ekirina ebigambo ebifaanagana (naye nga tebikontana) nga kiddingana ensonga (awatali kukooyesa awulira) gyesisiwala ku lwakyo emibiri gyabo abatya Mukama omulabirizi waabwe (bwekyogera ebigambo ebyogera ku bibonerezo) oluvanyuma emibiri gyabwe n'emitima gyabwe gikkakkana bwe giba giwulidde ebigambo ebyogera ku Katonda (n'okusaasira kwe) ekyo (ekitabo Kur’ani) kulungamya kwa Katonda alungamya nakyo oyo gwaba ayagadde, oyo yenna Katonda gwabuza tayinza kufuna mulungamya

    [24] Abaffe oyo aligezaako okuwonya ekyenyikye ku bibonerezo by'olunaku lw'enkomerero (ayinza okufaanana n'oyo aliwona yenna olw'emirimu gye emirungi), era abeeyisa obubi baligambibwa nti: mukombe (ku bukaawu) bwebyo bye mwakolanga

    [25] Abo abaabakulembera baalimbisa (nga nabo bwe balimbisa) olwo nno ebibonerezo nebibajjira okuva webaali tebasuubira

    [26] Olwo nno Katonda naabakombesa ku buswavu mu bulamu obw'ensi ate nga ebibonerezo by'enkomerero bye bisinga obukakali singa baali bamanyi

    [27] Mazima tukubidde abantu mu Kur’ani eno buli kifaananyi babe nga beebuulirira

    [28] Kur’ani (twagissa) nga eri mu luwarabu nga teriimu bukyamu bwonna babe nga batya Katonda

    [29] Katonda yakuba ekifaananyi ky'omusajja (omuddu) ng'aliko bakamaabe bangi abakaayana (n'atamanya ani gwasooka okuweereza) n’omusajja omulala (omuddu) nga wa muntu omu, abaffe mu kulaba bafaanana. Ebitendo byonna bya Katonda wabula abasinga obungi mu bo tebamanyi

    [30] Mazima ggwe (Nabbi Muhammad) ojja kufa era mazima ddala nabo baakufa

    [31] Oluvanyuma mazima mmwe (mwenna wamu) mugenda kuwozanganya ewa Mukama omulabirizi wa mmwe ku lunaku lw'enkomerero

    [32] Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo ayogera obulimba ku Katonda! era naalimbisa amazima bwe gaamujjira (yeeyinula ki?) abaffe mu muliro Jahannama temuli nfo za bakaafiiri

    [33] Ate oyo eyaleeta amazima era n’agakkiririzaamu, abo bo be batya Katonda

    [34] Balifuna bye baagala ewa Mukama omulabirizi waabwe eyo y'empeera ya balongoosa

    [35] Katonda abe nga abasonyiwa ebibi ebyo bye baakola, era abasasule empeera yaabwe olw'ebirungi ebyo bye baali bakola

    [36] Abaffe Katonda tamala muddu we, balyoke batuuke okukutiisatiisa n'abo abatali yye, oyo yenna Katonda gwabuza tagenda kufuna mulungamya

    [37] Oyo yenna Katonda gwalungamya tabaako amubuza, abaffe Katonda ssi ye nantakubwa ku mukono asobola okubonereza abo (abeeyisa obubi mu baddube)

    [38] Singa obabuuza nti ani yatonda eggulu omusanvu n'ensi, ddala bajja kugamba nti Katonda, bagambe nti abaffe (mmwe) mulaba nti ebyo bye musaba nemuleka Katonda singa Katonda aba anjagalizza akabi byo bisobola okugyawo akabiike, oba singa aba anjagalizza kusaasira (kirungi) abaffe byo bisobola okuziyiza okusaasira kwe, gamba nti Katonda ammala (era bulijjo) abaagala ow'okwesiga ye yekka gwe beesiga

    [39] Bagambe nti: abange bantu bange mukolere ku nkola yammwe, mazima nze nkola (ku nkola eyange) luliba olwo nemumanya

    [40] Ani ebibonerezo gwe birijjira nga bimuswaza era naatuukwako ebibonerezo eby'olubeerera

    [41] Mazima ffe twassa ku ggwe ekitabo eky'amazima nga kya bantu bonna oyo alungama aba yeerungamidde, ate oyo abula, ekibi ky'okubulakwe kidda gyali, era ggwe toli mukuumi ku bo

    [42] Katonda yaatuusa entuuko z'emyoyo bwe gituuka okuva mu mibiri gyagyo, n'ogwo oguba tegufiiridde mu tulo twagwo (guba mu mikono gye) olwo nno gwaba asazeewo nti agwetaaga gufe naagutwala, ate omulala naaguleka okumala ebbanga eggere mazima mu ekyo mulimu eby'okuyiga eri abo abafumiitiriza

    [43] Oba (ekibayinula) kuba nti baleka Katonda ne beeteerawo abawolereza! bagambe nti: (bwe gutyo bweguba) newaakubadde nga (abawolereza abo) tebafuga kintu kyonna era nga tebategeera

    [44] Bagambe nti: okuwolereza kwonna kuli mu mikono gya Katonda (anti) bubwe yekka obufuzi bw'eggulu omusanvu n'ensi oluvanyuma gyali gye mulizzibwa

    [45] Katonda bwaba nga ayogeddwako yekka (n'atagattibwako kintu kirala) emitima gyabo abatakkiriza nkomerero gyenyinyimbwa, naye singa abatali yye boogerwako ogenda okulaba nga bo (abagatta ebintu ebirala ku Katonda) basanyuukirira

    [46] Gamba nti ayi Mukama omutonzi w'eggulu omusanvu n'ensi, omumanyi w'ebikusike n'ebirabwako, ggwe oliramula wakati wa baddu bo mu ebyo bye baali baawukanamu

    [47] Singa ddala ebyo ebiri mu nsi byonna n'ebirala ebiringa byo nga byabo abeeyisa obubi bandiyagadde okwenunula nabyo okuwona obuzibu bwe bibonerezo byo lunaku lw'enkomerero n'olwokuba nti baliba bamaze okulaba okuva ewa Katonda ebyo bye baali batasuubira

    [48] Era ne bibeeyoleka ebibi by'ebyo bye baakola era ne bibeetooloola ebyo bye baalinga bajeeja

    [49] Omuntu bwatuukibwako akabi olwo nno nga atusaba oluvanyuma bwe tumugabira ekyengera kyonna okuva gye tuli, agamba nti mazima kyampebwa lwa kumanya (kwange) wabula (si bwe kiri) kyo kikemo naye ddala abasinga obungi mu bo tebamanyi

    [50] Mazima (ekigambo kye kimu ekyo) baakyogera abo abaabakulembera (naye) tebyabagasa ebyo bye baakolanga

    [51] Olwo nno obubi bw'ebyo bye baakola ne bubatuukako n'abo bonna abeeyisa obubi mu bano, bajja kutuukibwako obubi bw'ebyo bye baakola ate era tebagenda kulemesa (Katonda ku bakola kyaliba ayagadde)

    [52] Abaffe tebamanyi nti mazima Katonda ayanjuluza riziki eri oyo gwaba ayagadde ate oluusi naafunza, mazima mu ekyo mulimu ebyokuyiga eri abantu abakkiriza

    [53] Bagambe nti: abange baddu bange abo abayitiriza okwonoona ku myoyo gyabwe temuggwangamu ssuubi ku kusaasira kwa Katonda, mazima Katonda asonyiwa ebyonoono byonna, mazima yye ye musonyiyi ennyo omusaasizi ennyo

    [54] Era mwemenye mudde ewa Mukama omulabirizi wa mmwe era mweweeyo gyali, nga ebibonerezo tebinnabajjira ate ne muba nga temuli ba kutaasibwa

    [55] Era mugoberere ebirungi ebyo ebyassibwa gye muli nga biva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe oluberyeberye nga ebibonerezo tebinnaba kubajjira ekibwatukira nga na mmwe temumanyi

    [56] Omuntu aleme kutuuka kugamba nti zinsanze ku lw'ebyo bye nnayonoona ku bikwata ku Katonda era nga ddala nnali ku nsi mu banyooma

    [57] Oba ogambe nti singa mazima Katonda yannungamya naalibadde mu batya (Katonda)

    [58] Oba bwoliraba ebibonerezo oligamba nti ddala singa nnina okuzzibwayo nembeera mu balongoosa

    [59] (olyanukulwa nti) nedda ebigambo byange byakujjira n'obirimbisa era neweekuza nooba owo mu bakaafiiri

    [60] Era ku lunaku lw'enkomerero abo abaayogera obulimba ku Katonda oliraba ebyenyi byabwe nga biddugadde (ate lwaki tebaliba batyo!), abaffe mu muliro Jahannama temuli nfo zaabo abeekuza

    [61] Era Katonda agenda kuwonya abo abaamutya nga abawa okwesiima kwabwe (olw'ejjana gyalibayingiza). Akabi (k’ebibonerezo) tekagenda kubatuukako era bo ssi baakunakuwala

    [62] Katonda, ye mutonzi wa buli kintu era yye, ye mutambuza wa buli kintu

    [63] Era yaalina ebiyimiriddeko entambula y'eggulu omusanvu n'ensi, ate abo abaawakanya ebigambo bya Katonda, abo bo be b'okufaafaaganirwa

    [64] Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad) nti: abange mmwe abatamanyi, ebitali Katonda bye mundagira mbe nga nsinza

    [65] Ate nga mazima watumirwa obubaka n'eri abo abaakukulembera (nti) singa ogatta ku Katonda ebintu ebirala emirimu gyo gya kwonoonekera ddala, era ojja kubeerera ddala mu bafaafaaganiddwa

    [66] Wabula Katonda gwoba osinza era obe mu beebaza

    [67] (Abagatta ku Katonda ebintu ebirala) Katonda tebamussa mu kifo kimusaanira, so nga ensi yonna eriba mu kibatu kye ku lunaku lw'enkomerero, nga eggulu omusanvu gazingiddwa mu mukono gwe ogwa ddyo, musukkulumu era wa waggulu ku ebyo bye bamugattako

    [68] Engombe erifuuyibwa, ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi nebizikirira, okugyako ekyo Katonda kyaliba ayagadde, oluvanyuma erifuuyibwa omulundi omulala oligenda okulaba nga beesiimbye (bwa ntoogo) batunula

    [69] Ensi egenda kwakaayakana olw'ekitangaala kya Mukama omulabirizi waayo, ebitabo (by’emirimu gya baddu) bissibwewo, ba Nabbi n’abajulizi (ba Malayika abawandiika emirimu gya baddu) baleetebwe era balamulwe mu mazima era bo tebagenda kulyazaamaanyizibwa

    [70] Buli mwoyo gulisasulwa mu bujjuvu ebyo bye gwakola, anti bulijjo Katonda amanyidde ddala ebyo bye bakola

    [71] Abo abaakaafuwala balikunguzzibwa okutwalibwa mu muliro Jahannama nga bali mu bibinja, olwo nno bwe baligutuukako emiryango gyagwo nga giggulwawo, era abakuumi baagwo babagambe nti, abaffe tebaabajjira ababaka nga bava mu mmwe!, nga babasomera ebigambo bya Mukama omulabirizi wa mmwe era nebabatiisa okusisinkana olunaku lwa mmwe luno? baligamba nti weewaawo (batujjira naye twabalimbisa) naye ekigambo ky’ebibonerezo kimaze okukakata ku bakaafiiri

    [72] Baligambibwa nti muyingire emiryango gy’omuliro Jahannama nga muli bakutuula mu gwo bugenderevu, nagwo kifo kibi eri abeekuza

    [73] Abo abatya Mukama omulabirizi waabwe balitwalibwa eri e jjana nga bali mu bibinja, olwo nno bwe baligituukako n’emiryango gyayo negiggulwa, n’abakuumi baayo nebabagamba nti emirembe gibe ku mmwe mwakola bulungi (nga muli ku nsi) kale muyingire, mugenda kutuulamu, bugenderevu

    [74] Baligamba nti ebitendo byonna bya Katonda oyo atutuukiririzza endagaano ye, naatusikiza ettaka (lyo mu jjana) nga tweyagalira mu jjana wonna wetwagala nga kyo kyengera kya mpeera ya bakozi

    [75] Oliraba ba Malayika nga babugirizza amabbali ga Arish nga batendereza ebitendo bya Mukama omulabirizi waabwe, (ebyo byonna) abaddu baliba balamuddwa mu bwenkanya era walirangirirwa nti ebitendo byonna bya Katonda omulabirizi w'ebitonde byonna

    Omusonyiyi

    Surah 40

    [1] Ha Miim

    [2] Okussa ekitabo (kino Kur’ani) kuva wa Katonda nantakubwa ku mukono, omumanyi ennyo

    [3] Omusonyiyi we byonoono, era akkiriza okwenenya, nannyini bibonerezo ebikakali, nannyini kugaba, tewali kisinzibwa okugyako yye, obuddo buli gyali

    [4] Tewali awakana ku bigambo bya Katonda okugyako abo abaakafuwala, kale okwejalabattira kwabwe mu nsi tekukuyigula ttama

    [5] Oluberyeberye lwabwe abantu ba Nuhu baalimbisa, n'ebibinja ebyajja oluvanyuma lwabwe (nabyo byalimbisa), buli bantu baayagala okutuusa ku mubaka waabwe akabi, baakozesa obukyamu mu kuwakana, bamenyewo amazima, awo nno nembakwata naye okubonereza kwange (olaba) kwali kutya

    [6] Nabwekityo, kyakakata ekigambo kya Mukama omulabirizi wo kwabo abaakafuwala nti mazima bo bantu ba mu muliro

    [7] (Ba Malayika) abo abasitudde Arish, naabo abagibugiriza, batendereza ebitendo bya Mukama omulabirizi waabwe, era ba mukkiriza era basaba (Katonda) ekisonyiwo eri abo abakkiriza (nga bagamba nti) ayi Mukama omulabirizi waffe mu kusaasira ne mukumanya wamalayo buli kintu kyonna, kale sonyiwa abo abeenenya nebagoberera ekkubo lyo era obawonye ebibonerezo by'omuliro Jahiim

    [8] Ayi Mukama omulabirizi waffe era bayingize e jjana ez’emirembe zewabalagaanyisa (era zewalagaanyisa) abo abaalongooka mu bakadde baabwe ne be bafumbiriganwa nabo ne zadde lyabwe. Mazima ggwe nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga

    [9] Era obesambye ebyonoono era oyo yenna gw'olyesambya ebibi ku lunaku olwo mazima oliba omusaasidde, era ekyo kwo, kwe kwesiima okusuffu

    [10] Mazima abo abaakafuwala balikowoolwa (nga bali mu muliro nti) mazima obusungu bwa Katonda busuffu okusinga okwesunguwalira kwa mmwe, bwe mwakowolwanga okujja eri obukkiriza (wabula ate mmwe) nemuwakanya

    [11] Baligamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe watutta emirundi ebiri notuwa obulamu emirundi ebiri, kaakano tukkirizza ebyonoono byaffe (bitusaanidde), abaffe waliwo ekkubo lyonna eritufulumya mu muliro

    [12] (Baligambwa nti) ekyo mmwe (kye mulimu) buli Katonda lweyasabwanga yekka nga muwakanya, ate buli lwe yagattibwangako ekintu ekirala olwo nga mukkiriza, kale nno okulamula (olwaleero) kwa Katonda (yekka) owa waggulu owekitiibwa

    [13] Yye yooyo abalaga obubonero bwe era abassiza amazzi okuva waggulu nga riziki (gye muli) naye teyebulirira (nabyo) okugyako oyo adda eri (Katonda)

    [14] Kale musabe Katonda ng’eddiini mugikola ku lulwe yekka newakubadde nga abakafiiri bakitamwa

    [15] (Katonda oyo) ow'ebitiibwa ebya waggulu nannyini Arish, assa obubaka okusinziira ku kiragiro kye kwoyo gwaba ayagadde mu baddu be, abe nga atiisa (abantu ebiribaawo ku) lunaku lw'okusisinkana

    [16] Olunaku bo (abantu) bonna lwe balyeyoleka )mu maaso ga Katonda) tewali kintu kyonna kyava mu bo kiryekweka Katonda, (balibuuzibwa nti) obufuzi bwani olwaleero? (olwo nno nebategezebwa nti) bwa Katonda ali omu nantalemwa

    [17] Olwaleero buli mwoyo gugenda kusasulwa olwebyo bye gwakola tewali kulyazamanya olwaleero, mazima Katonda mwangu wa kubala

    [18] Batiise (gwe nabbi Muhammad) olunaku olusembedde, ekiseera emitima lwegiribeera mu malokooli (olw'entiisa) nga banyikaavu, abeeyisa obubi tebagenda kuba na ffa nfe, wadde muwolereza ayinza okuwulirizibwa

    [19] (Anti) Katonda amanyi amaaso agatali meesimbu era nga bwamanyi ebyo ebifuba bye bikweka

    [20] Era Katonda alamula mazima, bo abo abasaba ebintu ebirala nebaleka Katonda, tebalina kintu kyonna kye balamula (nekiba kyo). Mazima Katonda ye yaawulira ennyo alaba

    [21] Abaffe tebatambulako mu nsi ne balala enkomerero yaabo ababasooka nga bwe yali, bo be baali babasinga amaanyi n'ebintu bye baaleka mu nsi Katonda yabakwata olwebyonoono byabwe tewaaliwo abawonya ku Katonda

    [22] Ekyo (kyali bwekityo) lwakuba nti mazima bo ababaka baabwe babajjiranga n'obunnyonnyofu nebajeema, olwo nno Katonda nabakwata, mazima ye wamaanyi muyitirivu wa kubonereza

    [23] Era Mazima twatuma Musa ne bya magero byaffe n’obusobozi bwokulambika ensonga

    [24] Eri Falawo ne Hamaana ne Karuna nebagamba nti (Musa) mulogo mulimba

    [25] Bweyabaleetera amazima okuva gyetuli baagamba nti mutte abaana abalenzi abaabo abakkiriza abali naye, naye bawala baabwe mubaleke nga balamu, bulijjo enkwe za bakafiiri teziba okugyako mu bubuze

    [26] Filaawo naagamba nti mundeke nzite Musa kale ayite Mukama omulabirizi we (anti) mazima nze ntidde nti ayinza okukyusa eddiini yammwe, oba ssi ekyo, ayinza okussa mu nsi obwononefu

    [27] Musa naagamba nti mazima nze nsaba Mukama omulabirizi wange era omulabirizi wa mmwe amponye (obubi) bwa buli mwekuza atakkiriza lunaku lwa kubalibwa

    [28] Omusajja omukkiriza mu bantu ba Filaawo (naye nga) yali akweka obukkiriza bwe, yagamba nti mutta omusajja olwokuba agamba nti Katonda ye Mukama omulabirizi wange, ate nga abaleetedde obujulizi obuva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe, bwaba nga alimba okulimba kwe kuli gyali, naye bwaba nga ayogera mazima ebimu ku byabalaganyisa bijja kubatuukako mazima Katonda talungamya oyo ye eyegalabanja, omulimba

    [29] Abange mmwe bantu bange olwaleero mmwe mulina obufuzi era nga mumanyiddwa mu nsi, olwo ani anatutaasa ku bibonerezo bya Katonda singa bituggira (olw'obutakkiriza Musa byagamba) Falawo nagamba nti siraba nti mwandisazeewo okugyako kye ndaba (ekyo kutta Musa), ate si balagirira okugyako ekkubo ettuufu

    [30] Oyo eyakkiriza naagamba nti abange bantu bange (mwegendereze) mazima nze ntya mmwe okutuukibwako nga ebyo ebyatuuka ku bibiina ebyakulembera (ebyekobaana okuyisa obubi ba Nabbi babyo)

    [31] Okugeza ng'enkola y'abantu ba Nuhu ne A-adi ne Thamud naabo abaaliwo oluvanyuma lwabwe, era bulijjo Katonda tayagaliza baddu be kuyisibwa bubi

    [32] Era abange mmwe bantu bange, mazima nze mbatiisa olunaku lw’enduulu

    [33] Olunaku lwe mulikyuka mudduke naye nga temuliba n’abawonya yenna ku Katonda, oyo yenna Katonda gwabuza tayinza kufuna mulungamya

    [34] Era mazima Yusuf yabajjira oluberyeberye n’obujulizi kyokka mwasigala muli mu kubuusabuusa kwebyo bye yabaleetera, okutuusa nga amaze okufa olwo nno nemugamba nti Katonda tagenda kutuma mubaka yenna luvannyuma lwe, bwatyo nno Katonda bwabuza buli oyo yenna yye eyegalabanja abuusabuusa

    [35] Abo abawakana ku bikwata ku bigambo bya Katonda awatali bujulizi bubajjidde (ekikolwa ekyo) kibi, kinene nnyo ewa Katonda, newaabo abakkiriza, bwatyo Katonda bwazibikira ku buli mutima gwo mwekuza, kiwagi

    [36] Firawo nagamba nti owange Hamaana (katikkiro we) nzimbira omunaala oba olyawo naatuka ku makubo

    [37] Amakubo g'eggulu omusanvu olwo nno mbe nga ndaba Katonda wa Musa, wabula mazima mmulowooza okuba nti mulimba, bwatyo Firawo emirimu gye emibi gyamulabisibwa nga mirungi, olwo nno naggibwa ku kkubo, era enkwe za Firawo tezaali okugyako mu kugootaana

    [38] Era oyo eyakkiriza yagamba nti mungoberere mbalagirire ekkubo lyo bulungamu

    [39] Abange bantu bange mazima obulamu bwe nsi buno bwakiyita mu lujja, era mazima enkomerero, y’enyumba eyolubereera

    [40] Oyo yenna akola omulimu omubi tasasulwa okugyako ekigwenkana, ate oyo akola omulimu omulongoofu kaabe musajja oba mukazi (naagukola) nga mukkiriza, abo nno baliyingira e jjana baligabirirwa mu yo awatali kubalirira

    [41] Abange bantu bange lwaki mbayita okujja eri okuwona nga mmwe mumpita kudda eri muliro

    [42] Mumpita mpakanye Katonda era mugatteko ebyo bye ssirinaako kumanya! ate nga nze mbayita kudda eri Nantakubwa ku mukono, omusonyiyi ennyo

    [43] Tewali kubuusabuusa mazima ekyo kye mumpitira tekirina buyinza ku nsi wadde ku nkomerero, ate nga mazima obuddo bwaffe buli eri Katonda era nga mazima abegalabanja bo be bantu bo mu muliro

    [44] Lumu mulijjukira bye mbagamba era ensonga yange ngikwasa Katonda, mazima Katonda alabira ddala ebifa ku baddu

    [45] Katonda naamuwonya obubi bwe nkwe zebasala, obubi bwe bibonorezo ne byetoloola abantu ba Falaawo

    [46] Omuliro banjulwa gye guli (mu bufu bwabwe) enkya ne ggulo, ate olunaku lw’enkomerero lwe lulituuka walirangirirwa (nti) muyingize abantu ba Firaawo mu bibonerezo ebisinga obukakali

    [47] Jjukira ekiseera lwe balikayana mu muliro, abanafu (abakulemberwa) bwe baligamba abo abeekuza (abaali abakulembeze nti) mazima ffe twali bagoberezi ba mmwe abaffe mmwe musobola okutukolera ekitundu (kye kibonerezo) kyo muliro

    [48] Abo abeekuza baligamba nti, mazima ffe tugulimu fenna wamu, mazima Katonda yamaze okulamula wakati w'abaddu

    [49] Abaliba mu muliro baligamba abakuumi ba Jahannama nti musabe Mukama omulabirizi wa mmwe atukendeereze ku bibonerezo (waakiri) olunaku lumu

    [50] (Abakuumi bo muliro) baligamba nti abaffe ababaka ba mmwe tebabajjira n’obujulizi obwenkukunala, baligamba nti kituufu (baatujjira), bali bagambe nti kale musabe, wabula okusaba kwa bakafiiri tekuba okugyako mu bubuze

    [51] Mazima ffe ddala tutaasa ababaka baffe naabo abakkiriza mu bulamu obw'ensi ne ku lunaku abajulizi lwe baliyimirira (okuwa obujulizi nti ddala obubaka bwatusibwa ku bantu)

    [52] Olunaku abeeyisa obubi okwetonda kwabwe lwe kutalibagasa, era balina ekikolimo nga bwebalina obutuulo obubi (omuliro)

    [53] Mazima twawa Musa obulungamu era netusikiza abaana ba Israil ekitabo (ekyo)

    [54] Nga bulungamu era nga kya kujjukiza eri abo abalina amagezi

    [55] Kale gumikiriza (ggwe Nabbi Muhammad) mazima endagaano ya Katonda ya mazima era saba ekisonyiwo olw'ekibi kyo, era tendereza ebitendo bya Mukama omulabirizi wo olweggulo ne kumakya

    [56] Mazima abo abawalaaza empaka ku bubonero bwa Katonda awatali bujulizi bubajjidde, mu bifuba byabwe temuli okugyako okwekuza ate nga tekuyinza kukibatuusaako (ekye kitiibwa n'obulungi Katonda bya gonnomola ku Nabbi we) kale nno saba obukuumi ewa Katonda (anti) mazima yye yemuwulizi omulabi enyo

    [57] Ddala, okutonda eggulu omusanvu n'ensi kinene okusinga okutonda abantu, naye ddala abantu abasinga obungi tebamanyi

    [58] Era muzibe n'alaba tebenkana nga bwe batenkana abo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu nomwonoonyi (wabula) mujjukira kitono nnyo

    [59] Mazima olunaku lw’enkomerero lwa kutuuka teruliimu kubuusabuusa, naye ddala abantu abasinga obungi tebakkiriza

    [60] Mukama omulabirizi wa mmwe yagamba nti munsabe nja kubaanukula ,mazima abo abeekuza nebatansinza bagenda kuyingira omuliro Jahannama nga baswavu

    [61] Katonda yooyo eyabateerawo obudde obwekiro muwummuliremu nabateerawo obudde obwemisana nga butangaala (musobole okukoleramu emirimu gya mmwe). Mazima Katonda akolera abantu ebirungi bingi, naye ddala abantu abasinga obungi tebeebaza

    [62] Oyo nno mwe ye Katonda omulabirizi wa mmwe, omutonzi wa buli kintu, tewali kisinzibwa (mu butuufu) okugyako yye ate muwugulwa mutya

    [63] (Nga bwe muwugulwa) bwe batyo bwe bwe baawugulwanga abo abaalinga bawakanya ebigambo bya Katonda

    [64] Katonda yooyo eyabateerawo ensi nga ntebenkevu, nabaterawo eggulu nga kasolya, era nabawa endabika ya mmwe, olwo nno nanyiriza endabika ya mmwe era nabagabirira ebintu ebirungi, oyo nno mmwe ye Katonda omulabirizi wa mmwe, kale nno musukkulumu Katonda, Mukama, omulabirizi w'ebitonde

    [65] Yye ye mulamu tewali kisinzibwa okugyako yye, kale mumusabe ng'eddiini yonna mugikolera yye yekka, (anti) ebitendo byonna bya Katonda omulabirizi webitonde

    [66] Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad nti mazima nze bwe nnamala okufuna obunnyonnyofu okuva ewa Mukama omulabirizi wange) nagaanibwa okusinza ebyo bye musaba ne muleka Katonda, obunnyonnyofu bwe bwanzijira nga buva ewa Mukama omulabirizi wange, era nalagirwa okwewa ewa Mukama omulabirizi w'ebitonde

    [67] (Anti) ye yooyo eyabatonda nga abaggya mu ttaka (omulundi ogwasooka nga atonda Adam), oluvanyuma (abatonda nga) abajja mu mazzzi agazaala, oluvanyuma abafuula ekisaayisaayi, oluvanyuma abafulumya nga muli baana, oluvanyuma (abalekawo) nemutuuka okubeera abajjuvu (mu mibiri ne mu kutegeera), oluvanyuma (abalekawo) nemutuuka okubeera abakadde, ate mu mmwe mulimu afa ng'akyali (naatamalaayo emitendera esatu egyogeddwa, (bwe kitaba ekyo abalekawo) mube nga mutuuka ekiseera ekigere (ekya buli omu) mube nga mutegeera (ebyo byonna ebibannyonnyoddwa)

    [68] (Katonda) yye yooyo awa obulamu era yatta, kale nno bwaba asazeewo ekintu akigamba nti beera nekibeera

    [69] Abaffe tolaba abo abawalaaza empaka ku bigambo bya Katonda engeri gye bakyusibwamu (nebaleka amazima)

    [70] Abo abaalimbisa ekitabo (Kur’ani) n'ebyo byetwatuma nabyo ababaka baffe kyaddaaki balimanya

    [71] (Balimanya) mu kiseera enkoligo bwezirissibwa mu nsingo zaabwe era nga basibiddwa ne njegere nga bawalulwa

    [72] Mu lweje oluvanyuma balisibirwa mu muliro

    [73] Oluvanyuma baligambwa nti biriwa bye mwagattanga (ku Katonda)

    [74] Nemuleka Katonda, baligamba nti batubuzeeko wabula (mu butuufu) bye twasabanga oluberyeberye temwali kantu. Bwatyo Katonda bwabuza abakafiiri

    [75] Ebyo nno mmwe (eby'omuliro gwe muyingidde) lwansonga lwebyo bye mwasanyuka nga mu nsi mu butali butuufu, era n'engeri y’obujeemu gye mweyisangamu

    [76] Muyingire emiryango gy’omuliro Jahannama nga muli ba kutuula mu gwo bugenderevu, bubi nnyo obutuulo bwa beekuza

    [77] Kale gumikiriza (ggwe Nabbi Muhammad) mazima endagaano ya Katonda ya mazima, kakibe nga ddala tukulaze ebimu kwebyo bye tubalaganyisa oba netukussaako okufa (nga tetubikulaze mu buli ngeri) bagenda kuzzibwa gyetuli

    [78] Mazima twatuma ababaka oluberyeberye lwo, mu bo mulimu betwakunyumizaako, era mu bo mulimu betutakunyumizaako, era Nabbi yenna yali tayinza kuleeta kya magero okugyako nga Katonda yasazeewo, kale nno ekigambo kya Katonda bwekirijja ensonga zirilamulwa mu mazima, era awo abonoonyi webalifafaganirwa

    [79] Katonda ye yooyo eyabassizaawo ensolo ez’omumaka ezimu ku zo muzebagale era nga neezimu kwemulya

    [80] Era mulina mu zo emigaso (emirala ng’ate mingi olwokuzikozesa), mutuukiriza ekyetaago kye mulina mu bifuba bya mmwe (ekyo kujjulula emigugu gya mmwe okuva ebunaayira), era nga musitulirwa ku zo ne ku maato

    [81] Era (bulijjo Katonda) abalaga obubonero bwe, kaakano bubonero ki obwa Katonda bwe muwakanya

    [82] Abaffe tebatambulako mu nsi nebalala yali etya enkomerero yaabo ababakulembera, (abo) abaali babasinga obungi, nga babasinga amaanyi era nga be babasinza ne bye baaleka mu nsi, naye wabula tebyabagasa ebyo bye baakola

    [83] Anti ababaka baabwe bwe baabajjira n’obunnyonnyofu, baasigala basanyuka n’okumanya kwe baali balina ne bazingwako ebyo bye baali bajeeja

    [84] Bwe baalaba obukambwe bwe bibonerezo byaffe nebagamba nti tukkiriza Katonda yekka era netuwakanya ebyo byonna bye twali tumugattako

    [85] Okukkiriza kwabwe tekwali kwa kubagasa (okwo kwe balangirira), bwe baamala okulaba obukambwe bwe bibonerezo byaffe (era nga eyo) yenkola ya Katonda eyo ezze ekola mu baddu be, era (ebibonerezo bya Katonda bwe bitandika okussibwa mu nkola) abakafiiri awo wennyini baba bamaze okufafaaganirwa (ne bwekuba kwenenya kuba tekukyakkirizibwa)

    Ennyonnyola Ennambulukufu

    Surah 41

    [1] Ha Miim

    [2] (Kur’ani) bubaka obussibwa okuva ewa Katonda omusaasizi ennyo era omusaasizi owenjawulo

    [3] (Kyo) kitabo, ebigambo byakyo ebyannyonnyolwa obulungi nga bisomwa, ebiri mu luwarabu (yassibwa) eri abantu abamanyi

    [4] (Yakka nga) ewa amawulire agessanyu eri (abakkiriza) era nga ewa amawulire agatiisa (eri abatakkiriza) naye abasinga obungi mu bo bagyesamba olwo nno bo tebawulira

    [5] Nebagamba nti emitima gyaffe giri mu kibikka, tegiyinza kuwulira ekyo kyotuyitira, ate mu matu gaffe mulimu envumbo ate nga wakati waffe nawe waliwo ekyawula (n'olwekyo tetuyinza kukola bifaanagana) kale kola naffe katukule

    [6] Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad nti) mazima nze ndi muntu nga mmwe, mpeebwa obubaka nti mazima Katonda wa mmwe, Katonda omu yekka, kale mudde gyali mubwesimbu, era mumwegayirire era okubonaabona kuli eri abagatta ebintu ebirala ku Katonda

    [7] Abo abatatoola Zakka ate nga ddala nabo olunaku lw'enkomererp bo baluwakanya

    [8] Mazima abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu balina empeera etaggwawo

    [9] Bagambe nti abaffe mmwe muwakanya oyo eyatonda ensi mu nnaku bbiri nemumuteekako ebisinzibwa ebirala, oyo (gwe mukola ebyo) ye mulezi w'ebitonde

    [10] Era yassa mu yo (ensi) ensozi nga asinziira ku ngulu kwayo, (olwo nno nezikka wansi) era naagissaamu omukisa era yagererera mu yo ebyokulya byayo (ebiriibwa ebiramu byonna ebigirimu, ebyo byonna yabimalira) mu nnaku nnya, (ekyo kye kyokwanukula) ekituufu eri ababuuza

    [11] Oluvanyuma yadda ku kukola eggulu nga nalyo (mu kusooka) lyali mukka, olwo nno naligamba n'ensi, nti mujje okwagala n'obutayagala, byombi nebigamba nti tuzze nga tugonze

    [12] Olwo naagamaliriza nga gali eggulu musanvu mu nnaku bbiri, naalagira mu buli ggulu ne mussibwamu ebintu byamu era netuwunda eggulu eririraanye ensi n’amataala n’abakuumi, okwo nno kugera kwa nantakubwa ku mukono, omumanyi ennyo

    [13] Singa bawuguka (nebatakukkiriza) bagambe nti mbatiisizza ebibonerezo ebikakali okufaanana nga ebibonerezo ebyatuuka ku bantu ba A-adi ne Thamud

    [14] Mu kiseera ababaka bwe baabajjira nga babava mu maaso ne mabega waabwe nga bagamba nti, temusinzanga okugyako Katonda (abatakkiriza) ne bagamba nti singa Mukama omulabirizi waffe yayagala (kututumira) yandiisizza Malayika n’olwekyo mazima ffe tuwakanya ebyo bye mutumiddwa nabyo

    [15] Bo abantu ba A-adi anti beekuza mu nsi mu butali butuufu, era nebagamba nti ani atusinga amaanyi? abaffe baali tebakiraba nti mazima Katonda oyo eyabatonda, yye yaabasinga amaanyi. Okukola ekyo baali bawakanya obubonero bwaffe

    [16] Netubasindikira kibuyaga owamaanyi mu nnaku ezaali zijjudde ebizibu tulyoke tubakombese ku bibonerezo ebyobuswavu mu bulamu obwensi, so nga ate ebibonerezo by'enkomerero bye bisinga okuswaza era bo tebagenda kutaasibwa

    [17] Bo aba Thamud twabalaga ekkubo ly'obulungamu naye bo nebakulembeza obwamuzibe ku bulungamu, olwo nno okubwatuka kwe bibonerezo ebinyomesa ne kubatuukako olwebyo bye baakolanga

    [18] Era twawonya abakkiriza era nga baali batya Katonda

    [19] Ate olunaku abalabe ba Katonda lwe balikunganyizibwa nga batwalibwa eri omuliro awo nno nga bateereddwa mu bibinja

    [20] Bwe baligutuukako, amatu gaabwe n’amaaso gaabwe n’amaliba gaabwe, biribawaako obujulizi kwebyo bye baakolanga

    [21] Baligamba amaliba gaabwe (ate mmwe) lwaki mutuwaddeko obujulizi? galigamba nti Katonda atwatuzza oyo ayatuza buli kintu, era yye ye yabatonda omulundi ogwasooka era nga gyali gye mulizzibwa

    [22] Era (bwemwali ku nsi) temwekwekako olw'okutya amatu ga mmwe wadde amaliba ga mmwe okubawaako obujulizi, wabula mwalowooza nti mazima Katonda tamanyi bingi mwebyo bye mukola

    [23] Okwo nno okulowooza kwa mmwe, okwo kwe mwalowooza ku Mukama omulabirizi wa mmwe, kwe kwa battattana olwo nno nemufuuka abo mu bafafaganirwa

    [24] Ne bwe banagumikiriza, omuliro bwe butuulo bwabwe, era ne bwebanasaba okubaddiramu (mbu bazzibwe ku nsi bakole ebirungi) ssi bakuddirwamu

    [25] Twabateerawo ba nnaabwe (abababuza) olwo nno ne babalabisiza bulungi (ebibi) ebiri mu maaso gaabwe ne mabega waabwe, ekigambo (ekyokubonerezebwa) nekibakakatako, ne bayingira mu bibiina (ebibi) ebya Majinni n’abantu ebya kulembera, mazima bo baali abafaafaganirwa

    [26] Abo abaakafuwala nebagamba nti temuwuliriza Kur’ani eno wabula mujizannyiremu oba olyawo ne muwangula

    [27] Ddala tugenda kukombya abo abaakafuwala ku bibonerezo ebikakali era tugenda kubasasulira ddala obubi bwebyo bye baalinga bakola

    [28] Ogwo omuliro yempeera ya balabe ba Katonda, balina mu gwo obutuulo obw'olubeerera nga eyo yempeera (gye balifuna) olwokubanga baawakanya ebigambo byaffe

    [29] Abo abaakafuwala baligamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe, tulage mu Majinni n’abantu abo abaatubuza tubasse wakati w'ebigere byaffe balyoke babe mu ba wansi (ddala)

    [30] Mazima abo abagamba nti Katonda ye Mukama omulabirizi waffe oluvanyuma ne babeera beesimbu, ba Malayika bakka (nga bajja) gyebali (nga babagamba nti) temutya era temweraliikirira era musanyuke olw’ejjana eyo gye mwalinga mulagaanyisibwa

    [31] Ffe (Ba Malayika) ffe banna mmwe mu bulamu obwensi ne mu bulamu obw'enkomerero, era mulina okufuna nga muli mu yo, ebyo emyooyo gya mmwe bye gyagala era nga bwe mulina okufuna ebyo bye musaba

    [32] (Ebyo) nga bugenyi obuva ewa (Katonda) omusonyiyi ennyo omusaasizi

    [33] Ani ow'ebigambo ebirungi okusinga oyo akowoola (abantu) okudda eri Katonda era naakola emirimu emirongoofu era naagamba nti mazima nze ndi mu beewa ewa Katonda

    [34] Era ekirungi n'ekibi tebyenkana, ggyawo (ekibi) ng’okozesa ekyo ekisinga obulungi, onogenda okulaba nga oyo awabadde wakatiiwo naye obulabe nga ddala yye ye womukwano ffa nfe

    [35] Era (ekyo) tebayinza ku kiweebwa okugyako abo abagumikiriza era tayinza kukiweebwa okugyako ow'omukisa ogwamaanyi

    [36] Wabula singa wabaawo ekikulabankanya nga kiva mu Sitane, oteekwa okusaba obukuumi ewa Katonda, mazima yye yaawulira ennyo, omumanyi

    [37] Ne mu bubonero bwe (obulaga obuyinza bwe) kye kiro n’emisana ne njuba n’omwezi, temuvunnamiranga enjuba wadde omwezi, muvunnamirenga Katonda oyo eyabitonda bwe muba nga yye yekka gwe musinza

    [38] Naye bwe baneekuza (ssi kikulu) anti abo abali ewa Mukama omulabirizi wo bamutendereza ekiro n’emisana era nga bo tebakoowa

    [39] Era mu bubonero bwe (kwe kuba nti) mazima ggwe olaba ensi nga nkalu ketugitonnyesaako amazzi yenyeenya (nefuuka yakiragala) era neyongera okumeza ebimera. Mazima oyo agizzaamu obulamu (neeba ngimu) ddala wa kuzuukiza abafu mazima yye muyinza wa buli kintu kyonna

    [40] Mazima abo abawalaaza empaka mu bigambo byaffe tebatwekwese, abaffe oyo alisuulwa mu muliro yaasinga obulungi oba oyo alijja ku lunaku lw’enkomerero ng’ali mirembe, (kale) mukole bye mwagala mazima yye (Katonda) alabira ddala ebyo bye mukola

    [41] Mazima abo abawakanya okubuulirira (Kur’ani) bwe kwa bajjira (kalibajjutuka) era mazima yo (Kur’ani) kitabo kya kitiibwa

    [42] Obutali butuufu tebuyinza kujijjira kuva mu maaso gaayo, wadde mabega waayo, essibwa nga eva wa Mugoba nsonga atenderezebwa ennyo (Katonda)

    [43] Ggwe (Muhammad) tewali bikugambwa okugyako nga bya gambwa dda ababaka abakukulembera. Mazima Mukama omulabiriziwo ye nannyini kusonyiwa era ye nannyini bibonerezo ebiruma

    [44] Singa twafuula Kur’ani eno nga ya lulimi olutali luwarabu (abawarabu) ddala baligambye nti singa ebigambo byayo byannyonnyolwa (netuba nga tubitegeera, kati ate) eri mu lumimi olutali luwarabu ate nga ekkira ku muwarabu, bagambe nti yyo ku bakkiriza kya kulungama era kya kuwonya, ate abo abatakkiriza amatu gaabwe galimu envumbo, olwo nno yo ku bo buzibe bwa maaso, abo bakowoolwa okuva mu kifo ekyewala (n'olwekyo ssi bangu ba kuwuliza)

    [45] Mazima twawa Musa ekitabo ne kyawukanwamu, singa ssi kigambo ekyakulembera nga kiva ewa Mukama omulabirizi wo walisaliddwawo wakati waabwe mubwangu, era mazima nabo (abatakukkiriza ggwe Nabbi Muhammad) bali mu kubuusabuusa okujjudde okutankana mu yo (Kur’ani)

    [46] Oyo akola omulimu omulongoofu akolera mwoyo gwe, ate oyo ayonoona akabi kakyo kadda ku gwo, ate nga Mukama omulabirizi wo si mulyazamanyi wa baddu (be)

    [47] Gyali okumanya olunaku lw'enkomerero gye kuzzibwa, ebibala tebiva mu bikuta byabyo, era ekikazi tekifuna lubuto wadde okuzaala wabula ku lwakumanya kwe, n’olunaku (Katonda) lwalibakowoola (ng'a babuuza) nti baliwa abo bemwangattako? baligamba nti tukutegeeza nti tewali nomu mu ffe ayinza kuba mujulizi (kw'ekyo ekyokuba nti olina ebikugattibwako)

    [48] Era biribabulako ebyo bye baasinzanga oluberyeberye, era bagenda kukakasa nti tebalina buddukiro

    [49] Omuntu takoowa kusaba (okufuna) obulungi naye akabi bwe kamutuukako aggwamu essuubi naakutuka n'okusuubira

    [50] Naye bwetumukombya ku kusaasira okuva gye tuli oluvanyuma lwakabi akaba kamutuseeko, ddala agamba nti kino nkifunye lwa kukola kwange era ssirowooza nti olunaku lw'enkomerero lulibaawo (naye) ne bwendizzibwa ewa Mukama omulabirizi wange, mazima nze ndiba nina okufuna ebirungi waali, kale nno ddala tugenda kutegeeza abo abakafuwala, ebyo bye baakola era ddala tugenda kubakombesa ku bibonerezo ebizito ennyo

    [51] Bwetugabira omuntu ebyengera awuguka (naava ku ddiini) nadda ku bbali (nga takyayagala kubeera na bantu balala) olwokwekuza naye akabi bwe kamutuukako (olwo adda eri Katonda) era n'aba nga asaba okusaba okutakoma

    [52] Bagambe nti mukiraba nti singa ddala (Kur’ani) yava wa Katonda oluvanyuma nemugiwakanya, ani mubuze asinga oyo ali mu kuwakana okuli ewala (n’amazima)

    [53] Tujja kubalaga obubonero bwaffe mu bwengula ne mu bo bennyini okutuusiza ddala amazima lweganabeeyoleka nti ddala yyo (Kur'ani) ge mazima, abaffe tekimala okuba nga Mukama omulabirizi wo nga ddala yye abaawo (nga kikolebwa)

    [54] Abange mazima bo bali mu kubuusabuusa okusisinkana Mukama omulabirizi waabwe, abange (mukimanye nti) mazima yye yetoolodde (mu kumanya kwe) buli kintu

    Okwebuuza

    Surah 42

    [1] Ha Miim

    [2] Ayin Siin Kaaf

    [3] Bwatyo Katonda nantalemwa, mugobansonga, akutumira obubaka era nga bweyatuma eri abo abaaliwo oluberyeberye lwo

    [4] Bibye yekka byonna ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi ,era yye ye wa waggulu ennyo owekitiibwa

    [5] Eggulu omusanvu kumpi kweyuzaamu okutandikira waggulu waago (ku lwo kugulumiza Katonda) ne ba Malayika batendereza ebitendo bya Mukama omulabirizi waabwe, era basabira abali mu nsi ekisonyiwo, abange mazima Katonda yye ye musonyiyi ennyo omusaasizi

    [6] Naye abo abeteerawo ebisinzibwa ebirala nebamuvaako, Katonda mulondoozi ku bo, era ggwe toli mukuumi ku bo

    [7] Bwekityo twakuweereza Kur’ani nga eri mu luwarabu obe nga otiisa (nayo) maama w'ebibuga byonna (Makkah) n'abali mu bitundu ebikyetoolodde era otiise (abantu) olunaku lw'okukungaana olutaliimu kubuusabuusa, nga ekibinja kya kuyingira jjana ate ekibinja ekirala kya kuyingira muliro ogububuuka

    [8] Singa Katonda yayagala (bonna) yandibafudde ekibiina kimu, naye ayingiza oyo gwaba ayagadde mu kusaasira kwe, ate abeeyisa obubi tebaliba na mukuumi wadde omutaasa

    [9] Oba baaleka Katonda nebeeterawo ba katonda (abalala) so nno Katonda ye ye mukuumi, era yye ye wokulamusa abafu, era ye (bulijjo) muyinza ku buli kintu kyonna

    [10] Ekintu kyonna kyemuba mwawukanyeemu, okulamula kwakyo kuli eri Katonda, oyo mwe Katonda ye Mukama omulabirizi wange. ye yekka gwe nneesiga era gyali gyenzira

    [11] Omutandisi weggulu ne nsi, abateerawo nga agya mu mmwe bemufumbiriganwa nabo, era yabateerawo mu bisolo ebirundibwa bibiri bibiri (ekisajja n'ekikazi) nga abazalukusa mu nkola eyo, tewali kintu kiringa yye, era yye ye muwulizi ennyo omulabi ennyo

    [12] Yekka yaalina ebitambulirwako eggulu omusanvu ne nsi, ayanjuluza riziki eri oyo gwaba ayagadde, ate nafunza (kwoyo gwaba ayagadde) mazima yye ye mumanyi ennyo wa buli kintu

    [13] Yabalaalikako mu ddiini ebyo bye yalaamira Nuuhu n'ebyo bye twassa ku ggwe n'ebyo byetwalamira Ibrahim ne Mussa ne Issa ebigamba nti muyimirizeewo eddiini temujawukanangamu kizitoye kubagatta ku Katonda ebintu ebirala ekyo kye mubakowoola okujja gye kiri, Katonda alondobamu oyo gwaba ayagadde nadda gyali, era alungamya okudda gyali oyo eyeemenya

    [14] Tebaayawukana okugyako luvannyuma lwa kumanya okubajjira (nga ekyabatuusa kwekyo) bwe bukyayi obwali wakati waabwe, era singa si kigambo ekyakulembera nga kiva ewa Mukama omulabirizi wo (ekyo butazikirizaawo bonoonyi) okutuusa ebbanga eggere (erya baweebwa) waalisaliddwawo wakati waabwe (mu kiseera ekyo kye nnyini) era mazima abo abasikizibwa ekitabo oluvanyuma lwabwe, mu kyo bali mu kubuusabuusa okujjudde okutankana

    [15] N’olwekyo kale kowoola (abantu okujja eri e ddiini) era obeere mwesimbu nga bwe walagirwa, era togoberera kwagala kwabwe era gamba nti nzikiriza e bitabo ebyo Katonda bye yassa, era nalagirwa okukola obwenkanya wakati wa mmwe. Katonda ye mulabirizi waffe era omulabirizi wa mmwe ffe tulina emirimu gyaffe na mmwe mulina emirimu gya mmwe. Tewali nkayana wakati waffe na mmwe (anti amazima meyolefu), Katonda agenda kutusisinkanya (ffe na mmwe) era gyali yokka yeeri obuddo

    [16] N'abo abawakana ku bikwata ku Katonda, oluvanyuma lwo kuba nti (omubaka Muhammad) yayanukulwa (nagobererwa), ensonga yaabwe ya butaliimu mu maaso ga Mukama omulabirizi waabwe, era baliko obusungu n'ebibonerezo ebikambwe

    [17] Katonda yooyo eyassa ebitabo nga bya mazima n’obwenkanya. yye omanyira kuki oba olyawo olunaku lw’enkomerero luli kumpi

    [18] Abo abatakkiriza basaba luleetebwe mangu, ate abo abakkiriza balwelaliikirira era bamanyi nti mazima ddala lwo (okutuuka kwalwo) ge mazima, abange mazima abo abawakana ku kubaawo kwo lunaku lw’enkomerero ddala bali mu bubuze obwewala

    [19] Katonda alumirwa abaddu be, agabira oyo gwaba ayagadde era yye ye wamanyi nantakubwa ku mukono

    [20] Oyo ayagala ebikungulwa byo bulamu obwoluvanyuma tumwongeza mu bikungulwa bye, nooyo ayagala ebikungulwa byo bulamu bwensi tubimuwaako (ebyo bye twamugerera) naye nga talina ku nkomerero mugabo gwonna

    [21] (Ekibabuza) oba balinayo be bagatta ku Katonda nga ba bateerawo amateeka g’eddiini ago Katonda ga takkiriza, era singa si kigambo ekyokusalawo (okulibaawo ku lunaku lw’enkomerero mangu ddala) wandiramuddwa wakati waabwe. Era mazima abeeyisa obubi balina ebibonerezo ebiruma ennyo

    [22] (Ku lunaku olwo) oliraba abeeyisa obubi nga beraliikirira olwebyo bye bakola, era nga ddala ekyo kigenda kubatuukako ate abo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu balibeera mu bifo byo mu jjana, balifuna ebyo bye baliyagala ewa Mukama omulabirizi waabwe, ekyo kyo, bwe bulungi obusuffu

    [23] Ekyo kyekyo Katonda kyasanyusa nakyo abaddu be abo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu. (Ggwe Nabbi Muhammad) bagambe nti (ekyo kubatuusaako obubaka) si kibasabirako mpeera wabula (kye mbagalamu) kwe kukolagana mu ngeri y’omukwano nga ab’oluganda. Oyo yenna akola obulungi tubumwongezaamu obulungi obulala, mazima Katonda musonyiyi nnyo musiimi nnyo

    [24] Oba (ekibabuza lwakuba) bagamba nti (Muhmmad) yajweteka ku Katonda ebigambo mu bulimba, Katonda bwaba ayagadde asobola okuzibikira omutima gwo (singa okola nga bwe bagamba), era Katonda naggyawo ebitali bituufu nakakasa amazima olwebigambo bye, mazima yye amanyidde ddala ebiri mu bifuba

    [25] Era yye yooyo akkiriza okwenenya kwa baddu be era naasonyiwa ebibi, era amanyi ebyo bye mukola

    [26] Era ayanukula (okusaba kwabo) abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu era nabongera ebirungi bye, bo abakafiiri balina ebibonerezo ebikakali

    [27] Singa Katonda yagaziya riziki ku baddu be balyonoonye mu nsi, wabula assa mu kipimo ekyo kyaba ayagadde mazima ye amanyidde ddala ebyomunda era alaba nnyo ebikwata ku baddu be

    [28] Era ye yooyo atonnyesa enkuba oluvanyuma (lwa bantu) okukutuka n’okusuubira ,era abunyisa okusaasira kwe, era yye, ye mukuumi atenderezebwa ennyo

    [29] Naakamu mu bubonero bwe (obulaga obuyinza bwe) kwe kutondebwa kwe ggulu omusanvu ne nsi. Nebyo ebirimu obulamu ebitambula bye yassa mu byombi. Era yye asobola okubakungaanya wayagalira

    [30] Obuzibu bwonna obubatuukako kiba lwa nsonga yeebyo emikono gya mmwe byegiba gikoze ate nga alekera bingi

    [31] Era mmwe temuli bayinza kulemesa (Katonda) ku nsi ate era nga ogyeko Katonda temulina mukuumi wadde omutaasa

    [32] Era mu bubonero bwe g’emaato agaseyeeya ku nyanja nga galinga ensozi

    [33] Bwaba ayagadde asobola okuyimiriza empewo (amaato) negabeera nga gayimiridde ku ngulu kwayo (ennyanja, nga tegabbira), mazima mwekyo mulimu obubonero (obulaga obuyinza bwa Katonda) eri buli mugumikiriza ennyo omwebaza

    [34] Oba ayinza okugabbiza (nebazikirira) olw'ebibi bye baba bakoze, anti bulujjo alekera bingi

    [35] Era abo abawakanya ebigambo byaffe, bateekwa bamanye nti tebagenda kufuna buddukiro

    [36] Buli kintu kyonna kyemuba muweereddwa bya kwe yagala bya bulamu bwa nsi, so nga ebiri ewa Katonda bye bisinga obulungi era bye byo kusigalawo nga byabo abakkiriza ,era nga Mukama omulabirizi waabwe yekka gwe beesiga

    [37] Era beebo abewala ebibi ebinene ne byo buwemu era bo bweba banyiize basonyiwa

    [38] Era beebo abayanukula Mukama omulabirizi waabwe ne bayimirizaawo e sswala era nga bulijjo ekigambo kyabwe (kisalwawo nga kiyita mu) kuteseganya wakati waabwe era nga bagaba kwebyo bye tubagabirira

    [39] Era beebo bwe baba batuukiddwako obulumbaganyi, bo belwanako

    [40] Era empeera y'ekibi eba kibi ekifaanana nga kyo, kale nno oyo alekera natabagana (ne mu nne) okusasulwa kwe kuli ku Katonda, anti mazima yye (Katonda) tayagala bayisa ba nnaabwe bubi

    [41] Omuntu eyetaasa nga abadde ayisiddwa bubi abo tebabalinaako kkubo (lya kubavunaana)

    [42] Mazima ekkubo (ly’okuvunaana) liri kwabo abayisa obubi abantu ne bonoona mu nsi awatali nsonga, abo balina ebibonerezo ebiruma ennyo

    [43] Naye omuntu agumikiriza nasonyiwa, mazima ddala ekyo kya mu bintu ebikkaatirizibwa (omukkiriza byateekwa okukola)

    [44] (Awatali Katonda) oyo yenna Katonda gwabuza tayinza kuba na mukuumi, oliraba abeeyisa obubi kebaliraba ebibonerezo baligamba nti, abaffe waliwo ekkubo eriddayo (ku nsi)

    [45] Olibalaba nga baleetebwa gye biri (ebibonerezo) nga banyomebwa olwokukkakkanyizibwa (okubatusiddwaako) baliba batunuulira ku mabbali g’aliiso (eriiso nga babba libbe), abo abakkiriza baligamba nti mazima abo abafafaganirwa beebo abafafagana bo bennyini nebafafaganya abantu baabwe ku lunaku lw'enkomerero. Mazima abeeyisa obubi ba kubeera mu bibonerezo ebyolubeerera

    [46] Era tebaalina bakuumi babataasa ku Katonda, oyo yenna Katonda gwabuza tayinza kuba na kkubo (lya kulungama)

    [47] Mwanukule Mukama omulabirizi wa mmwe nga olunaku terunnatuuka lwe wataliba buddukiro kuwona Katonda. Ku lunaku olwo temuliba na buddo, era temuliba na buwakaniro

    [48] Bwebaba bagaanye tetukutumanga kuba kalondoozi ku bo, tovunanyizibwa okugyako okutuusa (obubaka). Era mazima ffe bwetukombesa omuntu ku kusaasira okuva gyetuli ku musanyusa, naye bwe batuukwako obuzibu olwebyo emikono gyabwe byegiba gikoze (ng’olwo bakyusa enjogera) anti bulijjo mazima omuntu tasiima

    [49] Bwa Katonda obufuzi bwe ggulu omusanvu ne nsi, atonda ekyo kyaba ayagadde, agabira oyo gwaba ayagadde abaana ab’obuwala, era nagabira oyo gwaba ayagadde (omulala) abalenzi

    [50] Oba abagattira ab’obuwala n’abobulenzi ate oluusi gwaba ayagadde amufuula mugumba (anti) mazima yye ye mumanyi ennyo omuyinza

    [51] Tekisaanirangako muntu Katonda kwogera naye, okugyako nga amusaako bubaka, oba nayogera naye nga asinziira mabega wa kintu ekyawulawo, oba okutuma omubaka (Malayika), olwo nno kulwokusalawokwe namutumira kyaba ayagadde (anti) mazima yye wa waggulu nnyo mugoba nsonga

    [52] Nabwekityo twakutumira (ggwe Nabbi Muhammad) omwoyo (Kur’ani eyitibwa mwoyo wano olwokuba yeewa emyooyo gy’abantu obulamu) nga ekyo kisinziira ku kiragiro kyaffe. Wali tomanyi nti ekitabo (Kur’ani) kye ki, wadde obukkiriza naye twagifuula ekitangaala nga tulungamya nayo oyo gwetuba twagadde mu baddu baffe, era mazima ggwe ddala olungamya eri ekkubo eggolokofu

    [53] Ekkubo lya Katonda oyo bibye yekka ebiri mu ggulu omusanvu nebyo ebiri mu nsi. Abange eri Katonda ebintu byonna gye bidda

    Eby'omuhendo

    Surah 43

    [1] Ha Miim

    [2] Ndayidde ekitabo ekinnyonnyofu

    [3] Mazima ffe twagissa Kur’ani nga eri mu luwarabu oba olyawo ne mutegeera

    [4] Era mazima yo eri ku nsibuko ye bitabo (Lauhul mahfudh) ddala yo ya waggulu nnyo ejjudde amagezi

    [5] Abaffe tunabajjirako ddala okubuulirira olwokuba muli abantu abasukka ekikemo (abatagoberera mateeka ga Katonda)

    [6] Bameka ba Nabbi betwatuma mu baasooka

    [7] Tewali Nabbi yenna yabajjira okugyako bamujeejanga

    [8] Olwo nno netuzikiriza abamaanyi okusinga abo (abakafiiri be Makkah) era ekyatuuka ku baakulembera kimanyiddwa (abalala bandikitutte nga ekyokuyiga)

    [9] Singa obabuuza nti ani yatonda eggulu omusanvu ne nsi, ddala bajja kugamba nti yabitonda nantakubwa ku mukono omumanyi ennyo

    [10] Oyo eyabateerawo ensi nga nyanjuluze nagibateeramu amakubo mulyoke mulungame (mutuuke gye mulaga)

    [11] Era oyo assa okuva waggulu amazzi nga ga kigero (ekyetaagisa) netuzza bugya nago ekitundu ekifu (olwekyeya) bwemutyo bwe mulifulumizibwa (nga muzuukira)

    [12] Era yooyo eyatonda emitindo ebiri ebiri gyonna era nabateerawo amaato n’ebisolo ebyawaka ebyo bye mwebagala

    [13] Mube nga mutebenkera ku migongo gyazo, oluvanyuma musiime ekyengera kya Mukama omulabirizi wa mmwe wemuzituulirako, era mugambe nti, musukkulumu oyo eyatugondeza kino tetwandibadde bakisobola

    [14] Era mazima ddala ffe tuli ba kudda ewa Mukama omulabirizi waffe

    [15] Naye abatakkiriza bateeka ku Katonda abamu ku baddube (nti nabo ba Katonda), mazima omuntu mwewakanyi omweyolefu

    [16] Oba mwebyo byatonda mweyasalawo okwegyira abawala ate mmwe naasalawo okubawa abalenzi

    [17] So nga omu kubo bwaba aweereddwa amawulire nti afunye omwana agwa mu kiti kyabo be bapaatiika ku Katonda ekyenyi kye kisiiba kifumye era nga naye munyiikaavu

    [18] Abaffe oyo akuzibwa ng’ali mu bya kwenyiriza, era nga yye mu kunnyonnyola taba na nsonga nywevu (gwemuwa Katonda)

    [19] Ba Malayika abo, abaddu ba Katonda omusaasizi ne babafuula abakazi! abaffe baaliwo nga batondwa? Obujulizi bwabwe (bwe bepampalika okuwa) bujja kuwandiikibwa era bagenda kubuuzibwa

    [20] Era bagamba nti singa Katonda omusaasizi ennyo yayagala tetwandibasinzizza ekyo tebakirinaako kumanya kwonna, tebali (mu kukola ekyo) okugyako bateebereza buteebereza

    [21] Abaffe twabawa ekitabo oluberyeberye lwakino (ekikolwa kyabwe) balyoke babe nga kye bekwatako

    [22] Wabula bagamba nti mazima ffe twasanga baganda baffe nga bali ku nkola, era mazima ffe tuli ku buwufu bwabwe kwe tulungamira

    [23] Nabwekityo tetwatuma luberyeberyelwo mu kitundu kyonna mutiisa okugyako nga babinojjo baamu bagamba nti mazima ffe twasanga bakadde baffe nga bali ku nkola, era mazima ffe tuli ku buwufu bwabwe tugoberera

    [24] Omubaka waabwe kwe kugamba nti (kiba bwekityo) newakubadde nga mbaleetedde ekirungamu okusinga ekyo kye mwasangako bakadde ba mmwe ne bagamba nti mazima ffe, tuwakanya ekyo kye mutumiddwa nakyo

    [25] Olwo nno netubabonereza, kale tunuulira enkomerero ya balimbisa yali etya

    [26] Jjukira Ibrahim bwe yagamba kitawe n’abantu be, nti mazima nze neganye ebyo bye musinza

    [27] Okugyako (okusinza) oyo eyantonda anti mazima yye yajja okunnungamya

    [28] (Ibrahim) yakiteekawo nga kigambo ekyokusigalawo oluvanyuma lwe, balyoke babe nga badda (eri okwawula Katonda)

    [29] Wabula nawa abo ne bakadde baabwe okweyagalira mu bulamu bwensi, okutuusiza ddala nga amazima gabajjidde (Kur’ani) n’omubaka annyonnyola (amazima ago)

    [30] Naye nno amazima bwe gaamala okubajjira nebagamba nti lino ddogo, era mazima ffe tuliwakanya

    [31] Era nebagamba nti singa Kur’ani eno essiddwa ku musajja owekitiibwa ngava mu kimu ku bitundu ebibiri

    [32] Abaffe bo be bagabanya okusaasira kwa Katonda, (obwa Nabbi nga bwe baagala) ffe tubagabanyiza ebibabeesaawo mu bulamu bwensi, ne tusukkulumya abamu ku balala mu madaala, abamu balyoke bafuule bannaabwe abaweereza, wabula okusaasira kwa Katonda kwe kusinga obulungi kwebyo byonna bye bakungaanya

    [33] Singa sikuba nti abantu bonna bajja kufuuka ekibiina kimu (eky'obukafiiri), buli eyandibadde awakanya Katonda omusaasizi ennyo twalitadde ku mayumba gaabwe obusolya nga bwa ffeeza ne ku madaala gebalinnyirako (bonoonekere ddala)

    [34] Nga ne ku nyumba zaabwe twanditaddeko emiryango ne ku bitanda bye bawummulirako (nakwo twanditaddeko ffeeza)

    [35] Era (twandibawadde) ebyokwewunda nga bya zzaabu, ebyo byonna tebiri okugyako okuba nga bya kweyagala bya bulamu bwansi, so nga enkomerero ewa Mukama omulabiriziwo, ya batya Katonda

    [36] Nooyo yenna eyesulubabba ebigambo bya Katonda (Kur’ani) tumuteerawo Sitane olwo nno neba nga ye mukwanogwe

    [37] Era mazima bo bannaabwe (ba Sitane) ddala babaziyiza okutuuka ku kkubo (eggolokofu) ate mazima bo ne basuubira nti balungamu

    [38] Okutuusa (omuntu oyo eyesulubabba) lwalijja gyetuli aligamba nti nga ndabye, singa wakati wange naawe waliwo ebbanga eryenkana wakati we buvanjuba ne bugwanjuba, agenda kuba munywanyi mubi

    [39] Mazima mmwe ekyokuba nti mwegattidde mu bibonerezo tekijja kubagasa olwaleero okuva lwe mweyisa obubi mwekka

    [40] Abaffe ggwe (Muhammad) osobola okuwuliza kiggala oba okulaga muzibe ekkubo nooyo ali mu bubuze obweyolefu

    [41] Singa tukugyawo (noofa nga tetunnaba kubonereza bajeemu abo) mazima ffe tuba ba ku babonereza

    [42] Oba tulikulaga ekyo kye twa balaganyisa anti mazima ffe tusobola

    [43] Kale wekwate kwekyo ekikuweebwa (Kur’ani) anti mazima ggwe oli ku kkubo eggolokofu

    [44] Era mazima yo (Kur’ani) kitiibwa gyoli neeri abantu bo era lumu mugenda kubuuzibwa (ku ngeri gye mwagigobereramu)

    [45] Buuza abo betwatuma oluberyeberye lwo mu babaka baffe nti, abaffe twaleka Katonda omusaasizi ennyo netuteekawo bu katonda obulala obusinzibwa

    [46] Mazima twatuma Musa n’obubonero bwaffe nti genda eri Falawo na bakungu be, olwo nno nabagamba nti mazima nze ndi mubaka w'omulabirizi w’ebitonde

    [47] Wabula bwe yabajjira n’obubonero bwaffe wagenda okulaba nga babusekerera

    [48] Tetwabalaga kabonero konna okugyako nga kko kaba kanene okusinga kannaako (wabula era tebakkiriza) netubatusaako ebibonerezo oba olyawo ne bekyusa (okuva ku kye babaddeko)

    [49] (Bwe balaba ebibonerezo) olwo nno ne bagamba nti owange ggwe omulogo tusabire Mukama omulabirizi wo ng’okozesa ebyo bye yakuwa (ebisabisibwa) mazima ffe ddala tujja kulungama

    [50] Bwe twabagyako ebibonerezo amangu ago bo ne bamenya endagaano

    [51] Era Firawo nalangirira mu bantu be naagamba nti abange bantu bange obufuzi bwa Misiri si bwange, nga nagino emigga gikulukutira wansi wange abaffe temulaba

    [52] Wabula nze nsinga ono (Musa) oyo yye anyomwa, era nga kumpi tasobola na kunnyonnyola (nsonga) yonna

    [53] Singa yanaanikibwa ebikomo ebya zaabu oba ba Malayika nebajja naye nga ba muwerekera (olwo nno) twanditegedde nti mubaka wa Katonda

    [54] (Firawo) bwatyo bwe yazannyira ku bwongo bwa bantu be, olwo nno ne bamugondera era mazima bo nebaba abantu abonoonyi

    [55] Bwe bamala okutunyiiza twababonereza ne tubazikiriza n’amazzi bonna

    [56] Ne tubafuula abedda abogerwako era ne tubafuula eky'okulabirako eri ab'oluvanyuma

    [57] Mutabani wa Mariam (Issa) bwe yakubirwako ekifaananyi, ogenda okulaba nga abantu bo kibawogganya (olwessanyu)

    [58] Nebagamba nti abaffe ba katonda baffe bebasinga oba yye, tebakukubira kifaananyi ekyo okugyako lwa kuwalaaza mpaka, nedda (si ekyo kyokka kye bawakanya) bulijjo bo bantu bawakanyi

    [59] (Isa) tali yye okugyako okuba nti muddu waffe nga abalala, twamugabira ekyengera (kyo bwa Nabbi) era netumufuula ekyokulabirako eri abaaana ba Israil

    [60] Singa twayagala abamu mu mmwe twandibafudde ba Malayika nga basikiragana mu nsi

    [61] Era mazima yye (Isa) kabonero akaliranga okusembera kw'olunaku lw'enkomerero, n'olwekyo temukibuusabusaamu naakamu era mungoberere, lino lye kkubo eggolokofu

    [62] Era Sitane tabasuuliranga emisanvu (mu kkubo) anti mazima yye ku mmwe mulabe owolwatu

    [63] (Nabbi) Isa bweyajja nobunnyonnyofu yagamba nti mazima mbajjidde nebigambo ebyamagezi era mbannyonnyole ebimu kwebyo bye muwakanamu kale mutye Katonda era mungondere

    [64] Mazima Katonda ye Mukama omulabirizi wange era Mukama omulabirizi wa mmwe, kale mumusinze lino lye kkubo eggolokofu

    [65] Wabula ebibiina byayawukana nga biva mu bo bennyini (ku nsonga ya Isa) kale okubonabona okwe bibonyobonyo by'olunaku oluzito kugenda kubeera kwabo abeeyisa obubi

    [66] Abaffe (balina kye) balindirira okugyako ekiseera eky'enkomerero okuba nga kibajjira ekibwatukira nga nabo tebamanyi

    [67] Abomukwano ku lunaku olwo, abamu baliba balabe ba bannabwe okugyako abatya Katonda

    [68] (Era Katonda alilangirira nti) abange baddu bange temuggya kubaako kutya olwaleero era mmwe temuli ba kunakuwala

    [69] Abo abakkiriza ebigambo byaffe era nebaba abewaayo gyetuli (abasiramu)

    [70] Muyingire e jjana ne bakkiriza bannammwe nga mwegazaanya

    [71] Essowani eza zzaabu n’a magiraasi biryetolozebwa mu bo, era (e jjana) eribaamu buli kintu emyoyo gye kyagala, era ekiwoomera amaaso, era nga mmwe muli ba kutuula bugenderevu mu yo

    [72] Era eyo e jjana, eyo gye mugisikiziddwa olwebyo bye mwakola (ku nsi)

    [73] Mulina mu yo ebibala bingi nga ku byo kwemulya

    [74] Mazima abonoonyi ba kutuula bugenderevu mu bibonerezo byo muliro Jahannama

    [75] Tegugenda kukendezebwa ku bo, era nga bo tebalina na ssuubi lyonna lya kuguvaamu

    [76] Tetwabayisa bubi naye bo be baali beeyisa obubi

    [77] (Abaliba mu muliro) balikowoola nti owange Maliki (Malayika akuuma omuliro tusaba nti) Mukama omulabirizi wo atumalirewo ddala (tufe), alibagamba nti mazima mmwe muli ba kugubeeramu (awatali kufa oba okuguvaamu)

    [78] Mazima twabaleetera amazima naye abasinga obungi mu mmwe batamwanga amazima

    [79] Bwebaba nga baasalawo ekigambo (ekyokusalira (Muhammad enkwe) naffe twasalawo (okuba nti tezigenda kuyitamu)

    [80] Oba balowooza nti mazima ffe tetuwulira ebyo bye balowooza mu mitima gyabwe oba bye bakubaganyaako ebirowoozo, nedda (tetukoma ku kubimanya bumanya, wabula webabikolera) nabatumwa baffe baba mu maaso gaabwe nga bawandiika

    [81] Gamba nti singa Katonda omusaasizi ennyo aba alina omwana olwo nno nze mbeera musaale mu bamusinza

    [82] Mukama omulabirizi weggulu omusanvu ne nsi (era) omulabirizi wa Arish musukkulumu nnyo kwebyo bye bamujwetekako

    [83] Kale baleke balimbe era bazannye okutuusa lwe balisisinkanyizibwa olunaku lwabwe lwe balaganyisibwa

    [84] Anti yye (Katonda) ye Katonda mu ggulu, era ne mu nsi ye Katonda. Era yye ye mugoba nsonga omumanyi ennyo

    [85] Era yatukula oyo, byonna bibye ebiri mu ggulu omusanvu ne nsi, n'ebyo ebiri wakati wa byombi, era ye yekka yalina okumanya ebikwata ku lunaku lw'enkomerero (ddi lwelituuka) era gyali gye mulizzibwa

    [86] Abo bebasinza nebava ku ye tebalisobola kuwolereza, be ppo oyo aliwa obujulizi mu mazima (yaliyogera) ate era bo nebaba nga baliba bamanyi amazima

    [87] Singa obabuuza nti ani yabatonda? ddala bajja kugamba nti Katonda, kale ate bawugulwa batya

    [88] (Katonda amanyi) ekigambo kye (Muhammad kyayogera olutata nga awanjagira Katonda nti) ayi Mukama omulabirizi wange mazima abo (benkowoola) bantu abatakkiriza

    [89] Kale nno baleke era ogambe nti mirembe kya ddaaki balianya

    Omukka

    Surah 44

    [1] Ha Miim

    [2] Ndayidde ekitabo (Kur’ani) ekinnyonnyofu

    [3] Mazima ffe twakissa mu kiro ekyomukisa (anti) mazima ffe twali tulina okutiisa (abantu)

    [4] Mu kyo (ekiro) mwekigerekerwa buli kigambo ekiba kisaliddwawo

    [5] Nga kwo kusalawo okuva gye tuli (anti) mazima ffe twali tuteekwa okutuma ababaka

    [6] (Ekyokutuma ababaka) kusaasira okuva ewa Mukama omulabirizi wo (anti) mazima yye yawulira ennyo amanyi ennyo

    [7] (Yye Katonda) ye Mukama omulabirizi we ggulu omusanvu ne nsi nebyo ebiri wakati wa byombi, bwe muba muli bakkiriza abannamaddala

    [8] Tewali kirina kusinzibwa okugyako yye, awa obulamu era yabujjawo. Mukama omulabirizi wa mmwe era omulabirizi wa bakadde ba mmwe abasooka

    [9] Wabula bo (abatakkiriza) bali mu kubuusabuusa, bazannya

    [10] Kale lindirira olunaku eggulu lweririreeta omukka omweyolefu (ogulabwa buli omu)

    [11] Gugenda kubikka abantu ekyo kiriba kibonerezo ekiruma ennyo

    [12] (Baligamba nti) ayi Mukama omulabirizi waffe tugyeko ekibonerezo, mazima ffe tukkirizza

    [13] Naye wwa gye baliggya okujjukira (batuuke okwebuulirira) ate nga mazima omubaka annyonnyola obulungi yabajjira

    [14] Oluvannnyuma ate ne bamuvaako, era nebagamba nti (Muhmmad) ayigirizibwa buyigirizibwa era mulalu

    [15] Mazima ffe tujja kuggyawo ekibonerezo katono (wabula) mazima mmwe mujja kuddayo (mu butakkiriza bwa mmwe)

    [16] (Wabula bajjukize) olunaku lwe tulikwata olukwata olwamaanyi (anti) mazima ffe tuli ba kubonereza

    [17] Era mazima twageseza oluberyeberye lwabwe abantu ba Firawo, era nga yabajjira omubaka owekitiibwa

    [18] (Naagamba nti) munzirize abaddu ba Katonda (anti) mazima nze ndi mubaka omwesigwa

    [19] Era (ekyokubiri) mu be nga temwekuluntaza ku Katonda, mazima nze mbaleetedde obujulizi obwolwatu

    [20] Era mazima nze nsaba obukuumi ewa Mukama omulabirizi wange era Mukama omulabirizi wa mmwe muleme kunkuba mayinja

    [21] Bwe munaaba temukkiriza byengamba kale mundeke (temuntusaako kabi)

    [22] (Wabula bamukijjanya) olwo nno nakowoola Mukama omulabirizi we nti mazima abo bantu bonoonyi

    [23] (Katonda naamulagira nti) tambula ekiro na baddu bange anti mazima mmwe mujja kuwonderwa

    [24] (Bwomala okusomoka ggwe ne booli nabo) ennyanja gireke ng’erimu ekkubo (anti) mazima bbo, ggye lyakuzikirizibwa

    [25] Amalimiro ne nsulo z’amazzi bimeka bye baaleka

    [26] N’ebimera, n’ebifo ebye bitiibwa

    [27] Nebyengera ebirala bingi bye baali beyagaliramu

    [28] Bwekityo (bwekyali nebaggwawo) netubisikiza abantu abalala

    [29] Eggulu ne nsi tebyabakaabira era tebaali ba kulindirizibwa (nti baweebwe akaseera beenenye)

    [30] Era ddala twawonya abaana ba Israil ebibonyoobonyo ebinyoomesa

    [31] (Bwe twabawonya) Firawo anti mazima yye yali mwekuza era nga wa mu bonoonyi ennyo

    [32] Okusinziira ku kumanya (kwaffe) twabasukkulumya (abaana ba Israil) ku bitonde ebirala

    [33] Era netubawa ebya magero ebyo ebyalimu okugesezebwa okwolwatu

    [34] Mazima abo (abakafiiri bo mu Makkah) ddala bagamba nti

    [35] Tewali kiriwo okugyako okufa kwaffe okusooka, era tetuli ba kuzuukizibwa

    [36] (Okuzuukira bwekuba nga gye kuli) kale muleete bakadde baffe bwe muba nga mwogera mazima

    [37] Abaffe bo be basinga obulungi oba abantu ba Tubbai (bantu be Saba-a abafuzi be Yamani) n'abo abaaliwo oluberyeberye lwabwe (bonna) twabazikiriza (anti) mazima bo baali bonoonyi

    [38] Tetwatonda eggulu omusanvu ne nsi nebyo ebiri wakati wa byombi nga tuzannya

    [39] Era tetwabitonda byombi wabula ku lwa nsonga, naye ddala abasinga obungi ku bo tebamanyi

    [40] Mazima olunaku lwokusalawo bonna kye kiseera kyabwe ekya balaganyisibwa

    [41] Olunaku owomukwano lwa taligasa wa mukwano kintu kyonna, era bo tebagenda kudduukirirwa

    [42] Okugyako oyo Katonda gwalisaasira anti mazima yye (Katonda) ye nantakubwa ku mukono omusaasizi ennyo

    [43] Mazima omuti (oguyitibwa) Zakkuumi

    [44] Ye mmere ya bonoonyi

    [45] (Obubi bwagwo ng’omuntu agulidde) guli nga ekyuma ekisaanuuse, gulyeserera mu mbuto (z’abaligulya)

    [46] Nga okwesera kwa mazzi agakyamuse

    [47] (Olwo nno Katonda aliragira ba Malayika nti) mumukwate (omwonoonyi) olwo nno mu muwalule mu mukasuke mu makkati g’omuliro Jahiimu

    [48] Oluvanyuma mufukirire waggulu ku mutwegwe ekibonerezo eky’amazzi ageeseze (agogeddwako)

    [49] (Bali mugamba) loza (ku kibonerezo anti) mazima ddala gwe gwe wamanyi owekitiibwa (nga bamukudaalira)

    [50] Mazima kino kyekyo kye mwali mutankana

    [51] Mazima abatya (Katonda) baliba mu kifo ekyeddembe

    [52] Baliba mu malimiro n’amazzi ag'ensulo

    [53] Baliyambala engoye ezaliiri omuwewufu n’omuzito, nga batudde batunuuliganye

    [54] Bwekityo (bwe kiriba) era tuli bafumbiza ababeezi ab’amaaso amanene

    [55] Balisaba nga bali mu yo buli kibala nga bali mirembe

    [56] Nga bali mu yo tebalikomba ku kufa nga ogyeko okufa okwasooka, era ali bawonya ebibonerezo ebyomuliro Jahiimu

    [57] (Byonna) nga bigabwa ebiva ewa Mukama omulabirizi wo, okwo kwe kwesiima okusuffu

    [58] Era ddala twagyanguya (Kur’ani) ku lulimi lwo babe nga bebuulira (nayo)

    [59] Kale lindirira mazima ddala bo balindiridde

    Okufukamira

    Surah 45

    [1] Ha Mim

    [2] Okussa kwe kitabo (Kur’ani) kyava wa Katonda nantakubwa ku mukono mugoba nsonga

    [3] Mazima mu (ggulu omusanvu n'ensi mulimu obubonero obwenkukunala (obulaga obuyinza bwa Katonda) eri abakkiriza

    [4] Era ne mu kutondebwa kwa mmwe, neebyo byasasaanya mu bitambulira (ku nsi) bubonero eri abantu abakakasa (okubeerawo kwa Katonda n’obuyinza bwe)

    [5] N’okwawukana kw'ekiro n’emisana nebyo Katonda byassa okuva waggulu (enkuba) mu bigabwabye naalamusa nabyo ensi olubvannyuma lw'okufa kwayo, n'okutambuza empewo bubonero eri abantu abategeera

    [6] Ebigambo bya Katonda ebyo (ebiraga obubonero bwe) tubikusomera mu butuufu, olwo bigambo ki oluvanyuma lwo kuwakanya Katonda n’ebigambo bye bye balikkiriza

    [7] Okubonabona kuli ku buli omuyitirivu w’okulimba omwonoonyi

    [8] Awulira ebigambo bya Katonda nga bimusomerwa oluvanyuma naakalambira nga yeekuluntaza ng'alinga atabiwulidde, kale musanyuse nga (omuwa amawulire) g’ebibonerezo ebiruma ennyo

    [9] Bwamanya ekintu kyonna mu bigambo byaffe akifuula kya kujeeja, abo balina ebibonerezo ebinyoomesa

    [10] Mumaaso gaabwe omuliro Jahannama gubalinze era bye bakola tebigenda kubagasa kintu kyonna wadde ab’emikwano bebeteerawo nebava ku Katonda era balina ebibonerezo ebisuffu

    [11] (Kur’ani) eno, kyakulungamya. era abo abawakanya ebigambo bya Mukama omulabirizi waabwe balina ebibonerezo ebimu kwebyo ebikambwe ebiruma ennyo

    [12] Katonda yooyo eyabagondeza ennyanja, amaato gabe nga gatambulira ku yo olwekiragiro kye, era mube nga musobola okunoonya mu bigabwa bye, era musobole okwebaza

    [13] Era yabagondeza ebyo ebiri mu ggulu omusanvu nebyo ebiri mu nsi, nga byonna biva gyali. Mazima mwekyo mulimu obubonero (obulaga okubaayo kwa Katonda n’obuyinza bwe) eri abantu abafumitiriza

    [14] Gamba abo abakkiriza basonyiwe abo abatasuubira (kusisinkana) naku za Katonda, alyoke asasule abantu olwebyo bye bakola

    [15] Oyo akola emirimu emirungi akolera mwoyo gwe, ate oyo ayonoona (akabi k'okwonoona kwe) kadda eri mwoyo gwe, oluvanyuma eri Mukama omulabiririz wa mmwe gye mulizzibwa

    [16] Mazima twawa abaana ba Israil ekitabo n’okulamula wakati wa bantu n’obwa Nabbi netubagabirira ebirungi era netubasukkulumya ku bantu abalala (abaaliwo ku mulembe gwabwe)

    [17] Era twabawa obunnyonnyofu bwe kigambo (ekikwata ku kutumwa kwa Nabbi Muhammad) olwo nno tebayawukana okugyako luvannyuma lwa kumanya kubajjira (nga ekyo baakikola) olwo bukyayi obwali wakati waabwe, mazima Mukama omulabirizi wo agenda kulamula wakati waabwe ku lunaku lw’enkomerero mwebyo bye bayawukanangamu

    [18] Oluvanyuma twakussa (ggwe Muhammad) ku nkola ennambulukufu ku kigambo kye (ddiini) kale gigoberere, era togoberera okwagala kwabo abatamanyi

    [19] Anti mazima bo tebayinza kukuyamba kintu kyonna kukutaasa Katonda, era mazima abeeyisa obubi abamu mu bo banywanyi ba bannaabwe, naye Katonda ye munywanyi w'abamutya

    [20] Eno (Kur’ani) mumuli eri abantu, era bulungamu na kusaasira eri abantu abatya Katonda abannamaddala

    [21] Abaffe oba abo abeewerebye ebibi basuubira nti tuyinza okubafuula nga abo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu nga obulamu bwabwe n’okufa kwabwe bifaanana (nedda) okulamula kwabwe kubi

    [22] Era Katonda yakola eggulu ne nsi mu butuufu era buli mwoyo gulyoke gube nga gusasulwa olwebyo, bye gwakola era bo si bakulyazamanyizibwa

    [23] Abaffe olabye oyo okwagalakwe nga kwafuula Katonda we, Katonda naamubuza awamu n’okuba nti (omuntu oyo) amanyi ekituufu era naazibikira amatuuge n'omutimagwe, era nassa ku maasoge ekibikka, olwo nno ate ani ayinza okumulungamya oluvanyuma lwa Katonda (okumutusa awo), abaffe temwebulirira

    [24] Era (abakafiiri) bagamba nti (obulamu) tebuli okugyako obulamu bwaffe obw'okunsi, tufa era netuba balamu, tewali kituggya mu bulamu okugyako myaka (gya muntu) kuggwako, naye nga tebalina kumanya kwonna ku kikwatako, tebali bo okugyako bateebereza buteebereza

    [25] Ebigambo byaffe bwe bibasomerwa mu bunnyonnyofu (bwabyo), ekyekwaso kyabwe tekiba okugyako bagamba (bweba nga eriyo okuzuukira kale) mukomyewo bakadde baffe (abaafa) mwemuba mwogera mazima

    [26] Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad) nti Katonda y'abawa obulamu oluvanyuma nabatta ate oluvanyuma agenda kubakungaanya nga batwala eri olunaku lw’enkomerero teruliimu kubuusabuusa naye abantu abasinga obungi tebamanyi

    [27] Bwa Katonda yekka obufuzi bwe ggulu omusanvu ne nsi, era era bubwe olunaku lw’enkomerero lwelituuka, olunaku olwo abonoonyi balifafaganirwa

    [28] (Kwolwo) oliraba buli kibiina nga kifukamidde (olwokutya). Buli kibiina kiriyitibwa okugenda awali ekitabo kyakyo (ekyo ekirimu emirimu gyabwe era baligambibwa nti) olwaleero muli ba kusasulwa ebyo bye mwali mukola

    [29] (Era baligambibwa nti) ekitabo kyaffe kino kiboogerako mu mazima (anti) mazima ffe twawandikanga buli kye mwakolanga

    [30] Olwo nno abaakola emirimu emirongoofu Mukama omulabirizi waabwe ali bayingiza mu kusaasira kwe (era) ekyo kwe kwesiima okweyolefu

    [31] Ate abo abakafuwala (Katonda alibagamba nti) abaffe ebigambo byange tebyabasomerwa ne mwekuluntaza ne mubeera abantu abonoonyi

    [32] Era bwe mwagambwanga nti ddala endagaano ya Katonda ya mazima era nti ekiseera ekyenkomerero tekiriimu kubuusabuusa, mwagamba nti ekiseera ekyenkomerero tetumanyi kye ki. (Ebikikwatako) tuwammanta biwammante, era ffe tetukirinaako bukakafu

    [33] Era (awo) obubi bwebyo bye bakola buli beeyoleka era biribebungulula ebibonerezo byebyo bye baali bajeeja

    [34] Era baligambibwa nti olwaleero tubeerabidde nga bwe mwerabira okusisinkana olunaku lwa mmwe luno, era omuliro bwe butuulo bwa mmwe era temugenda kufuna badduukirize

    [35] Ekyo nno mmwe (ekibatuusaako) lwakuba nti mazima mmwe ebigambo bya Katonda mwabifuula bya kujeeja era obulamu bwe nsi ne bubagayaaza, n’olwekyo olwaleero si bakugujjibwamu (omuliro) era tebagenda kugambibwa kwetonda

    [36] Ebitendo byonna bya Katonda Mukama omulabirizi we ggulu omusanvu, era Mukama omulabirizi we nsi, Mukama omulabirizi w’ebitonde byonna

    [37] Ebitiibwa byonna mu ggulu omusanvu ne nsi bibye yekka, era yye, ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga

    Enkumu z'omusenyu

    Surah 46

    [1] Ha Miim

    [2] Okussa kwe kitabo (Kur’ani) kwava wa Katonda nantakubwa ku mukono mugoba nsonga

    [3] Tetwatonda eggulu omusanvu ne nsi nebyo ebiri wakati wa byombi wabula mu butuufu (nga bwe kisaana okuba nga ddala Katonda yaabikoze), era nga byakubeerawo okumala ekiseera ekigere, wabula bo abakaafuwala besamba ebyo bye batiisibwa (bye babulirirwa) nabyo

    [4] Bagambe nti mulaba ebyo bye musaba nemuleka Katonda, kale mundage biki bye baatonda ku nsi oba balina omugabo (gw'okutonda) ebyo ebiri mu ggulu omusanvu (bwe kiba bwe kityo) kale mundeetere ekitabo ekyaliwo oluberyeberye lwa kino (Kur’ani), oba ebisigala bya yirimu yonna bwe muba nga mwogera mazima

    [5] Ani mubuze okusinga oyo alekawo Katonda naasaba oyo atasobola kumwanukula okutuusa ku lunaku lw’enkomerero! nga nabo (be basaba) tebalina kye bamanyi ku kusaba kwabwe

    [6] Ng’ate abantu bwe balikunganyizibwa (be baasaba nga) bagenda kuba balabe baabwe era bagenda kwewakana okuba nti ba basinzanga

    [7] Ebigambo byaffe bwe bibasomerwa nga binnyonnyofu, abo abawakanya amazima bwe gabajjira bagamba nti lino ddogo lyeyolefu

    [8] Oba bagamba nti Nabbi Muhammad ye yajigunjaawo (Kur’ani)! bagambe nti bwemba najigunjaawo temulina kintu kye muyinza kumponya ku Katonda, yye yaasinga okumanya bye muwolompokamu. Ye amala okuba nga mujulizi wakati wange nammwe era yye ye musonyiyi omusaasizi ennyo

    [9] Bagambe nti si nze nsoose mu babaka era simanyi kinankolebwa wadde kye munakolebwa, sirina kyengoberera okugyako obubaka obumpebwa era siri nze okugyako omutiisa ow'olwatu

    [10] Bagambe nti abaffe mulaba nti singa (Kur’ani) eva wa Katonda ate mmwe nemugiwakanya, naye nga omujulizi mu baana ba Israil yajulira ku kiringa yo (nti kiva wa Katonda) olwo nno yye) nakkiriza ate mmwe ne mwekuluntaza (olwo mu mbeera eyo kiba kitya), mazima bulijjo Katonda talungamya bantu beeyisa bubi

    [11] Abo abaakafuwala nebagamba abo abakkiriza nti (Muhammad byagamba) singa bibadde birungi (abo) tebanditusoose kugenda gyebiri, naye olwokuba tebalungama nayo, bajja kugamba nti Kur’ani kugunja okwedda

    [12] Nga noluberyeberye lwayo (waliyo) ekitabo kya Musa nga kyagobererwa nga kya kusaasira n'ekitabo kino (Kur’ani kyajja nga) kikakasa (ebyakulembera) nga kiri mu lulimi luwarabu, kibe nga kirabula abo abeeyisa obubi era nga kya kusanyusa eri abalongoosa

    [13] Mazima abo abagamba nti Mukama omulabirizi waffe ye Katonda, oluvanyuma ne babeera beesimbu (mu ddiini) tebagenda kutuukwako kutya era tebagenda kunakuwala

    [14] Abo be ba nannyini jjana, ba kugituulamu obugenderevu nga yempeera olwebyo bye baali bakola

    [15] Omuntu twamulagira okuyisa obulungi bakaddebe, nnyina yamwetikka (yali lubuto lwe) mu buzibu era namuzaala mu buzibu, nga olubuto lwe (n'okumuyonsa) n'okumujja ku mabeere emyezi makumi asatu, okutuusa lwatuuka okukakata kwe naaweza emyaka amakumi ana (omuntu mulamu) agamba nti ayi Mukama omulabirizi wange nsobozesa okwebaza ebyengera byo ebyo bye wangabira ,ne bye wagabira bakadde bange bombi era mbe nga nkola emirimu emirongoofu gyosiima, era nongooseza ezzadde lyange mazima nze nenenyezza nenzira gyoli era mazima nze ndi wa mu basiraamu

    [16] Abo beebo betukkiriza okuva gye bali ebirungi ebyo bye baakola era netusonyiwa ebisobyo byabwe (era ba mu bantu) ba mu jjana (era eyo) ye ndagaano eyamazima gye baali baalaganyisibwa

    [17] Nooyo yenna agamba bakadde be nti mutwale eri, muntiisatiisa nti nja kuzuukizibwa, so ng’ate emirembe mingi egiyiseewo oluberyeberye lwange (ani yali azuukidde), nga bakadde bombi basaba Katonda abayambe, era nga bamugamba (omwana) nti obula! (kyolina okukola) kkiriza, mazima endagaano ya Katonda ya mazima. Olwo nno yye (omwana) agamba nti ebyo tebiri okugyako okuba enfumo za baakulembera

    [18] Abo beebo abaakakatwako ekigambo (ekyokubonerezebwa) mu bibiina ebyayita oluberyeberye lwabwe nga baava mu majinni ne mu bantu mazima bo be bafafaganirwa

    [19] Era buli omu alina amadaala okusinziira kwebyo bye bakola era ddala (Katonda) agenda kubawa empeera etuukana n'emirimu gyabwe era bo ssi ba kuyisibwa bubi

    [20] Era (mulowooze) ku lunaku abo abaakafuwala lwe balyanjulwa eri omuliro (baligambwa nti) ebirungi bya mmwe mwabimalira mu bulamu bwa mmwe obwensi, ne mweyagala nabyo, kale nno olwaleero mugenda kusasulwa ebibonerezo ebinyoomesa olwengeri gye mwali mwekuluntazaamu mu nsi awatali nsonga ne ku lwebyo bye mwali mwonoona

    [21] Era bajjukize (ggwe Nabbi Muhammad) muganda wa A’di (Hudu) bwe yalabula abantu be abaali mu bifo ebijjuddemu entuunu z'omusenyu (gyoli nti nsozi) era nga okulabula kungi okwayita oluberyeberye lwe n'oluvanyuma lwe, (nga ababaka bonna baali bagamba nti) temusinzanga okugyako Katonda (era) mazima nze ntya okuba nga mutuukwako ebibonerezo by'olunaku oluzito

    [22] Nebagamba nti abaffe otujjidde otuwugule ku ba Katonda baffe! (bwekiba bwe kityo), kale tutuuseeko kyotulagaanyisa bwoba nga oli mu boogera amazima

    [23] Naabagamba nti mazima okumanya (ddi? lwe kiribatuukako) kuli eri Katonda era (nze) mbatusaako ebyo bye natumwa nabyo, naye mazima nze mbalaba nga muli bantu abatamanyi

    [24] Naye bwe baakiraba nga (kire) ekyetimbye (ku ggulu), nga kyolekedde ensenyi zaabwe, baagamba nti ekyo ekire ekyetimbye kigenda kutuwa nkuba, wabula nedda kyo kyekyo kye mubadde musaba kibatuukeko mangu (kyo) mpewo (kikungunta) erimu e bibonerezo e biruma ennyo

    [25] Ejja kuzikiriza buli kintu kyonna okusinziira ku kiragiro kya Mukama omulabirizi waayo, olwo nno nebatuuka okuba nga tewali kirabwa okugyako amayumba gaabwe, bwetutyo bwe tusasula abantu abonoonyi

    [26] Mazima twabawa obusobozi (abantu ba Huudu) kwebyo bye tutaabawa mmwe (abe Makkah) busobozi ku byo, era nga twabawa amatu n'amaaso n'emitima kyokka amatu gaabwe tegaabagasa kintu kyonna wadde amaaso gaabwe wadde emitima gyabwe okuva lwe baali nga bawakanya ebigambo bya Katonda era nebibamalawo ebyo bye bajeejanga

    [27] Era mazima twazikiriza ebitundu ebyo ebibeetolodde, era netunyonyola ebigambo oba olyawo nebadda (nebaleka okukaafuwala)

    [28] Kale singa baabataasa abo abaaleka Katonda ne beteerawo ebisinzibwa ebirala ebibasembeza ewa Katonda (ssi bwegwali) wabula baabula era (endowooza yaabwe) eyo kwali kutemerera kwa bwe era nga byali ebyo bye bagunjaawo

    [29] Jjukira (gwe Nabbi) bwe twakuleetera ekibinja kya majinni negaba nga gawuliriza Kur’ani, bwe gaatuuka weyali esomerwa ne gagamba nti muwulirize, bwe yamala okusomwa ne gakyusa okudda eri gannaago nga gagalabula (akabi akali mu kujeemera Katonda)

    [30] Negagamba nti abange bannaffe, mazima ffe tuwulidde ekitabo ekyassibwa oluvanyuma lwa Musa nga kikakasa ebyo ebya kikulembera (nga ddala) kirungamya eri amazima n'eri ekkubo eggolokofu

    [31] Abange bannaffe mwanukule omukowooze wa Katonda, era mumukkirize (Katonda), agya kubasonyiwa ebyonoono bya mmwe era abawonye ebibonerezo ebiruma ennyo

    [32] Oyo yenna atayanukula mukowooze wa Katonda siwakulemesa Katonda ku nsi, era talina nga oggyeko Katonda bakuumi (basobola kumuwonya) abo, bali mu bubuze obweyolefu

    [33] Abaffe mazima Katonda, oyo eyatonda eggulu omusanvu ne nsi, era nga teyakoowa olwokubitonda tebalaba nti asoboleraddala okulamusa abafu! Wewaawo (asobolera ddala, anti) mazima yye muyinza ku buli kintu

    [34] Ate olunaku abo abakaafuwala lwe balireetebwa eri omuliro (baligambwa nti) abaffe kino ssi kya mazima!, baligamba nti wewaawo tulayidde Mukama omulabirizi waffe, (Katonda) aligamba nti kale mukombe ku bibonerezo olwebyo bye mwali muwakanya

    [35] N’olwekyo (gwe omubaka) gumikiriza nga ababaka abavumu bwe bagumukiriza era tobasabira bibonerezo ku batuukako mangu, naye olunaku lwe baliraba bye balaganyisibwa baliba nga abatawangaala okugyako akaseera katono mu budde obwemisana, (ebyo byonna ebibabuuliddwa) bubaka obutuusiddwa gye muli ate olwo balizikirizibwa okugyako abantu abonoonyi

    Muhammad

    Surah 47

    [1] Abo abaakafuwala nebaggya abantu ku kkubo lya Katonda (Katonda) yayonoona emirimu gyabwe

    [2] Ate abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu era nebakkiriza ebyo ebyassibwa ku Muhammad, era nga g’emazima agava ewa Mukama omulabirizi waabwe (abo Katonda) yabasangulako ebisobyo byabwe era naalongoosa embeera yaabwe

    [3] Ekyo kiri bwekityo lwakuba nti mazima bo abaakafuwala baagoberera ebitali bituufu, ate nga abo abakkiriza baagoberera amazima agava eri Mukama omulabirizi waabwe, bulijjo Katonda bwatyo akubira abantu ebifaananyi byabwe (bagerageranye)

    [4] Olwo bwe muba nga musisinkanye abo abaakafuwala (mu lutalo) muteme ensingo, okutuusiza ddala nga mubanafuyizza, munyweze empingu (zemusiba nazo abawambe) olwo nno kiri gyemuli okubata oluvanyuma (lwo kubawamba) oba okubakkiriza okwenunula, (ekyo mukikole bwemutyo) okutuusa olutalo lweruggwa. Ekyo bwekityo bwekiri, naye singa Katonda yayagala yandibewangulidde, wabula (ekimugaana okukola ekyo) lwakwagala kugezesa bamu mu mmwe ng'akozesa abalala. Era abo abattibwa nga bali mu kulwana mu kkubo lya Katonda, (Katonda) tagenda kwonoona mirimu gyabwe

    [5] Ajja kubalungamya era alongoose nembeera yaabwe

    [6] Era abayingize e jjana gyeyabategeeza edda

    [7] Abange mmwe abakkiriza singa mutaasa Katonda, ajja kubataasa, era anyweze ebigere byammwe (abagumye)

    [8] N'abo abaakafuwala okuzikirira kube ku bo, era Katonda yayonoona emirimu gyabwe

    [9] Ekyo lwakuba nti mazima bo bakyawa ebyo Katonda byeyassa, olwo nno nayonoona emirimu gyabwe

    [10] Abaffe tebatambula mu nsi, olwo nno ne balaba nga bweyali enkomerero yaabo abaaliwo oluberyeberye lwabwe, (anti) Katonda yabazikiriza. Era abo abaakafuwala ba kutuukwako ekiringa ekyo

    [11] Ekyo nno lwakuba nti mazima Katonda ye mukuumi wa bakkiriza era nga ddala abakafiiri tebalina mukuumi

    [12] Mazima Katonda ajja kuyingiza abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu e jjana. Ezikulukutira wansi waazo emigga, ate abo abaakafuwala beeyagala era ne balya ng'ensolo bwezirya, era omuliro bwe buddo bwabwe

    [13] Era ebitundu bimeka nga byo byali byamaanyi okusinga ekitundu kyo (Makkah)? ekyo ekyakugoba, abantu be bitundu ebyo twabazikiriza newataba abadduukirira

    [14] Abaffe oyo aba ali ku bunnyonnyofu obuva ewa Mukama omulabirizi we ayinza okuba ngooyo emirimu gye emibi egyamulabisibwa okuba nti mirungi!, era (abantu abo) nebagoberera okwagala kwabwe

    [15] (Abaffe) e jjana eyo abatya Katonda gye balaganyisibwa (egenda kuba nga) erimu emigga egy'amazzi agatayonooneka nemigga gya mata agatakyuse mpoma yaago, n’emigga egy'omubisi oguliwoomera abanywi n'emigga gya asaali omusengejje, nga bali mu yo balifuna ebibala byonna, era balifuna mu yo ekisonyiwo okuva ewa Mukama omulabirizi waabwe, oyinza okugigerageranya ku oyo owokutuula mu muliro obugenderevu nga era balinywesebwa olwegye lwa mazzi, olwo nno negakutulakutula ebyenda byabwe

    [16] Era mu bo mulimu abakuwuliriza (era nebalaga nti bagonvu) okutuusa bwe bafuluma okuva wooli, bagamba abo abaweebwa okumanya nti, abadde agambaki emabegako awo?, abo beebo Katonda beyassa envumbo ku mitima gyabwe era nebagoberera okwagala kwabwe

    [17] Ate abo abaalungama (Katonda) abongera bulungamu era naabawa okutya kwabwe (Katonda)

    [18] Abaffe balina kyebalindirira okugyako ekiseera ekyenkomerero okuba nga kibaggyira kibwatuukira ate nga ddala (obumu) ku bubonero bwakyo bumaze okujja, baligyawa okubuulirirwa kwabwe (okulibagasa ekiseera) bwe kiribagyira

    [19] Kale manya nti mazima tewali kisinzibwa okugyako Katonda era osabe ekisonyiwo olwe byonoono byo, era abakkiriza abasajja n'abakkiriza abakazi obasabire ekisonyiwo, era Katonda amanyi entambula zammwe (nga mujjulukuka okuva mu kifo ne mudda mu kirala n'okuva ku kikolwa ne mudda ku kirala) era amanyi obuddo bwa mmwe

    [20] Abo abakkiriza bagamba nti singa essura (eragira olutalo) essibwa, naye essura neemala essibwa nga eyogera mu bulambulukufu nga n'okulwana kwogerwako mu yo, olaba abo abalina obulwadde mu mitima gyabwe nga bakutunuulira entunula ey’omuntu azirise ku lwokutya okufa. Ekyalisinze obulungi gyebali

    [21] (Kwe) kugonda, n'ebigambo ebirungi, naye ekigambo bwe kimala okukakata, kale singa batuukiriza bye balagaanyisa Katonda kye kyalisinze obulungi gye bali

    [22] Abaffe musuubira nti singa mukulembera (ne muba abafuzi) nti munayonoona mu nsi ne mukutula enganda zammwe

    [23] (Abakola ebyo) abo beebo Katonda beyakolimira naabaggala amatu era naaziba amaaso gaabwe

    [24] Abaffe tebetegereza Kur’ani, oba emitima gyegiriko ekkufulu zaagyo

    [25] Mazima abo abakyuka ne badda gyebaava (nebaleka obusiraamu) oluvanyuma lw’obulungamu okuberambikira, Sitane yeyabibalaga nti birungi era nabasuubiza ebyobulimba

    [26] Ekyo nno, lwakuba nti mazima bo, bagamba abatayagala Katonda byeyassa, nti tujja kubagondera mu bintu ebimu. Era bulijjo Katonda amanyi ebyama byabwe

    [27] Olwo nno baba ngeri ki Malayika bwezibatusaako entuuko zaabwe, nga zikuba ebyenyi byabwe n’obutuuliro bwabwe

    [28] Ekyo (bwekityo bwekiriba) olwokuba nti mazima bo baagoberera ebyo ebinyiiza Katonda nebakyawa okusiima kwe, olwo nno naayonoona emirimu gyabwe

    [29] Abaffe abo abalina obulwadde mu mitima gyabwe basuubira nti Katonda tagenda kuggyayo bukukuuzi bwabwe (bwe balina ku Nabbi Muhammad)

    [30] Singa twagala twandibakulaze, olwo nno wandibategedde olwo bubonero bwabwe, era ojja kubategeerera ddala okusinziira ku njogera yaabwe. Era Katonda amanyi emirimu gyammwe

    [31] Era tujja kubagezesa okutuusa lwetunategeera abalafubana mu mmwe mu kuweereza mu kkubo lya Katonda nabagumikiriza, era tujja kugezesa ebigambo bya mmwe

    [32] Mazima abo abaakafuwala nebaziyiza abantu ku kkubo lya Katonda, nebeesimba mu mubaka oluvanyuma lwo bulungamu okubeeyoleka, (abo) tebalina kabi konna kebayinza kutuusa ku Katonda, era wa kusazaamu emirimu gyabwe

    [33] Abange mmwe abakkiriza mugondere Katonda, era mugondere omubaka, era temwononanga emirimu gya mmwe

    [34] Mazima abo abaakafuwala era nebassa emisanvu mu kkubo lya Katonda, oluvanyuma nebafa nga bakafiiri, Katonda tagenda kubasonyiwa

    [35] Temufotokereranga ne musaba emirembe ate nga mmwe ba waggulu, era nga Katonda ali wamu na mmwe, era nga tagenda kukendeeza mpeera ya mirimu gya mmwe

    [36] Mazima obulamu bwe nsi muzannyo na binyumu, naye bwe mukkiriza era nemutya Katonda, ajja kubawa empeera ya mmwe, ate nga tabasabye mmali ya mmwe

    [37] Singa agibasaba nabapeeka mujja kukodowala, olwo nno nassa mu bbanga obukukuuzi bwa mmwe

    [38] Abaffe mmwe, mmwe beebo abakowoolwa mube nga muwaayo mu kkubo lya Katonda, olwo nno mu mmwe ne mubaamu akodowala, so nga omuntu akodowala, mazima yekodowalira yekka ng’ate Katonda yatalina kyeyetaaga ate nga mmwe muli betaavu, naye bwe munakyuka (nemuva ku ddiini) ajja kuleeta abantu abalala abatali mmwe, oluvanyuma tebagenda kuba nga mmwe

    Obuwanguzi

    Surah 48

    [1] Mazima ffe tukugguliddewo oluggulawo olweyolefu

    [2] Katonda alyoke akusonyiwe ebyonoono byo ebyakulembera, n'ebyo ebyoluvanyuma, era ajjuze ekyengera kye kye yakuwa, era akulungamye mu kkubo eggolokofu

    [3] Era akutaase olutaasa olwa nnamaddala

    [4] Yye yooyo eyassa obutebenkevu mu mitima gya bakkiriza babe nga beyongera obukkiriza ku bukkiriza bwabwe (obwasooka), amagye go mu ggulu omusanvu ne nsi gonna ga Katonda, era (bulijjo) Katonda mumanyi nnyo mugoba nsonga

    [5] Olwo nno ayingize abakkiriza abasajja n'abakkiriza abakazi e jjana, nga emigga gikulukutira wansi waazo, ba kutuula mu zo obugenderevu, era abagyeko ebisobyo bya bwe, ekyo ewa Katonda bwe buwanguzi obunene

    [6] Era abonereze abananfusi abasajja n'abannanfusi abakazi, n'abasajja abagatta ebintu ebirala ku Katonda n'abakazi abagatta ebintu ebirala ku Katonda, abalowooza ku Katonda endowooza embi, batukwako enkyukakyuka embi, era Katonda yabasunguwalira nabakolimira era yabategekera omuliro Jahannama (era nga ggwo) buddo bubi

    [7] Era amagye go mu ggulu omusanvu n'ensi gonna ga Katonda, era (bulijjo) Katonda nantakubwa ku mukono mugoba nsonga

    [8] Era mazima ffe twakutuma (ggwe Nabbi Muhammad) nga oli mujulizi era omusanyusa (olwa mawulire agessanyu gowa abakozi bo bulungi) era omutiisa (olwa mawulire ag’ebibonerezo eri abakozi be bibi)

    [9] Mulyoke mukkirize Katonda n’omubaka we, era mu muyambe era mumuwe ekitiibwa era (Katonda) mumutendereze enkya ne ggulo

    [10] Mazima abo abalangirira obuwagizi bwabwe gyoli mazima balangirira buwagizi bwabwe eri Katonda, omukono gwa Katonda guli waggulu wa mikono gya bwe, kale nno oyo anaamenya endagaano mazima mukugimenya aba yeefiriza yekka, nooyo atuukiriza ekyo kye yaweerako Katonda obweyamu ajja kumuwa empeera ensuffu

    [11] Ba nnamalungu abaasigala (ne batagenda Makkah naawe) bajja kugamba nti emmaali yaffe na b’omumaka gaffe bye bya tulobera okugenda n’olwekyo tusabire ekisonyiwo, boogera ne nnimi zaabwe ebyo ebitali mu mitima gyabwe, bagambe nti olwo nno ani alina obuyinza ewa Katonda ku kintu kyonna ekibakwatako singa aba abaagalizza kabi, oba nga abaagalizza eky'omugaso, wabula Katonda amanyidde ddala ensibuko y'ebyo bye mukola

    [12] Wabula mwalowooza nti omubaka n’abakkiriza lubeerera tebaali ba kudda eri bantu ba mu maka gaabwe, era ekyo nekinyirizibwa eri emitima gya mmwe, nemulowooza endowooza embi, era nemuba abantu abaggweera mu kubula

    [13] Oyo yenna atakkiriza Katonda n’omubaka we, (ka kumujjuutuka) anti mazima ffe abakafiiri twabategekera omuliro S’aira

    [14] Obufuzi obwe ggulu omusanvu n'ensi bwa Katonda, asonyiwa gwaba ayagadde era nabonereza gwaba ayagadde era bulijjo Katonda musonyiyi nnyo musaasizi

    [15] Abataagenda (naawe ku lutabaalo lwe Khaibara) bwe mugenda eri eminyago mube nga mugifuna bajja kugamba nti mutuleke tubagoberere, nga baagala okuba nga bakyusa ebigambo bya Katonda (okuba nga eminyago gyabo bokka ebeetaba mu lutabaalo) bagambe nti temutugoberera, bwekityo Katonda bwe yagamba oluberyeberye, olwo nno bajja kugamba nti wabula (mmwe) mutukwatirwa nsaalwa (naye nga si kyekyo) wabula baali tebategeera okugyako katono ddala

    [16] Gamba abo abaasigala mu ba nnamalungu, nti lumu mujja kuyitibwa okugenda eri abantu abaamaanyi amayitirivu mube nga mulwanagana nabo oba basiramuke, awo nno singa muligonda (nemutuukiriza ekiragiro) Katonda ajja kubawa empeera ennungi, naye kemulimala muva kwekyo (ne mutalwana) nga bwe mwakyuka oluberyeberye (bwe mutaalwana) agenda kubabonereza ebibonerezo ebiruma ennyo

    [17] Muzibe taliiko kunenyezebwa, n’omulema taliiko kunenyezebwa, wadde omulwadde naye taliiko kunenyezebwa, oyo yenna agondera Katonda n’omubaka we amuyingiza e jjana, emigga nga gikulukutira wansi waazo, ate oyo yenna akyuka (naatamugondera) agenda ku mubonereza ebibonerezo ebiruma ennyo

    [18] Katonda yasiima abakkiriza bwe baalangirira obuwagizi bwabwe gyoli (bwe mwali) wansi wo muti olwo nno yamanya ebiri mu mitima gya bwe kwe kussa obutebenkevu ku bo, era nabasasula n'abawa obuwanguzi obwali okumpi

    [19] N'eminyago mingi gye baafuna, era (bulijjo) Katonda ye nantakubwa ku mukono mugobansonga

    [20] Katonda yabalagaanyisa eminyago mingi gye mulifuna, naye guno gwo naagubanguyiza era naaziyiza emikono gya bantu obutabatuukako (obutabalwanyisa) era (ebyo) bibeere kya kuyiga eri abakkiriza era abalungamye mu kkubo eggolokofu

    [21] (Waliyo n'eminyago) emirala gye mutannasobola (kufuna) naye nga mazima Katonda agyetoolodde (gyonna agimanyi) era bulijjo Katonda muyinza ku buli kintu

    [22] Era singa abo abakaafuwala babalwanyisa, ddala bandikubyeyo amabega (ne badduka) era nga tebayinza kufuna mukuumi wadde omudduukirize

    [23] Eyo yenkola ya Katonda ebaddewo okuva oluberyeberye, era enkola ya Katonda toyinza kugisangamu kukyusibwa

    [24] Era yye yooyo eyaziyiza emikono gyabwe ku mmwe era naziyiza emikono gya mmwe ku bo (ne mutalwanagana bwe mwasisinkana) mu makkati gomu Makkah, nga yali amaze okubawa obuwanguzi ku bo, era nga Katonda bulijjo alabira ddala ebyo bye mukola

    [25] Bo beebo abaakafuwala ne babaziyiza okutuuka ku muzigiti ogwe mizizo, nga n'ebirabo biremeseddwa okutuuka mu bifo byabyo, era singa si basajja abakkiriza n'abakazi abakkiriza, be mutaamanya okuba nti mwali muyinza okubatusaako obulabe (ne mubatta), ne mutuukwako akamogo (akokunenyezebwa okubatta) mu butali bugenderevu, Katonda yandibadde akkiriza ne mwambalagana nabo, (ekyo kyali bwekityo) Katonda abe nga ayingiza mu kusaasira kwe oyo gwaba ayagadde, era singa beeyawula (abakkiriza bokka na batakkiriza bokka) era twandibonerezza abo abaakafuwala mu bo ebibonerezo ebiruma

    [26] Jjukira abo abaakafuwala bwe bassa mu mitima gyabwe effutwa, effutwa lyo mu biseera eby'obutamanya, olwonno Katonda nassa obukkakkamu ku mubaka we, ne ku bakkiriza nabanywereza ku kigambo kyo kutya Katonda era nga be baali basinga okukisaanira, era nga be baali ba nannyinikyo era bulijjo Katonda mumanyi wa buli kintu

    [27] Mazima Katonda yatuukiririza omubaka we endooto gye yamulaga eya mazima (bwe yaloota nti) ddala mujja kuyingira omuzikiti ogwemizizo Katonda bwaliba ayagadde. (muliguyingira) nga muli mirembe, nga mumwedde emitwe gya mmwe, nga (abalala) mukendezezzaako bukendeeza nga temutya. (Yamanya kye mutaamanya), nateekawo obuwanguzi obwokumpi (nga ekyo tekinnabaawo, bwe mwakola endagaano ye Hudaibiyah)

    [28] Katonda yye, yooyo eyatuma omubaka we naleeta obulungamu n'eddiini eya amzima abe ng'alaga ekifo kyaayo ekya waggulu ku madiini gonna, kimala okuba nti Katonda yemujulizi (kw'ekyo)

    [29] Muhammad Mubaka wa Katonda era abo abali naye bakambwe ku bakafiiri, basaasiragana, obalaba nga bakutamye ku maviivi, ne bwebaba bavunnamye ku ttaka, nga banoonya ebigabwa bya Katonda n’okusiima (kwe) obulambe bwabwe bulabika mu byenyi byabwe olwo mukululo gwo kuvunnama, ekyo kye kifaananyi kyabwe mu Tauraati era ekifaananyi kyabwe mu njiri, balinga ekimera ekifulumya omutunsi gwakyo negukiwanirira okutuusa lwe kikakata, olwo nno ne kyetengerera ku nduli yaakyo nekiba nga kisanyusa abalimi. (Abantu abakubiddwako ekifaananyi ekyo) balyoke babe nga abakafiiri banakuwala ku lwabwe, abo abakkiriza mu bo ne bakola emirimu emirongoofu Katonda yabalagaanyisa ekisonyiwo n'empeera ensuffu

    Ebisenge

    Surah 49

    [1] Abange mmwe abakkiriza temwetumikirizanga mu maaso ga Katonda n’omubaka we (nemwogera ku kintu nga omubaka tannakyogerako) era mutye Katonda mazima Katonda muwulizi nnyo mumanyi

    [2] Abange mmwe abakkiriza temusitulanga amaloboozi ga mmwe okusinga ku ddoboozi lya Nabbi, era temumwatuliranga ebigambo nga abamu mu mmwe bwe batuulira bannabwe, emirimu gya mmwe gireme kwononeka nga temugenderedde

    [3] Mazima abo abakkakkanya amaloboozi gaabwe awali omubaka wa Katonda, abo beebo Katonda beyatukuza emitima gyabwe babe nga bamutya. Balina ekisonyiwo ne mpeera ensukkulumu

    [4] Mazima abo abakukowoolera emabega w’ebisenge abasinga obungi mu bo tebategeera

    [5] Singa mazima bo bagumikiriza okutuusa lwofuluma n'ogenda gye bali, kyandibadde kirungi gye bali, era Katonda musonyiyi waakisa nnyo

    [6] Abange mmwe abakkiriza singa omwononefu abaleetera amawulire muteekwa okwetegereza, mube nga temutuusa kabi ku bantu mu butamanya, olwo nno nemukeesa nga mwejjusa olwekyo kye mwakoze

    [7] Era mumanye nti mazima omubaka wa Katonda ali mu mmwe, singa abagondera mu bigambo ebisinga obungi (nga bwe mubiraba), mwandifunye obuzibu, naye ddala Katonda yabaagazisa obukkiriza nabulabisa bulungi eri emitima gya mmwe, na bakyayisa obukafiiri n’obwononefu n’obugyemu, (abo abataliimu mize egimenyeddwa waggulu) bo be balungamu

    [8] (Ng’ebyo byonna) birungi era nga byengera ebiva ewa Katonda, era bulijjo Katonda mumanyi nnyo mugoba nsonga

    [9] Ebibinja bibiri mu bakkiriza bwe birwanagananga muteekwa mulongoose wakati wa byombi (mu bitabaganye) ekimu bwekirumba ekirala olwo nno mulwanyise ekyo ekiba kirumbye okutuusa lwekidda eri ekigambo kya Katonda bwekiba kizze kale mutabaganye wakati wa byombi mu bwesimbu, era mukole obwenkanya mazima Katonda ayagala abakola obwenkanya

    [10] Ddala abakkiriza ba luganda n’olwekyo mulongoose (mutabaganye) wakati wa baganda ba mmwe, era mutye Katonda mube nga musaasirwa

    [11] Abange mmwe abakkiriza abantu (abamu) mu mmwe tebanyomanga bantu bannabwe, anti oluusi bayinza okuba nga be balungi okusinga bo, wadde abakyala okunyoma bakyala bannabwe, anti oluusi bayinza okuba nga be balungi okusinga bo, era temwerengezzanga, era temweyitanga amannya ageemize, erinnya erisinga obubi lyeryo erikakkanya omuntu oluvanyuma lwokuba nti mukkiriza. Omuntu (akola ekyo) bwatenenya, abo bo be beeyisa obubi

    [12] Abange mmwe abakkiriza mwewale okuteebereza okusinga obungi, anti okuteebereza okumu kiba kyonoono, era temwekettanga, era abamu mu mmwe tebageyanga bannabwe, abaffe omu ku mmwe yandiyagadde okulya ennyama ya muganda we nga mufu! Ate nga mwakitamwa dda, era mutye Katonda mazima Katonda akkiriza okwenenya musaasizi nnyo

    [13] Abange mmwe abantu mazima ffe twabatonda nga tubaggya mu musajja n’omukazi, era ne tubafuula amawanga neebika mulyoke mumanyagane, mazima abasinga ekitiibwa ewa Katonda yooyo abasinga okumutya, mazima Katonda mumanyi nnyo amanyidde ddala ebintu okuva ku nsibuko yaabyo

    [14] Ba nnamalungu baagamba nti tukkirizza, bagambe nti temunnakkiriza, wabula mugambe nti twewaddeyo eri abasiraamu (netuwona okuttibwa oba okuwambibwa) era obukkiriza tebunnayingira mu mitima gya mmwe naye singa mugondera Katonda n’omubakawe tagenda kukendeeza ku mpeera ya mirimu gya mmwe kintu kyonna. Mazima Katonda musonyiyi musaasizi nnyo

    [15] Mazima abakkiriza abannamaddala beebo abakkiriza Katonda n’omubaka we, ate nebatabuusabuusa (ebyo bye bakkiriza) era nebalafuubana mu kuweereza mu kkubo lya Katonda nga bakozesa emmaali yaabwe ne myooyo gyabwe, abonno, bo, be bakkiriza ab’amazima

    [16] Bagambe nti mumanyisa Katonda eddiini ya mmwe ng’ate Katonda amanyi ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ensi, era bulijjo Katonda amanyidde ddala ebikwata ku buli kintu

    [17] Bakweralaasizaako nti baasiramuka, bagambe nti temundalaasizaako busiraamu bwa mmwe, wabula Katonda abenyumiririzaako okuba nti yabalungamya eri obukkiriza bwe muba nga muli ba mazima

    [18] Mazima Katonda amanyi ebyekusifu byo mu ggulu omusanvu n'ensi, era Katonda alabira ddala ebyo bye mukola

    Qaf

    Surah 50

    [1] Kaaf, ndayidde Kur’ani eyekitiibwa (mazima ggwe Muhammad oli mubaka wa Katonda era olunaku lw’enkomerero lwa kubaawo)

    [2] Wabula bewunya okuba nti omutiisa (Nabbi Muhammad) yabajjira nga ava mu bo olwo nno abakaafiiri nebagamba nti kino kintu kya kitalo

    [3] (Nebagamba nti) abaffe bwetufa netufuuka ettaka (ate tuli bakuzzibwa!), bwekiba bwekityo okwo kudda okuli ewala ennyo

    [4] (Ekyo kibalemera bwereere okukkiriza anti) mazima tumanyi ekyo ettaka kye libakendezaako (nga lirya emibiri gyabwe) era tulina eggwanika erikuuma (buli kintu)

    [5] Wabula (tebakoma kwekyo era) baalimbisa amazima bwe gabajjira olwo nno bo baali mu mbeera ey’ekigambo ekitali kinywevu, (olumu bagamba bati olulala ne bagamba kirala)

    [6] Abaffe tebatunula ku ggulu waggulu waabwe (ne balaba) nga bwe twalizimba era netulinyiriza nga teririna bituli

    [7] Ne nsi twagiseeteeza era netugissaamu ensozi ennywevu, netumeza mu yo mu buli mutindo oguwa essanyu

    [8] Bibe ekizibula amaaso era ekyokubuulirira buli muddu adda eri Katonda

    [9] Era tussa amazzi okuva waggulu agoomukisa, olwo nno netumeza nago amalimiro n'empeke ebikungulwa

    [10] N’emitende emitumbiivu egirina ebirimba ebyeberese ku binnabyo

    [11] Nga byakulya bya baddu, era tulamusa nago (amazzi) ettaka effu eriba likaze, nabwekutyo okuzuukira bwe kuliba

    [12] Oluberyeberye lwabwe (abantu be Makkah) abantu ba Nuhu baalimbisa, n’abantu ababbika Nabbi wabwe mu luzzi, n’abekika kya Thamud

    [13] Nabekika kya Aadi ne Firaawo ne baganda ba Luutu

    [14] N’abantu be nsi y’ebibira, n’abantu ba Tubbai, bonna baalimbisa ababaka, olwo nno nebikakata (ebibonerezo) byange bye nalagaanyisa

    [15] Abaffe twakoowa olwokutonda okwasooka (tube nga tweganya okubazzaawo)! nedda bo bali mu kutabulwa ku bikwata ku kutonda okupya

    [16] Ng’ate ddala twatonda omuntu era tumanyi ekyo omwoyogwe kye gumulabankanya nakyo naye nga ffe tuli okumpi naye okusinga omusuwa (gwe) ogwobulamu

    [17] Mu kiseera we bamugyirako ebimukwatako (ba Malayika) abakwatibwako ensonga ababiri, nga bakikola ku mukono ogwa ddyo, n’ogwa kkono nga buli omu atudde ku ludda lwe

    [18] Olwo nno (omuntu) tayatula kigambo kyonna okugyako ng’aliko omulondoozi amubeerako buli kiseera

    [19] Olwo nno obukambwe bwokufa nebujja mu mazima (nagambibwa nti) kino bulijjo kyobadde weewala

    [20] Era engombe nefuuyibwa olwo lwe luliba olunaku olwalagaanyisibwa

    [21] Buli muntu alijja nga aliko (Malayika) amugoba n’omujulizi

    [22] (Omukozi weebibi aligambwa nti) mazima wali mu bulagajjavu ku nsonga eno, kakano tukuggyeko ekibikka olwo nno eriiso lyo olwaleero lyogi nnyo

    [23] Munne (Malayika eyamuberangako) aligamba nti, bino bye nnina ebimuwaako obujulizi binywevu nnyo

    [24] (Katonda aliragira Malayika alijja amugoba n'alimuwaako obujulizi nti) mukasuke mu muliro Jahannama buli mukafiiri omuwalaza we mpaka

    [25] Eyekiikanga mu kkubo lyo bulungi, eyabukanga ebikomo (bya mateeka ga Katonda) omubusabuusa

    [26] Oyo eyassa ku Katonda ekisinzibwa ekirala, kale nno mumukasuke mu bibonerezo ebikambwe

    [27] (Sitane) munywanyiwe aligamba nti, ayi Mukama omulabirizi waffe simubuzanga, wabula (ye yennyini) yali mu bubuze obwewala

    [28] (Katonda) aligamba nti temukayanira mu maaso gange nabawa dda okulabula (kwange nga mukyali ku nsi)

    [29] Ekigambo tekikyusibwa gyendi (kasita mala okusalawo) era nze siyinza kuba mulyazamanyi eri abaddu

    [30] (Mutye) olunaku lwe tuligamba omuliro Jahannama nti abaffe ojjudde, negugamba nti abaffe waliyo enyongeza

    [31] E jjana erisembezebwa eri abo abatya Katonda, nga tekyali wala

    [32] Nebagambibwa nti, ekyo kye mwalaganyisibwa nga kya kufunwa oyo yenna eyadda ewa Katonda, n'akuma butiribiri (amateekage)

    [33] (Yye yooyo) eyatya Katonda omusaasizi ennyo awamu nokuba nga tamulabako, era najja (olwaleero ku lunaku lw’enkomerero) n’omutima ogwemalira ku Katonda

    [34] (Baligambibwa nti) mugiyingire (e jjana) mu mirembe, olwo lwe lunaku olulitandika obulamu obwolubeerera

    [35] Balifuna byonna bye baagala nga bali mu yo (e jjana), era tulina ebyo kubongeza

    [36] Era emirembe emeka gye twazikiriza oluberyeberye lwabwe (bano abakuwakanya ggwe Nabbi Muhammad), nga bo baali bamaanyi okubasinga, nebetoloola ensi (nga bakola buli kye bagala), abaffe waliwo obuwonero

    [37] Mazima mwekyo mulimu okubuulirira eri oyo alina omutima oba atega amatu era nga yenna waali (awuliriza)

    [38] Era mazima twatonda eggulu omusanvu ne nsi neebiri wakati wa byombi mu nnaku mukaaga era tetwatukwako kukoowa kwonna

    [39] Kale gumikiriza ebyo bye bagamba, otendereze ebitendo bya Mukama omulabirizi wo nga enjuba tennavaayo, ne nga tennagwa

    [40] Era omutendereze ekiro nabuli luvannyuma lwa kuvunnama (okusaala e sswala ezalaalikibwa)

    [41] Era wuliriza (ng’olinda) olunaku omukowooze lwalikowoola nga asinziira mu kifo kyo kumpi

    [42] Olunaku lwe bali wulira okubwatuka okwa mazima, olwo nno lwe luliba olunaku lwokufuluma (okuzuukira okuva mu ntaana)

    [43] Mazima ffe, ffe tuwa obulamu era netutta, era gye tuli yokka yeeri obuddo

    [44] Ku lunaku ettaka lweriyatika neribavaako (nga bazuukira) nebajja misinde (gye tuli), okwo kwe kukungaanya era kuliba kwangu ku ffe

    [45] Ffe tusinga okumanya bye bagamba, era ggwe toli ku bo asobola kubawaliriza, n’olwekyo buulirira nga okozesa Kur’ani, oyo yenna atya ebitiisa byange

    Empewo Ezisaasaanya

    Surah 51

    [1] Ndayidde empewo ezifumuula enfuufu olufumuula

    [2] Olwo nno nendayira ebire ebyetikka enkuba olwetikka

    [3] N'amaato agaseeyeeya mu mazzi mu bwangu

    [4] Era ndayidde Malayika ezigabanya Riziki okusinziira ku kiragiro ekiba kiziweereddwa

    [5] Mazima bye mulaganyisibwa bya kutuukirira

    [6] Era ddala olunaku lwo kusasula lwa kubaawo

    [7] Ndayidde eggulu eryakolebwa mu ngeri ennungi

    [8] Mazima mmwe muli mu kigambo ekyawukamu (temussa kimu ku bikwata ku Kur’ani)

    [9] Awugulwa ku kyo oyo eyabuzibwa (natakkiriza)

    [10] Baakolimirwa abo abalimba (aboogera ebitali bituufu ku Nabbi)

    [11] Abo abali mu nnyanga ey’obukaafiiri nga babulubuuta

    [12] Nga babuuza nti olunaku lwo kusasula luliba lwaddi

    [13] Lwe lunaku bo lwe balyokebwa omuliro

    [14] (Nga bwe bagambibwa nti) mukombe ebibonerezo bya mmwe, kino kyekyo kye mwagambanga nti kibatuusibweko mu bwangu

    [15] Mazima abatya Katonda balibeera mu masamba nga mulimu n'ensulo za mazzi

    [16] Nga beeyanza ebyo Mukama omulabirizi waabwe byalibawa (anti) mazima bo oluberyeberye lwekyo bali balongoosa

    [17] Bebakanga e kiseera kitono mu kiro

    [18] Ate nga mu ttumbi babanga mu kwe gayirira

    [19] Era nga mu maali yaabwe mulimu omugabo gwo musabi nooyo atafuna kimumala (naye nga tasaba)

    [20] Era mu nsi mulimu obubonero (obulaga okubaayo kwa Katonda n’obuyinza bwe), eri abo abakkiriza obukkiriza obwa nnamaddala

    [21] Ne mu mmwe mwennyini (mulimu obubonero) abaffe temulaba

    [22] Ne muggulu y'eri riziki za mmwe na byonna bye mulagaanyisibwa

    [23] Kale ndayidde Mukama omulabirizi we ggulu n'ensi, nti ekyo bwekityo bwekiri (era nga ekyo buli muntu yenna akimanyi) nga bwe mumanyi nti mwatula

    [24] Abaffe ebikwata ku bagenyi ba Ibrahim abekitiibwa bya kutuukako

    [25] Bwe baayingira weyali ne bagamba nti mirembe, (naye) naagamba nti mirembe (wabula muli) bantu abatamanyiddwa

    [26] Olwo nno nadda eri abantu be naleeta ennyana y'ente ensava (enjokye)

    [27] Nagibasembereza naagamba nti abaffe nga temuulye

    [28] (Bwe bataalya) yawulira nga abatiddemu, ne bagamba nti totya era nebamuwa amawulire agessanyu ag'omwana omulenzi omumanyi ennyo

    [29] (Awo wennyini) mukyala we naatuuka nga ayogerera waggulu nakuba ekyenyi kye, era naagamba nti (nze nga ndi) mukadde omugumba (nzaala ntya)

    [30] (Ba Malayika) ne bagamba nti bwekityo Mukama omulabirizi wo bwagambye anti mazima yye bulijjo, ye mugoba nsonga omumanyi ennyo

    [31] Ibrahim naagamba nti, ate mmwe ababaka nsonga ki ebaleese

    [32] Nebagamba nti mazima ffe tutumiddwa eri abantu abonoonyi

    [33] Tube nga tubayiwako amayinja agomu bbumba ejjokye

    [34] Nga malambe okuva ewa Mukama omulabirizi wo, nga ga (kuzikiriza) abonoonyi abasukkiridde

    [35] (Katonda agamba) awo nno twagyamu oyo yenna eyakirimu (ekitundu ekyo) mu bakkiriza

    [36] Naye tetwasangamu okugyako e nyumba emu eyabasiraamu

    [37] Era twaleka mu kyo ekyo kuyiga eri abo abatya ebibonerezo ebiruma ennyo

    [38] Era ne Musa (alimu ekyo kuyiga) bwe twamutuma ewa Firawo n’obujulizi obweyolefu

    [39] Yagaana (okugoberera Musa) olwokwesigula abali emabega we era nagamba nti (Musa) mulogo oba mulalu

    [40] Olwo nno netumukwatako ne ggye rye netubakasuka mu nnyanja nga naye anenyezebwa

    [41] Ne mu Bantu ba Aadi (mulimu ekyokuyiga) bwe twabasindikira empewo engumba (etaliimu mukisa tereeta nkuba wadde okuwasisa ebibala)

    [42] Nga tereka kintu kyonna kyeyitako okugyako nga ekifuula nga ensaano

    [43] Ne mu bantu ba Thamud (mulimu ekyokuyiga) bwe bagambibwa nti mweyagale okumala akaseera katono

    [44] Wabula bo basukka ekiragiro kya Mukama omulabiririzi waabwe, olwo nno okubwatuka okwamaanyi ne kubatuukako nga nabo balaba

    [45] Tebaasobola kusituka (badduke) era tebaali ba kuwona

    [46] N'abantu ba Nuhu nga bano tebannabaawo (nabo balimu ekyokuyiga anti nabo baazikirizibwa era nabo kya bagwanira) anti mazima bo baali bantu abonoonyi

    [47] (N'ebirala ebirimu ekyokuyiga) ne ggulu twalizimba n'obuyinza (bwaffe) era mazima tukyaligaziya

    [48] N'ensi twagiseteeza, ddala nga ffe abatesiteesi abasinga

    [49] Era twatonda mu buli kintu emitindo ebiri ebiri (ekisajja ne kikazi) oba olyawo ne mujjukira

    [50] Kale mudduke mudde eri Katonda mazima nze ndi mutiisa owolwatu gye muli okuva gyali

    [51] N’olwekyo temussanga ku Katonda ebisinzibwa ebirala, mazima nze ndi mutiisa owolwatu gye muli okuva gyali

    [52] Bwekityo abo ababakulembera tewali mubaka yabajjira okugyako nga bagamba nti mulogo oba mulalu

    [53] Abaffe bakyeramira (nedda ssi bwekiri) wabula bo bantu be wagguzi

    [54] Kale baveeko toli ggwe anenyezebwa

    [55] Wabula bulirira anti mazima okubulirira kugasa abakkiriza

    [56] Era ssaatonda amajinni n’abantu wabula lwakuba nti bansinze

    [57] Sibaagalamu Riziki era ssaagala bandiise

    [58] Mazima Katonda yye yaagaba Riziki nannyini maanyi omusobozi

    [59] Mazima abo abeeyisa obubi balina ebyonoono nga ebyonoono bya bannaabwe n’olwekyo tebampapya (kubatuusaako bibonerezo mu bwangu)

    [60] Okubonabona kuli eri abo abawakanya olunaku lwabwe olwo lwe baalaganyisibwa (olunaku lw’enkomerero)

    Olusozi

    Surah 52

    [1] Ndayidde olusozi (Sinaa)

    [2] Ndayidde ekitabo ekiwandiike

    [3] Mu mpapula ennyanjuluze

    [4] Era ndayidde e nyumba etaggwako basinza (ba Malayika bagyetoloola olubeerera)

    [5] Era ndayidde akasolya (k'eggulu) akasitufu

    [6] Era ndayidde ennyanja ezijjudde amazzi

    [7] Ddala ebibonerezo bya Mukama omulabirizi wo bya kutuukirira

    [8] Tewali kigenda kubiremesa

    [9] Ku lunaku eggulu lwe liri yuguuma oluyuguuma

    [10] Ensozi nezitambula butambuzi

    [11] N’olwekyo okubonabona ku lunaku olwo kuliba ku balimbisa

    [12] Abo bo ababeera mu byolusaago nga bazannya

    [13] Ku lunaku lwe bali sindikirizibwa olusindikirizibwa, okuyingira omuliro Jahannama

    [14] Baligambibwa nti guno gwe muliro ogwo gwe mwali mulimbisa

    [15] Abaffe lino ddogo oba mmwe temulaba

    [16] Mugwesogge, wabula ka mugumikirize oba temugumikiriza byonna kyekimu gye muli mazima ddala musasulwa ebyo bye mwali mukola

    [17] Mazima abatya Katonda baliba mu jjana n'ebyengera

    [18] Nga beyagala olwebyo Mukama omulabirizi waabwe byalibawa, era Mukama omulabirizi waabwe nabawonya ebibonerezo ebyomuliro Jahiimu

    [19] (Abeeyisa obulungi baligambibwa nti) mulye era munywe, nga muyozayozebwa olwebyo bye mwakola

    [20] Baliba besigamye ku bitanda nga bisimbiddwa ennyiriri era tugenda ku bagatta na bakyala abo mu jjana

    [21] Abo abakkiriza, era ezzadde lyabwe neribagoberera mu bukkiriza, twakkiriza ezzadde lyabwe okubagoberera (baleme kufuna kiwubaalo obutaba nabo) era tetulikendeeza ku mirimu gyabwe kintu kyonna, era nga buli muntu (yye) gwe musingo gwebyo bye yakola

    [22] Era (nga ogyeko ebyogeddwa waggulu) tulibongeza ebibala n'ennyama ebyo bye baliyagala

    [23] (Nga bali mu jjana) baliyayaanira amagiraasi ge byo kunywa, naye nga ssi kujikubiramu lwogoolo wadde ebigambo ebikyafu

    [24] Era abalenzi abaliba balabika nga l'ulu akuumwa ennyo baliba babetoololamu nga babaweereza

    [25] Era (abaliba mu jjana) abamu balyolekera bannabwe nga bewunaganya

    [26] Nga bagamba nti mazima ffe mukusooka twabanga mu bantu baffe nga tutya (ebibonerezo bya Katonda)

    [27] Katonda natugonnomolako ekyengera, naatuwonya ebibonerezo byo muliro samuumu

    [28] (Anti) mazima ffe okusooka twamusabanga (twamusinzanga), mazima yye yaayisa obulungi, omusaasizi ennyo

    [29] Kale nno buulirira (ggwe Muhammad) anti ggwe olwe kyengera kya Mukama omulabirizi wo, toli mulaguzi wadde mulalu (nga abamu bwe babijweteka)

    [30] Oba bagamba nti (Muhammad) mutontomi gwetulekedde okukwata kwa walumbe

    [31] Bagambe nti mulindirire, anti mazima nze ndi wamu na mmwe mu balindirira

    [32] Abaffe amagezi gaabwe ge gabalagira kino oba bo bantu abaabula

    [33] Oba bagamba nti (Muhammad) yajegunjirawo (Kur’ani ssi bwekiri) wabula tebakkiriza

    [34] (Bwekiba nga yajigunjaawo) kale baleete ebigambo ebigifaanana bwebaba nga boogera mazima

    [35] Oba batondwa awatali kintu (nti tewali Katonda yabatonda!) oba bo be batonda (ebitonde byonna nga nabo mwebali)

    [36] Oba be baatonda eggulu omusanvu ne nsi, nedda wabula bo tebakkiriza

    [37] Oba be balina amawanika ga Mukama omulabirizi wo, oba bo be balina obuyinza (ku buli kintu)

    [38] Oba balina amadaala nga gebakozesa okuwuliriza ebifa waggulu (bwekiba bwekityo) kale abawuliriza baabwe baleete obujulizi obweyolefu

    [39] Oba (Katonda) alina abaana ba buwala ate nga mmwe mulina abo bulenzi

    [40] Oba obasaba musaala olwo nno bo nebaba nga bakaluubirirwa kusasula

    [41] Oba balina okumanya ebyekusifu ne baba nga bo bawandiika (ebyekusifu bye bamanyi nebaba nga tebetaaga ggwe kubategeeza)

    [42] Oba baagala kukola nkwe (bakulemese) wabula abo abakaafuwala be bakosebwa enkwe (ezo)

    [43] Oba balina ekisinzibwa ekitali Katonda (nga kye kibayinula), Katonda musukkulumu kwebyo bye bamugattako

    [44] Olw'obutakkiriza bwabwe ne bwe balaba ekibajjo nga kigwa okuva waggulu (kibazikirize) bandigambye nti bire ebyetuumye

    [45] Kale baleke okutuusa lwe balisisinkana olunaku lwabwe, olwo, ku lwo, lwe balizikirizibwa

    [46] Olunaku enkwe zaabwe lwe zitalibagasa kintu kyonna, era nga bo tebalidduukirirwa

    [47] Awamu n'ekyo mazima abo abeeyisa obubi batuusibwako ebibonerezo (ebirala kuno ku nsi) nga tebannatuuka ku biri, naye abasinga obungi ku bo tebamanyi

    [48] Kale gumikiriza ku kusalawo kwa Mukama omulabirizi wo, anti mazima ggwe oli wansi wa kulabirira kwaffe. Era tendereza ebitendo bya Mukama omulabirizi wo, buli lwoliyimirira (okusaala)

    [49] Era n'ekiro mutendereze era omutendeze ekiseera we emmunyeenye wezibulira

    Emmunyeenye

    Surah 53

    [1] Ndayidde emunyeenye bweba nga egudde

    [2] Munammwe (Muhammad) tabulanga kuva ku bulungamu era tayonoonanga

    [3] Era tayogera nga asinziira ku kwagala (kwe)

    [4] Tebiri byo (byayogera) okugyako okuba nti bubaka obuwereezebwa (gyali nga buva ewa Katonda)

    [5] Yabimuyigiriza owamaanyi amayitirivu (Malayika Jiburilu)

    [6] Nannyini busobozi eyeyoleka

    [7] Bweyali mu bifo ebisinga okuba ebya waggulu mu bwengula

    [8] Oluvanyuma (Jiburilu) yasembera olwo nebaba kumpi (ne Nabbi)

    [9] Olwo nno (okusembera) nekuba nga okusemberagana kw'ensonda za kasale ebbiri oba kumpi okusingako awo

    [10] Olwo nno (Katonda) naatumira omuddu we ekyo kye yamutumira nga akozesa Jiburilu

    [11] Emmeme (ya Nabbi Muhammad) teyalimba kwebyo bye yalaba

    [12] Abaffe mumuwakanya kwekyo kyalaba

    [13] Ate nga mazima yamulaba omulundi omulala

    [14] Mu kifo awali awali (omuti) Sidirat munitaha awakuumwa

    [15] Weguli awo wewali e jjana ewummulirwamu (bo Malayika mwe bawummulira)

    [16] Mu kiseera omuti Asidira bwe gwabikkibwa ekya gubikka

    [17] Amaaso (ga Nabbi) tegawuguka wadde okusukka ekyo (kye yali ateekwa okulaba)

    [18] Mazima yalaba mu bya magero ebya Mukama omulabirizi we ebinene

    [19] Abaffe mulaba Latta ne Uzza

    [20] Ne Mannaata ekibumbe ekirala ekyokusatu (bibumbe byali bisinzibwa nga Nabbi tannatumwa)

    [21] Abaffe mmwe muzaala abalenzi yye nazaala bawala! (mwe bemutayagala newakubadde abalenzi na bawala ku Katonda kyekimu)

    [22] Bwekiba bwekityo eyo ngabanya ejjudde kyekubiira

    [23] (Bye musinza) tebirina kyebiri okugyako okuba amannya gemwetuumira mmwe ne bakadde ba mmwe, Katonda tabissangako bujulizi bwonna (era ababisinza) tebalina kye bagoberera okugyako okuteebereza nokugoberera ebyo emyoyo gyabwe bye jaagala, so nga ate obulungamu bwabajjira nga buva ewa Mukama omulabirizi waabwe

    [24] Oba kiri nti omuntu asobola okufuna ekyo kye yeegomba (atuuke okwesalirawo okusinza ebibumbe ate naaba nga tavunaanwa)

    [25] Wabula nno enkomerero ne ntandikwa bya Katonda yekka (n’olwekyo yekka yaasalawo)

    [26] Era ba Malayika bameka abali mu ggulu omusanvu nga okuwolereza kwabwe tekugenda kugasa kintu kyonna okugyako oluvanyuma lwa Katonda okukkiriza gwaliba ayagadde era nasiima

    [27] Mazima abo abatakkiriza nkomerero be bayita ba Malayika amannya ag’ekikazi

    [28] Era nga tebakirinaako kumanya kwonna, tebagoberera okugyako okuteebereza ate nga ddala okuteebereza tekulina kye kugasa awali amazima

    [29] N’olwekyo va kwoyo ayawukana nokubulirira kwaffe, naatayagala okugyako obulamu bw'ensi

    [30] Ekyo kye kikomo kyabwe mu kumanya mazima Mukama omulabirizi wo yaasinga okumanya oyo abula naava ku kkubo lye era yaasinga okumanya oyo alungama

    [31] Bya Katonda yekka ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi (era yye ye nannyini mateeka kwe bikolera) olwo nno alisasula abo abayonoona olwebyo bye bakola era nga alisasula obulungi abo abalongoosa

    [32] Abo abeesamba ebyonoono ebinene ne byo buwemu okugyako ebitonotono, (anti) mazima Mukama omulabirizi wo mugazi wa kusonyiwa ye yaasinga okumanya ebikwata ku mmwe, okuva lwe yabatandikawo nga abagya mu ttaka ne mu kiseera we mwaberera mu mbuto za ba Maama ba mmwe, n’olwekyo temwetukuza anti yye yaasinga okumanya ani asinga okumutya

    [33] Abaffe olabye oyo akyuka (naava ku mazima)

    [34] Era nawaayo katono bwamala ate nammira ddala

    [35] Abaffe (ekimukozesa ekyo) lwakuba nti alina okumanya ebyekusifu, olwo nno naaba nga abiraba

    [36] Oba tabuulirwanga ebyo ebiri mu bitabo bya Musa

    [37] Ne Ibrahim oyo eyatuukiriza (bwe yalaganyisa Katonda)

    [38] (Ebyo ebigamba nti) tewali mwoyo gulyetikka kibi kya mulala

    [39] Era nti omunu tagenda kufuna okugyako ekyo kye yakolerera

    [40] Era nti mazima okukola kwe kya ddaaki kulirabwa

    [41] Oluvanyuma alikusasulwamu empeera esinga okuba enzijuvu

    [42] Era nti mazima ewa Mukama omulabirizi wo yeeri enkomerero (ya buli kimu)

    [43] Era nti mazima yye yaasesa era yaakaabya

    [44] Era nti mazima yye yatta era yaawa obulamu

    [45] Era nti mazima yatonda emitindo ebiri omusajja n'omukazi

    [46] Abagya mu mazzi agazaala bwe gafulumizibwa (negateekebwa mu kifo ekituufu)

    [47] Era nti mazima kuli ku ye yekka okusibusa okulala (okuzuukiza)

    [48] Era nti mazima yye ya gaggawaza era naayavuwaza

    [49] Era nti mazima yye ye Mukama omulabirizi we munyeenye eyitibwa Shiiraa (abakafiiri gye basinzanga)

    [50] Era nti mazima yye yazikiriza abe kibiina kya A'adi abasooka

    [51] Na be kibiina kya Thamud era nga teyalekawo (wadde omu)

    [52] Na bantu ba Nuhu mu kusooka anti mazima bo be baali basinga okweyisa obubi n'okubula

    [53] Era ye yae yazikiriza abantu ba be kitundu ekyavuunikibwa (Sodoma ne gomora)

    [54] Olwo nno ne kikibuutikira ekya kibuutikira

    [55] Kale olwo kiriwa ku byengera bya Mukama omulabiri wo kyobuusabuusa

    [56] Ono (omubaka Muhammad) mutiisa ali mu luse lwa batiisa abaakulembera

    [57] Enkomerero esembedde

    [58] Tewali ayinza kugizzaayo bweriba ezze mpozzi Katonda

    [59] Abaffe ebigambo bino bye mujereegerera

    [60] Nemuba nga museka nemutakaaba

    [61] Nga nammwe muzannya buzannyi

    [62] Kale muvunname ku lwa Katonda era mumusinze (ekyo kye kisinga ebya mmwe bye mulimu)

    Omwezi

    Surah 54

    [1] Enkomerero esembedde n'omwezi ne gubejjukamu

    [2] Bwe balaba ekya magero bakyawukanamu ne bagamba nti lino ddogo eritakoma

    [3] Olwo nno ne balimbisa era ne bagoberera okwagala kwabwe, so nga buli kigambo kirina engeri gye kirina okubaamu (nungi oba mbi)

    [4] Ate nga ddala gaabatuukako amawulire ago agaalimu okukanga (okwandibamaze ne batya Katonda)

    [5] (Kur’ani eno) ejjudde amagezi etuukira ddala wala omuntu, (ekyekitalo) okutiisa kwokka tekumala (kwetagisaako okulungamya kwa Katonda)

    [6] Kale baveeko (olindirire) olunaku omukowooze lwalikowoola (abantu) kugenda eri ekintu ekitayagalwa

    [7] Amaaso gaabwe nga gatunudde wansi, baliva mu kabburi nga balinga ensenene ezisasaanye

    [8] Balisaayirira okugenda eri omukowooze nga abakafiiri bwe bagamba nti, luno lunaku luzito

    [9] Oluberyeberye lwabwe, abantu ba Nuhu balimbisa, olwo nno nebalimbisa omuddu waffe ne bagamba mbu muguwaddalu ate naatiisibwatiisibwa

    [10] Kyeyava asaba Mukama omulabirizi we nti mazima nze nemerdeddwa n’olwekyo nziruukirira

    [11] Olwo nno netuggulawo emiryango gya waggulu ne tumuwa amazzi agafukumuka

    [12] Era ettaka netulifukumulamu ensulo amazzi (ag’emirundi ebiri) ne gasisinkana okusinziira ku kiragiro ekyagerwa edda

    [13] Netumusitulira na bonna abali naye mu lyato eryakolwa mu mbawo ne misumaali

    [14] Nga liddukira (ku mazzi ago) ku lwa buyinza bwaffe, ekyo nga kusasula eri oyo eyali awakanyizibwa

    [15] Mazima (ekyafaayo ekyo) twakireka nga kya kuyiga, abaffe waliwo eyeebuliridde

    [16] (Nebalaba nti) ebibonerezo byange n’okutiisa byali bitya

    [17] Mazima Kur’ani twagifuula nyangu ebeere nga ebuulirira, abaffe waliyo eyebuuliridde

    [18] Abeekika kya Aadi baalimbisa naye ebibonerezo byange n’okutiisa byali bitya

    [19] Mazima ffe twabasindikira kikungunta omukambwe, mu lunaku olwe kikwa ekitaasalako olunaku lwonna

    [20] Eyasikulanga abantu (okuva ku ttaka) nga bagwa nga ebikonge by'emitende ebisiguddwa

    [21] Naye ebibonerezo byange n’okutiisa byali bitya

    [22] Mazima Kur’ani twagifuula nyangu ebeere nga ebuulirira, abaffe waliyo eyebuuliridde

    [23] Abeekika kya Thamud baalimbisa okutiisa kwa (Nabbi waabwe Swaleh)

    [24] Olwo nno ne bagamba nti abaffe omuntu obuntu omu mu ffe, gwetuba tugoberera (netumala tukikola) olwo nno mazima ffe tujja kuba mu bubuze na bugwi bwa ddalu

    [25] Mu ffe fenna ye yaweereddwa obubaka! Nedda ssi bwekiri yye mulimba alina kyalubirira

    [26] Enkya bajja kumanya ani mulimba omwerazi

    [27] (Anti) mazima ffe tujja kuweereza engamiya nga kikemo gye bali, olwo nno batunuulire nkaliriza era ogumikirize (ku nneeyisa yaabwe embi)

    [28] Era bategeeze nti (okuva engamiya lwezze) ddala amazzi ga kugabanyizibwa wakati waabwe nayo, nga buli luwalo lutuukirizibwa, (nyinirwo yaalina okufuna amazzi keebe ngamiya oba bantu)

    [29] Olwo nno baakowoola mu nnaabwe neyeesowolayo naafumita (engamiya)

    [30] Naye ebibonerezo byange n’okutiisa byali bitya

    [31] (Anti) mazima twabasindikira olubwatuka lumu, olwo nno ne baba nga ebisubi ebigwa okuva ku lugo (lwo muntu agenderera okukuuma ebisolo bye)

    [32] Mazima Kur’ani twagifuula nyangu, ebeere nga ebuulirira abaffe waliyo eyebuuliridde

    [33] Abantu ba Luutu baalimbisa obubaka

    [34] Mazima ffe twabasindikira kibuyaga owa mayinja (eyabasanyaawo bonna) okugyako abantu b’o mu maka ga Luutu, twabawonya mu ttumbi

    [35] Ekyo kyengera okuva gye tuli bwe tutyo nno, bwe tusasula oyo eyeebaza

    [36] Mazima (Luutu) yabeekesa okukwata kwaffe wabula nebabuusabuusa okulabula (kwe)

    [37] Mazima baagezaako okumusendasenda abawe abagenyi be (babasiyage) olwo nno netuziba amaaso gaabwe, ne bakomba ku bibonerezo byange n'okulabula kwange

    [38] Era mazima ebibonerezo ebitasalako bya bazinda mu matulutulu

    [39] Olwo nno nebakomba ku bibonerezo byange n’okulabula kwange

    [40] Mazima Kur’ani twagifuula nyangu ebeere nga ebuuririra abaffe waliyo eyebuuliridde

    [41] Mazima okulabula kwajjira abantu ba Firawo

    [42] Baalimbisa ebigambo byaffe byonna, olwo nno netubakwata enkwata ya Nantakubwa ku mukono, nannyini buyinza

    [43] Abakafiiri ba mmwe be balungi okusinga abo! oba (ekibayinula) mulina akalagaane ku butavunaanwa nga kawandiikibwa mu bitabo ebitukuvu ebyasooka

    [44] Oba (ekibayinula lwakuba) bagamba nti ffe tuli bangi nga twegasse tusobola okwetaasa

    [45] (Zibasanze) ekibiina (ekyo) kijja kuwangulwa era bakubeyo amabega (badduke)

    [46] (Byonna bye baliko temuli) wabula olunaku lw’enkomerero ye ndagaano yaabwe era olunaku lw’enkomerero lwelusinga obukalubo n’obukaawu

    [47] Mazima abonoonyi bali mu bubuze na bugwi bwa ddalu

    [48] (Bandibadde bajjukira) olunaku lwe baliwalulwa ku byenyi byabwe mu muliro (nga bwe bagambibwa nti) mukombe ku bulumi bw’omuliro Sakara

    [49] Mazima ffe buli kintu twakitonda mu ngeri nga bwe kisaana okuba

    [50] (Ate mu kukola ebintu byonna) ekiragiro kyaffe tekiri okugyako kimu nga kiringa lutemya lwa liiso

    [51] Era ddala twazikiriza abafaanana nga mmwe, abaffe waliyo eyebuuliridde

    [52] Na buli kintu kyonna kye baakola kiri mu kitabo

    [53] Era buli kitono n'ekinene kyawandiikibwa

    [54] Mazima abatya Katonda balibeera mu jjana n’emigga (egiriba gikulukutira wansi waazo)

    [55] Mu kifo ekya mazima ew’omufuzi nannyini buyinza

    Omusaasizi

    Surah 55

    [1] (Katonda) omusaasizi ennyo

    [2] Yayigiriza (omuntu) Kur’ani

    [3] Yatonda omuntu

    [4] Yamuyizigiriza okunnyonnyola

    [5] Enjuba n’omwezi bitambulira ku nteekateeka (eyabiweebwa)

    [6] Ebiddo n’emiti (bivunnama nga bisinza Katonda)

    [7] Era eggulu yalisitula era nassaawo obwenkanya

    [8] Mube nga temusukka ebipimo (mu kutuukiriza obwenkanya)

    [9] Era muyirizeewo ebipimo mu bwenkanya era temukendezanga minzane

    [10] N'ensi yagiteerawo ebitonde

    [11] Nga erimu ebibalo n’emitende egirina ebirimba

    [12] N'ebimera ebye mpeke eziri mu bikuta n’ebimera ebya kawoowo

    [13] Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

    [14] Yatonda omuntu mu bumba eggumu eriringa ejjokye

    [15] Ate naatonda amajinni mu bitawuliro by’omuliro

    [16] Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

    [17] Mukama omulabirizi w’o buvanjuba bwombi, era Mukama omulabirizi w'obugwanjuba bwombi

    [18] Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

    [19] Yagatta enyanja ebbiri (ez’amazzi agenjawulo aganyweka na gatanyweka) zesisinkana

    [20] Wakati wa zombi waliwo ekyawula, tezigenda kwetabula

    [21] Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

    [22] Ate nga mu zombi mwe muva Luulu ne Marijaani (amayinja ag’omuwendo)

    [23] Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

    [24] Era gatambula ku lwo buyinza bwe amaato agakolwa ku lwo kutambulira ku nyanja nga galinga ensozi

    [25] Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

    [26] Buli kyonna ekigiriko (ensi) kya kuggwawo

    [27] Olwo nno wasigalewo obwennyini bwa Mukama omulabirizi wo, nannyini kugulumizibwa era nannyini kitiibwa

    [28] Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

    [29] Bimusaba ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ensi (naye nga) buli lunaku aba ku ngeri ndala (mu kugera kwe)

    [30] Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

    [31] Tujja kubateerawo ekiseera abange mmwe ebitonde ebizito ebibiri (amajinni n’abantu, ekiseera ekyo mwe tulibalira buli omu)

    [32] Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

    [33] Abange mmwe ab'oluse lwa majinni n’oluse lwa bantu, bwe muba musobola okuyita mu bitundu bye ggulu omusanvu n'ensi (mube nga mudduka ku Katonda) kale muyitemu (naye) temuyinza kuyitamu okugyako nga mulina obusobozi

    [34] Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

    [35] Musindikirwa mwe ab'emirundi ebiri (amajinni n’abantu) ebitawuliro byomuliro, n’ekikomo ekisaanuuse (naye temusobola kwetaasa)

    [36] Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

    [37] Olwo nno eggulu bwe liribajjuka nerirabika nga ekimuli ekimyufu (olwamaanyi g’omuliro) neriba nga omuzigo omusanuuse

    [38] Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

    [39] Ku lunaku olwo ekibi omuntu (kye yakola) tekigenda kubuuzibwa muntu mulala oba ejinni

    [40] Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

    [41] Abonoonyi balimanyibwa olwobubonero bwabwe, olwo nno nebakwatibwa ku nviiri z’o mu buwompo n’ebigere (nebamenyebwamu nebakasukwa mu muliro)

    [42] Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

    [43] Baligamba nti guno gwe muliro Jahannama abonoonyi gwe baali balimbisa

    [44] Bagenda kwetoloolera wakati waagwo ne wakati w'olwegye oluyitirivu lwokwokya

    [45] Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

    [46] Era oyo eyatya okuyimirira mu kifo kya Mukama omulabirizi we alina e jjana bbiri

    [47] Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

    [48] Ezirimu amatabi agalanda

    [49] Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

    [50] Mu zombi (e jjana) mulimu ensulo bbiri ezikulukuta

    [51] Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

    [52] Mu zombi mulimu ku buli kika kya kibala emitindo ebiri ebiri

    [53] Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

    [54] (Abalibeeramu) baliba bagalamidde ku byaliiro, nga munda mwabyo mulimu Liiri omuzito, nga ne nimiro za jjana zombi ebibala byamwo bireebeeta (byangu bya kulaba era byangu bya kunoga)

    [55] Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

    [56] Mu zo (e jjana) mulimu abakyala abamaaso amakkakkamu (embeerera) nga tebakwatwangako muntu yenna wadde ejinni oluberyeberye lwabwe (abo abaliba babaweereddwa mu jjana)

    [57] Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

    [58] (Olwo bulungi bwabwe) baliba nga Yaakut ne Marijaan (amayinja ag’omuwendo)

    [59] Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

    [60] Abaffe empera y’okukola obulungi (eyinza okuba ekintu ekirala kyonna) okugyako okusasulwa obulungi

    [61] Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

    [62] Nga oggyeko ezo ebbiri baakufuna ate e jjana endala bbiri

    [63] Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

    [64] Eza kiragala omukwafu

    [65] Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

    [66] Mu zombi mulimu ensulo bbiri ezifukumuka amazzi

    [67] Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

    [68] Mu zombi mulimu ebibala n’emitende ne nkoma mawanga

    [69] Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

    [70] Muzonna awamu zirimu abakyala abalungi be mpisa era abalungi mu ndabika

    [71] Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

    [72] Ba nalulungi abatafulumafuluma mu weema

    [73] Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

    [74] Nga tebakwatwangako muntu yenna wadde ejinni oluberyeberye lwabwe, (abo abaliba babaweereddwa mu jjana)

    [75] Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

    [76] Baliba besigamye ku mitto egiriko ebibikka ebya kiragala ne byaliiro ebirungi ennyo

    [77] Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)

    [78] Sukkulumu erinnya lya Mukama omulabirizi wo nannyini kugulumizibwa n’okuweebwa ekitiibwa

    Ekigenda kubaawo

    Surah 56

    [1] Ekiseera ekitaliimu kubuusabuusa bwe kirituuka

    [2] Okutuuka kwakyo tekuliimu kubuusabuusa

    [3] Kirikakkanya (abeeyisa obubi era) kirisitula (abeeyisa obulungi)

    [4] Ensi bwe rikankanyizibwa olukankana

    [5] N'ensozi nezimerengulwa olumerengulwa

    [6] Olwo nno nezifuuka enfuufu efumuuka

    [7] Era mmwe nemuba emitendera esatu

    [8] Olwo nno newabaawo ogwa ba nannyini mukono ogwa ddyo, yye omanyi okubeera ku mukono ogwaddyo kye kitegeeza

    [9] Era newabaawo n’ogwa ba nannyini mukono ogwa kkono, yye omanyi okubeera ku mukono ogwa kkono kye kitegeeza

    [10] Newabaawo n’ogwabo abaakulembera, abalikulembera mu buli kimu

    [11] Abo be bo kusembezebwa (ewa Katonda)

    [12] Nga bali mu jjana ez'ebyengera

    [13] Bangi mu bibiina ebyasooka

    [14] Nabatono mu kibiina kya bantu abenkomerero (abekibiina kya Nabbi Muhammad)

    [15] (Balibeera) ku bitanda ebyakolebwa mu zzaabu n'amayinja amalala agomuwendo

    [16] Baliba bagalamidde ku byo nga boolekaganye (nga banyumya)

    [17] Abaweereza abalenzi, abolubeerera baliba babayitamu

    [18] Nga balina ebikopo, amabinika ne giraasi ebijjudde omubisi oguva mu nsulo

    [19] Tebagenda kulumwa mutwe olwagwo era tebagenda kutamiira

    [20] N’ebibala (ebye njawulo) mwebyo bye baliba nga basazeewo

    [21] Ne nnyama y’ebinyonyi eyo gye baliyagala

    [22] N'abakyala abalungi abamaaso agatemagana

    [23] Nga balinga Luulu akuumibwa obutiribiri

    [24] (Ebyo byonna) nga mpeera yeebyo bye baali bakola (ebirungi ku nsi)

    [25] Tebagenda kuwulira mu yo luyogaano wadde ebigambo ebyesittaza

    [26] Okugyako okugamba nti mirembe, mirembe

    [27] Abantu bo ku mukono ogwa ddyo, abaffe omanyi abantu bo ku mukono ogwa ddyo baliba batya

    [28] Balituula (mu bittuluze) by'emiti gya Sidiri atemeddwako amaggwa

    [29] N'ensuku ezirimu amatooke agaliko ebiwagu ebiberekaganye

    [30] N'ebisikirize ebigazi

    [31] N'amazzi agakulukuta awatali kusalako

    [32] N'ebibala ebingi

    [33] Ebitaggwawo ate ebitatekebwako kkomo

    [34] N'ebyaliiro ebisuffu ebya waggulu

    [35] Mazima ffe twatonda abakyala bo mu jjana olutonda

    [36] Olwo nno twabatonda nga mbeerera

    [37] Nga bulijjo baganzi eri ba bbaabwe nga tebakakiddwa

    [38] Nga bo ba bantu abalibeera ku mukono ogwa ddyo

    [39] Bangi mu bibiina ebyasooka

    [40] Era bangi mu kibiina kya bantu ab'enkomerero (ab’ekibiina kya Nabbi Muhammad)

    [41] Ate abantu bo ku mukono ogwa kkono, abaffe omanyi abantu bo ku mukono ogwa kkono baliba batya

    [42] Balibeera mu kibuyaga ayokya n’amazzi ageeseze

    [43] Nga nebisikirize mwe balyewogoma, biriba bya mu mukka omuddugavu ogwokya

    [44] Biriba tebinnyogoga era nga tebisanyusa

    [45] Anti mazima bo oluberyeberye lwa kino baali baamalibwawo ebyo kwe jalabya

    [46] Era baalemeranga ku kibi ekinene (bwe baalayiranga nti tewali kuzuukira)

    [47] Era baagamba nga nti bwetufa netufuuka ettaka, era netusigala ngumba gumba abaffe tulizuukizibwa

    [48] Ne bakadde baffe abasooka (nabo bwe batyo)

    [49] Bagambe ggwe (Nabbi Muhammad) nti mazima abasooka n'aboluvanyuma

    [50] Ddala ba kukunganyizibwa ku lunaku olwasalibwawo olumanyiddwa

    [51] Oluvanyuma mazima mmwe, abange mmwe ababuze abalimbisa

    [52] Ddala mugenda kulya ku muti gwa zakkumu

    [53] Nulijjuza nagwo embuto (gujjuze embuto zammwe)

    [54] Olwo nno munywereko amazzi ageeseze

    [55] Mugenda kunywa ng'ennywa ye ngamiya erina ennyonta

    [56] Obwo bwe buliba obugenyi bwabwe ku lunaku lwo kusasula

    [57] Ffe twabatonda, kale singa mukkiriza (okusinziira kwekyo)

    [58] Abaffe mulaba amazzi (agazaala) ge muteeka mu nnabaana

    [59] Abaffe mmwe mugatonda oba ffe batonzi

    [60] Ffe twagera netussa wakati wa mmwe okufa, (netubakakasaako okufa) era tetuli ffe ba kulemesebwa

    [61] Okuba nga tuwaanyisa abalinga mmwe (mu mmwe) olwo nno mmwe, netubakolamu ebirala bye mutamanyi

    [62] Ate nga ddala mwamanya entandikwa eyasooka (engeri Katonda gye yabatondamu) kale singa mwebulirira

    [63] Abaffe mulaba ebyo bye mulima

    [64] Abaffe mmwe mubimeza oba ffe tumeza

    [65] Singa twagadde tusobola okubifuula ebikaze nemusigala nga mwewunaganya

    [66] (Nga mugamba nti) mazima ffe tetufunye ate nga tubanjibwa

    [67] (Si kye kyokka) wabula ffe tummiddwa

    [68] Abaffe mulaba amazzi ago gemunywa

    [69] Mwe mugassa okuva mu bire oba ffe tugassa

    [70] Singa twagadde twaligafudde olukalabule kale singa mwebaza (Katonda olwo kugafuula amalungi)

    [71] Abaffe mulaba omuliro ogwo gwe mukuma

    [72] Abaffe mmwe mwatandikawo omuti gwagwo, oba ffe twagutandika

    [73] Ffe twagufuula kya kujjukiza, era nga gwa mugaso eri abatambuze (abataba na byoto bibakumira muliro)

    [74] Kale tendereza erinnya lya Mukama omulabirizi wo owekitiibwa

    [75] Tewali kingaana kulayira bifo bya munyeenye

    [76] Era mazima kwo ddala kulayira kunene singa mubadde mumanyi

    [77] Okuba nti ddala yo Kur’ani yakitiibwa

    [78] Eri mu kitabo ekikuumibwa obutiribiri (ku Lawuhu al mahfudhu)

    [79] Takikwatako okugyako abaatukuzibwa (ba malayika abatalina bukyafu bwa mibiri oba obwe nzikiriza)

    [80] Essibwa okuva ewa Mukama omulabirizi w’ebitonde

    [81] Abaffe ebigambo bino (ebya Kur’ani) mmwe bye mugayaalirira

    [82] Okugirimbisa mmwe ne mukifuula okuba nga ye Riziki yammwe

    [83] Singa omwoyo wegutuukira mu ddokooli (musala amagezi nemugutaasa)

    [84] Ate nga mmwe mu kiseera ekyo mubaawo nga mutunula

    [85] Era ffe tuba okumpi naye okusinga mmwe, naye temulaba

    [86] Kale singa mwali temufugibwa (Katonda)

    [87] Muyinza okugamba nti mwandiguzizzaamu mu mubiri, bwe muba mwogera mazima

    [88] Naye (omufu) bwaba mu bo kumpi (ne Katonda)

    [89] Aliba mu kwesiima na mirembe na jjana eye byengera

    [90] Ate bwaba mu bantu bo ku mukono ogwa ddyo

    [91] (Aliyozebwayozebwa nti) emirembe gibeere ku ggwe, olwokuba oli mu bantu bo ku mukono ogwa ddyo

    [92] Wabula bwabeera nga ali mu balimbisa ababuze

    [93] (Oyo nno) obugenyi (bwe) bwalwegye lwa mazzi

    [94] Nakwesogga muliro Jahiimu

    [95] Mazima ebyo ge mazima agannamaddala

    [96] Kale nno tendereza erinnya lya Mukama omulabirizi wo owekitiibwa

    Ekyuma

    Surah 57

    [1] Byonna ebiri mu ggulu omusanvu ne nsi bitendereza Katonda, era yye ye nnantakubwa ku mukono mugoba nsonga

    [2] Bubwe yekka obufuzi bwe ggulu omusanvu n'ensi,awa obulamu era natta, era yemuyinza ku buli kintu

    [3] Yye ye yasooka era ow'enkomerero, era yye yaali waggulu wa buli kintu, era yaasooka wansi, nga wansii we tewali kintu kirala, era yye amanyi ebifa ku buli kintu

    [4] Yye yooyo eyatonda eggulu omusanvu n'ensi mu nnaku omukaaga, oluvanyuma yatebenkera ku Arish, amanyi ebikka ku nsi nebigifuluma n'ebyo ebikka okuva mu ggulu nebiryambukamu, era yye aba wamu na mmwe wonna wemuba, era Katonda alabira ddala ebyo bye mukola

    [5] Bubwe yekka obufuzi bwe ggulu omusanvu n'ensi era eri Katonda ebintu byonna gye bizzibwa

    [6] Abuliza ekiro mu musana, era naabuliza omusana mu kiro, era yye amanyidde ddala ebiri mu bifuba

    [7] Mukkirize Katonda n’omubaka we, era mugabe kwebyo bya yabafuula abasigire mu byo, abo nno abakkiriza mu mmwe era ne bagaba, balina empeera ensuffu

    [8] Mwabaaki obutakkiriza Katonda ng’ate omubaka abakowoola mube nga mukkiriza Mukama omulabirizi wa mmwe, ate nga yabakozesa endagaano (kwekyo), bwe muba abakkiriza (nga mukyali ku ndagaano gyeyabakozesa)

    [9] Yye yooyo assa ku mudduwe (Muhammad) ebigambo ebinnyonnyofu, abe nga abagya mu bizikiza mudde eri ekitangaala, era mazima Katonda mukwata mpola ku mmwe, musaasizi nnyo

    [10] Mutya bwe mutayinza kuwaayo mu kkubo lya Katonda ng’ate obusika bwe ggulu omusanvu n'ensi bwa Katonda, oyo eyawaayo mu mmwe nga obuwanguzi (bwe Makkah) tebunnabaawo, era nalwana (tayinza) kwenkana ne yakikola oluvanyuma) bali (abasoose) be be ddaala erya waggulu okusingaabo abaawaayo oluvanyuma era ne balwana. Naye nga bonna Katonda yabalagaanyisa (okubasasula) ebirungi, Katonda amanyidde ddala ebyo bye mukola

    [11] Ani oyo awola Katonda oluwola olulungi, olwo nno alumubalizeemu, era nga alina empeera eweesa ekitiibwa

    [12] Olunaku lwoliraba abakkiriza abasajja n'abakkiriza abakazi, nga ekitangaala kyabwe kibali mu maaso gaabwe, ne ku mikono gyabwe egya ddyo nga ba Malayika babagamba nti ekyessanyu kya mmwe olwaleero ze jjana nga gikulukutira wansi waazo emigg, muli ba kuzibeeramu obugenderevu, ekyo kyo kwe kwesiima okusukkulumu

    [13] (Fumitiriza) olunaku abananfusi abasajja na bannanfusi abakazi lwe baligamba abo abakkiriza, nti mutulinde tulabise ku kitangaala kya mmwe, walirangirirwa nti mudde emabega wa mmwe (gye muvudde) munoonye ekitangaala, olwo nno waliteekwa wakati waabwe ekikomera nga kiriko omulyango, nga munda waakyo (ku ludda eribeera abakkiriza) waliyo okusaasira, ate nga ebweru waakyo (ku ludda eribeera abananfusi) ebibonerezo gyebiriba bisibuka

    [14] Balibakowoola (nga bagamba nti mutumma ekitangaala) abaffe tetwali na mmwe, baligamba nti wewaawo, naye mazima mmwe, mwesuula mu bikemo, ne mulindiriza, ne mubuusabuusa ,essuubi ekyavaamu neribagayaaza okutuusa ekigambo kya Katonda lwekyajja era ebigayaaza nebibajja ku Katonda

    [15] Kale nno olwaleero temuli ba kuggibwako nunuzi, wadde okugiggya kwabo abakaafuwala (mwenna) obuddo bwa mmwe muliro, ggwo gwe gubagyamu, naye nga buddo bubi

    [16] Abaffe ekiseera tekituuse eri abo abakkiriza okuba nga emitima gyabwe gigonda ku lwokwogera ku Katonda, ne ku lwebyo ebyamazima ebisse, baleme kuba nga abo abaweebwa ekitabo (Tauraati ne Injili) oluberyeberye, olwo nno ekiseera ekyayitawo ku bo (wakati waabwe ne ba Nabbi) nekiwanvuwa, emitima gyabwe negikakanyala, era bangi mu bo bonoonyi

    [17] Mumanye nti mazima Katonda awa obulamu ettaka oluvanyuma lwokufa (okukala) kwalyo, mazima tubannyonnyodde ebigambo (byaffe) mube nga mutegeera

    [18] Mazima abasajja abasaddaaka, na bakyala abasaddaaka, era ne bawola Katonda oluwola olulungi, (bye bawaayo) Katonda abibakubisizaamu, era balina empeera eyekitiibwa

    [19] Era abo abakkiriza Katonda n'ababaka be, abo bbo be bakkiriza abannamaddala, na balafuubana mu kuweereza mu kkubo lya Katonda, balina empeera yaabwe n'ekitangaala kyabwe ewa Mukama omulabirizi waabwe, ate abo abakafuwala ne balimbisa ebigambo byaffe, abo be ba nannyini muliro

    [20] Mumanye nti mazima obulamu bwensi muzannyo na binyumo, nakwewunda nakwewaana wakati wa mmwe, nakulaga bungi bwa mmaali na baana, (wabula ebyo tebisaana kubuza muntu) anti bifaananako enkuba (emeza ebirime) ebimera byabyo nebisanyusa abalimi, oluvanyuma nebikula, olwo nno noobiraba nga byengedde, oluvanyuma nebifuuka ebisusunku naye mu bulamu obwenkomerero waliyo ebibonerezo ebikakali. (nga era bwe waliyo) ekisonyiwo n’okusiima ebiva ewa Katonda. Obulamu bwensi tebulina kye buli okugyako okuba okweyagala okugayaaza obugayaaza

    [21] Muvuganye nga mudda eri ekisonyiwo ekiva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe (era nga mudda), eri e jjana obugazi bwayo bwenkana obugazi bwe ggulu ne nsi nga yategekerwa abo abakkiriza Katonda nababaka be. Ebyo bigabwa bya Katonda, abiwa oyo gwaba ayagadde, era Katonda ye nnyini bigabwa ebisuffu

    [22] Tewali kabi kabaawo mu nsi, wadde okutuuka ku mmwe okugyako nga kaali mu kitabo nga tetunnaba ku katuusaawo, ddala ekyo kyangu nnyo ku Katonda

    [23] Muleme kukubandeka mwoyo kwekyo ekiba kibasubye, era muleme kusanyuukirira olwekyo kyaba abawadde, Katonda bulijjo tayagala mwerazi omwewulize

    [24] (Abantu abo) beebo abakodowala ne bakalaatira n’abantu obukodo, oyo yenna akyuka (naava ku biragiro bya Katonda) mazima Katonda yye yaatali mwetaavu, atenderezebwa

    [25] Ddala twatuma ababaka baffe nga baleeta obunnyonnyofu netubassaako ekitabo (nga kirimu amateeka) era netubalagira okukozesa Minzaani, abantu babe nga bayimirizaawo obwenkanya, era netussa (wo) ekyuma nga kirimu amaanyi amasuffu n’emigaso (nfaafa) eri abantu, olwo nno Katonda alyoke amanye oyo amutaasa era nataasa ababaka be, awamu n’okuba nti (Katonda) talabwa. Mazima Katonda wa maanyi, nantakubwa ku mukono

    [26] Mazima twatuma Nuhu ne Ibrahim netussa muzadde lyabwe bombi obwa Nabbi n’ekitabo, olwo nno mu bo mulimu omulungamu naye abasinga obungi mu bo bonoonyi

    [27] Oluvanyuma twagobereza ku buufu bwabwe ba Nabbi baffe, kwabo twagoberezaako Isa mutabani wa Mariam, netumuwa ne Injil, era twassa mu mitima gyabo abamugoberera okulumiriganwa n'okusaasira, era bakolera ku bu sosodooti bwe baagunjaawo, tetububawandiikangako (wabula bo bwegunjirawo) mbu nga banoonya okusiima kwa Katonda, olwo nno ate tebabukolerako nga bwekyali kyetaagisa okubukolerako, kale netuwa abo abakkiriza mu bo empeera yaabwe, era abasinga obungi mu bo bonoonyi

    [28] Abange mmwe abakkiriza mutye Katonda era mukkirize n’omubaka we, ajja kubawa okusaasira kwe emirundi ebiri, era abateerewo ekitangaala nga kwe mutambulira, era abasonyiwe, bulijjo Katonda musonyiyi nnyo, musaasizi

    [29] (Ebyo byonna lwakuba nti) abaweebwa ekitabo babe nga bamanya nti tebalina kintu kyonna ku bigabwa bya Katonda kye balinako buyinza, era bamanye nti ebigabwa byonna biri mu mukono gwa Katonda, abiwa gwaba ayagadde, bulijjo Katonda ye nanyini bigabwa ebisuffu

    Omukazi Omwegayirizi

    Surah 58

    [1] Ddala Katonda awulidde ebigambo byo mukyala ey'emulugunyizza gyoli ku bba era n'awaaba eri Katonda era Katonda abadde awulira ebigambo bye mubadde muwanyisiganya anti Katonda bulijjo awulira era alaba

    [2] Abo bonna mu mmwe abagamba bakyala baabwe nti emigongo gyabwe giringa egya ba nnyabwe (abo be bakigamba) tebabangako ba maama baabwe. Ba maama baabwe beebo ababazaala. (mu kwogera batyo) mazima bbo boogera ekigambo ekibi. Mu kiseera kye kimu nga kigunje. Wabula mazima ddala Katonda alekera era asonyiwa

    [3] Abo bonna abazira bakazi baabwe olw'okulayira nti kubo balinga bannyaabwe ate oluvanyuma nebaddayo eri ekyo kye baali balayiridde (oyo akikola) ateekwa okuta omuddu nga tannaba kuddayo kulabagana namukyalawe. Ekyo nno kyemuteekwa okukola, anti Katonda amanyi nnyo byonna byemukola

    [4] Oyo aba tasobodde kuta muddu nga tannalabagana na mukyalawe ateekwa okusiiba emyezi ebiri nga gigoberegana, wabula oyo aba tasobodde ateekwa okuliisa ba masikiini nkaaga. Ekyo kibafuule abakkiriza Katonda n'omubakawe, ago mateeka g'aKatonda era bulijjo abawakanya amateeka g'a Katonda bagenda kutuukibwako ebibonerezo ebiruma

    [5] Mazima abo abawakanya Katonda n'omubakawe baswavu nga abaabasooka bwe baaswazibwa, ate nga twassa amateeka agannyonnyola (Haraamu ne Halaal) naye abo abagawakanya bajja kutuukibwako ebibonerezo ebigenda okubanyoomesa

    [6] Olunaku Katonda lwalibazuukiza bonna n'ababuulira ebyo byebaakola, Katonda yabikunganya n'abikomekkereza. So ng'ate bbo baabyerabira. Bulijjo Katonda mujulizi ku buli kintu

    [7] Abaffe tomanyi nti mazima Katonda amanyi ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi, nga tewali kafubo konna kakabe k'abasatu okugyako nga yye waakuna, wadde ak'abataano okugyako nga yye w'amukaaga wadde abatono abatenkana basatu oba abali waggulu w'omukaaga okugyako Katonda aba nabo awo wonna webali, oluvanyuma Katonda ku lunaku lw’enkomerero agenda kubategeeza ebyo byonna byebaali bakola. Anti Katonda amanyi buli kintu kyonna

    [8] Abaffe tolaba abo abagaanibwa okukola obufubo (obwenkwe) oluvanyuma ne baddamu ekyo kyenyini ekyabagaanibwa, nga bogeraganya wakati waabwe mu nkukutu olw'okukola ebikyamu n'obulabe n'okujeemera omubaka. Era nga bwe baba bazze gyoli bakulamusa n'ekiramuso ekitali ekyo Katonda kyeyakutekerawo, nga bwe bagamba mu mitima gyaabwe nti lwaki Katonda tatubonereza olwebyo byetwogera. Omuliro Jahannama gwebagenda okuyingira gubamala. Nayo nno nkomerero mbi

    [9] Abange mmwe abakkiriza bwe mubanga muteesa mu kyama temuteesanga okukola ekibi kyonna oba obulabe oba okujeemera omubaka. Muteesenga byakukola bulungi nakutya Katonda. Era mutye Katonda anti gyali gyemugenda okukunganyirizibwa

    [10] Mazima okuteeseganya mu kyama mu ngeri embi n'okukola obulabe kikolwa kya Sitaane (nga nekigendererwa kye) kunyiiza bakkiriza. Ekyo tekiyinza kubaleetera kabi konna, okugyako nga Katonda akkirizza era abakkiriza bateekwa kwesiga Katonda yekka

    [11] Abange mmwe abakkiriza bwe muba mugambiddwa nti mwefunze mu ntuula (ne banammwe bafune ebifo) mukikole. Katonda ajja ku basobozesa okugaziwa, ate bwe muba mugambiddwa okusituka (okuva mu kifo olwensonga yonna) musituke, anti Katonda asitula amadaala mu mmwe abakkiriza n'abo abaweebwa okumanya. Bulijjo Katonda mumanyi nnyo webyo byonna byemukola

    [12] Abange mmwe abakkiriza bwemwagalanga okwogera n'omubaka musookenga ku saddaka, nga temunayogera naye. Ekyo kye kirungi gye muli era kyekisinga era kibatukuliza ddala. Naye bwe muba temulina kyemusadaka mazima Katonda musonyiyi waakisa

    [13] Abaffe muzitowereddwa okuwaayo saddaka nga temunnaba kwogera ne Nabbi. Kale bwekibanga kibalemye oba nga ne Katonda abasonyiye, kale nno muyimirizeewo e sswala mutoole e zzaka mugondere Katonda n'omubakawe. Mazima Katonda amanyidde ddala nnyo ebyo byemukola

    [14] Abaffe tewamanya abo abakwanagana n'abantu Katonda beyasunguwalira, abantu abo mu butuufu si ba mu mmwe wadde si ba mu bali (Bebakwanagana nabo) nebatuuka n'okulayira ku bulimba nga ate ddala bamanyi (ekituufu)

    [15] Katonda yabategekera ebibonerezo ebikambwe, anti mazima byonna byebaakolanga bibi

    [16] (Okulayira kwabwe nti basiramu) baakifuula ekyokuwona, olwo nno nebaziyiza abantu okukola emirimu gya Katonda, bagenda kutuukibwako ebibonerezo ebinyomesa

    [17] Emaali yaabwe n'abaana baabwe tebigenda kubagasa naakamu mumaaso g'a Katonda. Abo be bantu bo mumuliro ab'okugubeeramu obugenderevu

    [18] Olunaku Katonda lwalibazuukiza bonna nebamulayirira nga bwebaabalayirira mmwe ku nsi nga balowooza nti kyebakoze kyakubagasa. Abange, abo nno beebalimba bennyini

    [19] Sitaane yabeefunza okutuusa lweyabeerabiza okwogera ku Katonda. Abo nno be bagoberezi ba Sitaane. Mukimanye nti mazima ab'ekibiina kya Sitaane be b'okufafaganirwa

    [20] Mazima abo abawakanya Katonda n'omubakawe ba mu bantu abanyoomebwa

    [21] (Katonda) yakakasa dda nti nze Katonda n'ababaka bange tuli baakuwangula anti Katonda wamaanyi. Nnantakubwa ku mukono

    [22] Tewali bantu bonna abakkiriza Katonda n'olunaku lw’enkomerero baalibadde batiitiibya abo abawakanya Katonda n'omubakawe, kababe ba kitaabwe, oba baana baabwe, oba baganda baabwe, oba nga baaluganda lwabwe olwokumpi. Abo nno (abatakola ekyo) Katonda yatebenkeza obukkiriza mu mitima gyabwe, naabawagira naamanyi agava gyali era nga agenda kubayingiza e jjana egikulukutira wansi waazo emigga, nga bakubeera mu zo olubeerera. Katonda yabasiima nga nabo bwebaamusiima. Kisaana kimanyike nti mazima abo b'ebantu ba Katonda abokwesiimira ddala

    Okugobwa

    Surah 59

    [1] Ebiri mu ggulu ne mu nsi byonna bitendereza Katonda nantakubwa ku mukono, assa buli kintu mu ssa lyakyo

    [2] Y'eyafulumya abo abaakafuwala mu bayudaaya (Ab'ekiika kya ba Banu Nadhiri) mu ngeri y'okubawangangusa okuva mu mayumba gaabwe olufuluma olwasooka. Temulowoozangako mmwe abakkiriza nti (ba Banu Nadhiri) bayinza okugobwa ate bo (ba Banu Nadhiri) baalowooza nti ebigo byabwe bijja kulemesa Katonda okubatuusaako ekyo kyayagala. Katonda nakibatuusaako mu kiseera webaali batakisuubirira. Era Katonda nateeka mu mitima gyabwe okutya okwensusso nga bo bennyini be bemenyera amayumba gaabwe n'emikono gyabwe, n'emikono gya bakkiriza negikola ekyo. Kale nno abategeera mumwe mugyemu ekyokuyiga

    [3] Singa tekyali nti Katonda yabasalirawo ku bawangangusa yaalibadde ababonereza kuno ku nsi, ate nga ne ku nkomerero abategekedde ebibonerezo byomuliro

    [4] Ekyo nno lwansonga yaakuba nti baawakanya Katonda n'omubakawe. Ate nga oyo yenna awakanya Katonda, amanye nti mazima Katonda muyitirivu waakubonereza

    [5] Emiti gye ntende gyonna gyemwatema oba jemwaleka nga giyimiridde nga bwegyali, ebyo byonna byakolebwa lwa kiragiro kya Katonda, era alyoke aswaze abo abonoonyi

    [6] Eyo emmaali Katonda gyeyasobozesa omubakawe okusuuza abalabe. (ba Banu Nadhiri) temwebagala nfaransi wadde engamiya okugenda gyebali. Wabula Katonda asobozesa ababakabe okuwangula oyo yenna gwaba ayagadde okuwangulwa, mazima Katonda asobola buli kintu kyonna

    [7] Emmaali eyo yonna Katonda gyeyasobozesa omubakawe okusuuza okuva mu byalo (bya ba Banu Nadhiri ng'olutalo luggweredde mu kutegeeragana) eba y'a Katonda, n'omubakawe, n'aboluganda lwa Nabbi olwokumpi, ne ba mulekwa, ne ba masikiini, n'abatambuze naabo abafunye ebizibu mu ngendo zaabwe. Emmaali eyo ereme kuba nga abeegasa nayo bagagga bokka mu mmwe. Ebyo byonna omubaka byaba abaleetedde mubitwale. Ate ebyo byonna byaba abaziyizza mubireke mutye Katonda anti Katonda muyitirivu w'akubonereza

    [8] Na bwe kityo abaavu abaasenguka okuva e (Makkah) ne bagobwa mu mayumba gaabwe ne balesebwa e mmaali yaabwe nga banoonya obulungi n'okusiima kwa Katonda era nga baali bataasa ddiini y'a Katonda n'omubakawe (balinako omugabo). Abo nno b'ebakkiriza abamazima

    [9] Abatuuze b'e Madinah abaasooka okukkiriza obusiramu (ba Answar) baagala abo abaasengukira gyebali (ba Muhajiruuna), era tebalina nsaalwa yonna kwebyo ebyaweebwa bannabwe (ba Muhajiruna) era nga beeresa newakubadde nga balina obwetaavu bo bennyini. Omuntu awona omulugube, abo nno b'ebokwesiimira ddala

    [10] Naabo abajja oluvanyuma lwabwe babasabira nga bagamba nti ayi Katonda tusonyiwe ne baganda baffe abaatukulembera mu bukkiriza, era tossa mu mitima gyaffe nsaalwa yonna eri abo abakkiriza. Ayi Katonda waffe gwe musaasizi oweekisa ekingi

    [11] Abaffe tolaba (ggwe Nabbi Muhammad) abananfunsi abagamba bannabwe abaakafuwala mu bayudaaya nti singa munaaba mugobeddwa naffe tujja kugenda nammwe. Era tetulikkiriza kigambo kyamuntu yenna ku bikwata ku mmwe. Era bwemulirwanyisibwa tugenda kubataasa. Ne Katonda akakasa nti mazima ddala baali balimba

    [12] Wabula singa (abayudaaya) bagobwa, abananfunsi tebagenda nabo. Ate ne bwebaba balwanyisiddwa tebabataasa. So nga ne bwebaba bagezezzaako okubataasa babaddukako, n'oluvanyuma nebatafuna kutaasibwa kwonna

    [13] (Abakkiriza), mwe mutiibwa mu mitima gyabwe okusinga bwe batya Katonda. Ekyo nno lwakuba nti bbo kibiina ky'abantu abatategeera

    [14] (Abayudaaya n'abananfunsi) tebayinza kubalwanyisa nga bali wamu okugyako nga bali mu byalo ebiriko ebigo, oba nga bali mabega w'abisenge. Obulabe wakati waabwe bokka buyitirivu obalowooza okuba nti bali wamu, so nga emitima gyaabwe myawukamu. Ekyo nno lwakuba nti bo kibiina kyabantu abatategeera

    [15] (Ba Banu Nadhiri) bafaanana naabo abaabakulembera e mabegako katono (Abakafiiri be Makkah abaawangulwa obubi ennyo ku lutalo lwe Badri) baaloza ku bukaawu bwe bikolwa byabwe (ku nsi) ate nga balinayo ebibonerezo ebiruma ennyo (ku nkomerero)

    [16] (Abananfunsi mu kusendasenda abayudaaya) balinga Sitaane bwe gamba omuntu nti kaafuwala. Wabula bwakaafuwala Sitaane emugamba nti nze siri naawe, mazima nze ntya Katonda omulezi w'ebitonde

    [17] Enkomerero y'a bombi neeba nga ddala baakubeera mu muliro olubeerera, eyo nno y'empeera y'a beeyisa obubi

    [18] Abange mmwe abakkiriza mutye Katonda, era omuntu atunule mu byategekedde olunaku lw'enkya. Bulijjo muteekwa okutya Katonda, anti mazima Katonda amanyidde ddala buli kye mukola

    [19] Temubeera nga abo abaava ku Katonda, ekyavaako okuba nga Katonda abeerabiza bye baali bateekwa okwekolera, abo nno be bonoonyi

    [20] Abantu bo mu muliro tebenkana na bantu ba mu jjana, abo abaliyingira e jjana be bokwesiima

    [21] Singa twassa Kur'ani eno ku nsozi wandizirabye nga zigonze, era nga zimerenguse olw'okutya Katonda. Ebifaananyi ng'ebyo tubikubira abantu bibasoboseze okufumitiriza (bategeere Katonda)

    [22] Yye Katonda, yooyo tewali kisinzibwa kyonna okugyako ye yekka, amanyi ebitalabwa n'ebirabwa. Yye yemusaasizi, oweekisa ekibuna kuno ku nsi, aliba n'ekisa ekyenjawulo ku lunaku lw'enkomerero

    [23] Yye Katonda, yooyo tewali kisinzibwa kyonna okugyako yye, omufuzi wa buli kintu, atuukiridde mu buli kimu, kiwamirembe, akakasa obukkiriza bwa baddube, kalondoozi wa buli kintu, nantakubwa ku mukono, kkirimaanyi, kabwejungira. Katonda wanjawulo nnyo kwe byo bye bamugattako

    [24] Yye Katonda, yooyo omutonzi, eyatandikawo ebitonde mu kubitonda nga talina kyalabirako, eyafaananya buli kintu nga bwa kyagala, alina amannya amalungi, buli ekiri mu ggulu n'ensi kimutendereza. Era yye Katonda, ye nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga

    Omukazi Agenda Kukeberwa

    Surah 60

    [1] Abange mmwe abakkiriza temufuulanga abalabe bange era abalabe ba mmwe mikwano gyammwe egy'omunda, so nga baawakanya amazima agaabajjira okuva ewa Katonda ne bagobaganya omubaka awamu nammwe (okuva mu Makkah), olwokuba nti mukkiriza Katonda omulezi wa mmwe. Bwe muba mufulumye olw'okulwana mu kkubo lyange era nga munoonya okusiima kwange, (temukukutanga ne mubabuulira ebyama byammwe) nga mukolagana nabo mu ngeri y'ekyama ate nga nange manyi ebyo bye mukisa ne byemwolesa. Oyo yenna akikola mu mmwe aba avudde ku kkubo ettuufu

    [2] Bwe babagwikiriza awantu wonna boolesa obulabe gye muli ne babagalulira emikono gyabwe (mu kubalwanyisa), era ne baboolekeza ennimi zaabwe (mu kubavuma) mu ngeri embi. Era nga beegomba nti singa mukaafuwadde

    [3] Enganda zammwe wadde abaana ba mmwe tebagenda kubagasa ku lunaku lw'enkomerero. Katonda agenda kulamula wakati wa mmwe, anti Katonda alabira ddala ebyo bye mukola

    [4] Mazima mulina ekyokulabirako ekirungi ekya Nabbi Ibrahim n'abakkiriza abaali naye, mu kiseera we baagambira bannaabwe nti mazima ffe tubesammudde n'ebyo bye musinza ebitali Katonda (ali omu). Tubawakanyizza era waliwo wakati waffe nammwe obulabe n'obukyayi obw'olubeerera, mpozzi nga mukkirizza Katonda ali omu. Okugyako ekigambo kya Ibrahim kye yagamba kitaawe oluberyeberye nti nja kwegayirira ddala Katonda akusonyiwe, era sirina kintu kyonna kyenyinza kukugasa ewa Katonda. Ayi Katonda waffe ggwe wekka gwetwesiga. Era tukwenenyerezza. Era gyoli gyetujja okudda

    [5] Ayi Mukama Katonda waffe totufuula kikemo eri abo abaagaana okukkiriza era tusonyiwe ayi mukama waffe, anti mazima ggwe nantakubwa ku mukono, assa buli kintu mussa lyakyo

    [6] Mazima mulina ekyokulabirako ekirungi ku bo (Nabbi Ibrahim n'abakkiriza abaali naye) ekyo kiri eri buli asuubira okufuna e mpeera okuva ewa Katonda ku lunaku lw'enkomerero. Naye oyo yenna anaaba akyuse (naava ku kukkiriza Katonda n'olunaku lw'enkomerero), mazima ddala Katonda yye talina kye yetaaga okuva eri bitondebye, atenderezebwa bulijjo

    [7] Wabula Katonda asobola okussa wakati wa mmwe ne be muwalaggana nabo e nkolagana ennungi. Anti Katonda muyinza, era Katonda musonyiyi omusaasizi

    [8] Katonda tabagaana ku kolagana naabo ababa tebabalwanyisizza olw'eddiini, era abatabagobaganya mu nsi yammwe mutuuke okuba nga temubayisa bulungi n'okubakolera obwenkanya, anti mazima Katonda ayagala abenkanya

    [9] Mazima ddala Katonda abagaana okukolagana naabo abaabalwanyisa olw'eddiini, ne babagobaganya okuva mu nsi yammwe, ne bakola kinene nnyo mu kubagobaganya. Oyo yenna akolagana nabo, abo nno be balyazamanyi

    [10] Abange mmwe abakkiriza singa abakyala abakkiriza babajjira nga basenguse mubagezesenga. Yye Katonda obukkiriza bwabwe aba abumanyi, bwe mukakasa nti bakkiriza temubaddizanga abakafiiri, abakyala bano tebali Halali ku bakafiiri abo nga n'abakafiiri abo bwe batali halali ku bakyala abo, wabula bo abasajja (Abakafiiri) mubaddize bye baawaayo mu kubawasa, olwo nno tekiba kibi bwe mubawasa nga mubawadde amahare gaabwe. Temwesiba ku kuwoowa okwekikafiiri kwe mwakola nabo. Mubasabe babaddize byemwawaayo nga nabo bwe basobola okusaba bye bawaayo. Ebyo nno kwe kulamula kwa Katonda kwabalamuza. Anti Katonda mumanyi nnyo ateeka buli kintu mussa lyakyo

    [11] Singa omukyala w'omu ku mmwe ava mu busiramu nadda mu bukafiiri kemulwanagana nabo ne mumala mufunayo eminyago muteekwa okusasula abo abaddukwako bakyala baabwe ekigero kyekyo kye bawaayo nga babawasa. Bulijjo muteekwa okuba nga mutya Katonda oyo gwemukkiriza

    [12] Owange ggwe Nabbi abakkiriza abakyala bwebajja gyoli nga bakuba ekirayiro mu maasogo, nti tebagenda kugatta ku Katonda kintu kyonna, era nga tebagenda kubba, wadde okwenda oba okutta abaana baabwe, era nti tebagenda kuwaayiriza nga bajingirira wakati w'emikono gyabwe n'amagulu gaabwe, nga era bwe batagenda kukujeemera mu kukola ekirungi kyonna, naawe nno bawe obukakafu era wegayirire Katonda abasonyiwe, anti mazima ddala Katonda musonyiyi nnyo omusaasizi

    [13] Abange mmwe abakkiriza temukwanagana n'abantu Katonda beyasunguwalira. Anti bo tebalina ssuubi ku lunaku lw'enkomerero, nga abakafiiri bwebatalina ssuubi ku bikwata ku bantu abali emagombe

    Emisiri

    Surah 61

    [1] Ebiri mu ggulu ne mu nsi byonna bitenda Katonda. Yye Katonda yemuwanguzi, assa buli kintu mu ssa lyakyo

    [2] Abange mmwe abakkiriza lwaki mwogera ebyo bye mutakola

    [3] Kisunguwalirwa nnyo ewa Katonda okwogera bye mutakola

    [4] Mazima Katonda ayagala abo abalwana mu kkubolye, nga basimbye ennyiriri, ne baba nga ekizimbe, nga e bitundu byakyo bikwatagana bulungi

    [5] Mu ngeri y'emu bajjukize ekyafaayo kya Musa bwe yagamba abantube nti, lwaki munnyiiza ng'ate mumanyidde ddala nti mazima nze ndi Mubaka wa Katonda gweyabatumira. Bwe baabula, Katonda kwekubuza emitima gyabwe, anti Katonda talungamya bantu bajeemu

    [6] Era bajjukize e kyafaayo kya Isa mutabani wa Mariam bwe yagamba abaana ba Israel nti mazima nze ndi Mubaka wa Katonda gye muli, nga nkakasa Taurat eyankulembera era nga mpa amawulire ag'essanyu ag'omubaka alijja oluvanyuma lwange, nga erinyalye ye Ahmad. Wabula omubaka (Muhammad) oyo bwe yabajjira n'obubonero obunnyonnyofu, ate bo ne bagamba nti lino ddogo eryeyolefu

    [7] Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo atemerera Katonda ebyobulimba, so nga bulijjo ayitibwa okujja eri obusiramu. Katonda talungamya bantu abeeyisa obubi

    [8] (Mu kukola ekyo) baagala kuzikiza kitangaala kya Katonda n'emimwa gyabwe. Sso nga Katonda waakujjuza e kitangaalakye newakubadde nga abakafiiri tebakyagala

    [9] Katonda yooyo eyatuma omubakawe ng'amuwadde obulungamu n'eddiini entuufu. Bulyoke bukye enkya nga yeddiini ewangudde newakubadde nga abagatta ku Katonda ebintu ebirala tebakyagala

    [10] Abange mmwe abakkiriza mwandyagadde mbalagirire ebyettunzi ebiribawonya e bibonerezo ebiruma

    [11] (Nabyo) muteekwa okukkiriza Katonda n'omubakawe, ne mulafuubana mu kuweereza mu kkubo lya Katonda, nga muwaayo emmaali yammwe, nga nammwe mwennyini mwenyigiramu. Ekyo nno kye kirungi gye muli singa mubadde mumanyi

    [12] (Anti bwe mukola ebyo) Katonda ajja kubasonyiwa ebyonoono byammwe, abayingize e jjana ezikulukutiramu emigga era mugenda kufuna obutuulo obulungi mu jjana ez'olubeerera, okwo nno kwe kwesiima okusuffu

    [13] Era mufune n'ekirala nga nakyo mukyagala, nakyo kwe kutaasa kwa Katonda n'obuwanguzi obwamangu. Era sanyusa abakkiriza (nti byonna bagenda kubifuna)

    [14] Abange mmwe abakkiriza musituke mutaase e ddiini y'a Katonda. Kibe nga Issa mutabani wa Mariam bwe yagamba abagoberezibe abenjawulo nti, baani abanannyamba ku mulimu gwa Katonda. Abagoberezibe abenjawulo kwe kuddamu nti ffe twewaddeyo okutaasa e ddiini ya Katonda. Ekyavaako ogutundu ku baana ba Israel okukkiriza, n'ekitundu ekirala okukaafuwala. Naffe ne tutaasa abo abakkiriza ku mulabe waabwe, ne bukya enkya nga be bali waggulu

    Olwokutaano

    Surah 62

    [1] Ebiri mu ggulu ne mu nsi byonna bitenda Katonda omufuzi wa buli kintu, omutukuvu mu buli kimu, nantakubwa ku mukono, assa buli kintu mussa lyakyo

    [2] Yye yooyo eyatuma eri abo abataamanya kusoma na kuwandiika omubaka (Muhammad) nga ava mu bo ng'abasomera e bigambo bya Katonda era nga abatukuza (okubajja mu bukafiiri) era nga abayigiriza ekitabo (Kur'ani) n'ebiva mu Hadith so nga oluberyeberye (nga Nabbi tannatumwa) baali mu bubuze obw'olwatu

    [3] Era yamutuma n'eri abalala nga ba mu bo, naye nga balijja luvannyuma lwabwe (nabo be basiramu abalala bonna abakkiriza Nabbi Muhammad abataamulabako okutuusiza ddala ku lunaku lw'enkomerero) era yye Katonda, ye nantakubwa ku mukono, assa buli kintu mussa lyakyo

    [4] Ebyo bye birungi bya Katonda byawa oyo gwaba ayagadde. Mazima Katonda ye nannyini birungi ebisukkulumu

    [5] Ekifaananyi kyabo abaaweebwa Taurat ne batagikozesa, balinga endogoyi ey'etikka ebitabo (nga tesobola kwe gasa nabiri mu bitabo ebyo), kibi nnyo ekifaananyi ekyo, ekyabo abalimbisa ebigambo bya Katonda. Bulijjo Katonda talungamya bantu beeyisa bubi

    [6] Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad) nti abange mmwe abayudaaya bwe muba nga mweyita abaagalwa ba Katonda (mwe mwekka) so ssi abantu abalala, kale nno mwegombe okufa bwe muba nga muli ba mazima

    [7] Tebagenda kwe gombera ddala kufa, olwebyo byebaakola. Bulijjo Katonda amanyi nnyo abeeyisa obubi

    [8] Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad) nti mazima okwo okufa kwe mudduka kwakubatuukako, oluvanyuma muzzibwe eri omumanyi w'ebitalabikako n'ebirabika. Ate nno olwo alyoke abategeeze ebyo byonna bye mwali mukola

    [9] Abange mmwe abakkiriza, bwe baaziinanga olw'esswala (ye jjuma) ku lunaku lwe jjuma, mwanguwenga okugenda eri okwogera ku Katonda, ate muyimirize emirimu. Ekyo kye kirungi gye muli singa mubadde mumanyi

    [10] E sswala bweggwa, olwo nno mugende mu nsi munoonye ebigabwa bya Katonda, mwogere nnyo ku Katonda mulyoke mwesiime

    [11] Bwe balaba ebyo busuubuzi, oba ebya masanyu, banguwa okugenda gyebiri ne bakuleka nga oyimiridde. Bagambe nti ebya Katonda bye birungi okusinga ebya masanyu n'obusuubuzi, ate nga Katonda yaasinga abagabi bonna

    Bannanfusi

    Surah 63

    [1] Abannanfusi bwe bajja gyoli (Ggwe Nabbi Muhammad (ﷺ)) bagamba nti tukkiriza nti mazima ddala ggwe oli Mubaka wa Katonda. Ne Katonda akimanyidde ddala nti mazima gwe oli Mubakawe, ate era Katonda akakasa nti mazima abannanfusi balimba nnyo

    [2] Ekyo kulayira kwabwe (nti basiramu) bakifuula ekyokulwanyisa ekibawonya, olwonno ne balyoka baziyiza abantu okuyingira mu ddiini y'a Katonda. Mazima bibi nnyo ebyo bye baali bakola

    [3] Ekyo kiri bwe bityo lwa kuba baalangirira obukkiriza n'ennimi za bwe, so nga munda bakafiiri. Olwo nno e mitima gyabwe negiteekebwako envumbo ne babeera nga tebategeera

    [4] Bwo batunulako, e mibiri gyabwe gikusanyusa, bwe boogera toyinza butatwala kigambo kyabwe, balinga ebiti ebyesigamiziddwa ku kisenge nga tebiyinza kwetengerera, buli lwonna lwe bawulira akakuba bagamba nti bubakeeredde, abo be balabe, n'olwekyo beegendereze, Katonda yabakolimira, ggwe ate bandivudde batya ku mazima

    [5] Singa baba bagambiddwa nti mujje eri omubaka wa Katonda abasabire e kisonyiwo, banyeenya e mitwe n'obalabira ddala nga bajeemye era nga beekuluntazza

    [6] Okubasabira e kisonyiwo n'obutabasabira byonna bifaanana, Katonda tagenda kubasonyiwa, anti Katonda talungamya bantu boononyi

    [7] Be bamu be bo abagamba nti temuwaayo kintu kyonna eri abo abali awamu n'omubaka wa Katonda okutuusa lwe banamwabulira. So nga amawanika g'omuggulu n'ensi gonna ga Katonda. Naye mazima abananfusi tebategeera

    [8] Baatuuka n'okugamba nti bwe tunadda e Madinah (okuva mu lutalo lwa ba Bani Al Mus-twalik) abasinga okuba ab'ekitiibwa bajja kugoba mu (Madinah) abanyoomebwa. So nga e kitiibwa n'obuwanguzi bya Katonda n'omubakawe n'abakkiriza naye mazima abananfusi tebamanyi

    [9] Abange mmwe abakkiriza, ebyo bugagga byamwe n'abaana bamwe tebibawugulanga ne bibajja ku kwogera ku Katonda, oyo yenna akikola, abo nno be bokufaafaaganirwa

    [10] Era mugabe kwe byo bye twabawa walumbe nga tannatuuka ku omu ku mmwe, naatuuka okulaajana nga agamba nti, ayi mukama omulezi wange singa ondeseewo akabanga ne nsadaakako era ne mbeera mu balongoofu

    [11] Sso nga Katonda tagenda kulindiriza mwoyo gwonna entuuko yaagwo bweriba nga etuuse, Katonda bulijjo muyitirivu w'akumanya ebyo byonna bye mukola

    Okuttaagana

    Surah 64

    [1] Ebiri mu ggulu ne mu nsi byonna bitenda Katonda, obufuzi bwonna n'amatendo gonna bibye, anti ye muyinza wa buli kintu

    [2] Yye yooyo eyabatonda nga mu mmwe mulimu abakafiiri na bandi bakkiriza. Lubeerera Katonda alaba bye mukola

    [3] Yatonda eggulu n'ensi lwa nsonga. Ekifaananyi kye yabatonderako kye kisingira ddala okuba ekirungi. Era gyali gye mugenda okudda

    [4] Amanyi ebiri mu ggulu ne mu nsi, era nga bwa manyi bye mukweka ne bye mwolesa. Anti Katonda amanyi ebiri mu bifuba

    [5] Abaffe amawulire gaabo abaakafuwala oluberyeberye lwa mmwe tegaabatuukako, ekyabaviirako okuba nga bakomba ku bukaawu bwo bukafiri bwabwe. Era bagenda kutuukwakwo e bibonerezo ebiruma

    [6] Olwe'nsonga nti ababaka baabwe baabaleeteranga obubaka obujjudde obunnyonnyofu, bo ne bagamba nti omuntu obuntu yajja atulungamye! ekyo ne kibakaafuwaza, ne baba nga tebakyayagala kuwulira kikwata ku bubaka, ne Katonda naaba nga takyabeetaaga. Anti Katonda bulijjo talina kye yataaga, era nga bulijjo atenderezebwa

    [7] Abatakkiriza Katonda beerimba nga bagamba nti tebagenda kuzuukizibwa. Bagambe ggwe (Nabbi Muhammad (ﷺ)) nti ssi bwekiri. Ndayira Katonda omulezi wange ddala mujja kuzuukizibwa, oluvanyuma mujja kutegeezebwa ddala ebyo bye mwakola, nekyo nno kyangu nnyo ku Katonda

    [8] Kale nno mukkirize Katonda n'omubakawe n'ekitangaala (Kur'ani) kye twassa, ne Katonda bulijjo mumanyi nnyo weebyo bye mukola

    [9] Mujjukire olunaku Katonda lwa libakunganya ku lunaku lwe kiyaama, olwo lwe lunaku oluliraga okufaafaganirwa (eri abakafiiri), oyo yenna akkiriza Katonda naakola e mirimu emirungi, Katonda amusangulako ebibibye, era agenda kumuyingiza e jjana ezikulukutiramu e migga, nga baakuzibeeramu lubeerera. Okwo nno kwe kwe siima okuyitirivu

    [10] Naye ate abo abaakafuwala ne balimbisa n'ebigambo byaffe, abo nno b'ebantu bo mu muliro, ba kubeera mu gwo olubeerera, eyo nkomerero mbi

    [11] Tewali buzibu bwonna butuuka ku muntu okugyako nga Katonda akkirizza, oyo yenna akkiriza Katonda, Katonda alungamya omutimagwe. Mazima bulijjo Katonda mumanyi nnyo wa buli kintu

    [12] Mugondere Katonda era mugondere omubakawe. Naye bwe munaayawukana kwe kyo, ye omubaka waffe (tanenyezebwa) obuvunaanyizibwabwe, kwe kutuusa obubaka mu bujjuvu

    [13] Katonda ye yekka asinzibwa, abakkiriza bateekwa kwesiga Katonda yekka

    [14] Abange mmwe abakkiriza mazima mu bakyala ba mmwe n'abaana ba mmwe mulimu abalabe, n'olwekyo mubeegendereze. Naye bwe mubaddiramu ne mubalekera, ne mubasonyiwa, mazima Katonda muyitirivu waakusonyiwa asaasira ennyo

    [15] Mazima e byobugagga bya mmwe n'abaana ba mmwe kikemo, ng'ate ewa Katonda we wali empeera ensukkulumu

    [16] Kale nno mutye Katonda nga bwe muba musobodde, muwulire era mugonde, mu ngeri yeemu mugabe ku lwa Katonda, ekyo nno kye kirungi gye muli. Oyo yenna awonyezebwa omulugube gwo mwoyogwe, abo nno be b'okuganyulwa

    [17] Singa muwola Katonda oluwola olulungi, alubabalizaamu era n'abasonyiwa ebyonoono bya mmwe, bulijjo Katonda asiima era wa kisa

    [18] (Katonda oyo) amanyi ebitalabwako n'ebirabwa, nantalemwa, akola buli kintu nga asinziira ku nsonga

    Okugattululwa

    Surah 65

    [1] Owange ggwe Nabbi, bwe muba nga muta abakyala, mubate nga bali ku mbeera eyobutukuvu (Nga tebali mu Haidh), mubalenga n'obwegendereza ebbanga lya Idda (Idda kye kiseera omukyala ateereddwa kyamala nga tannaba ku kkirizibwa kuddamu kufumbirwa). Era mutye Katonda omulezi wa mmwe, temwetantalanga okubaggya mu mayumba gaabwe (mwe babadde bawangaalira nga bali mu bufumbo bwa bwe), so nga nabo tebavanga mu mayumba ago okugyako nga bakoze ebikolobero eby'olwatu. Ezo z'ensalo z'amateeka ga Katonda. Oyo yenna abuuka ensalo z'amateeka ga Katonda, aba y'eryazaamanyizza, tomanya oba olyawo Katonda naaleetawo embeera endala oluvanyuma lw'ekyo

    [2] Kale nno bwe baba nga basemberedde okumalako ebbanga lya Idda yaabwe mubaddirengamu, mu ngeri ennungi, oba mwawukane nabo mu ngeri ennungi (ebbanga lya Idda bwe riba liweddeko). Mubeerewo n'abajulizi babiri abeesimbu mu bantu ba mmwe, muwenga obujulizi mu bwe simbu kulwa Katonda, ebyo nno bibuulirirwa nabyo oyo yenna akkiriza Katonda n'olunaku lw'enkomerero. Bulijjo oyo yenna atya Katonda amuteerawo obwangu

    [3] Era naamugabirira mu ngeri gyatasuubira, era oyo yenna eyeesiga Katonda, Katonda amumala, anti Katonda ekigambokye kye kyenkomeredde, mazima Katonda yategeka ekigero kya buli kintu

    [4] Abo bonna mu bakyala ba mmwe abatakyagenda mu nsonga za Heidh, bw emutankananga ebbanga lya Idda yaabwe, balindenga emyezi esatu. Wabula abo abatanayingira mu nsonga za Haidh Idda yaabwe emyezi esatu. Naye abo abali embuto ebbanga lyabwe kumala kuzaala. Oyo yenna atya Katonda amuteerawo obwangu mu buli kintu

    [5] Ekyo kiragiro kya Katonda kye yassa gye muli, oyo yenna atya Katonda amusangulako e bibibye ate naamwongeza e mpeera

    [6] (Abakyala abaweereddwa ttalaka) mu basuzenga mu mayumba mwe musula okusinziira ku busobozi bwa mmwe, temubatulugunyanga, nga ekigendererwa kubanyigiriza (balemererwe), naye bwe babanga bali mbuto mubalabirirenga okutuusa lwe bazaala. Ate (bwe babanga bazadde) nebabayonseza abaana, mubasasulenga. Era mukkiriziganye mu ngeri e nnungi, naye bwe mubanga mulemaganye olwo nno munoonye omulala anaayonsa

    [7] Omusajja alina okulabirira omukyala okusinziira ku busobozibwe, nooyo Katonda gwe yawa ebyenfuna ebinafu naye alabirira omukyala okusinziira nga Katonda bwe yamuwa, Katonda tawaliriza muntu yenna okusukka kwe byo bye yamuwa. Katonda ajja kuteekawo obwangu oluvanyuma lwo buzito

    [8] Ebitundu bimeka nga abantu baayo bajeemera Katonda omulezi waabwe n'ababaka beyabatumiranga, ne tubibala olubala oluyitirivu era ne tubibonereza olubonereza olukambwe

    [9] (Ebitundu ebyo) ne bikomba ku bukaawu bw'obujeemu bw'abyo, n'eba nga enkomerero y'obujeemu bwabwe kufaafaganirwa

    [10] Katonda yabategekera ebibonerezo ebikambwe, kale nno mutye Katonda abange mmwe abalina amagezi agategeera, abange mmwe abakkiriza. Anti Katonda yassa gye muli obubaka obujjukiza (Kur'ani)

    [11] Omubaka nga abasomera ebigambo bya Katonda ebinnyonnyola, nga ekigendererwa kwe kugya mu bizikiza abakkiriza ne bakola e mirimu e mirungi n'abazza mu kitangaala. Oyo yenna akkiriza Katonda n'akola e mirimu e mirungi, Katonda agenda kumuyingiza mu jjana, nga e migga gikulukutira muzo, baakubeera muzo olubeerera. (Omuntu ow'engeri eyo) Katonda yamutebenkereza enfuna (mu bulamu obwo luvannyuma)

    [12] Katonda yooyo eyatonda eggulu omusanvu n'ensi naazitonda omuwendo gwe gumu, obubaka bwa Katonda bukka wakati we ggulu n'ensi mulyoke mumanye nti, mazima Katonda musobozi ku buli kintu, era mazima Katonda mumanyi wa buli kintu

    Ekyokugaanira

    Surah 66

    [1] Owange ggwe Nabbi lwaki oziza ebyo Katonda bye yakukkiriza, nga onoonya okusiimisa bakyalabo. Bulijjo Katonda muyitirivu wa kusonyiwa era muyitirivu wa kusaasira

    [2] Katonda yabateerawo engeri gye muva mu birayiro byemuba mukoze, anti bulijjo aba nammwe, ate nga yye muyitirivu wa kumanya, buli kyakola akikola lwa nsonga

    [3] Era jjukira Nabbi bwe yabuulira omu ku bakyalabe (Hafuswa) ekyama, omukyala oyo bwe yamala okwogera ekyama ekyo, ate Katonda n'akitegeeza Nabbi. Nabbi n'amubuulirako ebimu ebirala n'abireka. Nabbi olwa kibuulira omukyala oyo (omukyala n'amubuuza) nti ani yakikugambye (Nabbi n'amuddamu nti) eyakintegeezezza ye muyitirivu w'okumanya omukenkufu (Katonda)

    [4] Singa munaaba mwenenyezza mwembiriri (Hafuswa ne Aisha) ewa Katonda (kye kirungi gye muli), anti emitima gya mmwe gyawaganyadde. Naye bwe munamwekalakaasizaako, (mumanye nti) mazima Katonda ali ku luddalwe, ne Jiburilu, n'abakkiriza abalongoofu, ne ba Malayika bonna oluvanyuma lw'ekyo ba kumuyambako

    [5] Singa anaba abatadde, Katonda omuleziwe, ajja kumuwaanyisizaamu abakyala abalala abasinga ku mmwe, nga basiramu nnyo, bakkirizza, nga bagonvu nnyo, nga beenenya era nga basinza nnyo Katonda, abatambulira mu kumutya, kababe nga baafumbirwako oba nga tebafumbirwangako

    [6] Abange mmwe abakkiriza mwewonye muwonye n'abantu ba mmwe omuliro, nga gukumirwa ku bantu na mayinja, gukuumibwa ba Malayika abakambwe abaamanyi ennyo, tebajeemera Katonda mu kyonna kyaba abalagidde, ate nga bakola ekyo kyonna kye baba balagiddwa

    [7] (Ku lunaku lw'enkomerero abakafiiri baligambibwa nti) Abange mmwe abakafiiri temwetonda olwaleero, mazima mugenda kusasulwa ebyo bye mwakola

    [8] Abange mmwe abakkiriza mwenenyeze Katonda olwenenya olwa namaddala. Omulezi wa mmwe Katonda kikakafu ajja ku basangulako ebyonoono bya mmwe era abayingize e jjana ezikulukutirwamu e migga. Olunaku Katonda lwataliweebuula Nabbi na bakkiriza abali naye. E kitangaala kyabwe nga kibeetoolodde mu maaso ne ku ddyo waabwe, nga bagamba nti ayi omulezi waffe tulekerewo e kitangaala kyaffe era otusonyiwe (ebyonoono byaffe) anti mazima ggwe oli musobozi ku buli kintu

    [9] Owange ggwe Nabbi funvubira mu kulwanyisa abakafiiri n'abannanfusi era obazitoowereze. Obuddo bwabwe muliro Jahannama, ate obuddo obwo bubi nnyo

    [10] Katonda yakubira abakafiiri ekifananyi kya muka Nuhu ne muka Luutu. Baali bakyala b'a baddu ababiri mu baddu baffe abalongoofu, naye nno ne babakumpanya (n'obutakkiriza Katonda). Nabbi Nuhu ne Luutu tebaalina kye baagasa bakyala baabwe ewa Katonda. Ne bagambwa (Abakyala bombi) nti muyingire omuliro awamu naabo abaguyingira

    [11] Era Katonda yakubira abakkiriza e kifaananyi kya muka Firawo mu kiseera weyasabira (Katonda) nti: Ayi omulezi wange nzimbirayo e nyumba gyoli mu jjana era omponye Firawo n'ebikolwabye, omponye n'abantu abeeyisa obubi

    [12] Era Katonda yakuba e kifananyi kya Mariyamu muwala wa Imran oyo eyeekuuma kale netufuuwa mu ye omwoyo ogwava gye tuli era Mariam nakkiriza ebigambo bya Katondawe n'ebitabobye, n'abeera nga ali mu basinza Katonda abagonvu

    Obufuzi

    Surah 67

    [1] Mukama Katonda nanyini buyinza bwonna musukkulumu, era nga muyinza w'abuli kintu

    [2] Oyo eyatonda okufa n'obulamu, olwokubageseza alabe ani asinga okukola obulungi. Naye ye Nnantakubwa ku mukono omusonyiyi

    [3] Oyo eyatonda eggulu omusanvu nga myaliro, toyinza kulaba mu kutonda kwa Katonda kamogo konna w'etegereze abaffe olabamu obukyamu bwonna

    [4] Era zzaayo amaaso emirundi nemirundi eriiso lijja ku kuddira nga likooye era nga tolina kyofunyeeyo

    [5] Mazima eggulu eriri okumpi n'ensi twalinyiriza nemunyeeye ezaaka, era nga bitawuliro ebigoba Sitani era Sitani ezo twazitegekera ebibonerezo byomuliro Ssair

    [6] Ate bbo abaawakanya Katonda waabwe twabategekera ebibonerezo byamuliro Jahannama era buliba buddo bubi

    [7] Bwe baligusuulwamu bagenda kuguwulira nga gutokota era nga gufuuwa

    [8] Nga gubula kuyulikamu buli lwegunasulwangamu ekibinja abakuumi bagwo banababuuzanga nti temwajjirwa muntu yenna abatiisa (muliro guno)

    [9] Baliddamu nti weewawo omutiisa yatujjira naye netumulimbisa era netumugamba nti Katonda tassanga bubaka bwonna, ebyo byemulimu bubuze obuyitirivu

    [10] Baligamba nti singa twali tuwulira oba nga tutegeera (ebyatugambwanga) tetwandibadde bamu kwabo abayingira omuliro

    [11] Nebeekakasaako ekyonoono kyabwe okufaafaganirwa kuli ku bantu bo mu muliro

    [12] Mazima abo abatya Katonda wabwe awamu n'okuba nga talabika, bagenda okufuna ekisonyiwo n'empeera ensuffu

    [13] Kyekimu mukwese ebigambo byamwe oba mubyatudde mazima yye amanyi ebiri mu bifuba

    [14] Abaffe eyatonda ayinza obutamanya nga ate ye muyitirivu w'okumanya era nga mukugu nnyo

    [15] Yye yoyo eyabafuulira ensi enyangu, kale mutambule mu bitundu byayo mulye mu bigabwabye era gyali gye mugenda okudda

    [16] Musuubidde okuwona oyo ali waggulu ensi n'etabamira singa eba etabanguse

    [17] Oba musuubidde okuwona oyo ali waggulu n'atabasindikira muyaga, wabula mugenda kumanya okulabula kwange nga bwekwali okukulu

    [18] Abo abaaliwo oluberyeberye lwabwe baalimbisa, naye tewamanya kyennabatusaako

    [19] Abaffe tebalaba ebinyonyi ebibuukira waggulu wabwe nga byanjuluza ebiwawaatiro ate nga n'oluusi biwumbako, tewali kibikuumira mu bbanga okugyako Katonda omusaasizi, mazima ye alaba buli kintu

    [20] Oba ani oyo asobola okubalwanirira n'abataasa atali Katonda, abawakanyi tebalina kyebaliko okugyako mawaggali

    [21] Ye abaffe ani oyo ayinza okubagabirira singa Katonda abajjako okugabirirakwe. Wabula baagwa mu kateebe k'okuwalaaza empaka n'okwewaggula

    [22] Ye abaffe oyo atambula abwamiridde ku kyenyikye y'abeera kubulungamu oba oyo atambula nga yeegolodde ngali ku Kkubo eggolokofu

    [23] Bagambe nti Katonda y'eyabatandikawo n'abassako amatu n'amaaso n'abawa n'emitima wabula mwebaza kitono

    [24] Bagambe nti Katonda yoyo eyabassa mu nsi era nga mugenda kuzuukizibwa mudde gyali

    [25] Bagamba mu kubalaata nti ebyo byemutulaganyisa biribaawo ddi bwe mubanga byemwogera bituufu

    [26] Bagambe nti okumanya okujjuvu okukwata ku nsonga eyo kuli wa Katonda, naye nze ndi mutiisa owolwatu

    [27] Bwe baliraba e bibonerezo nga bisembedde, ebyenyi byabo abakafuwala bigenda kwekaba, awo balyoke bategezebwe nti ekyo nno kye mwagambanga nti kirituukaddi

    [28] Bagambe nti, mulaba mutya singa Katonda anzikiriza n'abo abali nange oba n'atusaasira anti obuyinza bwonna buli gyali, naye ani alitaasa abakafiiri ku bibonerezo ebiruma

    [29] Bagambe nti yye Katonda omusaasizi gwetukkiriza era yekka gwetwesiga wabula lumu mulimanya ani ali mu bubuze obweyolefu

    [30] Bagambe nti mulaba mutya singa amazzi gammwe bukya nga gakalidde ani ayinza okubawa amazzi agakulukuta amayonjo

    Ekkalaamu

    Surah 68

    [1] Nuni, yemu kunyukuta ezikola walifu empalabu. Ndayidde e kalamu nebyebagiwandiisa

    [2] Mazima Gwe Muhammad ekyengera kyobwa Nabbi Katonda wo kyeyakuwa tekiyinza ku kufuula mulalu

    [3] Era ddala oteekwa okufuna empeera etakutukawo

    [4] Era mazima ddala Ggwe oli wampisa nungi nnyo

    [5] Ojja kulaba nga nabo bwebagenda okulaba

    [6] Ani kumwenna eyatukwako ekizibu kyeddalu

    [7] Mazima Katondawo amanyidde ddala ani eyabula okuva ku kkubolye era nga bwamanyidde ddala abalungamu

    [8] Kale nno togondera abo abalimbisa

    [9] Bandyagadde nti singa obagondera nabo nebakugondera

    [10] Era togeza n'ogondera buli alayiralayira ataliimu nsa

    [11] Omugeyi atambuza olugambo

    [12] Omukodo, omulumbaganyi omwononefu

    [13] Mubi nnyo ate awamu n'ekyo mwana w'abwenzi

    [14] Tomugondera olwokuba alina emmali n'abaana

    [15] Omuntu oyo bwasomerwa ebigambo byaffe agamba nti nfumo z'abantu abedda

    [16] Kulunaku lw’enkomerero tugenda kussa kunyindo ye akabonero akamulamba nga tanayingizibwa muliro

    [17] Mazima ffe twagezesa abantu be Makkah bwetwabaleetera enjala nga bwetwagezesa abantu abaalina enimiro yaabwe abalayira nti baali bagenda kukungula kumakya nnyo, olwo nno baleme kugabirako bantu balala

    [18] Wabula beerabira okugamba nti Insh'allah

    [19] Katonda n'agisindikira nabbambula w'omuliro ogwa gizikiriza ekiro nga beebase

    [20] Okugenda okukya ngankalu nga enkungule

    [21] Ku lunaku olulaganye baakeera nnyo era nga buli omu agenda atemya kumunne

    [22] Ngabagamba nti muzuukuke mugende mu nimiro yammwe bwe muba ddala nga munakungula nga bwemwagambye

    [23] Baatambula nga bogera bwama

    [24] Nga bwebagamba nti tebagenda kukkiriza Masikiini yenna kuyingira mu ssamba yaabwe

    [25] Baatambula kumakya okwo nga bakakasa nti bagenda kutuukiriza kyebaali basazeewo eggulo limu

    [26] Bwebaalaba ennimiro yaabwe b'agamba nti tubuze

    [27] Sinakindi Katonda yagizikirizza olwe kigendererwa kyaffe ekibi ekyobutakkiriza kugabirako ba Masikiini

    [28] Eyali abasingako eddiini n'obuntu bulamu nabagamba nti ssabagambye nti obutawaako banaku buba bulyazamanyi bwennyini, era kati kyetuteekwa okukola kwekutendereza Katonda kuba tetunamanya yatusonyiye oba nedda

    [29] Olwo nno nebagamba nti yayawukana Katonda waffe mazima twabadde tweyisizza bubi

    [30] Awamu nekyo baatandika okuwaanyisiganya ebigambo nga abamu banenya bannabwe

    [31] Nebagamba nti mazima ffe tubadde bajeemu

    [32] Tusaba Katonda waffe emmali yaffe etokomose atuwanyisizeemu ebirungi, mazima ddala ew'a Katonda waffe yokka gyetusaba obuyambi

    [33] Bwebityo nno ebibonerezo bwebiba naye wabula ebibonerezo by'olunaku lw’enkomerero byebisinga obukakali singa baba ddala nga bamanyi

    [34] Mazima abatya Katonda baategekerwa e jjana ez'ebyengera ewa Katonda waabwe

    [35] Gwe ate abakkiriza twalibayisizza nga abonoonyi

    [36] Mwaba ki, e nsonga muzisalawo mutya

    [37] Simanyi mulinayo ekitabo mwemubisoma

    [38] Era nga mukitaba ekyo mulimu nti mwe mulyesalirawo kyemwagala ku lunaku lw'enkomerero

    [39] Oba mulina e ndagano gye twabawa nga etuukira ddala ku lunaku lw'enkomerero ngebawa ebbeetu okwesalirawo nga bwemulaba

    [40] Babuuze ani eyesowolayo abe nga akulembera endowooza eyo

    [41] Oba balinayo (ababeesiguza) nga babayita babeezi ba Katonda, kale nno bajjanga nabo bwebaba nga bogera mazima

    [42] Ku lunaku olulibeera olw'okubikkula ku ntumbwe. Balikowoolwa okuvunnamira Katonda naye nga tebasobola

    [43] Nga amaaso gaabwe makakkamu olw'obuswavu, nga bajjudde okunyomebwa so nga ate baakowolwa okuvunnamira Katonda nga bakyali balamu ne batakikola

    [44] Kale ndeka noyo alimbisa ebigambo bino tujja kubatwaliriza mpola mpola nga tebamanyi

    [45] Era mbalindiriza, anti entegeka zange nnywevu

    [46] Abaffe wali obasabye empeera nebakaluubirirwa kusasula

    [47] Oba bamanyi ebyewala nga babiwandiika (nga bebyelamuza, era nga biraga nti bagenda kubeera bulungi)

    [48] Kale nno beera mugumikiriza ku kusalawo kwa Katondawo, tobeera nga ow'ekyennyanja (Nabbi Yunus) eyatuuka okukowoola (Katondawe okumutaasa) nga ajjudde obunyiikaavu

    [49] Singa teyafuna kyengera ekyava ewa Katondawe (ekyokukiriza okwenenyakwe) yandikasukiddwa mu nsi e nkalu (etariiko bulamu) nga naye anenyezebwa

    [50] Wabula Katonda yamulekera obwa Nabbi era namuteeka mu bantu abalongofu

    [51] Abakafiiri basemberera ddala okukuzikiriza n'amaaso gaabwe amabi (olw'ekkonda eriri ku myoyo gyabwe) bwe bawulira Kur'ani era ne bagamba nti mazima yye (Nabbi) mulalu

    [52] So ng'ate (Kur'ani) teri okugyako kya kujjukiza eri e bitonde

    Amazima

    Surah 69

    [1] Olunaku olwokwolesa amazima (olunaku lw’enkomerero)

    [2] Olunaku lwokwolesa amazima kyeki

    [3] Naye omanyi olunaku olwokwolesa amazima kyeki

    [4] Abantu ba Thamud n'aba A'adi baalimbisa olunaku olwentiisa

    [5] Abantu ba Thamud bazikirizibwa nakubwatuka okwamanyi

    [6] Ate ba A'adi nebazikirizibwa nakibuyaga owamanyi ennyo eyalimu obunyogovu

    [7] Gweyabamazaamu ebiro musanvu nenaku munaana awatali kuyimiriramu, walaba abantu nga bagudde eri nga balinga enduli zemitende ezikutuddwako amasanso

    [8] Gwe mu kulaba waliwo eyawona

    [9] Farawo, n'abamukulembera, naabo abali kubyalo bya Luutu bayonoona

    [10] Ekyatuusa buli bamu okujeemera omubaka Katonda gwe yabatumira. Katonda kye yava abakwata olukwata oluyitirivu

    [11] Aba Nuhu amazzi bwegaabooga okubawonya twabasaabaliza mulyato

    [12] Olwo nno tulyoke tukibafuulire mmwe ekyokwebuulirira era gakitegeere amatu agategeera

    [13] Naye engombe bwerifuyibwa olufuuwa olusooka

    [14] Ensi nensozi birisitulwa nebimementulwa omulundi gumu

    [15] Olwo nno olunaku lw’enkomerero luliba lutuuse

    [16] Eggulu ligenda kweyasaamu, nga ku lunaku olwo ligenda kuba lyabirivu

    [17] Nga ba Malayika bali kumabbali galyo, nga waggulu waabwe kulunaku olwo ba Malayika munaana beebalisitula Arishi y'amukama Katonda wo

    [18] Ku lunaku olwo mugenda kuleetebwa mubalibwe tewali kintu kyonna kyemukola kigenda kwekweka

    [19] Naye oyo alikwasibwa ekitabo kye mu mukono gwe ogwaddyo agenda kugamba nti abange mujje musome ekitabo kyange

    [20] Mazima nali nkakasa nti ngenda kubalibwa

    [21] Oyo nno agenda kubeera mu bulamu obwesiimisa

    [22] Mu jjana ey'a waggulu

    [23] Ebibala byayo nga birengejjera kumpi

    [24] Kale mulye era munywe muyogeyoge olwebyo byemwakulembeza mu nnaku ezaayita

    [25] Naye oyo alikwasibwa ekitabo kye mu mukono gwe ogwa kkono aligamba nti zinsanze singa siwereddwa kitabo kyange

    [26] Era nessimanya kubalibwa kwange

    [27] Waakiri singa bwennafa kyekyamala nessizuukira

    [28] Ebyobugagga byange tebingasizza

    [29] Sikyalina byakuwoza

    [30] Mu kiseera ekyo Katonda agenda kulagira nti mumukwate mumulijje

    [31] Bwemumala mumukasuke mu muliro

    [32] Bwemumala mumuyiseemu olujegere oluwanvu bwalwo obwenkana emikono nsanvu

    [33] Anti yali takkiriza Katonda owekitiibwa

    [34] Era nga takubiriza kuliisa banaku

    [35] N'olwekyo olwaleero wano talinawo muntu amulumirwa

    [36] Nga bwatalina kyakulya okugyako masirasira

    [37] Ebintu ebitayinza kulibwa okugyako abonoonyi

    [38] Tewali kingana kulayira ebyo byemulaba

    [39] Nebyo byemutalaba

    [40] Mazima Kur'ani bigambo bya Katonda byeyassa ku mubaka (Nabbi Muhammad) ow'ekitiibwa

    [41] Ssi bigambo bya mutontomi naye Iman yammwe yentono

    [42] Era sibigambo bya mulaguzi naye mufumitiriza kitono (nemutasobola ku byawula)

    [43] Byassibwa ku ye okuva eri omulezi w'ebitonde

    [44] Singa yetantala natwogeza ebigambo byetutaamutuma

    [45] Twalimukutteko n'amanyi

    [46] Olwo nno netumukutula omusuwa gw'obulamu

    [47] Era tewali mumwe ayinza kutulemesa kutuukiriza ekyo kuye

    [48] Mazima yyo Kur'ani kyakwebuulirira eri abatya Katonda

    [49] Era mazima ddala tumanyi nti mu mmwe mulimu abalimbisa (Kur'ani)

    [50] Mazima okugirimbisa (Kur'ani) kugenda kubeera kwejjusa kunene eri abakafiiri

    [51] Mazima yo Kur'ani ge mazima aga namaddala

    [52] Kale nno tendereza erinnya lya Mukama Katonda wo owekitiibwa

    Amakubo Agalinnya

    Surah 70

    [1] Mu ngeri y'okunyomerera" omu ku bakafiiri" yasaba oba ebibonerezo bijja bijje, so nga ate ddala byakujja

    [2] Bituuke ku bakafiiri tewali agenda kubigaana kubatuukako

    [3] Nga biva eri Katonda nnyini madaala agalinya muggulu

    [4] Ba Malayika nga ne Jiburilu mwomutwalidde mwebayita nga bolekera eri Katonda, ekibatwalira olunaku lumu lwokka naye nga ate lwenkanankana e myaka e mitwalo etaano (egy'okunsi)

    [5] Kale nno gumikiriza olugumikiriza olulungi

    [6] Mazima bbo balaba ebibonerezo nga biri wala

    [7] Ate nga ffe tulaba nga biri kumpi

    [8] Ku lunaku eggulu lwelirikulukuta nga omuzigo omusanuuse

    [9] Ate ensozi neziba nga pamba asunsuddwa

    [10] Era tewali wamukwano agenda kubuuza bikwata ku ffa nfe we

    [11] Bagenda kuba nga beeraba (naye nga tebayinza kuyambagana). Omwonoonyi olwokwagala okuwona ebibonerezo byolunaku olwo, aliyagala okwenunula nga awaayo abaanabe

    [12] Mukyalawe ne mugandawe

    [13] N'ekika kye ekimukuuma

    [14] Nabantu bonna abali munsi, nga ekyo akikola awone ebibonerezo bya Katonda

    [15] Tekigenda kuba nga bwayagala, mazima ayolekedde muliro ogubumbujja

    [16] Ogusiriiriza ddala eddiba

    [17] Gugenda kukowoola buli eyakubayo amabega nakyuka okuva ku mazima

    [18] Era nga yakungaanyanga emmali nagitereka "natagyamu mugabo gugitukuza

    [19] Mazima omuntu yatondebwa nga wamulugube

    [20] Nga bwatuukibwako akabi ayitirira okutya

    [21] Ate bwaba afunye akalungi ayitirira obukodo

    [22] Okugyako abo abayimirizaawo e sswala

    [23] Abo nga okusaala kwabwe kwalubeerera

    [24] Era abo mu by'obugagga byabwe mulimu omugabo ogumanyiddwa

    [25] Guweebwa abasabi n'abafuna mpola

    [26] Era bebo abakakasa o kubeerawo kw'olunaku lw'enkomerero

    [27] Era abo abatya ebibonerezo bya Mukama Katonda waabwe

    [28] Kubanga mazima ebibonerezo byamukama Katonda sibyakuwonwa

    [29] Era abo abakuuma obwerere bwabwe

    [30] Okugyako ku bakyala babwe oba abazaana abali mu mikono gyabwe, anti bo tebanenyezebwa kwabo

    [31] Omuntu asukka ku abo, abo nno be babuusi bensalo

    [32] Era abantu abalungi abogeddwako waggulu, bebatuukiriza obwesigwa bwabwe nendagaano zaabwe

    [33] Era abo abeesimbu mu bujulizi bwabwe

    [34] Era abo abasaala e sswala zaabwe mu bujjuvu

    [35] Abo nno balibeera mu jjana nga baweebwa ebitiibwa

    [36] Lwaki abakafiiri bajja gyoli nga banguwa "so nga ate bakulimbisa

    [37] Nga bali ku mukono gwo ogwa ddyo ne ku mukono ogwa kkono mu bibinja

    [38] Buli omu kubo asuubira okuyingira e jjana eyebyengera

    [39] Nedda sibwekiri, mazima ffe twabakola nga tubajja mwebyo byebamanyi

    [40] Ndayira Katonda nannyini buvanjuba nobugwanjuba, mazima ffe tusobolera ddala

    [41] Okubawanyisaamu abalungi ababasinga era tetuli ffe baakulemesebwa

    [42] Ggwe baveeko babeere mu bukafiiri bwabwe nga bwebazannya okutuusa lwebalisisinkana olunaku lwabwe, olwo lwebalaganyisibwa

    [43] Olunaku lwebalifuluma mu ntaana zaabwe nga baduma nga balinga abagenda eri ebendera ebatereddwawo

    [44] Amaaso gabwe makakkamu, obuswavu nga bubabuutikidde, olwo lwe lunaku lwe balaganyisibwa

    Nuhu

    Surah 71

    [1] Mazima ffe twatuma Nuhu eri abantu be. Nti tiisa abantubo nga ebibonerezo abiruma ennyo tebinabajjira

    [2] Naabagamba nti mazima nze ndi mutiisa omunnyonnyozi

    [3] Nti musinze Katonda era mu mutye nange mungondere

    [4] Olwo nno ajja kubasonyiwa ebyonoono byammwe (bye mwakola nga temunnaba kukkiriza mubaka era alyoke abawonye okuzikirira n'ebibonerezo ebibamalawo olumu). Abalindirize abatuuse ku ntuuko ze yabagerera. Mazima entuuko za Katonda bweziba zituuse tezirindirizibwa singa muba mumanyi

    [5] Awamu nekyo tebakkiriza", Nuhu naagamba nti ayi Katonda wange nkowodde abantu bange ekiro n'emisana

    [6] Wabula okukowoola kwange tekubongedde okugyako okunnesamba

    [7] Mazima buli lwembadde mbakowoola badde eri okusonyiwa kwo bassa ennwe zaabwe mu matu gaabwe, ne beebikka engoye zaabwe, ne bakalambira era ne beekuluntaza olw'ekuluntaza

    [8] Ate era mazima mbakowodde mulwatu

    [9] Era njogedde nabo mu lujjudde nga bwenjogedde nabo kinnomu

    [10] Nembagamba nti mwegayirire Katonda wa mmwe anti mazima yye bulijjo musonyiyi

    [11] Olwonno ajja kubatonnyeseza enkuba ey'omuddiringanwa

    [12] Era abawe mu bungi emmaali n'abaana abawe n'amasamba abateeremu n'emigga

    [13] Naye lwaki Katonda temumuwa kitiibwa

    [14] Sso nga yabatonda ngabayisa mumitendera egyenjawulo

    [15] Abaffe temulaba engeri Katondawo gyeyakolamu eggulu omusanvu nga myaliiro

    [16] Nassaamu omwezi nga kitangaala nga bweyassamu enjuba nga eyaka

    [17] Katonda yabatandika ng'abajja muttaka nemujja nga mukula nga ebimera bwe bikula

    [18] Oluvanyuma abazza mu ttaka nga era bwagenda okubazuukiza alibagyemu bulambalamba (nga temuyise mu mitendera nga ebimera)

    [19] Era Katonda yabateerawo ensi nga esoboka okuwangalirwako

    [20] Mube nga musobola okutambulira muyo nga mukwata amakubo ge muba mwagadde

    [21] Nuhu kwekugamba nti, ayi mukama wange mazima ddala abantu abo banjemedde nebasalawo okugoberera oyo yenna emmaali ye n'abaana be bebitayongera okugyako okufafaganirwa

    [22] Nebakola olukwe sinziggu (bwebagezaako okutta Nuhu)

    [23] Era nebagamba nti temugeza nemuva ku ba Katonda ba mmwe naddala Wadda ne Suwa'a ne Yagutha ne Yauka ne Nasira

    [24] Olwekyo baabuza abantu bangi (Nange kyenva nkusaba nti) mukama Katonda abantu abeyisa obubi tobongera okugyako kubula

    [25] Olwobwonoonyi bwabwe baazikiziribwa nebayingizibwa omuliro baali tebayinza kufuna abataasa yenna

    [26] Ye Nuhu kwekugamba nti, ayi Katonda wange toleka kunsi mukafiiri yenna

    [27] Anti singa obalekawo bajja kubuza abaddu bo era buli gwebanazaala ajja kuba mwononefu omukafiiri

    [28] Ayi Mukama Katonda wange nsonyiwa ne bakadde bange na buli yenna anaayingira mu nju yange kavuna anaaba nga mukkiriza, era nkusaba osonyiwe abakkiriza abasajja n'abakkiriza abakazi, wabula bo abeeyisa obubi tobongera okugyako okuzikirira

    Amagini

    Surah 72

    [1] Bagambe ggwe Nabbi Muhammad nti nafuna obubaka nga waliwo amajinni agamu agaawuliriza nga nsoma Kur'ani negagamba nti mazima Kur'ani tugiwulidde nga yewuunyisa

    [2] Ekowoola oyo agiwuliriza okudda eri obulungamu era naffe tugikkirizza, era tetugenda kuddayo kugatta ku Katonda kintu kirala

    [3] Era mazima ekitiibwa kya Mukama Katonda waffe kisukkulumu, tayinza kuba nti yeteerawo mukyala wadde omwana

    [4] Era mazima ddala ababuyabuya muffe baayogera nga ku Katonda ebigambo ebitemerere

    [5] Era mazima ddala ffe twalowoozanga nti abantu na majjini baali tebayinza kwogera ku Katonda byabulimba

    [6] Waliwo abantu abamu abaasabanga obuyambi okuva eri amajinni ekyagongera okuwaganyala

    [7] Era mazima ddala amajinni gaalowooza nga bwemwalowooza nti Katonda yali tagenda kutuma mubaka yenna

    [8] Era mazima ffe tubadde tugezaako okugenda ku ggulu netulisanga nga lijjudde abakuumi abakambwe nebitawuliro

    [9] Era mazima ffe waliwo enfo zetwatulangamu netuwuliriza ebifaayo, naye kati agezaako okuwuliriza asanga ebitawuliro nga bimuteeze

    [10] Wabula tetumanyi mu kukola ekyo kwali kulumya bitonde ebiri ku nsi oba Mukama Katonda wabyo yabyagaliza bulungamu

    [11] Mazima nemuffe mulimu abalongoofu n'abatali era tuli ebibiina ebyenjawulo

    [12] Era ffe tuli bakakafu nti tetuyinza kulemesa Katonda ku nsi era nga bwetutayinza kumulemesa ne tumuddukako

    [13] Era mazima ddala bwe twawulira obulungamu twabukkiriza, nga ate oyo yenna akkiriza Mukama Katonda we tayinza kutya butasasulwa oba okunyigirizibwa

    [14] Mazima ddala muffe mulimu abasiramu nga bwemulimu abaabula. Oyo yenna asiramuka, abo nno bebaba banoonya amazima mu bwegendereza

    [15] Wabula bo abaabula be bagenda okubeera enku z'omuliro Jahannama

    [16] Naye singa abantu banywerera ku kkubo ettuufu twalibawadde enkuba mu bungi

    [17] Tulyoke tubageseze ngeri ki gye be bazaamu e byengera, oyo yenna eyeesamba ebigambo bya Katondawe agenda kumubonereza n'ebibonerezo ebikambwe

    [18] Mazima ddala emizigiti gya kusinzizamu Katonda yekka, kale nno temugatta ku Katonda ekintu kyonna

    [19] Era mazima ddala omuddu w'a Katonda (Nabbi Muhammad) bweyayimirira nga asaala amajinni gaasembera negamwetoloola kumpi kumwetuumako nga gali mu bibinja

    [20] Bagambe (Gwe Nabbi Muhammad) nti mazima nze nsinza Katonda wange ate si mugattako kintu kirala kyonna

    [21] (Ggwe Nabbi Muhammad) bagambe nti tekiri mu mikono gyange okubaggyirawo obuzibu obuba bubatuuseeko nga bwe kitali mu busobozi bwange okubafunira obulungamu

    [22] Era bagambe nti mazima nze tewali muntu yenna ayinza kumponya bibonerezo bya Katonda singa mba mujeemedde. Era sisobola kufuna buddukiro nga si bwa Katonda

    [23] Nekiba nga ekisigadde kubatuusako bubaka obuva eri Katonda, naye abo bonna abajeemera Katonda n'omubakawe baakuyingira omuliro Jahannama, era nga b'akugubeeramu olubeerera

    [24] Okutuusizza ddala bwe balibanga balabye ebyo ebyabalagaanyisibwa olwo nno lwe bajja okukakasa nti ani alina omutaasa omunafu neggye ettono

    [25] Bagambe ggwe Nabbi Muhammad nti mazima nze simanyi oba e bibonerezo bye mulaganyisibwa biri kumpi oba byakujja oluvanyuma lwebbanga eggwanvu

    [26] Ye yekka, Katonda yaamanyi ebitamanyiddwa ng'ate talina yenna gwabikkulira e byamabye

    [27] Okugyako oyo gwaba alonze okubeera omubaka (kale nno oyo amubikkulira ebimu ku byamabye) era amuteerawo obukuumi bwa Malayika nga bamwetolodde, Sitani obutasobola kumutuukako

    [28] Nabbi alyoke amanye nti mazima ba Nabbi baatuukiriza obubaka bwa Katonda waabwe (nga naye bwa butuukiriza) era bamanye nti Katonda amanyi ebyo byonna bye bakola nga era bwamanyi buli kintu kyonna

    Eyeebikka

    Surah 73

    [1] Owange ggwe eyeebikkirira (olwokutya okwakutuukako bwewafuna obubaka okuva ku Malayika Jiburilu omulundi ogwasoka)

    [2] Golokoka osaale ekiro mpozzi lekayo akaseera katono

    [3] Oyinza okusaala ekitundu kye kiro oba okukendezaako katono

    [4] Oba oyinza okwongerako era bwoba osoma Kur'ani giwoomese

    [5] Mazima ffe tujja kukutikka e kigambo ekizito

    [6] Anti e sswala enzuukukire y'esinga okubuulirira omuntu (olw'okwerekereza otulo) era nga nebisomerwamu byebisinga okusomwa munsoma ennambulukufu

    [7] Anti obudde obwemisana oleebukana nnyo (mu bintu ebirala)

    [8] Kale nno tendereza erinnya lya Mukama Katondawo, e kiseera kyonna okimuwe

    [9] Mukama Katonda omufuziwo buvanjuba n'obugwanjuba tewali kirala kyonna kisaanye kusinzibwa okugyako yye, kale nno gwoba wesigamako

    [10] Era ogumikirize kw'ebyo bye boogera era obaveeko mu ngeri e nnungi

    [11] Naye ndekera abalimbisa, abagagga fugge, era balindirize akaseera katono

    [12] Mazima tulina empingu n'omuliro Jahiim

    [13] N'ebyokulya ebitamirika n'ebibonerezo ebiruma

    [14] Ebiribaawo ku lunaku e nsi n'ensozi lw'ebirikankana e nsozi ne zifuuka entuumo z'omusenyu ogufuumuka

    [15] (Okuwona ebyo mukozese omukisa gwokuba nti) mazima ffe twabatumira omubaka nga yajja okubawaako obujulizi okufaananako nga bwe twatumira Firawo omubaka

    [16] Wabula Firawo yajeemera omubaka, kyetwava tumukwata olukwata olwamanyi

    [17] Kakati bwe mujeema muliwona mutya olunaku olulifuula abaana abato abakadde

    [18] Ate nga eggulu ligenda kuyulikamu olwebiribaawo ku lunaku olwo, nga ate Katonda kyalagaanyisa kiteekwa okutuukirira

    [19] (Bwekiba nga bwekityo bwekiri), mazima ddala muteekwa mutwale Kur'ani nga kyakwebuulirira. N'olwekyo ayagala okuwona ateekeddwa okukwata ekkubo erimuzza eri Katonda we

    [20] Mazima Katonda wo akimanyi nti oyimirira ekiro ng'osaala emirundi egimu kumpi bibiri byakusatu byekiro, oluusi kimu kyakubiri nga n'olundi kimu kyakusatu era nga naabamu ku bakkiriza abali naawe bwebatyo bwe bakola nga ate Katonda yaawa ebiragiro ebikola ekiro n'emisana, era nga amanyi nti temuyinza kumalayo kiro kyonna nga mukola Ibaada kye yava abawa ekisonyiwo, kale nno musome kyemuba musobodde mu Kur'ani nga musaala ekiro anti amanyi nti mu mmwe mulimu abalwadde nga n'abalala bagenda kubeera mu safari nga batambudde mu nsi olwokunoonya ebigabwa bya Katonda nga nabandi bagenda kubeera mu ntabaalo z'okuweereza mu kkubo lya Katonda n'olwekyo musome ekyo kye muba musobodde mu Kur'ani nga musaala e sswala ya tahajjudi era muyimirizeewo e sswala eza faradha mutoole ne zzaka mu ngeri y'emu muwole Katonda oluwola olulungi nga muwaayo saddaaka. Akalungi konna kemweterekera mugenda ku kasanga mu maaso ga Katonda. Okukola ekyo kirungi era kyekirimu empeera ennene era musabe Katonda ekisonyiwo mazima Katonda musonyiyi oweekisa

    Eyeetisse Ekyambalo

    Surah 74

    [1] Owange ggwe eyeebikiridde (olwokutya Malayika Jiburilu lwe yakuleetera obubaka okuva eri Katonda)

    [2] Golokoka otiise abantu ebibonerezo bya Katonda

    [3] Ne Mukama Katondawo yekka gwoba ogulumiza

    [4] N'engoyezo zitukuze

    [5] Amasanamu geewalire ddala

    [6] Tokoleranga abantu obulungi ng'ogenderera kufunamu bulungi kuno ku nsi

    [7] Beeranga mugumikiriza osobole okufuna okusiima kwa Mukama Katondawo

    [8] Engombe bwerifuuyibwa (kulwokuzuukira)

    [9] Olunaku olwo lugenda kuba lunaku luzito

    [10] Terugenda kuba lwangu eri abakafiiri

    [11] (Owange ggwe Nabbi Muhammad) ndeka nooyo gwe nnetondera

    [12] Nemuwa ebyobugagga ebiyitirivu

    [13] Nemuwa nabaana abatutumufu

    [14] Ne mugaziyiriza olugaziya (e byenfuna obukulembeze n'ekitiibwa)

    [15] Oluvanyuma alulunkanira okumwongera okusingako awo

    [16] Nedda sijja kumwongera kuba yawakanya ebigambo byaffe (Kur'ani)

    [17] Nja kumussaako e bibonerezo e bizito

    [18] Anti mazima yye (Al Walid bin Mugiira) yalowooza era naasalawo okuvvoola Kur'ani

    [19] Nakolimirwa okusinziira ku ngeri gyeyasalawo

    [20] Era ddala yakolimirwa ku ngeri gyeyasalawo

    [21] Oluvanyuma yakirowozaako

    [22] Olwo nno ne yeekaba najja emitaafu

    [23] Ne kyaddirira ebituufu yabivaako neyekuluntaza

    [24] Olwo nno n'alangirira nti e bigambo bya Muhammad temuli wabula ddogo erijjibwa ku balogo abasooka

    [25] Era byayogera tebisukka ku kuba bigambo bya muntu

    [26] (Katonda naagamba nti:) nja kumuyingiza omuliro Sakara

    [27] Naye omanyi Sakara kyeki

    [28] Gwo muliro ogutagenda kulekawo kintu wadde okukitaliza

    [29] Gwokera ddala negusiriiza eddiba lyomuntu

    [30] Gukuumibwa ba Malayika kkumi na mwenda

    [31] Ate omulimu gwokukuuma omuliro tetwaguwa okugyako ba Malayika, era omuwendo gwabwe tetwaguteekawo okugyako nga kikemo eri abatakkiriza Katonda, so nga abo abaweebwa ekitabo ekyo kibongera kukakasa (ebyo bye baalina), ate bo abakkiriza (abagoberezi ba Nabbi Muhammad) kyongera kunyweza bukkiriza bwabwe, era abaweebwa ekitabo n'abakkiriza babe nga tebasigalamu kakunkuna, wabula nga (abanafunsi) abalina obulwadde mu mitima gyabwe n'abatakkiriza bagamba nti Katonda kiki kyagenderera mu kifananyi kino, bwatyo nno Katonda abuza nalungamya oyo gwaba ayagadde, ate tewali amanyi ggye lya Mukama Katondawo okugyako yye, ebyo byonna ebyogeddwa tewali kibigendererwamu okugyako okubuulirira omuntu

    [32] Nedda (tekiri ng'abantu abamu bwe balowooza), mazima ndayidde omwezi

    [33] Ne ndayira n'ekiro mu kiseera we kiggwerako

    [34] Ne ndayira n'amakya ngabusasaana

    [35] Mazima ggwo (omuliro Sakara) kye kimu ku binene

    [36] Ebyandibadde bibuulirira omuntu

    [37] Eri oyo aba ayagadde mu mmwe okudda eri Katondawe oba okumwesamba

    [38] Buli muntu agenda kubeera musingo gwa mirimugye

    [39] Okugyako abo abalibeera ku mukono ogwaddyo

    [40] Bagenda kubeera mu jjana nga babuuza ebifa

    [41] Ku bonoonyi

    [42] Nga babagamba nti ki ekibayingizza omuliro

    [43] Baligamba nti tetubangako mu basaaze

    [44] Era tetwaliisanga banaku

    [45] Twabeeranga nabakubi bambekuulo

    [46] Era twali tulimbisa olunaku lw'enkomerero

    [47] Okutuusa okufa lw'ekwatutuukako

    [48] Kale tebagenda kuganyulwa mu kuwolereza kwa bawolereza

    [49] Kakano kiki ekibaddusa okuva ku kubuulirira kwa (Kur'ani kuno)

    [50] Nga balinga entulege ezigobeddwa

    [51] Ezidduka e mpologoma

    [52] Wabula buli omu mubo ayagala aweebwe ebiwandiiko ebibikuddwa

    [53] Nedda ekituufu kiri nti bbo tebakkiriza nkomerero

    [54] Mazima ddala yo (Kur'ani) kyakubuulirira

    [55] Oyo aba ayagadde yeebulirira nayo

    [56] Wabula tebayinza kwebuulirira okugyako nga Katonda ayagadde, yye ye nanyini kutiibwa era ye nanyini kusonyiwa

    Okuzuukira

    Surah 75

    [1] Tewali kingaana kulayira lunaku lwakuzuukira

    [2] Era nga bwewatali kingaana kulayira omwoyo ogwejjusa

    [3] Abaffe omuntu alowooza nti tetugenda kusobola kuzzaawo magumbage

    [4] Nedda tukisobolera ddala nga bwetulisobola okuzzaawo ennwe zaabwe

    [5] Wabula omuntu emirundi egisinga ayagala nnyo okuwangaalira mu kwonoona

    [6] Ngabuuza (mu ngeri ey'okujerega n'okuwakanya) nti olunaku lwokuzuukira lulibaawo ddi

    [7] Ddala lugenga kubaawo nga n'amaaso g'abantu galiralambala olwokutya

    [8] Ekitangala kyomwezi kigenda kuggwawo

    [9] Enjuba n'omwezi birigattibwa (nga tewakyasobola kubaawo kiro namisana)

    [10] Ku lunaku olwo omuntu agenda kwebuuza nti nzirukirewa

    [11] Kyekyo ddala, tewagenda kubaawo muntu weyekweka

    [12] Obuddo ku lunaku olwo bujja kuba eri Mukama Katondawo

    [13] Ku lunaku olwo omuntu agenda kutegeezebwa ebyo byonna byeyakola nebyataakola

    [14] Wabula ate ddala omuntu ye yennyini amanyi bye yakola ne byataakola (newakubadde nga aligezaako okwogera kino nakiri ngayeetonda)

    [15] Newakubadde nga aligezaako okwogera kino nakiri ngayetonda

    [16] Bwoba osoma Kur'ani toyanguyiriza nga olowooza nti kyekinakuyamba okuginyweeza

    [17] Anti okugikungaanya kuli kuffe nga era bwekiri kuffe okunywereza ku lulimi lwo ensoma ennungi

    [18] Kale nno bwetumala okugikusomera (nga tugiyisa ku Jiburilu) goberera ensoma yaayo

    [19] Era mazima okuginnyonnyola kuli kuffe

    [20] (Ebyo ebyogeddwa waggulu bimala omuntu okwebuulirira nabyo) wabula ebyembi mmwe mwagala ebyokufuna byensi ebyamangu

    [21] Nemuleka ebyolunaku lw’enkomerero

    [22] Ebyenyi bya bantu abamu ku lunaku olwo bigenda kuba nga bitemagana

    [23] Bigenda kutunula ku Mukama Katonda waabyo

    [24] Ate nga ebyenyi bya bantu abalala bigenda kuba binyikaavu

    [25] Nga bimanyidde ddala nti bigenda kutuukibwako akabi akanene akamenya nenkizi

    [26] Naye omwoyo bwegutuuka mu ddokooli

    [27] Abantu webagambira nti ani alina eddagala eriyinza okumuwonya

    [28] Wabula yye ngamaze okukakasa nti agenda kufa

    [29] Entumbwe ne yeegatta ku ntumbwe

    [30] Olwo nno obuddo buba busigadde eri Katondawo

    [31] Naye nga omufu teyasaddaaka wadde okusaala

    [32] Wabula yalimbisa ebigambo bya Katonda nabyesamba

    [33] Olwo nno naatambula nadda eri abantu be nga yeeraga

    [34] (Aligambibwa nti ekyo) ekikutuuseeko kikugwanidde era ddala kikugwanidde (owange ggwe omwonoonyi)

    [35] Ate era kikugwanidde ng'ate era ddala kikugwanidde

    [36] Omuntu alowooza nti ayinza okulekwa neyeeyisa nga bwayagala

    [37] Tajjukira nti yasooka kuba tondo lyamazzi agazaala agateekebwa mu nabaana

    [38] Oluvanyuma naafuuka ekisayisayi, olwo Katonda naamutonda namussaako byonna ebimufuula omuntu

    [39] Nga bwatyo bwakola emitendera ebiri, omusajja n'omukazi

    [40] Abaffe oyo eyakola omuntu mu ngeri eyo tasobola kulamusa bafu

    Ebiro

    Surah 76

    [1] Omuntu tajjukira nti waayitawo ekiseera kinene nga tayogerwako (nga tannatondebwa)

    [2] Mazima ffe twatonda omuntu nga ava mu kwetabula kwamazzi (ag'omusajja n'omukazi) naye nga waakugezesebwa mu bulamu bwe. Kyetwava tumuwa okuwulira n'okulaba

    [3] Mazima ddala twamulaga e kkubo, kiri gyali yeebaza naasinza Katonda omu oba ajeema n'awakanya

    [4] Mazima ddala abakafiiri twabategekera enjegere n'amakoligo n'omuliro ogutuntumuka

    [5] Mazima abakozi bobulungi bagenda kunywa ekyokunywa nga kitabuddwa mu kafuura

    [6] Olwo nno luliba luzzi abaddu b'a Katonda abeeyisa obulungi kwebagendanga okunywa, lugenda kukulukuta nga buli muntu lumutuukako waali

    [7] (Bagenda kutuuka kwebyo kubanga) kuno ku nsi baatuukiriza nnaziri zaabwe, era nga batya olunaku olwo obuzibu bwalwo obugenda okubuutikira e nsi n'eggulu

    [8] Era bagabira abanaku ne bamulekwa nabasibe emmere awamu n'okuba nti bo bennyini bagyetaaga

    [9] Nga bagamba nti mazima tubaliisa lwa Katonda tetubaagalamu mpeera wadde okwebaza

    [10] (Ekitukozesa bino lwakuba nti) mazima ddala ffe tutya engeri gye tulisisinkanamu Katonda waffe ku lunaku e byenyi (bya bantu) lwe birijjula emitaafu nga byekabye

    [11] N'olwekyo nno Katonda wakubawonya obuzibu bw'olunaku olwo era abawe okutangalijja kwe byenyi awamu n'essanyu

    [12] Era wakubasasula olwobugumikiriza, nga abayingiza e jjana omuli ebyambalo bya Siliki (awamu nokuba nti kunsi abasajja baaziyizibwa okumwambala)

    [13] Balituula mu ntebe ez'omuwendo nga besigamye, tebagenda kutukwako kwokya kwanjuba wadde obutiti

    [14] Era nga mulimu emiti egiribakolera ebisiikirize, era nga nebibala byamu bigenda kuba byangu byakunoga

    [15] Baligabulirwa ku sowane eza feeza era bakunywera ku girasi ezitemagana

    [16] Ziritemegana anti ziriba zaakolebwa mu feeza, ziriba zimala bumazi okubeeramu ekyokunywa ekimalawo obwetaavu bwoyo anywa

    [17] Era bagenda kuweebwa eby'okunywa ebiri mu girasi nga bitabulwamu entangawuzi

    [18] Eyo nno egenda kuba nsulo mu jjana eyitibwa "Salsabiila

    [19] Bagenda kuweerezebwanga abaweereza abolubeerera, nga bwobatunulako bwoti olaba lu'ulu asasanyiziddwa

    [20] Buli wonotunulanga mu jjana ng'olaba ebyengera ebisuffu n'obwanannyini obutaliiko kkomo

    [21] Baliba bambadde engoye eza Siliki omuweweevu owakiragala ne Siliki omuzito, era bagenda kuba bawundiddwa nebikomo ebya feeza, era Mukama Katonda waabwe agenda kubawa ebyokunywa ebitukuvu

    [22] (Baligambwa nti) Mazima ebyo byonna yempeera yammwe, mazima okutegana kwa mmwe kusiimiddwa

    [23] Mazima ffe twakussaako Kur'ani (gwe Nabbi Muhammad) olussa

    [24] Kale nno beera mugumikiriza ku kugera kwa Katondawo, togezaako okugondera omwonoonyi oba omuwakanyi yenna

    [25] Era yogeranga kulinnya lya Mukama Katondawo enkya neggulo

    [26] Ne mukiro muvunnamire ng'osaala era omutendereze mu ttumbi ebbanga ggwanvu

    [27] Mazima abatakkiriza basinga kwagala birungi byansi ebyamangu, ne basuulayo gwannaggamba ku bikwata ku lunaku lw'enkomerero oluzito

    [28] Ffe twabatonda ne tugumya e biyungo byabwe, naye nga bwe tuba twagadde (tuyinza okubazikiriza) ne tuleeta abantu abalala

    [29] Mazima obubaka bwa Kur'ani buno kya kwebulirira era nga kyakujjukiza, n'olwekyo aba ayagadde asanye y'eteerewo ekkubo erimutuusa eri Katondawe

    [30] Naye ate temusobola kwagala okugyako nga Katonda ayagadde, mazima Katonda lubeerera amanyi, assa buli kintu mussa lyako

    [31] Ayingiza oyo gwaba ayagadde mu kusaasirakwe, ate bbo abalyazamanyi yabategekera ebibonerezo ebiruma

    Abatume

    Surah 77

    [1] Ndayidde empewo ekunta mu ngeri y'okugoberegana

    [2] Era ndayidde kibuyaga akunta mu ngeri ey'amaanyi eyakabi

    [3] Era ndayidde Malayika ezitambuza ebire olutambuza (olwokutonyesa enkuba)

    [4] Era ndayidde Malayika ezikka okuva ewa Katonda nga zireeta ebyawula wakati w'amazima n'obulimba

    [5] Era ndayidde Malayika ezireeta ebitabo n'obubaka eri ba Nabbi ba Katonda nga byakujjukiza

    [6] Mu ngeri yokuba nti bijjawo ebyokwekwaasa oba nga byakutiisa

    [7] Mazima bye mulaganyisibwa ebikwata ku lunaku lw'enkomerero n'okusasulwa bya kubaawo

    [8] Emunyeenye lweziriggibwawo (newataba kitangaala kyaazo)

    [9] Era eggulu bweririwumulwa (nerirabika nga emiryango)

    [10] Era ensozi bwezirimerengulwa

    [11] Era ababaka b'a Katonda bwebaliweebwa akadde k'okuwa obujulizi kwabo bebaatumwamu

    [12] (Ebintu ebyo ebyentiisa) biribaawo ddi

    [13] Bigenda kubaawo ku lunaku olwokusalawo n'okulamula wakati w'ebitonde

    [14] Abaffe omanyi olunaku lw'okusalawo kyekki

    [15] Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kw'abo abalulimbisa

    [16] Abaffe tetwazikiriza ababasokawo

    [17] Netubagoberezaako abalala

    [18] Bwetutyo nno bwetukola mu kubonereza abonoonyi

    [19] Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa

    [20] Abaffe tetwabakola nga tubajja mu mazzi aganyomebwa

    [21] Netugateeka mukifo ekigakuuma

    [22] Okutuusa ebbanga eggere erimanyiddwa

    [23] Bwetutyo nno bwetwateekateeka okutondebwa kwabwe tuli bateesiteesi abasinga obulungi

    [24] Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa

    [25] Abaffe ensi tetwagikola nga ekungaanya

    [26] Abalamu n'abafu (bonna ngabali muyo)

    [27] Netugiteekamu e nsozi eziginyweza entumbiivu ne tubawa amazzi amalungi

    [28] Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa

    [29] Ku lunaku lw'enkomerero abakafiiri baliragirwa nti mugende eri ebyo bye mwali mulimbisa

    [30] Mugende eri ekisiikirize ekyomuliro ngakirimu ebitundu bisatu

    [31] Wabula tebaliba na kibasiikiriza wadde e kibataasa nnimi z'amuliro

    [32] Mazima omuliro ogwo gukasuka ebitawuliro nga biringa ebizimbe ebigulumivu

    [33] Ebitawuliro ebyo nga biringa engamiya ez'akyenvu

    [34] Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa

    [35] Olwo lunaku lwebatagenda kwogera

    [36] Wadde okukkirizibwa okwetonda

    [37] Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa

    [38] Luno lwe lunaku lw'okulamula tubakunganyizza mwenna n'aba bakulembera

    [39] Bwe muba mulina engeri gyemuyinza okwebulankanyamu kale munnebulankanyeko

    [40] Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa

    [41] Naye mazima abatya Katonda bagenda kubeera mu bisiikirize n'emigga egikulukuta

    [42] N'ebibala byebaliba bagala

    [43] Nga bagambibwa nti mulye era munywe nga mweyagala

    [44] Mazima ffe bwetutyo bwetusasula abakozi b'obulungi

    [45] Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa

    [46] (Kuno ku nsi abakafiiri bagambwa nti) mulye, era mweyagale kitono, wabula mumanye nti muli bonoonyi (naye mukimanye nti waliyo enkomerero)

    [47] Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa

    [48] Bwebalagirwa okusaala tebasaala

    [49] Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa

    [50] Olwo bigamboki ebitali Kur'ani byebagenda okukkiriza

    Amawulire

    Surah 78

    [1] Beebuuzaganya ku ki

    [2] Ku kigambo e kinene

    [3] Ekigambo kye baawukaniramu ddala

    [4] Ekyo ssi bwekiri, bajja kumanya

    [5] Oluvanyuma nedda bajja kumanyira ddala

    [6] Abaffe tetwabafuula e nsi e kyaliiro

    [7] N’ensozi ne tuzifuula enkondo (eziginyweza obutayuuga)

    [8] Ne tubatonda mu ngeri bbiri (omukazi n’omusajja)

    [9] Ne tufuula okwebaka kwa mmwe nga kiwummulo

    [10] Ne tufuula ekiro ekyambalo ekibabikka (olw’enzikiza yaakyo)

    [11] Ne tufuula emisana omunoonyezebwa eky’okubabeezaawo

    [12] Ne tuzimba waggulu wa mmwe emyaliiro emigumu musanvu

    [13] Ne tuteekawo ettaala (enjuba) eyaka

    [14] Ne tussa okuva mu bire by’enkuba amazzi agafukumuka

    [15] Tulyoke tumeze nago empeke n’ebimera (ebirala)

    [16] N’amalimiro amasaakaativu

    [17] Mazima olunaku lw’okulamula lwaweebwa e kiseera e kigere

    [18] Olwo Lwe lunaku e ngombe lw'erifuuyibwa ne mujja nga muli bibinja

    [19] N’eggulu ne liggulwawo ne libeerako e miryango

    [20] N’ensozi nezikungunsibwa ne ziba nga ezitabangawo

    [21] Mazima omuliro Jahannama weeguli gulinze

    [22] Nga bwe buddo bw’abo abamawaggali eri Katonda

    [23] Baakugubeeramu byeya na byeya

    [24] Nga bali mu gwo tebagenda kufuna buweerero wadde ak'okunywa akaweweeza

    [25] Okugyako olweje n’amasira Ag'olusaayisaayi

    [26] Nga y’empeera ebasaanira

    [27] Kubanga baali tebasuubira nti walibayo okubalibwa

    [28] Ne balimbisa nnyo ebigambo byaffe

    [29] So ng’ate buli kintu twakikuuma mu bujjuvu, mu buwandiike

    [30] Kale mukombe ku kibabu ky'ebikolwa byammwe kubanga tetujja kubongera okugyako ebibonerezo

    [31] Mazima abatya Katonda bajja kufuna okwesiima (okulimu buli kyonna kye baagala)

    [32] Amalimiro n’emizabbibu

    [33] N’abawala ab’amabeere amatutu

    [34] N’amagiraasi agajjudde eby’okunywa

    [35] Nga bali mu yo (e jjana) tebagenda kuwulira bigambo bya butaliimu wadde eby’obulimba

    [36] Nga y’empeera okuva eri omulezi wo, nga kuweebwa okumatiza

    [37] Oyo nanyini Ggulu omusanvu n’ensi n’ebiri wakati wa byombi, oweekisa ekingi, tebalyetantala kwogeraganya naye

    [38] Jiburilu ne ba malayika abalala ku lunaku lwe baliyimirira nga bali mu nnyiriri nga bonna tewali ayogera okugyako oyo yekka Katonda omusaasizi, gw’aliba akkiriza okwogera ate n'ayogera bituufu

    [39] Olwo lwe lunaku olw’amazima. Omuntu ayagala emirembe alwetegekere afune obuddo eri Katonda we

    [40] Mazima tubatiisizza ebibonerezo ebiri okumpi ennyo. Olunaku omuntu lw’aliraba ebyo emikono gye bye gyakola. Ku lunaku olwo omukaafiiri aligamba: ye nga zinsanze, singa nfuuse ettaka

    Abo Abasika

    Surah 79

    [1] Ndayira Malayika ezisikambula emyoyo gy’abajeemu mu bukambwe

    [2] Era ndayira Malayika ezisowola emyoyo gy’abakkiriza obusowozi

    [3] Era ndayira Malayika eziwugira mu bbanga oluwuga

    [4] Era ndayira Malayika ezivuganya oluvuganya nga zitwala emyoyo gy’abakkiriza mu jjana

    [5] Ne ndayira ne Malayika ezissa mu nkola ebiragiro (Byange)

    [6] (Mukimanye nti ebitonde byonna bigenda kuzikirira) ku lunaku buli kintu kyonna lwe kirikankana nga engombe efuuyiddwa

    [7] Luligobererwa olufuuwa olw'okubiri (olw'okuzuukira)

    [8] E mitima gy’abatakkiriza ku lunaku olwo giribeera mu kutya

    [9] Amaaso gaabwe nga makkakkamu

    [10] Bagamba (nga bajerega), nti "Mazima ddala tulizzibwawo mu bulamu nga bwetulimu kati

    [11] Bwe tuliba tumaze okufuuka amagumba amamerengufu

    [12] Bongerako ne bagamba nti (okwonno bwekiriba bwekityo) kuliba kudda kwa kufaafaaganirwa

    [13] Mazima okuzuukira lugenda kubeera olukanga lumu lwokka

    [14] Baligenda okulaba nga bali ku ngulu ku nsi

    [15] Abaffe wamanya ku kyafaayo kya Nabbi Musa

    [16] Awo Katonda we yakoowoolera Musa nga (Musa) ali mu lusenyi olutukuvu 'Tuwa

    [17] N'amugamba nti genda eri Firaawo kubanga ye asusse mu bujeemu ne mu buwakanyi

    [18] Omugambe nti, Abaffe waalyetaaze okwetukuza (n'okkiriza mukama Katonda wo)

    [19] Ndyoke mbe nga nkulungamya eri Katonda wo obeere nga omutya

    [20] (Nabbi Musa) n’alaga Firaawo obujulizi obwenkukunala

    [21] (Firaawo) naalimbisa era n’ajeema

    [22] Bwe yamala n'abikuba amabega era n’akola kaweefube w'okubirwanyisa

    [23] N’akungaanya (amagye ge, abakungu be, n’abalogo) n’alangirira

    [24] Ng’agamba nti nze Katonda wa mmwe owa waggulu

    [25] Katonda n’amubonereza n’okumuzikiriza olw’ekisobyo ekyasembayo n’ekyasooka

    [26] Mazima mu ekyo (eky’okuzikiriza Firaawo) mulimu eky’okulabirako eri oyo atya Katonda

    [27] Abaffe, mmwe be mweraba mwe musinga obuzibu okutonda okusinga e ggulu? Yalitonda nno

    [28] (Awamu n'obugevvu bwalyo) yaliwanika n'alitereeza

    [29] Aleeta enzikiza yaalyo n’aggyayo ekitangaala kyalyo

    [30] N’ensi oluvanyuma lwebyo yagyaliira

    [31] Muyo mwennyini mweyajja amazzi gaayo namalundiro gaayo

    [32] N’ensozi yazisimba n'azinyweeza

    [33] (Ebyo yabikola) lwa kugasa mmwe n'ensolo za mmwe

    [34] Akabenje akanene bwe kalijja (olwo lwe luliba olunaku lw'enkomerero)

    [35] Olunaku lw’alijjukira omuntu ebyo byonna bye yakola

    [36] Omuliro Jahiimu negulagibwa eri yenna alaba

    [37] Oyo yenna eyasukka mu kujeema

    [38] N’asukkulumya obulamu bw’ensi (ku bw'enkomerero)

    [39] Mazima omuliro Jahiimu bwe buddo bwe

    [40] Oyo aliba nga yatya okuyimirira mu maaso ga Mukama we (Katonda). N’aziyiza omwoyo gwe ku by’obwagazi

    [41] Mazima e jjana, bwe buddo bwe

    [42] Bakubuuza gwe (Nabbi Muhammad) ebikwata ku lunaku lw’enkomerero, nti lulibaawo ddi

    [43] Wa gy'onoggya okulwogerako

    [44] Omulezi wo Katonda yekka ya manyi ebirukwatako

    [45] Mazima ggwe oli mutiisa eri oyo alutya

    [46] Mazima bwe baliraba olunaku olwo balibanga abataatuula ku nsi okugyako ekiseera ky'olweggulo oba e kye nkya

    Yavuunama

    Surah 80

    [1] (Nabbi Muhammad) azze emitaafu, n’akubayo amabega

    [2] Muzibe bw’amujjidde

    [3] Ki ki ekikumanyisa ob'olyawo (muzibe oyo) aneetukuza

    [4] Oba anaabuulirirwa okubuulira nekumugasa

    [5] Oyo eyeegaggawaza nga yeematira

    [6] Ate ggwe gwe weemalira

    [7] Bw’ateetukuza kiki ekinaakubaako

    [8] So ng’oyo akujjidde ng’ayanguwa

    [9] Era ng’atya Katonda

    [10] Ate ggwe gw’otofaako

    [11] Nedda si bwe kyandibadde, mazima yyo (Kur'ani) kya kwe buulirira

    [12] Aba ayagadde yeebuulirira nayo

    [13] Eri mu biwandiiko eby’ekitiibwa ennyo

    [14] Ebigulumizibwa, ebitukuvu

    [15] Ebiri mu mikono gya Ba Malayika abawandiisi

    [16] Ab'ebitiibwa, abatukuvu

    [17] Omuntu yakolimirwa, ki ki ddala ekimuwakanyisa Katonda

    [18] (Omuntu talaba) kintu ki Katonda mwe yamutonda

    [19] Mu mazzi (e nkwaso) mwe yamutonda n'amugerera (byonna ebiri mutuukako)

    [20] Oluvanyuma n’amwanguyiza ekkubo ly’okuzaalibwa

    [21] Bw’amala n’amutta era n’aziikibwa mu kabbuli

    [22] Oluvanyuma alimuzuukiza bwaliba ayagadde

    [23] Wabula omuntu tatuukiriza ebyo Katonda by’amulagira okukola

    [24] Omuntu ateekwa atunuulire by’alya (emitendera gye biyitamu)

    [25] Mazima ffe tufuukirira amazzi olufukirira (olusaanidde)

    [26] Ne tulyoka twasa ettaka olwasa (olusaanira ebimera)

    [27] Olwo nno ne tumeza mu lyo e mpeke

    [28] E mizabbibu n’ebimera e bizimba omubiri

    [29] N’emizayituni n’emitende

    [30] N’ennimiro ezisaakaatiddemu (e miti emiwanvu)

    [31] N’ebibala n’omuddo oguliibwako e bisolo

    [32] Bibagase n’ebisolo bya mmwe

    [33] Naye okuboggola bwe kuliba kuzze

    [34] Olunaku omuntu lwalidduka mugandawe

    [35] Ne maamawe, ne kitaawe

    [36] Ne mukyalawe, n’abaanabe

    [37] Buli muntu ku lunaku olwo ajja kuba ku nsonga emukwatako yekka

    [38] Ebyenyi ebimu ku lunaku olwo bigenda kuba byakaayakana

    [39] Nga biriko akamwenyumwenyu, nga bisanyufu

    [40] Ate ebyenyi ebirala bigenda kuba nga bigubye

    [41] Nga ekizikiza kibibisse

    [42] Abo nno be baawakanya Katonda, aboonoonyi

    Okusuulibwa

    Surah 81

    [1] Enjuba bw'erizingwako

    [2] Nga n’emunyeenye zikunkumuse

    [3] Era ensozi bwe zirikungunsibwa (ne zigibbwawo)

    [4] Nga n’ebisolo ebyo mu maka nga tebikyafiibwako (newakubadde nga biriba mawako)

    [5] N’ebisolo by’omu nsiko nabyo nga bikungaanyiziddwa

    [6] Nga n’ennyanja zikuumiddwako omuliro (ne zibumbujja)

    [7] Nga n’emyoyo gigatiddwa buli egifaanagana nga giri wamu (Emirungi nga giri n’emirungi, e mibi nga giri n’emibi)

    [8] Era omwana omuwala eyaziikibwa nga mulamu bw'aliba abuuziddwa

    [9] Kibi ki ekyamussa

    [10] Ebiwandiiko bwe biribeera nga bisasaanyiziddwa (nga buli kiwandiiko kituuka ku nnannyini kyo, omuli ebyo bye yakola ku nsi)

    [11] E ggulu bwe liriba liggyiddwawo

    [12] Nga n’omuliro gukoleezeddwa

    [13] Nga n’ejjana esembezeddwa

    [14] Olwo omuntu alimanya ekyo kye yakola (kibe kirungi oba kibi)

    [15] Ndayira e munyeenye ezibulawo

    [16] Ezibula emisana ne zirabika ekiro

    [17] Era ndayira ekiro bwe kiba nga kyolekedde okuggwaawo

    [18] Era ndayira n’amakya g’obudde nga busaasaana

    [19] Mazima yyo (Kur'ani) kigambo kya mubaka (Jiburilu) ow'ekitiibwa (ky’aggya eri Katonda n’akireetera Nabbi Muhammad)

    [20] Oyo (Jiburilu) owaamaanyi era ow'ekitiibwa eri nnannyini Arishi

    [21] Agonderwa (ba Malayika banne) eyo (mu ggulu) ng'ate mwesigwa

    [22] Era munnammwe (Nabbi Muhammad) si mulalu

    [23] Mazima ddala ye (Muhammad) yamulaba (Jiburilu) mu bweyolefu nga ajjudde obwengula

    [24] Era tali (Nabbi Muhammad) ku bigambo ebyekwese (ebikwata ku bubaka obuva eri Katonda n'ebigambo by'omu ggulu) ayinza obutatuukiriza

    [25] (Ebigambo bya Kur'ani Muhammad byayogera) si bigambo bya sitaani omukolimire

    [26] Naye ddala mulaga wa

    [27] Wabula Yo (Kur'ani) kyakubuulirira eri ebitonde byonna

    [28] Eri oyo mu mmwe aba ayagadde okulungama

    [29] Naye ate temujja kwagala okugyako nga Katonda Omulezi w’ebitonde ayagadde

    Okweyawula

    Surah 82

    [1] E ggulu bwe ririba lyeyasizzaamu

    [2] N'emunyenye bwe ziriba nga zivudde waggulu ne zisaasaana

    [3] N'ennyanja bwe ziriba nga ziwaguludde

    [4] Ne Kabbuli bwe ziriba nga zifuukuddwa (abafu bonna ne bavaayo)

    [5] Omuntu alimanya ebyo bye yakulembeza okukola ne bye yasembyayo

    [6] Owange ggwe omuntu kale kiki ekyakugayaaza okukuggya ku muleziwo (Katonda) Omugabi

    [7] Oyo eyakutonda n’akutereeza era n’akwenkanyankanya

    [8] Mu kifaananyi kyonna kye yayagala mwe yakutondera

    [9] Nedda, wabula mulimbisa olunaku olw’okusasulwa (olw’enkomerero)

    [10] Mazima muliko abakuumi (Ba Malayika)

    [11] Abeekitiibwa abawandiisi (abawandiika ebyo byonna ebikolebwa)

    [12] Bamanyi ebyo byonna byemukola

    [13] Mazima abakozi b’obulungi balibeera mu byengera

    [14] Era mazima abakozi b’ebibi bagenda kubeera mu muliro oguyitibwa Jahiimu

    [15] Bagenda kuguyingira ku lunaku olw’okusasulwa (olw'enkomerero)

    [16] Tebagenda ku gwebulankanyako

    [17] On'omanyira ku ki olunaku olw'okusasulwa (olw’enkomerero)

    [18] Naye ddala on'omanyira ku ki olunaku olwokusasulwa (Katonda yakiddamu olwokuggumiza obukulu bw’olunaku olwo)

    [19] Olunaku omwoyo lwe gutaliba na buyinza bugasa mwoyo mulala na kintu kyonna. N’ebiragiro ku lunaku olwo biriba bya Katonda yekka

    Okulyazaamaanyi

    Surah 83

    [1] Okuzikirira kuli ku abo abakendeeza ebipimo

    [2] Abo bwe baba nga beebapimirwa, basaba ebipimo byabwe bijjuzibwe

    [3] So nga bwe baba nga be balengera abalala, oba be bapima, bakendeeza (ebipimo)

    [4] Abaffe tebakakasa nti mazima ddala baakuzuukizibwa

    [5] Ku lunaku oluzito (olw'enkomerero)

    [6] Olunaku abantu lwe baliyimirira mu maaso g'omulezi w’ebitonde

    [7] Mazima ddala ebiwandiiko by’emirimu gy’aboonoonyi biri mu Sijjiin

    [8] Naye omanyi Sijjiin kye ki

    [9] Ky’ekitabo ekiwandiikibwamu ebibi by’omuntu

    [10] Okuzikirira ku lunaku olwo, kulibeera ku abo abalimbisa

    [11] Abo abalimbisa olunaku lw’okusasulwa (olw’enkomerero)

    [12] Tewali alimbisa lunaku olwo okugyako oyo asukka ensalo z’amateeka ga Katonda era omwonoonyi

    [13] Bw’aba asomeddwa ebigambo byaffe (Kur'ani) agamba nti ebyo nfumo z’abaasooka

    [14] Nedda, ssi bwekiri; wabula bye baali bakola byetuuma ku mitima gyabwe

    [15] Mazima ddala abatakkiriza ku lunaku olwo baakuziyizibwa okulaba Omulezi waabwe (Katonda)

    [16] Mazima ddala baakuyingira omuliro Jahiimu

    [17] Oluvanyuma bagenda kugambibwa nti ekyo kye mwalimbisanga

    [18] Mazima ddala ebiwandiiko by’abakozi b’obulungi biri mu Illiyyiina

    [19] Naye omanyi Illiyyiina kye ki

    [20] Ky’ekitabo ekiwandiikibwamu ebirungi by’omuntu

    [21] Bakisemberera Ba malayika abali okumpi ne Katonda

    [22] Mazima abakozi b’obulungi bagenda kubeera mu byengera

    [23] Nga bali ku bitanda ebiwunde nga batunuulira ebintu ebibeetoolodde

    [24] Essanyu eriribeera ku maaso gaabwe ligenda ku kulaga okwesiima kwe balibaamu

    [25] Baligabulwanga omubisi (ogw’omu jjana) omusaanikire obulungi

    [26] (Olunaagunywangako) ng'owulira akawoowo ka misk. Ne mu kyo, abaagala okuvuganya mu kukola emirimu emirungi bavuganye

    [27] Omubisi ogwo gugenda kutabulwa mu Tasnim

    [28] Tasnim nsulo erinywebwangako abalibeera okumpi ne Katonda

    [29] Mazima abantu abo abaali abajeemu baalinga ku nsi nga basekerera abakkiriza

    [30] Bwe baabayitangako nga babageyesa amaaso

    [31] Ate nga bwe baddanga mu bantu baabwe nga beewaana

    [32] Bwe baabalabangako nga bagamba nti mazima abo baabulira ddala

    [33] Naye tebatumwanga kubeera nga bebalondoola emirimu gya bali

    [34] Wabula olwaleero (olunaku lw'enkomerero) abo abakkiriza bajja kubeera nga basekerera abatakkiriza

    [35] (Abakkiriza) nga bali ku bitanda ebiwunde nga babakeneka

    [36] (Nga bwe bagamba nti) abaffe abatakkiriza basasuddwa bye baalinga bakola

    Okweyatula

    Surah 84

    [1] Eggulu bwe liryeyasaamu

    [2] Ne ligondera ekiragiro kya Mukama waalyo, era nga bwe kyandibadde

    [3] Ensi bw'eriseeteezebwa

    [4] N'ewandula ebigirimu n'esigala nga njereere

    [5] N'egondera ekiragiro kya mukama waayo era nga bwe kyandibadde

    [6] Owange ggwe omuntu! Otakabana olutakabana (okukola e mirimu) ng'odda eri Katondawo. Era oli wakumusisinkana

    [7] Kale nno omuntu aliweebwa ekitabokye mu mukonogwe ogwa ddyo

    [8] Agenda kubalwa olubala olwangu

    [9] Era adde eri banne nga musanyufu

    [10] Naye oyo aliweebwa ekitabokye e mabega w'omugongogwe

    [11] Agenda kukuba e biwoobe

    [12] Yeesogge omuliro Sa-iira

    [13] Kubanga yabeeranga (ku nsi) mu bantube nga musanyufu (mu kujeemera amateeka ga Mukama Katonda)

    [14] Bambi! yalowooza nti tagenda kuzuukira

    [15] So nno, mazima Katondawe yalinga amulaba

    [16] Ndayira ekire ekimyufu (ekibaawo ng'enjuba yakagwa)

    [17] Ne ndayira n'ekiro n'ebyo bye kikungaanya

    [18] Era ndayira omwezi bwe guba gujjudde

    [19] Mujja kukyusibwakyusibwa (mu mbeera za mmwe nga muva mu mbeera okudda ku ndala)

    [20] Naye lwaki tebakkiriza

    [21] Ne Kur'ani bwe basomerwa tebavunnama

    [22] Wabula e nsonga ebagaana okuvunnama lwakuba nti abakafuuru balimbisa (Kur'ani)

    [23] So nga Katonda amannyidde ddala bye bakweka (mu mitima gyabwe)

    [24] Bawe amawulire nti bagenda kubeera mu bibonerezo ebiruma

    [25] Okugyako abo abakkiriza ne bakola e mirimu e mirongoofu. Abo be bagenda okufuna e mpeera etakutukawo

    Emmunyeenye

    Surah 85

    [1] Ndayira e ggulu eririmu ebifo omutambulira e munyeenye (nga mwe muli e njuba n’omwezi)

    [2] Era ndayira olunaku olwalagaanyisibwa (olunaku lw’enkomerero)

    [3] Era ndayira oyo aliwa obujulizi n’oyo gwe balibuwaako (ku lunaku lw’enkomerero)

    [4] Katonda yagoba mu kusaasirakwe abo abaasima agannya

    [5] Gebaakumamu omuliro ogubumbujja

    [6] Bwe baatuula awo ku mabbali waagwo

    [7] Nga bo (bennyini) balaba buli kyonna kyebakola ku bakkiriza

    [8] Tebaalina kye baali babavunaana okugyako okukkiriza Katonda oweekitiibwa atenderezebwa

    [9] Oyo, obufuzi bwe ggulu omusanvu n'ensi bwonna bubwe. Era Katonda alaba buli kintu

    [10] Mazima abo abaawalagganya abakkiriza abasajja n’abakkiriza abakazi ate ne bateenenya, bakutuukibwako e bibonerezo by’omuliro Jahannama era balina e bibonerezo by’omuliro ogwokya ennyo

    [11] Mazima abo abakkiriza ne bakola e mirimu e mirungi bajja kufuna e jjana nga mukulukutira muyo emigga. Okwo nno kwe kwesiima okwannamaddala

    [12] Mazima okukwata kwa Mukamaawo kwamaanyi nnyo

    [13] Kubanga yye ye mutandisi wa buli kintu era yewookubizzaawo

    [14] Era musonyiyi nnyo, era abaagala nnyo

    [15] Yye ye nannyini Arishi, Oweekitiibwa

    [16] Akola buli ky’aba ayagadde

    [17] Wali owulidde ku byafaayo by’amagye

    [18] Aga Firawo n’abantu ba Thamuud

    [19] Wabula abo abatakkiriza bali mu kulimbisa

    [20] So nga Katonda abeetoolodde

    [21] Wabula yo Kur'ani (eyassibwa ku Nabbi Muhammad) ya kitiibwa

    [22] Eri mu ggwandiikiro erikuumwa obutiribiri

    Olumunyeenye Olw'enkya

    Surah 86

    [1] Ndayira e ggulu ne munyeenye ezirabika e kiro

    [2] Naye omanyi e munyeenye ezirabika ekiro kye ki

    [3] Z’emunyeenye ezaaka ennyo ekitangaala kyazo ne kiyita mu nzikiza ne kituuka ku nsi

    [4] Buli muntu yenna aliko abakuumi (Ba Malayika)

    [5] Kale nno omuntu yalibadde atunuulira kye yatondebwamu

    [6] Yatondebwa ng’aggyibwa mu mazzi agasambattuka

    [7] Nga gava wakati w’omugongo gw'omusajja n’amasaabiro g'omukazi

    [8] Mazima ddala oyo (Katonda) asobolera ddala okumuzzaawo

    [9] Ku lunaku ebyama byonna lwe biribikkulwa

    [10] Omuntu tagenda kuba na maanyi gonna yadde omutaasa

    [11] Era ndayira e ggulu ewava e nkuba etonnya nga e ddingana

    [12] Ne ndayira n’ettaka eryeyasa olw’okumeza e bimera

    [13] Mazima ddala yo (Kur'ani) kigambo ekyawula wakati w’amazima n’obulimba

    [14] Kur'ani si ya lusaago

    [15] Mazima abatakkiriza basala e nkwe

    [16] Nange nenkola enteekateeka (zange)

    [17] Abatakkiriza balindirize, nange mbawadde akaseera katono

    Ali waggulu ennyo

    Surah 87

    [1] Tendereza erinnya ly’omulabiriziwo owa waggulu

    [2] Oyo eyatonda n'atereeza

    [3] Era eyateekateeka buli kintu n'akyenkanyankanya

    [4] Era oyo ameza omuddo oguliibwa e bisolo

    [5] Oluvanyuma agufuula omukalu

    [6] Tujja kukusomesa (Kur'ani) obeere nga teweerabira

    [7] Okugyako ebyo Katonda by’anaaba ayagadde okukwerabiza. Katonda y’amanyi ebyogerwa mu lwatu ne mu kyama

    [8] Tujja kukwanguyiza amateeka gabeere mangu

    [9] Kale buulirira, okubuulirira bwe kuba nga kunaagasa

    [10] Anaaganyulwa oyo atya Katonda

    [11] Omwonoonyi ajja ku kwesamba (okubuulirira okwo)

    [12] Oyo alyesogga omuliro ogwamaanyi

    [13] Ng’amaze (okusonsekebwa mu muliro ogwo), tagenda kufa wadde okufuna obulamu (obwesiimisa)

    [14] Mazima yeesiimye omuntu e yeetukuza

    [15] N’ayogera ku linnya ly’omuleziwe olwo nno n’asaala

    [16] Wabula mmwe musukkulumya obulamu obw’ensi

    [17] So nga obulamu obw'enkomerero bwe businga obulungi era bwe bwo kusigalawo

    [18] Mazima bino biri mu biwandiiko ebyasooka

    [19] Ebiwandiiko bya Ibrahim ne Musa

    Ekikangabwa

    Surah 88

    [1] Abaffe wali ofunye okunyumizibwa ku kibuutikira (eky’olunaku lw'enkomerero)

    [2] Olunaku olwo ebyenyi bigenda kuba nga biswavu

    [3] Nga bitawaana, nga bikoowu

    [4] Nga byesonseka omuliro ogwengeredde

    [5] Bigenda kunywesebwa ku luzzi olweseze

    [6] (Abantu abo) tebagenda kubeera na kya kulya kyonna okugyako e miti egy’amaggwa

    [7] Egitaliimu kiriisa wadde okuwonya e njala

    [8] Ebyenyi e birala bigenda kubeera mu byengera

    [9] Bigenda kusiima olw’okutakabana kwa byo

    [10] Nga biri mu jjana ey’awaggulu

    [11] Togenda kuwulira mu yo bigambo bya butaliimu

    [12] Mu jjana mulimu e nsulo e zikulukuta

    [13] Era nga mulimu ebitanda ebisitufu (Ebiwunde)

    [14] N’ebikopo ebinywerwamu ebitegekeddwa

    [15] N’emitto egisimbiddwa ennyiriri

    [16] N’ebyaliiro nga byanjuluziddwa

    [17] Abaffe tebatunuulira (olutunuulira olw’okuyiga) engamiya ngeri ki bwe yatondebwa

    [18] N’eggulu nga bwe lyasitulwa

    [19] N’ensozi engeri gye zaasimbwamu

    [20] N’ensi engeri gye yaseetezebwamu

    [21] Kale nno buulirira gwe (Nabbi Muhammad) kubanga oli mubuulirizi

    [22] Toliiwo kubakaka

    [23] Naye abo abanaava ku bigambobyo ne bajeema

    [24] Katonda agenda okubabonereza e bibonerezo e bisinga okuba e bikakali

    [25] Mazima ddala gyetuli y’eri obuddo bwabwe

    [26] Oluvanyuma ddala okubalibwa kwabwe kuli ku ffe

    Obunkenke

    Surah 89

    [1] Ndayira e mambya

    [2] N’ebiro e kkumi

    [3] N’ebibiri bibiri n’ebyensusuuba

    [4] N’ekiro bwekiba nga kitambula (nga kijja oba nga kivaawo)

    [5] Abaffe mu kulayira kuno temuliimu kwebuulirira eri oyo alina amagezi

    [6] Tewamanya ebyo Omuleziwo (Katonda) bye yatuusa ku bantu b'ekika kya A'adi

    [7] Aba-Irama abawagguufu

    [8] Tewatondebwangayo babafaanana mu nsi

    [9] N’ebyo bye yatuusa ku ba Thamuud abaawukuulanga e njazi mu lusenyi

    [10] N'ebyo bye yatuusa ku Firaawo nannyini nkondo

    [11] Abo bonna (aboogeddwako) beewaggula kuno ku nsi

    [12] Ne bayitiriza nnyo obwonoonefu

    [13] Omuleziwo (Katonda) kye yava abafukirira e bibonerezo e by'enjawulo

    [14] Mazima ddala Omuleziwo (Katonda) abalindiridde

    [15] Wabula omuntu, Omuleziwe (Katonda) bw'amugezesa n'amugabira e birungi, omuntu oyo agamba nti Katonda wange ampadde

    [16] Ku ludda olulala bw'aba amugezesezza n'amufundiza ebyenfunaye agamba nti omulezi wange (Katonda) anzikakkanyiza

    [17] Nedda, wabula temuyisa bulungi ba Mulekwa

    [18] Era temwekubiriza kuliisa banaku

    [19] Ate nga mulya emmaali ya ba Mulekwa, olulya olugimalawo

    [20] Era nga mwagala eby'enfuna okwagala okuyitiridde

    [21] Nedda eyo si y'endaba e ntuufu ey’ebintu, e nsi bwe ribeera nga ebetenteddwa

    [22] Omuleziwo n'ajja nga ne Ba Malayika basimbye ennyiriri

    [23] Era kwolwo o muliro Jahannama gulireetebwa, kwolwo nno omuntu alijjukira (bye yakola ku nsi) naye okujjukira kuno kugenda ku mugasaaki

    [24] Agenda kugamba: zinsanze nze. Singa nategekera obulamu bwange buno

    [25] Olunaku olwo (Katonda) e bibonerezo by'agenda okubonereza nabyo tewali n'omu yali abibonerezzaako

    [26] Era ensiba gyalisiba ku lunaku olwo tewali yali agisibyeko

    [27] Owange ggwe omwoyo omutebenkevu (omuntu)

    [28] Dda eri Omuleziwo ng'oli musanyufu era asiimiddwa

    [29] Olwo nno oyingire mu baddu bange (abalongoofu)

    [30] Era oyingire mu jjana yange

    Ekibuga

    Surah 90

    [1] Ndayira ekibuga kino (Makkah)

    [2] Nga naawe (Muhammad) oli mutuuze mu kibuga kino

    [3] Era ndayira omuzadde ne baazaala

    [4] Mazima twakola omuntu nga lubeerera abeera mu kutawaana

    [5] Alowooza nti tewali n’omu ayinza ku musobola

    [6] Ng’agamba nti nsaasanyiza emmaali nyingi nnyo

    [7] Alowooza nti tewali n’omu amulaba

    [8] Tetwamuwa amaaso abiri

    [9] N’olulimi n’emimwa ebiri

    [10] Era ne tumulungamya okumanya amakubo abiri (ery'ekirungi n'ery'ekibi)

    [11] Kale singa yabikozesa mu kuvvuunuka obizibu (bw'olunaku lw'enkomerero n'aba nga akozesa bye yafuna naafunamu e nkomerero)

    [12] Abaffe obuzibu obumanyi (n'ekiyinza okubukuyambako)

    [13] Kuta muddu

    [14] Oba okuliisa mu kiseera eky’enjala

    [15] Mulekwa, owooluganda olw’okumpi

    [16] Oba omwavu lunkupe

    [17] Ate era n’abeera mu abo abakkiriza. Ng’era balaamiragana obugumiikiriza nga bwe balaamiragana okusaasiragana

    [18] Abo nno beebo abokubeera ku mukono ogwa ddyo

    [19] Naye abo abawakanya e bigambo byaffe baakubeera ku mukono ogwa kkono

    [20] Bagenda kubeera mu muliro omusaanikire

    Enjuba

    Surah 91

    [1] Ndayira e njuba n’okwaka kwayo

    [2] Era ndayira o mwezi bweguba nga gugoberedde e njuba (ng’egudde)

    [3] Era ndayira obudde obw’emisana nga bwerudde enjuba

    [4] Era ndayira ekiro bwe kiba nga kigibisse

    [5] Era ndayira e ggulu n’eyalitonda

    [6] Era ndayira e nsi n’oyo eyajaaliira

    [7] Era ndayira omuntu n’eyamutonda

    [8] N’amuwa okwawula wakati w’ekibi n’ekirungi

    [9] Yeesiimye alongoosa omwoyogwe okuguggya mu bibi

    [10] Aviiriddemu awo oyo agunnyika mu bibi

    [11] Abantu ba Thamuud, olw'obwonoonefu bwabwe baalimbisa (omubaka waabwe)

    [12] Asinga obwonoonefu mu bo bwe yeesowolayo (naafumita engamiya)

    [13] Omubaka wa Katonda n’abagamba “muleke e ngamiya ya Katonda n’okunywa kwayo”

    [14] Kyokka ne bamulimbisa ne bagifumita. Katonda omulabirizi waabwe kwe kubabuutikira olw’obwonoonefu bwabwe awatali n’omu kuwona

    [15] Era tatya nkomerero y'ekyo (eky'okubazikiriza)

    Ekiro

    Surah 92

    [1] Ndayira ekiro bwe kiba kibisse (e nsi)

    [2] Ndayira n'obudde bwemisana bwe buba nga bwetadde

    [3] Ndayira oyo eyatonda ekisajja n’ekikazi

    [4] Mazima ddala okulafuubana kwa mmwe si kwe kumu

    [5] N'olwekyo, omuntu awaayo ekintu kyonna ng’atya Katonda

    [6] Nakkiriza e birungi. (ebiva mu kukkiriza Katonda)

    [7] Tujja kumwanguyiza e kkubo erimutuusa eri obwangu

    [8] Ate oyo akodowala ne yeegaggasa (ng’alowooza nti ebiri ewa Katonda tabyetaaga)

    [9] N’alimbisa obubaka obwakkira ku Nabbi Muhammad

    [10] Tujja kumwanguyiza okutuuka eri obuzibu

    [11] N’obugaggabwe tebugenda kumugasa ng’ayingidde okuzikirira (olw’ebikolwa bye ebibi)

    [12] Mazima kuli ku ffe okulungamya

    [13] Era mazima ebikwata ku nkomerero ne nsi biri mu buyinza bwaffe

    [14] Mbeekesa omuliro ogubumbujja

    [15] Taliguyingira okugyako oyo omwonoonefu ennyo

    [16] Oyo alimbisa (e bigambo bya Katonda) n'ayawukana (ku kugondera n'okukkiriza Katonda)

    [17] So nga oyo asinga okutya Katonda, ajja kugwesambisibwa

    [18] Oyo awaayo ku by'alina ng’anoonya okwetukuza eri Katonda (so si bandabe oba okwatiikirira)

    [19] Nga tewali n'omu alina kiyinza ku musasulwa

    [20] Wabula okunoonya okusiimwa ewa mukamaawe owa waggulu ennyo

    [21] Mazima ddala ajja kusiima (ky’anaasasulwa)

    Obudde obw'enkya

    Surah 93

    [1] Ndayira ekiseera ky’a kalasa mayanzi

    [2] Era ndayira e kiro bwekiba nga kikutte

    [3] Omuleziwo Katonda takwabuliranga (gwe Nabbi Muhammad) era takukyawanga

    [4] Era ddala e nkomerero y’ennungi gy’oli okusinga entandikwa

    [5] Era ddala Omuleziwo ajja kukuwa naawe osiime

    [6] Teyakusanga ng’oli mulekwa n'akulabirira

    [7] Era teyakusanga nga tomanyi n’akulungamya

    [8] Era teyakusanga nga oli mwavu n’akugaggawaza

    [9] Kale nno mulekwa tomukaayuukiranga

    [10] N’omuntu asaba tomuboggoleranga

    [11] Ate era e kyengera kyonna Omuleziwo Katonda ky’abanga akuwadde kinyumyengako

    Okugonjola

    Surah 94

    [1] Tetwakwanjululiza ekifubakyo (eri obwa Nabbi n’okumanya ebigambo eby’amagezi)

    [2] Ne tukuwewulira obuzito obwakuliko

    [3] Obuzito obwo obwalibadde bukubendula omugongo

    [4] Era ne tukuwa okwogerwako

    [5] (Kisaana kitegerekeke nti) mazima ddala buli awabeera obuzibu, wabaawo obwangu

    [6] Mazima ddala buli awabeera obuzibu wabaawo obwangu

    [7] Bwoba nga omaze okukola emirimu (egikuyimirizaawo ku nsi) olwo nno yimirira (osinze Katondawo)

    [8] Era eri Omuleziwo Katonda, gy’oba oteeka e ssuubilyo lyonna

    Ettiini

    Surah 95

    [1] Ndayira ekibala ekiyitibwa Tiin n’ekibala ekiyitibwa Zaitun

    [2] Era ndayira olusozi lw’e Sinai

    [3] Nakino e kibuga (Makkah) eky’emirembe

    [4] Mazima twakola omuntu mu kifaananyi e kisinga okuba ekirungi

    [5] Ate oluvanyuma tumuzzaayo wansi mu ddaala erisembayo

    [6] Okugyako abo abakkiriza ne bakola e mirimu e mirungi, bagenda kufuna e mpeera etalina kkomo

    [7] Bwekiba bw'ekityo (ate gwe omuntu) olimbisa otya olunaku lw'enkomerero

    [8] Tolaba nti Katonda ye Mulamuzi asinga okuba omwenkanya era owamazima

    Akagumba k'omusaayi

    Surah 96

    [1] Soma ng'otandika ne linnya lya mukamawo oyo eyatonda (buli kintu)

    [2] Yatonda omuntu nga amuggya mu kisaayisaayi

    [3] Soma, kuba Omulezi wo (Katonda) ye mugabi asinga

    [4] Oyo eyayigiriza omuntu okuwandiika n'ekkalaamu

    [5] Yayigiriza omuntu ebyo (omuntu) bye yali tamanyi

    [6] Nedda, mazima omuntu agenda neyewaggula

    [7] Olw’okweraba nti yeemalirira (olw’ebyo by’aba alina)

    [8] Ng’ate Mazima ddala eri Omuleziwo (Katonda) y’eri obuddo

    [9] Olabye omuntu agaana

    [10] (Agaana) omuddu wa Katonda bw’aba ng'asaala

    [11] Tolaba nti gwebagaana ky'akola kya bulungamu

    [12] Oba bwaba alagidde abantu okutya Katonda

    [13] Olaba oyo (agaana asaala) bw'alimbisa n'akyuka okuva ku mazima

    [14] Abaffe tamanyi (oyo alimbisa) nti Mazima Katonda alaba ebyo (by’akola)

    [15] Nedda bw’anaaba teyeekomyeko (ku bikolwa ebyo) tujja kumuwalula nga tumukutte ku kawompo

    [16] Akawompo ako akajjudde obulimba n’obusobya

    [17] Kale ayitanga abali mu kinywi kye (eky’obujeemu bamutaase)

    [18] Naffe tujja kukoowoola ba Malayika abakambwe abakuumi b’omuliro (abatuusa ebibonerezo ku bajeemu)

    [19] Nedda (Owange Nabbi Muhammad) togonderanga omuntu ng’oyo. Vunnama (ng'osinza) Katonda era weeyongere okusembera gy'ali

    Amaanyi

    Surah 97

    [1] Mazima ffe twassa Kur'ani mu kiro ekiyitibwa Layila-tul-kadri (e kiro ekyokugera era ekyekitiibwa)

    [2] Ye nno omanyi Layila-tul-kadri kye ki

    [3] Layila-tul-kadri kiro kirungi okusinga emyezi olukumi

    [4] Mu kiro ekyo, ba Mlayika bakka nga ne Jiburilu mwali ku lw’ekiragiro kya mukama waabwe (Katonda). Nga bajja na buli kiragiro

    [5] Ekiro ekyo kya mirembe myereere, okutuusa obudde okukya

    Obunnyonnyofu

    Surah 98

    [1] Abajeemu mu bantu abaweebwa e kitabo, n'abo abagatta ebintu ebirala ku Katonda, tebaali baakuva ku nzikiriza yaabwe enkyamu okutuusa nga obunnyonnyofu bubajjidde

    [2] Nga, ye Mubaka (Nabbi Muhammad) eyatumwa okuva ewa Katonda, nga asoma ekitabo ekitukuvu (Kur'ani)

    [3] Ekirimu amateeka amalambulukufu

    [4] Era abantu abo abaweebwa e kitabo tebayawukanayawukana okutuusa nga obunnyonnyofu bumaze okubajjira

    [5] So nga ate tebaalagirwa okugyako okusinza Katonda yekka nga buli kyebakola bakikola ku lulwe yekka, awatali ku mugattirizaako kantu konna. Era nga bateekwa okuyimirizaawo e sswala n’okutoola Zzaka. Era nga eyo nno y'eddiini ennambulukufu

    [6] Mazima abo abaajeema mu bantu abaaweebwa e kitabo n’abo abagatta ku Katonda e bintu ebirala bakuyingira omuliro Jahannama mwe bagenda okubeera olubeerera. Abo nno be babi okusinga ebitonde ebirala byonna

    [7] Mazima abo abakkiriza ne bakola e mirimu e mirungi be balungi okusinga ebitonde byonna

    [8] E mpeera yaabwe ewa Katonda waabwe kubayingiza jjana eyitibwa Aden, nga emigga gikulukutira mu yo. Baakugibeeramu olubeerera. Katonda yabasiima nabo ne bamusiima. Ebyo nno bigenda kufunwa oyo eyatya omuleziwe (Katonda)

    Musisi

    Surah 99

    [1] E nsi bweriba eyuguumizziddwa oluyuguuma lwayo

    [2] E nsi n'efulumya (nga ewandula) ebyo byonna ebigirimu

    [3] Omuntu aligamba nga yeebuuza nti! ebadde ki

    [4] Ku lunaku olwo egenda kuttottola ebigambo byonna ebikwata ku ebyo ebyakolerwanga ku yo

    [5] Nti mazima Katonda y'aliba agiragidde okwogera ebyo

    [6] Abantu ku lunaku olwo baliva mu kabbuli zaabwe nga bali mu bibinja babe nga balagibwa e mirimu gyabwe

    [7] Omuntu eyakola omulimu omulungi gwonna kagube mutono gutya agenda kugulaba

    [8] N'omuntu eyakola omulimu omubi gwonna kagube mutono gutya agenda kugulaba

    Abeembalasi

    Surah 100

    [1] Ndayira embalaasi ezizinda(ezidduka) nga ziweevuuma

    [2] Nezimansula e nsasi z’omuliroolw’okukoona enjazi

    [3] Ezizinda ku maliiri

    [4] Nezisiikuula enfuufu, mu kutyekuula emisinde okwo

    [5] Neziyingira mu balabe wakati

    [6] Mazima ddala omuntu mutomi eri omuleziwe

    [7] Era mazima ye (omuntu) ku ky'obutomi mujulizi

    [8] Era mazima yye muyitirivu nnyo mu kwagala ebyenfuna

    [9] Abaffe (omuntu) tamanyi nti ebiri mu kabbuli bwe biriba bizuukiziddwa

    [10] N’ebiri mu bifuba ne byolesebwa

    [11] Mazima Katonda omulezi waabwe (nga bulijjo ne) ku lunaku olwo agenda kuba ng'amanyi byonna ebibakwatako

    Akabenje

    Surah 101

    [1] Ekikoona (ekyentiisa)

    [2] Ekikoona kye ki

    [3] Naye omanyi ekikoona kye ki

    [4] Lwe lunaku abantu lwe balibeera nga e biwojjolo ebisaasaanye

    [5] N’ensozi lwe zirifuuka nga pamba omusuunsule afuumuuka

    [6] Naye, omuntu alibeera n'emirimu e mirungi nga gizitowa (okusinga ebibibye)

    [7] Oyo agenda kubeera mu bulamu obw’okwesiima

    [8] Ate oyo aliwewukirwa emirimu gye emirungi (ebibi bye n’ebisinga obuzito)

    [9] Oyo nno, obuddo n'obutuulo bwe muliro oguyitibwa “Haawiya”

    [10] Naye omanyi ‘Haawiya’ kye ki

    [11] Gwe muliro ogwengeredde (ogwokya ennyo)

    Okweyawula

    Surah 102

    [1] Okunoonya okufuna ebingi, kubalabankanyizza (ne kubajja ku kugondera amateeka ga Katonda)

    [2] Okutuusa lwe muyingira kabbuli

    [3] Nedda, kyaddaki mujja kumanya (mu kiseera ky'okufa)

    [4] Ate era oluvanyuma, kyaddaki mujja kumanya (nga muyingidde kabbuli)

    [5] Nedda, singa nga mubadde mumanyi mu bukakafu bw'okumanya (temwandirabankanyiziddwa na kukungaanya bingi)

    [6] Mujja kulabira ddala omuliro “Jahiim”

    [7] Ate oluvanyuma omuliro ogwo mujja kugulaba mugutegeerere ddala

    [8] Ate ddala oluvanyuma mugenda kubuuzibwa e byengera bye mwafuna ku nsi (mwabifuna mu makubo ki, era mwabisaasaanya mu makubo ki)

    Akawungeezi

    Surah 103

    [1] Ndayira omulembe (buli mulembe)

    [2] Mazima ddala omuntu yenna gy’afa yenkana ali mu kufaafaaganirwa

    [3] Okugyako abo abakkiriza Katonda (mu nzikiriza entuufu) ate ne bakola e mirimu emirungi, era ne balaamirigana okukoleranga ku mazima (mu bulamu bwabwe bwonna) era ne balaamiragana okubeera abagumikiriza (mu bulamu bwabwe bwonna)

    Amuwawaabira

    Surah 104

    [1] Okubonaabona okwamaanyi kugenda kubeera ku buli muntu atambuza engambo, ageya banne n'abaggya obumogo

    [2] Oyo akungaanya ebyo bugagga n’abituuma

    [3] Alowooza nti eby'obugaggabye byakumukuumira ku nsi obugenderevu

    [4] Nedda, ajja kukanyugwa mu muliro oguyitibwa “Hutwama”

    [5] Ye omanyi “Hutwama” kye ki

    [6] (Hutwama) muliro gwa Katonda omukume, ogubumbujja

    [7] Ogwo ogwokya negutuukira ddala ku mitima

    [8] Mazima ddala omuliro ogwo (Hutwama) ku bantu abo (abogeddwaako) gugenda kubabuutikira

    [9] Mu midumu emiwanvu

    Enjovu

    Surah 105

    [1] Tewamanya Katonda kyeyakola eggye ly’enjovu

    [2] Enkwe zaabwe tezaagwa butaka

    [3] N'abasindikira e binnyonyi nga bijjira mu bibinja

    [4] Nga bibakanyugira amayinja amookye

    [5] Nebafuuka nga omuddo ogagayiddwa ensolo ne gufuluma nga gufuuse obusa

    Abakureishi

    Surah 106

    [1] Ku lw'empangaala ya ba Kuraish

    [2] Empangaala yaabwe eyalimu okutambula engendo mu butiti ne mu kyeya

    [3] Bateekwa basinze Katonda nannyini nyumba eno (Kaaba)

    [4] Katonda eyabawa eby'okulya, n’abawonya enjala, n’abawa e mirembe, ne bataba mu kutya

    Ebisa Obutono

    Surah 107

    [1] Olabye oyo alimbisa olunaku lw'enkomerero

    [2] Oyo nno y’oyo awalagganya ba mulekwa

    [3] Era nga takubiriza kuliisa banaku

    [4] Okubonaabona kuli ku abo abasaala

    [5] Nga balagajjalira e sswala zaabwe

    [6] Abo abakola bandabe

    [7] Era abamma bannaabwe ebintu ebitasaana kumma

    Obugagga

    Surah 108

    [1] Mazima ffe twakuwa e birungi e bingi, (mu ebyo mwe muli n'oluzzi Kauthara olw'omu jjana)

    [2] N'olwekyo wenywereze ku kusaala ku lwa Katondawo, era osale n’ebisolo, nga osaddaaka ku lwa Katondawo

    [3] Mazima oyo akuwalagganya, (ng'akuvuma era n'okukujeeja) ye wenkuggu

    Abakaafiiri

    Surah 109

    [1] Bagambe nti, abange mmwe abatakkiriza (abawakanyi)

    [2] Ssisinza ebyo bye musinza (amasanamu, lubaale, n'ebirala)

    [3] Wadde namwe temusinza oyo gwe nsinza (ali omu mu bwa Katonda bwe)

    [4] Era siri waakusinza ebyo bye musinza

    [5] Era nammwe temuli baakusinza oyo gwensinza

    [6] Mulina e nkola yammwe (ey'okusinza ba Katonda abangi, nange nnina enkola yange (ey'okusinza Katonda omu yekka)

    Obuyambi

    Surah 110

    [1] Okutaasa kwa Katonda n’obuwanguzi bwe bijjanga

    [2] N’olaba abantu nga bayingira e ddiini ya Katonda mu bibinja

    [3] Otenderezanga Mukama Katondawo n’ebitendobye, era omwetondere, mazima yye akkiriza okwenenya

    Olulimi lw'omuliro

    Surah 111

    [1] Mu Hadith eri mu kitabo kya Bukhari Nabbi yagenda ku Batwhahu naakuba wuuli abantu bangi bajja nga balowooza nti waliyo ebya maguzi, Nabbi bweyatandika okubabuulira ebikwata ku Katonda, Abu Lahbi naakasuka e mikono nga bwagamba nti kino kyotukunganyirizza era kyotuyitidde? Zikirira. Katonda kwe kumwanukula mu ssura eno naagamba nti: (Gizikirire e mikono gya Abu Lahbi (gyawuuba), era ddala yenna yazikirira

    [2] Eby'obugaggabwe tebimugasizza, wadde n’ebirala bye yafuna, (nga e kitiibwa)

    [3] Ajja kwesonseka mu muliro ogubumbujja

    [4] Ne mukyalawe omwetissi w’enku (naye bwatyo)

    [5] Nga mu nsingoye mulimu omuguwa omulange

    Obwesigwa

    Surah 112

    [1] (Gwe Nabbi Muhammad) bagambe nti Katonda ali omu mu bwa Katondabwe (era nga yye yekka ateekeddwa okusinzibwa)

    [2] Katonda y'akola ku byetaago by'ebitonde byonna

    [3] Tazaala, era teyazaalibwa

    [4] Era teri kintu kyonna kimwenkana

    Obunkenke

    Surah 113

    [1] Gamba nti, nsaba obukuumi ewa Katonda afuga okukya kw’obudde

    [2] Mu bubi bw’ebyo bye yatonda

    [3] Ne mu bubi bw’ekiro nga kikutte

    [4] Ne mu bubi bw’abakazi abalogo abasiba ebifundikwa (ne babifuuwamu nga balaamiriza)

    [5] Ne mu bubi obuva mu mukozi wensaalwa ng'akoze ensaalwa

    Abantu

    Surah 114

    [1] Gamba nti, nsaba obukuumi okuva eri Mukama omulabirizi wa bantu

    [2] Omufuzi w'abantu

    [3] Asinzibwa abantu

    [4] Amponye obubi bw’omulabankanya sitaani omwekwesi

    [5] Oyo alabankanya (e mitima egiri) mu bifuba by'abantu

    [6] (Sitaani) ow’omu majiinni ne sitaani ow’omu bantu